back

OKUTIISA TIISA NOKUKANGA KANGA

next

 

Omuwandiisi yagamba nti; waliwo abamu muba Ahli Sunna baalinya ekituuti nebasalawo okuggulawo enkolagna n’okuteekawo oluganda olw’obusiraamu n’abalabe b’obusiraamu, era n’agamba omuwandiisi nti buli yenna ab’ataddewo enkolagana n’abashia-Imaamiyyah- ab’avudde mu ba Ahli Sunna era ssiwaa mubo olubeerera.

Tugamba nti : Enkola yaakubiri gyaaliko omuwandiisi mukutiisa abantu abo abakolagana n’abashia - Imaamiyyah - kubanga ekisooka abatwaala okuba nti batono, kisoboke obutazitowa mumaaso g’abantu, sing’aleka okutiisatiisa abantu baalyeeyongedde obungi kubanga omuntu obubumbwabwe ayagala nyo okumanya n’okutegeeragana. Wamu n’okweebuuza era ayagala n’okumanya nengeri omulala gyaaliko. Kiki ekigaana omuntu okweenoonyeza okumanya bwekutaba kutiisibwa kuno omuwandiisi kw’akola n’abamufaanana.

Ekyookubiri Akozesa enkola ey’okutiisatiisa ng’agamba nti omuntu akolagana nabashia abeera avudde mu ba Ahlu Sunna, lwaaki ateeka obuzibu kubirowoozo nekumagezi g’bantu nga aziyiza abashia okukolagana naba Sunna ng’ate okwaawukana mundowooza nemuntegeera kyaabutonde mubantu bonna.

Omuwandiisi yagamba nti: Tewali nsonga lwaaki twekkakanya munzikiriza yaffe, era tewali bweetaavu  n’abashia mukweegatta n’abashia, bwebaba beetaaze okweegatta n’okukolagana beegatte era bakolagane ne “Shataan” sitaani !!! oba n’abakaadiyaani, beebo abasobola okukolagana n’aba Shia kubanga abashia tebalina ddiini wabula bavumiriza busiramu.

Tuddamu ensonga eyo nga tugamba nti omuwandiisi avudde kumpisa z’obusiraamu kubanga kano kakodyo kalala kaakugaana bantu balala kwoogera nabashia nga ayolesa nti yye wawaggulu nyo era ng’agamba nti abashia baawansi.!! Tekibangawo nti omutu okwoogera oba okunyonyolegana n’abashia nti kuba kwekkakanya, ne Quran yatulagira nga ffe abasiraamu okuyisa obulungi abo ababa bakuyise okuggatta katonda n’ekintu ekirala.... katonda atugamba kwoogera nabo bulungi kukintu ekinene bweekityo, naye butya ono atagatta ku katonda kintu kirala wabula nga mwawukana bwaawukanyi mundowooza na ntegeera mu bintu ebitali binene.

Omuwandiisi eky’okugamba nti abashia bwebaba baagala kweegatta n’okukolagana, bakolagane ne sitaani, ekyo sikyaamubugunjufu wadde obutegeevu muddiini okujjako nti kyooleka bulwadde bw’omwooyo bwaalina n’obutali butebenkevu mubirowoozo.

Omuwandiisi yagamba nti : Abasiraamu abasinga obungi naddala abasiraamu ba Africa tebamanyi Shia bulungi era nebigendererwa by’abwe olw’okubanga bambazibwa ekyambalo ky’obusiramu ng’amadhehebu.

Tugamba nti : Shia - Imaamiyyah - bweebwenyini bw’obusiramu er’anga nebigendererwa byaabwe byeebyo ebigendererwa by’obusiramu ebyo Nnabbi (s.a.a.w) byeyajja nabyo eranga ekyo kimanyiddwa mubyaafaayo okuviira ddala kumulembe gw’omubaka (s.a.a.w) era nga bwetwaayogeddeko emabega sossi nga omuwandiisi bw’agambye, nga n’obujulizi kunsonga eyo kusoma amateeka n’enjigiriza mu kweesinza katonda omu mubitabo bya Shia -Imaamiyyah- ebijjudde ensi eno oba okugendako mu gumu mu mizikiti gy’abashia alabe bwe beesinza oba wa gyebatunula nga basaala, tebatunula mu Qibla ky’ekimu nga abasiraamu abalala ? Oba bagamba nti katonda waliyo ekimugattibwaako mungeri endalayonna ?! Oba agendeko mubutale bwaabwe wonna alebe oba tebakolera ku mateeka nga ddiini mukugula nemukutunda, oba mukifo kyonna eky’abashia tajja kubasanga okujjako bakolera ku nkola yennyini ey’eddini y’obusiraamu. Bwekiba nga bweekityo bwekiri lwaaki omuwandiisi awaayiriza n’okutema ebigambo wamu n’okulimbisa amadheb ga Shia nga tannaba kusoma ngerizaabwe mubutuufu okuva mubitabo byaabwe.

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia babuzaabuza abantu nga beerimbika mu busiramu abantu bagambe nti bakkiriza balungi naye nga birala nyo byebakweese mu mitama gyaabwe.

Tugamba nti : Omuwandiisi afuuse omuntu ateegeera ebyo ebitalabwako. Kubanga ngeri ki jaayinza okutugamba nti yye ategeera ebyo ebiri mumitima gy’abalala alyooke ategeere nti kyeboolesa kungulu si kyebakakasa mumitima gyaabwe??!!!. Mubutuufu okwo kuba kweewaayiriza kubanga katonda yekka y’amanyi ebyo ebitalabwaako n’ebyo ebirabwaako, ebiri mu mitima gy’abalala, ebyo byayogera nti yye naye amanyi ebiri mumitima gy’bantu byongera okulaga fitina ye obunene bwaayo era ne nnampala ye wamu n’oyo alinga omuwandiisi ono

Omuntu okubeera omusiraamu omutuufu ateekwa kuba ng’ali wamu ne Nnabbi (s.a.a.w) munkolaye era nga akolera kubiragiro bye, nga agaana ebyo Nnabbi byeyagaana. Era bwekityo tusanga Shia nga eyo yenkola yaabwe era nga baakwaata ebiragir o by’omubaka awatali kumuwakanya nga Qur’an bw’egamba mu suula 59: 74 nti : “Kyonna omubaka kyaaba abaleetedde mukikwaate ate ekyo kyonna kyaaba abaziyizizza mukireke”.

Nnabbi (s.a.a.w) yabalagira okweekwaata ku Qur’an n’abantu b’enyumba ye wamu n’okubaagala era Shia Imaamiyyah bweetyo bweekola wabula ssi nga nga abalabe baabwe bwebakola okwoonoona ekifaananyi kyaabwe eri abalala nga babasibako eby’obulimba n’okubakonjera enkola yabwe yonna bagirinak’obujulizi okuvamu Qur’an ne mu hadith era ne mu magezi, Wabula ssi nga ono omuwandiisi bwaagamba.

Omuwandiisi yagamba nti : bwetweetegereza ensibuko ya Shia tweesanga nti tebakwaatagana wadde n’akamu nabukkiriza muddin y’obusiraam

Tugamba nti : omuwandiisi kyaayita okweetegereza n’okwekkaanya takimanyi okujjako amanyi okuwaayiriza nakukonjera, bwekitaba ekyo ayinza okutuwa obujulizi nti abashia beesinza ekintu ekirala ekitali katonda? Nti basaala batunu dde mukitali kibula ky’abasiraamu? Oba basoma etali Qur’an abasiraamu abalala gyebasoma? Oba bakola hijja mukifo ekitali “Makkah?!”.

Omuwandiisi yagamba nti: Tekiriimu kubuusa buusa era ssi kituufu kuyita muntu mukaafiiri bwaaba  nga akkiriza katonda omu n’omubaka we (s.a.a.w) kyokka  Abasiraamu abangi mu aba Ahli Sunna beegatta bonna ku kigamba nti abashia baakyuusa Qur’an.

Tugamba nti : omuwandiisi ono simutuufu bw’agamba nti abasiraamu aba Ahli-sunna bakaafuwaza abashia Kiba kyeewuunyisa nyo kubanga Imaam omukulu mu ba Ahli-sunna ayitibwa Abu-Haniifa ye ekyo takikkirza eky’okuyita omuntu omukaafiiri bw’abanga asaala nga atunula mu “Qibla “Ky’abasiraamu era ng’asaala esswala ettaano, n’asiiba omweezi gwa Ramadhan wamu n’okukola hijja, n’okutoola ezzaka mu maaliye nga byonna abikola ng’akkiriza katonda omu n’omubaka we (s.a.a.w). Lwaaki tagoberera bigambo bya Imam oyo, at’enga twaagambye nti abashia -Imaami yah- tebakkiriza ku kyuusibwa kwa Qur’an eranga bakolera ku Qur’an eno eriwo kati bonna abasiraamu gyebasoma okujjako enjawukana eri ku nsonga gyetwaayogeddeko ey’obwaa khalifah.oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w).

Bweyeesiba ku nsonga eyo gyetwaamaze okunyonyola mubujjuvu, abanga ayagala okujjuza obujjuza empapula n’endowooza enkyaamu ku Shia asabole okubavumiriza.

Okumanya obutuufu bwa Shia tebuyimiridde ku kulamulira kw’abantu nga omuwandiisi byeyeesembesa okuva mubigambo bya Ibn Hazim n’abamufaanana ekikulu era ekituufu kirimukusoma nzikiriza za Shia nakulamuza Qur’an ey’ekitiibwa, ne hadith za Nnabbi (s.a.a.w) nga amagezi bwegatulungamya n’okutegeera okutuufu nga ebitabo byetwaayogeddeko mu ntandikwa y’ekitabo kino, okutaleeta mpalana wakat wabasiraamu.

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia bakakasa nti Imam Ali (a.s) n’abaana be katonda yeyabalonda okuba ba Imaam olw’okubanga baali basinza nyo katonda n’okusingako baNnabbi (a.s) era n’abashia balina ebirowoozo ebyaawansi beerimba nti baagala abantu b’enyumba ya Nnabbi (s.a.a.w).

Tugamba nti : ekyo eky’okukkiriza Imaam Ali (a.s) n’abaana be abamanyi abakulembeze ba madhebu amalala bakikiiriza era nti bbo beeba Imaam ekkumi n’ababiri oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) nti era ekyo kyaakolebwa nakiragiro kuva eri katonda o’wekitibwa kubanga ye NNABBI tayogera kuva oba kusinziira ku kwaagala kwe okujjako buba bubaka kuva waa katonda 53: 4. Okumanya ebisingawo okuva mu bamanyi ba Ahli-Sunna soma ekitabo kya “Yanaabi-ul mawadda “eky’omuwandiisi omusunni, olabe era otegeere nga bwaayogera kuba Imaam ekkumi naababiri bonna nga baali baakuva mu ba “Quraishi ekitabo ekyo 3: Olup. 160. Oba okusoma ekitabo kyonna ekituufu mubitabo bya Ahli-Sunna ebyoogera ku bukulembeze oluvannyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) olwo bweekityo bwekiri n’obujulizi obutuufu, kiba kibii ki eri Shia?? era abasiraamu baalina kugoberera ekyo katonda n’omubakawe kyebalagira. Ate nga nabashia balina obujulizi obweeyawulidde kunsonga eyo mubitabo byaabwe nga bwetwaayogeddeko mu kusooka.

 Eky’okugamba nti ba Imaam beesinza katonda okusinga ba Nnabbi (a.s) kirina kabiiki nga naabamanyi ba Sunna baawandiika hadith okuva ku Nnabbi (s.a.a.w) nti yagamba ““Abamanyi b’ekibiina kyange basinga ba Nnabbi b’abana ba Israeer”. Bwekiba nga bweekityo bwekiri kumuntu waabulijjo olwo butya kubasika ba Nnabbi mubantu b’olulyo lwe (s.a.a.w) abo katonda beyajjako ebibi n’abatukuza olutukuza.

Ekyokugamba nti abashia beerimba nti baagala abantu b’enju ya Nnabbi (s.a.a.w) ekyo sikituufu, abashia tebeerimba wabula bakakasa nga bassa munkola etteeka lyakatonda eriri mu Suula 42 : 22, nga era beebo abakuuma obuwufu bw’abantu b’enju ya Nnabbi (s.a.a.w) era baatuumibwa “Shia “kulw’okugoberera Imaam Ali (a.s) n’abaana be mu kussa munkola ekiragiro bya katonda n’omubakawe abashia -Imaamiyya- abalina obujulizi obujjuvu obunnyonyofu mu ku kakasa enzikiriza yaabwe mumateeka ne mumpisa okuva ku ba Imaam baabwe (a.s).

Shia -Imaamiyyah- Madheb tegeetaaga kwoogerera kulw’okubanga madheb gayimiridde ku bujulizi mu byonna byebakola okujjako batono ab’omutawaana nga omuwandiisi ono n’abalinga yye abalina emitima egijjudde ensaalwa n’okuteekawo empala mu basiramu olwokweesigamira ku bigambo by’abamu ebitalina musingi gwabusiraamu.

 

 

 

Index