Mazima okwesinza katonda omu yekka – awatali kwesinza kintu kirala oba okukigatta kukatonda – yeyali empagi oba omusingi mumulimo gwabaNabbi bonna ogwokukoowoola abantu. Era okwawula katonda nokukutula emiguwa gyashirik gwegwaali omusingi mumateeka agomuggulu nokuviiraddala muntandikwa yobubaka bwabaNabbi bonna. Kale nekibeera nti ekyagendererwa mukutuma baNabbi, kwekukowoola abantu okudda eri okwesinza katonda nokulwanyisa shirik.
Qur’an eyekitiibwa eraza kunsonga eno nga egamba:
1- “Mazima twatuma okuva mubuli kibiina omubaka (agambe abantu nti) mwesinze katonda era mwewale amasanamu”.([1])
2- “Tetwaatumayo mubaka yenna luberyeberyerwo okujjako nga tumussaako: Mazima teri mulala yesinzibwa okujjako nze, kale munnesinze”.([2])
Mazima Qur’an eyekitiibwa yatwaala okwesinza katonda nga kubuna mumateeka gonna agaava muggulu nga bwegamba:
“Bagambe: abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mujje eri ekigambo ekyenkamunkamu wakati waaffe nammwe (okubeera nga) tetwesinza okujjako katonda era nga tetumugattako kintu kyonna”.([3])
Mazima okwawula katonda mukwesinza, nsonga nkulu era nkakafu eri abasiramu bonna era teri kibiina kyonna kyawukana kunsonga eyo mubibiina byonna ebyobusiramu.
Ekibiina “Mu-utazila” bwekiba nga kyawukana – okusinziira kukulaba kwaakyo – kukwawula katonda mubikolwa, nekibiina “Asha-era” nga nakyo kyawukana mukwawula katonda mubitendo, tekigaana kubeera nga begattira wamu nebibiina ebirala ebyobusiramu mukwawula katonda mukwesinza era teri yenna awakanya, wadde nga waliwo enjawukana entonotono mubamu abatwaala ebimu mubikolwa nti kwesinza nga ate abamu babiraba nga kugulumiza nakuwa kitiibwa soosi kirala.
Mpozzi mukwongera okwanjuluzaamu: okwawukana kuli munkola yamirimo abawahaab gyebatwaala nti kwesinza, nga ate abasiramu bonna – munsi yonna – tebalina webagyirabira nti kwesinza.
Nolwekyo ekyeetagisa kwekunyonyola amakulu agali mukigambo “Ibaada” mululimi nokusinziira kuQur’an eyekitiibwa, olwo nno tutegeere ebikolwa Ibaada mwebeera nemwetebeera.
Mazima amakulu gekigambo “Ibaada” nokutegeerekeka kwaakyo kweyolefu bulungi nyo mululimi oluwarabu. Wadde nga tetusobodde kukozesa kigambo kimu mukukinyonyola, kyo kifaananako nga eggulu nensi mubweyolefu bwaabyo nokutegeerekeka kwaabyo, newankubadde nga bangi muffe tebasobola kukinyonyola, tekibagaana kukitegeera nga entegeera gyebategeeramu eggulu nensi mubwongo bwaabwe.
Ebigambo: “Okwesinza”, “Okugulumiza”, “Okuwa ekitiibwa” zonna njogera zitegeerekeka era enjawulo wakati waazo etegeerekeka era nyangu.
Omuntu bwaabeera nemukwaanogwe, amwagala era omusanga anywegera ekisenge kyenyumbaye, nawunyiza kubyambalobye, namuteeka mukifubakye era osanga wadde nga aba afudde, anyweegera entaanaye…
Naye awamu neebyo byonna teri ayinza kugamba nti omuntu oyo yesinzizza mukwaanogwe.
Era nga bwekiri nti abantu okugenda okulaba emibiri egyaabaafa n’egikazibwa – emibiri egyabeebitiibwa munsi – naabo abagenda ne balaba obuwufu bwaabwe namayumba gaabwe gebaawanga-lirangamu, ebyo byonna teri abitwaala nti kwesiinza wadde okwagala kwaabwe kubeera nga okwagala kwabakkiriza kwebalina kukatonda waabwe.
Sibuli omu nti asobola okutegeera enjawulo wakati wokuwa ekitiibwa nokwesinza.
Owange ggwe omusomi owekitiibwa: bwetuba tunyonyodde ekigambo “Ibaada” mululimi, kibeera nenyinyonyola zamirundi esatu naye nga zonna ziwa amakulu geegamu.
Abawahaabi baalondako enyinyonyola zamirundi ebiri era nebazesigamirako awamu nokubeera nga zakitundu sinzijuvu, era zezino:
i- Ibaada: okugonda nokukakkana.
Okusinziira kubitabo byolulimi, ekigambo Ibaada, kitegeeza okugonda nokukakkana([4]) naye okunyonyola okwo tekuwa makulu genyini agali mukigambo ekyo, olwabino ebijja:
(a) Ibaada bwekiba kitegeeza kugonda nakukakkana, kiba kiraga nti teri muntu ayawula katonda, kubanga omuntu – mubutondebwe – agondera buli amuli waggulu, nga omusomi bwagondera omusomesawe nomwaana bwagondera omuzaddewe nowomukwaano eri mukwaanogwe.
(b) Qur’an eyekitiibwa eragira omuntu okubeera nga abeera mukakkamu eri abazaddebe, nga bwegamba:
“Era bakakkanyize ebiwawatiro ebyokusasira, era ogambe nti Ai omulezi, basaasire nga bwebandera mubuto”.([5])
Kale nno okugonda nokukakkana bwebiba nga bitegeeza kwesinza oyo gw’oba ogondedde, ekyo kiba kiraga nti omuntu bwagondera abazaddebe, aba akaafuwadde nga oyo aba abajjemedde bwaabeera omukkiriza era ayawudde katonda.
ii- Ibaada: okugonda okusembayo.
Abamu mubavvuunuzi, bwebaamala okuzuula obukendeevu obuli mukunyonyola ekigambo Ibaada mubitabo byolulimi, baagezaako okuziba obukendeevu obwo, nebagamba:
“Ibaada: kwekugonda okusemberayoddala mumaaso g’oyo gwolaba nga wakitiibwa era mujjuvu”.
Naye ate okunyonyola okwo nakwo kwegatta nokunyonyola okusoose mubukendeevu, olwensonga:
(a) katonda owekitiibwa alagira baMalaika okuvunnamira Adam nga bwagamba:
“Jukira wetwagambira Bamalaika nti muvunnamire Adam, nebavunnama okujjako Ibliis”.([6])
Mazima okuvunnama kwekugonda okusembayo nokukakkana kulw’oyo gwovunnamidde. Kale amakulu ga Ibaada bwegaba nga geego, tuba tukakasa obukaafiiri kubamalaika abaatukiriza ekiragiro kyakatonda nobukkiriza bwa Sitaani eyagaana okutuukiriza ekiragiro kyakatonda.
(b) Baganda bayusuf nabazadde baabwe bonna baavunnamira Yusuf nga katonda bwagamba:
“Era bakka nebamuvunnamira, n’agamba: owange, taaka wange, ago gemakulu gekirooto kyange, mazima katonda akifudde ekyamazima”.([7])
Nekirooto Yusufu kyeyayogerako mu Aya, kyekigambo kyakatonda owekitiibwa:
“...Mukiseera Yusufu weyagambira taatawe nti owange taata, mazima ndabye munyeenye kumi n’emu, nenjuba, n’omweezi, mbirabye nga binvunnamira”.([8])
(c) Abasiramu bonna, olwokugoberera omubaka wakatonda (s.a.w) banywegera ejjinja eriddugavu eriri munsonda yakaaba eyekitiibwa era nebalifunako omukisa nga ab’esinza amasanamu nabo bwebakola amasanamu gaabwe naye tulamula enkola yaabwe eyo nga shirik ate enkola yabasiramu netugiramula nga kwawula katonda okutuufu.
Nolwekyo, amakulu ga Ibaada sikwekugonda okusembayo nokukakkana wadde nga biri mumpagi zokwesinza (Ibaada).
Kale, kiba kyetagisa tugambe nti amakulu ga Ibaada kwekugonda nokukakkana okuli awamu nokukakasa okweyawulidde. Ibaada eva mumpagi bbiri:
1- Okugonda nokukakkana.
2- Okukakasa okweyawulidde.
Era okwo okukakasa okweyawulidde, kwekulaga okuyimirira kwomuntu, kale okugonda – kakubeere nga kutono – bwekuba nga kubadde wamu nokukakasa okweyawulidde, olwo omulimo gubeera Ibaada, naye bwekitabeera bwekityo tegubeera Ibaada.
Mukiseera kino, oluvanyuma olwokukakasa obukyaamu bwenyinyonyola ebbiri abawahaab zebesigamirako, obunafu bwaazo nebweyoleka, nobukendeevu, katunyonyole enyinyonyola za Ibaada essatu. Katumale okwebuuza, “okukakasa okweyawulidde kwekuliwa okwo okwawula Ibaada kumulimo omulala?
Okwanukula kwekibuuzo ekyo, kujja kweyolekera mukunyonyola ekigambo Ibaada munyinyonyola essatu ezijja:
“Ibaada”, kitegeeza okugonda mukukola oba mubigambo okusibuka munzikiriza yomuntu – okukkiriza katonda. Amakulu nti: “Ibaada”, gy’emirimo nebigambo ebisibuka kunzikiriza yomuntu – okukkiriza obwakatonda era awatali kukakasa nakukkiriza katonda, Ibaada tesobola kutuuka. Era kyova olaba nga Qur’an eyekitiibwa buli lweragira okwesiinza katonda, yesembesa mangu okugamba: teri yesinzibwa ataliyye. Nga bwagamba: “Abange mwe abantu, musinze katonda, mubadde mutya, n’ebyo ebitali katonda?”([9])
Mazima Aya eyo esangibwa mu Qur’an mubifo mwenda oba okusoba, kale osobola – owange gwe omusomi – okutunulako mussula: 7: 65, 73, 85, ne mussuula: 11: 50, 61, 84 nemussuula: 21: 25 nemussuula: 23: 23, 32 ne mussuula: 20: 14.
Mazima Aya ezo zonna ziraga nti okesinza (Ibaada) kwekugonda nokukakkana okusibuka kukukkiririza mukatonda oba mubwakatonda – amakulu nti: bwogondera ekintu kyonna, oba okukigulumiza oba okukiwa ekitiibwa naye nga tokikakasizza nti katonda, tobalibwa nti okyesinzizza.
Ne Aya endala eziraga kw’ekyo kyetuliko: katonda agamba:
“Mazima bbo baali nga bwebaba bagambiddwa nti teri mulala yesinzibwa okujjako katonda, nga bekuluntaza”.([10])
Lwaaki baali bekuluntaza?, kubanga bakkiririza mubirala ebitali katonda era nebabyesinza.
Era agamba Allah:
“Oba balina omulala atali katonda, katonda ayawukana kw’ebyo byebamugattako”.([11])
Qru’an etwaala abantu abo nga bagatta kukatonda ebintu ebirala (mushirikiin) kubanga obwakatonda babukakasiza mubirala ebitali katonda (Allah) owekitiibwa.
Era agamba:
“Abo abagatta kukatonda ebintu ebirala, kyaddaaki bajja kumanya”.([12])
“N’abo abatasaba awamu nekatonda bakatonda abalala ...”([13])
Nemweebyo ebiraga nti bamushirikiin okusaba kwaabwe kwaali kulimu okukakasa nti amasanamu gaabwe g’egaali bakatonda baabwe, zezi Aya zino:
“Baafuula ebirala ebitali Allah okubeera bakatonda olw’okwagala okubasembeza ewakatonda”.([14])
“Abaffe mazima mwe mukakasa nti waliwo bakatonda abali awamu ne Allah?”([15])
“Mukiseera awo Ibrahim weyagambira taatawe – Azar – nti ofuula amasanamu bakatonda”.([16])
Mubutuufu, bwetwetegereza Aya ezogera kushirik waabo abesinzanga amasanamu, tukiraba bulungi nti okugatta kukatonda kwabantu abo, baabeerangamu okukakasa nti amasanamu gaabwe gaalinga bakatonda babwe, nti era masanamu ago bebakatonda abatono era katonda yabawaako obuyinza obumu. Kale go amasanamu bitonde era gesinzibwa, era kyova olaba nti baagaananga okukkiriza okukoowoola kwatauheed. Qura’n egamba:
“Lwakuba nti mmwe katonda bwakowoolebwe yekka, mugaana ate bw’aba agatibbwaako mukkiriza, nolwekyo. Katonda y’agenda okulamula owawaggulu owekitiibwa”.([17])
Ebyo byonna, awamu n’omuvuunuzi owekitiibwa, omugenzi Ayatllah Shaikh Muhamad Jawaad AlBalaghe alina enyinyonnyola ennungi eyekigambo “Ibaada” mutafsiir “Alaa-e Rrahman”, agamba:
“Ibaada: Oyo gwebalaba nga aleetera omuntu okugonda, era nga agonda amufuula katonda asobole okumutukiririza – nokugonda okwo – neky’alaba nga kyekyeyawulidde kw’oyo eyesinzibwa”.
Mazima omugenzi Balaghe, okusinziira kundowoozaye eva kukumanya yanyonyola ekigambo Ibaada mubutuufu bwaakyo era engeri gyeyakinyonyolamu ekwaatagana bulungi nnyo ne Aya za Qura’n.
Ibaada: kwekugondera oyo gw’otwaala nga y’emulezi, oba tusobola okuleeta enyinyonnyola endala: kwekugonda mumirimo oba mubigambo eri oyo akakasibwa obulezibwe. Kale obuddu bukwaatagana nabulezi. Omuntu bweyeekakasa nga muddu eri oyo gwakakasa nti y’emulezi – k’abeere nga wamazima oba nedda – n’amugondera nga alina enzikiriza eyo, aba amwesinzizza.
Era mu Qur’an mulimu Aya ezitulaga nga okwesinza kiri munsoonga zabulezi, era ezimu kuzo zezino:
“Era Masih yagamba: abange mmwe abaana ba Israel, musinze katonda, omulezi wange era omulezi wammwe”.([18])
“Mazima katonda y’omulezi wange era yomulezi wammwe, kale mumwesinze. Eryo lyekkubo eggolokofu”.([19])
Ne Aya endala gyeziri ezitwaala okwesinza nga kuli munsoonga zamutonzi, nga katonda bwagamba:
“Oyo katonda yomulezi wammwe, teri katonda okujjako yye omutonzi owabuli kintu, kale mumwesinze”.([20])
Ekigambo “Rabbu” – omulezi – kitegeezaki?
Mululimi oluwarabu, ekigambo omulezi kyesigamizibwa kw’oyo alina obuvunanyizibwa kukintu kyonna era nga obuddiro bwekintu ekyo buli mumikonogye. Ekigambo ekyo, kiteekebwa kunanyini maka kubanga ya’galabirira era yagalinako obuvunanyizibwa, era nga bwekiri kunanyini ngamiya, ayonsa omwaana, omulimi nabalala.
Naffe, katonda tumutwaala nga y’omulezi, kubanga ensonga zaffe zonna nobuddiro bwaffe biri mumikonogye – nga okufa, obulamu, okugabirirwa, emiremirembe, amateeka okusonyiwa nokusaasira nebirala bingi biri mumikonogye (s.w).
Kale nno omuntu yenna bwakakasa nti ekimu kubintu ebyo – oba byonna – katonda yabikyuusa Nabbikwaasa omuntu omulala, enzikiriza eyo etegeeza nti omuntu oyo atwaalibwa nga mulezi era nokukkiririza mumulezi oyo nokumugondera kiraga kumwesinza.
Nenjogera endala: okusinza kusibuka mungeri yamuntu gyeyewuliramu nti muddu. Obukakafu bwobuddu buno, y’emuntu okwewulira yye kenyini era neyebala nti afugibwa, ate oyo amuli waggulu amufuga – okubeerawookwe, okufa, obulamu, okugabi-rirwa... – mungeri eyokumusonyiwa,([21]) okumuwolereza,([22]) okuteekawo amateeka nebyaalalikibwa.([23]) kale n’olwebyo byonna, nekibeera nga kiraga nti afudde mukamaawe, omuleziwe era buli kuwulira kw’aba awulidde mumutimagwe, n’akwolesa nga ayita mumulimo oba mukigambo eri mukamaawe, tewali kubuusabuusa, aba yesinzizza mukamaawe oyo gweyafuula omulezi.
Wano, kisoboka okubeera nga tunyonyola ekigambo “Ibaada” mungeri endala eyokusatu mubufunze:
“Ibaada: kugonda mumaaso g’oyo gwetutwaala nga yekatonda era nga yensibuko yemirimo gyobwakatonda”.
Tewali kubuusabuusa, emirimo egyikwaatagana nensi nokubeerawo – nga okuteekateeka ensonga ezensi, okuwa obulamu, okutta, okwanjuluza rizik nokugabirira ebitonde, nokusonyiwa ebyonoono – byeyawulidde ku Allah (s.a) yekka.
Naawe singa wetegereza obulungi Aya zaQur’an – ezogera kw’ebyo byetwogedde emabega,([24]) olabiraddala nga Qur’an essa essira eryamaanyi kukukakasa nti emirimo egyo gyeyawulidde kukatonda yekka, tegirina wegyikwaataganira namulala atali Allah (s.a).
Mpozzi nemungeri endala, tukimanyi bulungi nti engeri katonda gyatondamu nteeketeeke bulungi nyo era teri kiyinza kugwaawo munsi okujjako nga kiyita mumitendera nemunsoonga, naye nga ebyo byonna bidda wa Allah owekitiibwa. Era Qur’an eyekitiibwa eraza kunsoonga eyo:
“Y’oyo awa obulamu era natta, era nokukyuusakyuusa ekiro nemisana kiri mumikonogye”.([25])
Era katonda agamba mu Aya endala nti mubamalayika mulimu abalina obuvunanyizibwa obwokukwaata emy’oyo:
“Okutuusa okufa bwekutuukira omu mummwe, ababaka baffe nebabatta”.([26])
Okusinziira kw’ebyo..., kisoboka okugatta wakati wa Aya ezo zombiriri, era netugamba: mazima omukozi webintu byonna era abirinako obuyinza yye katonda owekitiibwa.
Mpozzi, nemunjogera endala: mazima ekikolwa kyabuli omu kw’abo bombiriri, tekiri nti buli omu kimuvaamu kululwe yekka, wabula katonda, nga yye, yetongodde mukukolakwe buli kyonna ky’aba ayagadde, naye Bamalayika n’abalala bakola kusinziira kubuyinza bwakatonda (s.w). Ensonga eyo, eri emu kunsonga enkulu muQur’an nga bweyayogerwaako mu Aya ezogera kubikolwa byakatonda omugulumivu.
Singa omuntu yenna akakasa nti katonda yaddira ebikolwaabye – nga okugabirira, okuwa obulamu n’ebirala – nabyikwaasa ebimu kubitondebye – nga Bamalayika neba – Awliya – era nga okutambula kwensi kuli mumikono gy’abyo nensonga zaayo zonna, era nga katonda tabyeyingizaamu, olwo nno okukakasa okwo nekumuleetera (omuntu) okubigondera (ebitonde), tewabeera kubuusabuusa okugondakwe okwo kubeera Ibaada, nomulimogwe ogwo, gubeera Shirik (kugatta kukatonda owekitiibwa).
Amakulu nti: omuntu bwakakasa nti obuyinza bwonna obwensonga zonna katonda yabukwaasa Bamalayika n’abagalwaabe era nti ebikolwa byaabwe babikola kulwaabwe awatali buyinza bwakatonda, omuntu oyo – nanyini kukakasa ebyo byonna – aba agasse kukatonda ekintu ekirala era okukakasaakwe okwo kubeera Shirik era tawassul nokugonda – ebisibuka kukukakasa okwo – bibeera Ibadda, nga Qur’an bwegamba:
“Era nemubantu Mulimu abaddira ebitali katonda nebabifuula bakatonda, nga babyagala nga bwebaagala katonda”.([27])
Mubutuufu, teri kitonde mubitonda byonna kisobola kubeera nga katonda okujjako nga kisobola okwetaaya munsi n’okwagala kw’akyo okweyawulidde awatali kwagala kwakatonda owekitiibwa. Naye nga ate teri kitonde kyonna kiyinza kubeera bwekityo, wabula buli kitonde kyonna kiri wansi wakwaagala kwakatonda – kyagala oba tekyagala – era kikola okusinziira kukwagala kwakatonda owekitiibwa.
Mpozzi era jukira nti bamushirikiin baali bakakasa nti amasanamu gaabwe gebeesinzanga galina obwetwaaze obwokwetaaya munsi nemunsonga ezobwakatonda. Neddaala eryali lisembayo eryashirik – mumulembe ogwobutamanya – kwekukakasa nti abasosodooti nebakabona beddiini abalala mubo, baali balina okwetaaya okwoku-teekawo amateeka muddini nga bwebaba balabye. Allah agamba:
“Baddira abamanyi baabwe (mubayahuud) nebakabona beddiini baabwe (mubanaswaara) nebabafuula abesinzibwa mukifo kyakatonda”.([28])
Era baali bakakasa nti okuwolereza nokusonyiwa – ebyeyawulidde kukatonda yekka – byaweebwa eri amasanamu gaabwe era gegalina obuyinza obujjuvu mubyo. Kale kyova olaba nga Aya zaQur’an ezogera kukuwolereza zajja nga zisimba essira era nga zikakasa nti okuwolereza kweyawulidde kukatonda yekka nga bwagamba:
“Ani ayinza okuwolereza awali katonda okujjako nga amaze kumukkiriza”.([29])
Singa bamushirikiin baali bakakasa nti byebesinza birina okuwolereza kulwobuyinza bwakatonda, Qur’an yalibadde tejja nakugaana kuwolereza katonda kwatamaze kukkiriza.
Abamu mubayunaan, abakenkufu mukulowooza, baali baakifuna – mundowooza zaabwe – nti bakatonda bawerako. Era nga balwowooza nti buli kintu kirina katonda eyeyawulidde. Nga bagamba nti enkuba erina katonda, amalimiro, omuntu, nabuli kimu bwekityo. Era nga balowooza nti bakatonda abo bonna baaweebwa obuyinza munsi okukola nga bwebaba baagadde.
Mumulembe ogw’obutamanya, abawarabu abamu baali b’esinza zimalayika nemunnyenye ezitatambula n’ezitambula, nga balowooza nti byaweebwa obuyinza obutaliiko kikomo era byisobola okukola kyebiba byagadde. Era baali bakakasa nti katonda buli kyonna yakyeyambula.
Katonda wakitiibwa nyo era yayawukana n’okukola ebikolwa ebifananako nga ekyo.([30])
Nolwekyo, buli ngeri yonna omuntu gy’aba yewombekeddemu malayika nemunnyenye etwalibwa nga Ibaada kubanga aba agoberera enzikiriza enkyaamu nokukakasa okutali kutuufu.
N’abamu mubawarabu mumulembe ogwobutamanya, baali tebakakasa nti amasanamu gebebajjira mumiti, n’amayinja bakatonda oba nti gegabatonda oba okugamba nti galina kyegalabirira, wabula baali balina endowooza nti galina obusobozi nobuyinza okubeera nga gagenda kubawolereza, era baalinga bagamba: Abo, bebawolereza baffe ewakatonda.([31])
Kale, okusinziira kukifananyi ekifu kyebaalina, besinzanga amasanamu nga balowooza nti gabasembeza ewakatonda era nga bagamba:
“Tetubesinza okujjako twagala batusembeze ewakatonda”.([32])
Nokukomekkereza kwabyonna: omulimo gwonna ogukolebwa nga guvudde kunziriza eyo nekukukakasa olwo, gubeera Ibaada (kwesinza) ate nomulimo ogukoleddwa nga teguvudde kukukakasa okwo, tegubeera Ibaada wadde Shirik. Era omuntu bweyewombeeka mumaaso gomuntu omulala gw’awa ekitiibwa oba gwagulumiza awatali kubeera nanzikiriza eyo, tetuyinza kugamba nti akoze Shirik oba Ibaada, k’abeere nga omulimo gwakoze guli haraam.
Ekyokulabirako: owomukwaano bwavunnamira mukwaanogwe aba tamwesinzizza era tetugamba nti akoze Ibaada, oba afugibwa okuvunnamira amufuga oba omukazi okuvunnamira bba, awamu nokubeera nga kiri haraam mumateeka gobusiramu kubanga okuvunnama kweyawulidde kukatonda yekka era tekisaana kuvunnamira kintu kirala kyonna – kakubeere nga kwakungulu okutaliimu nzikiriza – okujjako nga katonda y’alagidde.
Oluvanyuma olwokugezaako okwanjuluza obukakafu bwekigambo “Ibaada”, kyetaagisa okunyonyola – mubufunze – ebivudde mukunonyerezakwaffe, era tugamba: Singa omuntu agondera abalala era n’abewombekera awatali kutwaala omu mubo nti katonda oba mulezi oba nti ebikolwa byakatonda bisibuka kuye, wabula nga abagulumiza olwokuba:
“Baddu babitiibwa, tebamukulembeza kigambo wabula bakola kusinziira kukiragirokye”.([33])
Kubanga omulimogwe ogwo sikintu kirala okujjako okugulumiza n’okuwa ekitiibwa, kale ebyo tebirina nkwatagana na Ibaada.
Mazima katonda owekitiibwa, alina abamu mubaddube beyayogerako enjogera ennungi eyokubawaana nga esikiriza buli omu okubeera nga abagulumiza nokubawa ekitiibwa... nga katonda bwagamba:
“Mazima katonda yalonda Adam, ne Nooh, n’abantu ba Ibrahim, n’abantu ba Imran okuva mubantu bonna”.([34])
Era nga Qur’an bweyongera negamba nti katonda yalonda Ibrahim n’amuwa obukulembeze:
“Yagamba: nze nkufudde omukulembeze wabantu”([35])
Katonda yanyonyola muQur’an buli Nabbi – nga Nooh, Ibrahim, Dauda, Sulaiman, Musa, Isa, ne Muhamad(s.a.w) – era n’abogerako bulungi, nabatenda n’ebitendo ebyawaggulu, nga buli kitendo ekimu kulwaakyo, kimala okusika emitima gyabontu nokufuna okubaagala mumitima.
Era ky’ova olaba nga Qur’an erangirira obulungi bwabantu baNabbi Muhamad (s.a.w):
“Mazima katonda ayagala okubajjako obukyaafu (mmwe) abantu abomunyumba (yaNabbi) era abatukuze olutukuza”.([36])
Ayongera n’abogerako:
“Bagambe: Sirina mpeera gyembasaba (kumulimo ogwa tabligh) okujjako okwagala ab’olulyo lwange”.([37])
Era agamba mubo:
“Era baliisa emmere awamu nokujaagala, masikiin, nemulekwa, nomuwambe, naye tubaliisa kulwakatonda, tetulina mpeera gyetubaagalamu wadde okwebaza, muzima ffe tutya okuva eri omulezi waffe olunaku ebyeenyi lwebigenda okusiba emitaafu. (Nolwekyo) katonda ajja kubawonya obubi bwolunaku olwo era abasisinkane nessanyu nokubasanyusa era nempeera y’abwe, olwokugumiikiriza, egenda kubeera Jana nebyambalo bya Silik…”.([38]) Ne Aya endala nyinji.
Singa abantu baagulumiza abaagalwa bakatonda nga bwekisaana, era nebabawa ekitiibwa – mubulamu bwaabwe oba oluvanyuma olwokufa kwaabwe – awatali kubayita bakatonda oba ensibuko yebikolwa byakatonda eyeyawulidde, teyalibaddeyo yenna agamba nti okwo kubesinza oba okugamba omuntu nti mushirik, wabula balibadde bagambabugambi nti bagulumiza ab’agalwa bakatonda era babafuula nga kyakulabirako ekirungi gyebali era nebasigala nga babajjukira buli kiseera.
Mazima okugulumiza abagalwa bakatonda, kubeera kugulumiza bubonero bwakatonda – nga bwekyayogerwaako emabega – kubanga obusiramu bugulumiza obubonero bwakatonda.
Nabbi owekitiibwa, Muhamad (s.a.w) yali ayimiriranga awali ejjinja eriddugavu, nalinywegera awamu nokubeera nga amanyi nti sikirala wabula jjinja.
Kale naffe bwetutyo tugoberera Nabbi oyo owekitiibwa, tunyweegera ejjinja eriddugavu, netwetoloola kaaba (enyumba yakatonda), - etali kirala nyo okujjako ettaka n’amayinja – netudduka wakati wa “Swafa” ne “Mariwa” – era nga nazo nsozi busozi. Amakulu nti tukoleraddala nga abesinzanga amasanamu bwebaagakolanga, naye tekijjirangako n’omu mubwongobwe nti twesinza ttaka namayinja ... lwaaki? Lwakubanga amayinja, go kulwaago, tegakosa era tegagasa, naye singa emikolo egyo tujikola nga tulina okukakasa nenzikiriza nti amayinja aga nensozi byebitwaalibwa nga ye katonda era nga yensibuko yobuwufubwe twalibadde tufuuka – mukiseera ekyo – abamu kw’abo abesinza amasanamu.
Kale okusinziira kw’ebyo, okunywegera omukono gwaNabbi oba ogwa Imam oba ogwomusomesa oba ogw’omu kubazadde, era nabwekityo okunywegera Qur’an eyekitiibwa nebitabo ebyeddiini – nga Nahjul balagh – nokunywegera entaana, nabuli ekikwaatagana kubaddu bakatonda abalongoofu, tekulina mutawaana gwonna wabula kubeera kugulumiza nakuwa kitiibwa. Ate okugulumiza okufaanana bwekutyo kubeera nga kugulumiza katonda owekitiibwa.
Qur’an eyekitiibwa, enyonyola kukuvunnama kwabamalayika engeri gyebaavunnamiramu Adam(a.s), nokuvunnama kwabaganda ba Yusuf kwebaamuvunnamiramu, naye tebeerangayo n’omu gwekyajjira mubwongo nti okwo kwaali kwesinza Adam oba Yusufu(a.s), kubanga abo abaavunnamira Adam ne Yusuf, teri mubo yatwaala Adam ne Yusuf nti bakatonda oba okubobeeramu nenzikiriza eyobulezi oba okubatwaala nti nsibuko yabikolwa byakatonda, wabula kwaali (okuvunnama) kugulumiza nakuwa kitiibwa Sossi Ibaada – nga bwekimanyiddwa.
Mazima Abawahaab bwebatuuka ku Aya zaQur’an nga ezo, obalaba nga b’efuula abanonyereza enyo olwokwagala okufuna byebekwaasa, nga olwo bagamba: okuvunnama okwo tekutwaalibwa nga Ibaada kubanga kyaali kiragiro kyakatonda.
Tubaddamu nga tugamba: kituufu, okuvunnama kwabamalayika nokuvunnama kwabaganada by Yusufu, kwaali kulagira kwakatonda oba kusiimakwe, wabula abawahaab kyeberabira kwekubeera nga obukakafu bwomulimo nabwo, tebwaali Ibaada, era yensonga lwaaki katonda yabalagira. Singa okuvunnama okwo kwaali kulaga kwesinza oyo gwebaavunnamira, katonda yalibadde takulagira kubanga ekiragiro tekijja Ibaada kubukakafu bwaayo era tekufuula shirik kubeera tawheed. Allah agamba:
“Bagambe: mazima katonda talagira bibi, mwogera kukatonda byemutamanyi?”.
Nemubufunze: Mazima omulimo gulina kubeera nga teguliimu kwesinza okuviiraddala muntadikwa oluberyeberye lwekiragiro okuva ewa katonda, kubanga tekisoboka mulimo kubeera nga gulimu okwesinza, ate ekiragiro bwekimala okujja nekigujja kubukakafu bwaagwo.
Mazima okwekwaasa Abawahaab kwebalina – n’okwo kwetuwulira okuva kubamasheikh baabwe muMakka nemu Madiina – kulaga butabeera nakumanya kwaQur’an, nobutamanya nti Ibaada (okwesiinza) erina obukakafu bwaayo obweyawulidde, nokubeera nga katonda alagira omuntu okwesinza ebiseera ebimu, ate ebimu, namuziyiza, nga esswala n’okusiiba, kubanga katonda yalagira abakakasibwaako okubeera nga basaala era basiiba, naye ate n’aziyiza omukazi ebbanga ly’amala nga ali munsoongaze ezabuli mweezi, oba okuziyiza okusiiba olunaku lwa Idil Fitir ne Idil Adhuha eri abantu boona.
Nolwekyo, bwekubeera nga okuvunnama kwabamalayika kwebaavunnamiramu Adam nebaganda ba Yusufu nabazaddebe engeri gyebaamuvunnamiramu, nga kwaali kubesinza, ekiragiro tekikujja kubukakafu bwa Ibaada, kale tulina kubeera nga tugamba nti enzikiriza yomuntu – okukkiririza mukintu nti katonda – yefuuka ensoonga okuziyiza ekikolwa oba okukifuula Ibaada oba okukakasa nti gwewewombekkera yensibuko yebikolwa byakatonda owekitiibwa.
Owange ggwe omusomi owekitiibwa, olina okukimanya nti okujjawo enjawukana – eziri wakati wabasiramu nabawahaab munsonga eziwerako – kuyimiridde kukutegeera makulu gakigambo “Ibaada”, Era awatali kunyonyola makulu gakigambo ekyo, nakwegatta mukukitegeera wakati wenjuyi zombiriri, tuba tetulaba mugaso gwakunonyereza kwaffe.
Kale nno, kikakata kubuli omu ayagala okunonyereza, okulaba nga afuba nga bwekisoboka ategeere amakulu ga Ibaada, Sossikugendera kumakulu getugenda tusanga mubitabo ebyennimi kubanga birimu obukendeevu mukwanjuluza nokunyonyola amakulu genyini agagendererwa.
Mpozzi, obuddiro bwaffe munsonga eyo – namubuli nsonga – ye Qur’an eyekitiibwa.
Ekyokusaalirwa, kwekusanga abawandiisi bonna nabakubi bebitabo mubawahaab, nga baawanvuya nyo okunonyereza kunsonga endala nebatafaayo kukubeera nga banyonyola ekigambo Ibaada nekikomo ky’akyo.
Abawahaab bagamba: Mazima emirimo mingi – mmwe abasiramu – gyemukola kuludda lwa Nabbi neba Imam mubantu benyumbaye, (a.s) giraga kubesinza, ekibaleetera okubeera nga mukoze Shirik mukwesinza katonda owekitiibwa.
Kale kikakata kubasiramu okunyonyola ekigambo Ibaada nokukyanjuluza okumala era okumatiza balyoke beyambule okufu-mitibwa kwebigambo byabawahaab.
Abawahaab, batwaala ebimu abasiramu byebakola kumufu nti biraga kumwesinza.
Okugeza:
1- Okusaba katonda okuwolerezebwa nga tuyita muNabbi nabalongoofu abakozi bemirimo emirungi.
2- Okusaba katonda okuwonyezebwa nga tuyita mubagalwa bakatonda.
3- Okusaba katonda okutumalira ebyetaago byaffe nga tuyita mubakulembeze beddiini.
4- Okuwa omuntu ali muntaana ekitiibwa nokumugulumiza.
5- Okusaba katonda obuyambi nga tuyita muNabbi n’abalala.
Bbo, bagamba, nti okuwolereza kikolwa mubikolwa byakatonda, n’okuwonya nakwo bwekutyo kuva eri yye. Kale okusaba ekimu kubyo okuva mumulala, kiraga kumwesinza.
Ffe, - mubufunze – tujja kunonyereza kubikwaatagana kubikolwa byakatonda n’amakulu gaabyo, olwo ensonga eryoke ennyonyoke obulungi.
Oyo awolereza oba awonya, bwabeera nga abikola nabuso-bozibwe nga yye, n’okwagalakwe okweyawulidde, awatali kufuna bukakafu bwakuwolereza kuva kumulala, era n’awatali kwesigamira kumaanyi agamuli waggulu, ekyo, kibeera mubikolwa byakatonda ebyeyawulidde kuye yekka. Era okusaba okuwolerezebwa okuva mumulala yenna – awamu nokubeera nenzikiriza eyo – kiraga kukkiriza nti yekatonda era y’emulezi.
Naye okusaba okuwolerezebwa nokuwonyezebwa bwekuba nga tekuliimu nzikiriza eyo – nga omuntu asaba okuwolerezebwa amanyi nga gw’asaba talina ky’ali wabula muddu wakatonda era nga buli ky’akola akikola kulwakuyambibwa nabusobozi bwakatonda nakukkiri zibwa okuva eriyye – okusaba okwo tekubeeramu kukakasa bwakatonda nabulezi bw’oyo gw’asaba era tekubeera kusaba kikolwa kyakatonda kuva mw’oyo atali katonda.
Qur’an egamba okuva kululimi lwa Isa (a.s):
“... Era mponya bamuzibe n’abalwadde bebigenge era nenzuukiza abafu kulw’obuyinza bwakatonda”.([39])
Era okunyonyola okwo kwenyini kwekujja kukusaba omu kubagalwa bakatonda okubeera nga amala ekyetaago n’okumusaba obuyambi.
Okusaba okumala ekyetaago kulimu ebifaananyi bibiri:
1- Okusaba okuva eri omuddu – awamu n’okubeera nenzikiriza nti alina obusobozi obumala obweyawulidde – okwo kubeera kumwesinza.
2- Okusaba okuva eri omuddu – awamu nokukakasa nti sikirala wabula mwesinza wakatonda era gw’asaba obuyambi – okwo tekukwaatagana na Ibaada.
Okwanjuluza okwo, tekulaga bulazi njawulo wakati wa Ibaada Nabbirala kubikwaatagana kubikolwa ebyo, wabula kyekipimo ekibuna ekyaawula wakati wa Tawheed ne Shirik munsonga zonna.
Okukakasa nti Asprine akendeeza obulumi oba awonya kululwe awatali katonda kumuteekamu busobozi bwakuwonya, okwo kubeera kukakasa nti alimu abwakatonda nobutonzi, naye okukakasa nti asprine tasobola kuwonya okujjako awonya kulwakatonda, era talina kirala ky’asobola kukola okujjako okukendeedza obulumi ate nga era kulwabuyinza bwakatonda, mazima enzikiriza eyo eviiraddala kutawheed (kwawula katonda) kubanga teri wabuyinza nabusobozi okujjako katonda owekitiibwa.
Nolwensonga eyo, kyetuva tugamba nti okuggwaawo okwenjawukana kuyimiridde kukunyonyola makulu ga “Ibaada” n’okwawula Tawheed ku Shirik n’ebikolwa byakatonda kubirala n’okwawula obwakatonda kubuddu.
Twakyogerako emabega nti abawarabu abaali mumulembe ogwobutamanya baali balina okukakasa okukyaamu okwokubeera nga baali bakakasa nti amasanamu gegalina obuvunanyizibwa kukuta-mbuza ensonga zensi kulwaago, nti era gegalina nokubawolereza, nobuvunanyizibwa obulala bungi. Kale enzikiriza eyo yeyabafuula okubeera bamushirikiin (abagatta kukatonda ebintu ebirala).
Mpozzi, okwongera kw’ebyo, bw’oba oyagadde okunnyonyoka okusingako awo kunsonga eyo, oyinza okusoma:
1- Ma-alim tawheed fil Qur’anil kariim.
2- Attawheed waShirik fil Qur’anil kariim.
Byombi byatungibwa: Shaikh Ja-afar Subhane.
Oluvanyuma, bwenamala okukirongoosa nokunyonyola ekikomo kya Ibaada nayimirira kubigambo eby’omu kubamanyi abe Azihar eyekitiibwa: Al-Ustadh Shaikh Salamat ALQadha-e Al-Uzzame Ashafi-e, omutnuzi wa “Furqanul Qur’an baina swifatil khalqe waswifatil Akiwaan, yagamba:
[Katugende kumakulu gekigambo Ibaada mumateeka gobusiramu, era nkusaba eteekeyo nyo ebirowoozo kubanga ensobi erimu abawahaab gyebekwaasa nebayuwa omusaayi gwabantu abatabalika, nebalinyirira ebitiibwa byabantu, nebakutula engandaka zeyalagira okuyunga. Katonda atwewaze okuseerera nokukemebwa nokusi-ngiraddala okuli mukubuzibwabuzibwa”.
Kimanye nti bbo banyonyola ekigambo Ibaada nti kwekwe-wombekkeraddala okusembayo, nga ate amakulu ago, galulimi. Naye amakula ga Ibaada mumateeka g’obusiramu gawukanako kw’ago nga bwekyeyoleka mubigambo byamahaqiq Swabbar bweyali anonyereza kukigambo ekyo mumateeka g’obusiramu. Yagamba nti kwekwewombeeka n’okutya okusembayo okw’omutima awamu nokukakasa obutonzi n’obulezi bw’oyo eyewombekerwa, naye bwatabeera nanzikiriza eyo, okugondakwe okwokungulu tekubeera Ibaada mumateeka – okugonda kakubeere kwenkanawa mw’ekyo ekikoleddwa oba kakubeere kuvunnama.
Nokubeera nenzikiriza eyobwakatonda mukintu kyonna kifananko n’okubeera nenzikiriza eyokukosa kwekintu n’okugasa kwakyo okweyawulidde, nokukakasa nti kirina obuyinza obw’okukola ekintu kyonna okusinziira kukwagala kwakyo okweyawulidde wadde kuyita mukkubo lyakuwolereza omusinza eri omulezi asinga ekyo ekyesinzibwa.
Era obukaafiiri bw’abo abaagattanga kukatonda ebintu ebirala bwaava kukuvunnama kw’aabwe kwebaavunnamirangamu amasa-namu gaabwe, nokugasaba, n’okugonda okulala olwokalomolombo ak’okukakasa nti byebesinza bebakatonda baabwe.
Okuvunnamira ekintu ekitali katonda – awamu nokugonda okulala n’okwewombeeka – tekutwaalibwa nga Ibaada mumateeka g’obusiramu bwekuba nga tekuliimu nzikiriza eyo kubanga awo kubeera kujeema ate nobujeemu tebwawukana nakwawukana kwashariyai era katonda tayinza kubulagira.
Katonda agamba:
“Bagambe nti mazima katonda talagira bibi”.([40])
“Era tasiimirangako baddube bukaafiiri”.([41])
Era owulira katonda nga bweyagamba bamalayika:
“Muvunnamire Adam, nebavunnama okujjako Ibliis (stan) yeyagaana era neyeekuza”.([42]) negamb a: “Nze mmusinga”([43]) era negamba: “Nze nvunnamire oyo gwewatonda okuva muttaka”.([44])
Ekigambo kyebagamba nti Adam bwaali bwolekero, okukikkiriza kulimu obuzibu okusinziira kukutegeerekeka kwa Aya nga bwezi-saana okutegeerekeka.
Era bw’oba olowooza nti kyaali kw’oyo yekka, jukira nti Nabbi wakatonda, Yaqub nemukyaalawe, nabaanabe ekkumi n’omu, katonda yabogerako, n’agaamba:
“Era bakka nebamuvunnamira”([45]) amakulu: Yusufu (s.a.w) Alhaafidh Ibn kathiir yagamba – mukuvunnula Aya eyo:
“Amakulu nti abazaddebe baamuvunnamira, nebagandabe, era baali abasajja kumi n’omu. Era ekyo kyekyaali kisaana munzikiriza yaabwe, kubanga bwebaabuuzanga omukulu baamuvunnamiranga. Era bwekityo, bwekyaali kumulembe gwa Adam, okutuusa kugwa Isa (a.s), naye munzikiriza eno, nekibeera nga kyaganibwa, okuvunnama nekubeera nga kwayawulibwa nga kwakatonda yekka. Ago gemakulu gekigambo kya Qataadah n’abalala.
Nemu hadith:
“Mazima Ma-adh yagenda e Shami, n’abasanga nga bavunnamira abakulembeze baabwe, bweyamala okukomawo, yavunnamira Nabbi (s.a.w). Nabbi n’amugamba: kiki kyokola, owange ggwe Ma-adh? Naddamu n’agamba: Mbalabye nga bavunnamira abakulembeze baabwe naye nga ate gwe osaana okubeera nga ovunnamirwa, n’amugamba: Singa nali kulagira muntu kuvunnamira munne, nalibadde ndagira omukazi n’avunnamira bba olwobuvunanyizibwa bwamulinako”. Nemuhadith endala: “Salman yasanga Nabbi (s.a.w) mulimu kumakubo ge Madiina – ebiseera ebyo yali akyaali mupya mubusiramu – n’avunnamira Nabbi (s.a.w). Nabbi n’amugamba: tonvunnamira, owange ggwe Salman, vunnamira oyo omulamu atafa”. Amakulu nti ekyo kyaali kikkirizibwa muShariya yaabwe” ne Imam Abu Ja-afar bweyali avvuunula Aya eyo, yokoona kunsonga eyo.
Era okimanyi bulungi nti obukafiiri tebukyuuka nakukyuuka kwa Shariya era katonda tasobola kukiragira kiseera kyonna mubiseera. Tekwaali okuvuunnamira Adam ne Yusufu nti bwaali bukafiiri, - kubanga tebaali nanzikiriza yakuyita bebavunnamira nti bakatonda – wabula okuvunnama kwaba malayika kwaali kwesinza katonda oyo nanyini kubalagira era nokuvunnamira Yusufu, kyaali kiramuso ekikkirizibwa, naye okukkirizibwa okwo kwasangulwa mushariya yaffe. Era abamanyi baalamula abantu nobukafiiri abo abaavun-namiranga enjuba oba omweezi oba essabo kubanga kabeera kabonero kabukaafiiri era nga bwebaalamula kubalala nobukkiriza abo abaayatula shahaada ebbiri kubanga kekabonero akalaga obukkiriza. Sossirwakuba nti ekisooka kulw’a kyo kyokka bukaafiiri nekyokubiri bukkiriza.
Ekyo bwekiba kiremye okutegeerekeka – naye nga ate sikizibu – ggwe kenyini wetunuulire, empisazo ziyinza okukulamula nga oli awamu netaatawo, nengeri gy’omuwaamu ekitiibwa okubeera nga tezikukkiriza kwetuuzatuuza oba okwesigama mumaasoge, wabula oyimirira oba otuula okumala essaawa n’okusoba, naye tetuyinza kugambo nti omwesinzizza. Lwaki? Kubanga ekikolwa ky’okoze, tekibaddeemu kukakasa nti taatawo alimu ekimu kukikolwa mubikolwa byakatonda.
Kyokka ate muswala, oyimiriramu n’osoma Alfatiha okumala edaakika emu oba bbiri, n’otuula n’osoma tashahud era akaseera bwekatyo, naye n’otwalibwa nti wesinzizza, kubanga okugonda nokwewombeeka kwobadde nakwo mukuyimirira nemukutuulakwo kubaddemu enzikiriza nti gwewewombekera yomulezi era yekatonda owekitiibwa.
Era osobola okuyita owobuyinza yenna okubeera nga okuyamba kulwobuzibu bwotuuseemu oba okukutaasa olwomulumbaganyi aba akulumbye, naye nga omanyi era okakasa nti yye kululwe talina ky’asobola kukugasa oba okukujjako obuzibu, wabula katonda yamufuula omutu mwayisiza okulamulakwe eri abantu. Naye, oba tewesinzizza oyo gw’oyise ebbanga lyomala nga oli kumbeera gyetwogeddeko.
Aya ziwerako ezogera kunsonga gyetwogerako; muzo:
“Oba ani oyo gwemwesiga abataasa mukifo kyomusasizi, tebali abakafiiri okujjako bali mukugayaalirira”.([46])
“Oba balina bakatonda abalala abasobola okubataasa ebibonerezo byaffe? Nga ate bbo tebasobola kwetaasa wadde abajjeemu nabo tebasobola kuwona bibonerezo byaffe”.([47])
Nokubuuza okuli mu Aya ezo ebbiri, kubuuza kwakutamwa nga era mulimu n’okubanenya okusinziira kunzikiriza yaabwe. Katonda atunyumiza ekigambo abantu ba Huud kyebamugamba:
“Tetulina kyetugamba wabula bakatonda baffe balabika balina obuzibu bwebakutusizzaako (obwongobwo nebwononeka era kwekuvuma bakatonda baffe)”.([48])
Nekigambokye kyeyabagamba:
“Kale munsalire olukwe mwenna (nebakatonda bammwe) oluvanyuma muleme kunnindiriza. Mazima nze nesigamidde kukatonda, omulezi wange era omulezi wamwe...”([49])
Era katonda agenda kubanenya kulunaku lwenkomerero olwenzikiriza yaabwe enkyaamu gyebaalina kunsi eyokukakasa nti bakatonda baabwe balina okwemalirira mubuli kimu:
“Biruwa ebyo byemwaali mwesinza mukifo kyakatonda?, abaffe, binabataasa oba byo binasobola okwetaasa?”([50])
Nekigambo kyaabwe kyebagenda okwogera nga bali mumuliro eri abo bebaatwaalanga nga bakatonda baabwe mubo:
“Tulayira katonda, mazima twaali mububuze obwolwaatu mukiseera awo wetwabateekera kuddaala erimu nomulezi webitonda”([51])
Tunuulira engeri gyebaddira abantu nebabenkanyankanya ne Allah owekitiibwa nebatuuka nokubeera nga bagenda kwewaako obujulizi mukiseera omulimba kyagenda okwogereramu amazima nomwononefu abeere nga yejjusa naye nga okwejjusakwe tekumugasa.
Okwenkanyankanya okwo, bwekuba nga kwaali mukunyweza bitendo byakatonda ebyobulezi, ekyo, kyekyetagisa, era kyebava baagwa mukitimba kya Shirik nekyobukaafiiri, kubanga ebitendo byakatonda owekitiibwa birina kubeera nga byeyawulidde yye yekka awatali muntu yenna amuvuganya mubyo, nga bwetumaze okukiraba emabega.
Naye bwekubeeranga okwenkanyankanya kukakasa kwesinza, kiba kiraga nti waliwo okwegatta mubitendo ebyobutonzi oba ebimu mubyo. Ate bwekubeera mukwesinza kwenyini, ekyo tekisoboka kuva mumugezi, okujjako nga abikakasa okuva mw’oyo gwebikakatako, era nga, ye Allah omulezi webitonde byonna. Katonda ali wala nyo n’ebyo byebamugattako.
Era kijja kitya bakatonda baabwe okubajjako ekitendo ekyobutonzi n’okulera ebitonde nga ate baabafuula abesinzibwa baabwe era nebabaagala nga bwebaagala katonda, nga Allah bweyabogerako:
“Nemubantu mulimu abeteekerewo bakatonda abalala mukifo kya Allah, nga babaagala nga bwebaagala katonda”.([52])
Ate ekigambo kyakatonda kyeyagamba nti “Bw’oba ababuuzizza nti ani eyatonda eggulu nensi, mazima bajja kugamba nti ye Allah”([53]), ne Aya endala ezifaanana nga eyo, tezitegeeza nti baali tebakakasa nti bakatonda baabwe bebabalera nokubalabirira, wabula ekyo baakyeya mbisanga mubiseera byokuwakana, olwo neboogera amazima ago katonda kweyatondera emitima, naye bwebayawu-kananga, amangu ddala nga baddayo eri bakatonda baabwe abatali batuufu. Era obalaba nga ekiseera kyonna babeera wamu nabo, nga Allah bwagamba:
“Bamanyi ebyengera byakatonda, naye oluvanyuma babiwakanya, era abasinga obungi mubo, bakaafiiri”.([54])
“Buli lwebabayita okudda eri bakatonda baabwe, baddayo”([55])
Ekyo tekyewuunyisa okuva mumuntu eyafuula okwagalakwe nga yekatondawe nga b’wolaba agoberera okwagalakwe bw’oba omuwa-kanya okumujja kubukyaamu, olaba nga akuwadde ebirowoozobye era nga akulaga okumatira by’omugamba, era neyewaako n’obujulizi nga bw’abadde kubukyaamu, naye bwemumala okwawukana, ogenda okulaba nga addayo kubyomutimagwe byegumugamba, gy’obeera nti tewali kibaddeko wakatiiwo naye – okujjako oyo katonda gwayambye – era tulabye bangi mubingi. Kale bwebaba nti baali tebakkiriza mubakatonda baabwe kubeera nga bebatonzi oba abagabirira ebitonde oba okubeera nobuvunanyizibwa obwokutambuza buli nsonga, basobola okubeera nga babalinamu enzikiriza endala nga okubeera n’okwagala okubuna kubanga balaba nga okuwolereza kwabakatonda baabwe kukkirizibwa awatali kuyimirira kubuyinza bwakatonda. Katonda yayawukana nebigambo byabatamanyi olwawukana olwawaggulu.
Kyova olaba nga Allah owekitiibwa agamba:
“Ani oyo ayinza okuwolereza mumaaso gakatonda awatali buyinzabwe”.([56])
Alqadh Nasur Ddiin Albaidhawe, yagamba mu Tafsiiriye:
“Kunyonyola bugulumivu bwakitiibwakye, kubanga teri amwenkana, wadde okumusemberera, nga yeyawudde okubeera nga ajjawo ekyo kyayagala, kakubeere kuwolereza oba okugonda nga ojjeeko ebyokuwakanya nobulumbaganyi”.
Tunulira ekigambokye “... Nga yeyawudde okubeera nga ajjawo ekyo kyayagala, kakubeera kuwolereza,…” olabiriddala nga mutereevu mubigambobye mukukkiriza obukukafu bwokwagala kwaabyo awamu nekatonda owekitiibwa, ate nobukakafu bwokutu-ukiriza okwagala kuli mubitendo byobulezi nga bwekimanyiddwa.
Ekika kyokuwolereza ekyo, ekirimu okwegatta, ky’ekyo Qur’an kyeyagaana, era omuntu bwakikkiririzaamu, aba akafuwadde, nga katonda bwagamba:
“Oba b’eetekerawo mukifo kyakatonda abawolereze”([57])
Ne Aya:
“Bagambe: ani oyo ayinza okubataasa katonda bw’aba asazeewo okubaagaliza ekibi oba nga abaagalizza okusasira”.([58])
Okuwolereza abaawula katonda kwebakakasa, era okwayoge-rwaako muQur’an nemu Sunna, kuli wala nyo n’okwo nga obukkiriza bwekuli awala nobukaafiiri oba nga obutangaavu n’ekizikiza, nga kwekusaba kw’oyo agenda okuwolereza nga asabira oyo awolerezebwa, olwo ayanukulwe oyo katonda gwaliba ayagadde era kyategeeza mu Aya “...okujjako oluvanyuma olwokukkiri- zibwaakwe” nekigendererwa mukukkiriza, kwekusiima nga bwekisa-ngibwa mu Aya endala:
“... Era tebagenda kuwolereza okujjako oyo gwaliba asiimye”.([59])
Nemu aya endala:
“Era bameka mubamalayika muggulu okuwolereza kwaabwe okutagenda kugasa n’akatono, okujjako oluvanyuma lwakatonda okukkiriza oyo gw’aliba ayagadde era n’asiima”.([60])
Oluvanyuma lwa Aya ezo, osobola okwawula wakati wokuwolereza Qur’an kwenyweeza n’okwo kw’egaana, era nga kwekwo kwatamaze kukkiriza nakusiima. Obufuzibwe buli waggulu nyo, era tebuyinza kubeeramu okujjako ekyo ky’ayagala.
Okuwolereza katonda kwagenda okukkiriza n’okusiima, kwekwo okugenda okuva mubaduube abalondemu abalungi eri abajeemu naye nga baali baawula katonda, nga tebaakola shirik. Okuwolereza okwo, kukkirizibwa kubanga kugenda kujja mungeri yakusaba, nga ate katonda owekitiibwa ayanukula abaddube abakkiriza abakola emirimo emirungi.
Obeera olyawo omaze okutegeera obulungi amakulu gekigambo “Ibaada” mumateeka gobusiramu, era kati omanyi nti okwesinza ekintu ekitali katonda, tekisoboka kuyitiramu kutuuka wakatonda]([61])
Ebigambo ebyo byebya Allamah ALQadh-e, tubireese olwomugaso ogulimu, kale byetegereze owange ggwe omusomi omuteefu.
([1]) 16: 36.
([2]) 21: 25.
([3]) 3: 64.
([4]) 26: 22.
([5]) 17: 24.
([6]) 2: 34.
([7]) 12: 100.
([8]) 12: 4.
([9]) 7: 59.
([10]) 37: 35.
([11]) 51: 43.
([12]) 15: 96.
([13]) 25: 68.
([14]) 19: 81.
([15]) 6: 19.
([16]) 6: 74.
([17]) 23: 12.
([18]) 5: 72.
([19]) 3: 51.
([20]) 6: 102.
([21]) 3: 135.
([22]) 39: 44.
([23]) 9: 31.
([24]) Nga: 28: 73, 27: 60 – 64, 39: 5,6.
([25]) 23: 80.
([26]) 6: 61.
([27]) 2: 165.
([28]) 9: 31.
([29]) 2: 255.
([30]) Milal wa Nahl: ekya shahar stani, Juzu 2, pg. 244 – 247, print, Misir.
([31]) 10: 18.
([32]) 39: 3.
([33]) 21: 26.
([34]) 3: 32.
([35]) 2: 124.
([36]) 33: 33.
([37]) 42: 23.
([38]) 76: 8….
([39]) 3: 49.
([40]) 7: 27.
([41]) 39: 7.
([42]) 2: 34.
([43]) 7: 12.
([44]) 17: 61.
([45]) 12: 100.
([46]) 64: 20.
([47]) 21: 42.
([48]) 11: 54.
([49]) 11: 55.
([50]) 26: 93.
([51]) 26: 98.
([52]) 2: 165.
([53]) 43: 87.
([54]) 16: 83.
([55]) 4: 91.
([56]) 2: 255.
([57]) 39: 43.
([58]) 33: 17.
([59]) 21: 28.
([60]) 53: 26.
([61]) Furqanul Qur’an: pg. 111-115. oyinza okusoma nebisigadde, birungi.