back

ENZIKIRizA YABASHIA ABAIMAMIYYA

next

 

 

 Mubufunze, wano katw’ogereko kunzikiriza y’abashia ab aIthina-Ashariyya, nga okunyonyola okusingawo tukulekedde akakisa akalala. Tugamba bwetuti:Abashia aba Ithina-Ashariyya bakkiriza nti katonda aly’omu bwannamunigina, yetongodde, y’eyesigamizibwaako obwetaavu bwabuli kitonde tazaala era t’eyazaalibwa, tewali kimufanana mu bumubwe, era tewali kimugattibwaako mukumusinza, atendebwa n’ebitendo ebirungi n’okugulumizi-bwa ng’okumanya, obusobozi, okwesalirawo kubuliky’ayagala era atendebwa n’obulamu, okwagala okuteeera okusookawo n’okusigalawo, n’okubeerawo olubeerara, era atendebwa namazima, okw’ogera, Katonda talimba era tawaayira etendebwa nebitendo ebijjuvu sso tatendebwa n’abatendo bikendeevu nga eky’okuba nti Katonda mugatte okuva mubitundu - Tundu, talabibwa tagattibwaako kintu kirala kyonna, takyukakyuka  lwakukyukakyuka kwambeera teyeetaaga era buli kimu kubitendo bino kiriko obujulizi obukikakasa ku Katonda okuva mu magezi ne mubitabo by’abashia eby’a-irimu y’okwawula Katonda (Kalaamu).

Era abashia bakkiriza nti mukama Katonda mwenkanya era taly’azamanya mukulamula kwe wadde okusaliriza, aw’empeera ab’amugondera era abonereza abamutemera okusinziira ku kigero ky’okujeema kwabwe, assa amateeka kubitonde okusinziira kubusobozi bwabyo, abonereza abaddube kwebyo byebaba balese nga babirinako obusobozi.

Sso sebyo ebirekebwa olw’obutasobola, talagira baddube kintu kyonna okujjako ekyo ekirimu obulungi gyebali, n’okuwona obuzibu, Katonda yensibuko y’ebirugi ate ebibi biva mu baddube, era Katonda takola bibi talyazamanya, era akolimira aba lyazaamanya.

Abashia bakkiriza nti mukama Katonda mukwatampola eri abaddube, nga nebimu ku biraga obukwatampola bwe kwekubanti abaddube yabaggulirawo omulyango gw’okwenenya nabagaana okutoma olwekisakye, nga bwagamba nti : “Abange abaddu bange aboonoona, temutoma erwekisakye kyakatonda, mukama Katonda asonyiwa eby’onoono by’onna “(Surat Zumara, Aya: 53).

Ate mu Aya endala n’agamba nti : “Mazima mukama Katonda tasonyiwa oyo yenna omugattako ekintu ekirala naye ng’asonyiwa oyo yenna ab’asobezza ekirala ekitali ekyo, eri oyo gwaba ayagadde”. (Surat Nnisa-a, Aya: 48)

Era Katonda y’ewaza (Abaadube) obujeemu. Nalaganyisa nebibonerezo, eri oyo aba ayawukanye kubiragiro bye, n’akola nebyo byeyaziyiza, era waliwo n’ebyokuyiga ebirala bingi byessiyinza kwanjuluza wano, by’oyinza okusanga mubitabo byabashia ebya Irimul- Kalaamu.

Era abashia bakkiriza nti okutumibwa kwaba Nnabbi, kusaasira kwa Katonda eri abaddube, n’obuvunanyizibwa bwababaka, kwekujja abantu mukizikiza okubazza eri ekitangaala, n’okubategeeza ebyakkirizibwa ebyaziyizibwa, ko okubalungamya eri okugondera Katonda, n’okubewaza okumujeemera okwo, saako okubalaga enkomerero yobujeemu.

Era abashia bakiriza ba Nnabbi bonna abatumwa mumirembe gyonna, ne Nnabbi owenkomerero ye Nnabbi Muhammadi (s.a.a.w) sso tewali Nnabbi yenna luvanyumalwe, Nnabbi oyo yatukiriza obubaka mubujjuvu, nga yatumwa nekitabo Qur’an nga tekiriimu bukyaamu bwonna, ngera, Nnabbi Muhammadi yaasinga abantu bonna, mubitendobye, nemumadaalage agawaggulu, ko obutuukirivu era nga yye kyekyokulabirako ekya wuggulu eri abantu bonna.

Era Nnabbi oyo teyakola kyonoono kyonna wadde ensobi nandiki okwerabira, mu buwangaazibwe, bwonna nga tannatumwa wadde oluvanyuma lw’okutumibwa nga Nnabbi.

Era abashia bakkiriza obwa (Imamat) okubeerawo kw’abasigire baNnabbi oluvanyuma lwe, nga nobusigire obwo bweyawulidde, bantu b’enyumba ye, nga nekikakasa ensonga eyo ye Quran ne Hadiithi zaNnabbi (s.a.a.w) ngera obwa Imamat kuba kugenda mumaaso n’okussamunkola enkola yabaNnabbi ngera Imamu alondebwa kuva eri Katonda era nga Nnabbi bwatayinza kulondebwa nabantu nabwekityo omusigirewe naye bwatyo alondebwa Nnabbi nakiragiro ekiva ewamukama Katonda.

Imamu olwokuba nti aba musigire wa Nnabbi ayina okuba nti tasobya teyerabira wadde okujeemera Katonda mumbeeraaze zonna nga neba Imaamu oluvanyuma lwa Nnabbi bali kumi n’ababiri (12), okusinziira mu Hadiithi za Nnabbi, namanya gabwe gegano: - Imamu Ali, Hassan, Hussein, Ali Bin Muhammadm Asswadiq, Muhammad Bin Ali, Arizwa, Muhammad Bin Ali Al-Jawadi, Ali Bin Muhammad Al-Haadi, Hassan Bin Ali Al-Askari, Al-qaa-Imu Al-Mahdi Al-Muntadhwari, yye (Al-Mahdi Al-Muntadhwar) waali mulamu naye nga talabika eri bantu, wakweyoleka eri abantu nga Katonda omukkirizza, alyoke abunyise ensi yonna amazima n’obwenkanya, oluvanyuma lwensi okumala okubunyisibwa obw’ononefu  n’obulya zaamanya.

 Kunsonga y’obwa Imamat, Hadiithi nyingi nnyo ezayogerwa abakwasi bahadiithi nga zijjibwa ku Nnabbi.

Nga nensonga y’obwa Imamat yensonga enkulu eyawula wakati wa basunni na bashia, kuba abashia bo bagamba nti ba Imamu balina kulondebwa nakatonda Nga ayisa mu Nnabbi we, abantu tebalina dembe lyakwerondera Imamu oyo, ate bo aba Ahli-Sunna, bagamba nti imamu alondebwa okusinziira kundowooza n’okwesa-lirawo kw’abantu.

Abashia kunzikiriza yabwe eyo besembesa obujulizi obwamagezi, ko n’obwo obujjululwa okuva mubitabo, ekyabatusisa n’okwesembesa obujulizi obuli mu bitabo bya ba Ahli-suna gamba nga: Swahihul Bukhari, Ejjuzu eyokusatu Olup. 86. Swahihu Muslimu ekyanyonyolwa nawawi ejjuzu: 8 Olup: 174, 175, 176, 177. Musnad Ahmad Bun Hanbal, ejjuzu 1 esooka Olup: 174, 175, 177.

Nebitabo byahadiithi ebirala. Era tukyayinza okugamba nti ensibuko yenjawulo wakati wabashia n’abasunni eva kunsonga y’abasigire ne ba Imamu oluvanyuma lwa Nnabbi wadde nga waliwo n’ezimu kunja wukana kuludda lwa Iimu ezimu nga Irimul-kalamu (Irumu y’okwawula Katonda) Usulu, Fiqih, naye nga ezo enjawukana nnafu tezibalibwa.

Era abashia bakkiria okubaawo kwokuzuukizibwa kwebitonde kulunaku lwenkemerero abantu bonna bayimirizibwe mubbaliro emirimu gyabwe gibalibwe, abamu baweebwe empeera, abalala bobonerezebwe, era abashia bakkiriza nti waliwo ejjanah n’omuliro mizaane ne swiratwa, era nga olunaku lwe’enkomerero Nnabbi ne ba Imumu bakuwolereza abamu kubaasobya kuno kunsi Katonda akkirize okuwolereza kwabwe. Ezo zempagi zenzikirza yabashia nebirala ebikkirizibwa bidda kuzo.

Mubufunze kandekere wano enzikiriza yabashia, nga bwenkutegezezza nti yeegamira kunyonyola n’obujulizi obusingawo mbirekedde anonya okumanya amazima nekituufu abisange mubitabo byabashia y’erolere amazima amasengenje sso sikuwuliriza wadde okusoma ebitabo byabalabe baabwe n’oluvanyuma nalyoka alamula abashia okuba abakyaamu era ababuze nga talina nakituufu kiyesembesa.

“Gamba nti lino kkubo lyange nkowoola okudda eri Katonda nga nsinziira ku kumanya nze kenyini nayenna aba angoberedde, atenderezemba mukama Katonda nange siri mwabo abagatta kukatonda ekintu ekirala “(Surat Yousuf: Aya: 108).

Amatendo gonna amalungi agatendebwa n’okugulumiza bya mukama Katonda omulezi webitonde byonna, okusaasira kwa Katonda kubeere kuNnabbi Muhammad (s.a.a.w) n’abantuenyumbayeabatukuvu. (a.s).

 

MUHAMMAD ALI AL-MUALLIMU

 

 

 

Index