back

AMATEEKA NOKULAMULA OKUTALI KUTUUFU

next

 

Omuwandiisi yagamba ng’ayogera agamu kumteeka ng’agamba nti: abashia tebatuwasaamu wadde ffe okubawasaamu, enyama gyebasaze kizira ffe okugirya era bweekityo n’Abasiraamu abalala kizira okukkiriza ebirabo byaabwe byebawaayo kumizikiti kizira ffe okusaalira abafuu baabwe yadde bbo okusaalira abaffe, era bweekityo esswala y’omushia yonna gy’aba asaalidde omufu biba bikolimo na bibonerezo ku mufu muntaana.

Tugamba nti: Nga tetunnaba kutunula mumateeka nakulamula tweesanga nga bino ebyoogeddwa wano byaawukana n’ebyo ebyaasooka okwoogerwa era nga n’amateeka gano agatali g’abusiramu nago g’awukana nabyo kubanga Abashia - Imaamiyyah -Basiraamu abeegatta ku njigiriza z’eddiini mu kweesinza kwaabwe kwonna n’enkolagana zaabwe n’abantu mumbeera ezaabulijjo nga n’amateeka gaabwe n’okulamula tebyaawukana na ddiini bwewabanga waliwo enjawulo wakati wa sunna ne shia eyo ebanga edda mu kutegeera na kwaawukana musonga za Nnabbi (s.a.a.w) zeyasomesa n’olw’kyo tekyeetaagisa kw’ogera nnamula namateeka nga gano ag’ekizibe ky’amaaso era agajjudde obulyaazaamaanya ku Shia kyokka omuwandiisi bwaaba abiremeddeko naffe tetweetaaga kuwasa mu bantu nga bano oba bbo okuwasa muffe era nga bbo bwebateetaaga kulya nyama yaffe gyetusaze....

Nemubyeewunyisa era nga bissa omuntu ebibbo by’enseko, omuwandiisi yagamba nti eswala y’omushia ku bafu mu ba Sunni bibeera bikolimo na bibonerezo muntaana, ebyo munnaffe wa j’abijja?!! Omuntu ayinza atya okubonerezebwa n’ekyo ky’atakoze? nga Katonda agamba mu suula 35: 18 nti: “Omuntu tatikkibwa mugugu mulala okujjako ogugwe”.

Ebigambo by’omuwandiisi bwebiba bweebityo biba tebiriimu kussa ku Katonda obulyaazamaanya??? nga akoze mulala ate n’avunaana mulala mukama Katonda waawaggulu kw’ebyo abulyaazaamaanya byeboogera.

Yagamba omuwandiisi nti : Ow’ekitiibwa Ibn Abedeen yawandiika n’agamba nti tekiriimu kubuusabuusa mu bukaafiiri bw’oyo aba awaayirizza maama w’abakkiriza Aisha (R.A) n’oyo ab’agaanye obukulembeze bwa Abu Bakar (R.A).

Tugamba nti : Ensonga y’okuwaayiriza Aisha (a.s) tw’agyoogeddeko mubutuufu bwaayo wabula ekyo eky’obutakkiriza bwa Khalifa bwa Abu Bakar ba Swahaaba abamu nabo tebaabukkiriza okutuusa lwebaava kunsi okugeza nga Saad Ibn Ubaadah eyali omukulu wa ba “Khazraj” , yagaana okkukkiriza obukulemberze obwo okutuusa lweya temulwa mu Shaami. Al Miralwa Nihal 2 : 32.

Bwekiba nga bweekityo bwekyaali buli yenna atakkiriza bukulembeze obwo abeera mukaafiiri olwo naye abeera mukaafiiri okusinziira ku bigambo n’okulamula kwa Ibn Abedden n’olwo mutya bwemugamba nti ba Shia bavvoola n’okuvuma ba swahaaba oluvanyuma lw’okulaba n’okuwulira ebigambo by’o mu kubamanyi ba sunna.

Tulina okweebuuza nti obwa khalifah bwa AbuBakar bwaali bubaka okuva ewaakatonda oba lyaali teeka kiryooke kifuuke ensonga ekaafuwaza buli attakkiriza? Kiringa Umar bwaagamba nti: “Ekyo eky’okulonda AbuBakar kyaali kyaabutanwa (Nsobi)” Katonda yawonya Abasiraamu obubi bwaakyo oyo aba azzeemu ekintu ekirnga ekyo mu mutte “Ibn Hadiid Sarhe Nahjul Balaaga 2: 26, Talkhiis shafie 2: 104 ne 3: 159.

 Ebigambo bya Ibn A-Bedeen tebikoonagana n’ebigambo bya Umar (R.A)! Olwo tunaatwaalako kiriwa era tuleke kiriwa?

Nga bwetwaayogeddeko emabega nti abamanyi b’amateeka b’ateeka wala nyo ddala eky’okuyita omuntu nti mukaafiiri ng’ate atoola shahada ebbiri tebakikkiriza nti abeera mukaafiiri nga bwekiri mu nnamula z’abamanyi aba Ahli Sunna okugeza Abu Haniifa n’abalala olw’okweekuuma obubi bw’okuyita oba okukaafuwaza omuntu atoola shahaba ebbiri n’abamu baatuuka okugamba nti ne ba “Khawaarij “tekigwaana kubakaafuwaza ate nga beebantu abeeyawula ku ba swahaaba nebatta abasiraamu nebatwaala eby’obugagga byaabwe ne bakaafuwaza ba swahaaba ga ate ne Nnabbi (s.a.a.w) yayogera nti bajja kwoonoona eddiini... Fusuul Al Muhimma 66.

Bwekibeera nga bweekityo bwekiri kubantu ng’abo okubeera nti basiraamu olwo abalala abatunula mu Qibla ne ba saala babeera basiraamu n’okusingako kw’abo.

Sheikh Sharaf-diin mu Fusuul Al Muhimma 65 yagamba nti  bonna Madh-heb ga Shafie beegatta ku ky’obutakaafuwaza ba Khawaarij era nebabeetondera nga bwekiri mu kitabo Khatimatu - Al-Swawaa-eq kunkomerero yayagamba nti balina (Bakhawaariji) ensonga etali ntangaavu naye teramulwa na bukyaamu mu kukutula.

Era n’agamba nti nnalaba ebigambo ebirina amakulu nga gano nga ebya Sheikh Saadat Al Hanafiyya Muhammad Amiin gwebayita Ibn Abedeen mu mulyango gwensonga y’okuva mu diini mukitabo Al “Ijtihaad 3” nti buli aba akyuuse okuva mu busiraamu alamulwa okusinziira kusonga gyaaba akoze.

Tuwanvuyizza nga tunyonyola ensonga eno ngatwoogera ebyo ebyayogerwa Sayyed Sharafdiin tusobole okukasa nti omuwandiisi byeyawandiika sibituufu n’akamu era ayogera na lulimi lutali lulwe, n’awandiika n’ekkalaamu etali yiye naye nga yye talina kumanya kumala kuby’ayogerako.

Tulina okukimanya nti Sayyed ono y’omu kubantu abalwaanirira okukuuma ekitiibwa kya Shia era n’agattako n’okuwaayo obulamu bwe mu kulwaanirira Amadh-heb ga Ahlul Bait nga bwetwaayogeddeko muntandikwa bwekiri mu bimu mu bitabo bye nga n’ekyeewunyisa Sheikh Al Jamei Al Azharie mu byeyayogera mu mulembe gwe ng’amba Seyyed Sharaf deen nti : “Nkakasa nti mwe muli kubikolo n’amatabi g’eddiini ebyo byebaaliko ba Imaam okuva ku mubaka (s.a.a.w) onyinyonyodde ensonga n’ejolesa buli kanyomero kaayo mubutuufu, (N’olweekyo) okubuusabuusa kuyo buba bubuze naennengeza ewala n’okumpi n’empunyiriza akawoowo ke nekanzijuza obutegeevu nga ssinnaba kusisinka nansonga mbaade sitegeera butuufu nsonga mu byempulira okuva kwaabo ababanyeenya n’okubakonjera, kyokka Katonda omukisa gw’okusisinkana naawe nfunye bendera y’obulungamu n’ekitangaala ekituufu ne mmatira ensonga era nneebaza ekyengera kino ekikulu kyenfunye era buli matendo gonna amalungi g’amukama Katonda omulezi w’ebitonde “Muraaji-at-Sharafu-diini 537: 111.

Tugamba omuwandiisi nti bwebabeera nga abashia bweebatyo bwebali mu bikolo by’ediini n’amatabi okuva ku bu julizi bwa Sheikh Az-hari baba basiraamu batunula mu Qibla ky’ekimu n’Abasiraamu abatoola shahaada ebbiri nga era bawolerezebwa n’abamanyi abalala okuva mu sunna era nga basunni ddala, kiba kituufu okubayita abakaafiiri? Era n’ogamba nti baava ku ddiini n’olamula obutuufu bw’okuttibwa kwaabwe?!.

“Ayi mukama Katonda waffe lamula gwe mutonzi waffe ayamba, adduukirira - kubuli kyonna”

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia ba “Murtadi” baakyuuka okuva mu ddiini era tewali kubuusabuusa mweekyo era tewali kulamula kulala okujjako okubatta.

Tugamba nti : Ibn Abedeen atuwe obubonero obulaga era obukakasa by’ayogera, era ennamulaze okuvvoola Shia azizimbira kuki ? Kubanga obusiramu bwaateekawo ekipimo kyebasinziirako okulamula omuntu nti kati akyuuse okuva mu ddiini., Ibn Abedeen okulamula bwaatyo agenze okulaba nga ebyo ebisinziirwaako okulamula obukaafiiri biri ku bashia?!

Okulamula nga kuno nga tekuliimu kutya Katonda wadde okutya eddiini ye kubeera kuleeta mpalana na fitina mu basiramu, kwoonoona munsi na kutaasa bulyaazaamaanyi n’abalyaazaamaanya. Kyokka nga twayogedde ennamula y’aba Ahlul Sunna gyebalamulamu era nga bakakasa nti Abashia-Imaamiyyah bali kunkola y’abantu b’enju ya Nnabbi (s.a.a.w).

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia bagamba nti Abubakar, Umar ne Uthuman, balina ekitendo kyaabukaafiiri na kuva mu ddiini era n’okuva ku layini y’obusiramu era nga ate balinayo ekitendo ekirala nga kyeeky’okuba nti balabe ba busiramu.

Tugamba nti : Bwekiba nti okugaana obwa khaliifa- Obukulembeze bwa Abubakar, Umar ne Uthuman kabonero akalaga obukafiiri ekyo tekyeeyawulidde ba shia bokka wabula kbina abamu ku ba swahaba nga bwetwaagambye nti Sa’ad Ibn Abaad yagana okukkiriza obutuufu bwa Abubakar okutuusa bwe yatiibwa.

2.) Obwa khaliifah - Obukulembeze - muntegeera y’abasunni sibubuka kuva wa Katonda era tewali tteeka lyonna lyakka okuva ewa Katonda ku nsonga eyo wabula kyaali kintu era kyaava mu kulonda kw’abantu benyini ng’ate ssi beeba tuukirivu.

3.) Abashia-Imaamiyah Bakakasa nti obukulembeze bw’obusiramu oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) bwa Imaam Ali (a.s) olw’obujulizi obutuufu obujjuvu obwa magezi n’obuwandiike nga basobola okukasa enzikiriza yaabwe eyo mubitabo byaaba Ahlu-Sunna kyokka ate obujulizi obwo bwebubaawo mubitabo byaabwe buteekwa okukyuuka nebudda kunsonga endala.

Naye ekyo kyeyagamba waliwo ebitedo ebirala ebirimu okubeera nti balabe ba busiraamu ekyo kyaabukuusa na kuwaayiriza kwenyini. Era wano wetumubuuliza nti bulabe bwangeriki? Singa anyonyola ekigendererwa kye mu kwoogera bwaatyo kiba kyaawukana n’okumanya n’amazima n’obweesimbu.

Omuwandiisi yagamba nti : kiri eri abasiraamu okweewala era n’okujjawo enkolagana yonna na ba “Shia” ya gamba nga okubawasaamu okutuusa bweyagamba nti singa bawangaala abafumbo ababiri nga kuliko omu Shia-Imaamiyah- obufumbo bwaabwe butwaalibwa nga bwenzi!.

Tugamba nti : tweewuunya omuwandiisi waffe engeri gye ya salawo n’awakanya amadh-heb ge mubigambo bye ensonga etegeeza nti bali abaawandiika ebyaafaayo byamadh-heb tebamanyi era yabasinga nga kiva kubutasoma byebawandiika. Mu kuddamu twaagala kumuddamu na kibuuzo kino singa omusajja n’omukazi bafumbiriganwa nga sibasiraamu oluvanyuma ne basiramuka tubaalamulako nti ebbanga riri babadde bali kubwenzi??. Oba obusiraamu bukakasa empasa yabwe ne basigala nga tebazzeemu kugattibwa nga bwekyoogerwa mu bitabo by’amateeka?.

Ssebbo omusomesa w’empisa n’amateeka mu buyindi oli munsi -india- mulimu million ezisukka mu makumi ana (40) ez’eabashia omuli n’abamanyi empasa n’amateeka, omusomesa nga gwe tekyandyeetaaze ogende mubo oba gyebali onoonye ekituufu n’oluvanyuma olyooke onyonyole obufuufu n’obukyaamu bwaabwe mungeri ennungi, osobole okutegeera obutuufu bwa Shia okusinga bwoonoowangisa okubakaafuwaza n’okubavuma ng’ate tolina bujjulizi wamu n’okuleeta effitina mu basiraamu.

Era omuwandiisi yayogera ebyo ebyaayogerwa  ebyaawandiikibwa mufti - omulamuzi - Muhammad Abdul Aziz bweyagamba nti Shia - Ithna Asharia - bagamba nga Qur’an ey’ekitiibwa bweyakyuusibwa.

Era n’ebyo Shabir Ahmad Uthman omusomesa wa  Tafsiir mu Darul-Uluum mu India - Buyindi - Byeyayogera bwe yagamba nti buli yenna alina ekirowoozo ekigamba nti Qur’an yakyuusibwa abeera mukaafiiri era ekyo tekiriimu kubuusabuusa, nga ky’agendereramu Shia - Imaamiyah - nabw’ekityo yamweegattako Muhammad ne Masoud Ahmed narb kyokka ate yye n’ayongerako ng’agamba nti enzikiriza yaabwe tetegeerekaka - nzibu - n’alamula n’agamba nti bakkaafiiri nti era tewali mateeka g’abusiraamu gasobola kubakolako. Era kikakata ku buli musiraamu okubeewala n’okubeekuuma n’okubejjako mu bwangu !!.

Tugamba nti : eky’okudaamu kunsonga ya Qur’an twakyoogeddeko era nga bangi mu bamanyi ba  Ahli-Sunna beebaawandiika Hadith ezo. Kyeewuunyisa nyo okubeera nga tategeera nzikiriza ya Shia ekyo kifuula abashia okuba nti bakaafiiri n’okubeera nga bavudde mu ddiini. Bwaaba kitangaala ky’amazima kati nsobi ki eya Shia gyebalina? Tekiba kirungi okunoonyereza n’okutegeera ensonga eno w’eva amaonye amazima.

Ate ekyo kyasembezzaayo n’agamba nti tuteekwa okwooger:a wano nti buli yenna kubanga abamanyi muba Shia  ne ba Imam baabwe abaaliwo mu byaasa ebyeemabega baali beegatta ku’songa eyo ey’okukyuusibwa kwa Qur’an nabweekityo bakafiiri okutwaayira awamu.

Tugamba nti: bwebiba nga bino by’ebigambo by’abakulembeze baabwe olwo ate abagoberezi baabwe babakulembera batya?! Baba nga Qur’an bwe’egamba 6 : 44 “Balinga nsolo bbo bweeba nga ebuze okuva kukkubo etuufu. “Kuba twayogedde dda nti abashia Imaamiyah tebagamba nti Qur’an nkyuuse, bwewabaawo nga waliwo hadith ezoogera ku nsonga eyo mubitabo byaabwe ezo Hadith nkonjere era tezikakasibwa kubanga n’abamu mu ba Ahlul-Sunna balina enzikiriza y’okukyuusabwa kwa Qur’an era tw’agambye nti abashia - Imaamiyah tebalina Qur’an ndala eyawukana n’eyo Abasiraamu gyebalina era tewali njawulo wakati wa Qur’an mu ba Shia ne mu basiraamu abalala abasunni.

Tetumanyi lwaaki abashia basibibwaako okukyuusa Qur’an ate nga abamanyi baabwe boogera ne bakakasa ne mu bitabo byaabwe obutakyuusibwa bwa Qur’an n’addala mu bitabo at’ekwaata wadde okukolera ku bye twogedde abeera bweeru wabusiramu, Tugamba nti afunye atya oyo mufti - Omulamuzi - obuyinza okugaba n’okukakasa obukaafiiri n’okuva mu diini?? Olwo biri luddawa ebigambo by’omuwandiisi eyatugambye nti abamanyi beegendereza oba beekuuma nyo nyo obutayita muntu atodde Shahadatan - Enzikiriza ebbbiri - nti mukaafiiri, oba oyo atunula mu Qibla kyaabwe ng’asaala nga bweyawandiika okuva ku Abi Haniifa.

Tubuuza nti okulya enyama abashia gye basaze bubeera bukaafiiri? Era kijja omuntu mu ddiini?? Abaffe ne mu kukkiriza ebirabo byaabwe - Sadaqah - mu kuzimba emizikiti oba okugaba “Zaka” wadde okusaalira abafu kiba kiraga kuva mu ddiini? Nze kino mba sikitegeera !!.

Omuwandiisi yagamba nti: Bwekwaamala okuggalibwa okulamula kuno nti abashia bakaafiiri yagamba nti omukulu w’abamanyi mu buyindi - India - Maulana Muhammad Hassan Amrou nti takakasa bukaafiiri bwa bashia Imaamyah n’okufuluma kwaabwe nu diini n’obubonero bungi: -

1. Okukkiriza kwaabwe mu kukyuusa Qur’an omuwandiisi yagamba nti mufti (Omulamuzi) radhiyyu deen owa daarul uluum, yagamba nti aba shia bagamba nti Qur’an yakyuusibwa era balamulwa nga ba yahudi oba aba kurisitaayo era kizira mu ddiini okubawassaamu wadde bbo okutuwasaamu oba okukolagana nabo obulungi mubuli ngeri yonna. N’amaliriza ng’agamba nti aba shia balina endowooza n’entegeera ey’abakaafiiri ate nga basinga abakaafiiri obubi n’obukyaamu.

Tugamba nti: obuzibu bw’omulamuzi ono n’abamufaa-nana banguyiiriza okukaafuwaza abantu nga tebalina kwebassinziira, era tebasooka na kweegendereza ebyo ebijjudde mu bitabo byaabwe era tweewuunya nyo omuntu okulamula nga tamaze kumanya nsonga na kugifunira bujulizi bumala nga kimanyiddwa wonna mu bantu abategeera nti omulamuzi omutuufu yenna talamula okujjako nabujulizi era bweekityo ne mu ddiini omulamuzi alamula n’abajulizi obunyweevu mu bikolo by’eddiini n’amateeka gaayo.

N’okusooka okutegeera ensonga ezaavaako enjawukana mufti ono yategeera nti eky’okukyuusa Qur’an ba Ahle-l- Sunna beebakyoogera n’ebaleeta ne hadith nyingi nyo okuva kubamanyi baabwe mubitabo byaabwe nga bwetwaayogedde mubujjuvu. Okwaawukana mundowooza n’entegeera eyo nsonga emala okufuula omuntu okuba omukaafiiri??.

Obutuufu tebuli mu kujjayo bujulizi nabubonero ku buli nsonga ne tuzanjala netwoogera emu kw’emu mubutuufu bwaayo oba obukyaamu bwaayo singa wabaddewo ebikyaamye ne tugezaako okumanya biki ebigendererwa bya Shia - I maamiyah - okusinga okubakaafuwaza !

Tekyeetaagisa mufti “Omulamuzi - Oyo mukulamula kwe ategeeze era amatize bulungi ensonga y’okubeera kwa ba Shia nti balinga bayahudi oba abanaswaara? -Abakrisitaayo -. Era wano wetubuuliza nti yazimbira ku musingi ki mu kulamula kwe okwo?? Tekyaalibadde kirungi singa mufti - O mulamuzi - ono atya Katondawe obutabeera mukibinja ky’abalyaazaamaanya .

Oluvanyuma, yawandiika omuwandiisi ebyo byeyawandiika Muhammad Murtadha Al Hassan na’azim - daarru-l erm - ebuyindi - bwe yagamba nti kyeeyolefu kunsonga ya ba “Raafidhwa” - abaagaana - bbabbulwaamu erinya eryo olw’okugaana obukulembeze bwa byaabwe ebyoogera ku Qur’an, banyonyola era nebeesembesa eteeka  lya Katonda mu Qur’an erigamba nti : “Ffe twassa Qur’an era ffe tugikuuma” 15:9.

Tutegeeza nti Qur’an ey’ekitiibwa ekuumibwa na kusaasira kwa Katonda okweeyawulidde era yo ky’ekyamagero ky’obusiramu eky’okubeerawo olubeerera n’olweekyo tewabaawo kubo lyaakukyuusa oba okwongeramu. Era ekyo bwekibaawo kisobola okuleeta fitina mu busiraamu.

Oluvanyuma omuwandiisi yawandiika ebyayogerwa ba eyafa omwaaka 1235 n’agamba nti : “Buli yenna akkiriza nti Qur’an yakyuusibwa abeera mukaafiiri”. n’ayogera era n’ebya Imam Ali (a.s) Al-Qadari eyafa mumwaaka 1014 H.A eyagamba nti buli yenna awakanya essuula yonna oba aya yonna mu Qur’an abeera mukaafiiri”.

Tugamba nti ebigambo bino tebitegeeza nti abasiraamu abashia bagamba nti Qur’an yakyuusibwa era bakkiririza mu Qur’an eyo eriwo kati bwetutunuulira tulaba nga ebigambo bino bibuna n’atali mu shia olw’enjogera egamba nti buli yenna awakanya aya oba essuula...

Ky’amazima kubanga n’aba shia ba kyoogera olw’okubanga okuwakanya Qur’an kubeera kulimbisa Nnabbi (s.a.a.w) ng’ate ekyo kirimu okuwakanya ebyo Katonda byeyassa. Mw’ekyo tewaba kubuusabuusa nti oyo aba mukaafiiri, kyokka tewali bujulizi bulaga nti shia bakkiririza mu kukyuusibwa kwa Qur’an !. N’abamanyi baabwe bakyoogera lwaatu era mu kiseera ky’ekimu omuwandiisi yawandiika ebyo ebyaayogerwa Abdul-Qadir Al-jeeraani mufti - Omulamuzi - Eyali e baghdaad eyafa mu 571 H.A yakaafuwaza abashia n’akakasa ng’agamba baava- Abashia - mubusiraamu olw’okubeeranga bakkiriza okukyuusibwa kwa Qur’an, nti ba Imaam baabwe ekkumi n’ababiri tebasobya ng’ate bavuma bamalayika.

Tugamba nti ebyo sibijja waliwo abaamusooka okukaafuwaza shia naye nga bonna abaayogera bweebatyo baayogera lwa butamanya era nga y’eyo engeri y’atatyakatonda n’atamanyi mateekaage kubanga eky’okugamba nti bakaafiiri olw’okukyuusa Qur’an ekyo twaakyoogedde ddda emirundi mingi nyo nti abashia mw’ekyo bawaayirizi bwa  tebakikkiririzaamu.

 

 

 

Index