back

ENJAWUKANA WAKA WA SHIA NE SUNNA

next

 

 

Omuwandiis yagamba nti : Ejanwulo eri wakati wAbasiraamu aba sunna n’abashia ssi ntononga bwebagamba abataasa bashia.

Tugamba nti: Enjawulo wakati wa sunni shia yesigamidde kunsonga yabukulembeze (obwa khaliifah) nga omubaka w’akatonda (s.a.a.w) amaze okuva mu bulamu bweensi, kubanga aba Sunni bagamba nti obwa khalifa (obukulembeze bweddiini) oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) bwakulonda bulonzi abantu bbo gwebaagala oba gwebaba bagadde adde mubigere bya Nnabbi atenga bbo abashia bagamba nti obukulembeze obwo tekiri ku kusalawo kwabantu, nga bweguli ku bwa Nnabbi nga abantu bwebasalirawo ani afuuka Nnabbi nabwekityo ku muntu adda mubigre bya Nnabbi (s.a.a.w) ku lwobukulu bwensonga nti oyo a’bazze mu bigere bya Nnabbi (s.a.a.w) aba ayongera kutwala mu maaso nkola ye namirimu gye mu kuyigiriza abantu n’okunyonyola amateeka eri abaddu ba katonda. bwekityo bwekiba omuntu alondebwa na katonda oyo amanyi obutuufu bwabuli muntu., asobola natasobola era oyo aani asaanira naatasaanira, kubeera mukulembeze wabantu. Era ensonga eyo abashia (Imaamiyyah) balina obukakafu okuva mu Qur’an eyekitiibwa, ne mu Hadiith za Nnabbi (s.a.a.w) obukakafu n’obujulizi obw’amagezi era nga obukakafu obwo buli mubitabo bya ba Ahli-Sunna nga abamanyi basunni benyini beebabuwandika era ne bakakasa nga bwe twaakulaze mukusooka.

Era yeeyo ensonga enkulu evaako okwawukana wakati wa shia ne sunna, enjawukana endala ezisigadde zesigamiddd ku buli kibiina muntegeera yakyo amateeka ne nzikiriza nga bweguli ku madh-heb amalala.

 

 

 

Index