back

Ekitundu Ekisooka

next

 

OBULAMU BWOMUTANDIISI W’OBUWAHAB MUBUFUNDA

Enkola yekyiwahabu yatandiikibwaawo ne Sheikh Muhammad bn Abdul Wahaab owe Nnajid. Erinya lyenkolaye lyava mulinya lyataatawe (Abdul Wahaab). Ekyavaako enkolaye netetuumibwa “Almuhamadiyya” - kubanga erinya lyomutandisi w’obuwahaab yali Muhamad – lwakweewala kubuzibwabuzibwa kwabasiraamu abagoberezi ba Nnabbi Muhamadi (s.a.w).

Yazaalibwa Muhamad mumwaka 1115H mukyaalo ekiyitibwa “Uyainah” – kyaali ekimu kubyaalo ebiri wansi wa Najid, taatawe mweyali nga omulamuzi.

Muhamad bn Abdulwahaab oyo, okuviraddala mubutoobwe, yali nga ayagala nnyo okusoma ebitabo bya Tafsiir, Hadith ne Aqiidah. Yasoma Fiqih waHambali kutaatawe – nga ali omu kubagoberezi ba Hambali. Bweyamala okutuuka mubuvubuka, yatandiika okwetamwa emikolo gyeddiin egyaali gyikolebwa n’abantu be Najid. Teyakoma Najid wokka wabula okwetamwakwe yakutwaala n’eMadiina oluvanyuma olwokumaliriza emikolo jahijja bweyalaba abantu nga bali kuntaana ya Nabbi (s.a.w) bamusaba abamalire ebizibu byabwe (Tawassul).

Oluvanyuma yakomawo e Najid, ate n’agenda e Baswira, - bweyali nga agenda eshaamu – era n’atandiika okuttula empisaye eyokulaba obubi emirimo gyabantu egyeddiin era natandiika nokujibaziyiza. Ekiseera ekyo, abantu abe Baswira baamusitukiramu nebamufulumya mumayumba gaabwe, ate nayolekera Mukibuga Zubair.

Bweyali nga ali wakati wa Baswira ne Zubairi, yakoowa okutambula, okwokya nenyonta nebimwerondera olulonda olwamaanyi era yabulako katono okuyitirayo okutuusa omusajja mubasajja be Zubair bweyamusanga namukwaatirwa ekisa n’amuyamba namunywesa era namutuusa mukibuga e Zubairi kubanga yamulaba nga musajja ayambadde ekyambalo ekyeddini.

Yali – Muhamad bn Abdulwahaab – mumalirivu wakugenda Shaami naye yali talina busobozi, kale nasalawo nagenda mu Ahisaan noluvanyuma n’agenda mu Huraimala ekiri wansi wa Najid.

Mumwaka ogwo – 1139 H – taatawe Abdulwahaab yava mu Uyaina nagenda mu Huraimala, nebabeera wamu nemutabanyiwe era Muhamad yasoma kutaatawe.

Oluvanyuma olwekiseera, Muhamad yatuuka okwawukana ne taatawe olwobutategeeragana okwajjawo olw’okwoonooneka kwendowoozaze. Era ekyo kyagenderera mumaaso okutuusa taatawe bweyafa mumwaka 1153H.([1])

Mukiseera ekyo-oluvanyuma lwokufa kwa Abdulwahaab Muhamad yafuna akakisa akokusaasaanya enzikirizaze nebiro-woozobye ebikyaamu n’okwetamwa emirimo gyabantu egyeddiin.

Yakoowoola abantu babeere wansiiwe, abamu nebakkiriza ate abalala nebagaana. Era yayatikirira nyo mukibuga ekyo. Oluvamyuma, yamala nakomawo mu Uyaina, omulamuzi waayo - Uthman bn Hamd - yamusanyukira nyo era n’amugulumiza okutuusa bwebakkirizaganya buli omu abeere nga ataasa munne nokumutekerayo akabega kubanga bombiriri baagala obuwagizi mubantu nokubagoberera - owobufuzibwe nowenzikirizaye.

Oluvanyuma olwekiseera, amawulire gaatuka kumukulembeze we Ahsaa-e nti Abdulwahaab ayita abntu okumukkiriza nokumugoberera era awagirwa nomukulembeze we Uyaina. Omukulembeze we Ahsaa-e, ekiseera ekyo, yawandiikira mukulembeze munne owe Uyainah nga amwewaza okukolagana ne Muhamad bn Abdulwahaab. Mubwangu nyo, omukulembeze we Uyaina yayita Muhamad bn Abdulwahaab namugamba nti ako ketukolaganyemukko naawe kamala, laba awalala wogenda. Muhamad bn Abdulwahaab yagezaako n’amugamba nti singa onyambako nompagira kumission gyendiko, walibadde ofuga Najid yonna, Naye omukulembeze, ebyo byonna teyabiwuliriza okujjako okumugobaganya okuva mu Uyaina nga muswaavu.

Ogwo, gwaali mwaaka 1160H Ibn Abdulwahaab weyafulumira  mu uyaina nagenda mu Dari-iyya, era kyekimu kubibuga ebyatikirivu ebyaali wansi wa Najid. Omukulembeze waakyo, yali ayitibwa “Muhamad bn Suud” – Jajja omukulu owabasud.

Era omukulembeze yagenda n’amulambula, n’amugulumiza era n’amulagaanyisa emirembe, ne Ibn Wahaab naye n’amulagaanyisa okumutuusa kubukulu bwe Najid yonna.

Mpozzi, omukisa Ibn Abdulwahaab gweyafuna, kwekusanga abantu abe Dari-iyya nga baavu bamunkuseere ate naakwaatagana nomukulembeze waayo.

Ibn Bashar owe Najid yagamba – nga naye abijja ku Aluusi:

“... abantu abeDari-iyya ekiseera ekyo, baali mubufunda nobuzibu era baali baavu nyo mukuwangaala kwabwe.

Mazima nalaba muntandikwa abantu abe Dari-lyya nga bali mubufunda ate oluvanyuma - kumulembe gwa suud - nembalaba nga balina emmaali empitirivu nebyokulwanyisa ebya zaabu ne feeza nga era balina ensolo ne byambalo ebyomulembe, n’ebintu ebirala bingi ebyobugagga ebitasoboka kunyonyolwa wadde okubala.

Lwaali olunaku munnaku nembalaba nga bali mumikolo gyabwe mukifo ekimanyiddwa ekye baatwin, nga abasajja bali kuludda lwabwe nabakazi nabo bwebatyo. Nendaba zaabu ne feeza nebyokulwanyisa, nengamiya, nembuzi nenfalaasi, nebyambalo ebyomuwendo nebyokulya bingi ebitagambiko eranga nolukungana terukomya masso, nga era mpulira amaloboozi g’abatunzi n’abaguzi – nguze, ntunze nga amaloboozi genjoki…”([2])

Naye ebyobugagga ebyo byonna biriwa? Mubutuufu, Ibn Bashar owe Najid teyakoona kunsonga yavaamu byabugagga ebyo, naye ekifunibwa okuva mubyafaayo, kiri nti Ibn Abdulwahaab nekikoosikye baali bagendanga mubitundu ebyenjawulo nebazinda abantu abalina ebyaabwe nebabibanyaga ebbanga lyebaamala nga bagaanye okugoberera enkola yabwe. Kale bwe yabituusanga mu Dari-iyya nga abigabira abaamu.

Muhamad bn Abdulwahaab yalina enkolaye eyeyawulidde mukugaba emmaali – eminyago – gyeyajjanga kubasiram ababa bagaanye okumugoberera. Yagabanga okusinzira kukwagalakwe – ayinza okugabirako abantu nga babiri oba basatu mubagoberezibe nawaako nomukulembeze, kubanga yalina omugabogwe ogweyawulidde.

Mazima ebimu kubiraga obwononefu bwomusajja oyo yengeri enkyaamu gyeyayisangamu abasiramu abagaananga okumugoberera kubanga yali abatwaala nga abakafiiri, nga akkiriza okubatwaalako ebintu byabwe nga emmaali nebirala.

Kale enkolaye mubufunda yali nti: Muhamad bn Abdulwahaab yali akowoola abantu okudda eri Tauheed naye nga yye kenyini yagyetegeerera sossi Tauheed Qur’an gy’eyagala. Nolwekyo, omuntu yenna eyakkirizanga Tauheed ye, aba yewonyezza, nawonya nebintubye naye oyo aba agaanye, aba afuuse mukaafiiri, asaana okulwanyisibwa, okuyiwa omusayigwe nokutwaala byalina.

Okusiziira kubirowoozo byabwe byebaalina, kyebaava baatanulanga entalo ezabuli kiseera mu Najid n’ebweeru waayo era nga beeyisa nga bwebaba baagadde mubitundu byebawambanga. Bwe baasobolanga okuzza ebitundu ebyo kubitundu byaabwe, baakikolanga, ebitaasobokanga, baabirekanga nebajjamu bujja minyago.([3])

Era yali yalagira buli aba ayanukudde omulangagwe, alina okumuwagira ate oyo aba agaanye okukkiriza omulangagwe, nga akakasibwako kuttibwa era nemmaaliye etwlibwa!!

Nolwekyo, kyova olaba nti abantu abekyaalo ekiyitibwa fusuul mubitundu bye Ahsaa-e, bwebaagana okumukkiriza, yabalumba nabattamu abasajja bikumi bisatu natwaala byonna byebaali balina.([4])

Enkomerero yabyonna Muhamad bn Abdulwahaab, mumwaka 1206H, yafa ensi nemuwummula nebintu byabantu nebimuwona naye ekyokusalirwa abagoberezibe baasigalawo nebagenda mumaaso nokusaasaanya obubuzebwe nebintubye bye yagunjawo.

Mumwaaka 1216H, Amiir Suud-naye eyali afuuse omuwahaab – yateekateeka ejje eryaamaanyi nga liweza emitwaalo ebiri, nerigenda nerirumba ekibuga “Karibala” mu Iraq, ekibuga ekyekitiibwa okuva edda ppaka leero. Ejje eryo bweryaakirumba lyatta abatuuze baamu abawereraddala enkumi ttaano oba mitwalo ebiri, - okusinziira kukwawukana kwa Tarekh – nebanyagamu ebintu biyitirivu nebyonoono ebirala bingi!!

Bweyamaliriza – omukulembeze wesuud – ekaribala, ate n’ayolekera muharam ya Imam Hussein bn Ali (a.s) n’anyaga ebintu ebyomuwendo ebyali mu store - etterekero eryalimu ebintu abakulembeze nebakabaka byebawanga haram eyo entukuvu.

Abawahaab abo, okulumba kwabwe okwebitundu tekwaali kwamulundi gumu oba ebiri wabula kigambibwa nti karibala yokka n’ebitundu ebiriraanyeewo, baabirumba okumala emyaaka nga kkumi nebiri, nga bayisaawo ekiseera ate nebaddayo, era bwebatyo n’ekibuga Najafu ekyekitiibwa. Bonna b’akomawo basse, banyaze, babbye, nebirala nga bingi byeboonoonye!

Abatunzi bebitabo bonna mubashia begatta nti okulumba karibala omulundi ogusooka kwali mulunaku lwa idd ya Gadiir – olunaku Nabbi (a.s.w) Allah lweyamusizako ekiragiro ekyokulonda Ali (a.s) abeere nga y’amuddira mubigere oluvanyumalwe.

Allamah omugenzi Sayyid Muhamad Jawaad Al-Amili yagamba: katonda yanjagaliza – olwobulungi bwe nemikisa gya Muhamad n’abantube – okumaliriza ekitundu ekyekitabo “miftaahul Karaamah” oluvanyuma olwekitundu kyekiro ekyomwenda mumwezi gwa Ramadhan ogwekitiibwa mumwaka 1225H ne nanyini kyo.…. era yali yatabulwa ebirowoozo nembeera. Mazima bannamalungu abaali bamaze okumatira edowooza eye kiwahaab, Najafu eyekitiibwa, Nekifo kya Imam Hussein (a.s) baazinga kumakubo gonna, nebanyaga abalambuuzi ba Imam Hussein (a.s) oluvanyuma olwokuva mukitundu kya Sha-aban. Batta ekibinja kyabantu kinene nyo naye nga abaali basingamu obungi tebaali bawarabu, era kigambibwa nti obeera olyawo baawera kikumi mwatano.

Mubutuufu, Tauheed Muhamad bn Abdulwahaab gyeyali ayitirako abantu kwekugamba nti katonda mubiri era alina ebiyungo nenjuyi.

Aluusi agamba kubawahaab nti:-

((... era bakakasa nti katonda owekitiibwa agenda kujja eri abantu kulunaku lwenkomerero. Mpozi ekyo yakijja mulunyiriri “katonda alijja nebamalayika nga bonna bali munyiriri”([5]). Era bagamba nti katonda asembera eri ebitondebye nga bwaba ayagadde nga bwekiri muQur’an “era mazima ffe abasinga okubeera okumpi nomuntu okusinga emisiwa gye”([6]) era bakakasa hadith e’z’ava kuNabbi (s.a.w)nti mazima katonda akka wansi kuggulu eryokunsi nagamba nti” abaffe waliwo ansaba okumusonyiwa.))

Kale kyeyoleka nti mukitabo “Arradd Alal Akhinna-e” ekya Ibn Taimiyya, mazima ye yali atwaala hadith zaNzbi ezikwaata kukulambula omubaka wakatonda (s.a.w) nti zonna nfu era nga ayogera lwatu nti omuntu akakasa nti obulamu bwa Nabbi nga afudde buli nga obulamu bwe nga mulamu, aba akoze ensobi eyaamaanyi. Kale enzikiriza ya Muhamad bn Abdulwahaab n’abagoberzibe bwebatyo bwebakakasa nga Ibn Taimiyya wadde nga bbo bayongeramu obukyamu nobubuze.

Mazima abantu abaatunula mubitabo byabye - abanonyereza kubusiramu - baatuka okulowooza nti obusiramu ddini nkwaafu, nfunda era teyinza kukolerwako mubuli mulembe oguba guzze. Naye nga ekyo kyaava kunzikiriza yaabwe enkyamu gyebateeka mubitabo byabwe omusomi byayinza okutwaala nti byaamubusiraam.

Luturb studard – omumerica – yagamba nti:

“... Abantu banji nyo abeekwaasa ebigambo byabawahaab nebagamba nti obusiramu nga bbwo nenkola yaabwo, tebulina busobozi buyinza kukyukakyuka namulembe nga bwegutambula nembeera yaagwo eyokukulankulana nokukyukakyuka.”([7])

Omusajja Muhamad bn Abdulwahaab, abamanyi mumadhihab ga Hambali baasamaalirira nyo olwebikolwabye era nebamulamula nti musajja mubuze era nenzikirizaye nfu nnyo. Ekyo baakiraba kuviiraddala muntandikwa. N’omuntu eyasokera ddala okulangirira olutalo kuye yali taatawe Sheikh Abdulwahaab, oluvanyuma nekuddako mugandawe Sheikh Sulaiman. Era bombiriri baali mubamanyi ba Hambali. Mugandawe, Sulaiman, yawandiika ekitabo nga kiriko omutwe: “Laadu yakatonda mukudda mubawahaab”. Mukitabo ekyo, yamenya enzikirizaye enkyamu era nattottola obubi bwamugandawe era namuswaaza.

Zaini Dahlaan yagamba:

“... Abdulwahaab yali musajja mulongoofu era nga mumanyi. Sheikh Sulaiman - muganda wa Sheikh Muhamad - naye yali mubamanyi. Okuviiraddala muntandikwa baali bamanyi - Sheikh Abdulwahaab ne Sheikh Sulaiman - nti ebirowoozo bya Sheikh Muhamad bikyaamu, baagezangako okumunenya nokumubuulirira n’okumwewaza abantu...”

Ate Abbasi Mahmuud Al-eqaad owe Misir naye agamba:

“...N’eyasinga okwawukana ne Sheikh Muhamad, yali mugandawe, Sheikh Sulaiman nga takkiriza nti mugandawe yatuuka kuddaala lya Ijtihaad nokweyawula mukutegeera Qur’an ne Sunna...”([8])

Era Sheikh Sulaiman Alaba nti ebintu ebyazulibwawo ba Imam byebaalabanga mumirembe gyaabwe, nebatakaafuwaza bantu kiraga nti obukaafiiri obubeera kumuntu aba azuddewo ekintu tebumutuusa kukulamulibwa nakuttibwa. Era Sheikh Sulaiman agamba kunsonga eyo nti mazima ebintu ebyo byonna ebigambibwa nti byazulibwawo, byatandikira kumirembe gyaba Imam oluberyeberye lwomulembe gwa Imam Ahmad bn Hambal, abaabyetamwa baabyetamwa, naye era bikyaaliwo okutuusa bwebyaabuna ensi yonna, ababikola baabikola, gwe nobakafuwaza kyokka nga ate tekiwulikikangako nti omu ku ba Imam babasiram nti bakafuwaza kumuntu yenna oba okugamba nti avudde mubusiram oba okulagira okumulwanyisa oba okumunyaga emmaaliye. Era tebaayitako nsi zabusiram nti zashirik oba okuzirwanyisa nga bwemukola.”

Tulina Okumanya nti Muhamad bn Abdulwahaab siyeyasooka nebirowoozo ebyo ebikyamu wabula waaliwo abamusooka – mubyasa bingi emabega – nga Ibn Taimiyya Alharrani n’omuyiziwe Ibn Alqayyum Aljauziyya, nabalala ababafaanana wadde nga ebirowozo byabwe tebyali bikyaamu nyo nga ebya Ibn Abdulwahaab byeyazuulawo.

IBN TAIMIYYA Y’ANI?

Yetaata wa Al-Abbas Ahmad bn Abdul Haliim amanyiddwa nga Ibn Taimiyya. Yali omu kubamanyi abagoberezi ba hambali, yafa mumwaka 728H.

Okusinziira kundowoozaze endwadde, nebirowoozebye ebyikyamu, ebyawukana kunzikiriza zabasiram bonna, - mukwawukana kwabwe – mazima abamanyi obokumulembegwe baali balangirira okumulwanyisa era nebamulamula nti mwononefu, mubuze, nokusingiraddala oluvanyuma olwokufulumya ekitabo ekyaalimu enzikirizaye enkyamu naakisaasaanya mubantu.

Okulwaanyisa Ibn Taimiyya kwaali mungeri bbiri:

(1) Okuwandiika ebitabo n’okudda mubirowoozobye ebikyamu nokubimenyawo nga besembesa Qur’an ne Sunna.

Ebimu kubitabo abamanyi bye baawandiika:

(i)                           shifaa-u ssiqaam fii ziyaaratu Qaburil Imam:

kyawandiikibwa ne Taqiyyudiin Sabaki.

(ii)                          Daratul Mudhii-at firraddi alaa Ibn Taimiyya .

Kyawandiikibwa neyawandiika ekisose.

(iii)                        Almyqaabalatu’ rraudhiyya:

Kyawandiikibwa ne Qadhi qudhaat Taqiyyuddin Abi Abdillah Al-Akhinaa-e.

(iv)                        Najim Almahadi warajm Almuqitadi.

Kyawandiikibwa ne Fakhr bn Muhamad Alqarashi.

(v)                         Daf-u Shubaha:

Kyawandiikibwa ne Taqiyyuddin Alhiswini.

(vi)                        Attuhfatul mukhtaara firraddi alamunikar ziyaara:

Kyawandiikibwa ne Jaajiddini.

Ebyo, byebimu kubitabo ebyakubibwa nga bimenya enzikiriza ya Ibn Taimiyya endwadde era nebibeera nti byavumbula obutategeerabwe nokulowoozakwe okwo kungulu.

(2) Abamanyi baamuzindaanga era nebafulumya nebirangiriro nokulamula nti mwononefu era mukafiiri nokwewaza abantu ebintubye byeyazuula muddin eyekitiibwa. Mubo, mwalimu Qaadhil qudhat owe Misir – Albadru bn Jama-a. Bamanyi banne baamuwandiikira nebamutegeeza endowooza ya Ibn Taimiyya kukulambula Nabbi (s.a.w).

N’awandiika naddamu:

“Mazima okulambula Nabbi (s.a.w) nkola eyagalibwa era abamanyi baakyegattako bonna. N’olwekyo, buli yenna akitwala nti okulambula Nabbi kiri haraam, kikakata kubamanyi okumukanga nokuziyiza abeere nga ava kubirowoozo nga ebyo. Bwaba nga teyekomyeeko, akakasibwaako okusibibwa nokumuswaaza mubantu baleme kumugoberera”.

Ate omulamuzi oyo – omugoberezi wa shafi-e owemisir siyyeyekka eyafulumya okulamula okwo, wabula abalamuzi bangi abaafulumya okulamula nga okwo, nga mubagoberezi ba Malik n’aba Hambali.

N’okwongera kw’ebyo, mazima Dhahabi – atwalibwa nga y’omu kubanyi bomukyaasa eky’omunaana okuva mumasenguka era alina nebitabo ebirala bingi ebirungi era mumulembe gumu ne Ibn Taimiyya – yawandiika ekiwandiiko ekidda mubigambo bya Ibn Taimiyya nga amuziyiza kubikolwaabye ebikyaamu era n’amufa-ananya nga Hajjaaji Athaqafi mububuzeebwe nemubwonoonyi.

Okutuunsa katonda bweyamuzikiriza – Ibn Taimiyya mumwaka 728H mukkomera lye Shaami. Omuyiziwe yagezaako – Ibn Qayyum – okubeera nga atwaala mumaaso enkola yomusomesawe naye teyasobola. Kale naafa nebirowoozobye, abakkiriza nebamuwummala n’ebibye.

Oluvanyuma olwekiseera, Shaitwan yasuula emiguwa gyaayo n’esikayo Muhamad bn Abdulwahaab nga alina ebirowoozo bya Ibn Taimiyya, neyegatta ne Al Suud okubeera nga buli omu ayambako munne mweekyo ky’aliko – Ibn Abdulwahaab ayambako Al Suud kubyobufuzibwe ate Al Suud naye ayambe Ibn Abdulwahaab mukusaasaanyo enzikirizaye.

Ekiseera ekyo, obubuze bwaddamu bupya okusaasaana mu “Najid”, Abawahaab nabo nebasaasaana mubitundu bye Najid. Bangi abaabuzibwabuzibwa nebamukkiriza. Ne babeera mukibiina kyaabwe wansi werinnya “Tauheed alamula bannanyini Tauheed”. Baayuwa omusaayi gw’abasiram nga bakitwaala nti Jihaad naba Mushirik. Yabuzaawo enkuminenkumi zabantu olwenzikirizaye gyeyazuulawo. N’ayawulayawula mubasiram. Enkolaye neyeyongera kunkola ezabasiram endala empitirivu.

Ate kyaayonooneka nekituuka wala nnyo oluvanyuma olwabawahaab okuyingira muMakka ne Madiina nga bayambibwaako ne Britain, nebasanyaawo obuwufu bw’obusiramu muMakka ne Madiina, nokumenya entaana z’abagalwa ba katonda, nebatyooboola ekitiibwa kyaba Imam (a.s), neboonoona ebintu ebirala bingi ebikankanya omutima gw’omusiram.

Abamu mubebyaafaayo bagamba:

“Abawahaab bwebaamala okutuuka mukibuga Makka, baayanguyirira mangunnyo okumenya emizimbo egyaali kuntaana zaba Quraish. Era nebamenya nomuzimbo ogwaazimbibwa kuntaana ya Sayyid Abdul Mutwalib – jajja waNabbi (s.a.w), ogwa Sayyid Abi twaalib, ogwa Sayyidat Khadiija nga bwebaamenya ewaali maulid Nabbi (s.a.w) ne Abubakar ne Imam Ali (a.s), nebamenya ne Qubbat ya Zamzam nendala nyinji ezaali zetoolodde kaaba. Tebakoma kw’ebyo byokka wabula baanonyereza buli kifo kyonna ekyaalimu obuwufu bw’abaloongoofu nebabusaanyaawo. Bwebaalinga bamenya, baayimbaanga era nga bakuba nengoma bwebavuma nentaana ... okutuusa bwekyaagambibwa nti baafuka kuntaana ya sayyid Almahjuub...!”

Nabbi (s.a.w) yagamba nti:

“Okuzuulazuula muddini wonna wekuba kulabikidde, kikakata kumumanyi yenna okwoolesa obumanyibwe, bw’aba takikoze aba afuna ekikolimo kyakatonda”.

Mazima, abamanyi aba shia n’aba Sunni baagezaako nga bwekisoboka okulaba nti balwaanyisa Abawahaab nga bayita mukuwandiika ebitabo nebiwandiiko ebirala olwokuswaaza omusajja oyo – eyayagala okutuukiriza ebigendererwa bya Britain – n’okukomya endowoozaze.

Ekitabo ekyaasokeraddala okufuluma nga kiraga obukyaamu bwebigambo bya Muhamad bn Abdulwahaab. Kyaawandiikibwa neemugaandawe Sheikh Sulaiman – nga kiyitibwa “Asswawwa-iq Al-Ilaahiyya fi rraddi alal Wahaabiyya”. Nga abashia nabo bwebaafulumya ekitabo ekisooka kunsonga eyo – Manhaji Arrashaad – nga kiwandiikibwa ne Sheikh Alkabiir Almarhuum Ashaikh Ja-afar kaashiful gitwaa-e eyafa mumwaka 1228H. ekitabo ekyo yakiwaandiika olwokudda mubbaluwa Amiir AbdulAziiz Suud gyeyamuwaandiikira, nga ateeseemu ebimu kubigambo bya Muhamad bn Abdulwahaab. Sheikh Alkabiir yamuddamu nga anyweeza obukyaamu bwebigambo bya Ibn Abdulwahaab nga akozesa Qur’an ne Sunna. Era okitabo ekyo kyaakubirwa Najafu – Iraq – mumwaaka 1343H.

Oluvanyuma ebitabo byawandiikibwa mpolampola mumirembe egyenjawulo nga bimenya endowooza za Ibn Abdulwahaab nokutuusa olwaleero.

Omulembe gwaffe guno gwetulimu era abawahaab bagenze wala nnyo mukusaasaanya enkola yaabwe mubusiramu naye nga bawagirwa na Saud okuva mumagoba ga petrol. Era baateekawo ekigero eky’amafuta nga kyeyawulidde kukulaakulanya madhihab ga bawahaab nakugasaasaanya Mubasiram. Mubufuufu, singa sissente ezo empitirivu, abasiramu balibadde tebafuna buzibu bwabwe.

Ensi ez’abakaafiiri zafuna abawahaab nga lyekkubo lyaazo mwezisobola okuyitira okwawulayawula mubasiram nokukubagana bbo benyini nabennyini. Era mazima ekigendererwa ekyabakaafiiri kyaatukirira kubanga kati tulina fitina y’amaanyi wakatiwaffe – buli omu ayita munne mukaafiiri oba mushirik oba faasq!!!

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, twaasalawo okukuteekera enzikiriza y’abawahabi kummeeza osobole okujeerabira gwe kennyini n’agago osobole okuzuula obukyaamu bwaabwe kubanga abasiramu bonna bafuna enzikiriza yaabwe kava muQur’an, nemusunna naye bbo abawahaab, enzikiriza yaabwe teva muQur’an wadde musunna ezomubaka (s.a.w) Mazima tugezezzaako okuyita mubufunze.


 

([1])  Bwava mu Tarekh Najid Aluusi.

([2])  Tarekh Najid eya Aluusi: pg. 117 – 118.

([3])  Jaziiratul Arab mukyaasa 20, pg. 341.

([4])  Tarekh Mamulakatul Arabia Ssuudia, vol.1, pg. 51.

([5])  89: 23.

([6])  50: 16.

([7])  Haadhirul alamil Islame: vol.1, pg. 264.

([8])  Muhamad bn Abdulwahaab yali yeyitanga nti yatuuka kuddala erya waggulu mukumanya naye nga mugandawe Sheikh Sulaiman amuwakanya. Sheikh Muhamad yatuka okugamba nti asobola okwetegerera Qur’an ne Sunna, naye nga mugandawe era takkiriza.

 

Index