back

SHIA NE BASWAHAABA OMULUNDI OGWOKUBIRI (2)

next

 

 

Omuwandiisi yagamba nti : omusingi gw'ejingiza ya shia bazimbira kukugamba nti ba swahaaba ba Nnabi (s.a.a.w) abaawererako ddala emitwaalo kumi (100, 000) abaali mu Hijja ya Nnabbi (s.a.a.w) eyasembayo bonna baava mu ddiin okujjako abatono mubo.

Tugamba nti :  Okubeera kulembe ogumu ne Nnabbi (s.a.a.w) kyokka tekifuuka nsonga efuula omuntu kuba mwenkanya oba muloongoofu bwabeera nga tafuddeyo kutya katonda nakukola mirimu mirungi, katonda agamba mu Qur'an 66:13 "Asiinga okuba n'ekitiibwa mmumaso gaa katonda yooyo asinga okumutya”. era nga n'obujulizi buli mu Qur'an nti abantu bangi abaali kumulembe gwa Nnabbi(s.a.a.w) Qur'an etutegeeza nti abamu baali bakkiriza eranga balongosa eddiin ate nga abalala baali bannaanfunsi, Qur'an etutegeeza nti abamu baali babonya bonya Nnabbi(s.a.a.w).

 Abavvunuzi ba Qur'an nabawandiisi bebyaafaayo bawandiika ebitutegeeza nti bonna tebaali kumutindo gweetagisa mu bweenkanyankanya n'obulongoofu nga engeri zaabwe ziringa zabantu abalala.

Emabegako tukulaze baswahaba kyebatukaako mukwaawukana nga engerizaabwe mweekyo tezawukana nabantu balala okujjako kunkomerero yensonga eno katulete ekyokulabirako ekyo bannabyafaayo byebawandiika nga tubijja mubitabo byaba Ahli-sunna asobole okufuna ekituufu naabamufaanana, ate kiri nti bwetwogera kubintu ba swahaba byebaakola, tuba tetugenderadde kubaswaaza wabula tuba twogera kunsonga mubutuufu bwaayo eranga byeebyo ebiri ebiri mubitabo bya basunni ebikukutivu, tetusaanye kugamba nti musaango gwa shia kubanga twagadde okumanya ebituufu kubuli nsonda ate nga biri mu ba sunni era ba swahaba bantu nga abantu babulijjo basobola okukola ensobi era basobola n'okukola ebirungi oba okutegeera ekintu obubi n'obutagendera ku mateeka ga ddiin(sharia) n'okubonyabonya Nnabbi (s.a.a.w) n'abantu b'enyumba ye atenga abalala okubera abaloongoofu buli nsonga yaabwe yonna nekibeera nti shia bagamba nti omubi mubaswahaaba mubi kulweebyo byeyakolanga era n'omulongoofu mulongoofu kulweebyo bye yakolanga, kino kyeekitufu sossi kugamba nti baswahaaba bonna baasobya oba n'ogamba nti bonna balongoosa bulongoosanga, kubnga ekyo kirimbisa ebyafaayo byaabwe. Kyeetagisa ku muwandiisi waffe ono n'abmufaanana okulekako katono kubbali ebyo bya kkiririzaamu n'ebyeyasikira okusobola okutunulira buli nsonga n'omuntu agikoze n'eriiso ejjoji n'obwenkanyankanya wamu n'obuvumu n'okulamula abantu okusinzira nga ebyaafaayo ebituufu ebyaaliwo kubuli mulembe ogwo, ngabwebyamutwogererako. atujjeyo kubimu ebyagwaawo mu njawukana n'okwawukana wakati wabaswahaba okuviira ddala kumulembe gwa Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) soma olabe.

 

 

 

Index