back

Eiktundu Ekyekkumi Nebisatu

next

 

OKWEYAMBISA EMYOYO GYABAGALWA BAKATONDA

Mazmia okweyambisa ab’agalwa bakatonda oba okubasaba obuyambi – oluvanyuma lw’okufa kwaabwe nokubulawo okuva mubulamu buno obwokunsi, - eri emu kunsonga enkulu ezikwaata kukusaba abagalwa bakatonda obuyambi, era tewali njawulo wakati w’okubeera nga oyita mukusaba busabi oba kwagala kyamagero.

Ekivaako ensonga eno okubeera enkulu okusinga esoose, kwekubeera nga abasiramu ebiseera bino tebalina Nabbi wadde Imam gwebalabako balyoke bamusabe obuyambi nga bamulaba,([1]) nolwekyo, kyebava beyambisa emyoyo gyaabwe emitukuvu.

Kale okusinziira kw’ebyo, kyetuva tugamba nti ensonga eno esinga egisoose.

Owange ggwe omusomi, okunoonyereza kunsonga eyo, kuyimiridde kukumala kwogera kubintu bina olyoke otegeere obutuufu bwokweyambisa emyoyo emitukuvu.

Ebintu ebyo ebina byebino:

1-                              okusigala kwomwoyo oluvanyuma lwokufa.

2-                              Obukakafu bwomuntu, gwemwoyogwe.

3-                              Okukwaatagana nensi yemyoyo, kisoboka.

4-                              Hadith entuufu ezayogerwa n’abogezi baazo, eziraga obutuufu bwokweyambisa abagalwa bakatonda, era nti enkola yabasiramu okuva edda yali etambulira kunkola eyo.

Okunyonyolwa kwaabyo:

1- Okufa kw’omuntu tekitegeeza kuzikirirakwe.

Mazima Qur’an eyekitiibwa etegeeza – nobwanjulukufu – nti okufa siyenkomerero yobulamubwe, wabula kubeera kujjulukuka kugenda mubulamu bulala obupya, era bw’amala okufa ayingira munsi empya eyekitiibwa eyawaggulu okusingako eno gyetulabako.

Buli yenna akakasa nti okufa kuzikirira era kuggwawo, nti era talina buwufu bwonna bwaleka okujjako omubiri ogutaliimu mw’oyo, oluvanyuma omubiri – oluvanyuma lwakaseera – negufuuka ettaka, mubutuufu abeera mugoberezi w’abo abatakkiriza ebyo ebiri emabega webyobutonde.

Abantu abalina endowooza eyo, batwaala obulamu nti sikintu kirala wabula kwekukola kwebiyungo byomubiri era bweguba gumaze okuggwamu okwookya kwaagwo, nebiyungo byaagwo nebisirika, olwo nga obulamu buyimirira, nga omubiri gwekwaata era nga gufuuka ekitagasa.

Era banannyini ndowooza eyo, bagenda mumaaso nga bagamba, nti omw’oyo, kwekuwulira kwomubiri nobuwufu bwaagwo era bwegumala okubulwa okuwulira n’obuwufu bwaagwo, nebyomutima biba biwedde era nga bikomye kubanga gugoberera mubiri.

Nolwensonga eyo, abantu abo, kyebava tebakkiriza kubeerawo kwankomerero eyitibwa ensi yemy’oyo.

Banannyini ndowooza eyo, bagyijja kw’abo abakkiririza mw’ebyo byokka byebalabako, kubanga bagamba nti omuntu alinga machine – oba nga emmotoka – eyayungibwa okuva mubitundu ebyenjawulo, era ebiyungo ebyo bwebimala okwegatta awamu, bivaamu amaanyi gokulowooza nokulaba okwobwongo, kale ebiyungo ebyo bwebifuna obuzibu, obuwufu bwebirowoozo buggwawo, n’obulamu nabwo nebuzikirira.

Abasomi bafalisafa abakenkufu, nabamanyi abeddiini, basangulirawoddala endowooza z’abo abakkiririza mwebyo byebalabako byokka ezikwaata kumwoyo, era bagamba nti omuntu alina – okwongera kundabika eyokungulu kwomubirigwe – ekintu ekyomuwendo nga era yensibuko yomuntu, erinnya lyaakyo, kiyitibwa mwoyo. Omwoyo ogwo, gubeera nomubiri, ate oluvanyuma negwawukana nagwo, negugenda munsi endala (Barizakh) mwegufunira omubiri omuweweevu.

Mazima okwogera kukusigalawo kwomwoyo oluvanyuma lwokufa, kyetagisa kitabo kiramba ekyeyawulidde, era tekisoboka kwogera kunsonga eyo kubupapula buno kubanga Aya zaQur’an, nebyokwesembesa okuva mufalisafa nobumanyirivu bw’abo abakenkuka mubyemyoyo, byonna biraga okusigalawo kwomwoyo gwomuntu oluvanyuma lwokufa. Zino zezimu mu Aya zaQur’an ezikakasa okusigalawo kwomwoyo oluvanyuma lwokufa.

Okwogera kwaQur’an kukusigalawo kwemyoyo.

Mazima Aya zaQur’an ziraga nti omwoyo gusigalawo oluvanyuma lwomubiri, naye tujja kuyita mubufunze:

(i)           “Era temugamba nti abo abatiddwa mukkobo lyakatonda bafu, wabula balamu naye temumanyi” ([2])

(ii)          “Temulowooza nti abo abaafiira mukkubo lyakatonda bafu, wabula balamu eri omulezi waabwe bagabirirwa”.

“Basanyufu olwebyo katonda byeyabawa mubirungibye era basanyuka nebaganda baabwe abatannaba kubasisinkana”.

“Basanyuka nekyengera okuva ewakatonda nebirungi”.([3])

(iii)               Nze nzikirizza omulezi wammwe, kale mumpulirize, Yagambibwa nti yingira ejjana, n’agamba: nga ekibiina kyange zikisanze, singa bamanyi omulezi wange kweyasinziira okunsonyiwa, era nanteeka mubomujjana abagulumizibwa”.([4])

Ekigendererwa mujjana gyeyalagirwa okuyingiramu, yejjana eya “Barizakh”([5]) Sossi eyenkomerero, kulwekigambo kya Allah “Nga ekibiina kyange zikisanze, singa bamanyi omulezi wange kweyasinziira okunsonyiwa era nanteeka mubomujjana”.([6])

Okwegomba ab’ekibiinaakye okutegeera ekifo ky’alimu kiba tekikwaatagana nansi yankomerero egenda “Okwatukiramu ebyaama”, abantu bajjibweko ebibikko kumaaso ggabwe, era embeera zabantu tezigenda kwekweko kubalala, wabula kikwaatagana nabulamu bwansi abantu mwebawangaliramu nga tebamanyi biki ebiri mubarizakh. Ekyo Qur’an kyeyogerako.

Nokwongera kwebyo, ... Aya endala eddirira, eraga nti ekibiina kyomusajja oyo, kyazikirizibwa nokubwatuka okw’ava muggulu, era kyagamba:

(iv) “Era tetwassa kukibiinaakye oluvanyumalwe malayika yonna okuva muggulu, era tetwaali baakussa. Terwaali okujjako lwaali lubwaatuka lumu, kale, baagenda okulaba, nga bonna bafu”.([7])

Mu Aya ezo ebbiri tufunamu nti ekibiina kyomusajja – oyo eyayingira ejjana – kyaali kiwangalira mubulamu buno, okufa nekubajjira kibwatukira, kale ejjana eno sindala, wabula yeyobulamu bwa Barizakh(Entaana).

(v) “Bajja kulagibwanga omuliro ebiseera byokumakya nolweggulo, ate enkomerero bweriyimirirawo, abantu ba Falaawo (Fir-aun) bajja kuyingizibwa ebibonerezo ebisinga obukambwe”.([8])

Bwetuba twetegerezza, Aya ezo ebbiri, kyeyoleka bulungi nti abantu ba Falaawo bali mu “Barizakh” kubanga bajja kwolesebwa eri omuliro kumakya nolweggulo okutuusa olunaku lwenkomerero, ate olwo bayingizibwe mubibonerezo ebisingawo.

Singa sikigambakye “nolunaku enkomerero lwegenda okuyimirirawo”, ekigendererwa tekyalifunyise mu Aya, naye kiraga nti ebisooka olunaku olwo byonna byamu “Barizakh”.

Nokwongera kwekyo, ebigambo “kumakya nolweggulo” biraga nti ekigendererwa sirunaku lwankomerero kubanga lwo terulina kumakya wadde olweggulo.

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, ebikwaata kubulamu bwomuntu oluvanyuma lwokufa, tujja kubikomya awo mubufunze, ate kati katwogere kunsonga eyokubiiri:

2- Obukakafu bwomuntu gwemwoyogwe.

Omuntu, muntandikwa, ayungibwa okuva mubintu bibiri, omwoyo nomubiri, naye obukakafu bwomuntu gwe mwoyogwe ogubeera awamu nomubirigwe.

Mukiseera kino, tetugenda kwesembesa bigambo byabasomi ba Falisafa wobusiramu wadde owaba Yonaani, wabula tugenda kwesigamira kukitabo kyakatonda ekitaliimu kubuusabuusa kwonna.

Bwetwetegereza Aya ezogera kumuntu, kitweyolekera bulungi nti mazima obukakafu bwomuntu gwemwoyogwe, nga Aya eno:

“Bagambe: egenda kubakwaata malayika yokufa, eyabawebwaako obuvunanyizibwa, noluvanyuma, muzukizibwe eri omulezi wammwe”.([9])

Mazima ekigambo “tawaffa” tekitegeeza kufa – nga bwekimanyiddwa – wabula kitegeeza kukwaata. Kale ekigambo “Yatawaffakum”, kitegeeza: abakwaata. Enjogera eyo ntuufu kubanga omwoyo bwebukakafu bw’omuntu era gwegukwaatibwa.([10])

Singa omwoyo kitundu mubuntu bwomuntu, ate omubiri nga kitundu kyakubiri, enjogera eyo ebeera yakungulu kubanga ekikakasibwa, kwekubeera nga Malayiko yokufa ekwaatako ekitundu ekimu – omwoyo – ate ekitundu ekyokubiri – omubiri – nekisigalawo kunsi, noluvanyuma, negutwalibwa muntaana era nga tegulina nkwaatagana na Malayika yakufa.

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, Aya ezogera kumwoyo nekifo kyaagwo mumuntu, nyinji naye twogeddeko emu yokka nga ekyokulabirako.

Ensonga esooka gyetwogeddeko “Okusigala kwomwoyo oluvanyuma lwokufa”, etulaga bulungi nti omwoyo bwebukakafu bwomuntu era yensibuko yobujjuvu b’womutima nga omubiri bweguli mukifo kyekibikko ekibikka omwoyo.

Era Qur’an tetwaala kufa nti kwekuzikirira kwomuntu nenkomerero yobulamubwe, wabula ekakasa nti – okusingiraddala ba Shuhada nabalongoofu, nabajeemu nabo – balina obulamu obulala oluberyeberye lw’olunaku lwenkomerero, era obulamu obwo bulimu essanyu n’okusanyusibwa oba okubonerezwa.

Obukakafu bw’omuntu bwebubeera nga buli mumubirigwe, tewali kubuusabuusa, omubirigwe gujja kuvunda, oluvanyuma olwennaku ntononyo nga amaze okufa nokuziikibwa era gufuuke ebintu ebirala. Kale obulamu bwabarizakh buba buliwa, embeera bwebeera nga bweetyo bweeri?!!

3- Okukwaatagana nensi yemyooyo.

Abaffe kisoboka okukwaatagana nensi yemyoyo?

Okuddamu: Yyee, kisoboka bulungi nyo era tugenda kwesembesa Qur’an eyekitiibwa nebirala okuva mukumanya.

Okukakasa okusigalawo kwomwoyo ogutaliiko mubiri, tekiyinza kumala kukwesembesa kubutuufu bwokujeyambisa. Okujjako nga tumaze okwekakasa nti kisoboka okukwaatagana wakati waajo newakati wensi eno gyetuliko (Dunia).

Qur’an ekakasa nti kisoboka okukwaatagana, era ky’aliwokko.

(a) Nabbi Swaaleh (a.s) yayogera eri emyoyo gyabekibiinakye. Allah owekitiibwa agamba:

“Oluvanyuma, nebasala engamiya, era nebasussa ekigero mukujemera omulezi waabwe, nebagamba: Owange ggwe Swaleh, tutuseeko ebyo byotulaganyisa bwobeera nga oli mubatume”.

“Nebazikirira nolubwaatuka, nebabukeesa mubitundu byaabwe nga bafu”

“N’abakukuba amabega, n’agamba: abange mmwe abekibiina kyange, mazima nabatuusaako obubaka bwomulezi wange, nembabuulirira naye mmwe temwagala babuulirize”.([11])

Wetegereze Aya ezo:

Aya esooka eraga nti bwebaali bakyaali abalamu, baasaba Swaleh abeera nga abatuusako ebibonerozo byakatonda byeyabalagaanyisa.

Aya eyokubiri, eraga okukka kwebibonerezo kubo n’okufa kwaabwe bonna.

Aya eyokusatu, eraga ebigambo bya Nabbi Swaleh (a.s) oluvanyuma olw’okufa n’okuzikirira kwaabwe kubanga yasaalirwa olwobuddiro bwaabwe obubi bweberondera bennyini, n’abagamba: “abange mmwe abekibiina kyange, nabatusaako obubaka bwomulezi wange, nembabuulirira, naye nga temwagala babuulirize”.

Nebiraga nti Nabbi Swaleh yayogera eri abekibiinakye nga bamaze okufa:

(i)           Enteekateeka ya Aya nenkwatagana yaazo nga bwetumaze okikirazaako.

(ii)          Ennyukuta ya “F” mukigambo “Fatawalla” ekiraga okuliranyisa, era kyajja oluvanyuma lwekigambo: “Nebabukeesa mubitundu byaabwe nga bafu”. Ekyo kiraga nti okwogera kwa Nabbi Swaleh kwajja luvanyuma lwakukka kwabibonerezo. Ate nekitegeerekeka okuva mukigambo kya Allah: “Naye mmwe temwagala babuulirize”, nti abantu abo baali bawakanyi era nga bononefu kubanga nemyoyo gyaabwe gyaali mijeemu nga tejikkiriza kugibuulirira.

(b) Nabbi Shu-aib (a.s) yayogera eri abantu abekibiinaakye.

Soma Aya zino:

“Nebazikirizibwa nolubwatukira, nebabukeesa nga mumayu-mba gaabwe bafu”.

“Abo abaalimbisa Shu-aib, baali nga abatawangaddeeko n’akatono, abo abaalimbisa Shu-aib, bebaafafaganirwa”

“Oluvanyuma, n’abakuba amabega (n’aberabira oluvanyuma olwokukka kwebibonerezo), n’abagamba: abange mwe abekibiina kyange, nabatusaako obubaka bwomulezi wange, era nembabuulirira. Kale nakuwalira ntya abantu abakafiiri”.([12])

Ebikwaata ku Aya ezo, bifananako n’ebyo ebikwaata ku Aya zaNabbi Swaleh (a.s).

(c) Nabi Muhamad (s.a.w) awamu nebaNnabbi.

“Era buuza abo betwatuma oluberyeberyerwo mubabaka baffe, abaffe waliwo bakatonda abalala betwatekawo mukifo kyomusasizi abesinzibwa”.([13])

Aya eyo eraga nti kisobokera Nabbi (s.a.w) okubeera munsi endala – eyobutonde – okukwaatagana nebaNabbi abawangalira munsi endala alyoke akakase abagatta kukatonda ebintu ebirala nti Banabbi bonna – era mubuli mulembe – baali bakowoola abantu okudda eri katonda omu – okumwawula nokumwesinza.

(d) Emirembe Qur’an gyetuusa kuBanabbi.

Mazima Qur’an eyekitiibwa ewa Banabbi emirembe mubifo ebiwerako, era tewali kubuusabuusa, Salaam gy’ewa Banabbi siyakungulu, wabula mirembe gyennyini, era kiramuso kyaddala ky’etuusa kuBanabbi bakatonda nababakabe.

Omuntu yenna bwavvuunula Qur’an enzivuunula empewufu, eyokungulu, kiretera enjogera zaQur’an okubeera n’amakulu amawewufu.

Abo abakkiririza mw’ebyo byebalabako byokka, - abatakkiriza kubeerayo kwamwoyo naby’amadiini – batumira abakulembeze baabwe emirembe nebiramuso nga bakozesa enjogera ezokungulu.

Nolwekyo, ffe abasiramu, abalina enzikiriza entuufu kubikwaata kumwoyo, tetusaana kuvvuunula Qur’an mungeri eyomuzanyo, era nga bwetugamba, nti ebiramuso bya Qur’an – n’ebyo byetwogera ekiro n’emisana – tebirina njawulo ery’awo wabula biringa ebiramuso ebyabulijjo.

Tunuulira engeri Qur’an gyewerezaamu ebiramuso nemirembe eri Banabbi (a.s):

1-                              “Emirembe gyibeere ku Nooh mubitonde”.

2-                              “Emirembe gyibeere ku Ibrahim”.

3-                              “Emirembe gyibeere ku Musa ne Haroon”.

4-                              “Emirembe gyibeere ku Al Yasin”.

5-                              “Emirembe gyibeere ku kubatume”.([14])

(e) Okuwa Nabbi Salaam kunkomerero yeswala.

Mazima abasiramu bonna munsi – awamu nokwawukana kwaabwe mumatabi geddiini – batuusa Salaam zaabwe kumubaka wakatonda (s.a.w) muswala kunkomerero y’ayo, nga bagamba: “Emirembe gyibeere gy’oli, owange ggwe Nabbi, n’okusasira kwakatonda, nemikisaje”.

Shafi-e, n’abalala, baagamba nti kikakafu okutoola salaam eyo oluvanyuma lwa tashahhud, ate abalala nebagamba nti kiri “Mustahab” – kyagalibwa Naye nga bonna begatta kukubeera nga Nabbi (s.a.w) yabayigiriza salaam era sunna yaNabbi (s.a.w) nyweevu tevaawo – mubulamuubwe n’oluvanyuma lwokufaakwe.

Kyetwebuuza kiri nti: Enkolagana yaffe neNabbi (s.a.w) bwebeera nga yakutukawo oluvanyuma lw’okufaakwe, makuluki agali mukumukubiranga Salaam buli lunaku?!

Kyayogerwa okuva kumubaka wakatonda (s.a.w) nti yagamba: “Omuntu bwansaalirako nga ali ewali entaana yange muwulira, ate oyo aba ansaaliddeko nga ali wala, antusibwaako”.([15])

Ebyo, twabyogerako mubujjuvu mukitabo ekyeyawulidde bwetwaali twogera kukukwaatagana nemyoyo munsi endala, era Aya nyinji ezikwaata kunsonga eyo zetwaleeta.

Wano, tujja kuleetayo Aya ntonotono olwobutawanvuya nyo.

Ebyokulabirako, ebikwaata kukwogera nemyoyo:

1- Byayogerwa okuva kuNabbi(s.a.w), yayimiriro kuluzzi lwe “Badir” n’agamba ba Mushirikiina abaali bamaze okuttibwa nebasuulibwa muluzzi olwo:

“Mwaali miriraano mibi eri omubaka wakatonda mwamufulumya okuva mumakaage, era nemumugoba, oluvanyuma mwamweku-nganyiza, nemumulwanyisa, mazima nze nsanze ebyo omulezi wange byeyadaganyisa nga byamazima”.

Omusajja n’amugamba: owange ggwe omubaka wakatonda lwaaki oyogera n’abantu abafu?

Nabbi (s.a.w) n’agamba:

“Ndayidde katonda, ggwe tobasinga kuwulira, teri kaseera wakati waabwe newakati wabamalayika okubabonereza nebyuuma, okujjako amanguddala nga n’akabaleka”.([16])

2- Byayogerwa nti Imam, omukulembeze Wabakkiriza – Ali bn Abitwalib (a.s) yebagala ensoloye oluvanyuma lwolutalo (Haribul Jamal) e Baswira, n’atandika okutambula mw’abo abatiddwa, okutuusa bweyatuuka ku Ka-ab bn Suur – yali Qadh we Baswira okuviiraddala munnaku za Umar nemuza Uthman, effitina bwemala okugwa muBaswira, yavaamu n’agenda okulwanyisa omusika womubaka wakatonda, Imam womulembegwe, era yagenda n’abantube, nezadderye, bonna nebattibwa – n’ayimirira waali (a.s) nga ali wakati mw’abo abattibwa.

Imam ali n’agamba abo abaaliwo:

“Mutuuze ka-ab bn Suur”

Nebamutuuza, abantu babiri nebamukwatirira, oluvanyuma, Imam n’agamba:

“Owange ggwe k-ab bn Suur, nze maze okusanga katonda wange kyeyandaganyisa nga ky’amazima, naye, naawe osanze katondawo nga kyeyakulaganyisa kyamazima”?!

oluvanyuma, Imam n’agamba:

“Mumwebase”

Natambulako katono, n’atuuka ku Twaliha bn Abdullah, n’agamba:

“Mutuuze Twaliha”.

Nebamutuuza, oluvanyuma n’agamba:

“Owange ggwe Twaliha, nze nsanze katonda wange kyeyandaganyisa nga kyamazima, abaffe, naawe osanze katondawo kyeyakulaganyisa nga kyamazima”?!

Oluvanyuma, Imam n’agamba: “mwebwase Twaliha”

Omusajja n’amugamba:

“Owange ggwe omukulembeze wabakkiriza, bigamboki ebyo byogambye abafu ababiri abatakuwulira”?!

Imam(a.s) n’amugamba:

“Owange ggwe omusajja, mazima bawulidde ebigambo byange, nga bwebaawulira abo abaali kuluzzi lwe Badir ebigambo by’omubaka wakatonda”.([17])

Ebivudde mukunonyereza:

Mubufunze, bino byebivudde mukunonyereza:

(i) Tukakasizza nti okufa siyenkomerero y’obulamu era sikwekuzikirira kw’omuntu, wabula omuntu ayitiramu buyitizi n’agenda munsi endala.

(ii) Nga bwetwakakasa nti obukakafu bw’omuntu gwemwoyogwe, naye omubiri sikirala wabula gulinga lugoye, gubikka bubissi mw’oyo. Era okusigalawo kwomw’oyo, kwekusigalawo kwekitiibwa ky’omuntu nobujjuvu bw’omuntu – nga ojjeko obusobozi obulala obulabika obugwaawo nokugenda kwomubiri.

Kale okusinziira kwebyo, ... omutima gw’omuntu nomwoyogwe bwegiba nga gyirina obusobozi obusaba nokukola emirimo egyewuunyisa – mukiseera kyobulamu – kiba kiraga nti omwoyogwe gusigala gulina obusobozi obukola emirimo egyo gyonna kulwobuyinza bwakatonda oluvanyuma lw’okufa kw’omuntu.

(iii) Era tukakasizza obusobozi obwokukwaatagana nensi endala, era emyoyo gyisobola okuwulira ebigambo byaffe byetugyigamba, nga tewali njawulo wakati wokubeera nga emyoyo egyo gyabakkiriza oba gyabakafiiri nga bwetumaze okukyogerako mubyafaayo bya Qur’an nebya tarekh.

Kale nno, oluvanyuma olwokutegeera ensonga ezo essatu, kiba kitumala bulungi okukakasa nti mzaima abagalwa bakatonda owekitiibwa bawulira ebigambo byaffe. Era katonda bw’aba abakkirizza, basobola okutwanukula.

Mpozzi ekyebuuzibwa, abaffe kisaana – mumateeka – okwogera nemyoyo gyabagalwa bakatonda n’okugyeyambisa?

Okwanukula kujja munsonga eyokuna Inshallah.

4- Abasiraamu okusaba okumalirwa ebyetaago okuva eri emyoyo emitukuvu.

Mzaima Ibn Taimiyya n’abagoberezibe baapapa mukulamula kwaabwe nebawakanya okubeera nga baswahaaba n’abaabaddirira baasabako ekyetaago okuva eri Nabbi (s.a.w) era bagamba:

“Era teberangayokko n’omu mw’abo abaasooka mubusiramu – mumirembe jaba swahaaba wadde ej’abo abaabaddirira oba abomulembe ogwokusatu – baatwaalanga okusaalira awali entaana zabaNabbi n’okusomerawo edduwa nti kyekisinga obulungi, era nebatuuka n’okubasaba, ne babasaba n’obuyambi – kababeere mubifo ebirala oba awali entaana zaabwe”.([18])

Obeera oly’awo omuntu atamanyi byafaayo byabaswahaaba neby’abo abaabaddirira, ayinza okukkiriza ebigambo nga ebyo era n’alowooza nti bituufu, naye, mulutemya lweriiso asobola okulaba obukyaamu bwebigambo ebyo nobujweeteke bwabyo singa ageza natunulako mubyafaayo, yye kennyini neyesomera tawassul yabaswahaaba n’abalala gyebaakolanga kuNabbi (s.a.w) n’okumusaba obuyambi, nga bwebiri mubyokulabirako:

1- Abantu baafuna ekyeeya kumulembe gwa Umar bn khatab, omusajja najja eri entaana ya Nabbi (s.a.w) n’agamba: owange ggwe omubaka wakatonda, saba katonda okunywesebwa kwekibiinakyo kubanga mazima bazikiridde. Nabbi (s.a.w) n’amujjira mutulo, n’amugamba: genda eri Umar, omukubire Salaam, omubuulire nti mazima bajja kunywesebwa”.([19])

Oluvanyuma, Samuhoode – oluvanyuma olwokwogera ekyafaayo ekyo – agamba:

“Kyetwesembesa okuva mukyafaayo ekyo, kwekusaba Nabbi asabe okunywesebwa – okuva eri katonda – nga ali mubulamu bwomuntaana (Barizakh), era okusabakwe katonda, nga ali mumbeera eno, tekigaanibwa, era okumanyakwe okw’ekibuuzo eky’oyo amubuuzizza, nakwo kwayogerwa, Nolwekyo, tekiziyizibwa kumusaba kunywesebwa, nebirala nga bweyali kunsi”. ([20])

2- Samuhoode agamba, okuva ku Alhafidh Abi Abdillah, Muhamad bn Musa bn Nu-uman, nga eva ku Imam Ali – omukulembeze wabakkiriza (a.s):

“Mazima munnamalungu yajja eMadiina oluvanyuma lwennaku ssatu okuva kukuziikibwa kwa Nabbi (s.a.w), neyekasuka kuntaana yaNabbi, neyeeyiira ettaka kumutweegwe, n’agamba: “Owange ggwe Omubaka wakatonda, watugamba, netuwulira ebigambobyo, wawuliriza okuva eri katonda owekitiibwa, ebyo byetwakuwulirako, era nemwebyo ebyakussibwaako, mwemuli:

“Singa bbo, mukiseera kyeberyazamanyirizaamu emitima gyaabwe, baakujjira, nebasaba katonda okubasonyiwa. N’omubaka naye nabasabira okubasonyiwa, balisanze katonda nga musonyiyi era musaasizi”([21]), naye nze neryazamaanya omutima gwange, kale kwekukujjira onsabire katonda ansonyiwe”. ([22])

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, samuhoode, anyonyola ebyaffayo nebyagwaawo bingi mukitabokye, wafa-ul wafa, omulyango ogwomunaana, ebiraga nti enkola eyo yaliwo mubasiramu kuvadda – eyokusaba Nabbi (sa..w) okuyamibwa. Era agamba nti Imam Muhamad bn Nu-uman yatuuka n’okuwandiika ekitabo kiramba ekitwaata kunsonga eyo wansi womutwe: “Misbaah dhalam fil mustaghithiina bikhairi Anam”.

3- Muhamad bn Alkandar agamba:

“Omusajja yateresa taata wange dinar kinaana, n’agenda muJihad, oluvanyuma olwokugamba taata nti bw’oba ofunye ekyetaago, ozikozesa okutuusa lwennakomawo, abantu nebafuna obuzibu obwokwewanika kwebbeeyi yebintu, taata n’akozesa dinar, Bwamala okuzikozesa, omusajja n’akomawo, n’asaba emmaaliye, taata n’amugamba: komawo enkya. Ekiro ekyo, yagenda mumuzikiti, neyetoloola entaana yaNabbi (s.a.w) ebiseera ebimu, ate ebimu neyetoloola mimbaliye, okutuusa lwebwasemberera okukya, nga amusaba okuyambibwa nentaana yaNabbi (s.a.w). yali akyaali kumbeera eyo, nga omuntu ajja – munzikiza – nga amugamba: nti kwaata owange ggwe Abu Muhamad. Taata, n’asitula omukonogwe, n’akwaata ekisawo nga kirimu dinar kinaana. Bwebwamala okukya, omusajja n’akomawo, n’amukwaasa ebibye”. ([23])

4- Abubakar Almaqarr, agamba:

“Nze ne Twabrane ne Abu Shaikh, twaali muHaram yomubaka wakatonda (s.a.w), twaali tulumizibwa enjala naye netugumiikiriza okutuusa kunkomerero yolunaku. Ekiseera kya Isha bwekimala okutuuka, nagenda awali entaana yaNabbi (s.a.w) nengamba: owange ggwe omubaka wakatonda, enjala ...

Omuntu najja – owomukika kya Alawi n’akoona olujji, netumuggulira, twagenda okulaba, nga alina abaana babiri naye nga buli omu alina ekyombo ekirimu ebintu ebiwerako, netutuula, netulya netulowooza nti obeera olyawo enefikkawo, omwaana anajitwaala, naye yagenda najitulekera. Bwetwamala okulya, omusajja owomuba Alawi yatugamba: abange mmwe abantu, mulina kyemugambye omubaka wakatonda? Kubanga ndabye omubaka wakatonda mutulo, nandagira mbeereko nekyembaleetera.”([24])

5- Ibn Jallad agamba:

“Nayingira mukibuga kyaNabbi (s.a.w) nga nnaakava mubulwadde, nengenda awali entaana nengamba: ndimugenyiwo. Ekiseera ekyo, nafuna otulo, nendaba Nabbi n’ampa omugaati, nendyaako ekitundu kyaagwo, olwo nenzira engulu nga mumukono gwange mulimu ekitundu ekisigaddewo”. ([25])

Ffe, mukiseera kino, tetuli mukunonyereza butuufu bwabyafaayo ebyo oba bufu bwabyo, wabula tugamba nti ebyafaayo ebyo byonna biwa obujulizi obulaga nti abasiramu okusaba Nabbi (s.a.w) obuyambi n’okutaasibwa yali nkola nga weeri mubasiramu, era singa yali haraam oba bidi-a oba Shirik oba bukaafiiri, byalibadde tebyogerwa era wadde abo abajwetekawo ebitali bituufu, b’alitidde olwokutya okwonoona okuwulikakana kwaabwe mubantu.

Mpozzi ayagala okumanya ebisingako awo kunsonga eyo, twayawula ekitabo kiramba, kiyitibwa “Aswalat Rruuh”, kirimu buli kyonna ekikwaatagana kunsonga eyo era nga byonna bikakasa obutuufu bwokusaba nokweyambisa emyoyo emitukuvu nokugyisaba okukola omulimo gwonna ogwamagero ogwewuunyisa.

Nekunkomerero yekitundu kino, nkusaba oteekeyo ebirowoozo kunsonga zino:

1- Okusaba okutumalira ebyetaago okuva eri abagalwa bakatonda tekiraga kubesinza, nokusingiraddala oluvanyuma olwokunyonyola amakulu gekigambo “Ibaada”. Era okukkiririza mubutonzi nokugabirira, kyekifuula omulimo okubeera Ibaada, ate ekimanyiddwa, omuntu bwakola tawassul kubagalwa bakatonda aba tabakkiririzaamu nti bebatonzi oba bebalera ebitonde n’okubigabirira, wadde okubeera nga bebateeka teekaensonga zensi oba okukola ebikolwa byakatonda kubuyinza bwaabwe nokwagala kwaabwe – wabula abatwaala nga baddu b’abitiibwa, batukuvu, balungi, b’abitiibwa eri katonda, bamugondera, tebalina kyonoono kyebakola.

2- Ensonga ennya ezogeddwa, zikakasa nti abagalwa bakatonda balina obusobozi obumala ekyetaago ky’oyo aba abayitiddemu olwebifo byebalina ewakatonda, era buli ekibafulumamu, bakikola kulwabuyinza bwaakatonda era b’ebamu kubogerwako mu Aya: “Temuyinza kwagala okujjako nga katonda yayagadde”.

Ekyokulabirako: Nga Nabbi Isa (a.s) bweyali mubulamuubwe obwokunsi, yali asabira omuntu ekirungi oyo aba ayagadde okuva eri katonda Owekitiibwa, n’awonya bamuzibe nabalwadde bebigenge kulwobuyinza bwakatonda, era nabwekityo alina obusobozi obwo oluvanyuma olwokuva munsi eno kubanga omwoyogwe gusigalawo – kubanga bwebukakafubwe.

3- Mazima okugonda nokwewombeeka mumaaso gentaana z’abagalwa bakatonda – mubutuufu – kubeera kugonda nakwewombekera katonda, wadde nga kungulu kirabika bulala naye bwetutunula mumutima gw’oyo nanyini kwewombeka, tulabiraddala nga yewombeekera katonda owekitiibwa ekiseera ky’amala nga yewombeekera omuddu oyo omulongoofu, era asaba katonda kumumalira byetaagobye nga ayita mumuddu oyo omukozi wemirimo emirungi, era okuyita munsonga kubeera nga kuyita mwoyo nanyini nsonga, nga bwekimanyiddwa eri abo abalina okumanya.

Bw’obuuza omuntu oyo akola tawassul kubagalwa bakatonda, kyagoberera mukukukola ekyo, akuddamu nti kumufuula wasiila (kkubo) erimutuusa ewakatonda owekitiibwa nga bweyagamba:

“Abange mmwe abakkiriza, mutye katonda era munoonye ekkubo eribasembeza gyaali, era mufaabikane mukkubolye obeera olyawo mujja kwesiima”.([26])

Nga omuntu bwasembera ewakatonda nga ayita musswala, neswaum, nokwesinza nokugonda, era bw’atyo bwasembera ewakatonda nga ayita mubagalwaabe abalongoofu abebitiibwa mumaasoge.

Nemubufunze, mazima omukkiriza akakasa – mumutimagwe – nti okuyitirakwe muNabbi oba omulala yenna mw’abo abatokola byonoono oba abalongoofu, kireetera omuntu, oyo gwayitiddemu okumusabira katonda okumumalira ekyetaagokye, ekyetaago kakibeere kumusonyiwa kyonoono, oba kusasula bbanja, oba kuwonya mulwadde, oba kumutereereza mbeera...


 

([1]) Buli mulembe tegubulamu Imam. Era omulembe guno, tulina Imam Almahdi(a.s) naye lwakuba nti yekweeka kumaaso gabantu.

([2]) 2: 154.

([3]) 3: 169, 170, 171.

([4]) 36: 25 – 27.

([5]) Barizakh: Yensi eri wakati weDuniya nenkomerero.

([6]) 36: 28 – 29.

([7]) 36: 28 – 29.

([8]) 40: 46.

([9]) 32 :11.

([10]) Tafsiir Rahman: pg. 34.

([11]) Aya ezogera kukibonerezo kyabantu ba Swaleh, nyingi naye bwetuzigatta tufuna ekyenkomerero nti baasindikirwa olubwatuka awamu nemusisi, nga bwebiri mu Aya zino: 7: 77 – 79, 11: 6, 41: 17.

([12]) 7: 91 – 93.

([13]) 43: 45.

([14]) 37: 79, 109, 120, 130, 181.

([15]) Kitaab haqul yaqeen, ekya Sayyid Abdullah Shubbar: Juzu 2, pg.73.

([16]) –Swahiihul Bkhar: Juzu 5, baab qatil Abi Jahal, pg. 76, 77.

- Siirat Ibn Hisham: juzu 2, pg. 292.

([17]) Haqqul Yaqeen: ekya Abdullah Shubbar: Juzu 2, pg. 73.

([18]) Risaalatul Hadiyyat saniyyah: pg. 162, prin Alminaar mu Misir.

([19]) Wafa-ul wafa: Juzu 2, pg. 1371.

([20]) Wafa-ul wafa: Juzu 2, pg. 1371.

([21]) 4: 64.

([22]) Wafa-ul wafa: Juzu 4, pg. 1361.

([23]) Wafa-ul wafa: Juzu 4, pg. 1380.

([24]) Wafa-ul wafa: Juzu 4, pg. 1380.

([25]) Wafa-ul wafa: Juzu 4, pg. 1380.

([26]) 5: 35.

Index