back

SHIA (IMAAMIYYA) NE SUNNA ZA NNABBI (s.a.a.w)

next

 

 

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia tebagaana Qur’an yokka, wabula bagendera ddala mumaaso mukugaana n’okulimbisa ebitabo bya hadith (Ebituufu ebimanyidwa omukaaga). Okuzimbira kweekyo balina ebitabo bya hadith za Nnabbi (s.a.a.w) era bawandiika nebagamba nti hadith za Nnabbi (s.a.a.w) tezisukka 5% olwo ezisigadde 95% mubigambo nemubikolwa babizza ku ba Imaam baabwe, era n’ekigambo hadith munzikiriza zaabwe kitegeeza ebigambo n’ebikolwa wamu n’okusirika kwa ba Imaam baabwe.

Tugamba nti : Shia (Imaamiyyah) bakakasa nti Nnabbi (s.a.a.w) yajja n’eddiini enzijuvu etali nkendeevu era nga yatunnyonyola enjigiriza n’amateeka g’obusiraamu okuva mu Qur’an ey’ekitibwa ne hadith ze era n’alonda ba Imaam okuva mu lulyoolwe era nga ekyo kyaali nga bubaka okuva ewaakatonda ow’ekitiibwa, ng’abalonda babeere abasigire be oluvanyuma lwe era, n’atulagira okubajjako okumanya n’okutegeera olw’okubanga nti bbo (Abantu b’olulyoolwe) beebamanyi era abategeevu oluvanyumalwe, era baafuna okumanya okw’ensikirano okuva ku Nnabbi nebw’ekityo bwebaba boogedde tebasobola kuba nti bogedde ekyo kyebatalinaako kumanya era taboogera okujjako ekyo kyebajja okuva kumubaka ebigambo byaabwe n’ebigambo bya Nnabbi (s.a.a.w) ne hadith zaabwe babijja ku Nnabbi (s.a.a.w) olw’ensonga nti bbo beebasika ba Nnabbi (s.a.a.w) oluvanyuma lwe kulw`obujulizi nti bafuna okumanya okuva ku Nnabbi (s.a.a.w) era nga Nnabbi (s.a.a.w) bweyalagira okubagoberera kubanga bbo beyafaanaanyiriza okuba nti balinga eryaato lya Nnabbi Nouh (a.s) buli yenna eyalirinya yawona ate buli yenna eyalireka naatalinya yazikirira n`asaanawo.

Kitegeerekeka nti enkola n’ekkubo lya Shia (Imaamiyyah) mukufuna amateeka n’enjigiriza okuva kuba Imaam baabwe kuganga ebigambo byaabwe ne hadith zaabwe, byeebyo ebigambo ne (Hadith) ezaayogerwanga n’omubaka oweekitiibwa tewali muntu yenna ali kumpi na Nnabbi (s.a.a.w) okusinga abantu b`enju ye, nabweekityo tewali muntu amanyi mateeka ga ddiini okubasinga oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) era kyaali kyeetaagisa abasiraamu bonna okugoberera ekkubo n’enkola eyo ayaaba Imam, kubanga neba swahaba benyini baali bayiga okuva ku Imaam Ali (a.s) era nga badda gyaali munsonga zeddiini eziba zibalemye okutegeera, kubanga Imaam Ali (a.s) gweemulyango gwokumanya, era obujulizi nti khalifah owookubiri yagamba nti : “Singa teyali Ali (a.s) yalizikiridde Umar”.

Abashia tebagamba nti ba Imaam b`enkanankana ne Nnabbi nti oba bamuwakanya wamu nenjigirizaye wabula kiri nti ba Imaam enkola yaabwe y`enkola ya Nnabbi (s.a.a.w) era ekkubo lyeyalimu nabo lyebaakwaata era lyebakyaaliko. Olw’ensonga nti bbo beebenyumba ye era baava mu ndaaye, nabweekityo Nnabbi yatukuutira okuba nti oluvanyuma lwe tweekwaate ku bantu abo.

Omugezi yenna omutuufu ddala bwaalowooza ku’nsonga eyo alaba nga okumanya okuba kuva ku ba Imaam abo ab’olulyo lwa Nnabbi (s.a.a.w) ly`ekkubo eritutuusa eri Nnabbi (s.a.a.w) lyeyatwaagiriza tusobole okutuuka eri katonda era nga ekyo ky`e kyaatutondesa bwe yaliranyisa abantu b’enjuuye ne Qur’an n’atugamba nti byombi tebisobola kwaawukana okutuusa olunaku lw’enkomerero, kwossa n’okumanya kwaffe nti abantu abo katonda yabatukuza era nti tebakola nsobi. Kibeera nti ebigambo byaabwe n’ebikolwa byaabwe wamu n’ebyo byebaba balabye nga bikolebwa nga bituufu nebasirika, ebintu ebyo byonna bibeera mazima era buba butuufu.

Omuwandiisi byagamba nti tetujja hadith okujjako kuva kuba Imaam baffe naye obwo bulimba bwenyini kubanga ffe tufuna hadith n’enjigiriza okuva ku Nnabbi (s.a.a.w) ne ba Imaam abo Nnabbi (s.a.a.w) beyalagira okuba nti bagobererwa, wabula tuteekwa okumanya nti ssibuli hadith yonna eyogerwa eba ntuufu are tugitwaala. netugyeesigamirako nga tetunnaba kugyeekeneenya kulw`okubanga tumanyi nti waliwo hadith nyingi nyo ddala ez’obulimba nga Nnabbi (s.a.a.w) bweyatugamba nti “Bayitiridde abannimbisa era bajja kuyitirira oluvanyuma lwange”. Nabw’ekityo kulw’okukuuma hadith ez’ekitii-bwa n’okuzijjako obulimba tuteekwa kuziteeka ku kipimo ekituufu tusobole okumanya entuufu n’etali ntuufu nga bwekimanyiddwa mu bamanyi ba Ahli sunna, eyo yonna etuukagana n’ekipimo etwaalibwa era ekolerwaako ate eyo eba eyawukana oba etetuukagana nakipimo esuulibwa era n’erekebwa kubba tekiri nti okugaana hadith eyo eba tetuukaganye nakipimo oba na minzaane ya hadith entuufu nti kubeera kugaana hadith za Nnabbi (s.a.a.w) entuufu nga abalala bwebayinza okulowoza ensonga eyo abamanyi ba sunna bagimanyi era bakikakasa nti ekigendererwaamu kukuuma hadith za Nnabbi (s.a.a.w) buteetabikamu hadith nkyaamu ezo eziba nga zaayogerwa bantu balala nyo abatali Nnabbi.

Kitegeerekese nti okujja hadith ku ba Imaam ly’ekkubo erisinga okubeera elyeesigwa okusinga amakubo amalala gonna olw’okubanga beebasinga okubeera okumpi ne Nnabbi (s.a.a.w).

Omuwandiisi yagamba nti : Abashia baakutulawo omuguwa gwa Nnabbi (s.a.a.w) neboonoona Obusiraamu ne bakyaaisa obusiraam ate nga omubaka yagamba mu “Hijja” eyasembayo nti mbalekedde ebintu bibiri ebizito bwemunaaba mubyeekutteko temujja kubula oluvanyuma lwange ebizito ebyo ebibiri ekimu ye Qur’an ne Sunna (Enkola) zange.

Tugamba nti : Shia (Imaamiya) enkola yaabwe kukuuma ddini ereme kuzannyisibwa kubamga Nnabbi (s.a.a.w) yagibakwaasa ng’ekitereso (Amaana) era beebasinga okumanya kiki Nnabbi (s.a.a.w) ky’agenderera mu hadith eyo era beebasinga okumanya kki ekigenderererwa mu mateeka ga Qur’an, olw’ kubanga nti baasikira okumanya okuva kumubaka wabula tekiri nga ono omuwandiisi gwetwoogerako bw’akitwaala nti baakutula omuguwa gw’obusiraamu era nebabwoonoona.

Abaffe twebuuza, era nga tubuuza abo abategeera era abafumintiriza nti mokugoberera abantu b’olulyo lwa Nnabbi (s.a.a.w) abo beyatulagira n’atukuutira okubagoberera ekyo kuba kukutula muguwa gwa Nnabbi? Era n’okubatwaala ng’abakulembeze oba eby’okulabirako kubeera kuswaaza busiraamu..? Kijja kitya on’omuwandiisi okuyita oba okutuuma amanya ebintu ebirina amanya gaabyo? Era kiva kuki ayagale okukyuusa amazima nga ayagala okugalimbika mu bulimba...? Ffe tetumanyi lwaaki akola bwaatyo era naye alabika tamanyi.

Ebimu kw’ebyo ebyaayogerwa okuva ku Nnabbi (s.a.a.w) yagamba nti “Mbalekedde ebizito bibiri, ebbanga lyemumala nga muby’ekutteko temujja kubula, ekitabo kya katonda n’enkola yange (Sunna). Ekikakasibwa nti kituufu mubamanyi ba Shia n’abasunna kiri nti Nnabbi yagamba lulyoolwe (Abantu benjuuye) wabula sso ssi nkola ye (Sunna) bweyali nga ayogera hadith eyo. Era enjogera eyo (Riw`ayat) oba hadith eno nga abamanyi ba Shia bwebagyoogera abamanyi ba ssuna abakulu nabo bwe baagiwandiika mu bitabo byaabwe ebikulu nga mubyo:

1- Swahih Muslim

2- Sunanul - Daaremei

3- Khaswaaesu Nesaei

4- Sunanu Abi Daauda

5- Ibn Maajah

6- Musnad Ibn Ahmad

7- Mustadrak Al H’akim

8- Dhakhair Twabary

9- Kanzul - Umal

10- Tafseerul Thalabei

11- Tafsiir Ibn Kathiir

12- Tafsiir Al Khaazan... Nebirala, Okwo kwossa n’ebitabo ebyeebyaafaayo n’eby’olulimi.

Kyaatageerekeka nti Nnabbi (s.a.a.w) yayogera hadith eno mubifo bingi kyaayogerwa nti Nnabbi (s.a.a.w) yajoogera mu Hijja ye eyasembayo mu “Arafah “n’emadiina mukiseera awo obulwadde webwamunyiikirira nga baswahaaba bajjudde mukisenge kye, era yagyoogera ne mu Gadiir Khum, ne mu Arafah era bwaatyo nemubifo ebirala ebitali ebyo n’olwensonga eyo amakubo omwoogererwa hadith eno mangi era gawerera ddalala kikumi n’omuoso byo.

Mu hadith eyo mulimu okumanya kwa Nnabbi (s.a.a.w) okweeyawulidde n’eby`agero bye mubufunze bye bino:-

Ekisooka: Okumanya obutuukirivu bw’ab`olulyoolwe (s.a.a.w) era bbo beebaddirira Qur’an, n’olweekyo tebakola nsobi kubanga bbo ne Qur’an tebijja kwawukana baatukuzibwa okuva mu mukukola ensobi oba obukyaamu era byombi bitukuuma okuva mububuze olubeerera.

Ekyookubiri: Obukakafu n`obwetaavu bw’okweekwaata ku bintu ebyo byombiriri buli nti ekimu tekimala awatali kyaakubiri (Oba ekirala) , nga n’ekitegeezebwa mukukubyeekwaatako, kukolera kweebyo byeba   yigiriza n’okutambulira ku musingi gwaabyo singa kyaali kimala okukolera kukimu era nga tekireeta kubula kuva ku kkubo eggolokofu Nnabbi (s.a.a.w) yaalibadde akitutegeeza, n’olweekyo eky’ogeddwa kitumalira okutegeera obutali butuufu bw’ekigambo ekyaayogerwa nti “Kitumala ekitabo kya katonda”  era ekyo kuba kuwakanya Nnabbi (s.a.a.w) ow’ekitiibwa.

Ekyookusatu:- Okumanya nti ab’olulyo lwa Nnabbi (s.a.a.w) babeera wamu ne Qur’an ey’ekitiibwa era buli wonna Qur’an w’ebeera, tebasobola kwaawukana na Qur’an wadde Qur’an okwaawukana nabo okutuusa olunaku lw’enkomerero.

Bweweetegereza amakulu ago gakwaatagana n’amakulu g’ekyo Shia ky’egamba nti wateekwaa okubaawo Imaam buli mulembe okutuusa katonda lwaalizikiriza ensi eno n’ebigirimu.

Ekyookuna:- Okumanya nti abantu b’enyumba ya Nnabbi (s.a.a.w) baakungaanya era balina ebyo buli ayitibwa omuntu byeyaalyeetaaze er`e byo abantu byebaagala mukamanya wamu nemukutegeera, nga kikakasibwa n’ebyaafaayo byaabwe kubanga bbo bibondo byaakumanya okwengeri yonna era balinga buddiro bwa’abasiraamu mu buli kimu.

Ekyookutaano:- Okumanya nti okutegeera Qur’an mubutuufu bwaayo kuli mu bo bokka olw’ensonga nti yakkira munyumba yaabwe era beebasinga okumanya ebiri munyumba yaabwe okusinga abalala bonna, n’okubeera nti baasikira okumanya n’ebyaama byaakwo okuva ku mubaka wakatonda (s.a.a.w).

Tutwaala obuvunaanyizibwa okukutegeeza nti hadith eyo mukitabo ekiyitibwa “Muraaj-At “ekya Sharafu-Ddiin ejjuzu ey’omunaana, era nemukitabo “U-Sool-Al Amah “ekya Said Muhammad Al Hakeem Mweeri era yanyonyolwa oyinza okugisoma okufuna ekituufu ekisingawo kunsonga eyo.

Omuwandiisi hadiith gyaayogedde erimu ekigambo ekigamba nti “Sunna Zange “mukifo “Ky’olulyo lwange “ekyo tekyaayogerwa okujjako mu hadiith entono nyo ddala era ezo ezirimu obunafu muboogezi.

6- Ekyomukaaga: Ekya yogerwa mu hadith eyo kusatu mu kuvuma ba swahaaba bange. N’o ku nonyereza ensonga zaabwe ekyo kiri mwe ebyo byetwa yogeddeko edda.

Ebyo ebyajja mukuziyiza okutuula nabo wadde okubawasaamu n’okubatoolera saalaamu n’ataleefa kiragiro kyakubatta nga bwekiri mu hadith ewedde, tugamba nga bwetulabye mu hadith nti ba swahaaba bantu nga abantu baabulijjo era nga okulaba okulaba Nnabbi (s.a.a.w) nebabeera naye kibawa ekitiibwa naye tebafuuka kuba nti ssibantu, mulimu abakola ebirungi ate mulimu abasobya ku banga mwaalimu aboonoonyi n’abannanfuusi n’abakkiriza era nga Qur’an bw’eboogerako newajjawo enjawukana bokka nabokka okutuusa bwebatta ne khaliifa owookusatu, baswahaba ne beetirimbula bokka nabokka.

Ebyo abashia ssibeebabyoogerako bokka wabula n’abassuna mubitabo byaabwe mweebirli era nga bwetwaayo geddeko mweebyo ebyaagwaawo mu kitundu eky’ekyaasa ekisooka okuva kukusenguka kwa Nnabbi (s.a.a.w).

Twongerako wano ebyeengerwa mu hadith z’abasunni Swaheeh Bukhaary ejjuzu 8: 149-151 mukitabo “Haqaa-iqi “kw’ebyo eby`ayogerwa mu biribaaawo kulunako lw’enkomerero nti baliragirwa ba swahaaba ba Nnabbi (s.a.a.w). Soma Musnad Ahmed, ejjuzu: 5 olup: 333 n’ejjuzu: 3 olup 28 olabe.

Bagende bayingirizibwe mu muliro Nnabbi aligamba nti abo ba swahaaba bange !! Balimuddamu nti gwe tomanyi biki byebaakola oluvanyuma lwo. ne Qur’an eyogera ku biki ebyaaliwo oluvanyuma lwa Nnabbi Surat 3 : 114 nti “Muhammad tali kintu kirala okujjako mubaka wa katonda bw’aba afudde oba attiddwa kiba kyuusa okuva ku ddiini yamwe?!! Oyo an’akyuuka oluvanyuma lw`okukkiriza tajja kukosa katonda wadde n’akatono, era ne katonda wakusaasira abo abeebaza. ”

Enjogera eno eyo “Bwemukyuuka” Eg`ambibwa “swahaaba “tewali mulala okujjako enjawulo eri ku lw’ebyo by’okoze ebirungi eby’obujjuvu nga katonda bw’agamba mu suura 49: 113 “Mazima abasinza ekitiibwa eri katonda beebo abasinga okumutya.”

Tutegeera nga bwebatugambye nti hadith ziri ntuufu tezikwaata ku Shia wadde akatono era bbo abashia baliwala nyo n’ebyo ebibakonjerwa n’okubawaayiriza oyo eyabeegattamu abeeyita ba mufti n’abasomesa eby’obulimba ebitalina kigendererwa okujjako okuteeka effitina n’empalana mubasiraamu nemebantu abalala nga katonda bw’agamba musuula 9: 48.

“Nti baakuleetera effitina nebakukyuusiza ensonga (Ebinty) okutuusa amazima bwegajja ekiragiro kyaamukama katonda ne kyeeyoleka nga nabo bakiwakanya - Tebakyaagala -”.

 

 

 

Index