back

Eiktundu Ekyekkumi Nebitaano

next

 

ABAWAHAABU BYEBESEMBESA KUKUZIYIZA OKUSABA OKUWOLEREZEBWA

Mukitundu ekiyise, tunyonyodde ebiraga obutuufu bwokusaba nokukkirizibwa kwokusaba okuwolerezebwa, - nga Aya zaQur’an ne hadith zaNabbi (s.a.w) – naye kati twagala tulabe biki Abawahaab nga bbo byebesembesa kukuziyizibwa okusaba okuwolerezebwa, noluvanyuma tujja kubitunulamu, tubinonyerezeeko, obufu bwokubyesembesa oba obutuufu bwaabyo bulyooke bweyoleke.

Ezimu kunsonga zaabwe zebesembesa, zezino:

1- Okusaba okuwolerezebwa kubeera kugatta kukatonda

Abawahaab kyebategeeza mukigambo Shirik, (okugatta kukatonda) kwekumugattako mu Ibaada (munnesinza) kubanga bbo balowooza nti okusaba omuntu okuwolerezebwa, oba omwesinzizza. Mukitundu ekyayita, twayogera kukigambo Ibaada n’amakulu gaakyo, netugamba nti okusaba kwonna okuva mumuntu – kakubeere kusaba kuwolerezebwa – kubeera Ibaada Singa kubeeramu okukakasa nti asabibwa “katonda oba mugabirizi” oba nti “yensibuko yebikolwa byakatonda, era yalabirira ensonga zensi mungeri eyokwemalirira era akola byonna ebikolebwa ne katonda”.

Mazima okusaba okuwolerezebwa okuva mubawolereza abalongoofu – abo katonda beyawa obuyinza obwokuwolereza – batwalibwa nga baddu bakatonda, bali kumpi naye, balina ebitiibwa nebifo ebyawaggulu mumaasoge era teri n’omu abatwaala nti bebatonzi oba abagabirira ebitonde oba okubeera ensibuko yebikolwa byakatonda oba nti okuwolereza nokusonyiwa kwaabwe tekwetagisa kumala kukkirizibwa nakuwebwa buyinza kuva wa Allah (s.w).

Mubutuufu, bwekityo sibwekiri, kubanga abawolereza abalongoofu, bawolereza luvanyuma lwakukkirizibwa era nga bawolereza oyo asaana okuwolerezebwa, amakulu nti alina okubeera nenkolagana nekatonda etakutuka awamu n’abo baasubira okumuwolereza.

Era kimanyiddwa bulungi nti okusaba okuwolerezebwa okuva mumufu, tekubeera kumwesinza kubanga bwekitabeera bwekityo, kiba kiraga nti okusaba okuwolerezebwa okuva mumulamu, kuba kumwesinza nakwo.

Era twakyogerako mukitundu ekyayita nti Qur’an eyekitiibwa ekoowoola abasiraamu okugenda awali omubaka wakatonda (s.a.w) bamusabe abasabire katonda abeere nga abasonyiwa era okusaba okwo sikirala wabula kusaba kuwolerezebwa okuva eri Nabbi owekitiibwa (s.a.w) mubulamubwe, era tekisoboka kikolwa ekyo kubeera Shirik mumulembe ate mumulembe omulala, nekibeera kwawula katonda.

Nga era bwetwakyogerako nti okusaba okuwolerezebwa okuva eri omwagalwa wakatonda omulongoofu, bwekuba nga tekuliimu kumukakasa nti yekatonda oba omugabirizi, okwo tekutwalibwa nga Shirik. Nga Allah bwagamba:

“Era ggwe gwetusaba obuyambi”([1]).

Wano obuyambi bweyawulidde ku Allah yekka, naye ate oluvanyuma agamba:

“Era musabe katonda abawe obugumiikiriza neswala”.([2])

Abaffe, okusinziira ku Aya eyo, waliwo omwogezi ayinza oggamba nti okweyambisa obugumikkiriza, Shirik?!

Mubutuufu tewali ayinza kwogera ekyo kubanga okusaba obuyambi okugaanibwa, kwekwo okulimu okukakasa nokukkiriza obwakatonda obwekintu ekirala ekitali Allah.

2- Bamushirikiina okusaba okuwolerezebwa nama Sanamu

Oluvanyuma olwokumenyawo obugyulizi bwabawahaab obusooka bwebesembesa kukuziyiza okusaba okuwolerezebwa okuva eri ab’agalwa bakatonda, katugende kubujulizi bwaabwe obwokubiri:

Mazima katonda owekitiibwa, kweyasinziira okuyita abantu abesinzanga amasanamu nti mushirikiin, lwakubanga baali basabanga okuwolerezebwa okuva eri amasanamu gaabwe, nebakaabira mumaaso gaago era nebagasaba okubakiikirira, nga Allah bwagamba:

“Era basinza ebitali katonda, ebitabakosa, wadde okubagasa, naye nga bagamba nti ebyo byebituwolereza ewakatonda”([3]).

Nokuzimbira kw’ekyo, okusaba okuwolerezebwa okuva eri ekintu kyonna ekitali katonda, kubeera Shirik.

Okwanukula:

Ekisooka, Mu Aya eyo temuli bujulizi bulaga ekyo Abawahaab kyebesibako, kubanga Qur’an eyekitiibwa, etwaala abantu abo okubeera mushirikiin sirwakuba nti baasabanga okuwolerezebwa okuva eri amanamu gaabwe, wabula lwakuba nti baali bagesinza ekyabatuusa kukusaba okuwolerezebwa.

Singa okusaba obusabi amasanamu ago okuwolerezebwa kyekyaviirako okubayita abagesinza oba bamushirik, teyalibadde kyetaago ate kugamba:

“Ate nebagamba: ago (amasanamu) gegatuwolerezo”

Wabula ekigambo “Era besinza” kyalibadde kimala okubaviirako okuyitibwa bamuShirik. Enjogera ezo ezemirundi ebiri ziraga nti ebitnu biri bibiri nga buli kimu kiri kulwaakyo era okwesinza amasanamu kwawukanako n’okugasaba okuwolerezebwa.

Mazima okwesinza amasanamu, kabonero akalaga okugatta kukatonda, ate okusaba okuwolerezebwa okuva eri ejjinja n’omuti, kabonero akalaga obusiru, nobugwaagwa nobutamanya.

Nokwongera kw’ebyo, Aya terina bujulizi bulaga nti okusaba okuwolerezebwa okuva mumasanamu tekiraga kugesinza, kale kijja kitya okugamba nti okusaba okuwolerezebwa okuva eri omwagalwa wakatonda kubeera kumwesinza?!

Era tukomekkereza nga tugamba nti Aya terina wekwaataganira n’ekyo kyebesibako.

Ekyokubiri: katukitwaale nti ekyabaletera okugatta kukatonda kwekubeera nti baali basabanga amasanamu okubawolereza, naye, waliwo enjawulo wakati w’abo abagatta kukatonda okusaba amasanamu gaabwe okubawolereza, nabasiramu okusaba okuwolerezebwa okuva eri abagalwa bakatonda. Era enjawulo wakati waabwe eringa eri wakati wensi neggulu kubanga bamushirikin baali batwaalanga amasanamu nti gegalina okuwolereza nokusonyiwa, gy’obeera nti oba katonda yabyejjako n’abigikwaasa, era nga bagatwaala nti gegalina okwesalirawo. Kale ekyo tekiriimu kubuusabuusa, okusaba okuwolerezebwa okufananako nga okwo, kubeera kwesinza masanamu era Shirik kubanga mulimu okukakasa nti galina ebitendo byakatonda.

Naye omuntu omusiramu, asaba okuwolerezebwa okuva mumu wolereza kubanga muddu ali okumpi nekatonda, omuddu owekitiibwa alina ekifo ekyawaggulu era eyakkirizibwa okuwolereza okuva ewa Allah (s.w).

Nkulayirira katonda, owange gwe omusomi, okugamba nti tewali njawulo wakati w’ebyo byombiriri, tekubeera kwawukana namagezi nakutegeera?!!

Abaffe, tosobola kulaba njawulo bulungi wakati waabyo nga bwolaba enjawulo wakati wekizikiza kyekiro nekitangaala kyemisana?!!

3- Okusaba ekyetaago okuva mukitali katonda, haraam

Oluvanyuma olwokusangulawo obujulizi bwabawahaab obwokubiri kukuziyiza okusaba okuwolerezebwa okuva mubaagalwa bakatonda, ate besembesa obujuliza obwokusatu kukugaana okusaba ekitali katonda n’okusaba okumalirwa ekyetaago okuva mukyo, ate okusaba okuwolerezebwa okuva eri ab’agalwa bakatonda ngeri mungeri ezokusaba ekyetaago, nolwekyo, tekikkirizibwa okusinziira kubujulizi bwa Qur’an eyekitiibwa:

“Temwesinzanga awamu nekatonda ekintu ekiriala”([4])

kale okugatta wakati wokuziyiza okusaba ekitali katonda newakati wokukakata okusaba okuwolerezebwa okuva mubagalwa bakatonda, kwekusaba katonda afuule abagalwaabe babeere bawolereza b’omuntu.

Era nekiraga nti okusaba ekitali katonda, kubeera kwesinza ekyo kyosabye, kyekigambo kyakatonda:

“Munsabe nja kubannukula, mazima abo abekuluntaza kukunsaba, bajja kuyingizibwa omuliro nga banyomebwa”.([5])

Singa twetegereza obulungi mu Aya, tulaba nga yatandika nenjogera “Kusaba” ate nesembyayo “kusinza” era ekyo kyekiraga nti entegeera yebigambo byombi eri emu. Nabbi (s.a.w) yagamba:

“Okusaba bwebwongo bwokwesinza”([6])

 

Okwanukula:

Ekisooka, ekigendererwa mukigambo “temusaba”, sikugaana kusaba kitali katonda, wabula ekigendererwa, kugaana kwesinza kitali katonda, nekiraga ekyo, yentadika ya Aya:

“Era mazima emizikiti gyonna gyakatonda, kale temusaba...”

Aya yonna eteggeza oba eraga nti okusaba okuli haraam (okuganibwa) kwekulimu okwesinza oyo gw’osaba nga era okakasa nti mutonzi, era alina obuvunanyizibwa naye bwatwaala kukutambuza ensi, nga ate enzikiriza efananako bw’etyo, abasiramu tebagirina mw’abo bebasaba okubawolereza, mubagalwa bakatonda, nga bwetwakyanjuluza emabega.

Ekyokubiri, Aya kyeziyiza, kwekusaba awamu nekatonda ekimtu ekirala, netukyenkanyankanya naye mukusaba, nga “awamu nekatonda” bwekitegeeza, singa omuntu asaba Nabbi (s.a.w) amukyikirire ewakatonda kukumumalira ebyetaagobye, nokumusonyiwa ebyonoonebye, kiba tekitegeeza nti asabye katonda nekintu ekirala, wabula – mubutuufu – okwo kubeera kusaba katonda owekitiibwa.

Ezimu mu Aya, bweziba nga zitwaala okusaba ekyetaago mumasanamu nti Shirik, ekyo lwakubeera nti bbo baagatwaalanga nga bakatonda baabwe abeddaala eryawansiko naye nga balina okwesalirawo okujjuvu kukukola ebikolwa byakatonda, byonna, oba ebimu. Kale ky’ova olaba nga Qur’an ekakkanya ebirowoozo ebyo, negamba:

“N’abo bemusaba abatali katonda, tebasobola kubataasa wadde okwetaasa bbo bennyini”.([7])

Era agamba:

“Mazima abo bemusaba mukifo kyakatonda, baddu nga mmwe”.([8])

Nemubufunze: mazima bamushirikiin baatwaalanga amasanamu gaabwe nga bakatonda abato, era nti baaweebwa obusobozi obubuna obubasobozesa okukola ebikolwa byakatonda, naye okusaba okuwolerezebwa n’ebirala okuva mumuntu katonda gweyawa ekifo ekyo, taliimu bulombolombo obwo.

Nolwekyo, abamasanamu tubateeka tutya awamu n’ono gwetukakasa nga muddu mulongoofu, alina ekitiibwa ewakatonda era twewolereza naye ewa Allah (s.a)?!

“Abaffe, temutegeera”?!

Ekyokusatu: Mazima ekigambo “Da-awa” kirina amakulu magazi era oluusi kikozesebwa mungeri ya “majaaz” “ekkirizibwa” nga kitegeeza okwesinza nga bwebaakyesembesa mu Aya esoose nemuhadith awamu nekubeera nga bamanyi nti enkozesa nga eyo temala kubeera nga buli wetuba tusanze ekigambo ekyo, tukivuunule nti kitegeeza Ibaada era nga tutwaala buli asaba ekitali katonda nti mushirik (agatta kukatonda).

4- Okuwolereza kweyawulidde kukatonda yekka

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, oluvanyuma olwokunafuya obujulizi bwabawahaab obwokusatu, katuleete obwokuna:

“Oba baafuula abitali katonda okubeera ebiwolereza, bagambe: tebamanyi nti tebirina kyebyefugira wadde okubeera namagezi. Bagambe: okuwolereza kwonna kwakatonda”([9])

kyebesembesezaako Aya eyo, kwekugamba nti okuwolereza kweyawulidde ku Allah yekka owekitiibwa.

Nolwekyo, okusaba ekitali katonda okukuwolereza, kitegeezaaki?

Okwanukula:

Ekigambo kyakatonda “okuwolereza kwonna kwakatonda” tekitegeeza nti okuwolereza kweyawulidde kukatonda yekka era tekisaanira mulala kuwolereza, kubanga tewali kubuusabuusa, mazima katonda tagenda kufuula muntu yenna kubeera muwolereza wamulala, wabula kitegeeza nti yye Allah ewekitiibwa, y’alina ensibuko yokuwolereza sossi masanamu olwensonga nti awolereza alina okubeera nga alina amagezi era awulira nga ate alina n’obusobozi obuwolereza. Naye bwetutunuulira amasanamu, tetugasangamu kitendo kyonna mw’ebyo ebyogeddwa waggulu. Kale Allah kyava agamba:

“Bagambe: 1- Tebamanyi nga tegalina kyegafuga

2- Nga ate era tegalina magezi”.

Aya eyekitiibwa eteeka essira kukubeera nga katonda y’alina obufuzi bwokuwolereza, sossi masanamu, era mazima katonda asobola okuwa omuntu yenna obuyinza n’awolereza abaddube ebbanga ly’amala nga alina ebitendo ebimusobozesa okuwolereza.

Nolwekyo, Aya terina wekwaataganira nakunonyereza kwetuliko, kubanga abasiramu bamanyi nti katonda yeyekka alina obuyinza n’obufuzi bw’okuwolereza sossi bagalwaabe, era bakakasa nti oyo katonda gw’awadde obuyinza obwokuwolereza, abeera n’obusobozi okusingako omulala.

Nga abasiramu era bwebakakasa – oluvanyuma olwokwesigamira kuQur’an ne hadith – nti katonda yakkiriza Nabbi (s.a.w) n’abolulyolwe abatukuvu okuwolereza, era kwetusinziira okubayitiramu nga tusaba okuwolerezebwa.

Bwekityo bwekikweyolekedde, owange ggwe omusomi, nti tewali nkwaatanana wakati wa Aya nekyo kyetuliko nga bwewatali nkwaatagana wakati wahadith nekyo kyetunonyerezaako.

5- Obutaliimu obuli mukusaba okuwolerezebwa nomufu

Obujulizi obusembayo abawahaab bwebaaleeta kukuziyiza okusaba okuwolerezebwa okuva mubaagalwa bakatonda:

Okusaba okuwolerezebwa okuva eri abaagalwa bakatonda mubulamu kifaananko nokusaba ekyetaago okuva mumufu atawulira.

Kunsonga eyo, besembesa Aya bbiri:

1- “Mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu, era tosobola kuwuliza kiggala dua bwebaba bakukubye amabega”.([10])

Kyebesembesa muyo, kwekubeera nga Qur’an yafananya abagatta kukatonda n’abafu, era Nabbi yagambibwa nti tosobola kuwuliza bantu abo kubanga balinga abafu. Kale singa abafu basobola okuwulira n’okwogera, katonda yalibadde tafaananya bamushirikiin nabafu.

2- “Mazima katonda awuliza oyo gw’aba ayagadde, naye ggwe tosobola kuwuliza abo abali muntaana”.([11])

Kyebesembesa mu Aya eyo kifananako nekyomu Aya esoose ekyokugamba nti abafu tebasobola kwogera wadde okuwulira, kale okusaba okuwolerezebwa kwaabwe, kulinga okusaba ebitalina bulamu nga amayinja.

Okwanukula:

Mazima abasajja abawahaab ababbinkira mukubula besigamira nnyo kukigambo Shirik olwokwagala okufuula ebibiina ebirala ebyobusiramu ebyabula kubanga tebalina bujulizi bwamaanyi bwebesembesa, era basiiba bawayiriza abasiramu nekigambo kyobukafiiri nga befuula abalwanirira ekigambo tawheed (okwawula katonda).

Bbo, mukwesembesa kwaabwe okwo, baakyuusa enkola nebekwaata kukigambo nti: okusaba okuwolerezebwa n’abagalwa bakatonda kubeera kuzannya era temuli mugaso olwokubanga bafu.

Naye abasajja abo, befuula abatamanyi era nebalagajjala kubujulizi obwamagezi n’obuli mumateeka obukakasa nti ab’agalwa bakatonda balamu wadde nga baafa.

Mazima bakakensa bokulowooza abobusiramu baakakasa nti omwoyo – oluvanyuma lwokwawukana n’omubiri – gusobola okusigalawo neguwangaala ebbanga eppanvu eritaliiko kikomo, era negusigala nga gulina obulamu nokuwulira okweyawulidde.

Abanafalisafa abakkiririza mukatonda bannyonyola obujulizi kkumi obwesigamidde kumagezi nga bunyweeza ensonga eyo, era tebusobola kuleka muntu nga alimu okubuusabuusa kunsonga eyo. Ebbanga lyamala nga alina okulengera nobutereevu bwobwongo.

Okwongera kubujulizi obwo, Qur’an eri mumikono gyaffe nayo ewa obujulizi obwolwaatu obulaga nti abagalwa bakatonda babeera balamu oluvanyuma lwokufa nga ebikumi nebikumi byahadith bwebyogera nabyo kunsonga eyo.

Kale bujuliziki obwo obulwadde abange mmwe abawahaab?!

Era twebuuza, Aya ezo ebbiri zitegeezaki?

Okwanukula: Amakulu gaazo, gali nti emibiri egyiri muttaka, tegyirina busobozi butegeera wadde okuwulira, era ekyo kimanyiddwa, kubanga omubiri bwegumala okwawukana n’omwoyo, gusigala nga tegulina bulamu oba okutegeera n’okuwulira.

Naye ensonga enkulu gyetuliko, kwekubeera nga abo betuwanjagira batukiikirire ewakatonda waffe okutuwolereza – nga Qur’an bwekakasa ensonga eyo – sigyemibiri egyiziikibwa muttaka, wabula gyemyoyo emitukuvu emiramu egyiwangalira mumubiri ogukwaatagana nembeera yobulamu bwabarizakh.

Kale, emibiri egyazikibwa muttaka bwegyiba nga tegyisobola kutegeera oba okuwulira, ekyo kiba tekiraga nti emyoyo gyaabwe emitukuvu n’emitima gyaabwe emirungi – egyo emiramu era egyigabirirwa munsi endala – tegyisobola kutegeera oba okuwulira.

Era Salaam nebiramuso ne ziyaara, byonna bikolebwa kulwamyoyo egyaakayakana era gyegisabibwa n’okuwolereza.

Mpozzi, ekibuuzo; lwaaki abasiramu besitula nebagenda okulambula entaana zabagalwa bakatonda?

Okwanukula: Olwensonga ezijja:

1- Olwahadith ezekitiibwa ezakakasibwa obutuufu bwaazo, ezajja nga zikuutira era ziraga obulungi bwokulambula ebifo ebyabagalwa bakatonda byebaazikibwamu era nga kumitwe gyaabwe kuliko omubaka wakatonda n’abantu abenyumbaye, era nga ziraga nti mulimu okusiima kwakatonda nempeera ennungi. Hadith ezimu twazogerako emabega bwetwaali twogera kukulambula Nabbi (s.a.w).

2- Kubanga okubalambula kuteeka mubwongo bwaffe okubeerawo kwaabwe, era nekuteekateeka emitima gyaffe okusobola okukwaatagana nemyoyo gyaabwe emitukuvu nembeera gyebalimu. Mukiseera kyetubakubiriramu Salaam, twewulira nga abogera nabo era nga nabo batuwuliriza, nga bwekyajja mu emu kuziyaara:

“Nkakasa nti mazima ggwe olaba ekifo kyange, era n’owulira nebigambo byange, era mazima ggwe olimulamu eri katondawo, ogabirirwa, kale nsabira kandawo era katonda wange ammaliri ebyetaago byange.”

Era waliwo nendala:

“Ai katonda ... era manyi nti mazima omubakawo nabasikaabo – emirembe gyibeere gyebali – balamu gyooli bagabirirwa, balaba ekifo kyange, era bawulira ebigambo byange, era badda musalaam yange, naye ggwe wateeka ejjiji kumatu gange obutawulira bigambo byaabwe, era noggulawo omulyango ogwokutegeera kwange okunyumirwa okubawanjagira...”([12])

3- Kubanga hadith makumi namakumi zigamba nti mazima Banabbi n’abaabasikira – nabalala – bwebaba bafudde, emibiri gyaabwe gyisigala muttaka nga gyikuumiddwa – kulwobuyinza bwakatonda – awatali kwonooneka. Era ebyafaayo ebyogera kunsonga eyo bingi, nemwebyo: Abebyaafayo bagamba nti abasiramu baasima enkonko z’amazzi mukitundu kye “Uhud” muMadiina – oluvanyuma olwolutalo lwe Uhud nga wayiseewo emyaaka makumi ataano – nebasanga emibiri nga gyifulumamu omusaayi, nga miramu era nga gyiringa egyakaziikibwa ekiseera ekyo, nga tegyinnaba kwonooneka wadde amasanda gaajo. Amawulire bwegamala okutuuka e Madiina, abantu baayo mubaswahaaba – nabakyaala – nebanguyirira mangu okugenda okulaba, era nebategeera emibiri egyo, amonnya gaagyo, nebataata baabwe era nebategeera nti mibiri gy’abo abaafiira mulutalo lwe Uhud, gyaasigala miramu, negyewuunyisa emirembe, kulwobuyinza bwakatonda.

Kati nno emibiri gy’abo bwegiba nga bwegityo bwegiri, onoyogera otya kugwomubaka wakatonda neba Imam abatukuvu, abolulyo lwaNabbi (s.a.w)?!!

Tewali kubuusabuusa, emibiri egyo gisigala gyikuumiddwa awatali kutuusibwako kantu konna, era gyirina omuzizo ewakatonda owekitiibwa nobutukuvu obwekitalo. Era nekifo ekibeeramu omubiri gw’omu kubawaliyyi bakatonda, kifuna ekitiibwa nokugulumizibwa olw’oyo.

Era okutuukako mukifo ekyo kyeyaziikibwaamu, kifunyisa omuntu okusasira kwaka tonda nebirungi nemikisa.

Bwekityo, nga bwekimaze okukweyolekera obulungi, owange ggwe omusomi owekitiibwa, obujulizi Abawahaabu bwebabadde besigamirako kukuziyiza okusaba okuwolerezebwa okuva eri abagalwa bakatonda, bwonna mpewo temuli kirimu, era abasiramu kyebalina okukola kwekusitukiramu okukolera kuQur’an kyegamba nehadith ezekittibwa.


 

([1]) 1: 5.

([2]) 2: 45.

([3]) 12: 18.

([4]) 72: 18.

([5]) 40: 60.

([6]) Safiinatul Bihaar: madda, “Dua”.

([7]) 7: 197.

([8]) 7: 194.

([9]) 39: 43 – 44.

([10]) 27: 80.

([11]) 35: 22.

([12]) Kitaab Uddat Da-e: ekya Ibn Fahad Alhilli, okuva ku Imam Swadiq (a.s).

Index