Nga taata tannatuuka mbadde nkyalowoza kukuteeka munkolo ebyo byangambye mussomo lya Najisi, era nga bwennindirira ambulire ebintu ebituusiddwako najisi engeri gyebitukulamu kati taata bwamala okutuuka nemutandika bwenti:
q Wanngambyejjo nti ebintu ebitukuvu bibulwaako obutukuvu bwabyo singa najisi ebikoonako, kati laga engeri gyebitukulamu:
- Ekisinga okutukuza ebintu ebikyafuwadde «mazzi» okubanti byozebwa mubukyafubwabyo oba byozebwa namazzi kati tujja kutandika bwetuti:-
EkiTukuza Ekisooka: gemazzi.
- Amazzi: (i) amerere (ii) Nagatabuddwamu ekirala.
q Amazzi amerere gegaliwa:?
- Amazzi amerere gego getunywa neebisolo : amazzi ge nnyanja ne migga, ne nzizi, nenkuba, namazzi ga tapu gatutu kako nga gava mubitanka ebisavinga ebigaba mubibuga.
q Amazzi amatabule gegaliwa:?
Amazzi amatabule gego okugeza nga amazzi ge kimuli, amazzi genkona mawanga, ageminaazi, agensujju naaga tabudwamu kalifuuwa.
Emiteko gwamazzi amerere:?
1- Amazzi amakuume gego agatakyafuwala nakukonebwako najisi okujjako nga gakyuseko:- 1- ebbala lyago. 2- olusu lwago 3- okuwoomakwago.
2- Amazzi agatali makuume : gego agakyafuwala kulwa bwokka bwakutukibwa ako najisi.
q Gegaliwa amazzi amanji:
1- Amazzi amanji gego agabeera mukintu obamu kinnya nga kiweza (36) square miteres kati nga tanka ezigabanya amazzi mumatawuni oba amatenka aga teekebwa kumayumba okukuumiram amazzi, ngagayu ngagana netanka ennene.
2- Amazzi goluzzi.
3- Amazzi agakulukuta, nga emigga.
4- Amazzi genkuba nga etonnya
ago gemazzi amanji agata kuyuukalyuka mangu.
q Gegaliwa amazzi amatono:?
- Gemazzi agabeera mubuntu abutono nga ebyombo , nebikopo mumazzi aga takulukuta.
q Amazzi amatabule galamulwa nga amazzi amatono gakyafuwala kulwa kutukibwako najisi sinsonga oba mangi oba matono nga kyaayi era mugo muge nderamu amata amafuta amadagala byonna ebyo najisi olubituukako nga bikyafuwala.
- Amazzi amatono bwugegatta naamanji nago gafuuka manji
q Singa amazzi agali mukyombo gatononnyamu ettondolyomusayi:
- Tegakyafuwala okujjako nga amatondo gayitiridde ebbala lya mazzi nerikyuka kulwobungi bwomusayi
q singa ettondo lyomusayi ligwa mu kyombo ekitono
- omusayi ogwo gukyafuwaza ekyombo.
q Singa amazzi amatono tugayunga ne katap oba omufulejje negadda kubusengejjebwago:
- Amazzi ago galitukula, wabula bwega kutuka kuttau gaddayo negakyafuwala omulundi omulala olwokubanga ekyo kuitukula nakukyoza emirundi esatu.
q Singa tuyuwa amazzi gebinika kukintu ekikya fu abaffe, amazzi agali mubbinika gakyafu wala:
- Nedda, kubanga najisi terinyira mumazzi aga gwa okuva mubbinika, sinti amazzi agavamu gakyafuwala wadde agomubbinika okukyafuwala.
q Amazzi genkuba gatukuza gatya ebintu:
- Gatukuza nakubanti gattonya kubintu ebyo oba gatonya kuttaka oba lugoye, capet, oluvanyu ma lwamazzi okukivamu.
q Abaffe enkuba etukuza amazzi amakyafu:?
- Yye bwegaba getabudde.
q Abaffe tutukuza tutya ebintu ebikyafa namazzi amatono oba amanji:?
- Bulikintu kyonna ekikyafu kitukuzibwa nakukyoza omulundi gumu, naye amazzi amatono gayawulibwa ne kintu ekikyafu singa gokozesa mukutukuza.
q Abaffe ebintu ebikyafu byonna bitukula mungeri eyo:
- Yye okujjako bino ebijja:-
1- ebyombo ebikyafuwadde nomwenge nga ebikopo ne birala, byozebwa namazzi emirundi esatu
2- ebyombonga bifiiriddemu emfukuzi, obanga bikombeddwa mu embizzi, mazima ffe tubyoza emirundi musanvu.
3- Ebintu ebikyafuwadde nomukojjobo (omusulo) gwo mwana omuto atannaba kutandika kulyammere, mazima tuyuwako amazzi ekigero ekibunyisa ebintu ebyo, ate tewali kyetagisa kusingako awo, tekyeta gisa kubikamula bweruba lugoye.
1- Ebyombo ebikombeddwamu embwa oba ekonyeko nolulimi, osangulawo nettaka oluvanyuma noyozawo namazzi emirundi ebiri, ate bwebigwa mu amalusu gomumwagwayo, okko nebwako nekimu kubiyungobyayo osangulawo nettaka oluvanyuma noyozawo emirundi esatu.
2- Okukomba kwembwa, kitegeeza okunywa kwayo nolulimi mukyombo.
5- Engoye enkyafu kulwomusulo, zozebwa namazzi agakulukuta omulundi gumu ate amazzi amangi emirundi ebiri ate amazzi amatono emirundi ebiri nate oluvanyuma nokamula.
Naye engoye enkyafu ne kintu ekirala ogutali musulo ebyo byozebwa omulundi gumu namazzi amatono nebikamulwa, ate bwegabeera mazzi mangi tekye tagisa kukamula.
6- munda mwekyombo, bwemukyafuwala nga simwenge oba muguddemu malusu gambwa oba ebimu kubiyu ngo byayo, oba mufiiriddemu enfukuzi (emmese) oba embizzi ekombyemu, ebyo tubitukuza nakubyoza emirundi esatu namazzi amatono oba amanji era mirundi esatu.
7- omubiri omukyafu kulwomusulo gwozebwa nga bwetugambye kunamba (5) tano, wabula kumazzi amatono kyetagisa okwawula amazzi ne kikyafukye nnyini.
q Ate mumda mwekyombo....:
-bitukuzibwa nakubyoza omulundu gumu, newa nkubadde omulundu gumu.
q Ntukuzantya ebibato byange ebikyafu nga ate ndina amazzi matono.
- Bwekiba sikikyafu namusulo nokiyuwako amazzi omulundi gumu, amazzi gokutukuza bwegawukana neekibato kiba kitukudde.
q Enjuba etukuzaaki:
- etukuza ettaka nebyo ebiriko mumizimbo nebisennge mubyo mugeenderamu emikeeka okujjako ebirimu ewuzzi.
q Enjuba etukuza etya ettaka ne mizimbo:?
- Ebitukuza nakubyakirako okutuuka lwebikala nomusa na awamu nokuaawo kwobwenyini bwanajisi kubyo.
q Ate ettaka bwerikyafuwala nomusulo, enjuba ne ryakirako nerikubako nerikala:?
- Ettaka litukula bwekutasigala buwuufu bwamusulo
q Ete omusumali oguvudde muttaka obamukizimbe:
- Ogwo tegulamulwa nga ettaka, nolwekyo tegutuku la nanjuba.
Okuvaawo kwobwenyini bwanajisi munda mwomuntu nekumubiri gwomuntu nebisolo.
- Okugeza nga okuvawo kwomusayi munda mwakamwa oba munyindo oba mukutu okuvawo kwanajisi yenyini kati omusayi bweguvawo akamwa nenyindo nookutu neeriso biba bitukudde awatali kwetagisa mazzi
q Ate omubiri gwebisolo:
Nabwekityo omubiri gwebisolo, oluvawo omusayi mu kamwe kenkoko kabakatukudde, omusayi bwe guva mukamwa ke kkapa, omumwagwayo nga gutukula
q Abaffe empiso yeddagala nga ekoze kumuntu neyi ngiramu omusayi gwomuntu oba ogwekisolo awo eba ekyafuwadde:
- Nedde tekyafuwala nga evudde mumubiri gwemuntu eranga teriiko musayia nolwekyo okusisinkana nennajisi mumubiri gwomuntu tekitegeeza kukakata kwannajisi.
bulikyonna ekiytibwa ettaka kitukuza nga ejjinja, nomusenyo nettaka nekyo ehkyayalirirwa naamatafoli oba sement, ate etteka lirina okubeera kkalu erangattukuvu.
q Ntegeerantya ntittukuvu:
- Ebbanga lyomala nga tomanyinti liriko najisi libeera tukuvu noluvanyuma ate ritukuza.
q Ettaka litukuzaki:?
litukuza munda mwebigire, nengatto, nakulitambulirako oba okusanguza okutuusa obukyafu lwebuvaayo nga otambula oba okusanguza ekyonga najisi efunyise nakutambula kuttaka, so sinakirala.
okugobereza: omukafiiri alamulwanga najisi nayebwasiramuka aba atukudde nomwanawe omuto amugoberera mukutukula nejajja omukafiiri ne Jajja omukazi ne mama bwebasiramuka batukula nabanabaabwe bwebatyo nga bakyaali bata mumikono gyabwe..
Noomwenge bwegu ba nga gufuuse khalla gutukula nekyombo mweguteekeddwa nakyo nekitukula,
omufu bwanazibwa emirundi esatu aba atukudde, nekugoberezako omukono gwomunazi nekye ba munalizzako nengoye mwanaliziddwa
olugoye olukyafu bweryozebwa naamazzi amatono lutukula nomukono ogulwozezza nagwo negutukula.
6- Ekkitukuzn Ekyomukaaga.
obusiramu: butukuza omukafiiri alamulwa naye ntinajisi oluvanyuma lwokusiramuka, yekenyini atukula nenviirize nezitukula, nenjalaze ne birala kubiyungo byomubirigwe ebibadde ebi kyafu kulwobukafiiribwe.
okubula kwomusiramu omukulu oba omwana ayawulawo ekirungi nekibl.
q kwekuliwa okubula kwomusiramu okutukuza:?
-Faceye bwekubulako, notaddayo kumulabako,
q BwaBula:
- Bwabula atukula, nebintubye nebitukula ebyo ebiri mu buyinzabwe nga engoyeze, nobuliribwe, nebiko pobye.
- Okyokulabirako: engoye zamugandawo nga zibadde nkyafu, nga naye akimanyi obatakimanyi atenga ggwe okumanyi sinsonga oba yenywereza kushariya obanedde, kati bwakubulako ate nakomawo ogwokubiri, kati nosubira nti engoyeze zitukudde: mukiseera ekyo oygamba nti engoye zamugandaw ange ntukuvu, awatali kubuuza.
- Omusayi gwomuntu oyo alumiddwa ekiku oba ensekere oba ensiri mubiwuka ebitalina musayi, ekisolo bwekigunywa neguterera mu nda mwakyo ate oluvanyuma ekisolo nekittibwa omusayi ogwo negwesiiga kumubiri oba kulugoyelwo gwo guba mutukuvu.
- Okukyuuka kwekintu nekiuuka ekirala ekikya wukanako, mubintu byonna.
- Ekyokulabirako olubaawonga lukyafu bweryokyebwa nerifuukavvu, evvu eryottukuvu, nebyo ebyawulwa kubisolo bwebikozesebwa nga enku mukkuma omuliro, evvulyabyo mutanulu tukuvu.
okufuluma kwomusaayi mukigero ekyobutonde nga guva mukisolo ekisaliddwako mu sharia,
tujjakulamula omusayi ogusigala munda mwakyo nti mutukuvu.
- Okukyuuka kwomwenge negufuuka khalla, kubanga omwenge mukwekola kwagwo gutuuka muddala neguba najisi ate negukyuuka negutukula nga gufuuse khalli.
okugaana ekisolo okulya empitambiyo muntu kubanga ekisolo ekimanyidde okulya empitambi yomuntu, nokulya ennyamayakyo kuba harama waidde okunywa amata gakyo, nekibukeesanga kyonna nebyakyo haramu.
- Okutukula kwakyo kujjula nakukiigana kulya nnajisi okumala ebbanga erikifuula ekisolo ekya bulijjo.
- Oluvanyuma lwokule kawo omuzegwakyo tulamula nti enyama yakyo ntukuvu era amata gakyo matukuvu nabuli kyonna ekikiriko.