back

SHIA NE BA SWAHAABA 1

next

 

Omuwandiisi yagamba nti : Waliwo mubibinja bya shia ebirina enzikiriza ez’njawulo era nga zeeyawulidde.

Tugamba nti : Ffe tutufaayo ku buli kibiina kya Shia kyonna era nga twaagala ebigambo bya ffe bibeere ku Shia Al Imaamiyah oba Al Ithna Asharia bokka kulwookuba nti Shia kirina ebibiina bingi nga ekibiina ky’abasunni bwekirina ebibiina ebirala ebingi ebirina enjawukana ennene wakati waabyo, era omuwandiisi ayongera n’agamba nti byonna ebibiina bya Shia byeegatta kunsonga y’okuvuma wamu n’okusonga ennwe mu ba swahaba nga: Abuubakar, Umar, Uthuman, Muawiya, Zubair, Twalha ne Abi Huraira.

Tugamba nti enzikiriza ya Shia Al Imaamiyyah eyeesigamira ku Qur’an ne Hadith wamu n’amagezi era nga kwebapimira ensonga yonna nabuli muntu era ssinkola yaabwe bbo aba Shia okuvuma wadde okuvvoola Swahaba yadde omuntu omulala yenna owaabulijjo, ate ku swahaba wo kiyitirira kubanga yye agulumizibwa naye nga tetweerabira nti baswahaba baali bantu balijjo tebaali ba Nnabi n`oly`ekyo twaasaanga nti mwaalimu abaalina Imaan ennyingi ddala era eyaawaggulu okugeza nga Abu Dharri, Miqdaad, Biraal, Amaar Ibn Yassir n`abalala, at’era nga mulimu baswahaba abaalina imaan ennafu era nga ne Qur’an ey’ekitiibwa yaboogerako era katonda yagamba nti bannanfuusi mu surat baqara aya 101.

Katonda agamba Nnabbi we nti : “Mubantu b’e madiina mulimu abaalemera kubunnanfuusi gwe tobamanyi ffe tubamanyi.” era n’esuula namba yakka kubantu abo katonda ow’ekitiibwa ya gaana Nnabbi (s.a.a.w) okubasaalira wadde okubasabira okubasonyibwa ebyoonoono nga baffudde. Ensonga eyo neeyolefu mu kitabo ky’amateeka “Qur’an”.

Okusinziira ku kwoogera kwa Qur’an okweeyerefu Shia Imamiyah tebagaana butuukirivu na butasobya bwaaba swahaba (a.s) kyokka ekyo tekibajjisaako bonna kubeera nti tebawubwa nga abantu abalala okujjako abo obujulizi bebwaakakasa nti bo tebawubwa era nti b’awukana n’abantu abalala nga ekyo kyeeyawulidde bantu ba mu lulyo lwa Nnabbi (s.a.a.w) abo beyayogerako mu hadith “Thaqalain” ebizito ebibiri byeyatulekera tubeere nga togoberera beyafaanaanyiriza nga ery`ato lya Nnabbi Nuuhu (a.s) nti buli muntu yenna alirinya eryaato eryo wakuwona era buli yenna alyawukanako waakuzikirizabwa era waakubeera mububuze soma “Mustadrak Al Haakim” ejjuzu ey’okusatu Olup.: 151, omulyango gw’okumanya ba swahaaba.

Kyeetaagisa omuwandiisi ono n’abamufaanana okukozesa obuzira okukkiriza amazima gano getukakasa okuva mu byaafaayo nti eky`abaswahaba benyini bokka nabokka baayawukana ne batuuka n’okweetemamu ebitala nga bwetwoogedde emabega. okusinziira kunsonga eyo kitegeerekeka ekifo kya Shia kuba swahaba nga “History”ebyaafaayo bwe byaatuterekera amazima kubuli omu, olwo nebalyooka balamulwa okusinziira ku mateeka g’eddiini n’amagezi.

Tutegeeza omuwandiisi nti “Shia” tebalina mpalana naba swahaaba era bagulumiza oyo eyakuuma eddiini kyegaamba n`agikolerera wamu n`erinyalye. Tekiri nti abashia”Imaamiyyah” bavuma buli swahaba, ekyo sikituufu naakatono era nekyagamba eky’okuvuma kyaatandikibwaawo na muawiya Ibn sufyaan kumulembe gwe bweyalagiranga okuvuma swahaba omukulu omusika waNnabbi (s.a.a.w), era omukulu w’abakkiriza Ali (a.s) ng’alagira bamuvume ku buli kituuti “Mimbal” (Kituuti) munsi wonna okumala ekiseera kinene ddala, okutuusa bwekyaafuuka enkola enkola egobererwa abawandiisi b`ebyafaayo baawandiika ebyo byonna abusufyaan bye yakola abagoberezi ba Imam Ali (a.s) mukubatta n’okwookya enyumba zaabwe, omuwandiisi amanyi muawiya kyeyakola “Hajari Ibn Adie” ne banne bonna bwebaagaana okukolimira n’okuvuma Imam Ali (a.s) ?. Oba amanyiiyo omulala eyawamuzzukulu wa Nnabi Imam Hassan (a.s) Obutwa, Era natta ne Muhammad mutabani wa Abu Bakar khaliifah eyasooka atali muawiyah Ibn Sufyaan???.... Omuwandiisi amanyiiyo omulala eyatta Imam Husein(a.s) eyatuma egye (Ejje) okugenda okwoonoona ekibiina kya Nnabbi (s.a.a.w) emadiina wamu ne “Kaaba “eyeekitiibwa atali Yazid mutabani wa muawiya kirungi asome ebyaafaayo alabe ebyenyamiza abaana ba muawiya ne umayyah byebaakola.

Kyokka bwaaba amanyi byonna tuyinza kukakasa tutya obutuufu bwa muawiya n’abamufaanana? Eno yesonga omuwandiisi gyaalina okussaako essira osobole okulunyamya eri ekituufu era yensonga lwaaki abashia (Imaamiyyah) tebalina buzibu kulundda luno kubanga balamula bulimuntu okusinziira kumirimu gye gyeyalinga akoleranga obusiraamu era n’ebyo byeyakola nga Abasiraamu nga akozesa amagezi n’amateeka g`eddiini nga bwegalamula awatali kweetooloola oba kweerabira nakutunula kuludda luno oba luli.

* Yagamba omuwandiisi nti : Baswahaba bantu bakulu era baddala lyawaggulu ne qur`aan yaboogerako....

* Tugamba nti ffe Abashia tetugaana ddaala lya baswahaba eryaawaggulu mukubeera ne Nnaabi (s.a.a.w) nga akyaali mulamu mumulembe gumu mukibuga kimu, ekyo kyaamumadala agawaggulu naye tetweerabira kweebuuza nti ekyo kyokka kimala, oli nebwaakola ebyambyoone oba kyeetaagisa okukola n’emirimu gy’obukkiriza n’obulongoofu? Bwekiba nga bweekityo bwekiri tewali asinga mukaziwe naye Qur’an eyeekitiibwa etutegeeza nga etukubira ekifaananyi kya mukyaala wa Nnabbi Lout (a.s) katonda agamba mu suura: Tahrim Aya: 10 (66:10).”Katonda abakubira ekifaananyi ky’abatakkiriza (ku) mukyaala wa Nouh ne mukyaala wa Lout baali (Abakyaala bombiriri) wansi w’abaddu (Babba babwe) abalongoofu naye bbo nebabakumpanya nebatagasa eri katonda kintu kyonna, katonda n’abagamba nti muyingire omuliro nebayingira “nabweekityo tetugaana bukulu bwa ba swahaba nayekyokka obwa swahaaba obutuufu buliko obulombolombo so ssi buli yenna ayitibwa swahaba nti Qur’an yamwoogerako nga emuwaana n’abulungi nga omuwandiisi bwaagamba. Tulina okujjukiza nti mwaabo abaabeera ne Nnabbi (s.a.a.w) mu ba swahaba mulimu abaalemera kubunnanfuusi era ne Qur’an nekyoogerako nga bwetwayogeddeko emabega, n’olweekyo Qur’an ewaana ba swahaba ba Nnabbi (s.a.a.w) abo abaakolerenga kunkola ye gye yayigiriza nebatagyaawukanako wadde okusuula amateeka geyajja nago.

Nnabbi yayogera kunsonga eno nga agambanti : “Bayitiridde abannimbisa, nti oyo (omuntu) annimbisa nga agenderedde yeetegekere ekifo kye mu ggeyeena (Omuliro).

Tulaba nti abaalimbisa nga Nnabbi (s.a.a.w) baali kumulembe gwe abo betuyita ba swahaba abatwalibwa okuba nti ekigambo kye n’ekikolwaakye nsibuko ya mateeka, tusobola tutya okutwaala omuntu nga oyo Nnabbi (s.a.a.w) gweyayogerako nti waamumuliro (Geyeena) nti mukkiriza era Qur’an yamwoogerako era nga emuwaana.

Omuwandiisi yagamba nti : Empagi luwaga n’omusingi gw’okufunirako okusaasira kwa mukama katonda olunaku lwenkomerero kwekugoberera obusiraamu nga ba swahaba bwebaabuyimirizaawo oba nga bwebaabuyigiriza, era nga kati obusiraamu kwebutandikira”.

Tugamba nti : omusingi gw’okufuna okusaasira kwa katonda oweekitiibwa olunaku lwenkomerero kwekukola ebyo katonda (S.W.T) byeyalagira n`okuleka ebyo ebyeyaziyiza nga Nnabbi (s.a.a.w) bweyajja nabyo nga katonda bwatulagira mu suura Al Hashri Aya (58:8) agamba nti : “Ebyo byonna omubaka byeyajja nabyo, jemuli mubikwaate (Mubikolereko) ate byo byonna byeyabaziyiza mu byeewale “(katonda yayogera   mazima) awatali kuba nti okumanya kwabaswahaaba kuyingiramu. kijja kitya okubeera nti mpagi ng`ate tukimanyi nti ba swahaba baayawukana oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) nga amaze okubavaako., Nebaawukana mweebyo byeyayogera (s.a.a.w) nemw`ebyo byeyabayigirizanga, era tebaakoma awo naye nebajjamu obutakkaanya, kati tuyinza kubagoberera tutya bonna awamu ng` ate tebakkirizaganya bokka nabokka?

Ekituufu kiri nti Nnabbi (s.a.a.w) yatutemera ekkubo eryo lyeyatugamba nti tukwaate oba tugoberere nga nekkubo eryo y’enkola ya Qur’an nabantu benjuuye abo ab’olulyoolwe nga era bwaatutegeeza Nnabbi mu hadith ye ey’ebizito ebibiri era nga bwaali nti yalonda swahaba ate nga mugandawe, mukoddomiwe Imam Ali (a.s) okubeera omukulembeze w’Abasiraamu oluvanyuma lwe (s.a.a.w) era nga Qur’an bweegamba olwo tusobole okugendera ku Qur’an kyeegamba. Ye omubaka agamba nti ye kenyini kyekibuga ky’ okumanya ate Ali (a.s) gweemulyango gw’ekibuga ekyo buli ayagala okuyingira mukibuga ekyo ayingirire oba ateekwa kuyita mumulyango agwo nga bwekiri nti Imam Ali (a.s) yee yali omulamuzi w’abasiraamu nga Nnabbi (s.a.a.w) bweyalonda ba Imaam abalala oluvanyuma lwe basobole okutereeza ekibiina eky’obusiramu oluvanyuma lwe, tujja kwongera okunyonyola ensonga eno jebujjako katono.

Omuwandiisi yagamba nti : Shia ky’ekibiina ekitwaalibwa okuba nti kye kyaateekateeka okutemula khalifa owookusatu Uthman n’olweekyo obutemu n’efujjo zempagi (Ebikolo) z’ekibiina kino.

Tugamba nti : Twaayogeddeko emabega abatta khaliifa oyo baali baswahaaba benyini nga ekyo tukisanga mu by`afaayo by’obusiraamu era singa omuwandiisi ono nga tannaba kuwandiika bino yasooka kusoma ebitabo byeebyaafaayo kyaalibadde kirungi n’asooka ofuna ekituufu.

Omuwandiisi yagamba: Olwookubanga ekibiina kino kyaazimbibwa kukuvuma na kunyooma ba swahaba era twesanga nga mubitabo byaabwe (Abashia) mulimu okuyigiriza okukkakanya ebitiibwa bya ba swahaaba.

Tugamba nti : Ba swahaba bbo benyini beebekakkanya bokka nabokka era nebaleeta enjawukana wakati waabwe bokka na bokka bwekitaba ekyo olwo enjawukana zaabwe mu saqiifa mu nyumba ya banu Saida nga balonde omukulembeze nga Nnabbi (s.a.a.w) amaze okufa aba Shia gyebataali yava kunsonga ki? Era kiba kitegeezaaki era entalo “Jamal ne swiffen “ne Nahrawaan ezo ezaali wakati waabwe bokka na bokka tuba tuzitwaala tutya? Era ba swahabaBeebamu mubo abatta bannaabwe okugeza nga Hijri Ibn Adie, Amrou Ibn Hamqui ne Maitham Atamaar Twalha ne Zubair wamu ne banne abamu mubaswahaaba abaakuliranga entalo nga balwaanyisa Imam Ali (a.s) kati ani mutuufu era mukyaamu? Era kisoboka kitya okugamba nti bonna abaafa n’abo abatta bannabwe bonna baali kubutuufu? Butya swahaaba ba Nnabbi (s.a.a.w) bwebattingana bweebatyo nebayiwa omusaayi kubintu Nnabbi (s.a.a.w) byeyagamba nga tewannayita na myaaka giwera nga abagambye ensonga ezo. Nabweekityo tugamba nti Abashia tebavuma ba swahaba wadde okubanyooma kubanga eddaala ly’aabwe lyaawaggulu, wabula ba swahaba benyini beebeenyooma nebavumagana era nebeetirimbula bokka nabokka. Era ebyo byonna abashia babisanga mu bitabo ebyeebyaafaayo ebya ba sunni okugeza nga: Tareekh Twabari: 4:207, Ibn Athiir 3: 487 n’ebirala. Bwetukisanga bwekityo mubitabo byabasunni tufuna ekituufu ekigamba nti ba swahaba bantu era ssibaNnabbi, mulimu abaasobya b’abataasobya ataasobya oyo tukwaata ebigambo bye nenkola ye ate oyo eyasobya bwetuleka enkolaye kibi? Oba bwetwoogera kubyeyeko oba nti yakola bubi kiba kibi, ? tuba tumuvuodde??! Oba tuba tumunyoomye??? ! Oba tuba olwo tumuvumye buvumi...???! Kyetuyina okumanya ekiri mubyaafaayo kiri nti ssibonna baswahaba nti baali kubutuufu.

Omuwandiisi yagamba nti : tewali kibiina mubibiina byabusiramu kirimbisa Nnabbi (s.a.a.w) nga bashia, oba nga ekibiina ky’abashia !!, mbu era bamusibako byaataayogera...

Tuddamu nga tugamba nti :

 (1) omuwandiisi akyeeyongera okukoonagana mubigambo bye kubanga mubigambo ebimu byaayogera Shia takitwala nga kibiina mubibina by’obusiraamu era abayita bakaafiiri ate mubirala abatwaala nga Abasiraamu (nga awo bwagambye) kiraga nti tagenderera bigambo bye.

 2) Ekyo kyaagambye nti abashia balimbisa Nnabbi (s.a.a.w) ekyo kyabulimba, sikituufu era bulimba bwaalwaatu kulwookubanga tewali ba madhhab malala baafaayo kukuuma hadith za Nnabbi (s.a.a.w) nga ba shia mubyaafaayo bya hadith, nekulweekyo baawandiika ebitabo omuli buli musajja yenna ajjibwaako hadith n’ebyaafaayoobye n’engeri hadith gyeyagifunamu okuviirala ddala ku mubaka. Era baawandiika n’engeri gyetusobola okweesigamira ku hadith eyo era hadith tekkirizibwa okujjako nga emaze kulabibwa nti ekkiriziganya ne Qur’an eyeekitiitbwa, bweeba nga eyawukana ne Qur’an tetwaalibwa  nga Nnabbi bweyanyonyora okuba ebigambo bye Nnabbi tebyaawukana na Qur’an, bweetyo ensonga bwebeera, wabula tekiri nga omuwandiisi bwagamba oba bwaalowooza.

Omuwandiisi yayogera nagamba nti : Eddiini eno ey’ obusiraamu egobereddwa okusukka mu myaaka 1, 400 n’okusukkamu okuva ewakatonda teyajjanga ndowooza yamuntu nakusalawookwe naye abashia tebalina wade mpagi oba ensibuko okuva mu Qur’an oba Hadith wabula empagi yaabwe eyimiridde kundowooza yamuntu asobola okutta ba swahaba ba Nnabbi (s.a.a.w).

Tugamba nti shia (Imaamiyyah) bakakasa nti beesigamidde ku Qur’an n’ebyo Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) byeyajja nabyo mu mateeka wamu n’enkola y’abantu b’enyumba ye eyo yensibuko y’abashia (Imaamiyyah) , ensibuko yaabwe wamu naamateeka gaabwe ko nenjigiriza yeddiini, wabula tekiri nga omuwandiisi bwaagamba nga abawaayiriza n’okubalimbirira. Shia (Imaamiyyah) beesigamira ku katonda oweekitiibwa nga bwe kyajja mu mateeka geddiini y’obusiraamu era munzikiriza yaabwe tebakikizaamu ekyookukolera kundowooza yaamuntu yenna (RAAYI) oba kyebayita okugwaanyisa (Istihsaan) nga bwekiri mu Madhheb amalala ag`ba Sunni bwebakola nga beesembesa mweekyo obukakafu obw’amagezi (Aqir) n’obuwandiike okuva mu bitabo byaba Sunni naye omuwandiisi ono tatya katonda nakamu mukuwaayiriza banne byaatamanyi, singa omuwandiisi asomako kubitabo bya Shia (Imaamiyyah) enzikiriza (Aqiida) n’eby’ amateeka (Fiqh) asobola okufuna ekituufu.

 

 

 

Index