back

KULINNYA LYAKATONDA OMUSASIZI ENYO OWEKISA EKINJI ENYO

next

 

KULINNYA LYAKATONDA OMUSASIZI ENYO OWEKISA EKINJI ENYO

Amatendo gonna ga katonda omulezi webitonde byonna. Okusaasira nemiremba kubeere kunnabbi waffe Muhammad (s.a.w) nekubantube abalungi. Noluvanyuma, omulembe, abantu mwebala-bidde okukulankulana ennyo okwobusiraamu nokusaasaana kwaabwo n’abantu okutegeera ennyo eddiini yaabwe eyo munsi yoonna. Abawahaab webaviiriddeyo nenkola yaabwe nga emenyabumenya busiraamu.

Mubutuufu ekibiina kyabawahaabu kyafuuka fitina era kirina emabega waakyo abakiwagira nga balabe babusiraamu – nga ebyafaayo byaabwe bwebiraga.

Ebimu kubigendererwa byekibiina ekyo:

1. Okuziyiza abasiraamu okutegeera ebifa kubakulembeze baabwe abobusiraamu nemisingi gyaabwo.

2. Okwolesa obusiraam mukifaananyi ekikyaamu nga tekisoboka basiraamu kubuteeka munkola mirembe gyonna.

3. Okwawulayawula abasiraamu nebatabeera wamu wadde aboluganda.

4. Okusangula obuwufu bwobubaka nokubufuula enkintu ekitategeerekeka, nga ate ekyo kifuula obusiraamu okubeera nga obutalina mirandira minyweevu mubyafaayo.

Nolwekyo, abantu abewaayo okukolerera obusiraamu nomutima ogumu balaba nga kibakakatako obutasirika basirisi wabula baasitukiramu okulaba nti baziba olukonko olwo nokujjawo obukendeevu obwo obwaava mubalabe bobusiraamu kubanga kirina kyekikosa kunzikiriza yomuntu.

Sheikh owekitiibwa Ustadh Allamma Ja-far Ssubhaane (katonda amukuume) yasitukiramu mangu ddala n’awandiika ekitabo kino mweyayoleseza obukyaamu bwenzikiriza yaabwe eyava mubalabe bobusiraamu era nga yokozesa amakubo amalungi nokwesembesa okulungi okuva mu Quran ne muhadith nebyafaayo byaba swahaaba. Era ekitongole ekikola ogwokusaasaanya obusiraamu ekiri wansi wekibiina kyabasomesa – ekyo ekifaayo enyo okusaasaanya enzikiriza eyobusiraamu.

Kyenyumikkiriza olwokufulumya ekitabo kino ekyomulembe eri abasiraamu olwokwolesa obutuufu namazima nga era bwetusaba Allah obuyambi.

 

  

EKITONGOLE EKIKOLA KUKUSAASAANYA OBUSIRAAMU EKIRI

WANSI WEKIBIINA KYABASOMESA,

QUM.

Index