back

BASWAHABA KUMULEMBE GWA NNABBI (s.a.a.w)

next

 

Katonda ow’ekitiibwa agamba mu suula 33:53 nti “Temwalibadde mwe banyiiza mubaka wakatonda wadde okuwasa bakyaalabe oluvanyuma lwe lubeerera ekyo kumwe kinene eri katonda”.

A'ya eyo yakka nga egamba ba swahaaba ba nnabi (s.a.a.w). nga ebaziyiza obutanyiiza mubaka wa katonda ng'eyogera ensoga eyali enyiiza nnabi (s.a.a.w). nga ensonga y'okuwasa bakyaala be oluvanyuma lwe ng'amaze okufa. Abavvunuzi ba Qur'an bagamba nti A'ya eno yakka kubamu mu ba swahaaba ba nnabi (s.a.a.w). abaali beesunga okuwasa abamu kubakyaala ba nnabi (s.a.a.w). ng'amaze okufa.

Abu Ja'far Muhammad ibn Jariir Atwabari mu tafsiiri ye ejjuzu 10 lup 29, agamba nti “Yagamba Ibn Wahb nti, yagamba Ibn Zaid ku A'ya eyo nti waaliwo omusajja omu mu ba swahaaba yagamba nti, singa nnabi afa njakuwasa mukazi we, naagamba nti ekyo kinyiiza nnabi (s.a.a.w)., katonda kweekussa A'ya eyo”.

Jalaalu-diini Ssuyuutwi Agamba mu kitabo kye “Durarul-Manthuur “ejjuzu 6 lup 643 ng'abijja ku Baihaqi, ng'abijja ku Ibn Abbas nti omusajja omu mu ba swahaaba ba nnabi (s.a.a.w). nti Nnabi bw'anaafa njakuwasa Aisha oba Ummu Salama, bombi bakyaala bakyaala ba nnabi baayogera Hadiith nyingi eziri mu makulu gano mukitabo ky'ekimu ejjuzu y'emu lup 642-643.

Mukitabo ky'ekimu, aba muboogezi baayogera erinya ly'omussajja ono kubanga Ssuyuutwi yagamba Ibn Abii Hataami g'agijja ku Sudiyyi, nti baatutegeeza nti Twalha ibn Ubaidirlah yagamba yatuziyiza Muhammad abawala betwaaliwasizza, singa wabaawo kyonna ekibaawo nnaaliwasizza bakazibe ng'amaze okufa, ebyo biri mukitabo kya Suyuutwi kyetwoogeddeko lup 644. Nn'abalala abavvuunuzi bamwoogerako okugeza nga Tafsiir Bahrul-muhiit ejjuzu 7 lup 247.

Kakonda yagamaba mu suula 24:11 “Abo abajja n'eby'obulimba kibinja kuva mummwe”. A'ya eyo eyitibwa abajja n'eby'obulimba ng'obuliba obw'ekika kino bwawaggulu nga Fakhru Raazi bwagamba nti Okukonjera; (kwekwogera kumuntu eby'obulimba nga nakyo kyeekintu omuntu kyebamwoogerako natakiwulirawo ageenda okukitegeera nga aswaaluse.) Tafsiir Al kabiir 23:172. oluvanyuma naagamba nti abajja n'obulimba baamumwe kitegeeza abo abalimbirira Aisha(r.a) bamubantu ababeera awamu naye nga bwekiri mu Tafsiir Al-kabiir olup. 173. enjogera eno eyolekezebwa eri baswahaaba nti abamu mubo bajja nebyobulimba ebyo kunjera, Ate ekyokubanga Aisha gwebaalimbirira oba nedda ebyo byetujja okwogerako gyebujjako katono mukitabo kino. Nga bwekyajja mu Tafsiir Bahri Al muhiitwiabvvunuzi abamu bagamba nti ekibinja kyaabo abajja n'obulimba ne bogerako kumanya gaabwe abamu ngamweemuli:-

Adul-llah bin ubayyi, Zaid bin Rifaat ne Hassan ibn Thaabit ne Mus-twah bin Atha-tha wamu ne Hamnat bint jahshi, n'abalala ababayamba.

SSuyutwi ayoongera okunyonyola ensonga eno mubujjuvu bwaayo mu Tafsiir ye Doural- Manthuor 6:142, agamba nti lumu Nnabbi (s.a.a.w) ng'ali ku kituuti ngaayimiridde abuulira yanenya Abdallah bin Ubayyi, naagamba abange mwe Abasiraamu ! Ani annenyeza kumusajja annakuwaza naanakuwaza n'abantu b'ewange, Ndaira mukama katonda ssirina kibi kyemmanyi kubantu bange era oyo anakuwaza abantu bange naange aba annakuwazza. Saad bin Ma'dh Al-Answaarie naayimrira naagamba nti ssebo mubaka wakatonda nze nkunenyezaako bwabanga ava muba Khazraj kyootugamba kyetukola, ate bwaaba nga ava mu kika ky'aba Ausi tumujjako bujja nsiingo, oluvunyuma omu kubakulu b'ekika kya baKhazraj naye naayimirira namugamba nti nkulayirira tojja kumutta era tosobola kumutta, kizibwe wa Saad bin Ma'dh ayitibwa As-yad bin Hudhair bweyalaba guli bwegutyo, naayimirira nagamba Saad ibn Ubaada nti naawe olimba tujjakumutta kirabika oli munnanfuusi olwaanirira abannanfuusi, nebakaayana nyo ebeekika kya Ausi ne Khazraj nga ne Nnabbi (s.a.a.w) ayimiridde kukituuti okutuusa Nnabbi (s.a.a.w) bweya basirisa.

Ekigendererwa mu kwoogera ekyafaayo kino kunyonyola mbeera ya ba swahaba nabiki byebakola Nnabbi(s.a.a.w) byeyawulira n'okulabako  kumulembe gwe ng'abawandiisi ba Ahli-sunna bwebaawandiika mubitabo byaabwe so sinsnga yakutta na kuwabula nga bwetujja okubyoogerako gyebujjako.

Ensonga endala eyagwaawo kumulembe gwa nnabi (s.a.a.w) y'eyo emanyiddwa nga omutawaana gw'olunaku olwookuna oba ensonga y'ekkalaamu n'Olup., nga bino abawandiisi ba Hadiith abasinga obungi baabiwandiika mubitabo bino:-

1- Swahiih Bukhaari, 8: 156.

2- Swahiih Muslim, 3: 1257, Hadiith eya 1637. ekyafulumizibwa mu 1978.

 3- Musnad Ahmed, 1: 332.

Nabawandiika ebyaafaayo mulimu:-

1- Tabarie (Taareikh Tabarie 11: 193).

2- Ibn Hadiid (Sharehe Nahjul-balagha 6: 51).

3- Shahristaan (Al-Miral wa Nnihal 1: 29).

4- S’ad (Tabaqaat, 2: 242).

 Bukhaari yawandika ng'abijja ku Ubaidullah bin Abdallah nga naye abijja ku iibn Abbas yagamba: nnabi (s.a.a.w) bweyali mumbeera y'okwaabulira ensi abasajja bajja munyumba ye nga mubo mweemuli Umar ibn Khattab n'abalala, nnabi (s.a.a.w) naabagamba nti : “mundeetere ekkalaamu n'olupapula mbawandiiikire ekiwandiiko temujja kubula oluvanyuma lwange”. Umar naagamba nti nnabi obulumi bumuuyitiridde ekitabo kya katonda Qur'an kimala. Abantu b'enjuuye nebawakana kukigambo ekyo era nebabiyomberamu ng'abamu bagamba nti muleetere Nnabbi abawandiikire atenga abalala bagamba nga Umar bweyayogedde bwebaayitiriza okukayana n'okuleekaana nnabi(s.a.a.w) yabagamba nti “munviire”. Ubaidullah agamba Abbas agamba nti omutawaana omunene gwaaliwo nga Nnabi (s.a.a.w) ayagala okubawandiikira ekiwandiiko (ekiraamo) munkaayana n'enyobozaabwe. waliwo n’ebintu ebirala bingi kyokka twoogeddeko ebyo bimala.

 

 

Index