back

Lwaki tugoberera amadheb gabantu benju yaNnabbi (Ahlul-Bait)?

next

 

Oluvanyuma lw’okwogera Riwaayaat enyingi ezi suuta abantu benju ya Nnabbi, n’egera bebookwesiima kulunaku lw’enko merero, netulaga n’ebimu kubitabo, mweziri, kiba kyeraga lwatu ensonga ekakasisa okugoberera amadhehebu ga ba Ahl-Bait era ddala gemadh-heb agamazima, agagobererwa abashia, nga bwekiri mu byafaayo, abo abaa tusibwako ebibonyobonyo ebyamanyi olwobutakyuka nawunjuka kuva kumazima.

Okwongera kwebyo byetwogeddeko gyebuvuddeko twesanga nga mazima ddala Quran yennyini yetulagira okugoberera abantu b’enju ya Nnabbi netukakasa oburungi bwabwe nga yetutegeeza nebifo bwabwe (Mu diini).

N’ekikakasa ensonga eyo byebigambo nebikolwa bya Nnabbi (s.a.a.w).

Mu Quran eyekitiibwa mulimu aya nyingi ezogera kunsonga eyo, muzo: (- Gwe Nnabbi bagambe nti : sibasaba mpeera olw’ okubatuusaako obubaka bwakatonda, okujjuko okwagala abantu b’enju yange) Ashura/23.

Ate mubitabo bbino:

1. Swahihir -Bukhari ejjuzu 5 olup 23, Baabu Manakibu Ali Bin Abi-twalibi.

2. Ahmad Ibin Hanbali ng’abijja mu kitabo Ihkaakir Hakki wa Izhaakir - Batwir (Ejjuzu 3 olup 2).

3. Thaalabi mu tafsiri ye era bijjiddwa mu kitabo Ihkaakir - Hakki waizhakir-Batwiri ejjuzu 3 olup 6.

4. Mustadrakir-Hakimu- Ejjuzu 3 olup 172. Twabu-A Esooka - Majlisi Da-Iratul- Maarufu Haidari Abaadi - Hindi (India) Omwaka 1341 H.

5. Twabari mu Tafsiir ye EjjuZ 24 olup: 15-16.

6. Tasiiri AL-Kashaafi Azamahshari Ejjuzu 3 olup: 466-467, Beirut - lebanon.

7. Jaami-ul uswuol Fi Ahadiithi Rasuol Ekya Bin Athier Ejjuzu 9 olup: 155, (daarul fikiri - beirut lebanon)

8. Al Fuswuolul - muhimmah Ekya Ibn swabaagh, olup: 121.

9. Adurrul - Al manthuol Ekya Suyutwi, Ejjuzu 6 olup: 6-7.

10. Yanaabii- ul Almawadda, Ekya Qanduozi Al hanafi, Ejjuzu 1 olup; 105 ne jjuzu: 2 olup: 19, Ekyaasooka okufuluma mu Istambul.

Bonna abo mubitabo byaabwe bagamba nti Aya eya (23: mu surat - shuora) bweyamala okukka abaaliwo baagamba ssebo omubaka wakatonda!  beebaani abantu be nnyumba yo? Nnabbi (s.a.a.w) yaddamu naagamba nti ye ALI, FATUMA, na baana baabwe bombiriri (HASAN, ne HUSSEIN).

Era nga kiri mulwaatu okuba obukakafu bw’okwa gala - mu aya eyogeddawaako - bukakasiza ddala obukakafu bw’ okugondera abaagalwa.

Ne Aya endala (61: Surat Ala-Imran) katonda mwagambira nti : (Nnabbi gamba nti mujje tuyite abaana baffe (Nammwe) Muyite abaana bamwe ne bakyaala bammwe, naffe kenyini (Nammwe) kenyini oluvanyuma tuwere mu maaso ga katonda nga tusaba asse ekikolimo kubalimba).

Aya eno emanyidwa nga aya yokuwera (Ayatul-Mubahalah) abavvuunuze ba Qur’an b’egatta ku kyagendererwa mu (Baanabeffe) mu aya eyo Hassan ne Hussein, (Bakyaalala baffe) kulaza eri fatuma. Era (Naffe kenyini) mu aya, ye Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) ne Ali (a.s) kino kiraga akamu kububonero obulaga eddeera ly’a Imamu Ali eryawaggulu, era nga yaddirira Nnabbi (s.a.a.w) mu bulungi, mukifo ne mubutuvu.

1. Muslim mu kitabo kye Swahihu Muslimu, ejjuzu: 7 Olup: 121 Twabu-A eye misiri.

2. Ne Ahmad Bin Hanbal nu musnad Bin Hanbal, ejjuzu: 1 Olup 185, daru Swadir-Beirut.

3. Twabari nu Tafusiiri Jami-ul-Bayani. Fi Tafsiirir-Qur’an, ejjuzu: 3 Olup 192 - Twabua-Misiri.

4. Ne haakimu - mu mustadrakul-Haakimu, ejjuzu: 3 Olup 150, kitabu maarifatu Swahaba. Ne Thaalabi nu Tafsiri ye, nga bijjidwa nu kitabo ihkaakul-hakki wa izhakul-batwiri, ejjuzu: 3 Olup: 49.

5. Ne Abu Naimul Asfahaan mu Dulair Nubuwa ejjuzu 2, olup: 455-458 mu mpaandiika eyasooka Beirut -Lebanon.

6. Al-wahid mu kitabo kye Asbaab nuzuol, olup: 59 - 68, Beirut -Lebanon.

7. Baghawi mu kitabo kye Ma-alim Tanziiri Fi Tafsiirir Qur-an, ejjuzu, 7 olup: 480.

8. Zamah-shari mu Tafsiiri ye Akashaaf, ejjuzu, 1 olup: 437 (daarul - maarifa Beirut)

9. Fakhri -deen Araazi mu Tafsiiri ye (Tafsiiri Al kabiir) ejjuzu 7 olup:85 Empaandiika eyasooka.

10. Muhammad ibn Ahmed Adhahabi mu kitabo kye Tal-khiisul musdrak ; ejjuzu, 3 olup: 150 Beirut.

11. Ne Al-jauzi mu Tazikiratul - Hawaswu, baab-athani Fi-Fazwa-iri Ali bin abi Twalib, olup: 24, Beirut n’abalala.

Ye muslimu munjugera ye agamba, Muawiya, Ibn Abi Sufuyan yabuuza saadi nti kiki ekyakuziyiza okuvuma Aba turaabi -(Ategeeza Ali (a.s) - Saadi yamuddamu nti :  buli lwenzijukira ebintu bisatu Nnabbi byeyamwogerako, nga siyinza kumuvuma era nga negomba nti singa ninako ekimu kubyo kyikisinga okwogalwa gyendi n’okusinga zaabu bubyobugagga,...Okutuusa lweya gamba nti : Aya 61 mu surat Ali-Imrane, bweyamala okukka, Nnabbi yayita Ali-Fatima Hassan ne Hussein, nagamba nti : Ai, mukama katonda bano be bantu benju yange, ate abavvuunuze ba Qurane bagamba nti ava eyo yakka, mu kuwere akwati wakati wa Nnabbi n’abanaswara be Nnajirani.

Nemuya endala mwemuli:

Aya214,SuratShu-ara-i

Aya67,SuratAl-Maidah

Aya3,SuratAl-Maidah

Aya44,SuratAl-Maidah

Aya33,SuratAl-Ah-Zaabu

Aya24,SuratAswafat

Aya207,SuratAl-Bagarah

Aya7,SuratAl-Raadi

Ne aya endala

Era okyayinza okusama mubitabo byetwogeddeko naddala ku aya ebbiri ezisooka (67 Ne 3 mu Surat Al-Maidah) Omanye amakulu ga aya ezo na kiki kyezitegeeza.

Ate zo hadithi ezogera ku bantu benju ya Nnabbi mpitirivu era tezibalika, muzo ;

1. (Nze mbalekedde ebintu ebizito bibiri ekitabo kyakatonda (Qur’ane) n’abantu benju yange) Swahihi Tirimithi ejjuzu 5 Olup 328 Twabua Beirut.

2. “Ekifananyi ky’abantu benju yange jemuli kifananako ng’eryaato lya Nooh (a.s) oyo yenna eyeebagala eryaato eryo yawona okuzikirira, ate aba alyesambye azikirira era n’asaanawo. (Al-Haaki mu mustadraki ye, ejjuzu: 3 Olup: 163).

3. “(Ali) gwe gyendi oli mukifo kya Haruuna (a.s) (kyeyalimu) eri Nnabbi Musa(a.s) okujjako okubanti tewali Nnabbi yenna wakutumwa luvanyuma lwange  (Swahihu Muslim, ejjuzu: 7 Olup: 120)

4. (Ali aliwamu n’amazima n’amazima gali wamu ne Ali era sibakwawu kana (Ali n’amazima) okutuusa lwebalinsisinkana ku luzzi kuluwaku lw’enkomerero. (Yanabi-Ul-Mawadda ekya kanduuzi Al-Hanafi, ejjuzu: 1 Olup: 53).

5. Ali aliwamu ne Qur-an ne Qur-an eri, wamu ne Ali sibakwawukana (Ali ne Qur’an) okutuusa lwabalinsisinkana ku luzzi, Kanzul-Ummaali ekya Alaa-u deen Al Hindi ejjuzu: 11: Olup: 653 Hadiithi 32912.

6. “Nze kibuga kyakumunya ate Ali gwemulyngo gwa kyo, oyo yenna ab’ayagadde okuyingira mu kibuga ky’okumanya asaana ayite mu mulyango... “(Shawahidi Tanziir, ejjuzu 1 Olup. 81 - 82 Hadiith 118 ne 121. Ne mukitabo Swawa-iqul - Muhriika: Olup. 37.

7. “Oyo yenna ayagala okuwangaala empangaala yenge era afe enfa yange abeere mu janah eyitibwa ``Aden`` mukama Katonda gyeyateeka teekeramu ebibala, akkirize obukulembeze bwa Ali (a.s) oluvanyuma lwange era akkirize obukulembeze bwoyo yenna Ali gwaliba alonze okukulembera era agoberere ba Imamu oluvanyuma lwange kubanga bbo bantu b’enju yange, baatondebwa mu bumba lyennatondebwamu, nebaweeba obutegeevu n’okumanya, okufaafaganirwa kuli era abo abalimbasa obulungi bwabwe, mu bantu bekibiina kyange abakutula obaluganda lwange mubantu benju yange ngaba mukama Katonda aleme kubafunyisa kuwolereza kwange. AL-Iswaba ejjuzu 1 Olup. 559.

8. “Oyo yenna ab’ayagadde okwebagala eryaato ly’okuwona (Ebibonerezo byakatonda) n’okwe-kwata ku mugwa omunyweevu, asaanye akkirize obukulembeze bwa Ali era amwagale, ate akyaawe abalabe ba Ali, agondere ba Imamu abalungamu abaava mu zadderye, mazima bo bebasigire bange be mbalaamidde era bbo beba julizi ba Katonda eri ebitonde bye oluvanyuma lwange, era bo bebakulembeze bekibiina kyange, era bebakulembeze b’abakkiriza eri ejjanah, ekibinja kyabwe kibinja kyange nebinja kyange kibinja kyamukama Katonda, ate ekibinja ky’abalabe babwe kibinja kyasitaani “(Yanabi-Ul-Mawadda ejjuzu 2 Olup. 83).

9. “OWange Ummu-Salama, Ali ava munze nange nva mu Ali, omubirigwe guva mumubiri gwange n’omusaayi gwe guva mumu Saayi gwange. “(Fara-idul-Samutwini ekya Ali Bin Muhammad Al-Juwaini ejjuzu 1 Olup. 150 babu 29, Beruti - Lebanon)

10. “....Yoo gwembadde nga ndi mukulembezewe, Ali y’emukulembezewe. “(Al-Manakibu ekya Hawarizimi Olup:222).

11. “Asinga okumanya nu (Bantu) b’ekibiina kyange ye Ali Bin Abi Twalibi. “(Yanabi-Ul-Mawadda, ejjuzu 1 Olup.216 Darul-Uswah).

12. “Omulamuzi wekibina kyange Ali.”(Yanabi-Ul-Mawadda - Olup. 84 Twabua essoka, Istambul).

13. “Ali gwe muganda wange, omusika wange omulamuzi munzikiriza yange (Diini) era omusigire wange oluvanyuma lwange. “(Al-manakibu ekya Shafi-e, Binir - nagaazi, Olup.261).

14. “Ali nukulembeze (Imamu) w’abalongoofu, era y’emussi w’abanonefu, amutaasa yenna aba ataasiddwa era yenna aba omukka kkanyizza, aba akkakkanyiziddwa, “(Kanzul - Ummali ekya Alla-u diini Al-Dindi, ejjuzu 11 Olup.602, hadiithi 32909, twabula ey’okutaano Beirut).

15. “Ali gyendi alinga Haruuna eri Musa okujjako tewali Nnabbi wakutunwa luvanyuma lwange. “(Al-Jami-Ul-Swagiiri, ejjuzu 2, Hadiithi 5597, Olup 177, twabu-a esooka).

16. “Ali muganda wange kunsi nekulunaku lwenkomerero. “(Al-Jami-Ul-Swagiiri, ejjuzu 2 Olup. 172 Hadiithi 5589, Twabu-a esooka).

17. “Ali mulyango gwanyumba aba agiyingiddemu abera mukkiriza ate ab’a gifulumye abeera muwakanyi (Mukaffiri) (Ekitabo ekyogeddwako hadiithi 5592 Olup.177).

18. “Ali lyetterekero ly’okumanya kwange, “eri mu kitabo ekyo’geddwako, Olup.177 Hadiithi 5593.

19. “Ali ava munze nange nva mu Ali, Tewali ayinza kussa munkola byensaanidde kussa munkola  okujjako nze kennyini oba Ali...”(Ekitabo eky’ogeddwako, Olup. 177 Hadiithi 5595).

20. “Ali gyendi Ali mukifo kyamutwe ku mubiri gwange “(Al-Jamiu Aswagiiri Hadiithi 5595 Olup. 177).

21. “Ali Ibin Abi-Twalibi mukulembeze w’oyo yenna gwembadde nkerembera...”(kitabo ekyogeddwaako, Olup: 117, Hadiithi 5596).

22. “Amazima gali n’oyo, Amazima gali n’oyo, “ALI (a.s)

23. “Ali yemulamuzi wenzikiriza (Eddiini) yange.”Ekitabo ekyogeddwaako Olup. 5601.

24. “Oyo yenna ab’anakuwazza Ali aba annakuwazza.”(Ekitabo eky’ogeddwaako Olup. 547 Hadiithi 8266).

25. “Oyo yenna aba ayagadde Ali aba anjagadde era yenna aba akyaaye Ali ab’ankyaaye. “(Ekitabo ekyo geddwaako Olup. 554 Hadiithi 8319).

26. “Ali ! Singa teyali gwe abakkiriza tebalitegeekese oluvanyuma lwange. “(Kanzul - Ummali ejjuzu 13 Olup. 152, Hadiithi 36477).

27. “Mazima ddala tekingwanira kugenda okujjako nga gwe musigire wange, “(Ekitabo ekyogeddwaako ejjuzu: 11 Hadiithi 32931 Olup.606).

28. “Endangiriro ye kitabo (Swahiifah) ky’omukkiriza kwagala Ali Bin Abi Twalibi.” (Kanzul- Ummali. Ejjuz: 11 Hadiith-32900 Olup. 601)

29. “...Okutunula mukyeenyi kya Ali (a.s.)  Ibaadah,” eri mukitabo wkyogeddwaako Ejjuzu.11: Olup.601 Hadiith:32895.

30.  “Okwagala Ali kusaanyaawo ebyoonoonong’omuriro bwegusaanyaawo  enku.” (kanzul-ummal, Ejjuz 11: Olup. 621 Hadiith: 33021.

31. “Omulabe-wa-Ali(a.s.) abeera-mulabe-wakatonda” -Kanzul-ummal, Ejjuz, 11:.Olup.Hadiith.32899.

32- “Wajjakubaawo effitina oluvanyuma lwange bwekiriba kitukiridde mweenyeze ku Ali, kubanga mazima yye yew’okwawula wakati wamazima n’obulimba. “(Kanzul-Umaali, Ejjuzu: 11 Olup. 612 Hadiithi 32964).

Okyayinza okudda mubitabo byetwogeddeko olabe Riwayati zino ezajjibwa ku Nnabbi (s.a.a.w) nendala nyingi, twogeddeko ebyokulabirako bitono olw’okwewala okuva ku mulamwa gwekitabo, katwerese n’ezo ku mulamwa gwekitabo, ery’oyo ab’awaddeyo amatuuge nga naye mujulizi.

Bwekiba nti abamayi ba Ahli Sunna, n’abakwaasi ba Hadiithi bayogera Riwaayati zino, nebaziwandiika nemubitabo byabwe nga bazijja kw’abo bebeesiga, abaffe; aba-Shia baba banenyezebwa olw’okukozesa okugoberera ko n’okwenyweeza ku makulu gahadiithi ezo !!!?. Ye abaffe mu kugoberera abantu benyumba ya Nnabbi (s.a.a.w) , nga beebo Katonda keyatulagira okubaagala mukitabokye, ekyekitibwa (Qur’an) n’okutambulira mubuwufu bwabwe ate Nnabbi (s.a.a.w) natukuutira okubekwatako, aba abaffe mukyo nulimu akamogo !!!?.

Era ddala abaffe ekyo kuba kwawukana (Kuva) ku kkubo golokofu eryo Katonda lyeyatuteerawo ne Nnabbiwe nalitunyonyola?!!!. Tekyandibadde kikakafu eri buli musiraamu okutambulira mu buwufu obwo?!!!

Mukama Katonda eyatutegeeza mu Qur’ane nti “Ekyo kyonna Nnabbi ky’aba abalagidde mukyenyweezeeko era nakyonna ky’aba abaziyizza mukyawukaneko”. (Surat- Hashiri: Aya: 8).

Era Allah natutegeeza nti “Mulina eky’okulabirako ekirungi nga mukijja ku mubaka wakatonda (s.a.a.w) (Surat: Sajida - Aya: 21) nabwekityo ffe abashi-a tuli ku nkola ya Nnabbi (s.a.a.w) tukola kyatulagira era ne tuleka kyonna kyatuziyiza, n’olwekyo enzikiriza yaffe ezimbirwa ku kulungamya kwa Quran, n’okussa munkola ebiragiro bya Nnabbi ow’ekitiibwa (s.a.a.w).

Kale oyo yenna atujwetekako eky’obukafiiri asanye atye mukama katonda, kuba ffe tugoberera Qur’an, Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) n’abantu b’enyumba ye, kuba obujulizi webuli obukakasa ensoga eyo.

 

 

 

Index