back

SHIA NOBUTASOBYA BWA BA IMAM (Ismat) NEBIFO BYAABWE.

next

 

 

Omuwandiisi yagamba nti : Ba Imam b’obushia (Imaamiyyah) ekimi n’ababiri (12) tebakola byoonoono era tebasobya nga ba Nnabbi (s.a.a.w) , okugeza nga Imam Ali (a.s).

Tugamba nti kituufu ba Imam tebasobya kulw’obukakafu obweeyolese okuva mu Qur’an eyeekitiibwa mu surat Al Ahzaab Aya 33 (33:33) katonda oweekitiibwa agamba nti : “Mazima katonda ayagala okubajjako obubi mwe abantu b’enyumba (YaNnabbi (s.a.a.w) n’okubatukuza olutukuza”.

Etteeka lino lyeeyolefu nti katonda (S.W.T) ya bajjako ebyonnoono abo abantu b’enyumba ya Nnabbi (s.a.a.w). kati ekirina okweebuzibwa kiri nti abantu b’enyumba ya Nnabbi (s.a.a.w) beebaani? Tusaba omusomi naddala omuwandiisi yeeweeyo oba aweeyo akaseera asome enyinyonyola y’etteeka (Aya) eryo mu tafsiir zonna kazibeere z’abasunni ategeere baani abantu b’enyumba ya Nnabbi (s.a.a.w) abo katonda beyajjako ebibi era naabatukuza olutukuza, era n’ekirala obutasobya (Ismat) bwaabwe etteeka eriri mu Qur’an surat Ala-Imran aya: 61 (3:61) kulw’abantu abattali basiraamu abajja okuva “Enajr’an “abo abajja okuba nti bavuganya (bawera) ne Nnabbi (s.a.a.w) oluvanyuma basabe katonda oweekitiibwa asse ekibi ku muntu omulimba, katonda oweekitiibwa n’agamba Nnabbi we (s.a.a.w) nti “Bagambe nti mujje tuyite abaana baffe n’abaana bamwe ne bakyaala baffe nebakyaala bammwe ne ffe fenyini namwe mwenyini oluvanyuma tusabe katonda asse ekibi n`ekikolimo kumulimba muffe.” Nnabbi (s.a.a.w) yayita Imam Ali (a.s) okubeera nti y’alinga yye Nnabbi naayita Hassan ne Husein okuba nga abaana baabwe ate naayita Fatima (a.s) okubeera’nga mukazi waabwe kubanga ono mukyaala Fatima (a.s) okubeera nga mukazi waabwe muwala wa Nnabbi (s.a.a.w) atenga muka Imam Ali (a.s) kati olwookuba Imam Ali (a.s) Nnabbi (s.a.a.w) gweyatwaala nga adda mukifookye y’ensonga lwaaki mukyaala we Fatima (a.s) agenda nga mukyaala wa Imam Ali (a.s). Tusaba omuwandiisi asome ko ku tafsiir ya “Aya “etteeka lino n’ensonga eyalissisa ayinza okusoma tafsiir nga:

1- Tafsiir Twabary 3: 299-301 (Al Maimanat)

2- Ibn Athiir 1: 370-371

3- Durarul Manthur (eya) suyuutwi 1: 33 asobole okutegeera obujulizi nga abamanyi ba “Ahli- Sunna “bwe baawandiika mu bitabo byaabwe n’etteka eddala erifaanagako n’eryo weeriri okwo kwossa olukoloddoli lwa hadith enyingi eza Nnabbi (s.a.a.w) abamanyi ba Ahi-l Sunna zebaawandiika okuva ku nabb oweekitiibwa nga hadith Thaqalain (Ebizito ebibiri) hadith Saffiina (eyo Nnabbi (s.a.a.w) gyeyatuteg erezaamu abantu b’enjuuye nti balinga eryaato lya Nnabbi Nouh (a.s) ne hadith Al Manzirah ne hadiith endala nyingi. O`yo yenna ab’agaana aya (Amateeka) ezo oba hadith zino ab’agaanyi mateeka g`amukama katonda oweekitiibwa era ab’agaanye ebyo Nnabbi (s.a.a.w) byeya tumwa nabyo er`aba anyoomye n’okuvoola ba swahaba abaawandiika hadith zino okuva ku Nnabbi (s.a.a.w) abo bonna abakakasa obutasabya bwa ba Imam (a.s).

Omuwandiisi ya wandiika naagambi nti : Omumanyi omukulu muba Shia gwebayita Allamatu-Twabatwabae mukitabo kyebayita “Shia mu busiraamu “Yawandiika nagamba nti tekisoboka kibiina kyonna kubaawo nga ky’abantu okujjako nga kirina omukulembeze (Imam) amany iddwa gyebali oba nedda.

Tungamba nti : Nga bwekiri nti eddiini yakatonda kitegeerekeka nti omuntu yenna tasobola kuteekamu mateeka gagobererwa wadde enkola endala okusinziira kundowooza ye ey’obuntu, na bweekityo ku lw’okumanya kwakatonda ya salawo okulonda abantu okuva mubantu abo abalongoofu abasobola okukuuma eddiini ye n’okugituusa eri abantu abalala, kubanga okubeera nga eno eddini erekebwa bweetyo awatali kubaawo muntu agikuuma wadde alondoola ebikyaamu asobole okunnyonnyola ebitategeerekese eri abantu nga bwe gwaali ku mulembe gwa Nnabbi (s.a.a.w) nekumirembe egyo egyaddako,.naye kati obwa Nnabbi bwakomekkerezebwana Nnabbi waffe ow’ekitiibwa.Muhammad(s.a.a.w)kati omuntu okusigala.nga akola nga Nnabbi (s.a.a.w)  mukifookye ng’anyonyola abantu amateekag’eddiin,Omuntu oyoyayitibwa Imaam (Omukulembeze) era oyo tatekeddwa kulondebwa nabantu kubangaabantu tebamanyi .muloongofu yaani wadde asobola okuddukanya eddini eno bbo abantu gyebatamanyi, okujjako katonda ow’ekitiibwa ye yenyini yaalonda kulwokumanya kwe abantuabasaanira.,nabweetikyo.shia bakakasa nti katonda ow’ekitiibwa yalagira omubakawe (s.a.a.w) alonde oyo gweyamulagira okubeera nti amuddira mubigere asobola okuyimirizaawo n’okukuuma eddiini eno ey’obusiraamu nabweekityo yamulonda oyo gweyawa obusobozi bw’okumanya n’okugondera katonda ow’ekitiibwa n’okumweesinza okusinga abalala, nga bwebyaawandiikibwa mu mubitabo by’enjigiriza.n`ebyafaayo.

Nga bweeri eddiini eno ey’obusiraamu nti yabugenderevu era yakusigalawo, wateekeddwa okubaawo omukulembeze buli mulembe (Omujjuvu nga bwe tulabyeeko emabega) wabeerawo akulembera ng’akuuma eddiini eno nga Nnabbi (s.a.a.w) bweyayogera muzimu ku hadiith ze ezaasembayo (Thaqalain) yagamba nti : “Mbalekedde ebizito bibiri, ekitabo kya katonda n’abantu b’enyumba yange mazima byo byombi (Qur’an n’abantu b’enjuuye) tebijja kwawukana kimu kukinnaakyo okutuusa olunaku lw’enkomerero”. Mubutaawukana bwa Qur’an n’abantu b’enjuya Nnabbi (s.a.a.w) ky`eyoleka lwaatu nti ebbanga Qur’an oly`emala nga weeri, wateekeddwa okubaawo kumabbali gaayo Imam oyo abeera ayimirira mulinya ly’abantu bennyumba ya Nnabbi (s.a.a.w) atasobya era oyo alondeddwa ne katonda ow`ekitibwa.

Ayinza okubeera Imam oyo nga amanyiddwa eri abantu nga bamulaba era ngabwekyaali kumulembe gw’omukulembeze w’aba khalifah Ali (a.s) wamu n’abaana be (Abakulembeze) oluvannyuma lwe, nabweekityo asobola okubeera nti talabikalabika nga bweguli kati ku Imaam owekkumi n’ababiri (12th) mu ba Imaam ayitibwa Imam Al Mahdi okuva mululyo lwa Ali (a.s) era n’okubeerakwe nti talabikalabika mubantu tekigyaawo bukulu bwaamulimu gwe okukuuma eddiini, ekyo tukirinako obujulizi okuva eri katonda ow’ekitiibwa.

Omuwandiisi agamba nti :Singa obosomye ebitabo byabashia wesanga nti batwaala ba Imamu okuba mu ddaala lya baNnabbi oba okusingwo era nga nenjawulo eri wakati wa na Nnabbi ne Imamu eri mumanya bunnya.

Tugamba nti : Abashia bakkiriza okuba nti katonda yeyalonda ba Imamu okuba abakulembeze babasiraamu oluvanyuma lwa Nnabbi sso si ba Imamu kuba baNnabbi, era abashia nabasunni bakkiriza hadithi ya Nnabbi mwagambira nti “Ali gyendi Ali mukifu kya Haroona(a.s) kye yalimu eri Nnabbi Musa (a.s) okujjako nti tewali Nnabbi mulala oluvanyuma lwa’nge eri mu Al ja amiu sswaghiir Ejjuzu 2: olup.177 hadiith 5597 empaandiika (twabua) esooka mumwaka 1401A.H. Ng'era Qur’an bwetutegeeza “Naye yye mubaka wakatonda ng'era yewenkomerero mu ba Nnabbi....” (suratul  Anzaabu, aya : 40) Nga'te sikyokka wabula kikakafu mumateeka g’edeen (fiqihi mu madhehebu g'abashia) ngabuli yenna ayeyita Nnabbi oluvanyuma lwa Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) talina kuttibwa.

Ngera kya mwebyo ebisimbwaako amagego (mu shia) okukkuriza nti Nnabb Muhammad (S.a.a.w.) ye Nnabbi owenkomerero, ng’era bakkiriza Nnabbi Muhammad (s.a.a.w) nga yasinga baNnabbi bonna, singa kyali kuba bonna batumwa mumulembegwe bandi mukkiriza era nebamugoberera,

katonda atutegeeza mu surat Ala-Imran Aya 81 nti : “JJukira katonda lweyakozesa ba Nnabbi endagaano lwebyo byembawadde mu bitabo n'okutegeera oluvanyuma singa omubaka owamazima abajjira munamukkiriza era nemumutaasa, mukkiriza era kunsonga eyo mujjibwaako obweyamo, b’agamba nti tukkirizza,  katonda yagamba nti   mubeere bajulizi nange ndiwamu nammwe kubujulizi bwewe waddeko ".Soma Tafsiiri za Aya eyo otegere bulungi ekyagendereruamu.

Ate abaddirira Nnabbi mu bulungi bebasigire ba Imamu ekkumin'babiri, (Al-ithina -Ashara) (a.s) Naye ate ekyo omuwandisi ye ky'agamba ba Imamu bali mu ddaala lya Nnabbi oba okusingawo nenjawulo eri mu manya bunya kyokka... Ekyo sikituufu wabula abashia bo bakkiriza nti obwa Nnabbi bwakomekkerezebwa na Nnabbi Muhammad, era ba Imamu bo basigire so ssi ba Nnabbi.

Naye abamu mu baNnabbi basingagana amadala abashia bakikkiriza kuva ku bwino eyabatuukako awatali kulanddagga ensonga bbiri nawe zikyayinza okukumalamu okutankana tankana.

1-  Twogedde gyebuvuddeko nti: Qur’an eraza nti singa ba Nnabbi bonna baatumwa kumulembe gwa Nnabbi Muhammad (S.a.a.w) awatali kakunkuna bandibadde bamukkiriza era neba mugoberera, nga n'obutuufu bw'okukkiriza n'okugoberera kwekussa mu nkola kyonna Nnabbi (s.a.a.w) ky'aba alagidde. Mukugeza singa baNnabbi bonna baaliwo mu mulembe gwa

Nnabbi n’alonda ba Imamu (abakulembeze) abaffe ba Nnabbi bandibadde bawukana kukiragiro ekyo? Bwekuba okuddamu nti bandikirizza okugoberera ba Imamu abaffe, asinga yagobererwa oba y'agoberera??!! Nabw'ekityo tewali kiziyiza ba Imamu kuba nti waliyo ba Nnabbi bebasinga mu madaala mukalammula kw'amagezi wadde mu shariya.

2-  Aba ahli-Sunna b'ogera mu bitabo byabwe nti Nnabbi yagamba: “abamanyi, b'ekibiinakyange balinga baNnabbi b’abana bayisirayiri, oba bali mu madaala gabanbbi ba bayisirayiri, nenjogera endala ezifaanana bwezityo.

Era nga Nnabbi (s.a.a.w) wakweyagala n'abamanyi b'ekibiina kye kulunaku lwenkomerero, soma ekitabo “jaamiul-ahbaari, ekitundu eky'amakumi abiri, hadithi 5, olup.111.

Bwekiba nti omumanyi mukibiina kya Nnabbi ali muddala eryo, ng'ate k'abeere mumanyi, waddaala ki akyayinza okusobya naye kiba kitya eri abo (ba Imamu) katonda beyatutegeezakomu mu Qur’an nti, tebasobya neNnabbi natu sunirako ku bulungi, bwabwe ab'asikira okumanya kwa Nnabbi, abateetagako mulundi nagumu kumanyisibwa kuva eri bantu, nga'te bbo abantu b'abeetagako babamanyise."

Naye ate ekigambo ky'omuwandiisi nti ba Imamu ne Nnabbi tewali njawulo, kigambo kijweteke awatali bujulizi okyayinza n'okufuna okwanukulwa kw’ekyo okuva mwebyo ebiyise.

Omuwandiisi agamba nti : shia mubyebakkiriza kwekuba nti teri n'omu ayinza kutuuka kuddaala lyabukkiriza bwa ba Imamu, kabeere Nnabbi (s.a.a.w) wadde malaika jibra-er !!!

Tugamba nti : Omuwandiisi tafaayo kumanya makulu gabigambo wadde ebigendererwa byabyo kyova olaba nti atabika n'ayongeramu n'ebibye ate emirundi ejimu n'awayira olw'obukyayi nekkonda ebiri mu mutima gwe. Naye abashia bonna bakkiriza nti Nnabbi (s.a.a.w) yasinga ebitonde byonna, ate bo ba Imamu b'asikira kumanyakwe  tebamusinga wadde akuba nti bamwenkana mu ddaala lye, era toyinza kumanya muwandiisi bigambogyabijja, n’atuuka n’okuva ku kumpisa z'abanonyereza nadda mu kuwayira n'okukafuwaza abashia.

omuwandiisi agamba nti : Mundowooza yab'ashia ba Imamu ekkumin'ababiri b'alondebwa kuva eri katonda.

Tugamba nti : Okulondebwa kwa ba Imamu kwakolebwa Nnabbi (S.a.a.w.) ng'alagirwa katonda ekyo ddala kirina kabiiki singa wabaawo obujulizi obukakasa ensonga eyo!!!?

Nnabbi (S.a.aw) kenyini agamba : “ Ba Imamu ekkumi n'ababiri bonna ba mu baquraishi. ’’  Al-jaalmiu-sswaheeh ekya tarmadhi, ejjuzu, 4 olup.501, Ng’ate Nnabbi eyabalonda katonda amwogerako nti “Tayogera byabwewussa wadde okubijja kukwagala kw'omwoyogwe wabula buli kyayogera buba mubaka “(surat- Nnajimu: 3-4)

Okwengera kwebyo, ba Imamu basigire ssosiba Nnabbi era tebassibwaako bubaka bwakatonda, naye bamanyi amateeka Nnabbi (s.a.a.w) geyatumwa nago era bagayiriza abantu, sikyokka wabula bebasinga abamanyi bonna oluvanyuma lwa Nnabbi, era wesanga nti muby'afaayo bebaali obuddiro bw'abantu n'abamanyi mubuyivu nga Abu-haniifa agamba bwati: “singa tegyaali -myaka ebiri (gyeyamala ne Imamu Ja-afari Asswadiq) nu uman yandizikiridde” Nu-uman lyerinya lya Abou-Haniifa. Soma ekitabo Imamu Sswadiq walmadhahirbul-arbaa. olup, 70 Twabu-a, 4 ejjuzu esooka, omwaka 1413. Ekya asad Haidari.

Ate ye maalik mu mulembe gwe nagamba nti “Amaaso tegalambanga wadde amatu okuwulira ko wadde okufumintiriza w’omutima, okuba nti waliwo asinga Ja-afari Bin Muhammad”endagiriro, ekitabo ekiwedde, ejjuzu esooka, olup. 53.

Mukitabo ekyo osobola okwerorera, Imamu Swagiq n’ekifo kye ekyeyoleefu, mu kugasa abamanyi b’obusiraamu, mu mulembe gwe, gamba nga mukuvuunula, Qur’an, (Tafsiir) irimu y’amateeka (Fiqihi) ne Hadiithi.

Omuwandiisi agamba nti : Obwa Imamu kulundda lw’abashi-a kitegeeza bwa Nnabbi!!.

Tugamba nti : Tussaawo n’akakalu singa abaako nekitabo n’ekimu kyonna eky’abashia ekirimu ensonga eyo, kuba abwa Imamu eri abashia kitegeeze bukulembeze bwa diini, nabusigire oluvanyuma lwa Nnabbi (s.a.a.w) olw’okukuuma amateeka (G’obusiraamu) n’okugatuusa eri abantu naye tekiri ng’omuwandiisi bwabijweeteka awatali bukakafu wadde ekiraga.

Omuwandiisi agamba nti : Abashia bakakasa okuba nti Imamu ekkumi- n’ababiri tebasobya (Ma-aswu-miina) nga bwekiri ku baNnabbi.

Tugamba nti : Amakulu ga usmah (Obutasobya) kulumirwa kwamukama katonda eri omuntu okumusobozeza okuba nti agondera katonda era natamujeemera, awamu n’okuba nti alina obusobozi obumujeemera, nga ne usmah oba ((Obutasobya) bubuna bamalaika, bonna ba Nnabbi ne ba Imamu (Abenju yaNnabbi) Tebajeema wadde okusobya ebisobyo ebinene wadde ebitono, mu bu gendereru wabadde mukwerabira, era abashia bakkiriza nti ne Fatuma(S.a) muwala wa Nnabbi naye bwatyo, ma-a swumah, nga balina nebikakasa ensonga eyo, mubyomwemuli:-

 Ayat -Tatwihiiri, 33: 33

 Ayat - Mawaddah, 42: 23

 Ayat - Mubahalah 3: 61

Ne Aya endala, ngera ensonga eyo twagirazizzaako dda gyebuvuddeko, okwongera kwebyo, kitegerekese nti ba Imamu basigire baNnabbi, nga n’obu sigire butuki bwako kulwa kulagira kwakatonda, nga ayisa mu Nnabbiwe (s.a.a.w) ng’ate obuvunanyizi bwa bwabasigire kwekutuusa enjigiriza zakatonda namateekage eri abantu, kale olw’obukulu bw’ensonga eyo balina okubanti batuukiriza obuvananyizibwa obwo tebasobya (Ma-a swuumiina) kibasobozese okubeesiga mu bigambo n’ebikolwa byabwe ko n’okubagoberera awatali nkenyera yonna, wadde okubuusabuusa eri abagoberezi. Bwekiba nga tekiri bwekityo ekigendererwa ky’obusigire kiba kiggwaawo n’okusaanawo.

Ate yye Fatumatul-Azzahara, ma-aswumah, (Tasobya) lwakuba nti y’omu kwabo abakkirwako Ayat Tatwihiiri ko nenjigiriza za Nnabbi endala, muzo: “Fatuma kitundu kunze era amunakuwazza, aba anakuwaza nze era abaamunyiizizza ba annyiizizza nze “(Mustad Rakul-Haakimu ejjuzu (3) olup. 158) abo “...Katonda asiima olw’okusiima kwe (Fatuma) ate anyiiga olw’okunyiiga kwe “(Yanabi Ul - Mawaddah, ejjuzu essooka, Olup. 203, Twabua ey’omusanvu) ne “Fatuma ye nnabakyaala wabakyaala bonna.”endagiriro eyakaggwa.

Kale bwekiba nti okunyiiza Fatuma kuba kunyiiza nakuna kuwaza Nnabbi (s.a.a.w) ekyo kiba kiraga nti Fatuma lubeerera ayogera era akola mazima ng’ate era ago g’emakulu ga (Uswumah) obuta sobya.

Era nabwekityo bwekiba nti Allah anyiiga olw’okunyiiga kwa Fatuma, kiba kyeraga lwaatu nti Fatuma (a.s) takola okujjako Katonda byayagala.

Kelenno nojja olaba omuwandiisi nga atuwakanya kunzikiriza o eri ba Imamu baffe ng’eriko n’obujulizi okuva mu Qur’ane ne Hadiithi za Nnabbi (s.a.a.w) nga hadiithi Thaqalaini, er’aga obutasobya (Usmat) y’abantu b’enju ya Nnabbi (s.a.a.w) kuba Nnabbi yabaliranyisa ne Qur’an, etaliimu nsobi n’akatono, nabwekityo abantu benjuye, kuba bwekitaba bwekityo, kiba tekirina makulu Nnabbi kutulagira kwekwaata kubantu bamanyi nti bakozi b’ansobi !!!.

Okw’ongera kwebyo omuwandiisi atuwakanya kunsonga eyo, kubantu kuminabasatu (13) -ba Imamu kumi nababiri (12) ne Fatuma - ng’ate yye akakasa ensonga yemu eri ba swahaba ba Nnabbi bonna, awatali kulekayo n’omu ng’era bonna baali kumazima, ng’ate ebyafaayo (Tariikhi) mubuliwo birimbisa ensonga eyo wetwebuuliza nti “ngeri ki (be) eyiye bwekola omulimu gwa jarri nga (be) eyaffe tekola mulimu ogwo “!!? Amakulu nti ekyikye kikola naye ekyaffe tekikola !!

Awamu nekyo enzikiriza yaffe tugambye nti eriko obukakafu wano wetumusabira bwaba nga asobola aleeteyo ekiraga nti ba Imamu baffe bakola ensobi oba okwebagajja amadhambi oba obujeemu bwonna, wano era wetumusabira asome ebitabo bya ba Ahli-Sunna ebyogera kubulamu bwaba Imamu, yemale ekkonda kumwooyo, waliwo n’olugero olugamba nti :-

“Singa gw’okowoola abeera kuba mulamu yandibadde awulidde, naye baabuwe!!, gwokowoola talimu kalamu”.

 

 

 

Index