back

EBYAALIWO KUMULEMBE GW`A KHALIFAH UMAR

next

 

Enjawukana ez`agwaawo wakati wabaswahaba kumulembe gwa Umar n’azo nyingi wabula katwogere ntono.

Abawandiisi be byafaayo baa wandiika nti : Mu mwaaka gwa 21 A.h Umar yatuma Abu-Hurairah abereomukulembeze mu bahrain n’a beerayo emyaaka ebiri oluvanyuma Umar yenyini n’amujjako obukulembeze n’abuwa Uthman Ibn Al-Aaswi Athaqafi. Teyakoma ku kumujja kubukulembeze kyokka wabula ya mujjako omutwaalo gwa sente (Dirham) nga amugamba nti yazibba musente z’abusiramu oluvanyuma Umar ya yita Abu-Hurrairah n’a mugamba nti we nnaku kozesereza (Wennakufuulira omukulu we twaale lya bahrain wali tolina kyoolina kyokka nnawulidde nti watunze enfalaasi ne bakuwaamu Dinaar 1, 600 lukumi mu lukaaga?!!! N`a mugamba nti nnalina enfalisi zange ze najuna nge birabo byange, Umar naamugamba wali ozibaze nti zizo, Umar nalaira nti ebyo sibibyo n`amusika namukuba endoddo y’omuggo okutuusa bwe yamuleeta omusaayi.

2. Ekyookubiri : Ya wandiika Al-Hakeim mu kitabo kye Al-Mustadraq: mu mulyaango gwa Hudoud (Ebibonerezo) ejjuz 4 olup: 376. Agamba nti :(Waliwo omusajja omu okuva mu ba muhajreina abaasooka yanywa omwenge ne bamuleeta ewa Umar (Eyali omukulembeze wa basiram) Amulamule Umar nalagira bamukube kibooko, omusajja kyaava abuuza lwaaki munkuba?! Wakati wange naawe Umar tulina kitabo kyakatonda, Umar n’amubuuza kitabo ki ekyakotonda miwessikuweera kibonerezo kino? Omusajja n’amudamu nga amugamba katonda agamba mu kitabo ekyo (Qur`an): “(Abakkiriza katonda ne bakola n’e mirimu emirungi tebalina kabi kwe byo bye baba balidde)”. N`amugamba ndi mwaabo abakkiriza ate nebakola emirimu emirungi nebatyai ne katonda oluvanyuma n’e baloongoosa nze nnali n’o mubaka wa wakatonda mulutalo lwe Badri, ne mukussaako omukono ku ndagaano ye Hudaibiya, mu mulutalo lwa Khandaq, ne muntalo endala zonna nnali naye, Umar kyaava abuuza abaaliwo nti muddamu ki kweebyo?! Ibn Abbas n’agamba a’aya eyo gyasomye yakka mu kusonyiwa mwebyo eby’ayita n’o kubeera nti kabonero kwabo abasigalawo kubanga katonda agamba muteeka eddala “(Abange mwe abakkiriza mazima ddala omweenge ne zzaala... mirimu gya shaitwan’’n`asomala aya endala n’a mugamba abakkiriza ne bakola emirimu emirungi oluvunyuma ne batya katonda n’e balongoosa, katonda yabagaana okumywa omweenge. Umar n’a mugamba nti oyo gedde mazima kati mulaba tukoze tutya?? !! Ali (a.s) n’agamba nti : Omuntu bwaanywa omwenge atamira, ate bwatamira, awunga, bwawunga alimbamulwaatu ate omuntu bw`aliimba okulimba kw’olwaatu akubibwa kibooko mu (Mateeka) kinaana Umar n’a lyooka alagira bamukube embooko kinaana naye nga okusooka yali yebuuza kyakukola nga asobeddwa jukira nti yeyali omukulembeze w’abusiram ekiseera ekyo.

Bwekiba nga bweekityo bwekiri, butya ono omuwandiisi bw’awayiriza aba Shia era ng’abasibako ebitajja kunzikiriza yaabwe okujjako nga agenderera kuteekawo mpalana wakati waabwe n’abasiraamu abalala, bwekitaba ekyo butya bwayinza okugamba nti Shia bateeka ku Imaam Ali (a.s) imam waabwe asooka ekitendo eky’obunnanfuusi?! Tetumanyi omuwandiisi ono ekyo kululwe yye akitwaala atya.

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia bavuma baswahaaba ba Nnabbi (s.a.a.w) mulwaatu kyokka ekye nnaku waliwo abamu mu ba Ahlu-Sunna ababataasa era nebabalwaanirira, abo abakola ekyo tebamanyi kintu wadde kubikwaatagana n’obubi bwa Shia, era tebakomaawo nebaggulawo n’omulyango gw’okukolagana nabo?.

Tugamba nti : omuwandiisi ono okwoogera kino kitubikkurira era nekitulaga kyaalina mu mutima gwe ogujjudde ensaalwa n’empalana ku bashia - Imaamiyyah - n’okugezaako okuzibira banne omulyango gw’okumanya.

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia bateeka ku Imam Ali obukumpanya buno nga bagamba nti Imam Ali yamanya obukumpanya bwa AbuBakar ne Umar okubeera nti baakumpanya obwa Khalifah (Obukulembeze) oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) kyokka nti yakozesa “Taqiya “(Okwoolesa kirala kyokka nga mumutima akakasa kirala) era n’atabalwaanyisa wadde okubagambako. Okwo kulimbika kwa Shia okw’ebigambo ebitaali bituufu ku Ali, era nga ekyo kiraga obukyaamu bwa Shia era mw’ekyo bagenderera kutyooboola kitiibwa kyabaswahaba ba Nnabbi (s.a.a.w) nebagifuula nsonga y’okugaana bukulembeze bwaabwe oluvanyuma lw’omubaka.

Tugamba nti : Omuwandiisi by’yogera ku Shia byansimattu ebitalina webikwaataganira ddala wadde n’enzikiriza ya Shia, kuba singa yayogera ekitabo kya Shia omusangibwa ebintu ebyo twaalitegedde kintu ki kyayagala okwoogera bwekitaba ekyo, ebitabo bya Shia-Imaamiyyah bingi nyo bijjudde esonga eno eyeeraliikiriza omuwandiisi, era buli kimu mulimu obujulizi obumala kubuli nsonga.

Shia-Imaamiyah- Tebali mw’abo abakweeka enzikiriza yaabwe okujjako mu biseera ebimu era ebitono ebibeera nga singa baba tebakoze ekyo kibaviiramu okuyiwa omusaayi gw’abwe. mubutuufu bbo tebalinga muwaandiisi mukubeera n’e nsaalwa n’obutamanya bwekitaba ekyo tewali nsonga egaana kuggulawo mulyango gwaakunyonyolagana balyooke batuuke kukutegeeragana era tekiba kyaabwenkanya omuwandiisi okubayita abatategeera oba abatalina kyebamanyi.

Era ekyo eky’okubagaana okwoogera ne Shia mukunyonyolegana kikasa obutiitiizibwe n’okweeraliikirira nti singa abantu banaayogera ne Shia bajja kufuna ekituufu bamanye nti byonna byebaboogerako byaburimba olwo abo aboogera ebigambo ebyo baswaale eri abantu abo nga bamaze okubategeera.

 

 

Index