Omuwandiisi yagamba nti : Shia ne “Taqiyah” kibiina kyaabulimba ekiyimiridde ku kuwalana n’okunyiigira omubaka (s.a.a.w) empalana yaabwe n’obulimba bwaabwe bukungaanira mu nsonga gyebayita oba gyeyayita “Taqiyyah”.
Tugamba nti : mukusooka twaayogeddeko kunzikiriza ya Shia muntandikwa mu bufunze, era tutegeeza omuwandiisi nti tamanyi nzikiriza ya Shia mubutuufu okujjako ebyo byaawulira obuwulizi oba byaasona okuva mu bitabo by’abalabe ba Shia singa okozesa obwenkanya n’amazima amatuufu yaalibadde tawayiriza nsonga nebweeba ntono nga sinnnene bweetyo.
Abo abakkiriza munzikiriza ya Shia Al Imaamiyah nga baganba nti kibiina kyabulimba era kiyimiridde kubulimba nga agamba nti era kuwalana mubaka (s.a.a.w) ekyo ssi kituufu , ekituufu kiri nti Shia kibinja mubantu abakkiriza katonda nti A’ly’omu era ne Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) mubakewe ddala, nebakwaata n’ebyo byeyajja nabyo era nebagoberera enjigiriza z’obusiraamu nga bagendera ku Qur’an ey’ekitiibwa n’abantu b’enyunba ya Nnabbi (s.a.a.w) nga bagendera kubiragiro bya katonda n’okwaanukula okukoowoola kw’omubaka nga bweyagamba nti ekibiina kyange (Abasiraam) “Mbalekedde ebintu ebizito bibiri ekisooka: Qur’an (ekitabo kyakatonda) eky’okubiri abantu benyumba yange.” munzikiriza ya Shia temuliimu kukkuliza bulimba era butwaaliba nga kimu ku mazambi amanene.
Qur’an yayogera kubulimba nti bubi era n’omulimba naye bwaatyo, n’aboogera hadith okuva ku Nnabbi (s.a.a.w) n’e Imam era nabo bakikasa nti omuntu oyo alimba mubi era akola kibi, naye ebyo byonna tebiteekawo kawagaanya na kuwaayiriza nti ekibiina eky’abashia kyaabulimba, singa omuwandiisii yasoma ekitabo mubitabo bya Shia yaalitegedde ekituufu kunsonga eyo, naye obusosoze bwe bumutuma okukola n’okwoogera by’atamanti bw’ebityo.
Wabula kunsonga ya “Taqiyyah” tuddamu nga tugamba nti tekiri mubintu Shia bye yagunjaawo oba by’ekyagunjaawo nga omuwandiisi bwaagamba era “Taqiyyah” teky`eyawulidde madh-heb nga bwakitwaala wabula kiri munjigiriza za “Qur’an” ey`ekitiibwa era eky`ogerako mu a`ya nyingi nyo. Bwekiba ng`abashia Qur’an gyebagoberera nga bw`eyigiriza ekyo kiba kiva mu kubbo golokofu.
Mu surat “Nahl” (16) aya 106 ne mu surat Ala Imraan (3) aya 28 ne mu surat Al Gaafir (40) aya 28 Qur’an ekutegeeza nga taqiyyah entuufu era ne mu aya ezo mulimu okuwaana aba akoze taqiyya era n’okubasuuta.
Taqiyyah: yengeri omuntu gyeyeeyambisaamu okusobola okweekuuma okutuusibwaako akabi olw’okutya kulwe ddiini ye oba omwooyo gwe oba ekitiibwa kye ne mmaali ye awali buli yenna gwaaba akakasa nti asobola okumutuusaako akabi singa aba teyeeyisizza bwaatyo era ekyo kintu kiri mubutonde eri buli muntu era singa n’omuwandiisi ono atuukako mu biseera ebyakazigizigi ebizibu ebizikiriza obulamu bwe oba eddiini ye waalirabye nga naye addukira eri taqiyyah era nga tewali kubuusabuusa mukyo, olwo yaalitegedde nti ky’amagezi era kiyamba okuwewusa obulamu wonna n`engeri yonna gy`abaalimu.
Abamanyi abasinga aba Sunni abakulu bakkiriza ensonga eno era baagiwandiika mu bitabo byaabwe ebikulu eby’amateeka, nekibeera nti “Taqiyyah “ky`abutonde te ky’awukana kuddiini wadde n’amagezi era tekiriimu bunnanfuusi nga omuntu omubi bwayinza okukinyonyola. Ekigendererwe mu taqyyah kw`ekuuma mubuzibu obuyinza okutuuka kumuntu, eddiini oba kukitiibwa kye wamu n’emmali ye.
Engeri eno eya (Taqiyyah) erina obulombolombo n’ebiseera w`etedwa okukolebwa nga abamanyi b’amateeka bwebanyonyola mubujuvu ensonga eyo, n`ensonga eyaviirako Shia okwekwata enyo ku taqiyyah lwaakubanga abashia okuva edda nedda bafunanga obuzibu okuva mubalabe baabwe era bagezaako nyo okubatta nga babalanga bwerere.
Bwebanyonyola mu by’amateeka tekiri nti buli kiseera bula buli mulembe buli kifo oba buli ngeri, kubanga waliwo ebifo, ebiseera n’omerembe wetusobolera ddala okukozesa engeri ya “tuquyyah “, abamanyi b’amateeka kulundda lwa Shia banyonyola ensonga eyo mubujuvu, naye ensonga eyaviirako okutwaala Shia ne taqiyyah lwaakuba nga abashia okuva edda n’edda b’aalinga basoma era nga basanga obuzibu okuva kuludda lwaabalabe baabwe, ne kisembayo obutono okugezaako okubasirisa baleme kwoogera mazima era bangi baawaayo obulamu bwaabwe mukuyimirizaawo amazima nga ebyaafaayo by’obusiramu bwebigamba, soma ku byaafaayo olabe kiki yazid mutabani wa ma’awiya naabo abajja oluvanyuma lwaabwe mu baana ba ma’awiyah ne ba abaasiyah (Ab’ekika kya Abbass) abaakulembera obusiraamu emyaaka egissukka mu 400 naye nga bonna baali nga buli ajja ayaniriza abashia nakubatta bussi, na kubasiba mumako mera nga tewali kyebaali babalanga okujjako okukkiriza okugoberer`abantu benyumba ya Nnabbi (s.a.a.w) ekyo kyaaviirako..abashia. abashia okuleranga ku taqiyyah lwookweekumu okukuuma n’okukuma eddiini yaabwe wamu nekitiibwa kyaabwe.Wano tetuli .mukunyonyola kawonvu nakagga twalibadde tulaga kiki abamanyi ba shia kyebaawandiika kunsonga eyo mubitabo byaabwe ebyamateeka, omusomi waffe oyinza okusoma ebitabo by’abamanyi abo weetuukire kumazima owone okulumwa omutwe n’ebigambo ebyoogerwa wano nawali.