back

Ekitundu Ekyokuna

next

 

OKULAMBULA ENTAANA OKUSINZIIRA KUKULABA KWA QURAN NE SSUNNA

Mazima abamanyi bobusiraamu n’abaakenkuka mumateeka gaabwo baalamula nti kikkirizibwa okulambuula entaana n’okusingiraddala entaana zabaNabbi n’abalongoofu okusinziira kumuwendo gwa Aya zaQur’an oguwerako ne Hadith. Tebaakoma kw’ekyo kyokka wabula baagamba nti kyagalibwa era kirungi.

Wabula Abawahaab, kirabika, tebaziyiza kulambuula nga kwo wabula baziyiza okukola olugendo okugenda okulambuula entaana zabalongoofu. Kale wano kitweetaagisa okunoonyereza kubintu bibiri:

1-                              Okulambuula.

2-                              Okukola olugendo olwokulambuula.

Okulambuula entaana

Mubutuufu, awatali kubuusabuusa, okulambuula entaana kulina kyekukyuusa kumpisa y’omuntu ne nneyisaaye nga bwetugenda okukyogerako mubufunze:

Mazima okutunuulira entaana nga abazirimu baawangalako mubulamu buno obwokunsi, oluvanyuma nebabujjulukukamu nebagenda mubwenkomerero nga bali kumbeera y’emu ... omugagga nomwaavu, owaamaanyi n’omunafu nga era tebalina kyebaagenda nakyo okujjako ebitundu byengoye bisatu byokka, mazima okulaba okwo, kukakkanya omutima gw’omuntu nobulamubwe, nekumukendeeza obuluvu nokululunkanira ensi eno n’obwaagazi nebyokwewunda byaayo. Era singa omuntu atunuulira entaana ezo neriiso eryokwetegereza, akyuusa kumpisaze mubulamu obwensi era neyebuulirira olwenkomereroye era n’amanya nti mazima obulamu buno bwakaseera katono, bulina okuggwaawo, nyingizibwe muntaana era nga mwemuli okubalibwa kwange – okwookweesiima oba okubonerezebwa, - nolwekyo tekisaana muntu kwekaluubiriza olwokwagala endulundu yemmaali oba ekifo, atuuke okulyazamaanya ono, oba okunyiiza oli, akole nebyonoono.

Mazima, okutunuulira entaana entunuulira eyokwetegereza, egonza omutima ogubadde omukakanyavu, n’ewuliza omuntu wadde nga abadde kiggala, n’emuggula amaaso wadde nga abadde muzibe.

Era mubiseera ebisinga obungi, omuntu atera okwetunulamu neyeddako munneeyisaaye, nemubulamubwe, nokwewulira nti alina obuvunanyizibwa mumaaso gakatonda n’abantu.

Nabbi owekitiibwa, Muhamad (s.a.w) yagamba:

1- “Mulambuule entaana kubanga zibajjukiza enkomerero”.([1])

Wadde nga okulambuula entaana tekyetagisa kuleeta kiraga butuufu nabwetavu bwakwo, ffe tuwaliriziddwa okukikola olw’abo abesitala mukwo.

Okulambula entaana mu Qur’an

Mazima katonda owekitiibwa agaana omwagalwaawe, Muhamad (s.a.w) okusaalira omufu abadde omunnanfuusi oba okuyimirira kuntaanaaye. Agamba Allah (s.w):

“Togezaako okusaalira omuntu yenna n’omu mubo aba afudde emirembe nemirembe era toyimirira kuntaanaaye, kubanga baajemera katonda nomubakawe, okutuusa bwebaafa nga b’ononefu”.([2])

Aya eyo, egezaako okukakkanya ekitiibwa kyomunnanfuusi nokulabula abali mukikoosikye. Kale okuziyiza ensonga ezo ebbiri kumuntu omunnanfusi, kiraga era kitegeeza nti z’etaagisa kw’oyo atali mukikoosi ekyo.

Kati kyetagisa tutunule mukigambo kya Allah: “togeza okuyimirira kuntaanaaye” kitegeezaaki?

Abaffe, kitegeeza, kuyimirirako kiseera kyakuziika kyokka, kulyooke kubeere nga tekukkirizibwa kumunnanfuusi nga ate kumukkiriza kwetagisa, oba okuyimirira kubuna ekiseera kyokuziika nekitali kyakuziika?

Okwanukula

Abavvuunuzi ba Qur’an abamu, baatunuulira Aya entunula enfunda nebagamba nti kuziika kwokka, naye abalala, - nga Albadidhawe – baalaba nga okuziyiza okuyimirira kugatta ekiseera kyokuziika nekyokulambuula kubanga Aya erimu ebitundu bibiri:-

Ekisooka: “Togezaako okusaalira omuntu yenna mubo nga afudde”.

Mazima, enjatuza “yenna”, okusinziira wejidde, ebuna abantu bonna ate n’ekigambo “Emirembe nemirembe” kitegeeza ekintu obutabeerako kiseera kyeyawulidde.

Amakulu nti: Tosaalira muntu yenna mubannanfuusi mukiseera kyonna.

Oluvanyuma olwokutegeera ebigambo ebyo ebibiri, tuba tukifuna mubujjuvu nti ekigendererwa mukugaana okusaalira omunnanfuusi tekyeyawulidde kiseera kyakuziika kwokka – kubanga omufu tasaalirwa buli kiseera – wabula ekigendererwa mukusaalira omufu omunnanfuusi mu Aya, kibuna okusaba nokusaasira kakibeere kiseera kyakuziika oba nedde. Era nekiraga ekyo, kyekigambo “Emirembe Neemiremba” nga bwetukiraba mu Aya 33: 53 – katonda mweyagaanira abakyaala ba Nabbi okuwasibwa.

Kale ekigendererwa mu kugaana bwebutakkirizibwa kusaasira munnanfuusi oba okumusabira katonda omumusonyiwa kakubeere kuyita mukkubo lyakumusaasira oba mungeri endala.

Ekyokubiri: “Toyimirira kuntaanaaye”.

Mazima ekitundu ekyo, kitegeeza – oluvanyuma olwokumanya nti ekitundu kya Aya ekyo, kyongerwa kukitundu ekisoose. Era okulamula kwabyo byombi kwekumu – nti okuyimirira nakwo tekweyawulidde kifo nti oba kuntaana mukiseera kyokuziika oba ekifo kyonna.

Kale netubeera nti tukifuna mubujjuvu ebyo ebiziyizibwa kumunanfuusi, bikkirizibwa kumukkiriza.

Nolwekyo, kuba kukakata okukirizibwa okulambuula entaana yomukkiriza nokumusomera Qur’an wadde nga myaaka kikumi egiiyiseewo.

Ebyo, byebikwatagana kunsibuko yokulambuula entaana okusinziira kukulaba kwa Qur’an, naye ekikwaata kundaba yazihadith:

Okulambuula entaana muhadith

Okusinziira ku hadith eziri mu bitabo – Swahih ne mu Sunan”, tukifuna bulungi nyo nti Nabbi (s.a.w) yagaana okulambuula entaana ekiseera kitono olwensonga ezeyawulidde, oluvanyuma olw’okugaana n’akujjawo, ate n’ayagaliza abantu okulambula.

Obeera olyawo, Nabbi kweyasinziira okusooka okugaana abantu okulambula entaana, lwakuba nti abafu abo baali ba mushirikina nga basinza amasanamu nga ate obusiram bwakutulawo enkolagana nabo. Kale Nabbi (s.a.w) kwekugaanamukko ekiseera ekyo ekitono. Mpozi, ekiyinza okuwagira ekyo, kwekulaba nga Nabbi (s.a.w) bweyalambulanga entaana oba okuziraba nga agamba nti “amayumba g’abakkiriza”.

Oba ensonga eyinza okubeera endala: nga engeri abasiraamu gyebaali nga bakyaali bapya, nga bakubira kuntaana ebiwoobe ebitakkirizibwa mu busiram, kale Nabbi (s.a.w) kwekusooka okubagaana, oluvanyuma, - olwekiragiro kya katonda – n’abalagira okulambula. Nabbi (s.a.w) yagamba: “Nali mbagaanye okulambula entaana, naye kati muzirambule kubanga zibakyayisa ensi era nezibajjukiza enkomerero”.([3])

Kale okusinziira kunsonga eyo, Nabbi (s.a.w) yali alambula entaana yamaamawe sayyidat Aminah bint Wahab (r.a) era nga alagira abantu okulambula entaana kubanga okuzirambula kulimu okujjukira enkomerero. Muslim agamba mu Swahih:

3- “Nabbi yalambula entaana ya Maamawe, nakaaba era nakaabya n’abo abaaliwo ... n’agamba: nasaba omulezi wange okunzikiriza okulambula entaanaaye, nanzikiriza, kale mulambule entaana kubanga zibajjukiza okufa”.([4])

4- Aisha yagamba:

“Mazima omubaka wakatonda yakkiriza okulambula entaana”.([5])

Era Aisha yagamba nti Nabbi (s.a.w) yagamba:

5- “Omulezi wange nandagira okujja e Baqi-e mbasabire katonda okubasonyiwa. Nengamba: njogera ntya, owange ggwe omubaka wakatonda?. N’agamba: gamba nti: emirembe gyibeere kubanannyini ntaana mubakkiriza nabasiramu. Katonda asaasire abaatusooka n’abo aboluvanyuma, naffe – katonda bwaliba ayagadde – tujja kubegattako”.([6])

Waliwo nebigambo ebirala ebiri muhadith ezenjawulo Nabbi byeyali ayogeranga mukulambula entaana, nga bino:

6- “Emirembe gyibeere gyemuli. Abange mmwe ekibiina kyabakkiriza, ffe namwe tujja kusisinkana mukifo kyenyini kino enkya, tubeere wamu, era naffe – katonda bwaliba ayagadde – tujja kubasisinkana, Ai katonda, nkusaba osonyiwe abafu abali mukifo kino baqi-e- limbo”.

Era waliwo ebigambo ebyajja muhadith endala:

“Emirembe gyibeere gyemuli abange mwe bananyini ntaana, abakkiriza nabasiramu, naffe – katonda bwaliba ayagadde – tujja kubasisinkana, mwe abaatusooka, naffe tunatera okubagoberera. Nsaba katonda atuwe emirembe awamu namwe”.([7])

Ne muhadith ya Aisha, tugifunamu nti, Nabbi (s.a.w) yali afulumanga buli kiro, kunkomerero yaakyo, n’agenda e baqi-e, n’agamba:

“Emirembe gyibeere gyemuli abanga mmwe ekibiina kyabakkiriza, katonda abawe byemwalaganyisibwa, n’olunako lwenkya mufune okwanguyirizibwa, era naffe – katonda bwaliba ayagadde – tujja kubasisinkana. Ai katonda, sonyiwa abantu abomukifo, Baqi-e limbo”.([8])

Nemuhadith endala, tufunamu nti Nabbi (s.a.w) yali alambulanga entaana n’abamu mubaswahababe era nga abayigiriza engeri eyokulambula:

“Omubaka wakatonda yali abayigirizanga, - bwebaalinga bafuluma okugenda eri entaana – omwogezi mubo yagambanga: emirembe gyibeere kubananyini ntaana – oba – emirembe gyibeere gyemuli, abange mmwe abali muntaana, abakkiriza nabasiramu, naffe – katonda bwaliba ayagadde – tujja kubasisinkana. Nsaba katonda atuwe emirembe awamu namwe”.([9])

Abakazi okulambula entaana

Ensonga esembayo, esaana okwogerwaako nayo, bebakazi, okulambula entaana. Mazima kyayogerwa muzimu ku hadith ZaNabbi (s.a.w) nti yaziyiza abakazi okulambula entaana:

“Omubaka wakatonda yakolimira abakazi abalambula enyo entaana.”([10])

Wabula kyeetagisa okwetegereza Hadith eyo mukugyesembesa kukugaana abakazi okulambula entaana olwensonga eziwerako:

(1) Abamanyi abasinga obungi batwaala okuziyiza okwo nga kuziyiza kwakutamwa butamwa. Era okutamwa okwo kwajja olwensonga ezeyawulidde ezaaliwo ekiseera ekyo. Nanyini kitabo “Miftahul Haajah fi Sharih Ibn Majah” agamba: “Baayawukana mukutamwa okwo oba kulaga bwaharaam oba kugaana bugaanyi. Abasinga obungi baagamba nti okukirizibwa weekuli singa ekikemo kiba kivuddewo”.([11])

(2) Muhadith ya Aisha, - nga bw’ogirabye – mazima Nabbi (s.a.w) yakkiriza okulambula entaana.([12])

Singa olukusa lwaali lweyawulidde basajja bokka, Aisha yalibadde akyoogerako engeri gyaali nti yye nga omwogezi mukazi. Ate era kimanyiddwa nti mumuzikiti gw’omubaka wakatonda mwalingamu n’abakazi era nga buli tteeka eriba lizze libuna bonna okujjako nga mubaddemu okwawula.

(3) Waliwo hadith gyetwogeddeko emabega nga Nabbi (s.a.w) ayigiriza Aisha byaasaana okwogera nga agenze okulambula entaana, era Aisha yali alambula entaana oluvanyuma lw’omubaka wakatonda.

(4) Tarimidh agamba – mukitabo kye: Abdurrahman bn Abi Bakar – muganda wa Aisha – bw’amala okufa mu “Junta”, baasitula omulambogwe nebagendo nebaguziika eMakka. Aisha bwajja emakka okuva e Madina, yagenda n’alambula entaana ya mugandawe era n’abeerayo nenyiriri bbiri ezobuyimba.([13])

Alhafidh Ibn Al-Arabi – eyayanjuluza Swahih Tarimidh – eyazaalibwa mumwaaka 435H, n’afa mumwaaka 543H, yagamba: “Ekituufu kiri nti Nabbi (s.a.w) yakkiriza abasajja n’abakazi okulambula entaana. Ate ekigamba nti mulimu okutamwa, ekyo kyasinziiranga kunnaku eyekitalo gyebaaberanga nayo nga bagenze okulambula entaana, nobutabeera nabuguminkiriza bumala, nokubeera nga tebekuumanga kukwebikkirira”.

(5) Bukhar atubuulira hadith nga ajijja ku Anas, agamba: “Nabbi (s.a.w) yayita kumukazi nga akaabira kuntaana, n’amugamba: tya katonda era oguminkirize. Omukazi n’amugamba: nvako, kubanga sigwe nanyini kufiirwa era n’afudde obadde tomumanyi. Nebamugamba: Mazima oyo gw’oyogera naye yeNabbi! Oluvanyuma najja kunyumba yaNabbi... n’agamba: mubutuufu, mbadde sikumanyi!. Nabbi (s.a.w) n’agamba: Mazima okuguminkiriza kubeerawo kukikangabwa ekisooka”. ([14])

Singa okulambula entaana kwaali haraam, - nga tekukkirizibwa – Nabbi yalibadde agaana omukazi oyo, naye olaba yamukuutira kutya katonda nakuguminkiriza mukiseera kyobuzibu.

(6) Mazima Sayyidat Fatima Zahara, muwala wa Nabbi (s.a.w) yaliinga agende okulambula entaana ya taabawe omuto – Hamza – buli lwakutaano oba okusukka omulundi ogumu, era yali asaaliranga awali entaana era n’akaaba.([15])

(7) Qurtubi agamba: “Nabbi (s.a.w) teyakolimira buli mukazi alambula entaana wabula yakolimira omukazi oyo alambula entaana buli kiseera. Nekiraga ekyo, kyekigambo kya Nabbi (s.a.w) “zuwwaratul quboor” kubanga ekigambo “Zuwwar” kiraga kuyitiriza nakuddingana”.([16])

Obeera olyawo ensonga eyavaako Nabbi okukolimira abalambula enyo entaana, kwekuyitiriza enyo okuyinza okuviirako omukazi obutatukiriza buvunanyizibwa bwamusajja, nokufulumafuluma okwaganibwa, nokusitula amaloboozi mukukaabakwe. Naye omukazi bwalambula entaana nga ebyo byonna tebiriiwo, tewabeera mutawaana gwonna kubanga entaana zijjukiza okufa nenkomerero ebyetaagisa eri omusajja n’omukazi bombiriri.

(8) Mazima okulambula entaana – mukiseera omuntu wafunira okukyaawa ensi neby’okwewunda kwabyo – kulimu omugaso ogudda eri omufu oyo gw’oba ogenze okulambula, kubanga mubiseera ebisinga obungi, mubeeramu okusoma essula “Alfatih” n’eweebwa omutima gw’omufu kubanga ky’ekirabo ekisinga obulungi omulamu kyasobola okuwa omufu.

Waliwo hadith ya Ibn Majah jatunyumiza okuva kuNabbi (s.a.w). Yagamba: “Musomere abafu bamwe YAASIIN”.([17])

Kale njawuloki eri wakati womusajja nomukazi – munsonga eyo – okulambula entaana okwomu kubo kubeera nga kukkirizibwa ate okw’omulala kubeere nga kuganibwa bwezitabeera nsonga ezo ezogeddwaako?

Oluvanyuma olwokukakasa nti okulambula entaana kukkirizibwa, tugenda kwogera kumigaso egifunibwa mukulambula entaana z’abaagalwa bakatonda abalongoofu. Ebyo tujja kubyogerako mukitundu ekijja.


 


([1])  Swahih Ibn Majah: Juzu 1, pg. 113.

([2])  g: 84.

([3])  Sunan eya Ibn Majah: Juzu 1, pg. 114, print Hindi, Swahih Tarimidh: Abwaabul jana-ez. Juzu 3, pg. 274 – kiri wamu nokwanjuluza kwa Ibn Al-arabi Almaaliki. Tarimidh bweyamala okuwandiika hadith eyo, yagamba: Hadith Braida ntuufu era nabamanyi bagikolerako, era tebalaba bubi mukulambula entaana, era ne Ibn mubaraka ne Shafi-e bwebagamba ne Isihaq”. Era ensonga eyo esangibwa mubitabo bino:

1-                             Swahih Muslim: Juzu 3, pg. 65.

2-                             Swahih Abi Dauda: Juzu 2, pg. 195.

3-                             Swahih Muslim: Juzu 3, pg. 65.

([4])  - Sunan Abi Dauda: Juzu 2, pg. 195, print. Misir.

-                                Swahih Muslim: Juzu 3, pg. 65.

-                                Swahih Ibn Majah: Juzu 1,  pg. 114.

([5]) Swahih Ibn Majah: Juzu 1, pg. 114.

NB. Kyebagamba nti Nabbi yasaba katonda okumukkiriza agende alambule entaana yamaamawe, bbo bagamba nti lwakuba yali – maamawe – mushiriki, naye tewali kubusabusa Amina – maama wa Nabbi – yali mukkiriza nga bataata baNabbi nebajjajjabe bwebaali.

([6])  Swahih Muslim: Juzu 3, pg. 64 – Sunan eya Nasa-e: juzu 3, pg. 76.

([7]) Sunan eya Nasa-e: Juzu 4, pg. 76 – 77.

([8])  Swahih  Muslim: Juzu 3, pg. 63.

([9]) Swahih  Muslim: Juzu 3, pg. 11.

([10]) Swahih Ibn Majah: kitabul Jana-ez, Juzu 1, pg. 478, 1st print, Misir.

([11])  Hawaash Swahih Ibn Majah: Juzu 1, pg. 114, print India.

([12])  Hadith ekyokuna emabega.

([13])  Swahih Tarimidh: Juzu 4, kitabul Jana-ez, pg. 275.

([14])  Swahih Albukhar: Juzu 2, kitabul Jana-ez, pg. 79.

([15])  Mustadirak Swahihain, ekya Haakim: Juzu 1, pg. 277 – Wafa-ul wafa: Juzu 2, pg. 112.

([16])  Sunan Abi Dauda mulimu “Za-eraat” mukifo kya zuwwarat.

([17])  Swahih Ibn Majah: Hadith 1448.

 

Index