back

Hadith za NNABBI ku shia nobushia

next

 

 

Hadith za Nnabbi oweekitiibwa (s.a.a.w) zeya yogera mu kunyonyola obushia nemukukuutira abantu (Okubalaalika) okukwaata enjigiriza za Imam Ali (a.s) n’okugoberera nga Ali nga ye NNABBI amaze okuva mubulamu, n’okufuula enjigiriza za Ali (a.s) Okubeera omusingi kwebatambulira era n’okutambuliza obulamu bwaabwe obwensi n’eddini yaabwe, nyingi ddala, mubitabo byaaba “Sunna “n’aba “Shia”. Nga siba Shia bokka beebazoogera era tujja kukujjirayo kko kubamanyi aba “Sunna” abakulu era abaamanyi abaawandiika “Hadith” ezo mubitabo byaabwe eranga nabo bazikakasa obutuufu bwaazo nti zaavra ddala ku weekitiibwa NNABBI (s.a.a.w).

Jalaal-diin suyuutwi omukuukuutivu mu kuvunula Qur’an eyeekitiiibwa ne hadith za NNABBI (s.a.a.w) ayogera mutikabo kye kyebayita “Durarul- Manthuur “ejjuzu: 6: Olup. 379: “Hadith nga ejjibwa ku “Ibn Asaakir “n’agijja ku jaaber Ibn Abdullah agamba nti : Twaali awali NNABBI (s.a.a.w) Ali (a.s) najja nagamba (NNABBI (s.a.a.w) ) nti ndayira oyo eyaantonda ! mazima ono (Nga alaza ku Ali) nabagoberezi be beebangenda okweeyagala “Amakulu nti kulunaku lw’enkomerero abalimugoberera nga nfudde beebo abagenda okweyagala kulunaku olw’enkome rero “Katonda nassa etteeka eriri mu kuraan (Qur’an) Bayyina 8 etteeka nti : (Amazima ddala abo abakkiriza nebakola n’emirimu emrungi beebo abantu abalungi).

N’omwoogezi omulala mukitabo kyeekimu ayitibwa “Ibn Adie nga hadith agijja ku Ibn abbass ayaganba nti : “Bweryaamala okukka etteeka lya’katonda owekitiibwa eryo lyetwoogeddeko waggulu (Amazima ddala aabo abakkiriza nebakola n’emirimu amikungi beebo abantu abalungi) NNABBI (s.a.a.w) naagamba Ali (a.s) abantu abalungi yeggwe na’agoberezi bo. Tasfir Nour Al-Abswaar eyakubwa omwaka 1398 A.H. Beirut, Olup.: 80.

Omulala ye “Ibn mardwayihi “nga hadith agijja ku Ali (a.s) mukitabo kyeekimu ekyo ekya “Duraru-l manthuur “jjuzu 6 Olup. 379 era nanye ayogera bwaatyo.

2 - Omwoogezi owookubiri ye “Ibn Hijri Al Maalikie “Mukitabo kye ekiyitibwa “Swaiku Al Muhriqah “Olup. 161 awandiika hadith nga eva ku “Ibn abbass “Agamba nti etteeka lino bweryaamala okukka eryaali ligamba nti (Amazima ddala abo abakkiriza nebakola n’emirimu emirungi beebantu abalungi) Oweekitiibwa NNABBI (s.a.a.w) n’agamba Ali (a.s) nti abantu abasinga obulungi ye ggwe n’abagoberezi bo mujja kujja ggwe n’abagoberezibo kulunaku lwenkomerero nga muli beesiimu abasiimiddwa, ate bajje abalabe bo kulunaku olwo nga banyiize era beekabye.

3 - Omwoogezi owookusatu ayitibwa “Al Qanduuzi Al hanafi “mukitabokye kyebayita “Yanaabie Al - Mawadda”ejjuzu 2 Olup. 4 awandiika hadith nga agijja ku mukyaala wa NNABBI (s.a.a.w) gwebayita “Ummu Salamaa “(a.s) yagamba nti (s.a.a.w) yagamba nti : Ali (a.s) n’abagoberezi be bajja okweesiima kulunaku lwenkomerero”.

4 - Omwoogezi owookuna, ye “Sheikh Shabranje “mu kitabo kye “Noor Al Abswar “Olup. 87 awandiika hadith eggibwa ku mwaana wa taata omuto owa NNABBI amanyidwa obulungi munzikiriza zonna ez’obusiraam ayitibwa Ibn Abass agamba nti bweryaamala okukka etteeka eryo nagamba nti : Ggwe na’bagoberezi bo mujja kujja kulunaku lw’enkomerero nga musiimye era nga musiimiddwa ate  abalabebo bajje nga tebasiimidwa era nga banyiikaavu kulunaku olwo.

5 - Omwoogezi owookutaano, ye Sheikh Ibn Swabbagh mukitabo kye “Fusul Al Muhimah “Olup. 123. Hadith yeemu kunsonga eyo.

6 - Owoomukaaga ye “Hamwein Al Sha’fy” mu kitabo kye “Fara’du Ssimtwain “ejjuzu 1 Olup. 156 awandiika hadith nga evaku j’abir yagamba nti twaali awali Nnabbi (s.a.a.w) Ali (a.s) najja, Nnabbi (s.a.a.w) nagamba nti “Azze mugandawange”. Nazzaako nti “Ndayira eyantonda (Katonda) mazima ddala oyo “nga alaza ku Ali (a.s) naabagoberezi be bageda kweesiima olunaku lw’enkomerero”.

7 - Owoomusanvu ye Al’ Hakeem Al Heskaany Al Shafy “mutitabo kye “Shawahidu Al Tanzir “yayogera hadith 23 kunsonga eyo emu kuzo mu ejjuzu 2 Olup. 356-366   hadith eyo eri 1125.

8 - Owoomunaana ye “Dar Al Qutny” ayogera hadith ya Nnabbi (s.a.a.w) yagamba nti gwe Ali n’abagoberezi bo muli ba’mujjana (Enju ey’emirembe) ekitabo “Ihqaq Al Haq “ne Izhaar Al Ba’twir “juzu 8 Olup. 309.

Owoomwenda ye “Sheikh Al Gazaaly “mukitabo kye “Ghaayatu-l Maraam “nga hadith ejjibwa ku Anass Ibn Ma’lik”agamba nti Nnabbi (s.a.a.w) yagamba abantu emitwaalo musanvu bagenda kuyingira ejjana nga tebabalidwa n’akyuuka na’tunuulira Ali (a.s) namugamba (Abantu emitwaalo Musanvu) beebagoberezi bo naawe omukulembeze waabwe “Olup. 327 omulyago 28.

Mubungi bwaabwe kati tuleme kulowooza emitwaalo giri musanvu gyokka, nga ne Qur’ane bweekozesa mu tteeka ly’okusonyiwa kwabannanfuusi nga nekigendererwa okuba nti bungi bwaakyo nga bannamateeka bwebagamba.

Bwo’ba oyangala okumanya ekisinga awo ku bikwatagana ne “Hadith “ezo Nnabbi (s.a.a.w) zeyayogera era nga zikwatagana kunsonga ya “Shia “era nga ziri mubitabo bya ba “Ahli Sunna “oyinza okusoma ebitabo bino wammanga:

1. “Kifaayat Twalib” ekya kanjiey Asha’fy olup: 353.

2. “Al Manaaqub” ekya Hawarzmy Al Hanafy olup: 266

3. “Tarjumat Imam” Mubyafaayo bya Damasca kya “Asaakir Olup. 442 Ejjuzu : 2  Hadith eya 958.

4. “Tafsiir twabary ekya twabary ejjuzu eyekkumi nebbiri (12) olupula 171.

5. “Tadhkirat Al khawas’’ekya ibn’jawz Al hanafy Olup. 171.

6. ‘’ Fathul- Qadir ’’ ekya ’’ shakunny “ejjuzu eyookutaano (5) Olup. 477.

7. Ruuhul maani “ekya “Aalousy “Ejjuzu eyaamakumi Asatu (30) Olup. 207.

Era no’muwandiisi gwebayita Muhammad Ali kard mukitabo kye “Khutuwat Shaami” (Ye simushia).

Agamba nti ba swahaba bangi baalinga bayitibwa ba “Shia” (Abagoberezi) ba Imam Ali (a.s) ku mulembe gwa Nnabbi, okugeza nga Salman Al Farsi ; agamba nti Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) twaamuwerera enkolokooto okubeera nti ye mulungamya wa’ basiraamu, no’kubeera nti Ali Ibn Abi Twa’lib (a.s) Imam wa’basiraam n’okumugoberera.

Ne Sayed Al Hidhri oyo eyagamba nti abantu ba’alagirwa okukola ebintu bitaano naye nebakolako bina bebalekayo kimo. bwebaamubuuza nti by’ebiriwa ebintu ebina abantu byebaakola yagamba nti : Eswala ezzaka’a no’kusiiba omweezi gwa Ramadhan wamu no’kulambula ennyumba yaakatonda (Hijja). Nebamubuuza ate ekyo kyebaaleka ekimu kyeekiriwa? Yagamba nti kweekulekeerera Imam Ali Ibn Abii Twalibi (a.s).

. Ne mubitabo ebirala ebya Ba Ahli-Sunna. Era wano wentwalira omukisa okujjukiza kunsonga enkulu nga nayo:-Okwesembesa ebiri mubitabo ebyo (Al- Maswadiri) kiri kubitabo ebyawandiikibwa olubereberye, sso s’ebyo eby’oluvanyuma ol’w’ensonga y’okuba nti emikono egitali myesigwa gyawanvuwa n’egitandika n’okuzanyisa okusangula enjogera (Riwayat) ezandibadde ennungi kuludda lw’abashia mubitabo ebyawandiikibwa okuvanyuma, era ekyo nakyo tetumanyi kyakukikolera.

Mazima abamu enjogera (Riwayat) ezandibadde z’ese-mbesebwa abashia bazisangula mubitabo mubugenderevu nga beyambisa engombo y’okwekennenya, okulongoosa n’ okulungamya ebyawandiikibwa okusooka. Sso nga ekyo kyawukana n’obwesigwa bw’obuyivu ko okusukka amateeka abugunjufu nempisa z’obusiramu, era ddala tewali alina  busobozi wadde amanyi okujjako mukama katonda Ali waggulu wabuli kimu era omugulumivi ennyo.

 

 

Index