Ekitabo kino kibadde ku kwaanukula omuwandiisi ebyo bye yayogera ku Shia ebiraga obutamanya ensaalwa n’o busosoze byalina kubashia n’okubeera nti aliwaala n’o kunoonya okumanya n’o kulaba amazima kyaalibadde kirungi okusooka okumanya ku Shia nga tannaba kuwandiika bintu nga bino nga okumanya okutuufu akujja kubamanyi ba Shia benyini n’a teesigamira kw’abo abatalina kyebamanyi ku Shia ekiretera obulimba n’obubuze ku nsonga eyo.
Kyaali kyeetagisa asooke alabe abamanyi ba Shia nga abasaba okunyonyola ebyo byatamanyi okusinga okusasaanya ebintu ebireeta empalana mubantu olw’o butamanya kiki kye yagenderera omutali magoba, okujjako kwongera mpalana n’a kumenya menya bumu bwa busiraamu n’okuteekawo enjawukana nga bagaamba nti balumirwa busiraamu nti era babukuuma nyo nyo.
Kino tukyoogera awatali kulemwa, kutya wadde okubuta butana nti aba Shia Al - Imaamiyyah balina obujulizi obutuufu obw’amagezi wamu n’o buwandiike ebibanyweeza ku nzikiriza yabwe ne wankubadde nga waliwo okukubwa n’o kuvumwa buli mulembe okuva mubalabe baabwe, era nga beetegefu n’o bumalirivu bwebalina obujjuvu mu kw’olekera ensoonda yonna eyobuyivu ebbanga lyebanamala nga b`ekutte ku Qur’an n’a bantu benyuumba ya Nnabbi (s.a.a.w) tebajja kubula nga balinnnya eryaato ly’obulungamu n’o kwenyweeza ku mazima n’o kugataasa era tebajja kunyiizibwa olubeerera nga bwekiri mu Qurane suula 3 : 53 (Mubutuufu katonda waffe tukkirizza ebyo bye watussiza ne tugoberera omubaka ayii ! katonda tuwandiike mw’abo abajulizi.).
Tweebaza katonda oyo nanyini mateendo agagulumizibwa oyo eyatulungamya mubusiraamu, singa teyaliyye twalibadde tetulungama era tumweebaza okutuwa obulongoofu. Mwe twayita okudda eri ekkubo lye mu nkola ya Nnabbi (s.a.a.w) n’a b’olulyoolwe bonna abatuukirivu, tusaba katonda asse emikisa okusasira ne mirembe ku Nnabbi waffe Muhamad (s.a.a.w) n’a bantu be ne ba swahaba be abaloongoofu.
Kyagwa: Iwakutaano. 10 Rajab 1418 A.H
Muhamad Al Al- Mualleim.