back

ENZIKIrIZA YA SHIA KU MUTIA1 (Obufumbo obwekissera)

next

 

 

Omuwandiisi yagamba nti ; Enjawulo wakati wa Shia ne Sunna teri mukubeera nti obwenzi bukkirizibwa mu ddiini, wabula mu ba Shia bubuyita “Mutia”.

Ffe tugamba nti omuwandiisi talina kyaatya mukuwayiriza katonda, bwekitaba ekyo kitabo ki mubitabo bya Shia mweyasanga nga bakkiriza obwenzi?! ebitabo bya Shia wonna munsi bijjudde naye nga bonna beegatta mukugamba nti obwenzi bwaaziyibwa muddiini era kyaakivve nyo ddala era kirimu obusungu bwa katonda oweekitubwa. era nebanyonyola amateeka agakwaata ku nsonga eno eya “Mutia” era nga n’okuddamu kunsonga ya mutia (Obufumbo obweekiseera) ekusooka kiri nti:

1- Mutia ssi bwenzi

2- Ekyookubiri: Mutia gumu   kumiteeko gy’obu-fumbo, okujjako obufumbo bwa mutia bulina akalombolombo ako`kkiriziganya abafumbiriganwa ku kuseera kyebaba baagadde, nekibeera nti mutia bufumbo bwaakiseera, era kubeerako obulombolombo bw’obufumbo kyebwawukanamu kwe kuriziganya kubbanga n’amahare era nga buyitibwa obufumbo bweekissera.

3- Ekyookusatu:- Abashia tebagamba butuufu bwa “Mutia” Okujjako luvanyuma lwaakubeera nga balina obukakafu n’obujulizi okuva mu Qur’an ne Hadith za Nnabbi (s.a.a.w) nga bweesembesa aaya okuva mu Qur’a’an Surat:t Nisa a’aya: 24 (4:24) “Agamba katonda oweekitbwa nti : “Naabo bemuba mweesanyusizzanabo mukyaala mubawenga empeera yaabwe(amahare) kunsonga eyo soma Ebitabo bino:

* Tafsiir Abi Hayyan Ejjuzu, 3: 218.

* Tafsiir Al Bagawi Ejjuzu,: 1: 414

* Tafsiir Attwari, Ejjuzu, 5: 9

* Tafsiir Azzamakh-sharey, Ejjuzu, 1: 519

* Tafsiir Ja’mi-ul Ahkaam eya Qurtubei, Ejjuzu 5: 131 -132

* Tafsiir Al Bayidhaawi, Ejjuzu 1: 336

* Taf-sir Al Suyuutwi: Ejjuzu ey`o munaana Olup.: 140

Bonna abavvuunizi ba Qura’an gabakozesa hadith za Nnabbi (s.a.a.w) baaleeta okakafu kunsonga eno, mubo mweemuli: -

* Swaheeh Muslim, 4: 45-46.

* Jamei Taarekh Ibn Athiir, 2: 334 - 335.

* Shaheeh Bukhaar, 5: 158.

* Swaheeh Muslim, 4:131.

* Jameu-l Usuul Ibn Athiir ; 11: 444 - 447

* Swaheeh Muslim, 2: 1022 hadith No 1405 omulyango, okuwasa okweekisseera.

* Swaheeh Muslim, 2: 1023. Walimu ne hadiith nyingi eziri mumakulu gano soma:

* Swaheeh Tirmidhi, 2: 21, n’ejjuzu 7, Olup.: 206.

* Muwatwa-a Mal’lik, 2: 30.

* Ahka’mul Qura’an eKya Jasswaas, 1: 342 - 345 ne mujjuzu eyookubiri (2) Olup.: 178-179.

* Ne Fakhri Razzy mu kunyonyola a’ya eyo eya mutia nga agijja ku Muhammad Ibn Jarir Twabari nga eva ku Ali Ibn Abi Twaalib (a.s) yagamba: “Singa Umar teyaziyiza “Mutia “tawaalibadde aayenda okujjakko omwoonoonefu”. Tafsiir Al Kabiir diin Raazy “ejjuzu 10, Olup.: 51.

- Ekyookuna: Tukitegeera nti “Mutia” kituufu ku lwa aya ya Qur’an ne hadith za Nnabbi (s.a.a.w) ow`ekitiibwa, era ne ba swahaba abakulu okujjako Umar yeeyaziyiza mutia mubu kulembezeebwe naye tekirimu kubuusabuusa nti ekigambo kya Qur’an ne Nnabbi (s.a.a.w) kyeekikulembera kikigambo kya Umar, kati ngeri ki omuwandiisi gy`awaayirizaamu nga`gamba nti abashia bakkiriza obwenzi?! Omuwandiisi teyamanya nti mutia kirala n’obwenzi kirala.

Omuwandiisi yagamba nti : Waliwo enjawukana wakati wa Sunna ne Shia nyingi nyo munzikiriza ez’obukaafiiri obwaddala.

Tugamba nti, ensonga eziviirako omuntu okuba omukaafiiri owoolwaatu zaayogerwaako mubitabo by’amateeka ne mubitabo by’enzikiriza nga ne kuzimu kukuwakanya okubaawo kwa “Katonda”ow’ekitiibwa n’okulimbisa Nnabi (s.a.a.w) oba okuwakanya ekimu kw’ebyo ebintu ebyaakakata nti byaamuddiini okugeza nga eswala n’ebifaananako n’ebyo, kyokka aba Shia bakkiriza okubaawo kwakatonda mu bw’omubwe era nebakakasa nti ne ba Nnabbi bonna katonda beyatuma n`ebyo byonna byebajja nabyo bituufu okuva ewa katonda.

Basaala n’esswala zonna ezaalaalikwa mu biseera byaazo ne bekola na byonna ebyaalaalikwa mu ddini nga amateeka bwegalagira beesembesa ekitabo ekitukuvu “Qur’an “kati ssebbo obukaafiiri mweebyo bweebuliwa?! Era nga bwetwaagambye nti bwewabaawo enjawulo (Wakati wa Shia ne Sunna) ezzibwa kunsonga ya khalifah n’obukulembeze oluvanyuma lwa Nnabbi ow’ekitiibwa (s.a.a.w) ate nga tukimanyi fenna nti okugamba omuntu nti ovudde ku ddiini oba nti mukaafiiri kuddiini gwe naawe gyootomanyi bulungi sikintu kitono, kyokka omuwandiisi ayanguyirwa atya okuwaayiriiza abo bebaawukana naye muntegeera nendowooza nti baba bakaafiiri omuwandiisi asaanye atye katonda mw’ebyo byayogera.

 

 

 

Index