back

EBIGAMBO EBIKWATA KU MADH-HEB GA SHIA

next

 

 

Omuwandiisi yagamba nti : Obushia bwaatandika nga kabina katono akeby’obufuzi ku mulembe gwa khalifah ow’okusatu Uthmaan bin Affan

Tugamba nti : Tekiri nga omuwandiisi bwagamba wabula obushia bwatandika kumulembe gwa Nnabbi (s.a.a.w) era nga y’eyasiga ensigo za shia ezaasoka nga bwatukikulaze mu Hadiith ezayogerwa abamanyi ba Ahli-sunna nga bavvuunula A’ya egamba nti : “Mazima Abakkiriza nebakola emirimu emirungi beebo abasinga obulungi mubitonde byonna. “nga era bwetukikulaze ku ndagiriro z’ebitabo ebirala ebijulira ensonga eyo.

Omuwandiisi yagmba nti : mukutandikawo kw’ekibiina kino (shia) kyaali tekirina kukwaatagana wadde okwekusa kunsonga z’eddiini.

Tugamba nti : Omuwandiisi byayogera tebiriina butuufu wadde n'akatono wabula kuwayiriza kwokka, kuba baswahaba ba Nnabbi (s.a.a.w) abaatiikirivu baali bayitibwa ba shia okugeza nga Aba-dharri Al- gaffaari (nga yeeyali omu kubantu omukaaga mubaasoka okukkiriza obusiiramu) , Salmaan faaris, Miqdaad, Ammar Yaasir Hudhaifah bin Yamaan, Huzeima bin Thaabit (nanyini shahaada ebbiri) Abu Ayyuob Al-answaar n’abalala baali ba shia nga bagoberera Imaam Ali (a.s).

Muhammad Kurdi Ali, agamba mu kitabo kye “khutwat shaami “ng’ate yye simushia wadde omuwolereza wabwe nti ; baangi mu baswaaba ba Nnabbi (s.a.a.w) abakulu baayatikirira nyo okwaagala Ali (a.s) nga ne Nnabbi (s.a.a.w) okyaali mulamu nga mubo mwemuli Salmaan Al-faarisi, eyagamba nti twawerera Nnabbi (s.a.a.w) enkolokooto okuba nti ye musomesa w’obusiraamu asooka, n’okukkiriza obwa Imaam (obukulembeze) bwa Ali (a.s) oluvanyuma lwe n’okumugoberera, Abi Sa-id Al-khdhiri yagamba nti abantu baalagirwa ebintu bitaano naye nebakolako bina nebaleka ekyookutaano bweyabuuzibwa nti ebintu ebina, yaddamu nti : “Eswala, Ezzakah, Okusiiba omweezi gwa Ramadhaani, N’okukola Hijja. “Nebamubuuza nti kyebaleka ky’ekiruwa? yabaddamu nti : “Okukkiriza obukulembeze bwa Ali bin Twalib oluvanyuma lwa Nnaabi (s.a.a.w)

Nebamubuuza nti nakyo kyaalaalikwa nga biri ebina? Yabaanukula nti yee ! Bwekiri era kyalaalikibwa nabyo.

Ne Abu Dharri Al Ghafaary ne Ammal Ibn Yassir ne Hudhaifat Ibn Yamaan AKhaziemah ibn Thaabit, Abu ayyub Al Answaary, Khalid ibn Saad Ibn Waqaas ne waqas Ibn Saad ibn Ubaada.

Beebo n’abalala  abayitibwa “Shia “kumulembe gwa Nnabbi (s.a.a.w) bwekiba nga bwekityo bwekiri butya omuwandiisi bwagamba nti “Shia “kyaali kibinja ky Ali (a.s) tekiriimu wadde okukwatagana ku diini?!.

Omuwandiisi yagamba nti waliwo owusajja gwebayita “Abdul-lah Ibn Saba’”yeeyali omuduumizi w’ejje eryaalumba khalifah owokusatu (Outhman Ibn Affan) nerimutta.

Tugamba nti : Buno bulimba bulala abalabe ba “Shia bwebabateekako oba abalabe ba “Shia “bwebateeka ku “Shia”. Ono omusajja (Abdullah Ibn Saba’a) abamanyi b’ebyaafaayo baayawukana mu bimukwaatako, abamu bagamba yaliwo era naabaako ebintu bingi ebikulu byeyakola, ate nga abamu bagamba nti omuntu oyo tabangawo mukissera ekyo, bagamba nti erinya baalirowooza bulowooza nebalyooka baliteekawo,n’akola ebintu ebikulu bingi nga “Doctor “Twaha Hussein bwabyogerako mu kitabo kye Al Fitnatur kubra era ne “Doctor “Ali wardie agamba bwaatyo mukitabo kye ekiyitibwa “Waadhu Twin Salaatwin “naabalala abatali abo bagamba bweebatyo kunsonga eyo.

Doctor Twaha Husein akomekereza nga agamba nti ensonga ya Abdul-lah Ibn Saba’a bagiteekawo kwagala kwoonoona “Shia “kyokka ffe tugamba nti ensonga ye oba ddala yaliwo nga ntuufu oba teeyaliwo nga kikyaamu tetujja kukifaako nyo.

Muhammad Kardi Ali agamba mukitabo kye “Taareekh Al Shia “(Ebyaafaayo bya Shia) Olup.: 10 ekyookugamba nti Abdul-lahibn Saba’a “yeeyatandikawo enjigiriza ya “Shia “era yaavako madh-heb gano atenga., Ekyo sikituufu naakamu era ekyo kuba kumanya kutono ku nsibuka ya madh-hab ga ba Ahlul-bait (SHIA) ,

Kimanyidwa nti n’aba madh-hab ga “Shia “bamwesamba era tebaliimu kubuusabuusa n’okwaawukana mukumuvumirira, atenga kimanyidwa nti obushia bwatandikira mu hijaz (Mu buwarabu) munnaku ezaassooka nga bwebayogera aboogezi betwaayo geddeko atenga mu “Demeshq “(Damascus) Syria era nayo bwaatuukayo mu kyaasa ekyaasooka okuva kukusenguka kwa Nnabbi (S.A.AW).

Jjuukira nti twagambye nti omuwandiisi ono (Muhammad Ali Kardi) ye simu Shia, era bwaaba awandiika awandiika amazima geyatuukako mu kumanya ebyaafkaayo.

Nensonga y’okuttibwa kwa khalifah owookusatu era mweebyo mulimu abamanyi abasunni byebataategeera era tebasobola kuleeta bunyonyofu kunsonga eyo obuyinza okukkirizibwa wamu n’okwesigamirako era kyeewuunyisa ba “Swahaba “abaasooka baaliruddawa? Era butya bwebaleeka omukulembeze w’obusiraamu attibwe nga tebamulwaaniridde wadde okumukuuma? Era nsonga ki khalifah attibwa bwaatyo? nga ba “Swahaba “weebali batunula?

Amazima gali nti nga bwe ky awandiikibwa mu bitabo by’ebyaafaayo nti baswahaba abamu baali mulukwe olwatta “Khalifah “owookusatu okugeza nga Twalha, Zubair, Aisha, Amrou Ibn A’swi nabalala beebaali kubamu abaasenda abantu okugenda okutta khalifah Uthman, Wesomere kubitabo eby’ebyaafaayo ofune ekituufu.

Nensonga endala etalekekayo, nti abawandiisi b’ebyaafayo nga bwebaawandiika nti ba swahaba abamu beetaba mu kutta khalifah Outhman Bwekityo bawandiika okujjulula Ali (a.s) okuba nti ye teyeetaba mu kuyiwa omusaayi gwa Uthman oba okuyamba abo abaamutta era Ali Yali tawagira kyakumutta era yali agezaako okulongoosa n’okubuulirira kyeyasobola okukola kunsonga eyo.

Agamba “Ibn Hadiid “mukitabo kye “Sharh Nahjul Balagha “Ejjuzu esooka (1) Olup.: 200 nti : mubaayiwa omusaayi gwa Uthman Ali (a.s) teyaliimu, ne “Twabarie mu kitabo kye ekimanyiddwa Taarekh Twabari ejjuzu yookuna (4) Olup. 318-418 anyonyola okuttibwa kwa Uthman nensonga ezaamuttisa.

Ibn Hadiid ayogera ekyaafaayo ky’okuttibwa kwa khalifah owookusatu, soma ekitabo kye “Sharhu Nahj ul - Balaghah “Ejjuzu eyookubiri Olup. 126-161.

Yagamba omuwandiisi nti Taata wa Abdullah Ibn Saba’a yali mu “Yahudi “nti era ne maama we yagenda emadiina naagezzako okufuna obukulu mu bufuzi oba mugavumenti y’obusiraamu kyokkka teyayitamu oba teyasobola,

Tugamba nti tusaba omuwandiisi atuwe ebitabo ebituufu mweyajja ebintu nga bino eby’okulimbirira ku “Shia “era nga kwatadde n’okuwaayiriza.

Yagamba omuwandiisi nti olwensonge y’okuba nti entandikwa ya Shia  eva ku Abdullah Ibn Saha’a kifuula okuba nti “Shia“ kyaatantidika nga kibinja kya bya bufuzi olw’okuba omutandisi wa kyo yajja emadiina ngaanoonya kufuga.

Tugamba nti ssibwekiri kubanga ensibuko n’omusingi gwa “Shia” n’obushia ye Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) so ssi Abdul-lah Ibn Saba’a nga tugeendedde kundowooza egamba nti yaliwo era yali muntu, nensonga y’okutta khaliifah owoo’kusatu eri kunsingo y’aba swahaba abamu.

Ensonga eno n’amazima gano okugoolesa eri abantu kyeetaagisa buvumu na buzira n’okulamula abantu nga ebyaafaayo bwebyaatukuumira amazima, ekyo tekubeera kulinyirira na kwoogera bubi bwaaba swahaba.

Omuwandiisi yagamba nti ekibinja ekiyitibwa “Shia” kyeekweeka mukugoberera Ali (a.s) nga  kisitudde bendera ya Ahlul-Bait era ekibinja ekyo “Shia” ky’awula oba kyeeyawula ku kkubo lyaaba swahaba ne sunna za Nnabbi bwebaamala okumutemula khalifah ow’okusatu nebategeerekeka nga “Shia” !!.

Tugamba nti omuwandiisi ono ayagala kuvvoola nakulinyirira ba Swahaba mu ngeri gyatalaba nti abantu abo abeekweeka -nga bwaagamba- baali muba “Swahaaba “oba nedda? bwebaba nga baali mu bo, ngeri ki omuwandiisi gyaayinza okugamba nti bayawukana kunkola entuufu nti baalibeekweeka mu ku goberera Imam Ali (a.s).

Ate bwebabeera nti baali tebali mu ba swahaaba ngeri ki bwayinza okuba Swahaaba omukulu Imam Ali (a.s) teyabagaana, n’abagoba oba n’abavunaana kyalibadde kirungi singa omuwandiisi abeera amanyi abo abaali beekweeka mu kuwagira Imam Ali (a.s) atenga bakyaamu- nga ffe bwetwoogera ba swahaba abakulu abaakazibwaako erinya lya “Shia”kumulembe gwa Nnabbi (s.a.a.w) - bwekiba nga ekyo bwekiri tugamba ntinno ono muwandiisi avvoola ba “Swahaaba”mu kiseera kyekimu nga ayagala kubaworereza, n’alabika nga anyonyola kunsonga gyaatamanyi.

Omuwandiisi yagamba nti : Ekibinja kya “Shia”kirina obubinja bungi obulala erabulina enzikiriza y’abwo n’enkola etatuukagana naakamu nabukkiriza yabusiraamu.

Tubanga nti Ebigambo ebyo tebitegeerekeka, kubanga ffe ebigambo byaffe biri ku “Shia Al Imaamiah” tebiri ku Shia oba ku buli kabinja akeeyita “Shia” tetuwakanya kubaawo kwabubinja nga Zaidiya, Ismaeriyyah n’ebirala, Naye ate tetugamba nti tebali mubusiraamu ebbanga lye bamalanga b’ayatula “Shahadatain” n’akola neebyo ebyaalaaliikwa abeera Musiraamu okujjako abo abajjululwa nga amateeka bwegalagira.Naye okugamba nti nga ekibiina kino bwekyaava kunkola y’obusiramu kitegeeza nti kyaava kunkola ya baswahaba ba Nnabbi (s.a.a.w).

Ebigambo bino teberina butuufu bwaabyo kubanga omutwe omukulu ogw’obusiramu gulikubuli muntu yenna ayatula “Shahaadatain” era n’ayimirizaawo ebyaalaalikwa mu dien, naye okwaawukana ku nkola ya baswahaaba ba Nnabbi ssi minzaani ya kwawulawo musiraamu naatali musiraamu ! olwensonga nti n’ebyaafaayo bitunyonyola nti enkola ya ba swahaaba (Ekkubo) te lyaali limu, waaliwo amakubo agasukka kulimu nti ne ba swahaaba benyini baayawukana newabalukawo nentalo mubokka nabokka okugeza nga olutalo lwa Jamal (Harbul Jamal) olwaali e basra wakati wa Imam Ali (a.s) ng’alwaanyisa Twalha ne Zubair wamu ne Aisha (Mukyaalawa Nnabbi) mumwaaka 36(A.H) - okuva kukusenguka kwa Nnabbi (S.A.AW) - n’olutalo olula lwee lwa “Swiffiin”mumwaaka 37 (A.H) okuva kukusenguka, n’olulala lweerwe Nnahrawaan. Entalo ezo zaali wakati waba “Swahaaba “bokka nebokka bwekiba bweekityo bwekyaali oba bwekiri ono omuwandiisi ayinza atya okufuula amazima g’abo mukwaawulawo ekubo lyaba swahaba lyaayinza okufuula minzaani y’okwawulawo omusiraamu natali musiraamu.

Era n’ebyo omuwandiisi byeyatuukako mukumanya kwe agamba nti Shia kimu kububinja oba obibibiina eby’obulimba, ebyo byeyatuukako sibituufu kubanga byonna tebirina bukakafu bumala kukakasa bulimba bwa “Shia “era ayinza atya okulamula nagamba nti aba Shia ba mumuliro?! Beebaani Nnabbi (s.a.a.w) beyategeeza nti oba bantuki beyali ategeeza nti ba “Swahaba” be nga tumanyi nti ba swahaba bennyini baayawukana era nebalwaanagana bokka na bokka?! Ani omutuufu mu ba swahaba betulabye nti baalwaanagana era ani mukyaamu?! Kubanga amazima gabeera ludda lumu tegabeera ku njuyi bbiri kunsonga yeemu mukiseera kyeekimu.

Omuwandiisi anyweredde kunsonga y’okutwaala ba swahaba okubeera minzaani mukusalawo ani musiraamu na tali musiraamu, kyokka yeerabidde nti ba swahaba bantu nga abantu abalala abatali ba Nnabbi, mulimu abatuufu era mulimu abakyaamu.

Okubeera swahaba wa Nnabbi (s.a.a.w) kitiibwa kyawaggulu naye tekitegeeza nti ba sbalinga ba Nnabbi nti tebaasobya era tebasobola kusobya, nga n’obukakafu kunsonga eyo kweekwaawukana kwaabwe bokka nabokka nebatuuka n’abamu okujjayo ebitala batemagane ! Eeyo yeemu kunsonga zenjawukana eziriwo kubanga okuwa ba swahaba ekifo kijjakubeeranti bo tebaasobya kiba kyaawukana n’ebyaafaayo ebyengeri eyo abasiraamu gyebaalimu nga Nnabbi (s.a.a.w) amazeokuva mubulamu.

Obutufu n’obwenkanyankanya bwoolekera emirimu gyaabantu bonna, ba swahaba n’abatali ba swahaba nga tugyoolese oba nga twoolekedde oba nga tugoberera amateeka (Sharia) g`eddiini oluvanyuma tulabe buli omu enkola ye, bweeba nga ekwaatagana namateeka g`eddini olwo alamulwe nti mutuufu ate oyo enkola ye eba ekontana oba eyawukana n’amateeka g’eddiini tukimanye era tukkirize nti mukyaamu awatali kwaawula nti swahaba oba nedda, ekyo bwekiba bweekityo nga bwekikoleddwa omuwandiisi n’abalala abamufaanana basobola okwa wulawo enkola entuufu.

 

 

 

Index