back

Enyanjula Eyolukuba Olwokubiri

next

 

KULINYA LYAKATONDA OMUSASIZI OWEKISA EKINGI

OBWETAAVU ERI OLUNGAANA OLWOBUSIRAAMU OLWENSI YONNA NGA LUKWAATA KU TAWHEED NE SHIRIK

Mazima kaaba yennyumba eyasooka okuzimbibwa Olwokusinzizaamu katonda nokumwaawula. Mazima omusinji gwaayo gwatekebwaawo oluberyeberye lwomulembe gwaNnabbi Nooh. Nekiraga ekyo, kyekigambo kyakatonda (s.a) “Mazima enyumba eyasooka okuteekebwaawo eri abantu ye kaaba eyomukisa, nga bwebulungamu eri abantu”.([1])

Oluvanyuma olwekiseera amataba gajja negonoona ebisenge byaayo. Naye Nabbi Ibrahim bweyamala okujja, yagiddamu nagizimba bupya, Mpozzi nga katonda bwagamba kunsonga eyo “Jukira mukiseera awo Ibrahim weyasitulira akasolya kenyumba ne Ismail”.([2])

Nabbi Ibrahim bwamaliriza okusitula akasolya kenyumba nokuddabiriza obulungi, katonda yamulagira ayite abantu bonna abaawula katonda, batandike okulambula enyumba nokukola Hijja, katonda agamba: “langirira mubantu batandike okukola Hijja”.([3])

Mazima katonda yafuula enyumbaye ey’emizizo nga kunganiro lyabakkiriza era nga nyumba yamirembe eri abaawula katonda. Nolwekyo tekisaana muntu yenna kufuna kutya kwonna mumutimagwe oba okufuna ekintu kyonna ekimukosa oba okutya obulyazamaanyi. Nga katonda bwagamba: “Jukira awo wetwafuulira enyumba (kaaba) nga yakulambula eri abantu era nga yamirembe”.([4])

Katonda yafuula okulambula enyumbaye eyemizizo nga kuwa abakkiriza obulamu obwoluberera nokubeera mumirembe. Katonda agamba: “Allah yafuula enyumba eyemizizo – kaaba – nga yakuyimiriramu eri abantu”([5]) Era okusinziira ku Aya eyo, Imam Swadiq agamba: “Eddiini egenda kusigala nga weeri ebbanga kaaba lyenamala nga weeri”.([6])

Mazima emigaso egyokulambula enyumba ya Allah mingi nyo era tegisoboka kuginyonyola mukaseera kano akatono wabula, mpozzi kyenjagala okukoonako akatono, yembeera kaaba mweeri olwaleero awamu nokubeera nga eri mukibangirizi ekyaabo abagamba nti omulimo gwaabwe kwekuweereza Haram ezo zombiriri era ekyo bakyenyumikkirizaamu.

Nga emigaso emirala tugiresse, ekibuuzo kyetwebuuza kikwaata kunsonga bbiri era nga nkulu.

(1) Abaffe emikolo gyaHijja ennaku zino gyirina eddembe eri abakkiriza? Abaffe abasiraamu buli lwebakungaana muHijja, balina kyebagasibwa? Kale embeera bweeba nga eri bweetyo, tumale okwebuuza, lukungaanaki munkungaana ezoabuli mwaaka olwaalimu omu kubabuulize ba Haramain nga abuulira kumbeera y’abasiraamu oba okugamba abasiraamu banjule ebizibu byebasanga munsi zaabwe ezenjawulo balabe engeri gyebayinza okubisaliramu amagezi. Era abaweereza ba Haraamain basuubiraddi okukola kunsonga nga ezo?

Mpozzi, ekyokulabirako kyenyinza okuwa kunsonga eyo: mumwaaka 1396H, nagenda okulambula enyumba ya Allah nokukola Umrah awamu ne number ewerako eya bahuffaadh abakwaata Qur’an – okwetaba mumpaka za Qur’an. Munnaku ezo amaradio gonna munsi gaali gogera kumbeera embi mu Lebanon ne Palastine olwokulumbibwa naba Israel abalyazamaanyi.

Mulunaku owokutaano bwerwaatuuka, twagenda mulukungaana lwempaka zaQuran. Bwerumala okuggwa, ekiseera kyesswala ya Juma ne khutubah, nekituuka, omusomi wa khutubah n’alinnya ekituuti okusoma khutubah.

Nze kulwange, nali nkakasa nti omusomi wakhutuba oyo ajja kwogerako kunsonga eriwo ekiseera ekyo ekwaata kubaganda baffe mu Lebanon ne Palastine era kiki kyetusaana okukola nga ffe abasiraamu. Naye nagenda okumulaba, nga amangu ago agenda kubuyonjo, obulungi bwaabwo, nobuwufu bwaabwo, empisa ezomuzikiti nesswala yaJuma nebirala bwebityo, kale bwaatyo natuuka okumaliriza nga takoonyeko kunsonga eyo nakatono.

Wenali ntudde, waaliwo omusajja omu kubaganda baffe abe Misir abaddukayo, nemubuuza: muganda wange, ggwe mukulabakwo, khutuba esomeddwa olwaleero, yebadde esaana? Omusajja oyo naye n’alaga okusaalirwa okwamaanyi.

Kale nekibeera nga kirabika nti abali mubuyinza bebatabakkiriza kwogera kubyabufuzi oba abalabe bobusiraamu oba embeera yobusiraamu nebintu ebirala.

Naye, embozi bwebeera nga ekwaata kubashia, bogera buli staan kyeba ebagalizza. Era oluvanyuma lwa Revolution mu Iran okujja, waaliwo ekitabo ekyafuluma nga kiriko omutwe: “Ekiseera kyabamajuusi nekijja”!!!

Oluvanyuma lweebyo byonna twongere okwebuuza nga tugamba nti abaffe kisaana okugambibwa nti abakulembeze be Najid ne Hijaaz baweereza Haram yakatonda era bebakuuma enyumba ya Allah? Abaffe kaaba mumulembe guno, erina kyewanirira ensi yobusiraamu? Ekyokubiri, abaffe Haram ya katonda kyifo kyamirembe nabutebenkevu mukiseera kino kyetulimu? Mazima Quran eyekitiibwa etwaala ekibuga Makka nekitundu ekikyetolodde nga bifo byabutebenkevu. Era katonda wagambira: “Omuntu aba ajiyingiddemu – Haram – abeera mirembe”.([7])

Ne Ibrahim Alkhaliil – taata w’abasiraamu – yasaba katonda afuule haram ebeere eyemirembe nobutebenkevu nga Qur’an bwegamba: “Ai mukama katonda, fuula ekibuga ekyo – Makka – kyamirembe”([8]). Naye kati twebuuza, mubutuufu, abagikuuma bebaweereza baayo aba sharia? Abaffe, abasiraamu bonna awamu nokwawukana kwaabwe mumadhihabu gaabwe basobola okukungaanira mukifo ekyo nebogera kunsonga zaabwe mubyeddiini nebyobufuzi? … kale embeera bwebeera bwetyo, amadhihab ga Hambali gokka gegasaana okukola? Oba obutakkiriza kusaasaanya birowoozo birala ebiri kumulembe ogwensi yonna okujjako ebya Ibn Taimiyyah ne Ibn Alqayyiim… noluvanyuma ebirowoozo bya Muhammad Ibn Abdul Wahaab?

Era nekirala ekyewunyisa kwekulaba nga mukubuulirira okwennaku zaJuma temubeera kirala kyonna okujjako: kulambula ntaana, kuziyiza kukungaana mumawuledi ga Nabbi (s.a.w), okuziyiza okugulumiza abagalwa bakatonda. Abamu nebatuuka nokulowooza nti obusiraamu tebuliimu kirala okujjako ebyo byokka!!!

Nebatuuka nokukaafuwaza omuntu aba abawukanyeeko mundowooza zaabwe, nokumuyita nti mushirik, asaana kukolima, nakuvuma, nakukuba…

Mazima ebirowoozo bya Abawahabu tebirina kirala okujjako okukafuwaza ebibiina ebirala ebyobusiramu, nokwawulayawula abasiraam abali awamu nokwonoona erinya lyobusiramu nenjigiriza yobusiramu nokusangulawo obuwufu bwobusiramu, era nebatuuka nokubeera nga bakolagana nabafuzi abononefu era nebabagulumiza nga Yaziid Ibn Mu-awiya!

Kyokka n’abamu mubabulireze nabawandiisi bebitabo tebalina kyebamanyi kubusiramu okujjako okuwandiika obuwandiisi emitima gyabwe byegyiba gyibagambye nakwagala kufuna ssente.

Oluvanyuma olwebyo byonna ebiyise… tugamba nti: mazima mu Hijaazi mulimu eddembe eritaliiko kikomo ate era ekiseera kyekimu mulimu okunyigibwa okutaliiko kikomo.

Ekikwata kuddembe, lyo lyeyawulidde bawahabi bokka n’abo ababagoberera kubanga ebitabo nebiwandiiko byonna ebiwagira abalyazamanyi nebigulumiza abononefu muba Umayya nemuba Abbas bisaasanyizibwa awatali kalombolombo kanna era negavument etuuka nokubeera nga erina obuwagizi bwetekawo.

Ate okunyigirizibwa okutaliko kikomo kwekubeera nga ekitabo kyonna oba ekiwandiiko ekyogera kubintu ebirala nga okukka kw’obusiramu oba okwogera kubantu ba Nabbi kiziyizibwa okuziyizibwa okwamanyi. Era tekisoboka kitabo kyonna kuyingirayo okujjako nga minstry eyebyamawulire emaze okukkiriza.

Mumwaka 1404 H, nagenda muhijja n’okulambaula ebifo ebyazikibwamu abantu abebitiibwa nga Nabbi nabantube (a.s) muMadiina. Kukisaawe ekyemadiina, avunanyizibwa kubiwandiiko yanzigyako copies kumi zenalina ezekitabo (Maswidarul wujuud), nga kyogera kubiraga okubeerawo kwakatonda mumagezi nemubutonde.

Ekyansituza copies ezo, kwekwagala okuzigabira abantu beegase nazo mukutegeera katonda nokumwawula.

Oluvanyuma olwokumunyonyola obulungi bwa copies ezo, yangamba nti kazibeere nnungi zitya, zirina okusomebwa zisindikibwe muministry yebyamawulire olyoke ozifunire eyo.

Abaffe, ago gemakulu gekigambo kyakatonda ekigamba nti “(Makka) kibuga kyamirembe”?

 

EKIGAMBO “SHIRIK” KIKUTEKEBWAKO KUKUNOWO NEKUDYOWO

Mazima ebimu kubigambo ebisinga obwangu kunnimi zabantu musaud, kyekigambo “Shirik”. Era nga kitekebwa nyo kubamanyi bangi nabantu abebitiibwa mubusiram. Buli lwosisinkana nabasajja tebalina kirala okujjako okugamba mbu “balagira bulungi nakuziyiza bubi”. Gyobeera nti oba mubitabo byabwe temuliimu kirala okujjako ekyo.

Bwenali nakatandika okuwandiika ekitabo kino, waliwo ekitabo ekyantukako (ASHI-A WA TASHAYYU-U), nga kyowandikibwa omusajja omupakistan owensaalwa era nga ali mukabiina akabawahabi, erinyalye: Ihsaan llaahi dhahiir. Ekitabo ekyo kyakubirwa mu Saud naye nga mujjudde kuwayiriza kwerere eri abashi-a era nga amagezige gamulimba nti byeyesembesa abijja mubitabo byabwe. Ekyokulabirako kiri kupage 20 mukitabokye. Yaleeta ekigambo ky’omugenzi Shaikh Muhamad Hussein Almudhafar, oluvanyuma nakyanjuluza nga asinziira kukwagalakwe n’omutimagwe omukyamu kyegumugamba.

Omugenzi Almudhafar yagamba:

“… Nabbi okukowoola abantu okudda eri ekibiina kya Abil Hassan, kwaali kutambulira wamu ne shahada ebbiri-eri okusinza katonda nobwaNabbi bwa Muhamad (s.a.w)”.

Amakulu gebigambo bya Shaikh – katonda amusasire – nti mazima obushia simadhihab magunjeewo wabula kuviraddala kumulembe gwaNabbi (s.a.w) era yayitanga abantu okukiriza shahada ebbiri oluvanyuma nayita abantu okudda eri obukulembeze bwa Ali – omukulembeze wabakkiriza(a.s).

Naye awo  omusajja omuwahabi weyava nga agamba nti Nabbi yaddira Ali namugatta mubwaNabbibwe nemububakabwe.

Kale omuwandiisi oyo singa yali omuntu alinako kyamanyi kuntandiikwa yenzikiriza eyo, yalibadde tavamu bigambo bikyamu ebyo ebitali byamagezi.

N’olwekyo ffe tugamba nti bwekuba nga okuyita abantu okudda eri obukulembeze bwa Imam Ali (a.s) kitegeeza kwegatta mubwaNabbi, Qur’an eyekitiibwa eba yeyasooka okukikola kubanga yakowoola abantu okugondera katonda nomubakawe n’abo abawa ebiragiro munjogera emu. Agamba Allah “Mugondere katonda, mugondere n’omubaka n’abo abawa ebiragiro mumwe”.([9])

Kale okusinziira kundowooza y’omuwandiisi oyo, omuwahabi, mukifo kyaNabbi okukowoola okudda eri Tauheed, yakowoola kudda eri shirik kubanga yaliranyisa okugondera katonda nokugondera abawa ebiragiro. Ate kimanye nti nebwetuvunula tutya “Bananyini biragiro”, Imam Ali alina okuzingirwamu era nga yewokumwanjo.

Mazima kyayogerwa nabebyafaayo, abavuunuzi ba Qur’an, Abaffe, okukowoola abantu okukkiriza nti Ali yeyasikira Nabbi oluvanyuma okwokufa kitegeeza kukowoola bantu kukkiriza nti Ali (a.s) Nabbi?

ENSOBI MUBITABO EBYABASUNNI

Mazima obukendevu nensobi mubitabo ebyaba Ahali Sunna nokusingiraddala abawahabi abasalaf byajja lwansonga bbiri:

(1) Obutabeera nakumanya kumala okukwaata kunzikirizeeyo entufu. Era obukendevu obwo bwebalina tebweyawulidde mulembe guno gwokka wabula bwaviiraddala mubyaasa ebyasooka okwesambiraddala ebyafaayo. Obera olyawo ensonga yava kubufuzi obwafugiranga abantu kukanayokyani – government eyaba umawiyyah ne Abbasiyyah, nendala.

Government ezo, zaali zinyigiriza abashia era nga tebabakkiriza kwogera munkungana wadde okwogera obwogezi kunzikiriza yabwe awamu nekyo nga Tarekh etukakasa bulungi nti amadhihabau agenjawulo gaali galina eddembe okwogera nokusasanya enzikiriza zaago Mpozi abashia bawebwamuko akaseera katono mwebasobolera okusaasanyako kunzikiriza yabwe.

Mubuli ngeri yonna, obutamanya nzikiriza ya Abashia oba ensaalwa, byebyaletera abantu okubatekako ebigambo ebyobulimba nokujjuza ebitabo byabwe ebigambo ebitalina webiva.

Ahmad Amiin owe misir – nanyini kitabo “Fajir Al-Islam” – bwamala okufulumya ekitabo ekyo, nga kijudde ebyobulimba kuba Shia, oluvanyuma n’agendako mukibuga ekye najafu, abamu mubamanyi nebamunenya, talina kirala kyonna kyeyekwaasa okujjako yetonda nagamba nti okumanya kwalina kuba Shia kutono ate nebitabo byalina ebibakwatako bitono.

(2) Okukyuusa entekateka eyokusoma mu University eza abasunni, nokujjamu ebitabo ebyamaanyi nebaletamu ebitabotabo ebitawa muyizi kulowooza nyo – nga kitaabul mawaaqif ne Sharihil maqasid. Era osanga ensi nyinji ezobusiramu nga zirimu batono nyo abasobola okusomesa ebitabo ebyo obulungi ebyakubibwa mu kyaasa ekyomunaana.

Kale, nolwekyo, tekyewuunyisa okulaba nga Ihsaan llaahi dhahiir – ekyokulabirako – tayawula wakati wakuyita kudda eri bukulembeze bwa Imam Ali (a.s), nakuyita bantu eri bwa Nabbi. Era tekyewuunyisa kukuba kitabo ekikwaata ku bibiina byobusiram mubyafaayo, abawahabi nebatuuka nokumuyamba kukusaasaanya ekitabo ekyo nga ate bamanyi nti omuwandiisi wakyo talina kyamanyi kunzikiriza yabushia.

TUBBINKIREKO KATONO MUKULOWOZA

Yagamba omuzzukulu w’omubaka wakatonda Imam Swaadiq (a.s) “Omuntu amanyi omulembegwe tafuna kubuzibwabuzibwa”.

Kale okusinziira ku hadith eyo, eyekitiibwa, kitukakatako okulowolerezanga enyo buli lwetuba tufunye obuzibu bwonna obututuuseeko mubusiram bwaffe, tutegeere webuvudde era n’oyo omulabe abuleese tumutegeere.

Oluberyeberye lwemyaaka nga kikumi nokusoba, abalabe bobusiramu bagezako olulwanyisa endowooza z’obusiramu buli olukedde, n’okwonoona erinya lyabwo. Era tewayita week oba omwezi okujjako nga wabeerawo ekitabo ekifulumizibwa naye nga kivumirira busiraam bwaffe obwekitiibwa. Kyokka ekyokusaalirwa bebalabe okubeera nebebakolagana naba muffe!!

Kale, okusinziira kumbeera eno gyetulimu enzibu, saud ye yaalisaanye okuwaayo buli kyonna kyerina mukulwanyisa obushia?!! Abaffe, mubusiraam bwaffe tebuliimu kizibu kyonna okujjako obushia?

Kale ebitabo ebyo nno singa byaalimu bintu byamagezi nabujulizi, abamanyi babashia balibadde babifuna, nebabisoma nebalaba engeri gyebabiddamu. Wabula ekyokusaalirwa kwekusanga nga bijjudde kuwayiriza kwereere nakugunjawo ebitaliiwo nokuvvoola abamanyi abobushia abatalina nsonga Era mubitabo ebimu mulimu n’okuvvoola Imam Ali (a.s).

Funa ekyokulabirako okuva mukitaba “Asshi-a wa Tashayy-u” kyetwogeddeko emabega. Ekyo kyekimu kubitabo ebikyaamu. Olaba ebigambobye ebimu abijja kubalabe abakaati nga: Twabar, Ibn Kathiir, Ibn Khalduun nabalala. Alowooza nti obushia bwaava kubirowoozo bya Abdullah Ibn Saba-I, omuyahuud. Era omuwandiisi oyo – Ihsaan Ilaahi dhahiir – atuuka nokwesembesa ebigambo bya Ahmad Amiin Almisir okuva mukitabo “Fajiril Islam” kubashia nga ate byabulimba. Takoma kwebyo byokka wabula atuuka nokwesembesa ebigambo byaba Naswaara naba Yahuud nga: Duzee, Millar ne walahaawzun, naleka ebitabo byabashia byenyini, kale abaffe obwo bwebutuufu?

Mazima abamanyi babashia abakadde, baawandiika ebitabo bingi era nga birimu nenzikiriza yaabwe era nebisasanyizibwa mubantu, mu laibraries nyingi.

Kale ebitabo ebyabamanyi abo-nga shaikh Sswaduuq, eyafa omwaka 381H ne Shaikh Almufiid, eyafa omwaka 413H n’abalala-ebijjudde enzikiriza eyekishia, lwaaki birekebwa nebiteesiga-mirwaako? Abafe “Nanyini nyumba siyasinga okutegeera ebirimu”?

Abaffe, Ahmad Amiin Almisir – omupya kubyobushia era atalina kyabumanyiiko-y’ategeera amadhihab ago okusinga abamanyi baago?

Era ekyewunyisa kwekusanga omuwandiisi omuwahab oyo omwononyi eyesigamira kubitabo ebyabalabe babashia nga agamba nti ebitabo ebyabashia biyita buyisi bantu nakukuba kampeini naye enzikiriza yaabwe teriimu!!

Ate ekisinga ekyo obubi kwekugenda mukitabo “Bihaaril aniwar” ne “Al-aniwaar Nnu-umaaniyyah” nga ajjamu hadith jeyeesembesa kunzikiriza yobushia awamu nokubeera nga kimanyiddwa nti hadiths nyingi ennafu mubashia nemubasunni. Kale kyolabye muhadith emu toyinza kukyesembesa nti yenzikiriza yekibiina kubanga oyinza okusanga omwogezi wa hadith nga munafu, mulimba oba nga tamanyidwa. Kale tekisoboka kwesigamira kuhadith okujjako oluvanyuma olwokuje tegereza ensibuko yaayo n’omwogezi waayo.

Era tweyongera okubuuza omuwahabi oyo omupangise nabamufaanana, abaffe, buli ekiri mutarekh ya Twabar kituufu awatali kubuusabuusa, oba okujesigamirako tulinakunonyereza nsibuko yaayo?

Mazima ekimanyiddwa, kiri nti hadith eziri mu Twabar ezimu sintufu kubanga aboogezi baazo abamu balimba. Wadde nga tetugenda kunyonyola kawonvu nakagga, katuwe ekyokulabirako kimu kyokka: Mukitabo “Ashi-a watashayyu-u”, page 49, omutunzi waakyo, awayiriza abashia nti ebirowooza byaabwe byonna babijja ku Abdullah Ibn Saba-I eyazalibwa omuyahuudi oweyaman, oyo Twabar gwakakasa nti yayolesa obusiramu nakweka obuyahuud era neyefuula ayagala Imam Ali olwokwagala okusasaanya ebirowoozebye. Naye, abaffe, Abdullah Ibn Saba-I alina weyetabirako munsonga eyo nakamu nakatono wadde nolunaku olumu?

Owokwagala okukulaga nti omuwahab oyo yesigamira kubifu, katukuletere ensibuko ya hadith.

“Yampandiikira, Samari, nga abijja ku shu-aibu nga naye abijja ku saif, naye Nabbijja atwiyyah nga haye yabijja ku Yaziid Alfaqa-asi: Abdullah Ibn Saba-I yali muyahuud mubantu be Swani-a-i…”

kale kati katuteeke ensibuko ya hadith eno kummeeza tulabe oba esaana okwesigamirako okusinziira kubantu abaajogera oba nedda.

Bwetuba tutunuddeko akatono mubitabo bya “Ilim Rrijaal” ebyawandiikibwa abamanyi abasunni, bitumala okutegeera embeera yabasajja abo.

(1)                             Assari: kabeere Ibn Assari bn Ismail Alkuufi oba Assari  bn Aswim eyafa 258, bombiriri babeera balimba.([10])

(2)                             Shu-aib bn Ibrahiim Alkuufi: Tamanyiddwa.([11])

(3)                             Saif bn Umar: Ayogera hadiths enfu oluvanyuma naziteeka kubesigwa.([12])

(4)                             Yaziid Alfaqa-asi: Tamanyiddwa era nerinyalye mubitabo bya “Rijaal” teribeerangamuko.

Nekirala ekitasaana kwerabirwa, kwekwesanga nga Twabarasi alina hadith zayogera-mujuzu eyokusatu, eyokuna neyokutano ebya Tarekh we-ezikwata kubyagwaawo okuva mumwaka 11H okutuuka 37 H. era ekyo kyekiseera kya Government ya Abubakar ne Umar. Hadith ezo ziwereraddala 701. Era hadith ezo zonna zaava kubantu bataano abo bakka. Naye nga ekyaleeta kwekubeera nga Twabari yagunjawo bingi ebitaliiwo okusinziira ngayye bweyalaba. N’olwekyo, abaffe, kisaana okwesigamira kubigambo ebifanana bwebityo?

Ate nekirala ekyewunyisa, kwekusanga riwaaya zaabwe – abo abataano – nga ziri mujuzu yakusatu nayakuna nayakutaano mu Tarekh Twabar zokka, naye amajuzu agasigadde temuli linnya mumannya gaabwe oba ekyayogerwa okuva kubo okujjako mujuzu lyakkumi!. Kale awo wetwebuuliza nti abaffe okumanya kwa “Ssarri” ne “Saif bn Umar” kweyawulira kukumanya byagwawo mukiseera kino kyokka? Era nga byeyawulidde kumadhihab gokka?

Mubutufu, omuntu bwaba akozesezza amagezi naalowooza mubi-gambo byabantu abo abataano, asanga nga byonna byatekebwawo omusajja omu nga era neeyabyogera yalina ekigendererwa kimu. Era lwaki byo byonna Twabar yabyogera?

Okuddamu kuli nti teri kirala okujjako okwagala okuziba amaaso oba obusungu obufuula omuntu kiggala.

Ate ekyokusalirwa kwekusanga abana Tarekh abajja oluvanyuma lwa Twabari bamugoberera era nebatuuka okuddira ebigambobye nebabateeka mu Tarekh Zaaabwe awatali kwetegereza nakunonyereza nsibuko y’abogezi nga balowooza nti buli Twabari ky’aba aleese kibeera kituufu.

Bwoyagala okukakasa byetwogedde, oyinza okutunulako muTarekh ya Ibn Asskr, Kaamil ekya Ibn Al-athiim, bidaayah ne nihaayah ebya ibn Kathiir, Tarekh wa khalduun nebitabo ebirala. Bwebityo ebitabo bya Tarekh ebipya tebyawona bigunjirire. Okujjako nti kyamukisa mulungi okulaba nti abasajja hadith za Twabari kwezitambulira bonna bayogerwa, ekisobola okuwa omuntu okusengejja ebiramu nebifu.

Oluvanyuma lwebyo, katuddeyo kumbozi yaffe eyekitabo “Ashi-a wa Tashayyu-u”. Tugamba nti ekitabo ekyo kyesigamira kubigambo ebyabantu balimba. Nolwekyo, ekitabo ekyo tekirina wadde ekitiibwa ekisembayo obutono.

Kale abaffe, kisaana okuteeka ekibiina ekyobusiram, ekinene, ekyamaanyi, ekirina okumanya kwobusiram, ekilamusa enkola yanNabbi era ekirwanyisa abalyazamanya nga Israil, kumusajja yahuudi, atamanyiddwa olwokwesigamira kubyafaayo ebyobulimba?!

OKUGERANGERANYA OKUKYAMU

Tukyagenda mumaso n’omusajja omuwandiisi omuwahabi mukitabokye ekitaliimu makulu, tumusanga nga yemulugunya ku Imam Ali (a.s) nga yefuula eyebuuza nti nno lwaki bweyamala okutuuka kubukulembeze, yayanguyirira mangu okwagala okujjako Mu-awiyah?

Mubutuufu, ekyaletera omuwahabi oyo obuzibu n’okubeera nga ebintu tabifuna bulungi, kwekulowooza nti Imam Ali (a.s) afananako nabakulembeze abalala abakolerera ebibagasa byokka. Naye endowooza eyo nkyamu era yawansi nyo.

Singa Imam Ali (a.s) yali afaananako nabakulembeze abalala, okwemulugunya okw’omuwahabi kwalibadde kujja kubanga kyeyaalikoze – Imam Ali (a.s) – kwekuyingira mubufuzi nebabutambuza n’omwononefu, omulyazamanyi – mu – awiya nekikoosikye – nebafuga abasiramu nga okwagala kwabwe okwasitani bwekubagamba.

Naye Imam Ali (a.s) tali mumuteeko ogwo ogwabafuzi abakyamu. Mazimayye mukulembeze mulongofu era mumalirivu. Mpozzi nga bwagamba mukwanukula mugiira bn sha-abah nebanne: “Sikkiriza mungu owekitiibwa kundaba nga nfuula ababuze okubeera abayambi”.

Owange gwe omusomi ewekitiibwa: katukomye wano ebigambo ebikwaata kumuwahab nga era bwetusuubira nti okuddamu kwaffe okwo okubadde mubwangu kulina kyekukulaze kunyimirira eyomuwahab – owensaalwa kubantu ba Nabbi n’ababagoberera – mukumanyakwe kubyeddini, nenzikiriza ez’obusiram, nebigambo byeyesembesa ebyobulimba. Nkakasa nti abamanyi beddiini bajja kulongoosa ebyo byonna ebyaasoba kumuwahab oyo. Era nga bwensubira okudda mumuwahab oyo oluddamu olw’amanyi olwebigambobye ebyobulimba kubanga muntu mubuze era abuza.

OBWEETAAVU ERI SEMINA EYOBUSIRAMU

Mubutuufu, kyetagisa nnyo okutekawo olukungaana olwobusiram, tunonyereze amateeka getwawukaniramu, noluvanyuma tulabe engeri gyetugalongoosamu nga tukozesa okumanya n’amagezi.

Kati mubiseera bino byetulimu, waliwo okwawukana okwamaanyi wakati wa abawahab abasalafu namadhaahib agobusiramu amalala kunsonga ya shirik ne Tauheed, Tokiraba nga kibeera kirungi nnyo bwetuteekawo okunonyereza okwokumanya olwokwaagala okusembeza buli omu eri munne, nokujjawo ekikyaamu nokunyweza amazima, nokuteekawo ekitangaala eri oyo eyawubwa?

Era tulina okuteekawo olukungaano olwo nga tuli bamalirivu sossi kulangirira bulangirizi nga tukoma awo.

Naye bwetuba twagala ensonga eyo etekebwe munkola mungeri eyomulembe nga bwekisaana, kyetaagisa okugoberera obulombo-lombo buno:

(1)                             Mubuli kibiina ekyobusiram, kirina okuyitibwaamu abakyikyikirira nga bamukyo batuufu era nga tebeyawulidde saud yokka.

(2)                             Nga ogyeko amadhahib ana, n’abamanyi ababashia balina okuyitibwa – abashia abakkiririza muba Imam ekkumi nababiri nabashia aba Zaidia.

(3)                             Abantu bonna abali mulukungana, balina okuweebwa eddembe erimala buli omu asobole okwoogera ebirowoozobye awatali kumuyingirira mubigambobye oba mukitibwakye nga okumuvuma oba okumukakkanya nga bwekiri musaud.

(4)                             Abakulira olukungana olwo tebasaana kubeerako naludda lwebeekubirako era n’ekisinga obulungi kwekubeera nga mubuli kibinja bajjamu omuntu oba obantu.

(5)                             Ate oluvanyuma olwolukungana, buli byonna ebivuddemu birina okusaasaayizibwa munsi yonna mubifo ebyokumanya kisobozese abantu okutegeera ebivudde mulukungana.

Mazima nkakasa nti singa olukungana lutekebwawo kumbeera eyo, buli ekirimu okwawukana kyijja kutereera era wabeerewo nokutegeeragana awamu nokwegatta wakati wabasiramu.

EKIGENDERERWA MUBIGAMBO BINO:

Tugezezzaako mubigambo byino okugenda nga tunonyereza ensonga enkulu ezo zetwawukanamu nabawahabi tulabe oba tunaasobola okukwatagana nga tuyita mu Qur’an ne musunna.

Era guno omulanga gwenkuba sigwegusooka kunsonga ezo wabula waliwo ebitabo ebyasooka nga buli kimu kirimu okunonyereza okwaamaanyi kunsonga ezo.

Ebitabo ebyo beybino:

(1)                            Mafaahiimul Qur’an: omwo mulimu okunonyereza okwamanyi era nga ebyo bisangibwa mujjuzu esooka, okuva ku page 378 – 528, nga era byali ebigambo ebyayogerwa mu Hauzatul Ilimiyya – Qum eyekitiibwa – nebiwandikiibwa ne Sheikh owekitiibwa Ja-afar Alhaad, nebikubirwa mu Iran ne mu Lebanon.

(2)                             Attawassul bil Auliyaa-e: omwo mulimu okunoonyereza okukwaata kukukkirizibwa okusembera ewa katonda nga tuyitira muba Imam abatukuvu (a.s) n’abagalwa ba katonda abalongoofu. Era nga ensonga eno y’emu kunsonga enkulu ezireetera abawahab okubuzibwabuzibwa.

(3)                             Atauheed wa Shirik mu Qur’an: Mukitabo ekyo, nagezako okunyonyola ekikomo kya Tauheed ne Shirik kubanga eno y’emu kunsonga ezitawanyiizza abawahab okumaliraddala ebyaasa bibiri nekitundu. Kale ekitabo ekyo kyakubibwa nekisaasanyizibwa munsi yonna.

Kale nebigambo bino mwemuli okunonyereza okw’omulundi ogwokuna. Tubiweereza eri eusi yobusiram, era nga bwetukoowoola nabawahab – mu Riyadh ne mu Haramaini Sharifain – n’abo abapangisibwa nebawandiika olwebigendererwa byabwe, babeera nga bakkiriza amazima baleme kukwaatibwa nsonyi zaakisiru era bagondere byetwesembesezza. Bwebaba bagaanye, nebawakanya ebiri mukitabo kino, kale tubasaba bakiddemu oluddamu olwamagezi era olwamazima nga teruliimu kuwayiriza.

Tusaba abawahabi baleke abasiram mu Haramain Sharifain babeere neddembe okukola emikolo gyabwe egyeddiin baleme kubakoseza mu Haram yakatonda eyemirembe era balekere awo ebigambo byabwe ebitalina mugaso okujjako okwawulayawula abasiram nokuwalaggana.

“Mazima kuno kujjukiza, omuntu ayagala akwaate ekkubo etterevu erimutuusa ewakatonda” (Qur’an)

JA-AFAR SSUBHAN

HAUZATUL ILMIYYYA

QUM ALMUQADAS

26.10.1406H


 

([1])  3: 96.

([2])  1: 127.

([3])  22: 29.

([4])  1: 25.

([5])  5: 97.

([6])  Wassa-el shi-a, vol. 8 pg. 14.

([7])  3: 97.

([8])  14: 35.

([9])  4: 59.

([10])  Soma Tahadhiib Attahadhiib ekya Ibn Hijir. Vol. 3, pg 46, soma Tarekhil Khatiib, vol. 9. Pg. 193, soma Miizaanil I-itidaal, vol 101, pg. 37.

([11])  Lisaanul mizaan, vol. 3, pg. 145.

([12])  Mizaanul e-itidaal, vol. 1, pg: 438.

Index