Mazima okusaba ekintu kyonna – okuva eri abagalwa baktonda – kujja mungeri eziwerako ezenjawulo. Ezimu kuzo:
1- Okusaba omuntu okubeera nga atuyamba mukuzimba enyumba oba okutunyweesa.
2- Okusaba omuntu omulamu okubeera nga atusabira katonda nokumusaba okutusonyiwa.
Ebifananyi ebyo ebibiri byegatta wamu mukubeera nga ekisabibwa kyamubutonde, kimanyiddwa era nga n’oyo asabibwa musobozi wakutuukiriza ekyo ekimusabiddwa, ate nebyawukana mukubeera nga okusaba okusooka kukwaatagana nansi ate okwoku-biri kukwaatagana nankomerero.
3- Okusaba omuntu omulamu okukola omulimo gwonna awatali kukozesa makubo agamanyiddwa, nga bwetuyinza okumusaba okuwonya omulwadde awatali kokozesa ddagala, oba okumusaba okukomyaawo ekintu ekibuze awatali kukinoonya, oba okumusaba okusasula ebbanja awatali kukola mulimo oguyinza okuleeta essente.
Amakulu nti tumusaba okukola omulimo mungeri yamagero awatali kukozesa makubo agabulijjo agamanyiddwa.
4- Okusaba omuntu eyafa okubeera nga atusabira katonda, naye nga okumusaba kuva mukukakasa kwaffe nti omuntu oyo mulamu agabirirwa munsi eyenkomerero.
5- Okusaba omuntu okubeera nga yeyambisa obuyinza bwakatonda – obwo bweyamuwa – okutuwonyeza omulwadde waffe oba okutuddiza ekyo ekyatubulako, nebirala.
Ebifananyi ebyo ebibiri nabyo, bifananako nga ekyokubiri nekyokusatu wabula enjawulo wakati waabyo, kwekubeera nga okusaba okuli mubiri, kuva mumuntu mulamu akyaali kunsi gwetulabako, ate wano kuva mumuntu mufu mukulabika naye ate mulamu mubutuufu.
Kale okusinziira kw’ebyo, tekisoboka kusaba mufu kutuyamba – mubintu ebyokunsi – nga akozesa amakubo agabulijjo agamanyiddwa era agalabibwaako kubanga omuntu bwamala okufa, aba akutuse nebintu ebyokunsi ebirabibwaako ebikozesebwa.
Owange ggwe omusomi ewekitiibwa, egyo gyemiteeko etaanu gyetuyitiramu okusaba obuyambi, estu mujjo, gyeyawulidde namuntu mulamu kuno kunsi, ate ebiri negyeyawulira namuntu munsi eyonkomerero.
Ekiseera kino, tugenda kwogera kubifananyi ebisatu ebisooka, n’oluvanyuma, mukitundu ekijja, tujja kwogera kukusaba obuyambi okuva eri abagalwa baktonda – abalamu munsi eyenkomerero.
Kuno kwekunonyereza kumiteeko esatu:
Mazima okusaba obuyambi okuva mubalamu, munsonga zaffe ezokunsi ezimanyiddwa, y’emu kunsonga ezireeta okugunjuka nokukulankulana mubantu, kubanga obulamu bwabantu muno munsi buyimiridde kukuyambagana, era nenkolagana eyomunsi eri kubintu ebirabwaako.
Ennamula eyekifananyi ekyo, neyolefu nyo kubanga teri muntu yenna yajitamwa, wadde okujawukanako, wabula nga okunonyereza kwaffe bwekuyimiridde kukwesembesa Qur’an ne hadith, tujja kwesembesaayo ne Aya emu yokka.
Dhal Qarinain bweyayagala okukola ejjiji erinabakingiriza okulumbibwa kwa “Yaajuuja” ne “Maajuuja”, yagenda eri abantu abomukitundukye, n’abagamba:
“Munyambe mumpe obusobozi nteeke wakati wammwe nabo ejjiji”.([1])
Mazima okweyambisa omuntu omulamu – muno munsi – okubeera nga akusabira okuva eri katonda ebintu ebirungi n’okukusonyiwa, kiri mubintu ebimanyiddwa ebitalimu kwawukana, era Qur’an ekyogerako mubitundu bingi. Bw’osoma Qur’an nga wetegereza, asanga Aya nyingi eziraga nti baNabbi baalina enkola eyokusabiranga ebibiina byaabwe obulungamu nebirala ebirungi, oba nebibiina byaabwe byenyini byaali bisabanga baNabbi babyo okubisabira katonda nebirungi nokubisonyiwa. Aya ezogera kunsonga eyo nyinji, era nga zirimu emiteeko:
1- Oluusi katonda yye kenyini alagira Nabbiwe Muhamad (s.a.w) okubeera nga asabira abekibiinaakye okukisonyiwa:
“Basonyiwe, era obasabire katonda naye abasonyiwe, era obebuuzeeko munsonga”.([2])
“Kiriza obweyamo bwaabwe, obasabire katonda okubasonyiwa, mazima katonda musonyiyi era musaasizi”.([3])
“kwaata Saddaaka okuva mummaali yaabwe, obatukuze nayo era ojiyinjiwaze nayo, era basabire, mazima okubasabiraakwo, butebenkevu bwaabwe, era katonda awulira era mumanyi”.([4])
Mu Aya eyo, katonda omugulumivu, alagira Nabbiwe Muhamad (s.a.w) abeere nga abasabira kubanga okubasabiraakwe kuleeta obutebenkevu mumitima gyabwe.
2- Ate mubisera ebirala, baNabbi baali balaganyisanga abalina ebyonoono okubasabira katonda okubasonyiwa mubiseera ebisaana. Nga katonda bwagamba:
“Okujjako ekigambo kya Ibrahim kyeyagamba taatawe nti nja kukusabira okukusonyiwa”.([5])
“Nja kukusabira omulezi wange okukusonyiwa, mazima yye yavadda nga anyanukula”.([6])
“Tekwaali okusaba kwa Ibrahim kweyali agenda okusabira taatawe okwokumusonyiwa wabuli kwaali kundagaano gyeyamu-laganyisa”.([7])
Aya zino ezekitiibwa, ziraga nti Banabbi baali basanyusanga abakozi bebibi nokubasabira okubasonyiwa okutuusa Nabbi Ibrahim bweyalaganyisa “Azar” okumusabira katonda okumusonyiwa, naye bweyalaba nga akyaganidde kukwesinza amasanamu, byeyali amulaganyisizza yabivaako kubanga mubulombolombo bwokwanukula okusaba, asabirwa alina okubeera nga akkiriza Allah owekitiibwa.
3- Mazima katonda yalagira abaali balina ebyonoono, bagenda awali Nabbi (s.a.w) abeere nga abasabira okubasonyiwa kubanga katonda abasonyiwa olwemikisa gy’okusaba kwaNabbi (s.a.w).
Katonda agamba:
“Singa mazima bbo, mukiseera kyeberyazamanyirizaamu emitima gyaabwe, baakujjira, nebasaba katonda okubasonyiwa n’omubaka n’abasabira okubasonyiwa, balisanze katonda nga musonyiyi era musasizi”.([8])
Mubutuufu, Ayaki eneyolefu okusinga eyo katonda mwalagirira abonoonyi – mukibiina kino – okugenda awali Nabbi (s.a.w) babeere nga bamusaba abasabire katonda okubasonyiwa?!
Okujja eri Nabbi (s.a.w) nokumusaba okusonyiyizibwa kulina emigaso ebiri:
Ogusooka – kireetera omuntu okufuna okugonda mumutimagwe n’okugondera omubaka wakatonda(s.a.w) oluvanyuma lwokwe-yongera okulaba obugulumivu bwaNabbi nekitiibwakye ewakatonda(s.w) kubanga okusaba kwaNabbi kuviirako okusonyiwa kwakatonda. Nokutwaaliza awamu, ... okusembera awali Nabbi, n’okumusaba okusonyiyibwa, kuleetera omuntu okugonda era nekuleetera omuntu okugoberera ekigambo kyakatonda:
“Mugondere katonda, era mugondere n’omubaka”.([9])
Ogwokubiri – Mazima ekyo kifunyisa Nabbi ekitiibwa eri ekibiina era nekibalaga okutegeera nti nga okugabirirwa okwomunsi bwekuyimiridde kunsoonga ezimanyiddwa era nabwekityo ensonga zeddiin ziyimiridde kunsonga ezeyawulidde, nga edua ya Nabbi namadua g’abo abagalwa bakatonda.
Enjuba bw’ebeera nga y’evaako ekitangaala, n’okwookya nobusobozi, era ebirungi ebyo byonna nebibeera nga bigasa abaddu baktonda naye nga yyo yensonga, nebirungi byakatonda bibuna abaddube kulwaNabbi(s.a.w).
Mazima ensi eno gyetulabako, etambulira kunsonga. Era ebirungi byonna, ebyensi nebyenkomerero, bitutukako naye nga biyitira munsonga ezibisaana.
4- Tweyongera okufuna okuva muzimu ku Aya ezekitiibwa nti abasiramu baali bajjanga awali omubaka wakatonda (s.a.w)lubeerera era nga bamusaba okubasabira katonda okubeera nga abasonyiwa. Abasiramu bwebaawa abananfuusi amagezi, nabo babeera nga bajjangako eri Nabbi (s.a.w) bamusabe abeere nga abasabira katonda owekitiibwa abasonyiwe, baagaana, nga katonda bwatutegeeza:
“Era bwebaba bagambiddwa nti mujje, omubaka wakatonda abasabire, bakyuusa emitwe gyaabwe, era obalaba nga bakubayo mabega, era nga bwebeekuluntaza”.([10])
5- Aya ez’ekitiibwa ezimu, zikakasa nti abantu baali bafuna omugaso – nobutonde bwaabwe – ogwenjawulo okuva mudua zaNabbi(s.a.w) era baali bamusabanga abasabire katonda okubasonyiwa, namadua amalala era n’abeera nga yabaanukulanga awatali kuddizibwa kusaba kwaabwe.
Abantu baali bakirengera bulungi nti emikisa gyakatonda nokusasirakwe bibatuukako kulwakusaba kwabaNabbi nga okulungama kw’abantu bwekuli. Era abantu kwebaasinziira okubeera nga bajja gyaali abasabire okubasonyiwa, nga bwetukisanga muQur’an eyekitiibwa – mukyafaayo kyabaganda ba Yusufu oluvanyuma olwokweyisa obubi eri muganda waabwe:
“Baagamba: taata waffe, tusabire okusonyiyizibwa ebyonoono byaffe, (kubanga) twaali basobya. N’agamba, njakubasabira omulezi wange abasonyiwe, kubanga, y’emusaasizi, omusonyiyi”.([11])
6- Waliwo Aya ezekitiibwa, Allah mweyeekeseza Nabbiwe (s.a.w) okusabira abananfuusi abo abaali bakyaali kukwesinza amasanamu kubanga okwesinza kwaabwe okwebintu ebirala ebitali katonda, tebikkirizisa katonda kubeera nga abasonyiwa, Nabbi k’abeere nga abasabidde okusinziira kubujulizi obulaga nti okusaba kwaNabbi kwanukulwa okujjako eri omuntu akyaganidde kukwesinza amasanamu, kubanga kwo kugaana okwanukulwa kwedua. Nabbi (s.a.w) okusabira bamushirikiin, kufaananako nenkuba ennungi etonnya kulwaazi olutakkiriza nkuba. Allah agamba:
“Nebwonobasabira okubasonyiwa emirundi ensanvu, katonda tagenda kubasonyiwa”.([12])
“Kyekimu gyebali, k’obeere obasabidde okubasonyiwa, oba tobasabidde, katonda tagenda kubasonyiwa.”([13])
“Era ebibonerezo bwebyamala okubajjira, baagamba: Musa, tusabire katondawo nga bwekyakulaganyisibwa (nti buli lwosaba oyanukulwa). Bwon’oba atujjeeko ebibonerezo bino, tujja kukukkiriza era tujja kuta abaana ba Israel (bebaali bakozesa emirimo)”.([14])
Ab’onoonyi baasaba Nabbi Musa (a.s) okubasabira era ekigambo ekigamba “nga bwewalaganyisibwa” kiraga nti baali bamanyi nti katonda yamulaganyisa.
Ate ekigamba nti “tusabire katondawo”, kirimu endowooza bbiri:
1- Okugamba Musa (s.a.w) abasabire katonda abajjeko ebibonerezo nga akozesa kkubo lyabyamagero, era ekyo kiraga nti bakakasa obusobozi bwa Musa – nga yeyambisa obusobozi bwakatonda,
Era endowooza eyo bw’ebeera entuufu, Aya eyo eba ekwaatagana kumuteeko ogwokusatu – era nga kwekweyambisa omuntu omulamu okukola omulimo ogw’amagero.
2- Okubeera nga baamugamba abasabire busabizi awatali kuyita mungeri yamagero, katonda abajjeko ebibonerezo.
Endowooza erabika okubeera nga yentuufu, yeyokubiri, kubanga ekitegeerekeka okuva mukigambo “tusabire katonda”, kubeera nga kwaali kusaba busabi katonda kubajjako bibonerezo. Kituufu, ... mu Aya temuli kiraga nti katonda teyayanukula kusaba kwaMusa bamushirikiin kwebamugamba, wabula ekiraga kiri mu Aya ndala.
7- kitegeerekeka okuva mu Aya ezimu nti abamu mubakkiriza basabira bannaabwe, nga bwekiri mu Aya:
“N’abo abajja oluvanyuma lwaabwe, bagamba: Ai omulezi waffe, tusonyiwe, n’ebaganda baffe abo abaatusooka okukkiriza”.([15])
8- Okwongera kubakkiriza abasaba okusonyiyizibwa, bamalayika nabo abakwatiridde Arish yakatonda, basabira abakkiriza katonda okubasonyiwa. Nga bw’agamba:
“Abo abakwatiridde Arish, n’abo abajetolodde, batendereza amatendo gomulezi waabwe, era bamukkiriza, era basabira abakkiriza okusonyiyizibwa: Ai omulezi waffe, wabunyisa buli kintu okusasira n’okumanya. Kale sonyiwa abo abakwenenyeza, nebagoberera ekkubolyo, era bawonye ebibonerezo byomuliro – Jaheem”.([16])
Kale, okusinziira kw’ebyo, kibeera kirungi nyo okugoberera abo ab’ali kunkola katonda gyasiima, abasabira abononyi okusonyi-yizibwa.
Ebyo byebikutte kukifaananyi ekisooka nekyokubiri.
Bino byebikwaata kukifaananyi ekyokusatu:
Era kwekweyambisa omuntu omulamu – asobola okukola ebyamagero abalala byebatasobola – mukutuukiriza.
Omulimo gwonna awatali kukozesa makubo agamanyiddwa, nga okuwonya omulwadde nokufulumya amazzi okuva awantu awakalu, nebirala ebifananako n’ebyo.
Abamu mubawandiissi abebittibwa, balowooza nti ekifananyi ekyo kiyingira mukifananyi ekyokubiri era nga bagamba nti ekigendererwa mukyamagero y’emuntu okusaba katondawe okumuwonyeza omulwaddewe oba okumumalira ebbanjalye, nebirala, kubanga ebikolwa ebyo byeyawulidde kukatonda yekka owekitiibwa, era okusaba Nabbi oba Imam, kubeera kubayitiramu buyitizi naye nga katonda y’asabibwa.
Nolwekyo, buli lwetuteeka ekikolwa kyonna kuNabbi oba ku Imam, bbo bayitirwaako buyitirwa naye nga mubutuufu, bya Allah owekitiibwa.([17])
Okujjako nti muQur’an mulimu Aya eziraga nti okusaba baNabbi n’abagalwa bakatonda okubeera nga bamala ebyetaago, nsonga ntuufu era nkakafu, kubanga bwetuba tusabye ma – asumu (atakola byonoono) yennyini – asobola okukola ebyamagero – okuwonya omulwadde, - eyalemererwa okuwona – ekyo kituukirira nabuyinza bwakatonda n’amaanyige.
Kituufu, Qur’an etwaala okuwonya nga kiri mw’ebyo ebyeyawulidde kukatonda. Era ky’eva egamba:
“Era bwemba ndwadde, (Allah) yenannyini kumponya”.([18])
Naye ate ekiseera ky’ekimu okuwonya kuteekebwa kuQur’an nekumubisi gwenjuki. Nga bwegamba:
“Era tussa muQur’an ekyo ekiwonya, era nga kyakusaasira eri abakkiriza”.([19])
“Afulumya okuva mumbuto zaazo eby’okunywa ebirina lanji ezenjawulo, naye nga mulimu okuwonya eri abantu”([20])
“Mazima okubuulirira kubajidde okuva eri omulezi wammwe nokuwonya ebyo ebiri mubifuba”.([21])
Mpozzi ekyebuuzibwa: tugatta tutya wakati wa Aya ezo?
Okuddamu: endowooza entuufu mukugatta Aya ezo, - ezigamba nti okuwonya kweyawulidde katonda ate ezimu nezigamba nti omubisi gwenjuki neQur’an, nokubuulirira ebigambo byakatonda, nabyo biwonya – kwekubeera nga tugamba nti katonda owekitiibwa yenannyini kuteeka mukisa nakuwonya mubintu byonna, era nga ekyo akikola kululwe awatali kwesigamira kukintu kyonna wabula yesigamira kubuyinzabwe mubintu byonna. Ate omubisi gwenjuki, Qur’an, nokubuulirira kwakatonda, byonna bigasa, wabula kulwabuyinza bwakatonda omugulumivu.
Endaba y’obusiramu – eri ensi n’obulamu – etwaala ebintu byonna nti okugasa kwaabyo kuyimiridde kukwagala kwakatonda, era nga obusobozi bwaabyo bwebuyimiridde kubuyinza bwakatonda owekitiibwa era nensonga zonna, ezebyobutonde nemuddiini, tezirina bwetwaaze bwonna zo nga kulwaazo.
Kale okusinziira kw’ebyo byetulabye – mukwesigamira kuQur’an nekumagezi – tewali kigaana Allah kuwa baNabbi neba Imam (a.s) busobozi nga bweyabuteeka mumubisi gwenjoki neddagala eryebika ebyenjawulo, nebisobola okubeera nga biwonya.
Tunulira abantu abakola ebyewunyisa, olowooza busoboziki bwebalina kukubikola? Era kiki ekigaana katonda okusukkulumya banabbi neba Imam(a.s), n’abawa obusobozi bwokuwonya, n’obusobozi obwokukola emirimo egyisamaliriza amagezi g’abantu nokumenyawo ensonga zobutonde?!!
Mazima obusobozi bwabanabbi neba Imam (a.s) kukuwonya omulwadde n’kukola emirimo egyeyawulidde, tekijjaawo kubeera nga katonda yenannyini buyinza nabusobozi obusembayo era nga yensonga eyabuli kintu, kubanga okubawa obusobozi obwo muno munsi, abubawa lwakyetaago ekiriwo n’omugaso ogunaavaamu.
MuQur’an eyekitiibwa, mulimu Aya eziraga nti abantu baali bagendanga eri banabbi – n’abalala abatali baNabbi – nebabasaba okukola ebyewunyisa. Nga Aya zino:
“Twassa eri Musa, mukiseera awo abekibiinakye webaamusabira okunyweesebwa, nti kuba n’omuggogwo kujjinja”.([22])
Aya eyo eraga nti Abaana ba Israel baasaba Nabbi Musa (a.s) mukiseera kyekyeeya okubafunira amazzi mungeri eyamagero etamanyiddwa mubantu. Era okiraba bulungi nti tebaamugamba nti Saba katonda atunyweese, wabula baagamba yye kennyini awatali kuyita munsonga nemumakubo agamanyiddwa. Mukiseera ekyo, katonda yamulagira okukuba ejjinja, nerivaamu amazzi mungeri eyewunyisa eyamagero. Allah agamba:
“Nemuvaamu ensulo kumi nabbiri”([23])
Ne Aya esinga eyo obwanjulukufu, yeyogera ekyafaayo kyaNabbi Sulaiman(a.s) mukiseera kyeyasabiramu abo abaaliwo okuleeta entebe ya Baliqiis awamu n’obuzibu obwaali mukugireeta.([24])
Ekyaali ekigendererwa kya Sulaiman (a.s) kwekuleeta entebe mungeri etali yabulijjo, era nekituukirira nga bweyakyagala. Allah agamba:
“Yagamba oyo alina okumanya okuva mukitabo: nze nja kujiikuleetera oluberyeberye lwokutemya kweriisolyo. Bweyamala (Sulaiman) okujiraba (entebe) nga eri waali...”([25])
Jukira nti ensonga gyetuliko, yendowooza y’abantu abamu abagamba nti emirimo emyangu egimanyiddwa gyejabantu gyokka, naye emirimo egitasoboka kukolebwa nabuli omu oba egikolebwa mungeri eyamagero, gyeyawulidde katonda yekka. Mubutuufu, eyo nsobi, kubanga ekipimo ekyawula wakati webikolwa byakatonda nebyomulala, kwekwetongola nobutali kwetongola mubyo.
Emirimo egyobwakatonda gyeejo omukozi gy’akola – era nga ye Allah – awatali mulala kujeyingizaamu n’obuteyambisa busobozi bwabalala.
Amakulu nti: Emirimo gyakatonda j’ejo omukozi gy’akola nga ali omu yekka era nga talina kaseera keyetagiramu buyambi bwamulala.
Ate emirimo egitali gyakatonda – kagibeere myangu oba mizibu – gy’ejo omukozi waajo gyatasobola kwetongola mukugikola wabula amala kweyambisa buyinza nabusobozi bw’oyo atalina musobozi mulala wagguluwe, nga era yye Allah(s.w).
Nolwekyo, tewali kigaana katonda kusukkulumya bagalwaabe nabusobozi obwokukola emirimo egyewunyisa abalala gyebatasobola. Katonda agamba Nabbi Isa (a.s):
“Owonya bamuzibe n’abalwadde bebigenge kulwobuyinza bwange, nemukiseera wewazuukiriza abafu kulwobuyinza bwange”.([26])
Ayaki eneyolefu eyogera kunsonga eyo okusinga Aya eyo?!
Aya ezo zonna ziraga nti abagalwa bakatonda baali balina obusobozi obwo era abantu okubasaba okukola emirimo egyewu-unyisa egyeyawulidde era egyamagero, yali nsonga ekolebwa era nga emanyiddwa.
Owange ggwe omusomi, tubadde twogera – nokutuusa kati – kubifananyi ebisatu ebyogera kukweyambisa abagalwa bakatonda mubulamu bwaabwe nga twesigamira kuQur’an eyekitiibwa era omaze okukitegeera nti Qur’an eyekittibwa eraga obutuufu bwebifaananyi ebyo mu Aya eziwerako.
Ate ebikwaata kubifaananyi ebibiri ebisembayo ebikwaata kukweyambisa emyoyo emitukuvu, bijja mukitundu ekijja Inshallah.
([1]) 18: 95.
([2]) 3: 159.
([3]) 60: 12.
([4]) 9: 103.
([5]) 60: 4.
([6]) 19: 47.
([7]) 9: 114.
([8]) 4: 64.
([9]) 4: 59.
([10]) 63: 5.
([11]) 12: 97 – 98.
([12]) 9: 79.
([13]) 63: 6.
([14]) 7: 134.
([15]) 59: 10.
([16]) 40: 7.
([17]) kashiful Iritiyaab: pg. 274.
([18]) 26: 80.
([19]) 17: 82.
([20]) 16: 69.
([21]) 10: 57.
([22]) 7: 160.
([23]) 2: 60.
([24]) Nabbi Sulaiman yali Gordan ate Balqiis yali Yeman.
([25]) 27: 38.
([26]) 5: 110.