back

Enyanjula Eyolukuba Olusooka

next

KULINYA LYAKATONDA OMUSAASIZI ENYO OWEKISA EKINJI ENYO

ABAWAHAABU MANZIKIRIZA ZAABWE

Amatendo gonna gakatonda oyo owoluberyeberye, atalina kintu kyonna  kyamusooka, era oyo owenkomerero atalina kintu kyonna luvanyumalwe, oyo omweyolefu atalina kintu kyonna wagguluwe, oyo eyekweeka atalina kintu kyonna ekitali ye.

Ebyengera nemirembe bibeere kuNnabbiwe asinga ebitonde byonna obulungi, oyo eyatumibwa nga abantu bali mububuze babutabutana, era nga bebbinkira mubikemo, nga bakola okusinziira kukwaagala kwaabwe, nga bekuluntaze, nga baabutikirwa nobusiru bwabasiru, nga babundabunda tebamanyi kyakukola. Nabbi nabeera nga yagenda wala nnyo mukubabuuliira nokubateeka kukkubo ettuufu, n’abakowoola nga akozesa amagezi nokubuulirira okulungi.

Katonda yamutuma olwokutuukiriza emirimogye nokukomek-kereza obwaNnabbibwe, eyakwaatibwaako baNnabbi bonna endagaano eyokumukkiriza, ebitendobye byatikirivu, okuzaalibwa-akwe kwaali kwakitiibwa. Ekiseera ekyo, abantu bonna baali bawukamuyawukamu munzikiriza nokugoberera okwagala kwaabwe kwabayitiriramu, nebibiina nga byawukamu. Mubo, mwemwaali abafaananya katonda nebitondebye oba okuwakanya erinyalye, era nga n’abamu bamugattako ebintu ebirala. Kale Allah n’abalungamya neNnabbi okuva mububuze era n’abajja mubusiru nobuta manya.

Ebyengera bibeere kuye nekubantube abo beyafuula – Nabbi- ekifo kyebyaamabye, beyazzaako obuvunanyizibwabwe, abasika bokumanyakwe, beyazzaako okulamulakwe, etterekero lyebitabobye era abawanirizi beddiiniye, bbo bebamuwagira, nebamugumya, abo katonda beyajjako obukyaafu, nabatukuza olutukuza.

Era ebyengera bibeera kubaswahaababe abo abaasoma Quran nebagiramulisa, abetegereza ebyalalikibwa nebabiteeka munkola, nebazza enkola yaNnabbi obupya, nebasanyaawo ebyazuulibwa muddiini, baakowolebwa okulwaana entalo zeddiini nebanukula era bwebaawebwa omukulembeze baamwanukula era nebamugondera. Nolw’ekyo, baasisinkana katonda n’abawa empeera yaabwe, n’abatebenkeza munyumba eyemirembe oluvanyuma olwokutya kwaabwe, baakwaata ekkubo ettuufu, nebatambulira kumazima. Ebyengera bibeere kubo ebyolubeerera ebbanga eggulu nensi lyebinaamala nga bikyaaliwo.

Oluvanyuma lweebyo, mazima ekibiina kyobusiraam okuva muntandikwa kyegatta kukwawula katonda mumitendera gyonna egyenjawulo. Begatta kukwawula katonda okwobwanannyini era nebakkirizaganya nti kotonda ali omu, talina kimwegattako era talina kimufaanana.

Era mpozzi nga bwebegatta nti katonda yomutonzi, teri mutonzi atali yye. Katonda agamba: “Abaffe, waliyo omutonzi omulala atali Allah”([1]) era agamba: “Bagambe (nti) katonda yomutonzi wabuli kintu”([2]). Era nga bwebegatta kukwawula katonda mubulezi – teri mulezi wadde omulabirizi okujjako Allah, katonda agamba: “Alabirira ensonga, teri muwolereza okujjako nga katonda amaze kumukkiriza. Oyo, yekatonda omulezi wammwe, kale mumwesinze, abaffe, temwebuulirira!”([3]). Era nga bwebegatta kukwaawula katonda munnesinze – nti katonda yeyesinzibwa awatali mulala yenna. Katonda agamba: “Gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mujje eri ekigambo ekyenkamunkamu wakati waffe nammwe, kwekubeera nga tetulina mulala gwetwesinza okujjako Allah era tetumugattako kintu kyonna era (nekirala) tebafuula abamu muffe bannaabwe okubeera bakatonda mukifo kya Allah”([4]).

Mubutuufu, ezo zensonga ezegattibwaako amadiini agomuggulu naye byonna ebirabibwa nga byawukana kweebyo ebikolo, kiva kukukyuusibwa kwabitabo byaabwe nokwongeramu nga abakulembeze baabwe bwebakola.

OKUYIMIRIRA KW’ABAWAHAABU OKUTUUFU MUNSONGA ZATAWHEED

Ekyewunyisa, mazima, abawahaabu bagoberezi babirowoozo bya Sheikh owobubuze – Ibn Taimiyyah – oyo eyanyonyola Tawheed mukitabokye n’agamba nti “Mazima katonda owekitiibwa aliwaggulu weggululye kuntebeye era ali waggulu wabitondebye”. ([5])

Era yaddamu n’agamba nti “Omulezi waffe akka kuggulu eryokunsi buli kiro mukimu ekyokusatu ekisembayo n’agamba nti ani ansaba mwanukule, ani ansaba muwe, ani ansaba okumusonyiwa musonyiwe”.

Okwo, kwekumanya kwomusajja era yentukuzaye katonda nti katonda mubiri era akakasa nti katonda alina waabeera aweyawulidde kubanga yye mwebyo, yavvuunula Quran enzivvuunula eyokungulu era nehadith bwaatyo awatali kwetegereza aya zonna ezikwaata kunsonga eyo era wadde okunoonyereza ensibuko yahadith n’amakulu gaazo. Kale eyo bwebeera nga yendowooza yomusomesa, kirikitya eri abo abaalyaako kukijjulokye nga Ibn Qayyum ne Muhammad Ibn Abdul Wahaab! Abo,, bebaagala okubeera abasomesa ba tawheed nokuyita abantu eri Tawheed. ([6])

Eyo yenzikiriza yekikunsu ekyo mukatonda Owekitiibwa. Kale bwetuba twagadde okutereeza ebirowoozo ebyo, kitweetagisa okugerangeranya wakati waabyo newakati webigambo ebyayogerwa okuva kuba Imam ba Ahlul Bait (a.s) kunsonga eyo, oluvanyuma tulyoke tulabe kibiinaki ekisaana okugobererwa.

Abaffe, asaana okugobererwa y’oyo agamba nti katonda alina omubiri nekifo ekyeyawulidde, nti era akka kuggulu eryokunsi? Oba assana okugobererwa y’oyo atendereza katonda nebigambo ebisaana nga bino: Amatendo gonna gakatonda oyo atasoboka kutenderezebwa n’amalikayo nabatendereza, alina ebyengera ebitasoboka kubalibwa nababazi, oyo abafubi gwebatasobola kutuukiriza bukakafubwe, oyo atasobola kutegeerekeka Nabbirowoozo byamuntu, era oyo atasobola kulabibwa namagezi bugezi, oyo nannyini bitendo ebitalina kikomo, oyo atasoboka kunyonyolwa nga bwafaanana, oyo atalina kiseera kyeyawulidde, oyo atalina nkomerero yakubeerawookwe, Omuntu yenna atenda katonda bwafaanana, aba amugerangeranyizza nekintu ekirala, ate omuntu bwamugerangeranya nekintu ekirala aba amufudde babiri, ate omuntu bwamufuula ababiri aba amufudde wakitundu, ate omuntu bwamufuula owekitundu, aba tamutegeera, ate omuntu bwatamutegeera aba amuwadde ekifo, ate omuntu bwalaza gyaali aba amuteeseeko ekikomo, ate omuntu bwamuteekako ekikomo, aba amubaze, ate omuntu bwagamba nti yava muki aba amuteese mweekyo kyamubuulizaamu, ate omuntu bwagamba nti katonda alikuki aba amujje mubifo ebirala ebitali ekyo kyamubuulizaamu. Katonda yaliwo kuvadda so teyagwaawo bugwi, waali so teyava mubutabaawo, aliwamu nabuli kintu kyonna era amanyi akowonvu nakagga, ate tali wamu nabyo naye nga tabyesambye…”([7])

Era bwogerangeranya ebyayogerwa nga biva kubogezi bahadith ebikwaata kukwaawula katonda nokumutongola olaba nga byewunyisa. Imam Al-Ashi-ari yawanula kubo ebigambo bwaati: amakulu gokwawula katonda omutonzi kwekukakasa nti ebyonoono byabantu, katonda yabibagerera era nabagerera emirimo gyonna kubanga abantu tebalina mulimo gwonna gwebasobola kwekolera kulwaabwe.([8])

Mazima Ibn Taimiyyah nakakoosike, beyogerako nti bebananyini  hadith era banyonyola tawheed mubutonzi n’amakulu aga waggulu. Kale kyetwebuuza, oluvanyuma lweebyo, katonda banamujjako batya obulyazamaanyi nga amaze nabonereza omuntu kulunaku lwenkomerero awamu nokubeera nga yeyabagerera ebibi byonna? Ekyo kiba tekifaanana nakigambo kyamwogezi eyagamba nti: “Atali nze yayonoonye naye ate nze abonerezebwa mummwe” nga ate naawe okimanyi bulungi nti tawheed mubutonzi tali nga bwebamunyonyola bananyini hadith, kituufu nti omutonzi yeyeyawulira buli kimu era yenanyini buyinza mubuli kimu naye waliyo ebikolwa byosobola okukola kukwesalirawookwo. Kale ky’ova alaba nti omuntu yye kennyini yagenda okubuuzibwa kumirimogye nebikolwa bye “Buli muntu kubyeyakola musingo”.([9])

 

OKUSEMBERA KWABAMANYI ABAWAHAAB ERI BAKABAKA

Tulaba nga abamanyi babawahaab mu Saud nemunsi endala basemberera abafuzi nabasika b’obwonoonefu nga bagezaako okulungiya emirimo egyobulyazamaanyi era nga bafuba okulaba nti buli ebiva mubakulembeze baabwe abeddiini – abalongoofu nabonoonyi – nti byonna bikwaatagana ne sharia.

Naye ekyo obeera olyaawo tekisaana kwewuunya kubanga bbo balaba nga omuntu okussalira emabega wa Imam omulongoofu oba omwonoonefu tekirina mutawaana era esswala etuuka bulungi, nokusabira abakulembeze bobusiraamu kikakafu ate kiri haraam okubalwaanyisa kababeere bonoonefu.([10])

Kale hadith ya Nabbi (s.a.w) baba bagireseewa egamba nti: “Abange mmwe abantu, mazima omubaka yagamba nti: Omuntu bwalabanga omukulembeze omulyazamaanyi nga akkiriza ebintu katonda byeyagaana, nga amenya endagaano yakatonda, nga ayawukana kunkola y’omubaka, nga abantu abakolamu n’obulyazamaanyi nokusobya, natamujja kukikolwa kyaaliko nekikolwa ekirungi wadde okumugambako, kiba kikakata kukatonda okumuyingiza obuyingirobwe”([11])

Kale mbuulira kulwakatonda, nkolaki esaana okugobererwa gyetwekakasa nga eviiraddala mubusiraamu? Allah agamba: “Temwesigamiranga kubantu abalyazamaanya omuliro negubazingiramu”.([12])

THAURAH EYOBUSIRAAMU NOKUYUGUUMYA OBVWAHAAB

Oluvanyuma olwokuwangula kwa Thaurah mu Iran, yayuguumya ensi era abamu mubafuzi neberalikirira, nokusingiraddala ensi ennene ezesigamirwaako ensi endala ezifugibwa.

Nebimu kubibinja bino, kyekibinja kyabawahaab mubitundu byaakyo byekyamamiramu munsi ezobusiraamu.

Kale ensi ezeteeka waggulu nezizigoberera zaafunanyo obusungu era nezikozesa amakubo agenjawulo olwokwagala okuzikiza enkyukakyuuka eyaleetebwa. Nga era nekugamu kumakubo agaakozesebwa, kwekukowoola abawahaab okugirwaanyisa, nokugisibako – Iran – natti mubyenfuna. Bwezaamala okulaba nga ziremereddwa, nezisalawo okuteekawo ebyobulimba nokukubiriza ensi endala obutagigoberera nokugoberera omukulembeze waayo.

Nenkwe endala ezasalibwa olwokwagala okuzikiza Revolution mu Iran:

1- Okuyisa kumaradio nokukuba mumawulire mubitundu ebyenjawulo ebiraga obutaliimu bwa Revolution eyo mu Iran.

2- Okuyita mukukuba ebitabo nokuwandiika amabaluba nga era abakozesebwa mukubiwandiika baweebwa obutotoba buyitirivu obwessente nga ate nabo tebalina kyebafa okujjako okukkusa embuto zaabwe nokufuna ebifo munsi. Era omu kubo ye kaidhbaan Ashus owe Saud. Mazima ensi zaasitukiramu n’obusobozi bwaazo bwonna awamu nobuyambi okuva mu Saud. Kyokka omusajja kyeyakola kwekwonoona buli kimu – tamanyi njawulo wakali walutabi nakikolo wadde wakati wenzikiriza nehadith. Era mazima ebigambobye ebisinga obungi yabigunjawo bugunja era nga akozesa hadith wetasaana era tujja kukwaataganamu naye mukitabo ekijja.

3- Ekkubo eddala kwekusaasaanya amadhihabu agabawahaab eri abantu nga era bwebagamba nti bebatuufu bokka kubanga bebokka abakolera kukitabo kyakatonda ne sunna zaNnabbi (s.a.w).

Kale olwensonga eyo, kyetuva tusazeewo okunyonyolako kubawahaab kiryoke kitegeerekeke nti bali wala nekitabo, nenkola yomubaka awamu nebyafaayo byobusiraamu.

Nkomekkereza nga nsaba abamanyi bobusiraamu munsi yonna era nensaba abawandiisi babawahaab bakole entekateeka oyolukiiko nga lulimu abamanyi okuva mubuli kibinja ekyobusiraamu tusobole okwogera kunsonga ezo nga tukozesa ekitabo kya katonda ne sunna ZaNnabbi(s.a.w). Noluvanyuma, tusaasaanye ebiba bivudde mulukiiko olwo eri ensi yonna.

Awo nno wetugenda okulabira amazima ameyolefu agasaana okugobererwa.

 

 

 

JA-AFAR ASSUBHAANE

QUM - IRAN


 

([1])  35: 3.

([2])  13: 16.

([3])  3: 63.

([4])  3: 64.

([5])  Majmu-ul wasa-el alkubra ekya Ibn Taimiyyah, Al-aqiidatul wastiyyah pg. 401.

([6]) pg. 309.

([7])  Nahjul Balagh: khutuba 1.

([8])  Maqaalatul Islamiyyiin pg. 321.

([9]) 74: 38.

([10])  Maqaalatul Islamiyyin, pg. 322.

 ([11]) Tarekh Tabar, Juzu 4, pg. 304.

([12])  11: 13.

 

Index