دعاء كميل
DUA’AA’U KUMAYL
بِسمِ اللهِ الرّحمنِ الرَّحيمِ
اَلَلَهُمَّ إِنِّي أَْسأََلُكَ بِرَحمَتِكَ الّتي وَسِعَتْ كُلَّ شَيءٍ ، وَبِقُوَّتِكَ الَّتي قَهَرتَ بِها كُلَّ شيءٍ، وَخَضَعَ لَها كُلُّ شيءٍ
ALLAHUMA IN-NEE AS-ALUKA BI-RAH’-MATIKAL-LATEE WASIAT KUL-LAA SHAY, WABI-QOO-WATIKAL-LATEE QAHARTA BIHAA KULLAA SHAY, WA-KHAZ”AA” LAHAA KULLU SHAY,
MULINNYA LYA KATONDA OMUSAASIZI ENNYO OWEKISA EKINGI
Ai mukama katonda mazima nkusaba kulw’okusaasirakwo okw’a buna buli kintu kyonna, Era nkusaba kulwa maanyigo ago gewakaka nago buli kintu, Era n’ogonza nago buli kintu kyonna
وَذّلَّ لَها كُلُّ شيءٍ، وَبِجَبَروتِكَ الَّتي غَلَبتَ بِها كُلَّ شيءٍ، وَبِعزَّتِكَ الَّتي لا يَقُومُ لَها شيءٌ، وَبِعَظَمَتِكَ الّتي مَلأتْ كُلَّ شيءٍ وَبِسُلطانِكَ الّذي عَلا كُلَّ شيءٍ،
WA D’AL-LAA LAHAA KUL-LU SHAY. WA BI-JABAROOTIKAL-LATEE GHALAB-TA BIHAA KUL-LAA SHAY, WABI I’Z-ZATIKALLATEE LAA YAQOOMU LAHAA SHAY, WA BI-A’Z’AMATIKAL LATEE MALA-AT KUL-LAA SHAY, WA BISUL-TAANIKAL-LAD’EE A’LAA KUL-LAA SHAY,
Era n’okkakkanya nago buli kintu kyonna, Era nkusaba kulw’o buyinzabwo n’amaanyigo ago ge wawanguzisa nago buli kintu, Nekulw’e kitiibwa kyo ekyo ekitalina kintu kyonna kikyennganga. Era nkusaba kulw’obugulumivuubwo obwo obwajjula buli kintu kyonna.
وَبِوَجهِكَ الباقي بَعدَ فَناء كُلِّي شيءٍ، وَبِأسمائِكَ الَّتيي مَلأَتْ أركانَ كُلِّ شيءٍ،وبِعلمِكَ الَّذي أحاطَ بِكُلِّ شَيءٍ، وَ بِنُورِ وَجهِكَ الَّذي أضاءَ لَهُ كُلُّ شَيءٍ،يا نُورُ يا قدّوس،يا أوَّلَ الأوَّلينَ و يا آخِرَ الآخَرينَ
WABIWAJHIKAL-BAQEE BAA’-DA FANAA-I KUL-LI SHAY, WA BI-AS-MAAA-IKAL-LATEE MALAT AR-KAANA KUL-LI SHAY, WA BI-I’L-MIKAL-LAD’EE AH’AATA BIKUL-LI SHAY. WA BI-NOOR WAJ –HIKALLAZEE AZ’’AA-A LAHU KULLU SHAY, YAA NOORU YAA QUDDOOS YAA AW-WALAL AWWALEEN WA YAA AA-KHIRAL–AAA-KHIREEN.
Era nkusaba kulw’obwennyini bwo obw’okusiga lawo oluvannyuma lwo kuggwaawo kwa buli kintu kyonna. Era nkusa ba kulwa mannyago ago agaawanirira Buli musinji gw’ekiriwo kyonna. Era nkusaba kulw’okumanyakwo okwo okweetooloolera kubuli kintu kyonna. Ne kulw’ ekitangaala ekya maanyi go ekyo ekyayakaayakanira buli kintu kyonna. Oh. Kitangaala oh. Owange ggwe eyatukula, y’owange ggwe eyasooka okubaawo kwa buli kintu ekyasookawo, era owange ggwe owenkomerero mubenkomerero,
اللّهُمَّ اغْفِرلِيَ الذُّنُوبَ الّتي تَهتِكَ العِصَمَ. اللّهُمَّ اغْفِرلِيَ الذُّنوبَ الَّتي تُنزِلُ النِّقَمَ. اللَّهُمَّ اغْفِر لِيَ الذُّنوبَ الَّتي تُغَيِّرُ النِّعَمَ اللَّهُمَّ اغْفِر لِيَ الذُّنوبَ الَّتي تَحبِسُ الدُّعاءَ.
ALLAHUMMA-IGH-FIR LIYA D’-D’UNOOBAL-LATEE TAH-TIKUL-I’S’AM ALLAHUMMA IGH-FIR LIYAD’-D’UNOOBAL-LATEE TUNZILU-NIQAM ALLAHUMMA IGH-FIR LIYAD’-D’UNOOBAL-LATEE TUGH Y-YIRUL-NNIA’M ALLAHUMMA IGH-FIR LIYAD’-D’UNOOBAL-LATEE TAH’-BISU DDUA’AAA.
Ai mukama katonda nkusaba onsonyiwe ebyo noono ebyo ebijjawo okukuumibwa kwange mukulema okkola ebibi, Ai mukama katonda nkusaba onsonyiwe eby’onoono ebyo ebissa obusuungubwo, Ai mukama katonda nkusaba onsonyiwe ebyonoono ebyo ebikyuusa ebyenge ra byo, Ai mukama katonda nkusaba onsonyiwe ebyonoono ebyo ebiziyiza okwanukula okusaba kwange,
اللَّهُمَّ اغْفِر لِيَ الذُّنوبَ الَّتي تُنزِلُ البَلآءَ، اللَّهُمَّ اغْفِر لِيَ الذُّنوبَ الَّتي تَقطَعُ الرَّجاءَ، اللَّهُمَّ اغْفِر لِيَ كُلَّ ذَنْبٍ أذْنَبْتُهُ، وَكُلَّ خَطيئَةٍ أخْطَأتُها. اللَّهُمّ إِنّي أَتَقَّرَّبُ إلَيكَ بِذِكرِكَ،
ALLAHHUMMA IGH-FIR LIYAD’-D’UNOOBA LLATEE TAQ-TAU’RRAJAAA, ALLAHUMMA IGH-FIR LIYAD’D’UNOOBA LLATEE TUNZILUL-BALAAA, ALLAHUMMA IGH-FIR LIYA KULLA D’AMBIN AD’NABTUHU, WA KULLA KHAT’EEATIN AKH-T’ATUHAA. ALLAHUMMA INNEE ATAQARRABU ILAYKA BID’IK-RRIK.
Ai mukama katonda nkusaba onsonyiwe ebyonoono ebyo ebijjawo okusuubira kwange muggwe Ai mukama katonda, nkusaba onsonyiwe eby’onoono ebyo ebissa obubenje okuva gyooli, Ai mukama katonda nkusaba onsonyiwe buli ky’onoono kyonna kye Nnasobya, era nkusaba onsonyiwe buli nsobi yonna gye nnasobya. Ai mukama katonda mazima nze nsembera gy’oli nakukwoogerako.
وَأَسْتَشْفِعُ بِكَ إلى نَفْسِكَ، وَأَسْأَلُكَ بِجودِكَ أَنْ تُدْنِيَني مِنْ قُربِكَ، وَأَنْ تُوزِعَني شُكْرَكَ، وَأنْ تُلْهِمَني ذِكْرَكَ. اللَّهُمَّ إنِّي أسْأَلُكَ سُؤالَ خاضِعٍ مُتَذَلِلٍ خاشِعٍ، أن تُسامِحَني وَتَرحَمَني،
WA AS-TASH-FIU’BIKA ILAA NAF-SIK, WA-AS-ALUKA BI-JOODIKA AN TUD-NIYANEE MIN QUR-BIK WA AN TOOZIA’NEE SHUK-RAK, ALLAHUUMMA INNEE AS-ALUKA SUAALA KHAAZ II’ MMUTAD’ALLILIN KHAASHII’N AN TUSAA MIH’ANEE WA TAR-H’AMANEE
Era nsaba okuwolerezebwa n’awe eri ggwe mwennyini, Era nkusaba ggwe katonda kulw’okugabakwo onsembeze kumpi naawe, Era ongabire okukweebaza, Era ongabire onjigirize okubeera nga nkujjukira era nga nkw’ogerako, Ai katonda mazima nze nkusababa olusaba lwoomuntu omugonvu eyeekkakkanya omutyaawo obeere nga onsonyiwa era onsaasire.
وَتَجْعَلَني بِقِسْمِكَ راضِياً قانِعاً، وفي جَميعِ الأحْوالِ متواضِعاً. اللَّهُمَّ وَأسألُكَ سُؤالَ مَنْ اشْتَدَّت فاقَتهُ، وَأَنْزَلَ بِكَ عِنْدَ الشَدائِدِ حاجَتَهُ، وَعَظُمَ فيما عِنْدَكَ رَغْبَتُهُ. اللَّهُمَّ عَظُمَ سُلطانُكَ، وَعَلا مَكانُكَ،
WATAJ- A’LANEE BIQISIMIKA RAAZ’IYAN QAANI-A’AW WAFEE JAMEEI’L-AH’WAALI MUTAWAAZIA’AA ALLAHUMMA WA AS-ALUKA SUAALA MANI SHITADDAT FAAQATUH WA ANZALA BIKA I’NDASH-SHADAAAA-IDE H’AAJATAHU, WA A’Z’UMA FEEMAA I’NDAKA RAGH-BATUHU.ALLAHUMMA A’Z’UMA SUL-TAANUKA WA A’LAA MAKAANUKA,
Era nkusaba onfuule nga ndimusiimu mumativu, (ku kyooba ongabidde) era mbeere mweewombeefu mumbeera zonna. Ai katonda era nkusaba okusaba kw’omuntu oyo obunaku gwe buyititiddeko, Najja gyooli mubuyitirivu bwookweetaagaakwe nga ebyeetaago bimuyitiriddeko. Era okw’agala kwe nekuyitirira (Mweebyo) kweebyo byoolina. Ai mukama bwaagulumira obufuzi bwo era neekifookyo kyaa waggulu,
وَخَفِيَ مَكْرُكَ وَظَهَرَ أمرُكَ، وَغَلَبَ قَهْرُكَ، وَجَرَتْ قُدْرَتُكَ، وَلا يُمْكِنُ الفِرارُ مِنْ حُكُومَتِكَ. اللَّهُمَّ لا أجِدُ لِذُنُوبي غافِرًا، ولا لِقَبائِحي ساتِراً ولا لِشيءٍ مِنْ عَمَلِيَ القَبيحِ بالحَسَنِ مُبَدِّلاً غَيْرُكَ،
WA KHAFIYA MAKRUKA WAZ’AHARA AM-RUK, WA GHALABA QAH-RUKA WA JARAT QUD-RATUK WA-LAA YUM-KINUL-FIRAARU MIN HUKOOMATIK, ALLAHUMMA LA AJIDU LID’UNOOBEE GHAFIRAA, WALAA LIQABAA-IH’EE SAATIRA, WALAA LISHAYIMMIN A’MALIYAL- QABEEH’I BIL H’ASANI MUBADDILAN GHAYRAK,
Enkweezo z’ekweeka okulagirakwo ne kweyoleka, Era oku kakakwo kwaa wangula, era nekukakata okugerakwo, Era tekisoboka ku dduka mubufuzibwo, Ai mukama katonda sirina ayinza kusonyiwa by’onoono byange, Era sirina muntu yenna ayinza kubikkirira bibi byange, era sirinaayo ayinza kukyuusa mumirimu gyange emibi
nampaamu emirungi okujjako ggwe katoda wange.
لا إلهَ إلاّ أنْتَ سُبْحانَكَ وَبِحَمدِكَ، ظَلَمْتُ نَفْسي، وَتَجَرَّأتُ بِجَهلي، وَسَكَنْتُ إلى قَديمِ ذِكرِكَ لِي وَمَنِّكَ عَلَيَّ. اللَّهُمَّ مَوْلايَ كَمْ مِن قَبيحٍ سَتَرتَهُ، وَ كَمْ مِنَ فادِحٍ مِنَ البَلاءِ أقلْتَهُ
LAAA ILAAHA IL-LAA ANTA, SUB-H’AAANAKA WABIH’AMDIKA, Z’ALAMTU NAF-SEE WA TAJARRATU BIJAHALEE, WA SAKAN-TU ILAA QADEEMI D’IK-RIKA LEE WA MAN-NIKA A’LAY, ALLAHUMMA MAW-LAAY KAM-MIN QABEEH’IN SATARTAH WA KAMUMIN FAADIH’MMINAL-BALAAA-E AQAL-TAH
Tewali katoda yenna okujjako ggwe mukama otenderezebwa, mukama katonda era naamatendogo, era ndyaazaamaa nyizza omwoyo gwange, Era nakulembeza obutamanya bwange, N’esigamira kukujjukira okwedda n’okugabakwo kwewangabira, Ai katonda mukama wange, Ebibi bimeka byombikkiridde, Era obubenje bumeka obuzibu atenga buyitirivu bwokendeezezza,
وَكَمْ مِنْ عِثارٍ وَقَيْتَهُ، وَكَم مِنْ مَكْروهٍ دَفَعْتَهُ، وَكَمْ مِنْ ثَناءٍ جَميلٍ لَسْتُ أهْلاً لَهُ نَشَرتَهُ. اللَّهُمَّ عَظُمَ بَلائي، وَأفْرَطَ بي سُوءُ حالي، وَقَصُرتْ بِي أعْمالي، وَقَعَدتْ بي أغْلالِي،
WA KAM-MIN I’THAARI WWA QAYTAH WA KAM-MIN-MAK-ROOHIN DAFAA’-TAH, WA KAM-MIN THANAA-IN JAMEE LILLASTU AH-LAALLAHU NASHAR-TAH. ALLAHUMMA AZ’UMA BALAAA-EE WA-AF-RAT’A BEE SOO-U HAALEE WA QAS’URAT BEE AA’MAALEE WA QAA’DAT BEE AGH-LAA-LEE
Era buzibuki obukosa bw’onkingirizza, Era bimeka mubyeetamibwa byewajjawo, Era bimeka mu birungi ebitenderezebwa byewasaasaanya nga ate siri nze abisaanira. Ai mukama katonda bizitoye ebikemo byange, Era embeera y’ange empitiriddeko okubeera embi, Nenneetuumako ebikoligo byange,
وَحَبَسني عَنْ نَفْعي بُعْدُ أمَلي، وَخَدَعَتْني الدُّنيا بِغُرورِها، وَنَفْسي بِجِنايَتَها، وَمِطَالِي، يا سيِّدي فَأسألُكَ بِعِزَّّتِكَ أن لا يَحجُبَ عَنْكَ دُعائِي سُوءُ عَمَلي وَفعالِي،
WA H’ABASANEE A’NNAFE-E BUA’DU AAA-MAALEE, WA KHADAA’T-NIDDUNIYAA BIGHUROORI-HAA WA NAF-SEE BIJNAAYATIHAA WA MIT’AA LEE YAA SAYYIDEE FA-AS-ALUKA BI I’ZZATIKA AN LAA YAH’-JUBA A’N-KA DUA’AA-EE SOOO-U A’MALEE WA FIA’A-LEE.
obuwanvu bw’omululu gwange bunzije kukugasibwa n’ebyo ebirimu omu gaso gwange, Ensi nenseemya seemya neebigayaaza by’ayo n’omutima gwange nagwo gumbuzabuzizza n’ebyoonoono by’agwo n’obugayaavu bwange, ssebo mukama wange kyenva nkusaba kulweekitiibwa kyo: Emirimu gyange emibi neebikolwa byange ebibi bireme kuteekawo jjiji lizibiikiriza kusaba kwange gy’oli.
وَلا تَفْضَحني بِخفيِّ ما اطَّلَعْتَ عَلَيهِ مِن سِرِّي، ولا تُعاجِلْني بالعُقُوبَةِ على ما عَمِلتُهُ في خَلَواتي مِن سُوءِ فِعْلِي وإساءتي، ودَوامِ تَفْريطِي وَجهالَتي، وَكَثْرةِ شَهَواتي وَغَفْلَتي،
WA-LAA TAF-DHAH-NEE BI-KHAFEEYYI MAATTA LAA’-TA A’IL AYHI MIN SIRREE, WALAA TUA’AJIL-NEE BIL-U’QOOBATI A’LAA MAA A’MIL TUHU FEE KHALAWAATEE MIN SOOO-I FIA’-LEE WA ISAAA-ATEE WA DAWAAMI TAF-REET’EE WA JAHAALATEE WA KATH-RATI SHAHAWAATEE WA GHAFLATEE
Tonswaaza neekyo ekyeekweese mu kyaama kyange nga okitegeedde. Era nkusaba oleme kwanguyiriza kumbonereza kulweebyo byennakola munkweeko ngabibi, mu Bikolwa byange n’okusobya kwange n’okuyitiriza kwange okwo lubeerera n’obutamanya bwange n’obuyitirivu bw’obwaagazi bwange N’obugayaavu bwange.
وَكُنْ اللَّهُمَّ بِعِزَّتِكَ لِي في كُلِّ الأحْوالِ رَؤوفاً، وَ عَليَّ في جَميعِ الأمُورِ عَطُوفاً. إلهي وَرَبِّي مَنْ لِي غَيْرُكَ أسْألُهُ كَشفَ ضُرِّي، وَالنَّظَرَ في أمْري. إلهي وَمَولايَ أجْرَيتَ عَلَيَّ حُكْماً اتَّبَعْتُ فيه هَوى نَفْسي،
WA KUNILLAAHUMMA BI I’ZZATIKA LEE FEE KUL-LIL-AH’WAALI RAOOFAA WA A’LAYYA FEE JAMEEI’L-UMOOREE A’TOOFAA ILAHEE WA RABBEE MALLEE GHAYRUKA ASALUHU KASH-FA Z’URREE WANNAZ’ARA FEE AMREE, ILAHEE WA MAW-LAYA AJ-RAYTA A’LAYYA H’UKMANTTABAA’-TU FEEHI HAWAA NAF-SEE
Ai mukama katonda wange nkusaba kulw’Ekitiibwa kyo obeere mukwaata mpola kunze mumbeera zonna Era obeere nga onnumirw’ako mungeri zonna katonda wange era omulezi wange ani gwennina omulala atali ggwe? Gwe nnyinza okusaba okujjawo okukosebwa kwange n’okutunula mu nsonga zange! Katonda wange era mukama wange ankuuma onsalidde omusango kulweteeka lyennagoberera mulyo okwagala kwo mwoyo gwange.
وَلَمْ أحْتَرِس فِيهِ مِنْ تَزيينِ عَدُوّي، فَغَرَّني بِما أهْوى وَأسْعَدَهُ على ذلِكَ القَضاءُ، فَتَجَاوَزْتُ بِما جَرى عَلَيَّ مِن ذلِك بَعْضَ حُدودِكَ، وَخالَفْتُ بَعْضَ أوامِرِكَ، فَلَكَ الحُجَّةُ عَلَيَّ في جَميعِ ذلِكَ
WALAM AH’-TARIS FEEHI MIN TAZYEEN A’DOO-WEE. FA GHARRANEE BIMAA AHWAA WA AS-A’DAHU A’LAA Z’AA-LIKAL- QAZ’AAA FA-TAJAA-WAZTU BI-MAA JARAA A’LAYYA MIN D’AALIKA BAA’-ZA HUDOODIK, WA KHAALAF-TU BAA’-Z’A AWAAMIRIKA FALAKAL-HUJJATU A’LAYYA FEE JAMEE I’D’AA-LIKA
Era nembeera nga s’asobola kweekuumira mulyo kuva kukwewunda kwa mulabe wange Nandagajjaza n’ekyo omwoyo gwe kye gwagala nkole nenfuuka ali wansi w’okulamula kwe, Nembeera nga nabuuka ebimu ku bikomo byo kulw’ebyo ebyantuukako mu kuseeme bwa n’okulimbibwa. Nembeera nga nayawukana neebimu kubiragirobyo Ai katonda olina obukakafu kunze mubintu ebyo byonna
وَلا حُجَّةَ لي فيما جَرى عَلَيَّ فِيهِ قَضاؤُكَ، وَألْزَمَني حُكْمُكَ وَبَلاؤُكَ. وَ قَدْ أتَيْتُكَ يا إلهي بَعْدَ تَقْصيري وَإسْرافِي على نَفْسي، مُعْتَذِراً نادِمًا، مُنْكَسِرًا مُسْتَقيلاً
WA LAA H’UJJATA LEE FEEMA JARAA A’LAYYA FEEHI QAZ’AAA-UKA WA ALZAMANEE HUKMUKA WA BALAA-UK.WA QAD ATAYTUKA YAA ILAHEE BAA’-DA TAQ-S’EEREE WA IS-RAAFEE A’LAA NAF-SEE MUA’-TAD’IRAN-NAADIMAN MUN-KASIRAAM-MUSTAQEELA
katonda wange nze sirina nsonga gyeneekwasa mweebyo ebyantuukako nga mulimu okulamula kwo, era nekunkukakatako okulamulakwo n’okugezesebwa okuvagyooli. Mukama katonda wange mazima nzize gy’oli oluvannyuma lw’obukendeevu bwange, n’okudiibuuda kwange. Kunze mwennyini, Nga n’etonda era nga nejjusa n’emenya era sikyaddamu kusobya,
مُسْتَغْفِرًا مُنيبًا، مُقِرَّاً مُذْعِناً مُعْتَرِفاً، لا أجدُ مَفرًّاً مِمّا كانَ مِنِّي ولا مَفْزَعاً أتَوَجَّهُ إلَيهِ في أمْري، غَيْرَ قُبُولِكَ عُذْري، وإدْخالِكَ إيَّايَ في سَعَةِ مِنْ رَحْمَتِكَ.
MUS-TAGHFIRAAM-MU NEEBA M-MUQIRRAM-MUD’I’NAAM-MUA’-TARIFA LAA AJIDU MAFA R-RAM MIM-MAA KAANA MIN-NEE WA-LA MAFZAA’AAN ATAWAJ-JAHU ILAYHI FEE AMREE GHAYRA QABOOLIKA U’D’REE WA ID-KHAALIKA EE-YAYA FEE SAA’TIMMIR-RAH’-MATIK,
Nga nsaba okusonyiwibwa nenenyezza era sikyaddamu kusobya, nga nsaba okusonyiwibwa nenenyezza era nzikirizza ensobi yange neemenye era neetegeddde ebisobyo byange, sirina buddiro kuva mweekyo ekiba kinvuddemu. Sirina kifo gyennyinza kudda. Munsonga zange okujjako okukkiriza okwenenya kwange n’obeera nti onnyingiza mu kusaasira kwo okugazi.
اللَّهُمَّ فَاقْبَلْ عُذْري، وَارْحَمْ شِدَّةَ ضُرّي، وَفُكَّني مِنْ شَدَّ وَثاقِي. يا رَبِّ ارْحَمْ ضَعْفَ بَدَني، وَرِقَّةَ جِلْدِي، وَدِقَّةَ عَظْمِي يا مَنْ بَدَأَ خَلْقِي وَذِكْرِي وَتَرْبِيِتي وِبِرِّي وِتِغْذِيَتي
ALLAHUMMA FAQ-BAL U’D’REE WAR-H’AM SHID-DATA Z’UREE WA FUK-KANEE MIN SHAD-DI WATHAAQEE YAA RAB-BIR-H’AM Z’AA’FA BADA NEE WA RIQ-QATA JIL-DEE WA DIQ-QATA A’Z’MEE YAA MAN BADAA KHALQEE WA D’IK-REE WA TAR-BI-YATEE WA BIREE WA TAGH-D’I-YATEE.
Ai mukama katonda nkusaba okkirize okwetonda kwange era osaasire obuyitirivu bw’okukosebwa kwange. Era nkusaba onsimulule onzije mubunnyike bwendimu, Allah nkusaba osaasire obunafu bw’omubiri gwange n’obugonvu bweddiba lyange, n’obumenyefu bwa magumba gange, y’owange ggwe owatandikawo okutondebwa kwange n’okwogerebwaako kwange, n’okulerebwa kwange n’obulunji bwange n’okuliisibwa kwange.
هَبْني لإِبْتداءِ كَرَمِكَ وَسالِفِ بِرِّكَ بِي، يا إلهي وَسَيِّدي وَرَبِّي، أتُراكَ مُعَذِّبي بِنارِكَ بَعُدَ تَوْحيدِكَ، وَ بَعْدَ ما انْطَوى عَلَيهِ قَلُبي مَنْ مَعُرِفَتِكَ، وَلَهِجَ بِهِ لِسانِي مِنْ ذِكُرِكَ، وَاعُتَقَدَهُ ضَمِيرِي مِنْ حُبِّكَ،
HAB-NEE LIB-TIDAA-I KARAMIKA WA SAALIFI BIRRIKA BEE, YAA ILAAHEE WA SAYYIDEE WA RABBEE, ATURAAKA MUA’D-D’IBEE BINAARIKA BAA’-DA TAW-H’EEDIK, WA BAA’-DA MAN-TAWAA A’LAYHI QAL-BEE MIMMAA’-RIFATIK, WA LAHIJA BIHI LISAANEE MIN D’IK-RIK, WA AA’-TAQADAHU Z’AMEEREE MIN H’UBBIK,
Ngabira kulwe byengeraabyo byewangabira okuva muntandikwa n’obulunji bwewasooka okunteekamu, mukama katonda wange era owekitiibwa era omulabirizi wange, nkulaba oyagala kumbonereza n’omuliro gwo oluvannyuma lw’okukwawula, Era oluvannyuma lw’ebyo. Ebyazingibwaako n’omutima gwange mukukumanya, olulimi lwange nerwatuza nga lukwogerako nabyo, Ebirow’ozo byange nabyo nebikakasa kulwokukwagala,
وَبَعْدَ صِدْقَ اعْتِرافِي وَدُعائِي خاضِعاً لِرُبُوبِيَّتِكَ. هَيْهات أنْتَ أكْرَمُ مِنْ أنْ تُضَيِّعَ مَنْ رَبَّيْتَهُ، أو تُبَعِّدَ مَنْ أدْنَيْتَهُ، أو تُشُرِّدَ مَنْ آوَيْتَهُ، أو تُسَلِّمَ إلى البَلاءِ مَنْ كَفَيتَهُ وَرَحِمْتَهُ،
WA’BAA’-DA S’ID-QI-A’-ITIRAAFEE WA DUA’AA-EE KHAAZ’IA AAL-LIRUBOOBEE-YATIKA HAYHAATA ANTA AK-RAMU MIN-AN TUZ’AYYIA’ MARRABBAYTAH, AW TUB-I’DA MAN ADNAYTAH, AW TUSHARRIDA MAN AA-WAYTAH, AW TUSAL-LIMA ILAAL-BALAA-I MAN KAFAYTAHU WA RAH’IM-TAH,
era oluvannyuma lw’okukakasa okumanya kwange n’okusaba kwange nga ndi mugonvu kulw’obulezibwo, Tekisoboka okubanti gwe mugabi asinga abagabi okumuwaayo agende mukugezesebwa omuntu gweweyimirira era n’omusaasira,
وَلَيْتَ شِعْري يا سَيِّدي وإلهي ومَولايَ، أتُسَلِّطُ النارَ على وُجُوهٍ خَرَّتْ لِعَظَمَتِكَ ساجِدَةً، وعلى ألْسٌنٍ نَطَقَتْ بِتَوحِيدِكَ صادِقَةً، و بِشُكْرِكَ مادِحَةً، وعلى قُلُوبٍ اعْتَرَفَتْ بإلهِيَّتِكَ مُحَقَّقَةً،
WA LAYTA SHIA’-REE YAA SAYYIDEE WA ILAHEE WA MAWULAAY, ATUSALLIT’UNNARA A’LAA WUJOOHIN KHARRAT LI-A’Z’AMATIKA SAJIDAH, WA A’LAA AL-SUNIN NAT’QAT BITAW-H’EEDIKA S’AADIQATA W-WA BISHUKRIKA MAADIH’AH. WA A’LAA QULOOBI N-A’-TARAFAT BI-ILAHEE-YATIKA MUHAQ-QIQAH
yee abange singa nakimanyako, sebo mukama wange era katonda wange era mukuumi wange. Butya bw’ogenda okwokya ebyeenyi ebyaggweera mukukugulumiza nga bikwesinza. Era oteeke omuliro kunnimi ezayatuzanga amazima kulw’okukwawula era nga zikweebaza Nakukutenda. Nekumitima egyategeera obwa katonda bwo era negibukakasa,
وعلى ضَمائِرَ حَوَتْ مِنَ العِلْمِ بكَ حَتّى صارَتْ خاشِعَةً، وعلى جَوارِحَ سَعَتْ إلى أوطانِ تَعَبُّدِكَ طائِعَةً، وَأشارَت بِإسْتِغْفارِكَ مُذْعِنَةً، ما هكَذا الظُنُّ بِكَ، ولا أُخْبِرْنا بِفَضْلِكَ عَنْكَ يا كَريمُ،
WA A’LAA Z’AMAA-IRA H’AWAT MINAL-I’L-MI BIKA H’ATTAA S’AARAT KHAA SHIA’AH, WA A’LAA JAWARIH’A SAA’T ILAAA AW-TAANI TAA’BBUDIKA TAAA-IA’TA WWA ASHAARAT BIS-TIGH-FAARIKA MUD’I’NAH, MAA HAKADHA AZ’Z’ANNU BIKA WALAA UKH-BIR-NAA BIFAZLIKA A’NKA, YAA KAREEMU
Ne mitima egya noonyereza ennyo okukumanya okutuusa bwe gyakutya, Ne biyungo by’omubiri ebyakola ennyo nga byangu yiriza eri ebifo by’okukweesinza nga bigonvu era nebikusa ba okubisonyiwa nga byonna bigonvu. Nedda nedda bwekityo sibwekikulow-ozebwaamu era tetw’abuulirwa nsong eyo kuva kuggwe kulwoobulunjibwo, owange oweekitiibwa era omulezi wange.
يا رَبِّ وأنْتَ تَعْلَمُ ضَعْفي عَن قَليلٍ مِن بَلاءِ الدُّنْيا وَعُقُوباتِها، وما يَجْري فيها مِنَ المَكارِهِ على أهْلِها، على أنَّ ذلِك بَلاءٌ وَمَكرُوهٌ، قَليلٌ مَكْثُهُ، يَسيرٌ بَقاؤُهُ، قَصيرٌ مُدَّتُهُ،
YAA RAB WA ANTA TAA’-LAMU Z’AA’-FEE A’N QALEEL MMIN BALAA-IDDUNIYAA WA U’QOOBAA TIHAA, WA MAA YAJ-REE FEEHAA MINAL-MAKAARIHI A’LAA AH-LIHAA, A’LAAA ANNA DHAA-LIKA BALAA-U WWAMAK-ROOHUN, QALEELU MMAKTHUHU, YASEERUMBAQAA-UHU QASEERU MMUDDATUH,
Nga ate gw’omanyi obunafu bwange kububenje buno obwensi obutono n’Ebibonerezo byaayo, neebyo ebigwaawo muno munsi nga byetamibwa kubaanannyiinibyo, nga ate mazima obwo bubenje era bweetamibwa, okubeerawo kwaabwo kutano era bwangu bwakusigalawo kwaabwo ebbanga Lyabwo limpi.
فَكَيفَ احتِمالِي لِبَلاءِ الآخِرَةِ وَجَليلِ وُقُوعِ المَكارِهِ فيها! وَهُوَ بَلاءٌ تَطُولُ مُدَّتُهُ، وَ يَدومُ مَقامُهُ، وَلا يُخفَّفُ عَن أهلِهِ، لأنَّهُ لا يَكُونُ إلاّ عَنْ غَضَبِكَ وَانْتِقامِكَ وَسَخَطِكَ،
FAKAYFAH’-TIMAALEE LIBALAA-IL-AKHIRATI WA JALEELI WUQOOI’L MAKAARIHI FEEHAA! WA HUWA BALAA-UNTATOOLU MUDDATUHU. WA YADOOMU MAQAAMUHU WALAA YUKHAFFAFU A’N AH-LIH LI-ANNAHU LAA YAKOONU ILLAA A’N GHAZ’ABIK WAN-TIQAAMIKA WASAKHATIKA
Ngeriki jennyinza okugumiikiriza eri ebibonerezo byenkomerero n’obunene bwebyeetamibwa mulunaku olwo. Nga ate nabyo bibonerezo, bigenda kumalira ddala ebbanga ggwanvu. Era n’ekifo kyabyo kyaakugenderera, era tebigenda kukendeezebwa kubanannyinibyo, kuba mazima ebibonerezo ebyo sibya kubatuusibwaako okujjako nga biva kubusunngu bwo nakukanngavvulaakwo era nabusungu bwo,
وهذا ما لا تَقُومُ لَهُ السَمواتُ والأرضُ، يا سَيِّدي فَكَيفَ بِي وأنا عَبْدُكَ الضَّعيفُ الذَّليلُ، الحَقيرُ، المسِكِينُ المُستَكينُ، يا إلهي وَرَبِّي و سَيِّدي وَمَولايَ، لأيِّ الأمُورِ إلَيْكَ أشْكُو
WA HADHAA MAA LAA TAQOOMU LAHU SSAMAAWAATU WAL-AR’ZU. YAA-SAYYIDEE FAKAYFA BEE WA ANA A’ABUDUKA Z’ZAEEFU D’D’ALEELUL H’AQEERUL- MIS-KEENUL MUS-TAKEEN, YAAA ILAHEE WA RABBEE WA SAYYIDEE WA MAW-LAAY, LI-AYYIL-UMOORI ILAYKA ASH-KOO,
Neebyo amagulu omusavvu nensi tebisobola kubigumira, Ai mukama wange katonda kati kirikitya kunze nga ate nze mudduwo omunafu omukkakkamu anyoomebwa omunaku masikiini atalina kaalina asaba obusabi okubeesebwaawo. Oh! Katonda wange mulezi wange mukama wange era omukuumi wange, mukama wange kbintuki kyemba nkubirako omulanga.
ولِما مِنْها أضِجُّ وَأبْكي، لألِيمِ العَذابِ وشِدَّتِهِ! أمْ لِطُولِ البَلاءِ ومُدَّتِهِ! فَلَئِنْ صَيَّرتَني لِلْعُقوباتِ مَعَ أعْداءِكَ وَجَمَعْتَ بَينِي وَ بَينَ أهْلِ بَلائِكَ. وَفَرَّقْتَ بينِي وَبَينَ أحِبَّائِكَ وأوْلِيائِكَ.
WA LIMAA MINHAA AZ’UJJU WA AB-KEE, LI-ALEEMIL-A’D’AABI WA SHIDDATIH AM-LI-TUULIL-BALAA-I WA MUDDATIHI FALA-IN S’AYYARTANEE LIL-U’QOOBAATI MAA’ AA’-DAAA-IK WAJAMAA’TA BAYNEE WA BAYNA AALI BALAA-IK, WAFARRAQ-TA BAYNEE WA BAY-NA AH’IBAAA-IKA WA AW-LI-YAAA-IK.
Kulwa bulumi bwa bibonerezo n’obuyitirivu bwaabyo? Oba kulwa buwanvu bwa bubenje nebbanga lyaabwo! Bw’onaba nga ompaddeyo eri okubonerezebwa naabalabe eri ebibonerezo Era n’ogatta wakati wange ne wakati waabo bewatuusaako obubenje bwo. Era n’oyawukanya wakati wange ne wakati waaba galwaabo neemikwano gyo.
فَهَبْني يا إلهي وسَيِّدي وَمولاي وَرَبِّي، صَبَرتُ على عَذابِكَ، فَكَيفَ أصْبِرُ على فِراقِكَ، وَهَبْني صَبَرْتُ على حَرِّ نارِكَ فَكَيفَ أصْبِرُ عَنِ النَّظَرِ إلى كَرامَتِكَ؟ أمْ كَيفَ أسْكُنُ في النّارِ وَرَجائِي عَفْوُكَ؟
FAHAB-NEE YAA ILAHEE WASAYYIDEE WA MAWLAAYA WA RABBEE SWABAR-TU A’LAA A’D’HAABIKA, FAKAYFA AS’-BIRU A’LAAFIRAAQIKA WA HAB-NEE SWABARTU A’LAA HARRI NAARIKA FAKAIFA AS’-BIRU A’N-NAZ’ARI ILAA KARAAMATIK, AM KAYFA AS-KUNU FINNAARI WA RAJAA-EE A’F-WUK.
Katonda wange, mukama wange, omukuumi wange, era omulezi wange ngumikkirizza ebibonyobonyo byo, naye ate ngeriki gyeenagumi kkiriza ku kwawukana naawe? Era nkusaba ongabire obugumikiriza ngumiikkirizza kukwo’okya kw’omuliro gwo. Naye ate ngeriki gyeenagumikkiriza obutalaba kubyaamagero byo neebyengera byo, oba Nnabeera ntya mumuliro nga ate essuubi Lyange kusonyiwaakwo.
فَبِعزَّتِكَ يا سَيِّدي وَمَولاي أقْسِمُ صادِقاً، لَئِنْ تَرَكْتَني ناطِقاً لأضِجَّنَّ إلَيكَ بَينَ أهْلِها ضَجيجَ الآمِلينَ ولأصْرَخَنَّ إلَيكَ صُراخَ المُسْتَصْرِخينَ، ولأبْكِينَّ عَلَيكَ بُكاءَ الفاقِدينَ،
FABI-IZZATIKA YAA SAYYIDEE WA MAWULAYA UQSIMU S’AADIQA LA-IN TARAK-TANEE NAAT’IQAN LA-AZ’IJJANNA ILAYKA BAYNA AH-LIHAA Z’AJEEJAL AMILEEN WA LAS’RUKHANNA ILAYKA S’URAAKHAL MUSTSS’-RIKHEEN-WA.LA-ABUKI-YANNA A’LAIKA BUQAA-AL FAAQ-DEEN,
Ndayira nga nkakasa ku lw’ekitiibwa kyo mukama wange era mukuumi wange, singa on’aba nga ondese nga nkyayatula ngenda kukubirraddala ekiwoobe n’omulanga gy’oli wakati mubantu b’omumuliro olukuba lw’abo abasuubira okutaasibwa n’okuyambibwa. Era ngenda kuleekaanira ddala oluleekaana lw’abo abaleekaana kulw’okuyambibwa, era ngenda kukukaabirira ddala olukaaba lw’abantu ababuliddwa omuyambi.
ولأُنادِيَنَّكَ أيْنَ كُنْتَ يا وَلِيَّ المُؤْمِنِينَ، ياغَايَةَ آمالِ العارِفينَ، يا غِياثُ المُسْتَغيثينَ، يا حَبيبَ قُلُوب الصَّادِقينَ، ويا إلهَ العالَمين. أفَتُراكَ سُبْحَانَكَ يا إلهي وَبِحَمدِكَ،
WA LA-UNAADIYANNAKA AYNA KUNTA YAA WALEEYAL-MU-MINEEN, YAA GHAAYATA AAMAALIL A’ARIFEEN, YAA GHIYAATHAL MUS-TAGHEETHEEN YAA H’ABEEBA QULOOBIS’-SAADIQEEN, WA YAAA ILAAHAL A’ALAMEENA, AFATURAAKA SUBHANNAKA YAA ILAHEE, WABIHAM-DIKA
Era ngenda kukukoowoolera ddala, obadde oliwa owange omuyambi, era omwagalwa waabakkiriza, owange ggwe kigenddererwa ky’okusuubira kwa bamanyi owenge omutaasa waabo abasaba okuyambibwa, owange ggwe omwagalwa weemitima gya bogezi ba mazima era ggwe katonda we bitonde byonna mukubeerawo kwaabyo, kiyinzika owange ggwe eyayawukana n’Ebitode era katoda wange, amatendo gago,
تَسْمَعُ فيها صَوْتَ عَبْدٍ مُسْلِمٍ سُجِنَ فيها بمُخالَفَتِهِ، وذَاقَ طَعْمَ عَذابِها بِمَعْصِيَتِهِ، مَحُبِسَ بَينَ أطْباقِها بِجُرمِهِ وجَريرَتِهِ، و هُوَ يَضِجُّ إلَيكَ ضَجيجَ مُؤمِّلٍ لِرَحْمَتِكَ،
TAS-MAU FEEHAA S’AW-TA A’ABUD’M-MUSLIMIN SUJINA FEEHAA BIMUKHAALAFATIH WA Z’AAQA TAA’MA ADH’AABIHAA BI-MAA’-S-IYATIH WA H’UBISA BAYNA AT’-BAAQIHAA BIJUR-MIHI WA JAREERATIH WA HUWA YAZ’IJJU ILAYKA Z’AJEEJA MU AMMILLIRAH’-MAT-K
okubeera nti owulira eddoboozi ly’omuddu omusiram nga ali mumuliro ? nga asibiddwa mugwo kul wokwawukanaakwe kumateeka, naabeera nti akomba kubulumi bw’Ebibonerezo by’agwo kulw’obujeemubwe, naasibirwa wakati mumikko gyagwo kulw’obwonoonyibwe neebisobyobye. Nga ate naye akaaba nga akuba omulanga gyooli olukuba Lwaabo abasuubira okutaasibwa kulw’okusaasira kwo,
ويُناديكَ بِلِسانِ أهُلِ تَوحِيدِكَ وَيَتَوَسَّلُ إلَيْكَ بِرُبُوبِيَّتكَ؟ يا مَولاي فَكَيفَ يَبْقى في العَذابِ وَهُوَ يَرْجُو ما سَلَفَ مِنْ حِلْمِكَ؟ أمْ كَيْفَ تُوْلِمُهُ النَّارُ وَهُوَ يَأْمَلُ فَضْلَكَ وَرَحْمَتَكَ؟
WA YUNAADEEKA BI-LISAANI AHLI TAW-H’EEDIK? WA YATAWASSALU ILAYKA BI-RUBOOBEEYATIK? YAA MAWLAAY FAKAYFA YABQA FEEL-A’DHAABI WA HUWA YAR-JOO MAA SALAFA MIN H’IL-MIK? AM KAYFA TO-TULMUHU NNAARU WA HUWA YA-AMALU FAZ’LIKA WA RAH’-MATIKA?
era nga akukoowoola n’olulimi Lw’abanannyini kukwaawula nakukutongoza mu bumuubwo, era nga anoonya okuyambibwa gyooli kulw’obulezi bwo obwo bwa katonda bwo. Owange mukuumi wange ngeriki gyasigala mubibonerezo nga ate asuubira eby’ayita mu kisaa kyo. Oba ngeriki omuliro gye gunamulumi riza mukumwookya nga ate naye asuubira ebirunji byo n’okusaasira kwo.
أمْ كَيْفَ يُحْرِقُهُ لَهيبُها وأنْتَ تَسْمَعُ صَوْتَهُ وتَرى مَكانَهُ؟ أمْ كَيْفَ يَشْتَمِلُ عَليهِ زَفيرُها وأنْتَ تَعْلَمُ ضَعُفَهُ؟ أمْ كَيْفَ يَتَقَلْقَلُ بَينَ أطْباقِها وأنْتَ تَعْلَمُ صِدْقَهُ؟ أمْ كَيفَ تَزْجُرُهُ زَبانِيَتُها_
AM KAYFA YUH’RIQUHU LAHEEBUHAA WA ANTA TAS-MAU’ S’AW-TAHU WATARAA MAKAANAH, AM KAYFA YASH-TAMILU A’LAIHI ZAFEERUHAA WA ANTA TAA’-LAMU Z’AA’FAH AM KAYFA YATAQALQALU BAYNA AT’-BAAQIHAA WA ANTA TAA’-LAMU SID-QAH AM KAYFA TAZJURUHU ZABAANI-YATUHAA
Oba okubuubuka kwagwo kun’a mwookya kutya nga ate naawe owulira eddoboozilye era nga olaba embeera gyaalimu mu kifookye, oba kunaa akunngaanira kutya kuye okwookya n’okubuubuuka kw’agwo okwamaanyi nga ate n’awe omanyi bulunji obunafu bwe, oba an’ekyukizaatya waka ti mumikko gy’agwo nga n’awe omanyi amazimage, oba ngeriki Baamalaika abagukuuma gyebanamuboggokeramu nga bamugoba n’okumuziyiza,
وَهُوَ يُناديكَ يا ربَّه؟ أمْ كَيفَ يَرْجُو فَضْلَكَ في عِتُقِهِ مِنْها فَتَتْرُكَهُ فيها، هَيْهاتَ ما ذلِكَ الظُّنُ بِكَ، وَلا المَعْروفُ مِنْ فَضْلِكَ، ولا مُشَبِهٌ لِما عامَلْتَ بِهِ المُوَحِّدينَ مِنْ بِرِّكَ وإحْسانِكَ،
WA HUWA YUNAADEEKA YAA RABBAH, AM KAYFA YARJOO FAZ’LAKA FEE I’T-QIHI MIN HAA FATAT-RUKUHU FEEHAA HAYHAATA MAA D’AALIKAZ’-Z’ANNU BIK, WA-LAL-MAA’- ROOFU MIN FAZ’LIK, WA-LAA MUSH-BIHU LIMAA A’AMAL-TA BIHIL-MOO-AH’H’IDEENA MIM BIRRIKA WA IH’-SAANIK,
nga ate naye akukoowoola nti Ai katonda wange? oba ayinza atya okusuubira ebyengera abyo mukubeera nti omuta okuguvaamu kyokka ate n’omuleka mugwo ? kiri wala nnyo, era bweekityo sibwekirowoozebwa kuggwe, era sikyekimanyikiddwa mu birunji byo ebyensusso, era tewali y’efanaanyiriza kwekyo kyewakolera abo abakutongoza mu bulunjibwo n’okuloongoosa kwo
فبِاليَقينِ أقْطَعُ، لَوْلا ما حَكَمْتَ بِهِ مِن تَعْذيبِ جاحِديكَ، وَقَضَيْتَ بهِ مِنْ إخْلاد مُعانِديكَ، لَجَعَلْتَ النّارَ كُلَّها بَرْدًا وَسَلامًا، وَما كَانَ لأحَدٍ فِيها مَقَرَّاً وَلا مُقاماً،
FA-BIL-YAQEENI AQ-TAU, LAW-LAA MA H’AKAM-TA BIHI MIN TAA’D’EEB JAAHIDEEK, WA QAZ’AYTA BIHI MIN IKH-LAAYDI MU A’ANIDEEK LAJAA’-LTANNAARAN KULLAAHAA BAR-DAA WWASALAAMAA. WA MAA KAANA LI-AH’ADIN FEEHAA MAQARRAA WWALAA MUQAAMAH
n’olwekyo nkakasa nga mmalirira mumazima nti singa tekwaali kuba kulamula kuli kwewalamulanakwo mu kubonereza abakulimbisa, era n’olamula nakwo mu kubeesezaa olubeerera abakuwakanya mu mumuliro, waalibadde nga ofuula omuliro gwonna nga munnyogovu era nga mirembe myereere. Era tewaalibaddeyo n’omu nga alina obutebenkevu mugwo wadde ekifo,
لكِنّكَ تَقَدَّسَتْ أسْماؤُكَ أقْسَمْتَ أنْ تَمْلأها مِنَ الكافِرينَ مِنَ الجِنَّةِ والنّاسِ أجْمَعينَ. وأنْ تُخَلِّدَ فيها المُعانِدِينَ، وأنْتَ جَلَّ ثَناؤُكَ قُلْتَ مُبْتَدِءاً وتَطَوَّلْتَ بالإنْعامِ مُتَكَرِّماً،
LAKINNAKN TAQADDASAT AS-MAAA-UKA, AQ-SAM-TA AN TAM-LAHAA MINAL KAAFIREENA MINAL JINNATI WAANAASI AJY MAE’EN WA-AN TUKHALLIDA FEEHAAL-MUA’ANIDEEN, WA ANTA JALLA THANAA-UKA QUL-TA MUB-TADI-AWATAT’AWWAL-TA BIL-INA’AMI MUTAKARR-IMAA,
naye mazima ggwe katonda g’atukula amannyago, walayira n’okakasa okubeera nti ojj’uza omuliro ogwo abajeemu, mu majinni n’abantu abo abakujeemera bonna bonna, era oliwaakubeeseza mugwo abakuwakanya mirembe namirrembe, era ggwe wagulumira ekitibwa kyo, wagamba nga otandika, era n’oyitiriza ebyengera byo nga olimuyitirvu wa kugaba,
أَفَمَنْ كَانَ مُؤْمِناً كَمَنْ كَانَ فاسِقاً لا يَسْتَوونَ، إلهي وَسَيِّىي فَأسْألُكَ بالقُدْرَةِ الَّتي قَدَّرْتَها، وبالقَضِيَّةِ الَّتي حَتَمْتَها وَحَكَمْتَها، وَغَلَبْتَ مَنْ عَلَيهِ أجْرَيْتَها أنْ تَهَبَ لي في هذِهِ الليلة
AFAMAN KAANA MUMINAN KAMAN KAANA FAASIQAN LA YASTAWOON ILAHEE WA SAYYIDEE FA-AS-ALUKA BIL-QUDRATILLATEE QADDARTAHAA WA BIL-QAZ’EEYYATILLATEE H’ATAM-TAHAA WA H’AKAM-TAHAA WA GHALABA-TA MAN A’LAYHI AJ-RAYTAHAA AN TAHABA LEE FEE HADHIHILLAYLATI
nti abaffe omuntu abeera nga mukkiriza alinga oyo eyali omwonoonyi ? nedde tebenkana nkana. Ai katonda wange, mukama wange kyenva nkusaba kulwookugera kwo kwe wagerageranya era n’oyinza nakwo, era n’enkusaba n’oku lamula kwo okwo kwewakakasa n’onyweeza era n’owangulirako omuntu oyo gwooba oteeseko etteeka eryo. Obeere nti ongabira mu kiro kino
وفي هذه السّاعَةِ، كُلَّ جُرْمٍ أجْرَمْتُهُ، وكُلَّ ذَنْبٍ أذْنَبْتُهُ، وَ كُلَّ قَبيحٍ أسْرَرتُهُ، وَكُلَّ جَهلٍ عَمِلْتُهُ، كَتَمْتُهُ أو أعْلَنْتُهُ، أخْفَيتُهُ أو أظْهَرتُهُ، وَ كُلَّ سَيِّئَةٍ أمَرتَ بإِثْباتِها الكِرامَ الكاتِبينَ،
WA FEE HAZ’IHEE SSAAA’AH KULLAA JUR-MIN AJ-RAM-TUH WA KULLAA DHAMBIN AD’NAB-TUH. WA KULLAA QABEEH’IN AS-RAR-TUH. WA KULLAA JAH-LIN A’MIL-TUHU, KATAAMUTUHOO AW AA’-LANTUHU, AKHFAYTUHOO AW AZ’HAR-TUH WA KULLAA SAYYIATIN AMARTA BI-ITH-BAATIHAL KIRAAMAL KAATIBEENA
ne mu ssaawa eno, Buli kyonoono kyenna yonoonanga. Nabuli kibi kyonna kyenna kola mukyaama, era nabuli kyonna kyennakola nga ssimanyi, sinsonga nakikisa oba nakyoolesa, nakikweeka oba nakikola lwaatu, era nabuli kibi kyonna kyewalagira okubeeranga kinyweezebwa nebamalayika abeekitiibwa abawandiisi abo bewesigamiza okubeera nti bankuuma n’okuwandika buli kyonna ekinvaamu,
الّذينَ وَكَّلْتَهُم بِحِفظِ ما يَكُونُ مِنّي، وَ جَعَلْتَهُمْ شُهُوداً عَلَيَّ مَعَ جَوَارِحي، وَكُنْتَ أنْتَ الرَّقيبَ عَلَيَّ مِنْ ورائِهِمْ، والشّاهِدَ لِما خَفِيَ عَنْهُم، وَبِرَحْمَتِكَ أخْفَيتَهُ، وبِفَضْلِكَ سَتَرتَهُ، وأنْ تُوَفِّرَ حَظِّي، مِنْ كُلِّ خَيرٍ تُنْزِلُهُ،
ALLADHEENA WAKKAL-TAHUM BI-H’IFZI MAA YAKOONU MINNEE WA JAA’L-TAHUM SHUHOODAN A’LAYYA MAA’ JAWAARIH’EE, WA KUNTA ANTA RRAQEEBA A’LAYYA MIWWARAA-IHIM WASH-SHAAHIDA LIMAA KHAFIYA A’N-HUM, WA BI-RAH’MATIKA AKH-FAYTAHU WA BIFAZ’LIKA SATAR’TAH, WA AN TOOWAFFIRA H’AZ’ZE MIN KULLI KHAYRIN TUNZILUHU
n’obafuula nga bajulizi kunze wamu n’Ebiyungobyange, n’obeera nga ggwe mulabirizi kunze, era ggwe ali emabega waabwe, era ggwe mujulizi kweekyo ekiba kibeekweeseeko nga okikweese kulwa kusaasira kwo, era n’okibikkirira kulwebirunjibyo, era nkusaba oyinji waze omugabo gwange mubuli kirunji ky’oba ossizza,
أو إحْسانٍ تُفَضِّلُهُ، أو بِرٍّ تَنْشُرُهُ، أو رِزْقٍ تَبْسُطُهُ، أو ذَنْبٍ تَغْفِرُهُ، أو خَطإٍ تَسْتُرُهُ، يا رَبِّ يا رَبِّ يا رَبِّ يا إلهي و سَيِّدي و مَوْلايَ و مَالِكَ رِقِّي.
AW IH’-SAAN TUFAZ’ILUH AW BIRRIN TANSHIRUHU AW RIZQIN TAB-SUT’UH AW-DHAMBIN TAGH-FIRUHU AW KHAT’AIN TAS-TURUHU, YAA RABBI YAA RABBI, YA RABBI, YAAA ILAHEE WA SAYYIDEE WA MAWLAYA WA MAALIKA RIQQEE.
oba okukola obulungi okwo kw’osinga okwaagala, oba obulunji bw’oba osansasaanyizza, oba Riziq gy’oba ogabye, oba ekyonoono obeere nga okisonyiwa oba kisobyo obeere nga okibikkirira, Ai katonda wange, gwe mulezi wange katonda wange mukama wange omukuumi wange nannyini bugonvu (bunafu) bwange.
يا مَنْ بِيَدِهِ ناصِيَتي يا عِليماً بِضُرِّي ومَسْكَنَتي، يا خَبيراً بِفَقْري وَفاقَتي، يا رَبِّ يا رَبِّ يا رَبِّ، أسألُكَ بِحَقِّكَ وقُدْسِكَ وأعْظَمِ صِفاتِكَ و أسْمائِكَ،
YAA MAN BIYADIHI NAAS’I-YATEE, YAA A’LEEMAAMBI-Z’UREE WA MAS-KANATEE YA KHABEERAAMBI-FAQREE WA FAAQATEE, YAA RABBI YAA RABBI YA RABBI, AS-ALUKA BI-H’AQQIKA WA QUD-SIKA WA AA’-ZAMI SIFAATIKA WA ASMAAA-IKA
Oh! Gwe alina obulamu bwange mubuyinza bwo, oh! Gwe o mumanyi amanyi obukosefu bwange n’obutebenkevu bwnge, gwe ategeera obweetaavu bwange n’obunaku bwange, katonda wange, omuleziwange, katonda wange, nkusaba kulwamaanyigo n’obutukuvu bwo nekulw’obugulumivu bw’Ebitendo byo n’Amannyago
أنْ تَجْعَلَ أوْقاتِي في اللَّيلِ والنَّهارِ بِذِكْرِكَ مَعْمُورَةً، وبِخِدْمَتِكَ مَوصُولَةً، و أعْمالِي عِنْدَكَ مَقْبُولَةً، حَتّى تَكُونَ أعْمالِي وَأوْرادِي كُلُّها وِرْداً واحِداً، وَ حالِي في خِدْمَتِكَ سَرْمَداً.
AN TAJ-A’LA AW-QAATEE FILLAYLI WANNAHAARI BI-D’IKIRIKA MAA’-MOORATA WWABIKHIDIMATIKA MAW-SOOLA, WA AA’-MAALEE I’NDAKA MAQ-BOOLATAN H’ATTAA TAKOONA AA’MAALEE WA AW-RAADEE KULLUHAA WIR-DAA WWAAH’IDAA WA H’AALEE FEE KHID-MATIKA SARMADAA
obeere nga ofuula ebiseera byange byonna Emisana n’Ekiro: nga biseera bya kukujjukira nakukwesinza, era nga byonna bikwatagana nakutuukiriza biragiro byo, era ofuule emirimu gyange gy’oli nga jikkirizibwa, okutuusa Lwe gina abeera emirimu gyange n’ebigambo byange byonna nga biri kimu era kintu kimu. Era ofuule embeera yange nga omulimu gwange kukuweereza lubeerera mirembe namirembe,
يا سَيِّدي يا مَنْ عَلَيهِ مُعَوَّلي، يا مَنْ إليهِ شَكَوْتُ أحْوالي، يا مَنْ إليهِ شَكَوْتُ أحْوالي، يا رَبِّ يا رَبِّ يا رَبِّ، قَوِّ على خِدْمَتِكَ جَوارِحي، واشدُدْ على العَزيمَة جَوانِحِي.
YAA SAYYIDEE YAA MAN A’ILAYHI MUA’WWALEE, YAA MAN ILAYHI SHAKAW-TU AH’-WAALEE, YAA RABBI YAA RABBI YAA RABBI, QAWWI A-LAA KHIDIMATIKA JAWAARIH’EE, WASH-DUD A’LAAL A’ZEEMATI JAWAANIH’EE.
mukama wange: kuggwe kwennesigamidde. Era Nnyimiriddewo kululwo, gwe gyooli gyensindira era gyendeeta ensonga zange, Ai katonda wange, mulezi wange, gwe katonda wange nkusaba ompe amaanyi mu biyungo byange nso bole okukweesinza, era onyweeze embiriizi zange ku bukakafu bwennyini obwanna maddala.
وَهَبْ لِيَ الجِدَّ في خَشْيَتِكَ، وَالدَّوامَ في الإتِّصالِ بِخِدْمَتِكَ، حَتَّى أسْرَحَ إلَيكَ في مَيادينِ السَّابِقينَ، وَأسْرِعَ إلَيكَ في المُبادِرينَ، وأشْتاقَ إلى قُرْبِكَ في المُشْتاقِينَ،
WA HAB LIYAL-JIDDA FEE KHASH-YATIKA, WADDAWAAMU FIL-ITTISAALI BIKHID-MATIKA H’ATTAAA AS-RAH’A ILAYKA FEE MAYAADEENI SSABIQEEN, WA US-RIA’ILAYKA FIL MUBAADIREEN WA ASH-TAAQA ILAA QUR-BIKA FIL-MUSH-TAAQEEN,
Era nkusaba ongabire obunyiinkivu mu kukutya, Ai katonda nkusaba onsobozese okubeera nga Neeyunga kukukweesinza okw’olubeerera, Lwenna yangayirwa okujja gy’oli nga mpitira mubisaawe n’Amakubo gaabo abasooka okuvuganya. Era Nnyanguwe okujja gy’oli nga ndi mwaabo abanguyiriza, era nga Nnoonya okubeera okumpi n’awenga ndi mw’abo abaagala ennyo,
وأدْنُوَ مِنْكَ دُنُوَّ المُخْلِصينَ، وَأخافَكَ مَخافَةَ المُوقِنِينَ، وأجْتَمِعَ في جوارِكَ مَعَ المُؤْمِنينَ، اللَّهُمَّ وَمَنْ أرادَني بِسُوءٍ فأرِدْهُ، وَ مَنْ كادَنِي فَكِدْهُ، وَاجْعَلْني مِنْ أحْسَنِ عَبِيدِكَ نَصيباً عِنْدَكَ،
WA ASNOOWA MIKA DUNOO-WAL-MUKH-LIS’EEN, WA AKHAAFAKA MAKHAAFATAL-MOOQINEEN WA AJ-TAMA’FEE JIWAARIKA MAA’L-MUMNEEN, ALLAHUMMA WA MAN ARAADANEE BISOOO-IN FAARID-HU WAMAN KAADANEE FAKIDUHU, WA-JA’LNEE MIN AH’ASANI A’BEEDIKA NAS’EEBAN I’NDAKA,
era mbeere nga nsembera gy’oli olusembera Lw’Abatukuvu be Nniya. Era nkutye olutya Lw’abo abaamatira okumatira okujjuvu, era negatte mukusaba okutaasibwa nga ndiwamu n’abakkiriza, Ai katonda wange nkusaba oyo yenna anjagaliza obubi obeerenga obumuddiza, era nkusaba oyo yenna ansalira enkwe n’awe obeerenga ozimusalira, omfuulire omugabo gwange gy’oli nga gwe gusinga obulunji mubaddubo.
وَأقْرَبِهِمْ مَنْزِلَةً مِنكَ، وأخَصِّهِمْ زُلْفَةً لَدَيكَ، فإنَّه لا يُنالُ ذلِكَ إلاّ بِفَضلِكَ، وَجُدْ لِي بِجُودِكَ، واعْطِف عَلَيَّ بِمَجْدِكَ، واحْفَظني بِرَحْمَتِكَ، واجْعَلْ لِسانِي بِذِكْرِكَ لَهِجاً،
WA AQRABIHIM MANZILATA MMINIKA, WA AKHAS’SIHIM ZUL-FATALLADYK, FA-INNAHU L’AAYANAALU DHAA-LIKA ILLAA BI FAZ’LIK, WA JUDU LEE BIJOODIK, WA’-TIF A’LAYYA BI-MAJIDIK. WAH’FAZ’NEE BIRAH’-MATIK, WAJ-A’LLISAANEE BID’HIKIRIKA LAHJAA,
Era nga nze asinga okubeera n’ekifo eky’okumpi gy’oLi mubo, era obawe ekifo eky’okumpi w’oli, kuLw’okubanga mazima kyo ekyo tekifunibwa okujjako kuLwa birunjibyo, era obeere nga ongabira n’okugaba kwo okutaliiko kikomo, obeere nga onnumirwaako kulweekitiibwa kyo. Era onkuume kulw’okusaasirakwo ofuule olulimi lwange nga okwatuza kwaalwo kukujjukira nakukwogerako,
وَقَلْبي بِحُبِّكَ مُتَيَّماً، وَ مُنَّ عَلَيَّ بِحُسْنِ إجابَتِكَ، وأقِلْنِي عَثْرَتِي، واغْفِرْ زَلَّتي، فَإنَّكَ قَضَيْتَ على عِبادِكَ بِعِبادَتِكَ، وأمَرْتَهُمْ بِدُعائِكَ، وَضَمِنْتَ لَهُمُ الإجابَةَ،
WA QAL-BEE BI-H’UBBIKA MUTAYYAMAA, WA MUNNA A’LAYYA BIHUSINI IJAABATIK, WA AQIL-NEE A’TH-RATEE WAGH-FIR ZALLATEE FA-INNAKA QAZ’AYTA A’LAA I’BAADIKA BI-I’BAADATIKA, WA AMAR-TAHUM BIDUA’AAA-IKA, WA Z’AMINTA LAHUMUL-IJAABAH
N’omutima gwange nga kukukwagala kwegukwesinziza, era ongabire ebyengera kulw’obulunjibwo kwanukula kwo, okendeeze kubuzibu bwange n’Ebibonerezo byange, era osonyiwe okuseerera kwange kulw’okubanga mazima gwe walamula n’okakasa kubaddubo babeere nga bakweesinza. N’obalagira babeere nga bakusaba, era n’obeeyimirira okubaanukula,
فَإلَيْكَ يا رَبِّ نَصَبْتُ وَجْهِي، وَ إلَيْكَ يا رَبِّ مَدَدْتُ يَدِي، فَبِعِزَّتِكَ اسْتَجِبْ لي دُعائِي، وبَلِّغْني مُناي، ولا تَقْطَعْ مِنْ فَضْلِكَ رَجائِي، واكْفِنِي شَرِّ الجِنِّ والإنْسِ مِنْ أعْدائِي،
FA-ILAYKA YAA RABBI NAS’AB-TU WA-JIHEE, WA ILAYKA YAA RABBI MADAD-TU YADEE, FA-BI-I’ZZATIKASTAJIB LEE DUA’AAA-EE, WA BALLIGH-NEE MUNAAYA WA-LAA TAQ-T’AA MIN FAZ’LIKA RAJAA-EE, WAK-FINEE SHARRAL JINNI WAL-IN-SI MIN AA’-DAAA-EE,
kalenno mulezi wange gy’oli gyenjolekezza ekyeenyi kyange. Era gy’oli sebo mulezi wange gyengololedde emikonogyange, nkusaba kulweekitiibwa kyo obeere nga oyanukula okusaba kwnage, ontuuse kukigendererwa kyange, Era tokutulawo kusuubira kwange okulema okufana ebifisseebyo Era nkusaba mukama wange onkingirize obubi okuva mubalabe bange ab’omumajjini ne mubantu.
يا سَريعَ الرِّضا، إغْفِر لِمَنْ لا يَمْلِكُ إلاّ الدُّعاءَ، فَإنَّكَ فَعَّالٌ لِمَا تَشاءُ، يا مَنْ اسْمُهُ دَوَاءٌ، وَذِكْرُهُ شِفاءٌ، وطاعَتُهُ غِنىً،إرْحَمْ مَنْ رَأسْ مَالِهِ الرًّجاءُ وسِلاحُهُ البُكاءُ،
YAA SARI-A’ARRIDHAA IGH-FR LIMAN-LLAA YAMULIKU ILLAADDUA’AA-A, FA-INNAKA FAA’AALUL LIMAA TASHAAA-U. YAA MANIS-MUHU DAWAAA-UN, WA D’HIKRUHU SHIFAAA-UN WAT’AAA A’TUHU GHINAN, IR-H’AM-MARRA-SU MAALIHIRRAJAAA-U, WA SILAAHUHUL BUQAAA-U,
Ai katonda wange omwangu w’okusiima, beera nga osonyiwa oyo atayinza kubeera nakintu kyonna okujjako nga ayita mukukusaba, mazima ggwe okola kyonna ky’oba oyagadde. Ai katonda wange nannyini Linnya eriwonya, era n’omuntu aly’ogerako awona endwadde, era okumugondera bugagga bweereere, saasira oyo nga eky’obugagga bwe kusuubire okuva gy’oli, n’ekyokulwanyisa kye kukaaba kwereere,
يا سابِغَ النِّعَمِ، يا دافِعَ النِقَمِ، يا نُورَ المُستَوحِشِين في الظُّلَمِ، يا عَالِماً لا يُعَلَّمْ، صَلِّ على مُحَمَّدٍ وآلِ مُحَمَّدٍ، وافْعَلْ بِي ما أنْتَ أهْلُهُ،
YAA SAABIGHAN-NI’M, YAA DAAFIA’N-NIQAM, YAA NOORAL MUSTAW H’SHEENA FIZ’Z’ULAMI, YAA A’ALIMALLAA YUA’LLAM, S’ALLI A’LLAA MUHAMMAD WA AALI MUHAMMADIN, WAF-AL BEE MAAA ANTA AH-LUH,
Ai katonda wange omujjuvu w’okugaba ebyengera, Ai katonda wange gwe muwanirize w’obubenje, Ai katonda wange gwe kitangaala kya abo abasaba okujjibwa mukiwuubaalo ky’Ekizikiiza, Ai katonda gwe omumanyii atayigirizibwa, nkusaba osse ebyengera ku weekitiibwa Muhammadi ne ku Bantu ba Muhammadi, era onkozese ekyo ggwe ky’olaba nti kye kikusaanira,
وَ صَلَّى اللهُ على رَسُولِهِ والأئِمَةِ المَيَامِينَ مِنْ آلِهِ وَسَلَّمَ تَسْليماً كَثيراً.
WA SWALLAALLAHU A’LAA RASOOLIHI WAL-A-IMMATIL MAYAAMEENA MIN AA-LIHI WA SALLAMA TASLEEMAN KATHEERAA.
Allah asse ebyengera ku mubaka we ne ku ba Imaamu (A.S) mubantu be era abawe emirembe egyensusso. (AAMIINA)