back

ABASHIA NOKUKYUSA QURAN:

next

 

 

Omuwandiisi yagamba nt i: Bwetwetegereza enjigiriza za abashia twesanga nga bagamba nti Qur’an gyetulina kati yakyusibwa n’agamu kumateeka muyo nega sangulwamu, sikyokka, nemw’ongerwamu amalala, nekikasa ekyo yemwo gezi wa hadiithi omushia ayitibwa kuleini agamba mukitabo kye Al-Kaafi “Mazima Qur-ani eyaweebwa Jibra-er agituuse ku Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) yali eweza aya 17, 000 “Omuwandiisi wagambira nti ekyo kisoboka kitya ng’ate ekyakanyizibwaako abasiraamu bonna kiri nti Qur’n tesussa aya kakaaga (6, 000) , ekyo kiba kitegeeza nti bibiri byakusatu byasuulibwa nebijjibwa mu Qur’an.

Tugamba nti : Singa omuwandiisi asoma ebimu ku bitabo bya ba sunni byetugenda okumulaga yandiwuniikiridde, natasobola nakwasamya kamwa nti abaako ky’ayogera, kubanga ekyayatikirira mu hadiith z’aba Ahli Sunna, kwekukuusibwa kwa Qur’an:-

(1). Bin Abbasi yagamba nti, Umar mubimu kubyeyayogerera kukituuti (Min-bari) yagamba nti: “Katonda yatuma Muhammad (s.a.a.w) namazima namutuma nekitabo Qur’an, mukyo mwemwaali ne ayatu-rajimi, (Eteeka eriragira okukuba omwenzi amayinja) netusoma aya eyo netugikwaata era netugitegeera era Nnabbi nakanyugirira (Abenzi) amayinja naffe bwetutyo oluvanyuma lwe, kale nkitya okuba nti ebbanga lyandiyitawo abantu nebatuka nawagamba nti aya yokukakanyugirira (Abenzi) amayinja teri mu Qur’an, babule okuva kunkola ya katonda olw’okuleka ekyalalikibwa ekikakafu, ng’ate okukanyugirira amayinja omwenzi omufumbo kikakafu mu kitabo kya Katonda”. ebyo biri mu kitabo (Swahiihi Muslimu, kitaabul-Huduudi, Baabu Rajimi Thayyibu fi zina, Hadiithi 15 Olup. 1317 Twabu-a Athani) (ne Suyuutwi agamba, abijja ku sa-adi nti, eyosooka okukugganya Qur-an yali AbuBakari, Umaru najja ne Ayatul-Rajimi, natajiwandiika kuba (Umaru yali omu agy’ogerako) Al-Ittikaani fi Uluumir - Qur-ane ekya Suyuutwi, ejjuzu 1 Olup. 206.

2. Era ne Twabarani nagamba nti Umaru Bin Khatwabi, yagamba: Qur’an erimu enyukuta akakadde mirlion emu mwemitwalo abiri mumusanvu (1, 027, 000) (Al-ittikaani fi Uluumir-Qur’an eya Suyutwi ejjuzu: 1 Olup. 242) ng’ate Qur’an gyetulina teweza wadde kimu kyakusatu kyomuwendo ogwo kitegeeza nti Qur’an yagibwaamu ebintu bingi.

3. Yajjibwa ku Uruat Ibn Zubair nga agijja ku Aisha(S.A) yagamba nti : “Surat Al Ahzaab kumulembe gwa Nnabbi (s.a.a.w) yalina aya 200 (Ebikumi bibiri kyokka bweyawandiikibwa kumulembe gwa khalifah owookusatu Qur’an zasigala nga bweziri kati ey’ensanvu mwessatu (73) “Al Itqaan fi Ulumul - Qur’an “ekya suyuutwi ejjuzi eyookusatu Olup. 82.

4. Hadith yajjibwa ku Amida muwada wa Abi younous agamba nti taata wange (Abouyounus) yansomera Qur’an nga ndi waamyaaka mwenda (9) okuva mu Qur’an ya mukyaala Aisha nga Uthman tannaba kugikyuusa yagamba: “Katonda ne bamalaika be basaalira Nnabbi (s.a.a.w) abange mwe abakkiriza a mumusabe asse okusaasira n`emirembe gibeere ku yeNnabbi ne kw’abo abasaliira ku layini (Olunyiriri) olusooka Hadiiht eyo eri mukitabo ekiyitibwa Al Itqaan ekya Suyuutwi 3: 82.

5. Zarr yagamba nti : Ubayyi Ibn K’aab yambuuza nti suurat Ahzaab ogisoma otya? Ne mmugamba nti ngisoma ne “Aya “nsaanvu mu ssatu (73) nagamba nti yali yenkana ne surat Al Baqarah n’okogissingako “Hadith eyo eri mu kitabo ekiyitibwa Muntakhabu Kanjul Ummal - Bi namish Musnadu Ahamad 2: 43.

6. Ibn Daud yayogera hadith ne Ibn Anbaary okuva ku Ibn Shahab yagamba nti : “Twautegeezebwa nti Qur’an yakka ne aya nyingi (Okusingako wano) naye abamanyi baazo abaali bazikutte battibwa mulutalo lw’eyamaamah era tewali oluvanyuma lwabwe era tezaawandiikibwa “Eri mu kanzul Ummal bihamush Musnad Ahmad 2: 50.

7. Yayogerwa Al Mansuur Ibn Mukhrimah nti yagamba Abdu-rahman Ibn Auf yamugamba umar nti “Tewalaba ku aya eyyakka kulwaffe egamba nti “ne balwaana (Wukkubo lyaakatonda nga bwebaalwaana mukusooka, tetugiraba, n’amugamba nti yasangulwa n’ekitundu ekyaasangulwa mu Qur’an “Al Itqaan fi Uluumul Qur’an “Ekya suyuutwi 3: 84.

8. Hadith yayogerwa Abu sufya’n Al Kiraa-i  nti muslimah Ibn Muhklid Al Answaary lwaali lumu yagamba Saad Ibn Malik nti mbuulira ku aya (Ameteeka) ebbiri ezitaawandiikibwa mu Qur’an ne batamubuulira nabagamba nti ezimu kuzo zeezino “Amazima abakkiriza nebasenguka nebalwaana mukkubo lyaa katonda n’ensimbi z`abwe n’emyooyo gyaabwe, basanyuse nti beebantu abalongookofu, naabo abaamutaasa ne bamuyamba ne balwaanyisa abantu katonda be yanyiigira abo balina empeera y`abwe bisanyuso na kuwummuza maaso gaabwe omwooyo byegutamanyi ku lweebyo byebaakola.”Itqaan fi Uluumul Qur’an ekya suyuutwi 3: 84.

9. Era eyayogerwa okuva mumakubo agawerako okubeerawo kwa surat Al Khalui ne surat Al Hafd mu Qur’an ya Ibn Abbas ne ubayyi ne Ibn Ka-ab nti katonda gwe gwetweesinza era gwe gwetusaba okusonyiwa tukweebaza era tetukugattako kintu kirala era tuleka oyo akusobya fenna, katonda waffe gwe gwetweesinza tusaala netuvuunama kululwo era ewuwo gyetusuubira okusaasira kwo era gwe gwetutya ebibonerezo byo mazima ebibonerezo byo byaakutuuka kw`abo abakuwakanya “Itqaan fi Uluumul Qur’an ekya Suyuutwi 1: 227 waliwo ne hadith endala eziringa ezo era nga ziri mubitabo by’aba Ahli- Sunna, omuwandiisi zino hadith nendala eziringa zino az`ogereko ki? Era adamu atya era ngeri ki?.

Abamanyi abaatiikirivu mu ba Shia (Imaamiyyah) bagamba nti Qur’an tekyuusibwangako nakatono yeeyo, eyakka ku mubaka (s.a.a.w) era y’emugyetulina okutuusa nakati olw’obubonero obutuufu kunsonga eyo okuva mu Qur’an yenyini ne hadith z’omubaka (s.a.a.w) okubeera nti mu Qur’an temuli kyaakyuusibwa wadde. Surat Al Hajri aya (eteeka) omwenda (15: 9) mukama katonda agamba nti : “Ffe, twassa Qur’an eyo era ffe tulina okugikuuma “Ne mu suurat Fuswirat aaya bbiri 41 ne 42 agamba  “ Mazima Qur’an kitabo (Kyaakatonda) kyaakitiibwa tekisobola kubaamu bikyaamu wadde oluvanyuma lwakyo, kyakka okuva eri omulamuzi omukulu atendebwa”.

Ne hadith weeri egamba nti “Mbalekedde ebizito bibiri (Oluvanyuma lwange) ekitabo kyaakatonda n’abantu b’enju yange mazima byo e bizito bibiri tebisobola kwawukana okutuusa olunaku lw’enkomerero “hadith eyo eri mu kitabo kya Tirmathi 5 Olup. 329 (5: 329) ne mu Mustadrak Al Haakim 3: 61 hadith No 4576 ne 4711 n’obubonero obulala weebuli obulaga mulwaatu nti Qur’an sinkyuuse naakamu nga abamanyi ba Shia (Imaamiyyah) bwebagamba okugenza nga sheikh Al Mufiid, sheikh Swadouq, sheikh Tuusi ne sheikh Twabari, sheikh Murtadha, sheikh Jaafar Kashiful ghita’a wamu ne sheikh Muhamad Jawaad Al Baraghei n’abalala mubamanyi ba Shia (Imaamiya) abatali abo. Tutegeeza omuwandiisi nti asome ekiyitibwa “Al Bayaan fi Tafsiir Al Qur’an “eky’omu ku bamanyi ba Shia (Imaamiya) ayitibwa aboul Qaasim Al Khuui asobole okulwaanirira n’okukuuma Qur’an mungeri esinga obulungi.

Kyokka hadith ezo ezaayogerwa mu bitabo bya Shia (Imaamiyah) ez’kwaatagana n’okukyuusibwa kwa Qur’an tezikkirizibwa mu mah-hab ga Imaamiyah okuva kweebyo byetufuna okumanya nti Shia tebagamba kukyuusibwa kwa Qur’an. Era n’okubeera kwa hadith ezimu mubimu ku bitabo byaabwe ezigamba nti Qur’an nkyuuse kyuuse tekitegeeza nti bazeesembesa era nti ntuufu kubanga hadith eziringa bweezityo mu bitabo bya sunna zeezisingira ddala obungi nga bwetwoogeddeko ezimu.

Omuwandiisi yagamba nti nga kuludda olulala Shia (Imaamiyah) bakakasa nti Qur’an eno gyetulina teyakugaanyizibwa okujjako yakunganyizibwa na Abubakar Umar ne Uthman abo abamanyiddwa nti baalemwa okutuukiriza ekyo Nnabbi (s.a.a.w) kyeyabangama nti oluvanyuma lwange Ali (a.s) yaabeera khaliifah w’abasiraamu, erabbo nebatakkiriza Imam Ali kubeera mukulembeze, kale eky’okutwaala obukulembeze kimala okubeera nti baasuula akamu kubulombolombo bwabakkiriza abatuufu.

Tugamba nti mazima Qur’an yawandiikibwa era neekunjaanyizibwa kumulembe gwa Nnabbi (s.a.a.w) newankubadde nga hadith ez`ogera kukungaanya kwa Qur’an zaawukana kundowooza entuufu ekivaamu abalala okugamba nti Qur’an ey’ekitiibwa yakyuusibwa.

Naye omumanyi omukuukuutvu said (Sayyed) Aboul Qaasim Al-Khuu-i yanyonyola ensonga eyo kuludda lwa Imaamiyah era tusaba omuwandiisi asome ku kitabo kye ekiyitibwa “Al Bayaan fi Tafsiir Al Qur’an okufuna ekituufu.

Ate kunsonga y’obukulembeze nga bwetwoogedde emirundi mingi nti Shia Al Imaaiyyah bakakasa nti Nnabbi (s.a.a.w) yayogera abantu abalimusikira mukukulembera abasiraamu oluvanyuma lwe eranga nabo beebantu benjuuye era n’aboogera n’amanya gaabwe n’obujulizi obumala kunsonga eyo busange mu bitabo ebyenzikiriza ya Imaamiyyah.

Omuwandiisi yagamba nti “Abashia bakkiriza nti Qur’an entuufu yali neba Imaam era nabo bajja bagisikira era kati Imaam owekkumi n’ababiri (Al Mahdi) yaagirina, oyo eyabula kumaaso g’abantu era nti baalirabika aligijjayo naagiraga abantu”.

Tugamba nti : ekyo sikituufu kubanga nga bwetwaayo -geddeko emabega nti Shia (Imaamiyyah) bakkiririza mu Qur’an kati abusiramu kwebutambulira era nga abasunni bwebagikkiri -zaamu abashia (Imaamiyyah) tebalina Qur’an ndala eyawukana ku Qur’an eno eriwo kati era tewali Qur’an eyo eyogerwa nti ba Imaam baabwe beebagirina.

Wabula ebitabo ebyo ebirala ebyo ba Imam baabwe byebalina birala nyo si Qur’an nga bwekyoogerwa wabula bitabo byanjigiriza na kumanya Nnabbi (s.a.a.w) byeyayigiririzaa Imam Ali (a.s) era tebyaawukana namateeka ga Qur’an ey’ekitiibwa okujjako okubaamu okunnyonyola amateeka ga Qur’an eno gyetulina kati era ba Imam babyeesigamirako mukumanya amateeka ga Qur’an eyeekitiibwa era nga ekyo kyansikirano gyebali bbo bokka era bajjanga babisikira okutuusa ku Imaam o`wekkumi n’ababiri, wabula teyasikira oba talina Qur’an eyo agambibwa nti eyawukana kw’eeyo kati abasiraamu gyebalina ekyo sikituufu naakamu era kuba kuwaayiriza oba butamanya.

Omuwandiisi yagamba nti : Aba Shia (Imaamiyah) bagamba nti Imam Ali (a.s) n’abaana be oluvawyuma lwe baalondebwa na aya (Teeka lya Q`uraan).

Tugamba nti : Eky’okukulembera oba eky’ okulondebwa kwa Imam Ali (a.s) okuba khalifah oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) teeka lyakatonda okuva mu Qur’an ey’ekitiibwa eyo eri mumikono gy’abasiraamu ne mu hadith ezo ez`ayogerwa okuva ku Nnabbi (s.a.a.w) era nga z`awandiikibwa n’abamanyi ba Al Sunna mubitabo byaabwe ebituufu. Ezimu ku aya ezo ezoogera kunsonga eyo, soma mu Qur’an 33: 33 ne 3: 61 oba 5: 7.

N`erimu kumateeka ga katonda ow`kitibwa liri mu 5: 67 mw’agambira omubakawe (s.a.a.w) nti : “Owange gwe omubaka, tuusa obubaka obwaakussibwaako okuva eri katondawo, ekyo bwotokikola ojja kuba nga atatuusizza bubaka bwe (katonda) era katonda ajja kukukuuma okuva mububi bw’abantu.”Eteeka eryo ly`akkira mukifo kyebayita “Khumu”okumpi n’akagga akatono era nga ekifo ekyo kiri wakati wa “Mecca “ne Mediina, era eteeka eryo lyakka nga Nnabbi (s.a.a.w) Ali mukkubo addayo emadiina ava emecca okukola Hijja ye eesembayo mubuwangaazibwe oba gyebaaka zaako Hijja ey’akasiibulo. Era nga bangi mu bamanyi ba Sunna baawandiika ensonga eyassa etteeka eryo mubitabo byaabwe nga bwetubyoogeddeko mu ntandikwa.

Ne tteeka eddala oba ‘aya eziringa ezo baazoogerako era nga bakakasa ekintu kyeekimu ekyo nabw’eekityo hadith za Nnabbi (s.a.a.w) okegeza nga hadith y’ebizito ebibiri ne hadith y’eryaato n`endala nyingi nyo ddala nga bwetwaayogedde mukusooka.

Kulw’ensonga eyo tutegeera nti Shia (Imaamiya) beesembesa okulondebwe kwaba Imaam baabwe ne Qur’an eno abasiraamu bonna gyebamanyi era gyebalina mubuliwo.

 

 

 

Index