back

HIWARIYYAAL- MAUT “OKUFA”

next

 

 

Sibakisa mazima nze essawa tata gyeyatandikira mu okwogera kukufa nalimutendewerevu era nga nkankana emisiwa, nziruka, neralikirira nga obuzibu bumpitiriddeko mumaaso gatata nga yeagenda mumaso nakwogera ku­kufa mpolampola nga Anakuwaza

 Nabwekityo sibakisa taata bulilweyayatuzanga eki­gambo «kufa» nga ate kitiisa kikankanya tekitegee rekeka nempulira okwanguwirirwa okutali kwabutonde nensu­langa omutima gukubagana, okutya okwamanyi mwebyo byempulira okuva gyali nga bisiiga ekye nyikyange nebi­jjuza okutu kwange awatali kugenderera kuva munze kyokka nga amatondo gentuyo gava mukyenyi kyange ol­wokutya ennyo nange.

 Taata bwamala okulaba obubonero bwokutya nga bwer­aze kkumatama gange nga emunye za maaso ze ewanise kyava am­bubza:

 Abaffe olikutya?

 q Nga lwaki sitya!

 - Abaffe otya kufa oba otya mufu?

 q Bwemba nga mbadde ntya omufu okusinga bwen­tya okufa, ngambye: ntya Kufa.

Kubadde kutya okukankanya kwentegedde olwale ro, nembera nga atalabangako muntu afudde oba ase- mberedde kufa obuwangazi bwange bwnna, wabula mbad­denga atawulirangako kintu kyenyinza kukola nga ate mu­maso gange waliyo asemberedde okufa.

 Olwalero nga terunnaba mbaddenga ndaba janaza esi­tuddwa nga mfuna engeri yokwetamwa, nobufunda obu­luma, okutuusa nga njagala nkyuse amaasogange nkutu­lewo oluwuzi lwokujjukira luleme kugende rera.

 q Yye ntya omufu. Nkyogedde omulundi omulala nko­myewo obunywevu bwokumatira kwange.

-  otya omufu okusinga bwotya okufa nebiri emabe ga wokufa?

Tata yagamba nga ayongerako: otya oyo abadde omu­lamu nga okufakwe tekunnatuuka,

nga alya anywa, naakaaba naaseka, neyewala naloota, neyebaka oluvanyuma nekimufubuttukira ko ekyo eki­yinza okufubuttukirabuli kuki-ramu kyalimumezze.

Lwaki tobeera kubukakafu bwenyini, notyaokufa okusinga bwotya omufu obuzizza omyoyogwo abantu abaagenda abaasooka wo baagendawa bonna nemirembe egya ddako olunaku lwebabukeesa nga enjuzabwe ntaana nemaali yabwe esikirwabusikirwa, teba tegerekeka buwufu bwabwe yadda okukaaba kwaabwe tekuba gasa yadde okusaba kwabwe tekwanukulwa.

Bameka ... era “BAMEKA ABABIREKA MUJANA AMALIMIRO NENZIZI NEBIRIME NEBIFO EBYE­BI­TIIBWA NEBYENGERA BYEBALIMU NGA BALIMUMATUNDA BWETUTYO TWABISIKIZA ABANTU ABALALA”.

 Ate webuuze yagendawa oyogwomanyi mwaabo aba­genda? Batatabo  abasoaka baliwa, nebajjajja abo abayita... gundi aliwa... gundi aliwa?

«mazima baakyusibwa abaali omugongo gwensi neba- fuka lubuto lwaayo nebava mubugazi nebadda mubufunda, abaali bannanyini kati bagenyi, abaali mukitagnala kati balimukizikiza»

Tata bweyamala nagamba  nti: fenna tuli muggayaa- lo ate okufa kukeera nekubuwungeeza.

Wekubireko ekiwoobe gwe kennyini owangeggwe mu­nakuggwe (misikiini) bwoba okuba ekiwoobe.

Toliwakusigalawo wadda owangala obuwangaa zi NUHU bweyawangaala.

Waayitawo akasirikiriro kamaanyi mumaso gange nga ate obudakiika bugenda mpola nga alinga ateree- za eki­fananye mumagezige oba addamu okungaanya ekintu ekisansaanye wano nawali mubirrowozobye okutusa eddo­bozi llwelyakutula omuguwa gwaka- sirikiriro ako nga agamba:

ALLAH akusasire ya ABAL- HASAN olunaku lwe wagamba nga Saawa yokufakwo tennaba:

«NZE Jjo nabadde nammwe, ate nze olwaleero kyakwe­buliriragyemuli, ate nkye mbawukanako nokwekweeka kwokussa kwange, nokukakkana kwempuyizange kubanga kyakwebulirira eri abo abebulirira munjatuza eye wala ne­kigambo ekiwulirizibwa».

Olunaku lwewagamba mukamawange:nti: 

Mumanye mazima lino eddiba teriguminkiriza muliro mwesasire mwebenyini kubanga mwajigezesako mu- bizibu byensi.

Temulaba kwekanga kwoyo afumitiddwa eriggwa nga nomusayi gumuvamu, nga olunyota lumubabula? Naye ate watya nga alimumigga ebiri egyomu- liro mukuynyigibwa kwamayinja okumpi neshaitani?

Mwakitegedde anti malaika bwenyiga kumuliro ogumu gukubagana negunne wagwo kulwobusungu bwagwo ate bwegukanga gubuuka wakati mumirya ngo gyagwo kul­wokutya mukukanga kwayoo?!

Tata ayongera nagamba: nti:

Osembereddwa atenga owalirizibwa okufa kulwentiisa eriwo oluvanyuma lwokufa:

«OLUNAKU LWOGENDA OKULABA NGA BULI KYAYONSA KIDDUKA EKYO KYEK­YAYONSA BULI EKIRINA OLUBUTO KLJJEMU OLUBUTO LWAKYO OLABE ABANTU NGA BATAMIVU NGA ATE SIBATAMIVU NAYENGA EBI- BONEREZO BYA ALLAH BYEBINGI».

«OLUNAKU BULI MWOYO LWEGULISANGA KYEGWA KOLA NGA KIRUNGI ERANGA WEKIRI NEKYO KYE- GWAKOLA EKIBI NGA GWAGALA SINGA WAKATI WAGWO NEKIBI EKYO WA­BAD­DEWO AKABANGA NGA KAWANVU AL­LAH ABEWAZA YEKENNYINI ATE ALLAH MUKWATA MPOLA KUBADDUBE»

kirungi oyo afudde oba agenda okufa abere kyakulabi­rako gyoli era nga kujjukiza kiki ekijja okufuuka obuddiro bwo nga ofudde,

Taata bwamala okwogera bwatyo nasirika akabanga nendowoza mpolampola bupya bwenne- tegereza nokute­geera okutuusa taata lweyankutu lako okwetegereza kwange nga akakasa:

Singa osemberera omusiramu asemberedde okufa leka ebikutiisa kumabbali- omwolekeze mu- Qibla.

q Naye mwolekeza ntya?

Muteeke kunkoonaye oddire munda mwebigerebye byolekare muqibla.

q Amakulu nti njolekeze ebigerebye kusaidi yaqibla.

Bwekityo sinsonga oba mukazi oba musajja mukulu oba muto ate kiri mustahabb okumu- yigiriza SHAHADA­TAIN nokukkiriza NNabbi «S.A.W» ne ba IMAM (A.S) ate nosomera waali (SAFFAT) ayanguwirwe okujjibwamu omwoyo ate kizira omuntu okusemberera okufa nga alina janaba oba haizi (mp) oba okuba nomukazi nga agenda okufa.

q Bwaba ofudde kiri mustahabbu okubikka amasoge, noku – ggalakamwake, nogolola emikonogye kumpuyizombi nentumbwe zombi nomubikka nolugoye, nosomera waali Qruaan noteeka ekitangala munyumba gya badde asu­lamu, nobuulira abakkiriza okufakwe bajje kujanazaye era kirtimustahabb okwanguyiriza ookumuziika okujjako nga owu­biddwa mukufakwe nobuusabuusamu mukufakwe.

q Bwempuzika mukufakwe?

Mukisera ekyo kisaana okkereya ommuziika omale ok­ka­kasa ookufakwe bwokakasa kikakata okumunaaza m usa­jja oba mukazi, muto oba mukulu.

q Ate olubuto oluvuddemu?

Bweruweza emyezi (4) newankubadde nga teginna wera naye kibadde kukigero kyobutonde bwomuntu naye tekikakata kumusaalirako wadde musitahabbu.

q Ani ayoza oba anaaza omufu?

-  Omusajja anaaza musajja, omukazi anaaza mukazi okujjako abafumbo ababiri kikirizibwa omuku- bombi okunaaza munne nomwana omuto ayawu- lawo oba mu­lenzi oba muwala kikirizibwa okunazibwa empuyizombi nabwekityo owomuziro akuzirako okumuwasa kikirizibwa okunaaza oyo atamufanana mubutonde singa tewabawo amufanana mubutonde okugeza nga omulenzi nemwanyina.

q Omufu anazibwa atya?

Anazibwa ennaaza satu (3)

Namazzi ga SIDRI.

Namazzi ga KALIFUWA.

Namazzi amerere.

Okunaaza kulina okuba nga kulinanyisibwa nga otandikira kumutwe nensingo ate nodda kusaidi yaddyo, ate eya kono, ata amazzi galina okuba matukuvu nga si­makyafu, nga galimubah siga kunyaga, nga mereresima­tabule nakintukirara ate SIDRI ne kalifuwa birina okuba nga byahalali

q Abaffe engoye zomufu zambulwamu mukiseera kyokumunaaza?

 Kisaana okumunaaza nengoyeze oba olyawo kyekisinga obulungi mukubeera obukunya

q Amazzi gabeera gatya amereere nga ate kikakafu okwongeramu sidri oba kalifuwa mugo?

Twongoramugo sidri ne kalifuuwa mukigero ekita- ga­chuusa kufuuka mazzimatabule nakintukirara.

q Singa omubiri gwomufu gunajisika ne Nnajisi okuva ebweru, oba najisi okuva mumufu yekennyini?

Kikakata okumutukuza mwekyo ekiba kyononese muye naye tekyetagisa kuddamu kumunaaza yenna.

q Kati bwetumala okunaaza omufu?

Aba yetagisa okumukuba kalifuwa nokumuzinga.

q Okumukuba kalifuwakyeki?

Kwekusiiga ebiyungo omusanvu ebivunnamirwako ne kalifuwa owobuwunga nga akyalimu akawowo, atenga alimubah siwakunyaga bunyazi, eranga mutukuvu talimu najisi, ekisinga obulngi mukusiiga kwekukozesa ekibato nga otandika nakyenyikye.

q Ate ebiyungo ebivunnamirwoko ebiralaebisigaddeyo?

tewali kulinanyisa wakati wabyo.

q Omufu azingibwatya?

Kikakata okuzinga omufu mubitundu bisatu:

MI-ezar: erina okubikka ebiri wakati wekkundi- na mavivi.

Qamiis: erina kubikka okuva kubibegabega okutuuka mubitundu byentunbwe.

AL- IZAR: erina kubikka omubiri gwonna ate erina kuba mpanvu esobole okubunyisa omutwe ne bigerebye.

 q Ate obugazi?

Nobugazi esobole okubanti azingibwamuyo oludda olumu ludde kulunne walwo .

q Abaffe waliwo obukwakkilizo obulala obwe tagisa kungoye ezo?

-  Yye zirina okubanga zonna zibikka omubiri gwo­mufu, atenga sizazahabu oba okubanga zamubitundu by­abisolo ebitaliibwa nyamayabyo atenga Sinajisi okujjako mumbeera yatunakola tutya, mumbeera eyo kikkirizibwa okuziika mungoye ezogeddwako okujjako olunyage tekik­kirizibwa.

 q Engoye ezo essatu bweziba tezifunyise?

Omufu azikibwa mwekyo ekiba kiriwo mubwangu .

q Oluvanyuma lwokunaza omufu nokumukuba kali­fuwa nokumuzinga kiki ekiddako?

Kikakata okumusaalirako yadde nga abamwana amaze okumanya esswala okugeza Singa abawamyaka (6) mukaaga.

q Tusaalira tutya kumufu?

-  Esswala yomufu eyawukana kusswalayabuli lu­naku, swala yomufu erimu Takibiirat Taano temuli kuzo suula yadde okutama (rukuu-u) temuli kuvvunama, yad­detashahddi nessala wabula asalirakumufu amusabira oluva- nyuma lwatakibiirat enya ezisoka naye ezisemba yo yeronderawo wakati wokusaalira kunnabi nokusabira abak­kiriza nokugulumiza allah owekitiibwa.

 

ESSWALA YOMUFU:

q Mbuuliraako ekifananyi kyeswala yomufu mubufunze?

Otola takibira esooka, noleeta Shahadataini, ate notoola takibira eyokubiri, nosaalira kunnabbi (s.a.w) nabantubenjuye (as) ate notoola takibira eyo kusatu nosabira abakkiriza abaami na bakyala ate notoola takibira eyokutaano bwomala no tambula.

q Abaffe waliyo ebintu ebyetagisa muswa- la yo­mufu?

-  yye –mwetagisamu ebintu:

ENNIYYAH: okumalirira, wamu nokutongoza omufu gwosaalirako.

AL- QIYAM: okuyimirira, awamu nobusobozi nga we­buli.

Erina okusaalibwa oluvanyuma lwokunaaza omufu no­kumukuba kalifuwa nokumuzinga.

Okwolekera mu Qibula mumbeera eyokweyaga lira.

Omufu alina kuba mumaaso goyo amusalirako.

Omutwe gwo mufu gulina kubeera kuddwo ate ebigere nebibeera kukkono woyo amusalirako.

Omufu atekebwa kumugongogwe ngabamusaa- lirako.

Obutabeerawo kiziyiza wakati womufu noyo amusali­raako okugeza nga ekisenge oba caten.

Obutawulawo wakati womufu noyo amusaalira kabanga kayitiridde era balina kubeera kulevo emu, tekikosa kubeerawo ka­banga nga enyiriri zikwatagana m   musswala ya Jamaa obasinga Janaaza ziwerako muzisaalirwako omulundi gumu.

Omusaaze alina okufuna olukusa okuva eri nanyini mufu.

Okuliinanyisa wakati watakibiirati nedduwa nokwo­gera ku ALLAH eri oyo asaala.

q Lwaki toyogedde bulombolombo bwoyo asaalira ku­mufu nga okuba ne wuzu oba okunaaba oba okutayam­mama?

- Kikakata okuziika omufu, ate kimala oku- muteeka muttaka wamu nokkakata ebintu- bibiri:

Okumukuuma eri ensolo ezikwakkula singa zisuubirwa okubeerawo mukifo ekyo.

Okukweka olusuulwe eri abantu singa wasuubirwa okuberawo okosebwa nalwo mukifo ekyo.

Atekebwa kuluddalwe olwaddyo muqabriye nga eky­enyikye kyolekezeddwa muqibla.

q Abaffe waliyo obulombolombo mukifo awazi kibwa omufu?

-  Yye...

 Ekifo kirina okuba kyahalali nga sikya kunyaga, nga ate Sikya waqfu mukintu kyetongo dde nga amasomero ne huseninyat nebiringa ebyo nga waliwo okukosebwa nob­wenyini ooba ookunyigiriza kusaidi ya waqfu ne­wankubadde nga tewali kukosa oba muzahama

Okuba nti tewayuwa kitiibwakyamufu omusiram singa azikibwamu nga ebifo ebikyafu oba mumatongo gye­bava edda.

Obutazikibwa muntaana zabakafiiri.

q Ate olvanyuma lwokuziika kiki ekiddawo?

 Byayogerwa nga biva kunnabi (saw) mazimaye ya­gamba: tewali kijjira mufu okusinga ekiro ekisooka mubuzibu, musonyiwe abafu bammwe nesadaqh, bwe­muba temufunye, kirungi omukummwe amusaalireko raka bbiri, asomera mwesooka olunva nyuma alihamudu, Ayat al kursiyyu ate Surat AL-Qadr emirundi kumi, agamba olu­vanyuma lwa assalam: «ALLAHUMMA SWALLIALA MUHAMMADI WA-AL MUHAMMADI WABU- ATH THAWABUHA ILA QABR FULAN» nayogera erinya lyomufu

q Musomo eryayise wayogeddemu okuna ba kwe- wayise okunaba kwokwata kumufu «gusulu massu – al- mayyiti».

Yye kiikakata okunaba eri oyo okutte kumubi ri gwo­mufu oluvanyuma lwokunnyogoga nga ate tebanamaliriza kumunaza musiram oba mukafiiri.

q Nga waliwo obubolu?

-  oba webuli oba tebuliwo bifanagana, kaku- beere okwata kumufu nga kweyagalira oba kuwalirizibwa.

 q kiki ekikakata kwoyo akutte kumufu?

- Kikakata kuye:

Obukakafu bwokunaaba eri eriikyo ekyetagisa mubutufu bwakyo okwetukuza nga esswala bwaba ayagala okusaala kiimukakatako asooke okun’aaba.

Kiziraa kuye okkwata ku Qur- an eyekitiibwa nabuli kyonna ekizira kwoyo atalina wuzu.

-  Tata yasirikamu akaseera bweyamala naga mba: nti: omusajja bwafa kikakata kumukaziwe okatuulaidda wonna obuwangazl bwe webuba bwenkana wadde nga abadde tannaba kumuyingira omukazi atalina lubuto atuula emyezi ena nennaku kumi (4mth – 10 Dys) bwaba mukul alina amagezikimukakatako okuleka ebyokwewunda mu­mubiri nemungoye nga okwambala engoye emyufu nen­dala, nga bwekizira kuye okwambala hilli ne wanja nokozesa obuwowo ne bimwusa wabula kigwa na eryoyo alimu ldda okweyonja omubiri gwe. Nengoyeze nokusala enjala nokunaaba nokufuluma munnyumba naddala okutuukiriza ekyetagokye okumala ekyetago oba ekikolwa kyo kugonda bwekiba nga kyetagisanyo.

 q Ate omukazi owolubuto?

Ye omukazi ali- olubuto singa bbaawe amufaako okula­mulakwe asigala ali mu ldda okutuusa lwazala, olwo nalaba bwaba amaze emyezi ena nennaku kumi oku Va bbawe lweyafa, awo lddaye eba eweddeko ate ebbanga eryo bweriba terinnaggwako agenda mumaso ne iddaye okutuusa lwaweza ebbanga eryo.

 

 

Index