back

ENYANJULA

next

 

 

Amatendo gonna agatendebwa n’okugulumiza bya mukama katonda omulezi w’ebitonde byonna, okusaasira kwe n’emirembe bibeere ku w’ekitiibwa mu baNnabbi na ababaka Muhammad (S.a.a.w) n’abantu b’enjuuye abatukuvu.

Twebaza katonda atusobozesezza okuvvuunula ekitabo kino

mu lulimi olunnansi (oluganda) era nga n’ekigenderedwa si kwaagala kuvvoola wadde okufeebya kibiina oba abamu kubagoberezi b’enzikiriza y’obusiram, wabula twagadde kubunyisa migaso eri anoonya okumanya ekituufu n’amazima amasengejje kiryooke kitegerekeke nti ssi buli byonna ebiwandikibwa nebisasanyizibwa bibeera bituufu, era nebyo ebywandikibwa mukitabo kya baganda baffe kino kyetuzzemu tebyaali bituufu

wabula ekituufu kiri nti ekyaagendererwa mukitabo ekyo kwaali ku vvoola, kulinyirira na kukkakanya bagoberezi ba shia AL-IMAAMYYAH n’okuwubisa endowoozaa z’abantu abandyeetaaze okweemanyira ekituufu ekiri mu njigiriza ya Shia. Nolweekyo tugamba nti zikiza ettaala ekitangaala kyenjuba kyaatuuse dda. era tusaba buli omusomi yenna mukitiibwa kye okusoma ekitabo kino n’bwegendereza n’omutima gweddini omulungi ogujjudde okunoonya okumanya amazima wonna w’aba agasaanze.

Ayi mukama katinda gwe mutaasa wa mazima era omusaasizi w’ebitonde byonna.

 

Buli matendo gonna agatendebwa n’obugulumivu  gakakata kutenda mukama katonda omu, ebyengera n’emirembe bibeere ku w’ekitibwa mu ba Nnabbi n’abaawule Muhammad (s.a.a.w) wamu n’aboolulyoolwe abatukuvu.

Ekitabo kino kyawandiikibwa okuddamu n’okunyon-yola amazima n’ekituufu kunzikiriza n’endowooza ez’abamu ezaafulumira mu kitabo eky’ abavubuka abeeyita “Uganda Muslim youth Assembly” Ejinja ku kasanduuke ka posta 662 jinja Uganda nga ekitabo kyavvuunulwa okuva mu lulimi olungereza okiyitibwa “what is Shiasm”.

Omuwandiisi mu kitabo ekyo yavumirira wamu n’okulimbirira ku “Madh-heb” oba enjigiriza za “Shia Al Immamiyah” kyokka nga mubutuufu talina kipya kyeyakola kubanga waaliwo abantu abaamusooka obutaagala n’obutamanya era baawandiika ebintu ebisingako ku byeyawandiika obungi olwoobutaagala kumanya butuufu bwa “Shia”.

Bawandiika ebintu ebiringa ebyo era ebitali bituufu. N’olwensonga eyo tuwandiise ekitabo kino ekirimu okunyonyola ekituufu n’okutaasa enzikiriza “N’amadh-hab” ga “Shia” Al Ithna Ashariya “oba Al - Imamiya” nga enjigiriza eyo yesigamizibwa ku NNABBI (s.a.a.w) n’abenjuuye munzikiriza ne mumpisa.

Abantu b’enyumba ya Nnabbi beebo abo katonda be yayogerako mu “QUR’AN” ey’ekitiibwa mubutukuvu bwabwe nga agamba nti : (Amazima ddala katonda ayagala okubajjako ebibi n’okubatukuza mwe abantu b’enyumba ya NNABBI olutukuza) Al-ahzaab/33. Era nga abawandiisi n’aboogezi ba hadith wamu n’abavvuunuzi ba “Qur’ane” bagamba nti etteeka (AAYA) lino lyakka kulwa bantu benyumba ya Nnabbi (s.a.a.w) nga bwetujja okukinyonyola oluvanyuma.

Tetugamba nti mukitabo kino tuleese ekintu ekipya kubanga abangi mu bamanyi mu madh-hebu ga “Shia” baddamu dda kundowooza enkyamu n’okubawayiriza, n’ebyo byebayinza okwoogera kunzikiriza zaabwe nga beesembesa obujulizi obutuufu era obukakafu.

Okusooka nga tetunnaba kuyingira mu ndowooza n’okudamu muwandiisi twagala okujjukiza ensonga zetulabanti z’amugaso ku buli yenne ayagala okuwanyisiganya ebigambo mungeri y’okunyonyola oludda olulala.

1. EKISOOKA: Okubeera n’empisa n’enjigiriza z’eddiini mu bigambo ne mubikolwa n’okweewala eby’o bulimba n’enjogera embi alyooke ebeere nga katonda bwagamba mu surat NAHLI - 125 (Nti baddemu n’ekyo ekisinga okuba ekikungi)

2. EKYOOKUBIRI: Okubeera nti amazima gegagobererwa era nga kyeekigendererwa kyaanoonya nga katonda bwagamba mu surat “Yunus - 35 (nti amazima geematuufu Okugobererwa).

3. EKYOOKUSATU: Okweekuuma okujjuvu obutateeka nzikiriza yonna kumuntu okujjako nabukakafu obujjuvu n’okutwaala buli nsonga yonna mubutuufu bwaayo obutagoberera mutima gwe kyegwaagala newankubadde sikituufu.

4. EKYOOKUNA: Okweewalira ddala obusosoze olyooke otwaale buli nsonga mubutuufu bwaayo oleme kuzimbira kweekyo omutima gwo kyegwaagala ne wankubadde sikituufu.

5. EKYOOKUTAANO: Bwaba ayagala okulamula obutuufu bwensonga oba obukyaamu bwaayo ateekwa okwesigamiza (Mukumenya oba okuwagira) mubitabo ebituufu era ebyasigi bwa kuludda olw’okubiri (Olutakiriza Ganya Naffe) sossi kuzimbira ku butakkirizabwe wadde oba abalala abafaanana nga yye mubirowoozo (Ebyenjigiriza).

N’oluvanyuma lwensonga eyo kyaabuvunaanyizibwa bwaffe okunyonyola “Amadh- heb” ga “Shia” mubufunze era “Shia” kyekki?.

Tungamba bweetuti: “Shia” kigambo kya lulimi luwarabu nga nemlulimi olwo kitegeeza: Abagoberezi abenzikiriza emu (Abagoberezi) n’abataasa b’enjigiriza nga katonda oweekitibwa bwaagamba mu Qur’an mu surat  “Swafaat” - 83 nti Mazima ddala Ibrahim yagoberera ekubo lye enjigiriza ye) Tulaba nti ekigambo “Shia” wano kitegeeza kugoberera era katonda atutegeeza mu surat “Qaswas” - 15 nti (NNABBI Musa (a.s) nga amaze okujja ewa faraawo nga ayingidde mukibuga yasanga abasajja babiri nga balwaana gana nga omu wamubagoberezibe mu ddiini nga omulala wamubalabebe namusaba oyo omugobereziwe kumutaasa kwooyo omulabe we Nnabbi Musa (A.S.) Namutaasa.) bwetuba tugenze mutteeka lino, tutegera nti katonda oweekitiibwa yakozesa ekigambo “Shia” nga mu mateeka ago gombiriri abagoberezi abagoberera enjigiriza emu kyeekyo ekigambo “Shia “bwetukisanga mu “Quran” ne mululimi oluwarabu. Kyokka ekigambo kino kyeeyawulira munkozesa yaakyo kw’abo abagoberera Imam oba swahaba ayitibwa “Ali “(a.s) n’abaana be abo abakiriza abwa Imam oba abwa khaliifa bwaabwe nga NNABBI (s.a.a.w) bweyategeka. Nekibeera nti kati buli lwonna lwewabaawo okwaatula ekigambo “Shia” kitegeeza oba kitegeerekeka butegeerekesi nti abagoberezi ba Imam “Ali” (a.s) n’abaana be.

Abasomi bonna abeebyaamateeka ge ddiini abo abaliwo kati n’aba baasookawo nga bwebagamba omuwandiisi w’ebyaataayo amwaatiikirivu ayitibwa “Ibn khalduun” mukitabo kye ekyenyanjula kulupapula 192 wansi w’omukko 27. N’okutangaaza ensonga zino tulabe ebintu bino wammanga:

 

 

 

Index