back

Ekitundu Ekyekkumi Nomukaaga

next

 

OKUKAKASA AMAANYI AGEKWEESE ABAGALWA BAKATONDA (AULIYA-U) GEBALINA

Abaffe, okukkiriza nti abagalwa baktonda balina amaanyi agekweese, kubeera kugatta kukatonda?

Mw’ebyo ebitaliimu kubuusabuusa, omuntu tayinza kusaba kyetaagokye kuva mumuntu yenna okujjako oyo gwamanyi nti alina obusobozi obumala ekyetaago ekyo nokukakasa nti ajja kukkiriza ky’amusaba.

Era obusobozi buno, bwamirundi ebiri:

1- Obusobozi obweyolefu bwetulabako – nga bwonosaba omuntu amazzi, n’akuteekera mukikopo, nakuwa.

2- Obusobozi obutalabika, obwawukana kw’obwo obulabika, omuntu bwabeera nabwo nga tayise mumakubo agamanyiddwa, nga omuntu bwakakasa – okugeza – nti Imam Ali bn Abi Talib (a.s) yasobolo okukuula olujji olwe khaibar – olwo olutasoboka muntu wabulijjo kulujjawo – nga akozesa amaanyi agatalabika agali waggulu wobusobozi bwabantu. Oba okukakasa nti Nabbi Isa (a.s) alina obusobozi okubeera nga asabira omulwadde n’awona nga ate buli omu yalemererwa okumujjanjaba, awatali kukozesa ddagala lyonna oba okumulongoosa.

Ekyo bw’oba omaze okukimanya ... kitegeere nti okukakasa nokukkiriza obusobozi oba amaanyiy ago agatalabika – Singa gaba gesigamira kumaanyi gakatonda nabuyinzabwe nakwagalakwe – kufananako nokukakasa amaanyi agabuiijjo agalabika, era tekubeera kugatta kukatonda, kubanga Allah oyo eyawa omuntu amaanyi agomubiri asobola okuwa omulala amaanyi agekweese awatali kukakasa nti ekitonde kifuuse kitonzi oba tekirina kyekyetaaga kukatonda.

Endowooza yekiwahaab

Abawahaab bakakasa nti singa omuntu asaba ekyetaago okuva eri omu mubagalwa baktonda – kabeere mulamu oba mufu – abeere nga awonya omulwaddewe oba akomyawo ekyo ekyamubulako oba amumalira amabanjage..., aba akakasizza nti amaanyi ago agatalabika gali mumuntu oyo gwasabye kubanga gamusobozesa okukola ekiri waggulu kwebyo ebiri munsi, ate okugakakasa mw’oyo atali katonda, oba okakasizza obwakatondabwe. Kale okusaba ekyetaago mumuntu oyo nenzikiriza eyo, oba ogasse kukatonda (s.a).

Ekyokulabirako: Omuntu – ali muddungu nga alinnyonta – bwasaba omukoziwe amazzi, okusaba okwo kukkirizibwa kubanga tekwawukana nankola yabulijjo emanyiddwa. Naye okusaba okwo kwennyini, bwekubeera kuNabbi oba Imam ali wansi muttaka, oba awangalira munsi oba ekitundu ekirala, oba nga yabula abntu tebamulaba, aba agasse kukatonda owekitiibwa, kubanga aba akakasa nti Nabbi oyo oba Imam asobola okuteekateeka amazzi nga akozesa amaanyi agekweese nobusobozi obwenjawulo kw’obwo obumanyid-dwa. Kale, okwo kubeera kukakasa nti omuntu oyo asabiddwa, katonda.

Era omuwandiisi owabawahaab – Abdul A-ala Almauduud – yagamba:

“Mazima endowooza omuntu gyabeera nayo nalyooka asaba katonda okutaasibwa, nokumwewombeekera, kwekumutwaala nti y’alina obufuzi obuli waggulu wamateeka agobutonde”.([1])

Endwowooza yaffe kubigambo ebyo

Mazima ensobi Almauduud – n’abamufaanana – gyeyakola, kwekubeera nga yalowooza nti okukakasa omuntu yenna atali katonda nti alina amaanyi nobusobozi obutalabika, kubeera kuggtta kukatonda (s.w), kyokka natayawula – oba teyayagala kwawula – wakati w’amaanyi agekweese naye nga gesigamidde ku Allah, newakati w’ago agamweyawuddeko kubanga Shirik ebeera munzikiriza yakubiri sossi esooka.

Qur’an eyekitiibwa, ennyonyola amannya gabantu abaali balina obusobozi n’amaanyi agatalabika, era n’agamu kumannya gaabwe – nga Qur’an bweyagogerako – gegano:

1- Obusobozi Obwekweese Nabbi Yusuf bweyalina

Yusufu yagamba bagandabe:

“Mugende nolugoye rwange luno, muluteeke mukyeenyi kyataata, ajja kulaba”

“... Oyo eyajja namawulire, bwamala okutuuka, yaluteeka mukyeenyikye, naddamu n’alabo buto”([2])

Aya eyo eraga nti Nabbi Yaqub (a.s) yaddizibwa amaasoge mubujjuvu n’amaanyi agatalabika, Nabbi Yusufu geyakozesa kunsonga eyo. Era kimanyiddwa nti Yaqub okuddizibwa amaasoge, tekwaava wa Allah butereevu, wabula, kwayitira ku  Yusufu kulwobu-yinza bwaktonda (s.w).

Nabbi Yusufu, yeyali ensonga eyokudda kwamaaso gataatawe, era singa tekyaali ekyo, teyalibadde alagira bagandabe okutawaala olugoyerwe balukasuke mukyeenyi kyataatawe, wabula kyalibadde kimala okumusabira obusabizi katonda owekitiibwa.

Enneyisa eyo eyekyaama, yava mu omu kubagalwa baktonda – Yusufu – era nakyuusa enkola kulwobuyinza bwakatonda, era ebyo byonna teri abisobola okujjako nga katonda yeeyamuwa amaanyi ago nobusobozi obwo obutalabika.

2- Amaanyi agekweese Nabbi Musa geyalina

Mazima katonda yawa Nabi Musa (a.s) amaanyi agekweese agaamutuusa okukuba ejjinja nerifulumamu ensulo kumi nabbiri nga zenkanankana n’omuwendo gwebika byabaana ba Israel, nga katonda bwagamba:

“Twamugamba: kuba n’omuggogwo ejjinja, nerifulumamu ensulo kumi nabbiri”.([3])

Era Musa (a.s) yakozesa amaanyige agatali gabuliijjo omulundi omulala mukiseera kyeyakubiramu kunnyanja nomuggogwe nebeeramu amakubo amakalu kumi n’abiri ag’abaana ba Israel mwebaayita okugenda gyebaagenda. Amazzi gennyanja negadda kumabbali gamakubo nga galinga ensozi era newatabeera katondo konna kuvaako kudda mukkubo!

Allah agamba:

“Twassa obubaka kuMusa (netumugamba nti) kuba n’omuggogwo kunnyanja, era neyeyawula, era amazzi negesibira kumabbali nga ensozi engulumivu”.([4])

Mubifo ebibiri ebyo, tetuyinza kwefuula batamanyi byewuunyisa Nabbi Musa byeyakola okubeera nga yafukumuza ensulo era n’akuba kunnyanja, amazzi negeyawula, negakola amakubo. Ebyo byonna, yabikola naye nga akozesa amaanyi agatali gabulijjo kulwobuyinza bwakatonda nokwagalakwe (s.w).

3- Obusobozi obwekweese Nabbi Sulaiman bweyalina

Yali Nabbi Sulaiman (a.s) nga alina obusobozi n’amaanyi agekweese agenjawulo. Era yye kennyini yeyogerako olw’ebyo byeyaweebwa okuva ewakatonda mukigambokye – nga Qur’an bwegamba:

“Era twaweebwa okuva mubuli kimu”([5])

Ebagambo ebikwaata kwebyo katonda byeyamuwa – mubusobozi nebirala – bisangibwa mu:

27: 16 – 44, 34: 12, 21: 81, 38: 36 – 40.

Okwetegereza mu Aya ezo zonna, kutulaga ebintu ebiyitirivu ennyo n’amaanyi agekitalo agekweese, katonda geyawa omudduwe, Nabiwe, Sulaiman (a.s). Naye nga tonnaba kubikkula Qur’an kubeera nga osoma Aya zetulazizzaako, katukuleeterereyo ezimu kuzo olyoke olabe obuyinza nobusobozi obwekitalo, Qur’an bwekakasa kubamu mubaddu baktonda owekitiibwa:

Nabbi Sulaiman (a.s) yalina obuyinza kumajinni nekubunyonyi (era, nga amanyi okukaaba kwaabwo, era nga amanyi ennimi zebiwuka. Allah agamba:

“Sulaiman n’asikira Dauda, n’agamba nti abange mmwe abantu, twayigirizibwa enjogera eyebinyonyi, era netuweebwa mubuli kintu. Mazima okwo kwekusukulumizibwa okw’olwaatu. Ejje lya Sulaiman lyakunganyizibwa, mumajinni, nemubantu, nemubinyonyi, era nga likyungagana, okutuusa bwebaatuuka muddungu lyobusekerezi Akaali kabufuga nekagamba abange mmwe obusekerezi, muyingire mwemusula kubanga Sulaiman ayinza okubalinnya nga tamanyi. Sulaiman n’amweenya, n’aseka ekigambo kyaako, (oluvanyuma) n’agamba: Ai omulezi wange, nsobozesa okwebaza ekyengeraakyo ekyo kyewangabirira, n’ogabira nabazadde bange...”([6]) Okutuusa kunkomerero kwaazo.

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, bwosoma muQur’an ekyafaayo kyeffulungu (kika kyakinyonyi) ekyo Sulaiman kyeyatuma okugenda e Saba-e, okutwaalira Omukyaala eyali omufuzi waayo ebbaluwa, wewuunya obuyinza nobufuzi obwekusifu bweyalina. Era tukusaba weyongere okwetegereza mu Aya okuva kwabiri okutuusa kw’ana mwennya mussuula eyo yennyini (Naml) olyooke weyongere okukakasa obufu nobukyaamu bwenkola yaba wahaab nokukoonagana kwaabwe ne Qur’an.

Okwongera kw’ebyo, Nabbi Sulaiman (a.s) – nga Qur’an bwegamba – yali alina obuyinza kumpewo era nga etambulira kukiragirokye, n’egenda yye w’aba ayagadde.

Allah agamba:

“Era Sulaiman yalina obufuzi kumpewo eyamaanyi, (twagyimugondekeza) nga etambulira kukiragirokye, negenda munsi gyetwaawa emikisa (Shaam), era twaali tumanyi buli kimu (twamuyigiriza ebyo ebyalimu emigaso)”([7])

Mazima ekyewunyisa mu Aya eyo, kyekigambo kya Allah ekigamba: “etambulira kukiragirokye” kubanga kiraga obufuzi bwaSulaiman obukise bweyalina kumpewo, mukutambula kwaayo.

4- Nabbi Isa n’amaanyi amakise

Tusobola okutegeera amaanyi amakise Nabbi Isa (a.s) geyalina nga tuyita mukwetegereza Aya zaQur’an ezimwogerako n’ezogera kumaanyi ago. Mu Aya ezo, mwemuli eyayita kululimi lwa Isa (a.s):

“... Mazima nze mbakolera ekinyonyi okuva muttaka, nenfuwamu, nekifuuka akanyonyi kulwobuyinza bwakatonda, era mponya bamuzibe, n’abalwadde bebigenge, era namusa abafu kulwobuyinza bwakatonda, era mbabuulira ebyo byemulya nebyemutereka mumayumba gammwe, Mazima mwekyo, mulimu ekyamagero gyemuli bwemuba nga muli bakkiriza”.([8])

Ekigambo “kulwobuyinza bwakatonda” kyaddingana emirundi ebiri mu Aya eno olwokukakasa nti enneyisa yonna eyekweese abagalwa baktonda gyebabeera nayo, eva kumaanyi gakatonda nakwagalakwe, kale, kyova olaba nti Isa (a.s) atwaala ebikolwabye byonna nti by’ava kubuyinza bwakatonda. Era bwebatyo Banabbi n’abagalwa baktonda owekitiibwa.

Katonda agamba:

“Tekibeerangako kumubaka yenna kujja nakyamagero, okujjako nga (ajja nakyo) kulwabuyinza bwakatonda”([9])

Naye ate olaba nga mukiseera ekyo kyennyini, Nabbi Isa yeteekako emirimo egyo ejamagero, nga bwagamba: “ntonda”, “nfuwamu”, “mponya”, “mpa obolamu”, “mbabuulira”. Ayogera nga yezzaako.

Ate era Banabbi – nga Yusufu, Musa, Isa, Sulaiman – Sibebokka abaali balina obusobozi obwekusifu, wabula Banabbi abalala bangi abaava edda nokutuusa olwaaleero nga bakyaali nobusobozi obwo. Naye okunyumya kunsonga eyo kyetagisa kitabo kiramba.

Mpozzi, waliwo ekitabo ekyogera kunsonga eyo mubujjuvu, nga kiyitibwa “Alqudiratul ma-anawiyya Lil-Ambiyaa-e”.

5- Bamalayika n’amaanyi amakise

Mazima Bamalayika nabo, balina obufuzi obukise nga Qur’an bweyogera ku Jibreel:

“Wamaanyi agekitalo”

Era ayogera kuBamalayika abalala:

“Ndayidde Bamalayika abalabirira ensonga”([10])

Ne Aya endala weziri eziraga nti Bamalayika batambuza ensonga zensi, nga okukwaata emyoyo. Okukuuma abantu nokubalabirira, nokuwandiika emirimo “kiraaman kaatibeen”, n’abo abazikiriza abajeemu n’obuvunanyizibwa obulala.

Buli yenna alina kyamanyi kuQur’an – kakibeere kitono – akakasa bulungi nti Bamalayika balina obusobozi obwekusifu era bakola ebyamagero kulwobuyinza bwakatonda n’amaanyige.

Singa okukakasa obufuzi obwekweese kitegeeza kukakasa bwakatonda, buli omu mubanabbi neBamalayika yalibadde katonda, nga ate ekyo obufu bwaakyo bweyolefu.

Nolwekyo, kuboki era kigamboki ekyawula?

Okwanukula?

Twakyogeradda nti ekkubo eririwo nekigambo ekyawula kiri munjawulo wakati wobuyinza obweyawulidde nobuyinza obufunibwa, kale, okukkiririza mubuyinza obweyawulidde – kw’oyo atali katonda – kiba kiraga nti ogasse kukatonda (s.w) naye ate bwokkiriza mubuyinza – mukifo oba mukintu kyonna – nti bufunibwa bufunibwa, okwo kwekwawula katonda kwennyini.

Katukakase – Owange ggwe omusomi – nti kati kimaze okukweyolekera nti okukkiriza nokukakasa nti abagalwa bakatonda balina obusobozi obwekweese, tekibeeramu Shirik yonna wabula kubeera kwawula katonda ebbanga lyomala nga obusobozi obwo obwesigamiza kukatonda owekitiibwa.

Era nga bwekimaze okutegeerekeka obulungi gy’oli nti amakulu ga tawheed. Sikwekwesigamiza ebikolwa byobutonde ebimanyiddwa kumuntu, ate ebikolwa byamagero nebyesigamizibwa kukatonda, wabula obutuufu bwatawheed, kwekusigamiza ebikolwa byonna ku Allah, kati olwo obusobozi bwonna n’amaanyi agekitalo nebibeera nga bisibuka kuye era yenannyinibyo.

Katinno, ekiseera kituuse okwogera kumpagi eyokubiri mukitundu ekyo era nga tugenda kwogera kubutuufu bwokusaba ab’agalwa baktonda okukola emirimo egyamagero nga bakozesa amaanyi amakise agatalabika.

Okusaba ab’agalwa baktonda okukola emirimo egyamagero

Abaffe, kisaana okusaba omu kub’agalwa bakatonda okukola omulimo ogwamagero ogutasoboka kukolebwa mulala yenna?

Abaffe, ekikolwa ekyo (ekyokusaba) kitwalibwa nga Shirik?

Muntandikwa, tugamba: ekimu kubintu ebitaliimu kwawukana, kwekubeera nga “buli ekibeerawo, kibeerako newekivudde, era buli nsonga ebeerako nekigireeta”. Kale buli kintu tekiyinza kubeerawo, okujjako olwensonga, era obulamu buliko ensonga era bulina webusibuka, nenkomerero yabyonna, tekisoboka kusanga kunsi kintu kyonna nga tekirina nsonga.

Nabwekityo, ebyamagero byaBanabbi, nebitiibwa byaba Auliya, tebijja buzzi nga tebirina kwebiva, naye ensonga kwebiva, tebeera yabutonde nga endala ezimanyiddwa gyetuli, wabula ebeera mabega wakulowooza kwaffe, nga terabika, nekusifu.

Ekyokulabirako: Omuggo gwa Musa okufuuka omusota, ne Isa okulamusa abafu, ne Nabbi Muhamad (s.a.w) okwaasa mumwezi nokutendereza kwobuyinja bwomusenyu mumukonogwe, nebirala bingi mubyamagero byaBanabbi ... Ebyo byonna tebiyinza kujja bwereere awatali nsonga, naye ensonga – nga bwetugambye – tetusobola kugyikwaatako namikono gyaffe oba okugirabako namaaso gaffe.

Oluvanyuma olwebigambo ebyo ebitonotono, katwogere kunsonga gyetuleese eyokusaba emirimo ejenjawulo ejamagero okuva mubaagalwa bakatonda.

Abasajja abawahaab – abaabula nebabuza – bagamba nti okusaba emirimo egyawukanako negyobutonde, kubeera kugatta kukatonda owekitiibwa neekintu ekirala naye okusaba emirimo egyabulijjo egyobutonde, tewabeera mutawaana gwonna. Naye obusiramu bulaba butya ebigamb o ebyo?

Okwanukula: Qur’an eyo eyekitiibwa, yerimu amateeka agasinga obulungi getusaana okulamulisa. MuQur’an, mulimu ebifo ebiwerako ebiraga nti banabbi n’abalala, baasabibwa okukola emirimo egyewu-nyisa egyamagero nga gyawukana kumirala egyiyimiridde kumateeka agobutonde agalabwaako. Ekyokulabirako, Musa, ekibiinaakye kyamusaba akisalire kumagezi kubyenkuba oluvanyuma olwokubula kwaayo. Ekiseera ekyo, ekiragiro kyajja butereevu okuva ewa Allah (s.a) nga kiraga okwanukula okusaba kwaabwe.

Allah agamba:

“Era twassa (ekiragiro) eri Musa – mukiseera ekibiinaakye wekyamusabira okunyweesebwa – nti kuba ejjinja n’omuggogwo”.

Singa omwogezi agamba: tewali kigaana kusaba kyamagero kuva eri muntu mulamu, okusaba kwetuliko, kukwaata kumufu.

Tumwanukula: Mazima obulamu oluvanyuma lwokufa tebikyuusa bukakafu bwa tawheed na Shirik – nga ekintu bwekiyinza okubeera tawheed mumbeera yobulamu, ate Shirik mumbeera yokufa oba ekyennyume kyaabyo – wabula obukakafu busigala bunywevu mubuli ngeri yonna.

Kituufu, ... kisoboka obulamu n’okufa okubeera nobuwufu mumugaso gwokusaba oba nedda, naye obukakafu bwatawheed neShirik tebirina kyebikyusibwa.

Nabbi Sulaiman asaba entebe ya Balqiis

Qur’an eyekitiibwa etunyumiza nti Nabbi Sulaiman (a.s) yasaba abaaliwo – waali – babeere nga beevaamu omu aleete entebe ya Balqiis mungeri eyewuunyisa eyamagero eyawukana kunkola yobutode. N’abagamba – nga Qur’an bwetugamba:

“Ani mummwe ayinza okundetera entebeye oluberyeberye nga tebannaba kunzijira nga basiramu?

Erimu mumajinni eryaali eryaamaanyi nerigamba: nze nja kujikuleetera nga tonnaba kusituka mukifookyo, era nze kuyo, ndiwamaanyi ate omwesigwa.

Yagamba oyo alina okumanya okuva mukitabo: nze nja kujikuleetera ngatonnaba kutemya.

Bweyamala (Sulaiman) okujiraba nga eri waali, yagamba:

Ekyo kyengera mubyengera by’omulezi wange”.([11])

Bwekiba nga kituufu, munkola yekiwahaab – obutakkirizibwa kusaba mirimo egy’amagero okuva eri ekintu kyonna okujjako katonda – okusaba kwa Nabbi Sulaiman (a.s) abo abaaliwo okumuleetera entebe ya Balqiis, kwalibadde Shirik nabukafiiri!! Era nokusaba ekyamagero okuva eri omuntu yenna – mumulembe gwonna – agamba nti Nabbi, kwalibadde nakwo bukafiiri na Shirik, naye abantu baali basabanga buli agamba nti Nabbi – kabeere wamazima oba mulimba – ekyamagero ekiraga nti katonda yeyamutuma, so balibadde basabanga katonda kennyini, naye baali bagambanga:

“Bw’oba nga ozzeeyo nekyamagero kyonna, kireete bwobeera nga byoyogera byamazima”([12])

 Eyo, yenkola yabantu bonna munsi, bw’oba nga oyagala okwawula wakati waNabbi owamazima nomulimba. Era Banabbi bonna nga bwebajja, baayitanga abantu okujja okulaba ebyamagero ebiraga amazima gaabwe.

Era Qur’an eyekitiibwa, yatubuulira bulungi nyo ebyaaliwo wakati waBanabbi nabantu abebibiina byaabwe kubikwaata kunsonga eyo. Qur’an, terina kyeyagamba kubantu abo abaasabanga Banabbi ebyamagero, kale nekibeera nga kiraga obutuufu bwokusaba kwaabwe.

Katuleeteyo ekyokulabirako: Singa abantu abanoonya amazima, bajja eri Nabi Isa (a.s) nebamugamba: “Bw’oba nga oyogera mazima nti oli Nabbi, komyawo okulaba kwamuzibe oyo, owonye owebigenge oyo”, abantu abo tetuyinza kubagamba nti bagasse kukatonda, wabula tubatwaala nga abagunjufu abanoonya amazima, era batenderezebwa nokutenderezebwa kwe’kyo.

Kati oluvanyuma lw’ebyo, singa Isa (a.s) amala n’afa, abantube nebasaba omwoyogwe okuwonya muzibe nowebigenge, lwaaki tubayita abakoze Shirik nga ate tukimanyi nti obulamu bwa Nabbi n’okufaakwe tebirina kyebikyuysa mutawheed nemuShirik?!([13])

Ebivuddemu

Okusinziira kw’ebyo byotwogedde, tukomekkereza nga tugamba nti Qur’an yannyonyola amannya ag’abamu mubagalwa baktonda abo katonda beyalonda n’abawa obusobozi obutalabika olwokukola emirimo egyamagero egyiri emabega webyobutonde. Abantu abo baali bokozesanga amaanyi ogo olwensonga mubiseera ebisaana – nga bwewaabeerangayo abantu abajjanga gyebali nebabasaba okugasibwa mumaanyi ago.

Era tukakasa nti kimaze okukweyolekera – owange ggwe omusomi owekitiibwa – nga Aya zaQur’an bwezikyasanguza obufu bwenkola yabawahaab n’obukyaamu bwendowooza zaabwe.

Singa Abawahaab bagamba nti okusaba ekyamagero okuva mubagalwa baktonda, Shirik.

Tubagamba: lwaaki Sulaiman – nabalala – yakikola?

Ate bwebaba bagambye nti okusaba ekyetaago okuva mub’agalwa baktonda – mungeri eyamagero – kiviirako okubakakasa nti balina obufuzi obwekweese.

Tugamba: okukakasa obufuzi obukise kulimu engeri bbiri: Tawheed yennyini nokwo okuleeta Shirik.

Ate singa baba bagambye nti okusaba karaamaat (nabyo biringa byamagero) okuva mubagalwa baktonda mubulamu bwaabwe kisaana, naye oluvanyuma olwokufa kwaabwe tekikkirizibwa.

Tubagamba: Mazima okufa nobulamu siyeminzaani ya tawheed ne shirik era tebirina kyebikyuusa mukimu kubyo.

Era bwebaba bagambye nti okusaba okuwonyezebwa kwomu-lwadde nokusasulwa kwebbanja – mungeri etali yabulijjo – kubeera kusaba kikolwa kyakatonda mwoyo atali katonda.

Tubagamba: mazima akalombolombo kashirik, kwekukakasa nti oyo gw’osaba katonda oba okukakasa nti nsibuku yabikolwa byakatonda mungeri eyeyawulidde, era okusaba ekikolwa ekyabulijjo kekitegeeza kusaba kikolwa kyakatonda okuva m’woyo atali katonda, kubanga ekipimo kyebikolwa byakatonda kwekubeera nga abikola ali omu yakka mukubiyimirizaawo.

Naye omukozi bwaaba nga ayimirizzawo ekikolwa kyonna nga yesigamira kubusobozi bwakatonda owekitiibwa, mazima okumusaba tekubeera kusaba kikolwa kyakatonda kuva mwoyo atali katonda awatali njawulo wakati w’ekyo ekisabibwa mukubeera ekyabulijja oba ekyamagero.

Era ebigambo ebyo byennyini, byebikwaata kukusaba okuwonyezebwa okuva mubagalwa baktonda, kubanga abamu bakiwakanya nebagamba nti okusaba okuwonyezebwa kuyimiridde kukatonda yekka (s.w) olwa aya egamba:

“Era bwemba ndwadde, yye yenannyini kumponya”([14])

Kale kijja kitya okugamba: Owange ggwe omubaka wakatonda, mponya?! Nebirala bwebityo ebikwaata kumirimo egyamagero.

Okwanukula: Abantu abalina enzikiriza eyo, tebaayawula – ekyokusaalirwa – wakati webikolwa byakatonda nebikolwa byabantu. Era kyekibaviirako okulowooza nti buli kikolwa kyonna mubikolwa byamagero, kibeera kyakatonda, ate buli kyonna ekikolebwa mungeri eyabulijjo eyobutonde, kibeera mubikolwa byabantu.

Abasajja abo, tebaategeera – oba befuula abatamanyi – kipimo kyawula wakati webikolwa byakatonda nebyabalala. Kubanga singa kyaali nti buli kikolwa kyonna ekyawukana kubikolwa byabulijjo, kitwalibwa nga kyakatonda, ebikolwa byaba “Muritadhina” – mubuyindi – byalibadde bikolwa byakatonda era bonna balibadde bakatonda.

Twayogera okusukka omulundi nti enjawulo eri wakati webikolwa byakatonda nebyabalala, kwekweyawula mubusobozi nokwemalirira nga Allah bwaali, nokwesigamira kumulala nga omuntu bwakola.

Mazima omuntu yesigamira kukatonda, neyeyambisa obusobo-zibwe mubuli mulimo gwonna – mumirimo ejabulijjo neejebyamagero – era bangi nnyo bafuna obusobozi n’amaanyi nebagakozesa mukutuuka kubigendererwa byabwe. Abaffe, abafananako nga abo, baba bagasse kukatonda?!

Ensibuko yokwawukana kutawheed eri munzikiriza ebeera mukusaba. Omuntu bwasaba ekyetaago – okuva mu omu mubagalwa baktonda – nga alina enzikiriza nti oyo gwasaba talina kweye-sigamidde, aba omututte nti mwetongovu mubuyinzabwe era talina kyeyetaaga kukatonda, era okwo kwetuyita Shirik kubanga teri ayinza kwesigamira kumutimagwe, kubusobozibwe namaanyige okujjako Allah (s.w) omu yekka mubwoomuubwe.

Bamushirikiina bangi – kumulembe ogwobutamanya nemunta-ndikwa yobusiramu – abaali balina enzikiriza eyo kuBamalayika nemmunyeenye era nga bagamba nti katonda yabatonda, n’abawa obuyinza nobusobozi obwokutambuza ensi nokugirabirira mungeri eyeyawulidde eyokwemalirira oba – mubutono ennyo – balina obufuzi bwokuwolereza nokusonyiwa, era b’etaaya mukifo nemukiseera kyonna webaba bagalidde.

Mu-utazila ne Shirik

Ekibiina kyaba Mu-utazila, kitwaala omuntu – mukubeerawo – nga kitonde kyakatonda omugulumivu naye – mukiseera kyekimu – kimutwaala nga yeemala era talina kweyesigamidde mukutuukiriza emirimogye nemubikolwa.

Naye singa betegereza mukigambo kyaabwe ekyo, balikyesanze nga munzikiriza eyo mulimu engeri ya Shirik eyekweese naye nga bbo tebamanyi.

Wew’awo, Shirik eyo eyekweese, tetuuka kuddala lyashirik ow’abo abagatta kukatonda. Mpozzi enjawulo eri wakati washirik oyo owemirundi ebiri, kwekubeera nga bbo abagatta kukatonda abamanyiddwa, bagamba nti amasanamu gaabwe getongola mukutambuza obuvunanyizibwa bwensi nemubikolwa bya katonda, naye Bamu-utazila bagamba nti omuntu yeyetongodde mumirimogye.


 

([1]) Almustalihaatul Aruba: pg. 18.

([2]) 12: 93, 96.

([3]) 2: 60.

([4]) 26: 63.

([5]) 22: 16.

([6]) 27: 19...

([7]) 21: 81.

([8]) 3: 49.

([9]) 13: 38.

([10]) 79: 5.

([11]) 27: 38 – 40.

([12]) 7: 106.

([13]) Ebyamagero bya Isa: 3: 49, 6: 100 – 101.

([14]) 26: 80.

Index