back

KU MULEMBE GWA KHALIFAH UTHMAAN

next

 

 

Enjawukana wakati wa ba swahaaba ku mulembe gwa Uthmaan zaali z'amaanyni okutuusa bwekyaaviirako-n’okumutta era naabamu mubo (mu baswahaba) nebeetaba mukumuwakanya. Ibn Hadiid agamba mu sharehe Nahjul-balagha 6: 215 ne mu jjuzu 9 35 - 36, agamba nti : Aisha muka Nnabbi yeeyali asiinga mubantu obutayagala Uthmaan naatuka n'okujjayo engoye za Nnabbi ezaali mu nyumba ye naziraga abantu abagendangayo nti : "Engoye za Nnabbi ziizino tezinnavuunda naye Uthmaan avunzizza enkolaye". era nga kigambibwa nti Aisha yeeyasooka okutuuma Uthmaan "Nna'tharah”ekitegeeza nti ekirevu ekinene n'omubiri omunene (nga ekyo yakikola kumujoona) era ng'agamba nti : mutte ow'agalevu agaanji ne kibiri ekinene era katonda amutte. ky'agambibwa nti ne Zubair yali agamba mumutte (Uthmaan) akyuusizza eddiin yamwe". Oyo Zubair wamu ne Twalha beebali mwaabo abaali basiinga okumuwalana naddala Twalha. Madaa-in agamba mukitabo kye ekimu nga ayogera kweebyo ebyaafa mulutalo lwe Jjamali nti Aisha bweyawulira nti Uthman bamusse yali nga akyaali makka, teyajjamu kubuusabuusa okuba nti yaamusse yaagenda okufuuka omukulembeze.Tetujja kwogera byonna kubimalayo wabula kitumalira okutegeera nti kumulembe gwe Abu-dhari kwebamugobera okugenda e "Rabadha",era gwebattirako  Ammaar nebakuba Ibn Masu-ud nebamumenya embiriizi nebirala bingi nyo, ebyo ebyoogedwa biri mukitabo ekyogeddwaako waggulu 3: 40 - 52.

 

 

 

 

 

 

Index