back

Ekitundu Ekyekkumi

next

 

OKUFUNA EMIKISA NOKWEJJANJABA NGA TUYITA MUBUWUFU BWABAGALWA BAKATONDA

Abawahaabi bakakasa nti (Tabarruk) okufuna emikisa nga tuyita mubuwufu bwabagalwa bakatonda, kuba kugatta kukatonda (shirik) era batwaala omuntu anyweegera ekifo kyomubaka wakatonda (s.a.w) kyeyasaalirangamu nemimbariye, nti (mushirik) agasse kukatonda wadde nga tagenderedde kwesiinza wabula nga ayagadde kulaga bulazi kwagala kw’alina eri omubaka wakatonda (s.a.w).

Mazima okuziyiza tabarruk nobuwufu bwomubaka wakatonda owekitiibwa nokunyweegera ekifo kyeyasaalirangamu nemimbariye eyekitiibwa ky’ekimu kubintu abawahaabi byebasinga okunoonyerezaako mubasiramu. Mazima baakozesa ekibinja kyabasirikale bebaapaatiikako erinnya “abalagizi abokukola ebirungi abaziyiza okukola obubi” nebabagaba mumuzikiti gwomubaka wakatonda (s.a.w) olwokuziyiza abantu okunyweegera entaanaaye entukuvu nemimbariye nemihirabi yomuzikitigwe. Era abawahaabi abo balumba ba Hujaaji nobukambwe nebabaziyiza okufuna emikisa kubifo ebyo nokubinywegera. Baakwaata emiggo nebyokulwanyisa, nebayuwa omusaayi gwabantu abatalina musango, nebalinyirira ekitiibwa kyabantu muharamu yaNabbi (s.a.w) nga bagamba nti tabarruk nokunyweegera kubeera kwesinza oyo nanyini ntaana.

Mazima abantu abatalina kyebamanyi kubusiramu abo, baakola ensobi mukutegeera amakulu g’okwesinza, era kyebava babungirabungira mububuze nemunsobi, nebalowooza nti buli kugulumiza mugulumiza mufu kubeera kumwesinza nebatamanya nti okunyweegera entaana yaNabbi entukuvu nokufuna omukisa okuva kubuwufu bwobwaNabbi, byonna bibeera mukkubo lyakatonda(s.w) kubanga abasiramu bagulumiza Nabbi owekitiibwa, nebamufunako emikisa nobuwufubwe lwakubeera nti mubaka wakatonda, Nabbiwe omwagalwa omulonde, oyo katonda gweyasukkulumya kubanabbi bonna n’ababaka, namusinza ebitonde byonna. Kale okugulumiza abagalwa bakatonda, kubeera kugulumiza katonda, era tebuli obukakafu bwatauheed okujjako okubeera nga buli kintu kyonna kyakatonda, era kiriwo kululwe, era kiri mukkubolye, olwo nno katonda, era kiriwo kululwe, yentandikwa nga bwaali owenkomerero.

Era tujja kwogera ku “Ibaada” namakulu agalimu gennyini mukitundu ekijja. Naye kati tugenda kwogera ku tabarruk kubuwufu bwabagalwa bakatonda. Kale kati tulina okwogera kunsonga eyo nga twesembesa Qur’an ne Sunna zaNabbi (s.a.w) amazima galyoke geyoleke.

ENJOGERA YA QUR’AN KU TABARRUK

Tujja kwesembesa Aya emu yokka okuva mu Qur’an, era eva kululimi lwa Nabbi Yusuf (a.s):

“Mugende n’olugoye lwange luno muluteeke mumaaso gataatawange ajja kuddamu alabe”.([1])

Mazima Nabbi Yusufu yasindika olugoyerwe eri taatawe, n’agamba bagandabe: mugende nolugoye lwange luno, muluteeke mumaasoge okutuusa bwaanaddamu naalaba.

Allah ayongera n’agamba:

“Eyaleeta olugoye bwamala okutuuka, yalumuteeka mumaasoge naddamu bupya okulaba”([2]).

Aya eyo nneyolefu era y’alwaatu mukukkiriza Tabarruk okuva kubuwufu bwabaNabbi nabagalwa bakatonda ppaka neNabbi okuva kuNabbi munne. Nabbi Yaqub yafuna omukisa (Tabarruk) okuva kulugoye lwa Nabbi Yusuf (a.s.). naye nga kimanyiddwa nti okuwonya kwakatonda era y’alina obuyinza mubintu byonna wabula olugoye lwaali kkubo naddagala kulwobuyinza bwakatonda.

Abaffe, singa Nabbi Yaqub yakozesa olugoye lwamutabanyiiwe Yusuf mukuzza okulabakwe nga bali mu “Najid”, abagoberezi ba Ibn Abdulwahaab baalibadde bamulabula batya? Nti mukaafiiri? Oba mushirik? Oba nti akoze kyoonoonoki? Nga ate Nabbi, tasobya era takola kibi!

Abasiramu okufuna omukisa okuva kuntaana yaNabbi (s.a.w) oba okujeevumulisa, tekirina njawulo na Nabbi Yaqub bweyevumulisa olugoye lwamutabanyiiwe Yusuf (a.s), era bwekityo, kuntaana z’abantu baNabbi (s.a.w) nobuwufu bwaabwe.

Ebyafaayo byabasiramu nenkola yaabwe ku tabarruk

Mazima bwetutunuulira enkola yabasiramu nebyafaayo byaabwe okuviiraddala kumulembe gwaba swahaaba nokutuusa olwaleero, tukifuna bulungi nga okufuna emikisa okuva kuNabbi (s.a.w) nobuwufubwe, yali nkola egobererwa okuviiraddala mumirembe egydda.

Mpozzi, mubufunze, katuleeteyo ebyokulabirako:

1- Mazima Fatima Zahara omukulembeze waabakyaala bonna, muwala w’omubaka wakatonda (s.a.w) bweyatuuka awali entaana yataatawe (s.a.w) yakwaata erimu kuttaka lyokuntaana n’aliwunyizaako, oluvanyuma n’akaaba, n’agamba:

Kiki ekiri kw’oyo owunyizza kuttaka lya Ahmad

      Okubeera nga taddayo kuwunyiza kuttaka lyonna mubuwangaazibwe

Nfukiddwako ebizibu, nga singa

      Bifukibwa kunnaku, zaalifuuse ebiro([3]) 

Mazima enneyisa eyo okuva mu sayyidat Zahara, atakola byonoono, tekirina kyekiraga okujjako okukirizibwa okufuna emikisa nokuwonyezebwa okuva kuntaana y’omubaka wakatonda nettaka lyokuntaanaaye eyekitiibwa.

2- Bilal – omwazinyi w’omubaka wakatonda – yali mushaam, kumulembe gwa umar bn khatab, n’alaba Nabbi (s.a.w) mutulo nga amugamba: nga obuzibu bunene mubuwangaazi? Mubutuufu, ekiseera kikutuukidde okubeera nga onambula, owange ggwe bilal”.

Ekiseera ekyo, yadda engulu nga munakuwavu, akankana era nga atya. Yeebagala ensoloye, n’agenda e Madina. Bweyatuuka kuntaana yaNabbi (s.a.w)

N’atandiika okukaabira awali entaana n’ateekako ekyenyikye. Oluvanyuma, yatandika okukwaata Hassan ne Hussein nabanywe-egera... okutuusa kunkomerero.([4])

3- Ibn Hajar agamba:

“Buli yenna eyazaalibwa kumulembe gwa Nabbi (mubulamubwe) atwaalibwa nga eyamulabako olwokubanga ba Aniswaar baaleetanga abaana baabwe eri Nabbi (s.a.w) olwokumufunako emikisa. Era kigambibwa nti Makka bwemala okuggulibwaawo, abantu baayo baatandika okuleetanga abaana baabwe eri Nabbi (s.a.w) abeere nga abakwaatako mumitwe gyaabwe era abasabire emikisa”.([5])

omutunzi wekitabo “Tabarruk Swahaaba” agamba kunsonga eyo:

“Tewali kubuusabuusa, mazima obuwufu bwomubaka wakatonda – omulonde mubitonde byakatonda era asinga baNabbi obulungi – bwebusinga okubeera obunyweevu mukubeerawo era bwebusinga okujjukirwa, nolwekyo, bwebusaana okufunirako emikisa era baswahaaba bangi abaakakasa ensonga eyo era nebabukolelako tabarruk, nebafaayo nyo okubukungaanya – ate bbo balungamya, era b’akulabirako balongoofu – era baafunanga emikisa okuva kunviirize nekumazzi geyafunangako wudhu, nentuuyoze, nengoyeze, nokukwa-ata kumubirigwe ogwekitiibwa, nebirala bingi mw’ebyo ebyamanyika mubuwufubwe obwekitiibwa obwatutuukako mumawulire amatuufu okuva kubantu abalungi”.([6])

noluvanyuma lw’ebyo byonna, muslim byeyayogera mukitabo-kye, bitumala:

“Mazima omubaka wakatonda (s.a.w) yali nga aleeterwa abaana n’abawa omukisa era n’abagunjula”.([7])

4- Baswahaaba baali bakola tabarruk kumazzi Nabbi geyafun-angako wudhu n’ago geyanaabangako. Bukhar agamba:

“Nabbi (s.a.w) yafuluma najja gyetuli mubiseera byomuttuntu, n’aleeterwa amazzi, n’afuna wudhu, abantu nebatandika okukwaata amazzi geyali afunisa wudhu nebageesiiga”.([8])

kunsonga eyo kuliko hadith nyingi, zijudde mubitabo.

5- Era ba Swahaaba baali bafuna Tabarruk kunviirize (s.a.w). Anas agamba:

“Mazima omubaka wakatonda(s.a.w) bweyamala okusala omu-tweegwe, Abu Taliha yeyasooka okukwaata enviirize”.([9])

Mazima ekigambokye “Abu Taliha yeyasooka okukwaata enviirize” kitegeeza nti baswahaaba baali mubweetaavu eri enviirize okuzifunamu omukisa oba okwewonya nazo. Kale nga Abu Taliha yaatera okweesooka okuzitwaala.

“Mazima omubaka wakatonda yajja eMina, n’amala okukasuukirira jamra, oluvanyuma n’agenda mumakaage age Mina. Oluvanyuma n’agamba kinyoozi. Nti sala – yalaza kuludda olwaddyo nolwakkono – oluvanyuma n’atandiika okuwa abantu.”([10])

6- Era baali bakola tabarruk okuva kukyombo kyeyanyweeranamu (s.a.w):

“Abu Barida yagamba: Abdullah bn Salaam yangamba: abaffe nkunywesezeeko mukikopo Nabbi kyeyanyweeramukko”.([11])

kyetutegeera okuva muhadith eyo kiri nti Abdullah bn Salaam yali akuuma nyo ekikopo ekyo kubanga yafuna omukisa Nabbi (s.a.w) n’abeera nga yakinyweeramukko.

7- Baali bafuna emikisa (Tabarruk) okuva kumikonogye egyekitiibwa:

“Byaava ku Abi Juhaifa, yagamba: Omubaka wakatonda yafuluma mubiseera byomusana n’agenda e Batihaa-e, n’afuna Wudhu, oluvanyuma n’asaala Dhuhr eraaka bbiri ne Aswir bwaatyo... okutuusa bweyagamba: abantu nebayimirira, nebatandika okukwaata emikon ogye nebagiyisa mubyeenyi byaabwe.

Yagamba: nakwaata omukonogwe nenguteeka mukyeenyi kyange, nengusanga nga munyogovu okusinga omuzira nga ate guwunya bulungi okusinga akawoowo ka misiki”.([12])

8- Era baali bafuna emikisa okuva kumimbariye: “Byaava ku Ibrahim bn Abdurrahman bn Abdul Qaari-e mazima yatunula ku Ibn Umar nga ateese omukonogwe kukituuti (mimbari) Nabbi (s.a.w) weyatuulanga, oluvanyuma n’aguteeka mukyenyikye.”([13])

9- Nga era bwebaali basaba okuwolerezebwa nentaana yaNabbi (s.a.w):

“Byayogerwa nga biva kumukulembeze wabakkiriza (a.s), yagamba: Mazima omuwarabu okuva mukyaalo yajja jetuli oluvanyuma olwokuziika omubaka wakatonda (s.a.w) nga wayiseewo ennaku ssatu, neyekasuka kuntaana yaNabbi, neyeeyiwako ettaka kumutweegwe, n’agamba: Owange ggwe omubaka wakatonda, wayogera, netuwulira ebigambobyo, wawulira okuva ewakatonda naffe netuwulira okuva kuggwe, nemw’ebyo katonda byeyakussaako: “Singa bbo mukiseera kyeberyazamanyirizaamu emitima gyaabwe, baakujjira…” naye nze mazima neryazaamaanya, kale nkujidde obeere nga onsabira okunsonyiwa. N’akowoolebwa okuva muntaana: “mazima omaze okusonyiyizibwa”.([14])

Mpozzi mubufunze: mazima omuntu asoma ebitabo – nga Swahiih zonna, Sunan, musnad n’ebitabo bya tarekh – alabiraddala nga baswahaab n’abo abaabagoberera baali bafunanga emikisa (tabarruk) okuva kubuli kintu kyonna ekikwaata kuNabbi (s.a.w) era nebasaba okuwolerezebwa nentaanaye nokuteekako ettama, nokuwunyiza kuttaka lyaayo, nokukaabira weeri, era baatuuka okufuna emikisa kumuggogwe nebyambalobye nokusaalira mubifo byeyasaaliramukko (s.a.w) oba okutambuliramu.

Hadith ezoogera kunsonga eyo nyinji nyo era tekisoboka kubeera nga baaziteekawo buteesi, ate era tekisoboka kubanga nebamasheik ababiri–AlBukhar ne Muslim – baazogera n’abalala bangi mubamanyi bahadith.

Mazima abebitiibwa ababiri baatwaala omutawaana ogwokubeera nga banyonyola hadith ezo nokulagirira ebitabo mwezisangibwa: Al-Ustadh Shaikh Muhamad Taahir makki mukitabokye “Tabarruk Swahaaba bn Athaar Rasuulilah” ne Ustadh AlFaddh Shaikh Ali Al-Ahmadi mukitabokye ekirungi “Attabarruk” era omutunzi wekitabo ekyo yateekamu buli kyonna ekyogera ku tabarruk.

Era ekitabo ekyo kitwaalibwa nga kyekimu kubitabo ebiri kumulembe.

Kale abawahaab bagambaki kuhadith zino enyingi nga era zifanagana enjatuza n’amakulu?!

Era bbo bayimiridde batya n’amazima gano ameyolefu

Era lwaaki Abawahaab bakuba embeekuulo kutabarruk n’entaana yaNabbi (s.a.w) ate nga eyo yali nkola yabasiramu okuviiraddala kubaswahaaba n’abaabagoberera awatali kusanga kuziyizibwa kwonna oba okutamwa okuva kuNabbi (s.a.w) oba omu yenna muba swahaaba?!

Lwaki tebaleka basiramu banyweegere entaana y’omubaka wakatonda era bagikoleko tabarruk era buli omu ayolese ekimuli mumutimagwe eri Nabbi wakatonda?!

Abaffe, tebamanyi nti okuziyiza abasiramu okufuna emikisa okuva kuntaana yaNabbi nobuwufubwe kwaali mumpisa zaba Umawi nokusingiraddala Mariwaan, Nabbi gweyakolimira?!

10 – Kale nno sooka omale okusoma haakim byagamba mu mustadrak okuva ku Daud bn Swaalih:

“Lwaali lumu, mariwaan n’asanga omusajja nga ateese ekyeenyikye kuntaana. N’amukwaata ensiingo, n’amugamba: omanyi kyokola? N’amutuulako, yagenda okulaba, nga ye Ayub Al-Answaar, n’amugamba nti gwenzizeeko sijjinja wabula nzize wamubaka wakatonda naye sizze kujjinja. Na’wulira omubaka wakatonda nga agamba: eddiini temugikaabirangako singa eba ekulemberwa bannanyiniyo wabula mugikaabireko singa ekulemberwa abo abatali bannanyiniyo”.([15])

Marihum Shaikh Al-Aminni agamba:

“Mazima hadith eyo etuwa okumanya nti okuziyiza tawassul nentaana entukuvu kuli mububuze bwaba Umawi era kuli mubintu byebaagenda nga bazuulazuulawo okuviiraddala kumulembe gwaba swahaaba, kubanga tebeerangayokko muntu yenna munsi eyawulira swahaab yenna nga yetamwa ekintu nga ekyo okujjako – muzzukulu wa Umayya – mutabanyi wamuwalaawe – Mariwaan omulyaaza-amaanyi!!

Yyee ... ente ennume ekuuma enyindo yaayo namayembe gaayo.

Yyee... enyonyi erya ekibala olwobugonvu bw’akyo.

Yyee... batabanyi ba Umayya – bonna – balina ensaalwa – okutwaaliza awamu – kumubaka wakatonda (s.a.w) ne Mariwaan – amulinako ensaalwa – mungeri eyenjawulo okuviiraddala kulunaku Nabbi (s.a.w) lwaatasigaza mululyo lwa Umayya kitiibwa kyonna okujjako nga baakirinyirira, wadde ekyaama okujjako nga baakyabulula, wadde empagi okujjako nga baagibuzaawo, ebyo byonna baabikola olwekitiibwa kyaNabbi (s.a.w) kyeyalina mubo nga ate era yye yali tayogera kuva kukwaagalakwe Wabula nga buli kyayogera bubeera bubaka owaamaanyi agaawaggulu bweyamuyigiriza.

Mazima kikakafu ekyaava kuye (s.a.w) kyeyagamba:

“Ab’olulyo lwa Umayya bwebalimala okuwera amakumi ana, bajja kufuula abaddu bakatonda abaddu, n’emmaali yakatonda egabibwa obweereere, ne kitabo kyakatonda ekibuusibwabuusibwa.”([16])

Era olaba Abu Ayub Al-Ansaar engeri gyadda mumariwaan – oluvanyuma olwokumubuuza nti omanyi ky’okola?- nti: wenzize sijjinja wabula nzize wali mubaka sossijjinja...

Amakulu nti: gwempitiramu okusaba katonda yemubaka wakatonda (s.a.w) oyo gwetukakasa nti talina njawulo wakati wobulamubwe nokufaakwe – munsonga eyo – kubanga bwekitabeera bwekityo, ettaka namayinja tebirina makulu. Ettaka namayinja kuntaana yaNabbi byafuna ekitiibwa nokugulumizibwa lw’oyo alimu – omubaka wakatonda (s.a.w).

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, mazima Bukhar yateeka omulyango mulamba mukitabokye – ekitwalibwa nti kyekisinga obutuufu mubitabo byabasunni – nga guyitibwa: omulyango ogulimu engabo yaNabbi (s.a.w) n’omuggogwe neffumolye, nekikopokye, nempetaye n’abasikaabe byebaakozesa oluvanyuma olwokufaakwe, mubyo – mulimu ebitaayogerwa – nenviirize nengattoze nebyombobye, ebyo baswahaaba oluvanyuma lwokufaakwe.([17])

Kale omuwahaab bwatuuka kuhadith ezo eziri mubikumi, aba talina kyakukola okujjako okukkiriza amazima bwabeera nga ali mwaabo abawuliriza ebigambo nebajjamu ebirungi mubyo, oba okulinda olunaku olwokusalawo nolwendagaano.


 

([1]) 12: 93.

([2]) 12: 96.

([3]) Samhuudi yakyogera mukitabo: wafa-ul wafa: Juzu 2, pg. 444. Swuluhul Ikhiwan ekya khadiidi: pg. 57.

([4]) Isnadul Gaaya ekya Ibn Al-Athiir: pg. 28.

([5]) Al-Iswaabat: Juzu 3, pg. 631.

([6]) Tabarruk swahaab: pg. 5.

([7]) Swahiih Muslim: Juzu 3, pg. 1691.

([8]) Swahiih Bukhar: Juzu 1, pg. 59.

([9]) Swahiih Bukhar: Juzu 1, pg. 54.

([10]) Swahiih Muslim: Juzu 3, pg. 947.

([11]) Swahiih Bukhar: Juzu 7, pg. 147.

([12]) Swahiih Bukhar: Juzu 4, pg. 188.

([13]) Twabaqaatul kubra: Juzu 1, ekitundu ekyokubiri, pg. 13.

([14]) – Kanzul a-amaal: Juzu 2, pg. 248.

- wafa-ul Wafa: Juzu 2, pg. 1361.

([15]) Mustadrak Swahiihain: ekya Haakim, Juzu 4, pg. 545.

([16]) Gadiir: Juzu 5, pg. 129 – 130.

([17]) Swahiihul Bukhar: Juzu 4, pg. 82, printed 1314H.

Index