Mubufuunze kiri nti : Ba Answaar (Abantu abataasa Nnabbi emadiini) baa kungaana mu nyumba ya banu Saaida Saad Ibn Ubaada n’ayogera gyebali ne bakkanya ku kumugoberera ng` omukulu, Amawulire ago okulondebwa kwa Saad Ibn Ubaada, Abubakar n’agafuna era n’atya nyo nyo ddala nasituka ne Umar nebeegattibwako Abu-Ubaida Ibn Al-Jarrah n’e bayingira mukisenge (Mu nyuumba) ya banu Saaida ne basangamu abasajja abeebitiibwa mu ba Answaar. Abubakar n’ayogera gyebali n’aalaga okunyolwaakwe eri abantu be kika kya ba Khazraj olwo’ kulonda Saad Ibn Ubaada era n`afuba nyo mubigambo bye okulaba nga avvoola Saad Ibn Ubaada era okukkakkana nga babiyombeddemu n`ebitala ne babigyayo. Saad ne bamumegga ne ba mutuula ku mutwe kwaagala kumumiza musu kyaava agamba nti : bannaange mundeke mpulira nfa!!! Kyokka ne wabaawo eyagamba nti mumutte...kafe!!! Abantu abaali bakungaanye bonna ne bawerera Abu Bakar.
Kyokka ye Saad nga bamaze okumuleka yabaawukanako era naagana okukkiriza obukulembeze bwa Abu Bakari, naagana n’o kusaalanga nabo wadde okwetaba mu nkungana zaabwe era aba kufuna ba wagizi yaalirwaanye bwatyo bweyali, okutuusa bwe yattibwa ng’ali Shaami (Syria) bino omwoogezi we byaafaayo gwebayita Twaabarey mukita kye Ejjuzu: 3 olup: 203 -211
2.) N’omulala Ibn Qutaibah mukitabo kye Al-Imaama wa Ssiyaasat ejjuz: 1 olup: 4-13 Ekyakubibwa mu (1969).
Abantu abalala bangi abaagana okukkiriza Abu Bakar nga omukulembeze nga mweemuli abantu benju ya Hashimi baagaana okuwerera AbuBakar enkolokooto (okumukkiriza nga omukulu) n’e Salmaan Al-Faaris yagaana. MiqDaad, Ammar Yasiir, Zubair, Khuzaifah Ibn Thabit Ubayyi Ibn Kaab ne Khalid Ibn Saad Ibn Aaswi n’a balala okuva mu muhajereina n’e ba Answaar.
Osomesa Abdul-Fattah Abdul-Massudi agamba nti : (Senga abantu baalina amazima n’obutuufu balisoose ne bazza ebyo kulonda ku bbali ne bamala okunaaza, okuziinga n’o kusa alira wamu n’o kuziika Nnabbi (s.a.a.w) nga kyekisinga obulungi okusinga okuyombagana n’okukubagana nga balwanira entebe ya Nnabbi (s.a.a.w) nga tannaba na kuziikibwa aky`agalamidde mu bo bakya mulabako). Biri mukitabo: Hayat khalifa Umar Ibn Khatab ekya Abdul-Rahman Al-Bakry. Olup: 78. Ne mu kitaab Imaan Ali Ibn Abi Twalib ekya Abdul-Fattah 1: 208.
Omusomesa Abdul-Karem: Agamba nti : “Enjawukana mubintu by`obwaakhalifah tezakoma kikifaananyi kyalunaku lwe bakunga niramu mu kulonda ne bawu kana kkyokka, wabula bya saanikira buli nsonda yansi. Kubanga ne ba Muhajireina kunkomerero bafuuna obutakkaanya bokka na bokka nga bayombera obwa khalifah nju ku nju lubuto ku lubuto na kika ku kika. era tebalekeraawo okujjako nga bamaze kutuuka muddwaaniro kuttingaana. Nga bw`atutegeezebwa omuwandiisi we byaafaayo Abdul-Karim mukitabo kye hayaat Umar olup:472 n’olup: 84.
Waliwo ne kintu ekya gwaawo ekirala wakati wa bantu benyumba ya Hashim n’a bantu abalala okusingira ddala Fatwimat Azahra (a.s) omu kubantu b`enyuumba ya Hashim.
Ibn Qutaiba agamba mukitabo kye Al Imaamat wa ssiyaasah ejjuzu: 1 olup: 12 (Umar yajja naayita abaali munyumba ya Ali Ibn Abi-Twalib nebagaana okufuluma nasaba bamuwe enku, n’omuliro ng`agamba nti : “Ndayira katonda wange mujjakufuluma bwe mugaana njakujookya na balimu... ne bamugamba nti mulimu muwala wa Nnabbi (s.a.a.w) Fatwimah n’agamba nti ne bwaabaamu..!. Waazukawo oluvunyuma ebintu ebirala bingi eky`ojjako Fatwimah (a.s) ennimiro n’e byobusika byaleetera muwala wa Nnabbi (s.a.a.w) okusituka mu muzigiti gwa kitaawe naayogera kw`ebyo ebimukoleddwa mukumulyaazaamaanya. Byonna ebyo ebyaafaayo byabitukuumira okutuusa muwala wa Nnabbi (s.a.a.w) bwe yafa nga munyiivu gyebali (Soma mukitabo kyetw`ogeddeko olup: 14).
N`ebimu kubyawandikibwa mubyaafaayo ku kumulembe gwa Abubakar (Kye ky`okulwaanagana bokka na bokka ne battiramu Malik Ibn Nuwairaa nga n`eyali mumitambo ebyokutabaala ye Khalid Ibn Walid teyakoma kukyakumutta kyokka wabula yasalawo okwenda ku mukaziwe ekiro ekyo kyenyini kyeyamuttiramu, Tunuulira ekintu nga kino ekiri ebweeru w’o busiraamu) bwe yamala okumutta n’o kweenda ku mukaziwe yafumita ekiremba kye ku mafumu na kiwanika waggulu Umar bwe yamulaba n’akijjako n’a munenya n’amugamba nti : Osse omuntu omusiraamu (Swahaba) tokomye kweekyo nooyenda kumukaziwe!!!... Ndayira katonda eyankola ngeenda ku kussa mayinja (nga obusiramu bwebulamula ku mweenzi nga mufumbo) Umar n’agamba Abu Bakar nti Khalid ayeenze muwe ekibonerezo kye eky`okumutta n`ama, yinja. AbuBakar n’agamba sijja kumutta na mayinja asobezza busobya, Umar n’a mugamba nti omusajja asse omuntu omusiramu (Swahaba) ! Era n’amuddamu kintu kyekimu, Bweyalaba nga Umur amulaga ensobi z’omusojja ne ky`ateekeddwa okukolebwa kyaava omubamba nti : Nze sisitula kitala katonda kyamaze okuzikiza, muwa kavu mu sente z’obusiramu asasule abantu benyuumba ya Maalik n`ata n`abawambe Khalid beyali awambye. (Bino byawandiikobwa omuwandiisi Twabary mu kitabo kye ekye byaafaayo ejjuz: 3 olup: 276-280.
Ne Ibn Athir mu kitabo kye Al-Kamil fi Taareh ejjuz: 2 olup: 337-360.
N’omuwandisi o’wokusatu ye Al-Andolisi mu kitabo kye. Uqadu-Al Fariid. Ejjuz: 4 olup: 258-263 n’abalala abata zibira mazima.