back

SHIA NE TAQUYYAH (OKUKISA) 2

next

 

 

Omuwandiisi yagamba nti : Taquyyah (Okukisa) oba obunnanfuusi na musinji na mpagi luwaga mu nzikiriza ya Shia, n’obunnanfuusi obw’ekika ekyo bbo (Shia) babuyita taqiyyah (Okukisa).

Tugamba nti : omuwandiisi waffe ono gwetwoogerako atyooboola Qur’an n’akamala bukamazi, era nga bwetwaayogeddeko emabega, eyalaalika ensonga eyo erumya abamu emitwe ye katonda (S.W.T) mu kitabo kye eky’amateeka ekitukuvu, ekikulu era nga g’emazima amatuufu nti Taquyya (Okukisa) ssi bunnanfuusi nga abamu bwebagamba, era kyawukanira ddala n’obunnanfuusi mukutegeera era ne mu makulu nga bwetwaayogeddeko emabega, wabula, tuyinza okwongerako netugamba nti omuwandiisi n’abamufaanana beebavirako Shia okukisa oba abo abaabasookawo baawandiika ebintu ebibi bingi okwaagala okuteekawo empalana obutategeeragana wakati w’abagoberezi ba Imaam Ali (a.s) (Shia) okutuusibwaako n’okutuusa obubenje kubalala. mw’ekyo nebakakibwa okwoolesa ekintu ekirala basobole okuwona obubenje bw’abalabe baabwe kyokka emitima gy`abwe ginyweredde kubukkiriza.

Tugamba nti: Bwebabanga, bakhalifah balinga bantu babulijjo olwo obwa’khaliifa (Obukulembeze bwabwe) na ddala omu kubo bwa’gwaawo mu butamwa (Falta) nga Umar bweya. Gamba nga nakyo kitegeeza okugwaawo kwekintu nga tewali kulowooza oba okufuminti liza kiki ekiyinza okukozesebwa n’e mukintu omuntu ky’akola mubutali bubenderevu. Obwa khalifa bwa Umar ate bwo eyasooka khalifa ye yalonda ate kuluno tekyaali kyakulonda nga eya sooka bwebakola, olwo butya khalifah yye bwaamanya akabi akali mukuleka nga talonze mukulembeze okusinga Nnabbi (s.a.a.w) ekyo kijja mu magezi ?!) Tugambe nti Nnabbi (s.a.a.w) yali tasuubira nti anaafa oba okumanya obusiramu bunaaba butya oluvanyuma lwe?!.Kiryooke kibeere nti omulala gwaana londa nga tali mwaabo abatukirivu abatasobya efuuke ensonga yo kuttibwa !!!. Mazima eddiini  etwekesa okuyiwa omusaayi ne twekesa okwekesa okunene nga bwe ya kinyonyora omumanyi Jalaal- Diin Suyuutwi mu kitabo kye Duoral-Manthour, Ejjuz: 2 Olup 16.

 

 

 

Index