Mazima ekikoosi ky’abawahaab kigamba nti okukuza ennaku ezo kiri haraam. Gyobeera nti balina ensaalwa nobusungu kubaagalwa bakatonda n’abakulembeze b’obusiram kubanga baziyiza okukunga-ana munnaku ezo.
Omuwahaab (Muhamad Hamid Faqii) omukulembeze w’ekibiina “Answar Sunna Almuhamadiyya” agamba mubigambo ebyawansi mukitabo “kitaabul Fatihil Majid”:
“Okujjukira okwajjula ensi mulinya ly’abagalwa bakatonda ngeri yakubeesinza nakubagulumiza”.([1])
Mazima ensonga enkulu eyaleetera abawahaab okubula kwekubeera nga tebanoonya kikoma kyamakulu ga “Tauheed” ne “Shirik” ne “Ibaada” nokutuusa olwaaleero. Nolwekyo, batwaala okugulumiza abagalwa bakatonda kwonna nti kubesinza era kubeera kugatta kukatonda. Nnina wenasoma nga omuwahaab yatunga ekitabo n’ateekamu khutuba entabiketabike nga agezaako okugeraageranya wakati webigambo: Ibaada ne Ta-adhiim – okwesinza nokugulumiza – naye yabinyonyola mungeri ndala nyo nga alowooza nti birina amakulu geegamu.
Mukitundu ekijja, tujja kwogera kukigambo Ibaada namakulu gakyo era tuleete ebyokwesembesa ebiraga nti okuwa ekitiibwa kwonna n’okugulumiza abagalwa bakatonda tekitegeeza kubesinza.
Kati ebigambo byaffe bigenda kwetoloolera kubutuufu bwokugulumiza amazaalibwa gabagalwa bakatonda n’amafa gaabwe nga twesembesa Qur’an eyekitiibwa.
Mwebyo ebitaliimu kubuusabuusa, Qur’an ennamuzi yanyonyola agamu kumannya gabaNabbi n’abagalwaabe nga ebawaana, ebagulumiza era nga ebawa ekitiibwa.
(1) Qur’an eyogera kuNabbi Zakaria ne Yahya:
“Mazima bbo baali banguyirira mukukola ebirungi era nebatusaba nga basuubira era nga batya era nga bewombeefu gyetuli”.([2])
Bwetuba tukungaanye mulukungaana lwonna olw’okugulumiza baNabbi abo, omubuulirize ayimirira n’abogerako nga Qur’an bweyabogerako nebigambo ebibawaana nokubawa ekitiibwa.
Abaffe omuntu okukola ekyo, aba akoze nsobi oba aba agoberedde Qur’an?!
(2) Bweyali eyogera kuba-Ahlul Bait, yagamba:
“Era baliisa emmere awamu nokubeera nga bajaagala – nga baliisa – omwaavu nemulekwa n’omuwambe”.([3])
Abagoberezi ba Imam Ali (a.s) – omukulembeze wabakkiriza – bwebakungaana Mulunaku olwokuzaalibwakwe okwekitiibwa, n’agamba omubuulirize mubo nti Imam oyo ali mw’abo abaaliisa emmere masikiini nemulekwa nomuwambe, abaffe ba’ba bamwesinzizza?!
Era embeera bw’etyo, bwetuba tukungaanye kulw’okuzaalibwa kwomubaka wakatonda (s.a.w) tumwogerako ne aya ezimuwaana, munnimi ezenjawulo bwekiba nga kyetagisizza obo okugiteeka mukayimba (poem) oba enkola endala etali eyo.
Kale lwaaki tugaana okukola omulimo nga ogwo?!!
Mazima Abawahaab bebalabe bokugulumiza baNabbi n’abagalwa bakatonda, kyokka nebambaza obulabe bwaabwe ekyambalo ky’obusiramu. Nga bagamba nti okubagulumiza bidi-a era tekikkirizibwa kukolebwa mubasiramu.
Owange ggwe omusomi owekitiibwa, mazima ebigambo by’abawahaab byebekwaatako ebitali bituufu ebigamba nti okukungaana olwokujukkira abagalwa bakatonda bidi-a, olwokubanga tewali kyakwesembesa kyeyawulidde oba ekibuna, tubaddamu nga tubagamba:
Bwewaba nga waliwo Aya ezitugamba okugulumiza Nabbi (s.a.w), ekyo kiba kitumala okumanya nti okukungaana kukkirizibwa, kubanga enkungaana zino tezikolebwa okujjako olw’okugulumiza BaNabbi n’abagalwa bakatonda. Era singa emikolo egyo gyaali mipya muddini, abamanyi abomunsi yonna balibadde tebagibeeramu, nebajoogereramu – kubanga ekyo kyongera emikolo egyo ekitiibwa nokusigala nga gigenda mumaaso.
1- Mazima Qur’an eyekitiibwa eyogera kubantu abaagulumiza Nabbi(s.a.w):
“Kale abo abaamukkiriza, nebamugulumiza, nebamutaasa, nebagoberera ekitangaala ekyo kyeyajja nakyo, (abantu) abo bebagenda okwesiima”.([4])
Ebigambo ebiri mu Aya eyo:
· Amanu bihi ------ Abaamukkiriza
· Azzaruuh --------- nebamugulumiza
· Naswarooh -------- nebamutaasa
· Ittaba-u Noor – nebagoberera ekitangaala
Abaffe waliwo omuntu ayinza oggamba nti ebitendo ebyo byeyawulira kumulembe gwaNabbi (s.a.w)?!
Mubutuufu, sibwekiri.
Kubanga ekigambo “Azzarooh” ekitegeeza okumuwa ekitiibwa nokumugulumiza,([5]) kibuna obulamu bwaNabbi nokufaakwe era katonda ayagala omwagalwaawe (s.a.w) abeere wakitiibwa, agulumi-zibwe emirembe gyonna.
Kale kati kyetwebuuza, okukungaana olunaku olwamazaali-bwaage, n’olunaku lweyatumwa, tekiri ekimu kubiraga okugulumiza Nabbi (s.a.w) nokutuukiriza ekigambo ekyo?!
Ekyewuunyisa, Abawahaab bagulumiza abebitiibwa mubo nabakulembeze baabwe olugulumiza olwamaanyi naye nebakitwaala nti okugulumiza Nabbi (s.a.w) oba mimbariye oba mihraabiye, kubeera bidi-a era shirik.
Mazima abawahaab, - okusinziira kunzikiriza yaabwe – b’onoona erinya ly’obusiramu eri ensi okutwaaliza awamu kubanga baginyonyola nga etalina kisa, tefa kumuntu, tewa kitiibwa era tegulumiza bakulembeze baayo. Kale kyova olaba nti besambisa abantu obusiramu nebabwewala.
Obusiramu bwaabwe buli kyenyume ky’obwo katonda bweyateekawo nga ddini nyangu, yakusasiragana, ekwaatagana n’obutonde bwabantu, esikiriza abantu okugiyingira olwobulungi bwaayo nobukwaatampola bwaayo.
2- Mazima abawahaab abagaana okunakuwala nokukaaba kulw’abo abaafiira mukkubo lyakatonda kulweddini yobusiramu, bagamba batya ku Nabbi Yaqub (a.s)?
Singa Nabbi owekitiibwa abeerawo nga mulamu olwaleero mubantu abe “Najd”, n’abagoberezi ba Muhamad bn Abdul Wahaab, baalibadde bamutwaala batya?!
Mazima Yaqub (a.s) yali akaaba ekiro n’misana olw’okwawukana n’omwaanawe era nga buli kiseera erinyalye terimuva mukamwa okutuusa: “Amaasoge bwegaafaamu olwennaku naye nagumik-kiriza”([6]).
Awamu nokubeera nga Yaqub yasanga ebizibu bingi – nga okuziba amaaso, okwelaliikiriza nobulumi – teyeerabira mwaanawe. Yusuf wobula okumwagala kwamweyongeranga bweyongezi era yatuuka nokuwunyiza olusu lwekanzu ya Yusuf okuva mulugendo oluwanvu.
Katonda agamba nga ayisa kululimirwe:
“Mazima nze mpulira olusu lwa Yusuf, singa temunafuyizza ndowooza yange”.([7])
Kale okwaagala kuno okwaamaanyi nenkwaatagana enywevu Yaqub gyeyalina eri Yusufu kubeera kutya okutuufu okukwaatagana ne Tauheed mubiseera byobulamu bwokka, ate oluvanyuma lwokufa nekufuuka haraam era bidi-a?!! Awamu nokukimanya nti owomukwaano bwaaba akufuddeko ennaku esigala mumutima ebeera mpitirivu okusinga ebeeramu nga akwawukanyeeko mubulamu.
Olwaleero… abakkiriza bwebaba bakungaanye – abo abafaanana ne Yaqub mukunakuwalakwe – mulukungaana olwennaku nga bajjukira omu kubagalwa bakatonda – nga ba Imaam abatukuvu abo abafaanana ne Yusufu mubuzibubwe, oba okusingawo – nebajjukira omwagalwa oyo omulongoofu nebigambo ebirungi, nebejjukanya ebyaafaayobye nempisaze ezekitiibwa nebitendobye ebirungi nenneyisaaye ennungi, oluvanyuma nebakulukusa amaziga olwobunakuwavu..., abaffe ebyo byonna biba biteegeeza nti besinzizza omuntu oyo?!!
Okulowooza nga kutono!
Okutegeera n’okumanya nga nakwo kutono! Endowooza!
3- Allah agamba:
“Bagambe, sibasaba mpeera kumulimo gwennakola ogwatabligh ne da-awa) okujjako okwagala abolulyo lwange”.([8])
mubintu ebitaliimu kubuusabuusa, kwekumanya nti okwagala abantu baNabbi kiraaliko mubiraaliko byeddini ekyo Qur’an kyeyayogerako neekyaasanguza bulunji.([9])
Kati nno omuntu bwayagala okutuukiriza ekiraaliko kyeddini ekyo – oluvanyuma olwebyaasa ekkumi nebina – asanidde kukolaki nga embeera eri bwetyo?!
Ekimusaanira sikwekubeera nga “asanyuka olwokusanyuka kwaabwe era nanakuwala olwokunakuwala kwaabwe”?!
Omuntu singa atekawo olukungaana olwokujjukiriramu omuntu owekitiibwa – ebikwaata kubulamubwe, emigasogye, okwewa-ayookwe nokufaabikana kulweddiini, nemitawaana egyamutuukako – abaffe aba akoze haraam olwomulimo ogwo, oba aba azizza obupya obwokujjukira owekitiibwa oyo nokulaga okumwagala?!!
Era singa omuntu – olw’okwagala okulaga omukwaano – aba afiiriddwa omu mub’ekyikaakye, n’agenda okulambula entaana yoweekikakye oyo era nateekawo olukungaana… ab’amagezi n’abalina okumanya muddiini tebalaba nga abaalaze okwagala eri owekika oyo?!
Okujjako abawahaab bagamba: mazima ekikakafu, kwekukweeka okwagala mumitima awatali kukwolesa mungeri yonna. Nga ate ekyo obufu bwaakyo bweyolefu.
Mazima abantu abaaliwo kumulembe gwaNabbi (s.a.w) n’abo abajja emirembe egyoluvanyuma – abaalaba enkyukakyuuka eyaliwo munzikiriza nemundowooza – baalaba ebibinja byabantu nga biyingira mubusiramu. Nga katonda bweyamba:
“Era ojja kulaba abantu nga bayingira muddini yakatonda ebibinja nebibinja”.
Obusiramu – muntandikwa – bwaali bubaagalamu ekintu kimu kyokka: okukakasa nti katonda ali omu, ne muhamad mubaka wakatonda, awamu nokwesigalira kubyobuwangwa byaabwe nempisa zaabwe, era Nabbi (s.a.w) teyabateekako kifuba kuleka mpisa zaabwe.
Mazima okugulumiza abantu abebitiibwa nokukungaana olwokujjukira okufa kwaabwe, nokukunganira mubifo byebaaziikibwaamu, nokwolesa okwagala gyebali..., byonna byaali – nokutuusa kati – bimanyiddwa munsi yonna era nga abantu babikola.
Mumulembe gwaffe guno nagwo olaba abantu bangi mubu-vanjuba nemubugwa bwaawyo nga bayimirira amasaawa olwokulinda okulambula emibiri egyekitiibwa nentaana ezabakulembeze baabwe era nebakulukusa n’amaziga kubanga bakimanyi nti eyo eri emu kungeri eyokubagulumiza nokubawa ekitiibwa.
Nabbi owekitiibwa teyamala kunonyereza nzikiriza z’abantu nampisa zaabwe okusooka alyoke abakkirize okuyingira obusiramu wabula yali ab’agalamu “Shahadah” yokka. Era singa enkola yaabwe gyebaaliko yali nkyaamu, Nabbi (s.a.w) yalibadde abateekako akalombolombo akokugyireka balyooke bayingire obusiramu Naye bwekityo sibwekyaali.
4- Mazima Nabbi Isa (a.s) yasaba katondawe abeere nga amussiza ekijjulo okuva muggulu, era n’atwaala olunaku olwo nga Yidiye n’abagoberezibe.
Quran eyekitiibwa egamba – okuva kululimi lwa Isa (a.s):
“Ai omulezi waffe, tussize ekijjulo okuva muggulu kibeere ekyokujjukira kyaffe eri abo abaatusooka nab’oluvanyuma era kabeere kabonero akava gyooli era otugabirire (kubanga) ggwe asinga abagabi bonna”.([10])
Abaffe, ekitiibwa kyaNabbi (s.a.w) kyekitono kukijjulo ekyo isa kyeyafuula olunaku lwakyo okubeera olukulu olwokujjukira?!!
Bwebeera ensonga ekuzisa olunaku olwo nga kyekijjulo ekyassibwaamu okubeera nga kabonero kakatonda era ky’amagero okuva muggulu ..., abaffe Nabbi owobusiramu sikekabonero akasinga obunene era ekyamagero ekyemirembe nemirembe?!!
Nga bali wala nyo abo abakakasa nti olunaku olwassibwaamu ekijjulo lukulu era lusaana okujjukira – nga ate ekyaalimu ekikulu kwekukkusa embuto ezaali enjala – nebabeera nga balagajjalira olunaku katonda lweyassizaamu Qur’an ku Nabbi (s.a.w), n’olunaku lweyatumibwaamu, wabula nebafuula enkungaana z’omu baka okubeera bidi-a ne haraam!!
5- Katonda owekitiibwa agamba:
“Era twasitula ekitiibwakyo ekyokukwogerako”([11])
Mazima okuyimirizaawo enkungaana ngeri mungeri ezisi-tulibwaamu okwogera kuNabbi (s.a.w), era abasiramu tebalina kigendererwa kirala mukuyimirizaawo enkungaana mumazaalibwaage ne mukutumibwaakwe ne mikolo emirala okujjako olwokumwogerako nokwogera kubantu abomunyumbaye (a.s).
lwaaki tetugoberera Quran?!
Abaffe Qur’an sikyekyokulabirako kyaffe?!
Mpozzi ate tewabeerawo agamba nti okusitula ekitiibwa kyaNabbi kyeyawulidde kukatonda yekka tekibuna balala, kubanga ekyo kifaananako nekigamba: mazima okutaasa Nabbi kweyawulidde kukatonda yekka era tekisaana mulala yenna mubasiramu kumutaasa olwekigambo kyakatonda:
“Era katonda ajja kukutaasa olutaasa olwekitiibwa”.([12])
Obeera olyawo ekigendererwa mu Aya ezo kwekukoowoola abasiramu babeere nga bataasa Nabbi (s.a.w) nokusigala nga bamujjukira, bamwogerako era nenkolaye nga bajizza obupya.
Ekyewuunyisa kubasajja abawahaab ... kwekubeera nga baziyiza okukungaana kulwaNabbi (s.a.w) nemulunaku olwamazaalibwaage oyo eyanunula abantu bonna – kyokka ate nebakola enkungaana ezaamaanyi olwokugulumiza abasajja babwe n’abakulembeze baabwe, era nebafulumya obutotoba bwessente olwokugulumiza okuweereza kwaabwe nemirimo gyebakola.
Tunulako mu Magazine Faiswal, - akaafuluma mu Saud, Jidda – koogera kunkungaana ennene abakulembeze zebaayimirizaawo nga “Amiir Sultan” akomyeewo okuva mulugendo olwomubwengula bweyebagala “Discopre”. Era mulukungaana olwo, lwagendamu sente mpitirivu, n’ebigambo ebyoyogerwaamu byaali bingi, nokuwaana abantu ba Alsuud – okutwaliza awamu – nekuyitirira nomukulembeze – mungeri eyenjawulo – nekusukka.
Mubutuufu, nkulayirira katonda, owange ggwe omusomi, omukulembeze yaasaana okukolerwaako ebyo byonna – atalina kyeyakola okujjako okuwerekera akabinja kabagwiira mulugendo olwomubwengula olwateekebwateekebwa nabamerica – omubaka wakatonda nabeera nga yatasaana, oyo eyafulumya abantu okuva mukizikiza, n’abalaga amakubo agokufuniramu okwesiima n’ebitendo ebirungi era n’abawonya okuva mubuli kibi kyonna ekirimu okubula.
Abaffe Nabbi owekitiibwa, omubaka wobusiramu, takakasibwaako kumujjukira buli kiseera, nokunyonyola ebirungibye nebyo byeyakola nebyeyawa nokufaabikana mukkubo lyakatonda nebirala, olwokwagala emirembe egyomumaaso gyitegeere okuweereza okwaamaanyi Nabbi kweyatuusa eri ekibiina nebyo byeyawa n’ebizibu byeyatuukako ebbanga lyeyamala nga alimukulungamya ekibiina kino?!
Abaffe ate waliwo okugulumiza okutali kukola nkungaana kululwe nokusaasanya enkolaye nokukuutiira abantu okumugoberera nokugoberera obulungamuubwe n’okukuuma obuwufubwe?!
Era butya bwekitasaana kuwaana Nabbi (s.a.w), n’okwogera ebirungibye, kyokka netuwaana abantu nabakulembeze baabwe abatali okujjako ekizibu eri abalala.
Kukoonagana kwankolaki okwo okuli wakati webigambo byaabwe nenkola yaabwe – abawahaab – kwebalimu okwabuli lunaku?
Lwaaki bagaana okukungaana olwokukuza amazaalibwa gaNabbi owekitiibwa nga bekwaasa nti mumateeka gobusiramu tekiriimu awamu nokubeera nga bakungaana olwabasajja baabwe abebyobufuzi? Katonda agamba:
“bwebaba basanze abo abakkiriza, bagamba nti twakkiriza, naye bwebaba bazzeeye eri bannaabwe babagamba nti tuli wamu nammwe, mazima bali tubajeeja bujeeja. Katonda naye ajja kubasasula empeera mukujeeja kwaabwe era abaleke mububuze bwaabwe nga babutaabutana”.([13])
Mazima abasiramu baavadda nga bakungaana olwokukuza amazaalibwa gaNabbi (s.a.w). Dayyar Bakir agamba: “... bajja kusigala abasiramu nga bakungaana omweezi gwamazaalibwa gaNabbi (s.a.w) era nga bakola embaga, nga ba saddaaka mubiro byaagwo ebisaddakibwa ebyenjawulo, nga boolesa essanyu, nga bongera okukola obulungi, nga bafaayo nnyo okusoma amaulidige agekitiibwa, era nga buli kirungi kyonna kibalabikako olwekitiibwakye.”([14])
([1]) Afatihul majid: pg. 15. Munnaku zeyawandikiramu ekitabo kino, abasiramu baali bakungana – munsi zobusiramu zonna – nebakuza amazaalibwa gaNabbi owenkomerero omuwonya wabantu – Muhamad (s.a.w).
mufuti wa Alsuud – Ibn Baaz – yaziyiza okukungana kulwomukolo ogwo era n’agamba nti bidi-a. Naye mufuti oyo kenyini yayita Maliki Faiswal – nga akyaali mubufuzi – nti “omukulembeze wabakkiriza” ekyaletera abantu okusamaalirira, era Maliki yekenyini n’agamba nti erinya eryo terimusaana.
([2]) 21: 9.
([3]) 76: 8.
([4]) 7: 157.
([5]) Kitaabul mufradaatil Qur’an ekya Raagb, madda: Azar.
([6]) 12: 84.
([7]) 12: 94.
([8]) 42: 23.
([9]) Mazima hadith.
([10]) 5: 114.
([11]) 94: 7.
([12]) 48: 3.
([13]) 2: 14 – 15.
([14]) Tarekhul khamiis: Juzu 1, pg. 223.