back

OBUSHIA BWATANDIKA DDI?

next

 

 

Buli yenna asoma ebyaafaayo by’obusiraamu ebyawandiibwa ebyaaliwo mubiseera biri ebyaasooka nga Nnabbi (s.a.a.w) yakatumwa asanga nti kyali kimanyiddwa era nga ne ba “Swahaba “(Abagoberezi ba NNABBI baali babayita erinya eryo (Shia) era nga kyaava na kululimi lwa NNABBI, (s.a.a.w) yeyalituuma abamu kuba swahaaba be mu hadith nyingi okuva ku NNABBI (s.a.a.w.) era nga kitegeeza amakulu gali agoogedwako waggulu.

Bangi mu boogezi ba “Hadith entuufu eranga z’esigami -zibwa n’okwensembesebwa aboogezi ba “Hadith “abakulu boogera “Hadith “nga bakakasa obutuufu bwa “Shia “nga bwetujja okubwoogera ko jebujja katono.

Ensonga etukakasa nti obushia (Mu makulu ge twoogeddeko) bwatandika kumulembe nga NNABBI (s.a.a.w) waali, era yye Nnabbi yee yatandikawo enjogera eyo mubusiraamu. Tekiri nga abantu aba’madh-heb amalala nga bwebalowooza nti kyatandika mukiseera nga NNABBI (s.a.a.w) amaze okuva mu bulamu nti era enjigiriza eno eya “Shia “teyaliiwo mukeseera ky’omubaka ! era enzikiriza ya “Shia “yabalukawo kuva mubufuzi bwa’abakulembeze mu biseera by’abafuzi b’olulyo lwa Abass oba batabani ba Abbass (Abbasite).

Bwekiba bweekityo nga bwekiri nti enjogera eyo yaliiwo kumulembe gwaNNABBI (s.a.a.w) kiba kituufu era geemazima nti “Shia “madh-hab “Gaabantu ba nyumba ya NNABBI (s.a.a.w) era geegaasookawo nga amadh-ab Amalala gonna tegannaba kutondebwawo nga era kiri nti abantu b’enyumba ya NNABBI (s.a.a.w) bee basaana okugobererwa olwoobubaka bwakkira munju yaabwe era nga amazima n’obutuufu bidda jebali kulwekyo NNABBI (s.a.a.w) kyeyabayigiraza (Amazima geematufu okugobererwa).

 

 

 

Index