Taata yatuula nga bulijjo mukifokye ekyabulilunaku, natandika okwogera kussomo eryalero, erinnya «ISTIHAADH» ekyalalo.
Bwamala okwogera ekigambo ekyo nentegeera munyukta zakyo nga ziringa eza haizi bwentyo bwennakifuna mumagezi gange.
q Nengamba: abaffe ekikulukuto Nakyo kirimubintu ebyeyawulidde abakyala:
- Nagamba nti yye.... naye.....
q Naye kiki:
- Naye kakwakkuizo obutabamusayi gwa haizi (M.P) , wadde nifasi, wadde kiwundu, yadde kizimba yadde okukwata omuwala atennetuuka (bikira).
Nengamba: Amakulu gekyalalo ekitegzaomusayi gwekyalalo teguba gwa haizi oba Nifasi oba kiwundu oba kizimba oba omusayi ogwokuyuza omuwala omuto:?
Nagamba nti yye.
Nengamba nti emisayi egyo mingi.
Nagamba nti egimu mugyo kabonero kakujimuka kwamukazi wamu nokuvuvuka abaffe tolaba nti omukyala bwakaddiwa nalekerawo kufuna haizi tazaala.
Nengamba nti omusayi gwebiwundu nebizimba nenifasi gutegerekeka bulijjo naye omukyala ategeera atya nti guno omusayi gwakyalalo era sigwa haizi?
Nagamba ojjukira ebitendo bya haizi?
Nengamba: yye, haizi muaayi mumyufu, oba muddugavu, gufuluma nakubabu;kirira, wamu nokwokerera.
Nagamba: Mubiseera ebisinga ebitendo byomusayi gwekyalalo byawukana nomusayi gwa haizi, omusayi gwekyalalo luberera guba gwayero mulanji, atenga mwangu, ate gufuluma awatali bulumi wadde okwocha.
Nengamba: Omukazi ayawulawo atya nti guno omusayi sigwegugulawo obuto (akajji ka bikira) singa gujjidde kumu naokufumbirwa?
Nagamba: Omusayi ogujjawo bikira gubunyisa ekipamba, era negubanga omwezi mumusayi naye ogwe ekyalalo guyinza okubunyisa ekipamba ate guyinza okubuukawo negweyongera negutuuka kwekyo kyasibisizza nakyo, ekipamba.
q Obanga kyekyo omusayi gwekikulukuto guyinza okubunyisa ekipamba kulwobunji bwagwo?
- Yye, ate guyinza obutabunyi sa pamba, kubanga ekikulukuto kirimu emiteeko esatu:
1- Ekyalalo ekingi :pamba bwajjula omusayi negweyongera, negukiusukka, negubuuka ekisibye pamba negusabana ekisibye.
2- Ekyalalo ekyomumakkati: pamba bwajjula omusayi, nayenga tegubuse pamba kutuuku kukisibye pamba.
3- Ekyalalo ekitono: omusayi bweguteeka langi kupamba negutabunyisa pamba kulwobutono bwagwo.
q Buli muteeko gulamulwa gutya mumitee ko esatu?
- Ekikulukuto ekingi, kikata kumukyala okunaba emirundi esatu, oluna;ba lwa swalat subuhi, nolunaba lwessala ebbiri zuhuri ne Asri bwabanga azigasse nolunaba lwessala ebbiri magribi ne isha;a, bwaba azigasse naye bwabatagasse bulisswala aba alina okunaba kulwayo.
q Abaffe okulamula okwo kwabulingeri zonna?
- Nedde, okulamula kuno singa omusayi gujjanga tegukutuka kupamba naye bweguba gukutuka kupamba, era nga asobola okuna;ba era nasala essala emu oba okusongawo nga omusayi tegunabunyisa pamba mulundi mulala awo aba alina okuddamu okuna;ba buli musayilwegujja, bwanaba nasala zuhuri, ate negujja nga tanasala asri oba negujjira musswala wakati kikakata kuye okunaba kulweswala.
Singa akabanga akali wakati wokweyoleka kwemisayi ebiri kamusobozesa okusaliramu essala ebbiri oba sala enyingi akkirizibwa okkola ekyo awatali kuddamu kunaba bupya.
Ebyo biri mumusayi omunji ogwekikulukuto.
Ate ogwomumakkati, ekimukakatako kufuna wuzu bulissala oba okunaba buli lunaku omulundi gumu nga tanaba kufuna wuzu ya sswala.
q mpayo ekyokulabirako?
- Oluberyeberye nga ssala ya fajiri tenaba omukazi akizudde nti alina ekikulukuto kati neyegezesa yekenyini nalabanga ekyalalo kyamumakkati awo anaba ate natawaza nasala sala ya al-fajiri, okunaba okwo kumala eri essala zonna mulunaku olwo awamu newuzu buli sala, olunaku olwokubiri bwerutuuka anaba era nafuna wuzu, nabwekityo nagendeerewo mumbeera.
Ate ekikulukuto ekitono: ekimukakatako kutawaza kwokka buli ssala kebeere wajibu oba mustaha bbu.
q Abaffe ekyalalo ekyomukazi kikyuka okuva mumu teeko nekidda mumuteeko omulala?
- Yye kiyinza okukyuka ogubadde omutono ne gufuuka omungi, ate omungi negufuuka omutono.
q Omukazi amanya atya okuchuka kwomuuusayigwe ogwekyalalo?
- Alina okwegezesa yekenyini nga swala tennaba namanya, bwamala nakolera kwekyo ekimusanira okkala nga asinziira kukwegezesa.
Omusayi bweguba mutona aba alina kutawaza ate bweguba mumakkat mulunaku anabamu lumu atenatawaza buli ssala.
q Pamba afungiddwa nomusayi nekyo kyebasibisi zza pamba bwebyesigako omusayi?
-kirungi kuye abikyuse oba okubiyonja kubuli swala singa omusayi guba mutono oba gwamumakkati, naye bweguba mungi akkolanga bwekyetagisa, ate neyekuuma omusayi obutafu luma okuva munkamerero yokunaba okutuuza kunkomerero ye ssala bwekibanga tekimuko sa mukwekuma.
q Yye abaffe kiri kuye okwanguwa okusala oluvanyuma lwokwetukuza?
- Yye.
q kiki ekyetagisa kuwekyalalo musharia?
1- owekikulukuto kimukakatako okwetukuza oluvanyuma nga omusayi gukutuse, kulwakusa;la esswala ejja ne wuzu singa omusayi guba mutono oba gwawakati, ate nanaaba singa omusayi guba mungi.
2- owekikulukuto mumiteeko esatu kimuzirako okwata ku Quran eyekitiibwa nga tanaba kwetukuza ate bwamala okwetukuza kikkirizibwa nga tannaba kujjuza swalaye.
3- kikkirizibwa okuwa talaka nga alina ekyalalo.
4- ebiri kuwa haizi tebikwata kuwakyalalo: nga obutegatta namusajja, obutayingira mumizigiti okusoma aya yasajida.
5- kikkirizibwa okusiiba eri oyo owekyalalo ekitono oba ekyomumakati singa abanga takoze ekyo ekimukakatako kusswala: kutawaza oba naba okaye womusayi omungi oyo abamanyi bonna okusiima kwa Allah kubeere kubo bagamba: kusiibakwe kusinziira kwebyo ebimukakatako mukusaala nokunaaba muntandikwa yokusiiba wamu nokunaba buli luna ku emisana naye ekisinga okuba ekituufu kirinti okusiibakwe tekuyimiridde kwebyo kulyoke kubeere okutuufu.
6- Owe kikulukuto ekingi tekimwetagisa kufuna wuzu oluvanyuma lwokunnaba ate kikakata kuwa isitihadha eyomumakkati okufuna wuzu oluvanyuma lwokunaaba okumukakatako.