محتويات الكتاب
EBIRI MU KITABO
دعاء كميلDU’AA-U KUMAYL
دعاء الصباحDU’AA-U AL-SABAH
أدعية أيام الأسبوعADI-EYAT AYYAMUL USUBUU-I
ENNYANJULA
Mukama KATONDA oweekitiibwa yagamba mukitabokye ekitukuvu Quraane nti : (( Era katonda wammwe yagamba nti munsabe mbaanukule mazima Abantu abo abekuluntaliza kukuNneesinza ne batansaba bajja kuyingira omuliro Jahannama baterekebwe mugwo nga baswaavu )) Al – Furqan :77.
Era yayongera n’agamba nti : (( Era munzijukire, nange mbajjukire, era muneebaze naye temunjeemera )) Al-Baqara:152.
Era yagamba nti : (( Mumusabe mukutya ne muddembe, mazima okusaasirakwa katonda kuli kumpi Nnyo n’abakozi b’obulungi )) Al – A’araf:56.
Baganda bange abasiramu tulina okukimanya nti okusaba duwa sikintu kya kupangawo bupanzi ffe bennyini, wabula okusaba katonda, n’okusaala sswala ettaano buli lunaku, bye bintu ebyalagirwa ne katonda mwennyini nga Aya ezaasoose bwezigambye. Era omuntu yenna tabeera muntu okujjako nga amaze kujeemulukukira oyo eyamutonda, nga ayitira mukutuukiriza ebiragiro byeyamulagira, nga n’ebikulu mubyo : kwe kusaala n’okusaba katonda ( Du’a ). Era nga kyekigendererwa mukutonda omuntu nga katonda bweyagamba nti s’akola mageega ( Majinni ) nabantu wabula nabikola kunneesinza. Nabbi ( s.a.w ) ayongerako n’agamba nti okusaba ( Du’a ) katonda gwe mutwe gw’okumweesinza.
Kulw’obukulu bwa Duwa ne sswala nga byombiriri biri ekintu kimu kyetuvudde tubasengekerayo ezimu ku Duwa enkulu, nga omusiramu yenna mubufunze alina okuzisoma mubulamu bwe. Nga muzo mwemuli DU’A “KUMAIL” NE “DU’A SSWABAAH” na amaduwa agasomebwa buli lunaku mu wiiki yonna, okuva ku Sunday (sande) okutuuka ku Monday (Balaza).
DU’A “Kumail” ye Duwa ya Imam Ali ( a.s ) gyeyayigiriza omu kumikwaano gye mfiira bulago ayitibwa “Kumail bin Ziyad”. Yamulagira okugisoma mubulamubwe kagubeere mulundi gumu singa aba talina busobozi bugi soma buli lunaku. Emigaso n’amakulu ebiri mu Du’a Kumail, byonna bintu bya munda nnyo era sikyangu kya muntu kugisoma nga agenda yetegereza amakulu g’ayo, kyokka n’asigala nga takulukusizza maziga ?!
Eno Du’a eyogera kukitiibwa kyakatonda, n’obugulumivuubwe, ekisaakye, okujjawo obubenje n’ebibonerezo, okuggulirwaawo emiryango gya Riziq, okwanguyirizibwa mukumalirwa ekyetaago, obwetaavu bw’omuntu eri katondawe, okwebaza kw’omuntu eri katonda okumubeesezaawo nga mulamu.
Du’a eno erina okusomebwa mu buli wiiki naddala kulunaku olw’okuna oluvannyuma Lwa sswala ya Isha, kitegeerekeka bulungi nti Allah tayinza butaanukula Du’a evudde kukumalirira kwa mutima gw’a muntu, n’olweekyo gezaako okulongoosa Niya yo nga osaba katondawo asobole okukwaanukula, era obeere mutebenkevu nti kyonna kyoyagala katonda ajja kukimala era okifune. Mukitabokino tuteeseemu “Du’a ssabaah” nga Imam Ali (a.s) yagamba nti Nnungi nnyo okugisoma kumakya oluvannuma lwa swalaati ssubuh.
Tetukomye awo wabula tuteeseemu Du’a z’osobola okusoma buli lunaku mu wiiki yonna okuva ku Sunday (Sande) okutuuka ku Monday (Balaza).
Ai mukama katonda fuula amaduwa agalimukitabo kino nga kyakulwanyisa kya Bakkiriza, era nga kitangaala kya ggulu ne Nsi.
( AMINA)