Ebimu kubintu Abawahaab byebatera okwogerako enyo mubitabo byabwe nemunjogera zaabwe, kwekusaalira awali entaana z’abagalwa bakatonda (Auliya – Ullah) nokusomerawo edua nokuteekawo amataala.
Eyatandiikawo obuwahaab agamba mukiwandiko “okulambula entaana”: “Teriiyo mukulembeze yenna mw’abo abaasooka eyagamba nti okusaalira awali entaana mubitundu byazo, kyagalibwa oba nti okusaalirayo nokusomerayo edua kyekisinga obulingi, wabula bonna begatta nebagamba nti mazima okusaalira mumizigiti nemumayumba kisinga okusaalira awali entaana z’abaagalwa bakatonda n’abo abalongoofu”.([1])
Era kyajja mukwanukula okwabamanyi be madiina:
“Ate okwolekera enyumba yaNabbi (s.a.w) mukiseera kyokusaba, ekisinga obulungi, bwebutakikola nga bwekimanyiddwa mubitabo ebikulu ebyamadhihab, kubanga ekisinga obulungi kwekwolekera enjuyi zaqibla”.
Naye kati kyava mukuziyiza obuziyiza, nekituuka muddaala lya Shirik. Era ebiseera bino batwaala omuntu aba akikoze nti mushirik!!
Tewali kubuusabuusa, okusaala kulw’omuntu ali muntaana n’okumwesinza oba okufuula entaanaaye obwolekero muswala, ekyo kitwalibwa nga shirik, naye tekirowoozebwa nga kunsi kuliko omusiramu ayinza okukola ekyo kuntaana zabaNabbi n’abaagalwa bakatonda. Nolwekyo, ekirowoozo kyashirik kyebaleeta, kuteebereza buteebereza kwabawahaab.
Mazima ekigenderewa kyabasiramu mukusaalira awali entaana nokusomerawo edua, kwekubeera nga bafuna omukisa okuva mukifo ekyo ekirimu omwagalwa mubaagalwa bakatonda. Mazima bbo bakakasa nti ekifo ekyo kirina ekitiibwa ekyawaggulu olwokubeeramu omubiri mumibiri egyekitiibwa ewa katonda. Nolwekyo, omuntu bwasaalirawo oba okusabirawo yaasinga okufuna empeera.
Ekibuuzo ekyetagisa okuddamu kiri nti: Abaffe okuziika ab’agalwa bakatonda mukifo kyonna, kirina ekitiibwa kyekiwa ekifo ekyo oba nedda? Ekifo ekyo bwekiba nga kifuna ekitiibwa, - okusinzira kuQur’an ne hadith – tujja kukikakasa nti okusaalirawo nokusomerawo edua kiba kirungi nyo era mubeeramu nempeera eziwera, ate bwekinaaba tekiriiko Aya oba hadith, era tetuyinza kugamba nti okusaalirawo oba okusomerawo edua kiri haraam wabula ekifo ekyo kiba kitwalibwa nga ebifo ebirala ebyabulijjo ebisaalirwaamu nebisomerwamu nedua nga tebirina njawulo.
Kati ebigambo byaffe bigenda kutambulira kunsonga eyo – abaffe, ebifo ebyazikibwaamu ab’agalwa bakatonda birina ekitiibwa ekyeyawulidde? Era muQur’an aba muhadith mulimu ekikakasa kunsonga eyo?
Okwanukula, kwekuno:
1- Mukyafaayo kyabantu abaali mu “KAHAF”, abakkiriza baayogera kukifo kyebaazikibwaamu nti: “Tujja kubazimbako essinzizo”.
Mazima kyebaagenderera okubazimbako ossinzizo (omuzikiti), kwekwagala okukolerangamu emirimo egyeddini egyabala-likibwaako.([2])
Abakkiriza abo, baali bakimanyi bulungi nti ekifo ekyo kyafuuka kyakitiibwa olwokubeeramu emibiri gyabaddu bakatonda abalongoofu. Kale nebagamba nti tulina okuzimba mukifo ekyo omuzikiti olwokukifunamu emikisa nokufuna empeera eziwera mukusinzizaama katonda.
Mazima Qur’an eyekitiibwa yayogera ekirowoozo kyaabwe kyebaaleeta – abo abakkiriza – awatali kubanenya, wabula yasirika busirisi. Kale singa kyebaakola kyaali kikyaamu, Qur’an teyalisirise, wabula yalibadde ebalagirawo obukyaamu bwekirowoozo kyaabwe nokubagamba nti kubeera kwawukana n’amateeka gabusiramu.
2- Mazima Qur’an eyekitiibwa, eragira abantu abagenda muHijja okusaalira mukifo kya Ibrahim (a.s) naye ekifo ekyo tekirina kintu kyonna okujjako lwajjinja Ibrahim lyeyayimirirako nga azimba kaaba. Allah agamba: “Mufuule ekifo Ibrahim kyeyayimiriramu (ekifo) ekisaalirwaamu (ekyokusabiramu)”.([3])
Buli muntu yenna aba asomye aya eyo, ategeera bulungi nti okusaalira mukifo kya Ibrahim kikakafu, era ekyafuula ekifo ekyo okubeera ekyekitiibwa kyaava ku Ibrahim kukiyimiriramu.
Era olaba abasiramu bayitirivu mukifo kya Ibrahim nga basa-aliramu nokusabiramu.
Kale bwekibeera bwekityo mukifo kya Ibrahim (a.s), kiba era tekisaana nemubifo ebirimu abakulembeze b’obusiramu?
Abaffe okusaalira mubifo byebaazikibwaamu, sikwekusinga okusaalira mubifo ebirala?
Kituufu, Aya yakka nga eyogera kukifo kya Ibrahim (a.s), naye tetusobola kujjamu kulamula kubuna?
Mansoor Al-Abbase (Addawaniiqe) yabuuza Malik bn Anas (Imam wa baamaalikia) nga bali mumuzikiti gwomubaka (s.a.w) nti: owange gwe Aba Abdillah, njolekere Qibla nga nsaba oba njolekere mubaka wakatonda? Malik n’amuddamu: lwaaki okyuusa ekyenyikyo nokimujjako, nga ate kyekyokweekwaatakookyo netaatawo Adam kyekigenda okubatuusa ewakatonda kulunaku olwenkomerero?! Mwoolekere, omusabe okukuwolereza, ajja kukuwolereza ewakatonda.([4])
Tufuna mubigambo ebyo nti okusaba nga oli awali entaana yaNabbi (s.a.w) tekyaalimu buzibu bwonna era n’okubuuza kwa Mansoor kweyabuuzamu Malik, yali ayagala kutegeera aw’okwolekera awasinga obulungi mukiseera kyokusaba; kwolekere Qibla oba ntaana ya Nabbi (s.a.w)? Imam Malik kwekumuddamu nti okwolekera entaana ya Nabbi kubeera nga kwolekera Qibla.
3- Bwetuba tutunuddeko muhadith ezikwaata ku Miiraaj – okulinyisibwa kwaNabbi okugenda muggulu – tusobola okufuna obutangaavu kunsonga eno kubanga zitutegeeza nti Nabbi (s.a.w) bweyali nga ali mulugendo olwo, yagendako e”Madiina” nekulusozi “sina-e” ne “Bait Laham”, n’asaaliramu. Malaika Jibreel nemugamba: Owange ggwe omubaka wakatonda, omanyi w’osaalidde?, mazima osaalidde mu “Twiibah” – era nga gy’ogenda okusengukira, nosaalira mu “Tuur Sina-e” – katonda weyayogerera ne Musa olwoogera – nosaalira mu “Bait Laham” – Isa weyazaalibwa.([5])
Tufuna muhadith eyo nti kyagalibwa okusaalira mukifo ekyaalimukko omu kubaNabbi kubanga ekifo ekyo kifuna omukisa nekitiibwa olwaNabbi oyo.
4- Mazima Hajarah – Maama wa Isimail bn Ibrahim – yatuuka mukifo ekyawaggulu ewakatonda olwokugumiikiriza kweyalina mukkubo lyakatonda. Ekyo, kyaavirako katonda okufuula ekifo ekyaalimu ebigerebye, ekifo ekyokwesinzizaamu era n’akakasa kubagenda muhijja okuyita wakati wensozi – swafa ne Mariwa – nga Hajarah bweyayita. Era ekyo, ne Ibn Alqayyim – omuyizi wa Ibn Taimiyyah – naye akikkiriza bulungi.([6])
Ekibuuzo kyetwebuuza: okuguminkiriza kwa Hajarah mukkubo lyakatonda bwekuba nga kwaweesa ekifo kyeyateekamu ebigere ekitiibwa, era katonda n’akakasa kubasiramu okwesinzizaamu – wakati waswafa ne mariwah- lwaaki entaana yaNabbi (s.a.w) tebeera yamukisa eyekitiibwa, kubanga yaguminkiriza ebizibu bingi byeyafuna olwokulongoosa abantu nokubalungamya?!
5- Bwekiba nga tekikikkirizibwa kusaalira awali entaana, lwaki Aisha yamala obuwangaazibwe nga asaalira munyumba awali entaana yomubaka (s.a.w).
Amakulu gekigambo kyaNabbi (s.a.w) – bwekibeera nga kituufu – “katonda yakolimira Abayahuud naBanaswaara olwokufuula entaana zabaNabbi baabwe amasinzizo” gali nti bbo baali besinza baNabbi baabwe era nebavunnama kuntaana zaabwe oba baafuulanga entaana zaabwe obwolekero bwaabwe. Nga ate ebyo byombiriri byawukana kumateeka gobusiramu.
Naye Abawahaab bekwaasa hadith eyo kukugaana okusaalira awali entaana z’abagalwa bakatonda owekitiibwa, okwesembesa okwo bwekuba nga kufuufu, lwaki Aisha yamala emyaaka egyisemberera ataano nga asinziriza munyumba eyaziikibwamu omubaka?!!
6- Entaana yomubaka (s.a.w) bw’eba nga terina kitiibwa, lwaaki Abubakar ne Umar oluvanyumalwe beesiba kukyokwagala okuzi-ikibwa okuliraana entaanaaye eyekitiibwa?!
Era lwaki Imam Alhassan bn Ali (a.s) yalaama nti aziikibwanga awali entaana ya Jajjaawe – wadde nga abalabe baalemesa okutuusa bweyazikibwa mulimbo?!
Era nkwataganaki eri wakati wahadith nenkola yabasiramu eyokusaalira awali entaana kulwakatonda nga era Qibla bwebwolekero olwokwagala okufuna empeera ewerako?!
7- Mazima Sayyidat Fatima (a.s) – oyo eyayogerwaako okuva kuNabbi nti okusiimakwe kubeera kusiima kwa Allah nokunyiigakwe kubeera kunyiiga kwa katonda nomubakawe ([7]) – yali alambula entaana ya taatawe omuto Hamuza mubuli lwakutaano oba mubuli week emirnndi ebiri.
Era yali nga akaaba, naasaalira awali entaanaaye.
AlBaihaque agamba: “Yali Fatima (a.s) nga alambula entaana ya taatawe omuto – Hamza – buli lwakutano, nga assaalira, era nakaabira awali entaanaaye”.([8])
Owange ggwe omusomi, owekitiibwa, mazima ebyokwesembesa ebyo byonna awamu nenkola y’abasiramu eriwo eyokusaalira mubifo ebyazikibwamu abagalwa bakatonda nokusomeramu edua, bikakasa nti mazima eswala ne dua mubifo ebyo, mulimu empeera mpitirivu kubanga ekigendererwa kwekufuna omukisa mukifo ekyo ekyemikisa n’okutukiririzaamu ekyo ekyaalalikibwa nga kisuubirwa okukirizibwa ewa katonda owekitiibwa.
Kale katubeere nga tetubadde na Aya oba hadith eziraga ekitiibwa kyebifo ebyo nobulungi bwokusaaliramu nokusomeramu edua, lwaaki okusaaliramu kuziyizibwa?!
Era lwaaki ebifo ebyo tebibeera wansi wetteeka lyobusiramu eribuna eritwaala ettaka lyonna okubeera nga likkirizibwa okulyesinzizaamu nga omubaka wakatonda bw’agamba:
“Nafuulirwa ensi yonna nga yakuvunnamako era nga ntukuvu”.([9])
Mazima ensonga ekwaata kukuteeka ekitangaala awali entaana zaabaagalwa bakatonda, - Okwo Abawahaab kwebagamba nti kuli haraam – Sinkulu nyo, kubanga hadith emu yokka gyebesembesa, y’eyo Nasa-e gyeyajja ku Ibn Abbas, okuva kuNabbi (s.a.w) nti yakolimira abakazi abalambula entaana n’abo abaziteekako amasinzizo namataala.([10])
Naye hadith eyo, nezigyifaanana, zeyawulidde kukubeera nga okuteekako amataala kireetera emmaali okuggwaawo oba okujidiibuuda oba nga mulimu ekwefanaanyiriza nebimu kubibiina n’amadiini amafu, nga Allamah Assanadi bweyalaza kunsonga eyo bweyali ayanjuluza hadith eyo: “kyaziyizibwa olwokubanga kubeera kwononna mmaali awatali mugaso”. ([11])
Ekigendererwa mukuteekako amataala bwekibeera nga kusoma Qur’an nadua nakusaala n’ebirala ebyalaalikibwa n’ebyo ebyagalwa nemigaso emirala ejikkirizibwa, kiba tekiriimu bubi bwonna, era okuteeka amataala mubifo nga ebyo, kubeera kutuukiriza kigambo kyakatonda owekitiibwa:
“Muyambagane kukukola obulungi nekukutya katonda”.([12])
Kale kubeera kutya haraam?
Mubutuufu, tewali kubuusabuusa okwaasa amataala kyaagalwa mumateeka g’obusiramu nga amagezi nago bwegakiraba.
([1]) Ziyaaratu quboor: pg. 159 – 160.
([2]) Zamahishari agamba mu Tafsir “Alkaf” mukuvvuunulaAya eyo: Abasiram baayagala kusaalirangamu nokufuna emikisa mukifo kyabwe. Era ne Naishaboor bwatyo bwagamba ku Aya eyo.
([3]) 1: 125.
([4]) Wafa-ul wafa: Juzu 4, pg. 1376.
([5]) Khaswa-esul kubra: ekya Abdurrahman Assuyuti.
([6]) Kitaab Jala-el Afham fiSwalaat wassalam al Khairil Annam: ekya Ibn Alqayyim, pg. 228, Assunan ekya nasa-e: Juzu 4, pg. 96. Print Beirut.
([7]) Swahiih AlBukhar: Juzu 5, pg. 21.
([8]) Sunan eya Baihaqe: Juzu 4, pg. 78 – Mustadrak Swahihain ekya Haakim: Juzu 1. Pg. 337.
([9]) Swahihul bukhar: Juzu 1, pg. 91.
([10]) Sunan ekya Nasa-e: Juzu 3, pg 77.
([11]) Sunan ekya Nasa-e: Juzu 3, pg 77 print Misir ne Juzu 4, pg. 95, Print Bairut, Sharehul Jami-e, entono: Juzu 2, pg. 198.
([12]) 5: 2.