back

DU’AA-U S’SABAAH

Eduwa ey’okumakya

next

 

دعاء الصباح

DU’AA-U S’SABAAH

Eduwa ey’okumakya


 

 

بسم الله الرحمن الرحيم

اللّهُمَّ يا مَنْ دَلَعَ لِسانَ الصَّباحِ بِنُطْقِِ تبِلُّجِهِ وَ سَرَّحَ قِطَعَ اللَّيْلِ المُظْلِمِ بِغَياهِبِ تَلَجْلُجِهِ وَأتْقَنَ صُنْعَ الفَلَكِ الدَّوّارِ في مَقاديرِ تَبَرُّجِهِ وَشَعْشَعَ ضِياءَ الشَّمْسِ بِنُورِ تأجُّجِهِ.

 

BISMILLAH RRAH’-MANIR-RAHEEM

ALLAHUMMA YAA MAN DALAA’ LISAANAS’SABAAH’I BINUT’-QI TABALLUJIHI, WA SAR-RAH’A QIT’AA’LLAYALIL-MUZ’LIMI BIGHAYAAHIBI TALAJLUJIH, WA AT-QANA S’UN-A’LFALAKI D-DAWWAARU FEE MAQAADEERI TABARRUJIH, WA SHAA’-SHAA’DHWI-YAAA-ASH-SHAM-SI BINOORI TAAJ-JUJIH.

MULINNYA LYA KATONDA OMUSAASIZI ENNYO OW’EKISA EKINGI

Ai mukama katonda, oyo Nannyini kugaziya Budde obw’okumakya era n’asobozesa olulimi okumw’ogerako nga obudde bwa kakya kumakya, era najjawo obudde obw’Ekizikiiza ekiyitirivu nga agenda abubuliza mu budde obw’okumakya obulimu ekitangaala ekitonotono. Era n’alongoosa enkola ya munyeenye ezo ezitambula nga zitambulira mubigero by’azo muggulu, era n’asasaanya okwaakayakana kwi’Enjuba nga kutabuddwaamu ekitangaala ekijjudde okwookya kwaayo.


 

يا مَنْ دَلَّ على ذاتِهِ بِذاتِهِ، وَ تَنَزَّهَ عَنْ مُجانَسَةِ مَخْلُوقاتِهِ، وَ جَلَّ عَنْ مُلآئَمَةِ كَيْفِيّاتِهِ، يا مَنْ قَرُبَ مِنْ خَطَراتِ الظُّنُونِ، وَ بَعُدَ عَنْ لَحَظاتِ الْعُيُونِ. وَ عَلِمَ بِما كانَ قَبْلَ أنْ يَكُونَ.

 

YAA MAN DALLAA A’LAA DH’AATIHI BIDH’AATIH, WA TANAZ-ZAHA A’MMUJAANASATI MAKH-LOOQAATIH, WA JALLAA A’MMLAAA-AMATI KAYFEE-YAATIH, YAA MAN QARUBA MIN KHATWA RAATI ZZUNOON, WABAU’DA A’N-LLAH’AZ’AATIL-U’YOON, WA A’LIMA BIMAA KAANA QAB-LA AY-YAKOON.

 

Ai katonda wange oyo eyamanyisa kukubeerawo kwe ye mwennyini, era neyesamba, okubeera mu muteeko ogumu n’ebitonde bye, era n’agulumira nga tewali ayinza kumutegeera  engerize, y’owange ggwe eyasemberera mundowooza n’e birowoozo ate neyeesamba okubeera nti talabibwaako na maaso. Era omumanyi w’ebyo ebyaaliwo n’ebiriwo nebigenda okubaawo oluberyeberye nga tebinnaba kubeerawo.


 

يا مَنْ أرْقَدَني في مِهادِ أمْنِهِ وَأمانِهِ، وَأيْقَظَني إلى ما مَنَحَني بِهِ مِنْ مِنَنِهِ وَإِحسانِهِ، وَكَفَّ أكُفَّ السّوءِ عَنّي بِيَدِهِ وَسُلْطانِهِ. صَلِّ اللّهُمَّ على الدَّليلِ إليك في اللَّيْلِ الأَلِيلِ، والماسِكِ مِنْ أسْبابِكَ بِحَبْلِ الشَّرَفِ الأطْوَلِ.

YAA MAN AR-QADANEE FEE MIHAADI AM-NIHI WA AMAANIH, WA AY-QAZ’ANEE ILAA MAAMANAH’ANEE BIHI MIM-MINANIHI WA IH’-SA ANIH, WA KAFFA AKUFFASSOOO-I A’NNEE BIYADIHI WA SUL-TAANIH, SW’ALLI-LLAHUMMA A’LADDALEELI ILAYKA FILLAYLIL-AL-YAL, WAL-MAASIKI MIN AS-BAABIKA BIH’AB-LI SH-SHARAFIL-AT’-WAL.

Ai katonda wange oyo nannyini kunteeka mukukuumibwa n’emirembe gye, era nangabira ebyengarabye, era na anzuukusa okunziza eri ebyo byeyangabira mubyengeraabye n’okulongoosakwe, era n’akungaanya obubi bwonna obunnyigiriza n’abunzijako n’omukono gwe wamu n’amaanyige. Ai katonda nkusaba osse ebyengera kwooyo eyalungamya ebitonde  gyooli mukiro ekyeekizikiiza. Nannyini kweekwaata munsongazo kumuguwa omuwanvu ogweekitiibwa (Kuraane).


 

وَالناصِعِ الحَسَبِ في ذِرْوَةِ الكاهِلِ الأعَبْلِ، وَالثّابِتِ القِدَمَ على زَحاليفِها في الزَّمَنِ الأَوَّلِ، وَعَلى إلهِ الأخْيارِ المُصْطَفَيْنَ الأبْرارِ وَافْتَحِ اللّهُمَّ لَنا مَصارِيعَ الصَّباحِ بِمفاتيحِ الرَّحْمَةِ وَالْفَلاحِ وَألْبِسْني اللّهُمَّ مِنْ أفْضَلِ خِلَعِ الْهِدايَةِ وَالصَّلاحِ

WA NNAAS’I I’L-HASABI FEE D’IRIWATIL-KAAHILIL-AA’-BAL. WA TH-THAABITIL-QADAMI A’LAA ZAH’AALEEFIHAA FEEZZAMANIL-AWWAL,  WA A’LAA AA-LIHIL-AKHYAARIL-MUS’-TAFAYNAL-ABRAAL, WAF-TAH’ILLAAHUMMA LANAA MASW’AARI-YA’ S’SABAAHI BIMAFAATIEEH’IR-RAH’-MATI WAL-FALAAH’ WA AL-BIS-NILLAHUMMA MIN AF-Z’ALI, KHILAI’L-HIDAAYATI WA S’SALAAH.

N’ekitiibwakye kyokkakyokka bukakafu  obulaga okugera kwe,  okwaatabulwaamu amaanyige n’o obuyitirivu bw’obugulumuvuubwe. Katonda bye yamugabira Omunyweevu webigere waddenga mukiseera ekyasooka byaali mubifo ebiseerera, era nkusaba osse ebyengera ku bantu be njuuye abasinga obulungi era abalonde baamu abakozi beemirimu emirungi, era tukusaba otuggulirewo Ai mukama katonda omulyango gw’okumakya n’ebisumuluzo by’okusaasirakwo n’okulokolebwa. Era nkusaba onnyamba ze Ai katonda wange Ekyambalo ekisinga obulungi ekyo bulunngamu n’okulokolebwa.


 

وَاغْرِسْ اللّهُمَّ بِعَظَمَتِكَ في شِرْبِ جِناني يَنابيعَ الخُشُوعِ، وَأجْرِ اللَّهمَّ لِهَيْبَتِكَ مِنْ آماقي زَفَراتِ الدُّمُوعِ، وَأدِّبِ اللّهُمَّ نَزَقَ الْخُرَقِ مِنِّي بِأزِمَّةِ القُنُوعِ. إلهي إنْ لَمْ تَبْتَدِئَنِي الرَّحْمَةَ مِنْكَ بِحُسْنِ التَّوفِيقِ، فَمَنِ السّالِكُ بي إلَيْكَ في واضِحِ الطَّريقِ؟

W’AGH-RISI LLAHUMMA BIAZ’AMATIKA FEE SHIR-BI JANAANEE YANAABI-YA’L-KHOSHOOI’ WA AJ-RI LLAHUMMA LIHAYBATIKA MIN AAA-MAQEE ZAFARAATI DDUMOOI, WA ADDIBI LLAHUMMA NAZAQAL-KHUR-QI MINNEE BI-AZIMMAATIL-QUNOOI’, ILAHEE IL LAM TAB-TADI-NEER-RAH’MATU MINKA BIH’US-NI TTAW-FEEQI, FAMAN SSAALIKU BEE ILAY-KA FEE WAADH’IH’T-T’AREEQI.?

Ai katonda nkusaba osige mumutima gwange, ebidiba ne nsulo z’okugonda kulw’obugulumivuubwo, era nkusaba Ai katonda obeere nga okulukusa amaziga kulw’okukaaba kwanga nga gava munsonda z’amaaso gange kulw’ekitiibwakyo. Ai mukama katonda nkusaba onjigirize engeri y’okwewalamu okwanguyirira okukola ebisobyo ebyo  ebinvaamu kulwo obusiru nga oyitira mukungabira okumatira okwaamaanyi, Ai katonda wange singa on’obeera nga tompadde busobozi okuva gy’oli kulw’okusaasirakwo, kati ate ani omulala atali ggwe anankwaasa ekkubo eggolokofu erintuusa gy’oli?.


 

وَإنْ أسْلَمَتْني أناتُكَ لِقآئِدِ الأمَلِ وَالمُنى، فَمَنِ الْمُقِيلُ عَثَراتِي مِنْ كَبَواةِ الهَوى! وَإنْ خَذَلَني نَصْرُكَ عِنْدَ محارَبَةِ النَّفْسِ وَالشَّيْطانِ فَقَدْ وَكَلَني خِذْلانُكَ إلى حَيْثُ النَّصَبِ والحِرْمانِ.

 

WA IN AS-LAMAT-NEE ANAATUKA LI-QAAA-IDIL AMALI WALMUNA FAMANIL-MUQEELU THARAATEE MIN KABAWAATIL-HAWA, WA IN KHADHALANEE NAS’-RUKA I’NDA MUH’AARABATI NNAFUSI, WA SH-SHAYT’AANE FAQAD WAKKALANEE KHIDHILAANUKA ILAA H’AYTHU NNASW’ABI WA AL-H’IR-MAAN.

 

Era singa enkolayo nendowoozayo ey’obwegendereza singa binampaayo eri okuduumirwa kw’omululu wamu n’okwaagala kwange, kati ate ani oyo anawanirira okuseerera kwange abeere nga anzija  kukugoberera omwoyo gwange kyegwaagala. Ate singa onobeera nga tonnyambye mukulwaanyisa omutima ne sitaani mazima okunjabuliraakwo kunaaba kunteese munnaku eyekitalo n’okummibwa ebyengera byo.


 

إلهي أتَرانِي ما أتَيْتُكَ إلاّ مِنْ حَيْثُ الآمالِ، أمْ عَلِقْتُ بِأطْرافِ حِبالِكَ إلاّ حينَ باعَدَتْني ذُنُوبي عن دارِ الوِصالِ، فَبِئْسَ المَطِيَّةِ الَّتي امْتَطَتْ نَفْسي مِنْ هَواها، فَواهاً لَها لِما سَوَّلَتْ لَها ظُنُونَها وَ مَناها.

ILAHEE ATARAANEE MAA ATAYTUKA ILLAA MIN H’AYTHUL A’AA-MAAL, AM A’LIQ-TU BI-AT-RAAFI H’IBAALIKA ILLAA HEENA BAAA’DAT-NEE DHUNOOBEE A’N DAARIL-WIS’AAL, FABI-SAL MATEE-YYATULLATEEM-TATWAT NAF-SEE MIN HAWAHAA, FAWAAHAAL-LAHAA LIMA SAWWALAT LAHAA Z’UNOONUHAA WA MUNAAHA.

 

Ai mukama katonda ondaba sizze gy’oli okujjako nga mpitira mukusuubira okuntaasa, era s’ekutte kunsonda y’emiguwa gy’okulungamyakwo okujjako mukiseera ebyoonoono byange webinesambisiza okunzija ku nnyumba etugatta, ye abange kiki kyayitiriza obubi bw’ekyebagalwa ekyo omutima gwange kyegweebagala kulw’okwagala kwaagwo. Ye abanga okuzikirira okugutuuseeko kulw’okugoberera endowooza zaagwo n’okwaagala kwaagwo.


 

وَ تَبّاً لَها لِجَرْأتِها على سَيِّدِها ومَوْلاها. إلهي قَرَعْتُ بابَ رَحْمَتِكَ بِيَدِ رَجائي وَ هَرَبْتُ إلَيْكَ لاجِئاً مِنْ فَرْطِ أهْوائي، وَعَلَّقْتُ بِأطْرافِ حِبالِكَ أنامِلُ وَلائِي، فَأصْفَح اللّهُمَّ عَمّا كُنتُ أجْرَمْتُهُ مِنْ زَلَلي وَ خَطآئي.

 

WA TABBALAHAA LIJUR-ATIHAA A’LAA SAYYIDHAA WA MAW-LAAHAA, ILAHEE QARAA’TU BAABA RAH’-MATIKA BIYADI RAJAAA-EE, WA HARAB-TU ILAYKA LAAJI-AMMIN FAR-TWI AH-WAAA-EE, WA ALLAQ-TU BI-AT-RAAFI H’IBAALIKA ANAAMILA WALAAA-EE, FAS’FAH’ LLAHUMMA AMMAA KUNTU AJ-RAMUTUHU MIN ZALALEE WA K’HATW’AAA-EE.

Ye abange okuzikirira okugutuuseeko kulw’okwewaggula kumukama waagwo era omukuumi waagwo. Ai katonda wange nkonkonye kumulyango gw’okusaasirakwo n’omukono gwo kusuubira kwange, nenziruka nga nzija gy’oli kulwookun’onya obweewogomu okuva mubuyitirivu bw’okugoberera obubuze bw’omutima gwange. Era Nnyingizizza engalo ne njala  kulw’okwaagala kwange nenzikwaasa kumiguwa gy’okutaasaakwo, n’olweekyo Ai mukama katonda nkusaba onziriremu onsonyiwe eby’onoono byennakola mukuseerera kwange ne mubisobyo byange.


 

وَ أَقِلْني مِنْ صَرْعَةِ رِدائي، فَإنَّكَ سَيِّدي و مَوْلايَ وَمُعْتَمَدي وَ رَجائي، وَ أنْتَ غايَةُ مَطْلُوبي وَ مُنايَ، في مُنْقَلَبي ومَثْوايَ إلهي كَيْفَ تَطْرُدُ مِسْكِيناً التَجَأَ إلَيْكَ مِنْ الذُّنُوبِ هارِباً!

WA  AQIL-NEE MIN SW’AR-A’TI RIDAAA-EE FA-INNAKA SAYYIDEE WA MAW-LAAYA WA MUA’TAMADEE WA RAJAA-EE, WA ANTA GHAAYATU MAT-LOOBEE WA MUNAAYA FEE MUN-QALABEE WA MATHWAAY, ILAHEE KAYFA TAT-RUDU MIS-KEENAN IL-TAJAA ILAYKA MINADH’DH’UNOOBI HAARIBA !

 

Era nkusaba onkenderezeeko kukunyigibwa kw’omugugu gwe bibonerezo byange. Kulw’okubanga mazima Ggwe mukama wange, era omukuumi wange kweneesigamira, era Ggwe kusuubira kwange, era gwe ekigendererwa kyange kyennoonya ekisembayo, gwe kiruubirirwa kyange mukweekyuusa kwange nemubuddiro bwange, Ai katonda ngeriki gy’ogobamu masiikiini azze gy’oli okunoonya obwewogomu nga adduka obuyitirivu bwe Byoonoono!


 

أَمْ كَيْفَ تُخَيِّبُ مُسْتَرْشِداً قَصَدَ إلى جَنَابِكَ ساعِياً! أمْ كَيْفَ تَرُدُّ ظَمْآناً وَرَدَ إلى حِياضِكَ شارِباً! كَلاّ وَحِياضُكَ مُتْرَعَةٌ في ضَنْكَ المُحُولِ، وَ بابُكَ مَفْتُوحٌ لِلطَّلَبِ وَالوُغُولِ، وَأنْتَ غايَةُ المَسْؤولِ وَنِهايَةُ الْمَأمُولِ.

AM KAYFA TUKHAYYIBU MUSTAR-SHIDAN QASWADA ILAA JANAABIKA SAA-EYAA! AM KAYFA TARUDDU Z’AMA-AAA-NAWWARADA ILAA H’IYAADHW’IKA SHAARIBAA! KALLAA WA H’IYAADH’UKA MUT-RAA’TUN FEE DHW’ANKIL-MUH’OOL, WA BAABUKA MAF-TOOH’ULLITTWALABI WAL-WUGHOOL, WA ANTA GHAYATUL-MAS-OOLI WANIHAAYATUL-MAAMOOL.

Ai katonda ngeriki gyoyinza okwabuliramu omuntu asaba okulungamizibwa nga ekigendererwaakye akolerera kudda gy’oli omuyambe, oba kiyinzika kitya okugoba omuyonta nga azze okunywa kuluzzi lwo! Nedda sibweekityo nga ate oluzzi lwo yensibuko era lubeera lujjuvu mukiseera amazzi nga gabuze, era omulyangogwo muggule eri oyo anoonya obunoonya n’oyo ayingira  nga tebamuyise naye n’anywa era n’awona ennyonta. Ate nga ggwe  ekigendererwa ekisembayo mukusaba kw’ omuddu wo, era Ggwe ssuubi erisembayo mu kusuubira kwe.


 

إلهي هذِهِ أزِمَّةُ نَفْسِي عَقَلْتُها بِعِقالِ مَشِيئَتِكَ، وَهذِهِ أعْباءُ ذُنُوبي دَرَأتُها بِعَفْوِكَ وَرَحْمَتِكَ، وَهذِهِ أهْوائي المُضِلَّةُ وَكَّلْتُها إلى جَنابِ لُطْفِكَ وَرَأفَتِكَ، فَاجْعَلْ اللَّهُمَّ صَباحي هذا نازِلاً عَلَيَّ بِضِياءِ الْهُدى، وَبِالسَّلامَةِ في الدّينِ والدُّنْيا.

ILAHEE HA-ZIHEE AZIMMATU NAF-SEE A’QAL-TUHAA BI-I’QAALI MA SHEEE-ATIK, WA HA-DHIHEE AA’-BAAA-U DHUNOOBEE DARA-A TUHAA BI-A’F-WIKA WA RAH’-MATIK, WA HADHIHEE AH-WAAA-I- YAL-MUDHWILLATU WAKAL-TUHAA ILAA JANAABI LUTUFIKA WA RA-FATIK, FAAJ-A’LILLAAHUMMA SWABAAHEE HAZIHAA NAAZILAN A’LAYYA BIZIYAAA-IL-HUDAA WA BISALAAMATI FIDDEENI WA DDUN-YA.

Ai mukama katonda wange, kuno kwekukoma kumutima gwange mukuguziyiza ekyo ekikosa, ebyoonoono byange mbikunngaanyizza ne mbisibako n’omuguwa gw’okwaa gala kwo, era gino gy’emigugu gy’ebyonoono byange mbiwaddeyo omulundi gumu kulw’okusonyiwaakwo n’okusaasira kwo, era bino byembaddeko nga ngoberera mubirowoozo ebibuza, byonna mbyesigamizza gy’oli kulw’okulumirwaakwo n’obukwaata mpola bw’olina, Ai mukama katonda; kyenva nkusaba mubudde bwange buno obw’okumakya osse kunze ekitangaala ky’obulunngamu, n’emirembe mu Ddiini ne munsi.


 

وَ مَسائي جُنَّةً مِنْ كَيْدِ العِدى وَوِقايَةً مِنْ مُرْدَياتِ الهَوى إنَّكَ قادِرٌ عَلى ما تَشاءُ، تُؤْتِي المُلْكَ مَنْ تَشاءُ وَ تَنْزِعُ الْمُلْكَ مِمَّنْ تَشاءُ وَ تُعِزُّ مَنْ تَشاءُ وَ تُذِلُّ مَنْ تَشاءُ بِيَدِكَ الْخَيْرُ إنَّكَ عَلى كُلِّ شَيْءٍ قَديرٌ.

 

WA MASAA-IYA JUNNATAMMIN KAYDIL-I’DAA, WA WIQAAYATA MMIMMUR-DIYAATIL-HAWAA, INNAKA QAADIRUN A’LAA MAA TASHAAA, TU-TEEL-MUL-KA MAN TASHAAA, WATANZIU’L-MULKA MIMMAN TASHAAA WATUI’ZZU MAN TASHAAA BI-YADIKAL-KHAIR INNAKA A’LAA KULLI SHAY-IN QADEER.

Era nkusaba ofuule obudde bwange obw’olweggulo nga Ngabo yaakwekingiriza nayo mububi bwe Enkwe z’abalabe era nga kya kwekingisa nakyo okuva mubugyeemu bw’okwagala kw’omutima gwange, mazima Ggwe olimuyinza era osobola okukola ekyo ky’oba oyagadde, ogabira obufuzi eri oyo gw’oba oyagadde, ate nojja obufuzi kw’oyo gw’oba tobumwagalizza, era ogabira ekitiibwa kw’oyo gw’oba okyagalizza ate nokkakkanya oyo gw’oba oyagadde, Ebirungi byonna biri mumukonogwo, ate mazima ggwe olimuyinza kubuli kintu kyonna, era oliwaamaanyi kukyo.


 

تُولِجُ اللَّيْلَ في النَّهارِ وَتُولِجُ النَّهارَ في الَّيْلِ وَ تُخْرِجُ الحَيَّ مِنَ المَيِّتِ وَ تُخْرِجُ الْمَيِّتَ مِنَ الحَيِّ وَتَرْزُقُ مَنْ تَشاءُ بِغَيْرِ حِسابٍ، لا إله إلاّ أنْتَ سُبْحانَكَ اللّهُمَّ وَبِحَمْدِكَ مَنْ ذا يَعْرِفُ قَدْرِكَ فَلا يَخافُكَ، وَمَنْ ذا يَعُلَمُ ما أنْتَ فَلا يَهابُكَ.

TOOLIJULLAYLA FINNAHAAR, WA TOOLJU-NNAHAARA FILLAYL, WA TUKH-RIJUL-H’AYYA MINAL MAYYIT, WA TUKH-RIJUL-MAYYITA MINAL H’AYY, WATARZUQU MAN TASHAAA-U BIGHAYRI HISAAB, LAAA ILAAHA, ILLAA ANTA SUBHAANAKALLAAHUMMA WABIH’AMDIK, MAN ZAA YAA’-RIFU QADRAKA FALAA YAKHAAFUKA, WA MAN ZAA YAA’-LAMU MAA ANTA FALAA YAHAABUK.

Oyingiza obudde bw’ekiro mu Budde bw’Emisana ate n’oyingiza obudde bw’Emisana mu Budde bwe kiro. Era n’okola ekiramu nga okijja mu kufu ate n’ojja ekifu mukiramu, era n’ogabira ebyengera kw’oyo gw’oba oyagalizza awatali kubikolerera nakumubalirira. Tewali katonda yesinzibwa okujjako gwe Allah waya wukana n’ebitonde Ai, mukama katonda era n’ogulumira n’amatendogo, muntuki oyo ayinza okumanya okuge rakwo n’atakutya,! Era muntuki oyo ayinza okukumanya ggwe kyooli kyokka n’atakuwa kitiibwa!


 

ألَّفْتَ بِقُدْرَتِكَ الْفِرَقَ، وَ فَلَقْتَ بِلُطْفِكَ الفَلَقَ، وَأنَرْتَ بِكَرَمِكَ دَياجِيَ الْغَسَقِ، وَأنْهَرْتَ المِياهَ مِنَ الصُّمِّ الصَّياخِيدِ عَذْباً و أجاجاً، وَ أنْزَلْتَ مِنَ المُعْصَراتِ ماءاً ثَجّاجاً، وَ جَعَلْتَ الشَّمْسَ وَالقَمَرَ للْبَرِيَّةِ سِراجاً وَهّاجاً.

ALLAF-TA BIQUD-RATIKAL-FIRAQ, WA FALAQ-TA BILUTUFIKAL-FALAQ, WA ANAR-TA BI-KARAMIKA DAYAAJIYAL-GHASAQ, WA AN-HAR-TAL MIYAAHA MINA S’SUMMI S’SWAYAA-KHEEDI A’DHIBA WA UJAAJA, WA ANZAL-TA MINAL-MUA’-SW’IRAATI MAAA-AN THAJJAAJA, WA JAA’L-TASH-SHAM-SA WAL-QAMARA LIL-BARREE-YATI SIRAAJAA WWAHHAAJA.

Watabaganya wakati w’ebyo ebyayawukana kulw’obuyinza bwo, n’okugerakwo, era kulw’okulumirwa kw’olina wasobola okujjawo ekizikiiza kyekiro n’oteekawo ekitangaala ky’okumakya, era n’oyakayakanya ne munyeenye muntambula ye kizikiiza ky’ekiro, N’okulukusa emigga gya mazzi okuva muttaka erikaluba ne mumayinja kulw’okw’okya kwenjuba nga gaw’omerera nga omunnyo ne ssukaali. Era notonnyesa enkuba okuva mubire nga ekulukuta okuva muggulu. Era wafuula enjuba n’omweezi nga ttaala emulisiza  ebitonde ku Nsi era nga eyakayakana.


 

مِنْ غَيْرِ أنْ تُمارِسَ فيمَا ابْتَدأتْ بِهِ لُغُوباً وَلا عِلاجاً، فَيا مَنْ تَوَحَّدَ بِالعِزِّ والْبَقاءِ، وَقَهَرَ عِبادَهُ بِالمِوْتِ وَالْفَناءِ، صَلِّ عَلى مُحمَّدٍ وَآلهِ الأَتْقِياءِ، واسْمَعُ نِدائي، وَاسْتَجِبْ دُعائي، وَحَقِّقُ بِفَضْلِكَ أمَلي وَرَجائي.

MIN GHAYRI AN TUMAARISA FEEMAB-TADA-TA BIHI LUGHOOBAA WWALAA I’LAAJA, FAYA MAN TAWH’-H’ADA BIL-I’ZZI WAL-BAQAAA, WA QAHARA I’BAADAHU BIL-MAW-TI WAL-FANAAA, SWALLI A’LAA MUHAMMADI WWA AAA LIHIL-AT-QI-YAAA, WASMAA’NIDAAA-EE, WAS-TAJIB DUA’AAA-EE WA HAQQIQ BIFADHI’LIKA AMALEE WA RAJAA-EE.

Awatali kufuna buyitirivu bw’abukoowu wadde okwagala obujjanjabi mw’ebyo byonna byewatandika nabyo. Kyenva nkusaba owange ggwe nannyini kwetongola mukitiibwakyo n’okusigalawo, era n’okaka abaddubo nga balina okufa era baggweewo, obeere nga ossa ebyengera ku Nabbi Muhammadi ne kubantu be nnyumbaye abo aba kutya, era owulirize okukoowoola kwange gy’oli era oyanukule okusaba kwange ojjewo abalabe bange, era otuukirize ekigendererwa kyange n’okusuubira kwange  kulw’Ebirungi byo ebyensusso.


 

يا خَيْرَ مَنْ دُعِيَ لِكَشْفُ الضُّرِّ وَالْمَأمُولِ في كُلِّ عُسْرٍ وَيُسْرٍ، بِكَ أنْزَلْتُ حاجَتِي فَلا تَرُدَّني مِنْ سَنِيِّ مَواهِبكَ خائِباً، يا كَريمُ يا كَريمُ يا كَريمُ بِرَحْمَتِكَ يا أَرْحَمَ الرّاحِمينَ، وَ صَلَّى اللهُ عَلى خَيْرِ خَلْقِهِ مُحَمَّدٍ وآلِهِ أجْمَعينَ.

YAA KHAYRA MAN DUE’EA LIKASH-FIZ’ZUR WAL-MA-MOOLI FEE KULLI U’S-RIWWA YUSR, BIK ANZAL-TU H’AAJATEE FALAA TARUDDANEE MIN SANEEYYEE MAWAAHIBIKA KHAAA-IBAA, YAA KAREEMU YAA KAREEMU YAA KAREEMU, BI-RAH’-MATIKA YAAA AR-H’AMAR-RAAH’IMEEN, WA S’ALLAALLAAHU A’LAA KHAYRI KHAL-QIHI MUHAMMADI WWA AA-LHEE AJ-MAE’EN.

Ai mukama katonda oyo asinga obulungi mw’abo bonna abasabibwa okujjawo okukosebwa era nga yasuubirwa mukujjawo obuzu bwonna, era gwe tusuubiramu obwangu bwonna, njolekezza obweetaavu bwabnge gy’oli tongoba kumulyango gw’ebyengera by’ogaba nenviiramu awo busa, Ai katonda oweekitiibwa. Ai katonda oweekitiibwa, Ai katonda oweekitiibwa, kulw’okusaasirakwo Ggwe omusaasizi asinga abasaasizi bonna, era nkusaba osse ebyenge ra kw’oyo asinga obulungi mubitonde byo Nabbi Muhammadi nekubantu bennyumbaye bonna.


 

BWAMALA ALINA OKUVUNNAMA KUTTAKA NGA ASOMA EBIGAMBO BINO :

ثم اسجد وقل

إلهي قَلْبي مَحْجُوبٌ، وَنَفْسي مَعْيُوبٌ، وَعَقْلي مَغْلُوبٌ، وَهَوآئي غالِبٌ، وَطاعَتي قَليلٌ، وَمَعْصِيَتي كَثيرٌ، وَلِساني مُقِرٌّ بِالذُنُوبِ، فَكَيْفَ حيلَتي يا سَتّارَ العُيُوبِ، وَ يا عَلاّمَ الغُيُوبِ وَ يا كاشِفَ الكُرُوبِ.

ILAHEE QAL-BEE MAH’JOOB, WA NAF-SEE MAA’-YOOB, WA A’Q-LEE MAGH-LOOB, WA HAWAAA-EE GHAALIB, WA TWAAA’TEE QALEEL, WA MAA’-SI-YATEE KATHEER, WA LISAANEE MUQURRUM-BIDHUNOOB, FAKAYFA H’EELATEE YA SATTAARAL-U’YOOB, WA YAA A’LLAMAL-GHUYOOB YAA KAASHIFAL-QUROOB.

Ai katonda wange, omutima gwange guliko ejjiji era guli mubufunda, n’omwooyo gwange gujjudde bumogo, n’amagezi gange galemeereddwa negawangulwa, obubuze bwange n’obujeemu bimpangudde, okukwesinza kwange kutono era kukendeevu, okujjema kwange kuyitiridde, n’olulimi lwange lumanyi ebyonoono byange, kati nkoze ntya okubivaamu, katonda Ggwe mubikkirizi w’obumogo, katonda wange Ggwe mu manyi asinga okumanya ebyo ebitalabika ebyeekweese. Katonda wange gwe nannyini kujjawo bizibu ne Nnaku.


 

إغْفِرْ ذُنُوبي كُلَّها بِحُرْمَةِ مُحَمَّدٍ وآلِ مُحَمَّدٍ، يا غَفّارُ يا غَفّارُ يا غَفّارُ، بِرَحْمَتِكَ يا أرْحَمَ الرّاحِمينَ.

 

IGHI-FIR DHUNOOB KULLAHAA BIH’URUMATI MUHAMMADI YAA GHAFFAARU YAA GHAFFAARU YAA GHAFFAARU BI-R’AH’-MATIKA YAAA AR-H’AMAR-RAAH’IMEEN.

 

Nkusaba kulw’ekitiibwa kya Nnabbi Muhammadi n’abantu ba Muhammadi obeere nga onsonyiwe ebyonoono byonna. Ai . katonda Ggwe kusonyiwa kweereere! Ai katonda gwe kusonyiwa kwereere! Ggwe kusonyiwa kwereere! Kulw’okusaasirakwo ye owange ggwe omusaasizi asinga abasaasizi bonna.

Index