back

Ekitundu Ekyekkumi N’omwenda

next

 

OKUSABA OKUTAASIBWA NABAGALWA BAKATONDA

Abaffe, kisaana okuwanjagira abagalwa bakatonda nokusaba okutaasibwa nabo mubiseera byobuzibu nemitawaana?

Ensonga eyo, eri emu kunsonga ezirimu okwawukana wakati wabawahaab nabasiraamu. Naye nga ate enkola yabasiraamu mubusiraamu, basaba okutaasibwa kwaaba Nnabbi n’abagalwa baktonda, era nebaba kowoola namannya gaabwe mubiseera byobu-zibu nobubenje obuyinza okusuubirwa nga tewali njawulo wakati wokusabira awali entaana zaabwe ezekitiibwa oba okubeera mukifo ekirala.

Okusaba okutaasibwa kuno, abasiraamu tebakulabamu bubi bwonna, oba shirik oba okulaba nga mulimu okwawukana kuddiini nga ate abawahaab balina okulwaanyisa okwamaanyi kwebateeka kunkola yobusiraamu eno eneyolefu nebatuuka nokuleeta Aya ezikwaatagana kunsonga eyo olwokwaagala okufuula obukyaamu bwaabwe okubeera amazima. Nga bwebesembesa ekigambo kyakatonda:

“Era mazima emizikiti gyonna gyakatonda, kale temusabanga awamu nekatonda ekintu ekirala”.

Olwokwaagala otegeere – owange ggwe omusomi – Aya zaQur’an abawahaab zebesembesa kundowooza zaabwe enfu katufulumyeeyo ezimu kuzo, olyooke otegeere amakulu gaazo amatuufu, ate noluvanyuma tujja kubazzissaamu Qur’an yennyini.

Zino zezi Aya zebesembesa:

“Y’alina okusabibwa okwamazima, n’ebyo byebasaba ebitali yye, tebirina kyebibaanukula”.([1])

“N’abo abasaba ebitali katonda, tebisobola kubataasa waadde bbyo byennyini okwetaasa”.([2])

“Nebyo byemusaba mukifookye, tebirina kyebifuga wadde ekisusunku kyentende”.([3])

“Mazima abo bemusaba mukifo kyakatonda, baddu nga mmwe”.([4])

“Bagambe: musabe abo bemulowooza abatali katonda naye tebasobola kubajjako buzibu wadde okubatuusaako embeera gyemwaagala”.([5])

 “Abo, beebo abasaba nga banoonya ekibasembeza ewakatonda”.([6])

“Togeza okusaba ekitali katonda ekyo ekitakugasa era ekitakukosa”.([7])

“Nebwemubasaba tebasobola kuwulira kusaba kwammwe”.([8])

“Era ani omubuze asinga abo abasaba ebyo ebitali katonda ebitasobola kubaanukula okutuusa olunaku lwenkomerero”.([9])

Aya ezo, Abawahaab zebesembesa kukuziyiza okusaba okuyambibwa nabagalwa baktonda n’okubasaba oluvanyuma lwokufa kuba ebyo byonna bibeera kubesinza nakugatta kukatonda.

Omuntu bwagamba – awali entaana yaNabbi (s.a.w) oba mukifo ekirala – nti “owange ggwe Muhamad abaffe aba amwesinzizza n’okumukoowoola okwo!!!

Swan-an agamba – omu kubawahaab:

“Era mazima katonda yaddira okusaba nakuyita okwesinza nga bweyagamba “munsabe nja kubaanukula, mazima abo abekuluntakiza kukunesinza…” Era omuntu bwakoowoola Nnabbi oba omulongoofu nga amusaba ekintu kyonna oba okumugamba nti “mpolereza ewakatonda mukyetaago kyange” oba “nsaba katonda okumpolereza nga mpita muggwe” oba ebirala ebiringa ebyo, oba okugamba: “mmalira ebbaanja lyange” oba “mponyeza omulwadde wange” oba ebitali ebyo, aba asabye Nnabbi oyo nomulongoofu oyo. Ate era okusaba kwesinza era nga bwebwongo bwaakwo, kale nabeera nga yesinzizza ekitali katonda ekimufuula okubeera mushirik, kubanga tawheed teyinza kubeera nzijuvu okujjako nga katonda ayawulwa munnesinza nokukakasa nti teri mutonzi wadde omugabiriza atali Allah, era nobutesinza kintu kirala kyonna ekitali yye wadde mukwesinza okumu, n’abo abesinzaanga amasanamu baayitibwa bamushirikiina olwobutaawula katonda munnesinza”.([10])

Okwanukula:

Mw’ebyo ebitaliimu kubusabuusa, ekigambo “Dua” mululimi oluwarabu kitegeeza: kukoowoola, era ebiseera ebimu kikozesebwa nga kitegeeza Ibaada, okujjako nti tekisobokka kuddira njatuza ezo zombi kugamba nti amakulu gegamu era tetusobola kugamba: buli dua, Ibaada, olwensonga zino ezijja:

(i) Qur’an eyekitiibwa yakozesa ekigambo “Dua” mubifo bingi, naye tetuyinza kugamba nti ekigendererwa mukyo, Ibaada. Ekyokulabirako; Allah agamba:

“Yagamba: Ai katonda mazima nze nkowodde ekibiina kyange ekiro nemisana...”

Abaffe, kibeera kituufu okugamba nti Nabbi Nooh(a.s) yategeeza mubigambobye nti yesinza ekibiinakye ekiro nemisana?!

Yongera okusoma ekigambo kyakatonda okuva kululimi lwa Ibliis bwaliba ayogera eri aboonoonyi olunaku lwenkomerero;

“Nze sabalinaako bufuzi okujjako nti nabakoowoolanga bukoowoozi nammwe nemunnyanukula”.([11])

Abaffe, waliwo gwekiyinza okujjira mubwongo nti dua ya Shaitan eri aboonoonyi, kubeera kubesinza!! Awamu nokukimanya nti Ibaada – bwebeera kutuukirira – ebeera muboonoonyi eri staane sossi kuva muyo eri bbo.

Mu Aya ezo ebbiri – nendala nyingi  zetutaleese – zirimu ekigambo “Da-awa” naye nga tekitegeeza Ibaada, era tetusobola kugamba nti Dua ne Ibaada bitegeeza mukulu gamu oba okugamba nti omuntu bwasaba omu kubaNabbi oba abagalwa baktonda aba amwesinzizza oba aba agasse kukatonda kubanga da-awa ne dua bigazi okusinga Ibaada.

(ii) Amakulu ga Dua mu Aya Abawahaab zebesembesa tekitegeeza kukoowoola oba kusaba kwokka, wabula kitegeeza okusaba nga kulimu amakulu ga Ibaada kubanga Aya ezo zonna, zakka kulwansonga y’abo abesinzaanga amasanamu era nebagakakasa nti baktonda abato era baaweebwa obuvunanyizibwa obumu obwokutambuza ensonga zensi era galina okwetaaya okwobwetwaaze munkola y’ago.

Era kimanyiddwa nti okusaba kwonna eri amasanamu ago – mubika byaago byonna – awamu nenzikiriza nti gegalina okuwolereza nokusonyiwa, kubeera shirik, nakugesinza.

Mpozzi, obujulizi obusinga okubeera obweyolefu kukulaga nti abesinza amasanamu baagasabanga awamu nokugateeka mukifo kyakatonda, kyekigambo kya Allah:

“Amasanamu gaabwe tegalina kyegaabayamba ago gebaali basabanga mukifo kyaktonda...”([12])

Nolweekyo tewali kukwaatagana wakati wa Aya zebaleeta nokunoonyereza kwetuliko, kubanga okunoonyereza kwaffe, kukwaata kumuntu kusaba kutaasibwa namuntu mulala awatali kumukakasa nti mutonzi, oba waliwo obuvunanyizibwa obwokwemalirira mukutambuza ensonga zensi oba enkomerero, wabula nga amukakasa nti muddu mulongoofu era wakitiibwa eri katonda, yalondebwa okubeera Nabbi oba Imam era nalagaanyisibwa okwanukula okusabakwe bw’abeera nga asabidde omuntu, nga Allah bwagamba:

“Singa mazima bbo, mukiseera kyeberyazaamaanyirizaamu emitima gyaabwe baakujjira, nebasaba katonda okusonyiyizibwa, n’omubaka naye n’abasabira okubasonyiwa, balisanze katonda nga musonyiyi era musaasizi”.([13])

(iii) Mu Aya Abawahaab zebesembesa mulimu ekiraga nti ekigendererwa mu “Dua” kwekwesinza awatali makulu malala.

Wetegereze ekigambo kya Allah:

“Era yagamba omulezi wammwe, munsabe nja kubaanukula, mazima abo abekuluntakiza kukunesinza bajja kuyingira omuliro Jahannama nga baffebezeddwa”([14])

Katonda yaleeta ekigambo: “munsabe”, n’akigoberezaako “Okunesinza” amakulu nti ekigendererwa mukusaba mu Aya eno kwekwesinza katonda n’obutesinza ebitali yye.

Nolweekyo, bamushirikiin baali bekuluntalizanga kukumusaba nokumwesinza(s.a).

Muzzukulu womubaka wakatonda – Imam Zainul Abidiin mukusabakwe:

“... n’oddira okusaba, nokuyita Ibaada, ate n’oyita obutakusaba, obwekuluntaze, era n’olagaanyisa okukuleka, okuyingira Jahannam mungeri eyokuswaazibwa”([15])

MuQur’an mulimu Aya bbiri nga zirina amakulu gegamu. Emu kuzo yakozesebwaamu “Ibaada” neyokubiri: “Da-awa”

Esooka:

“Gamba: musinza ebitali katonda ebitasobola kubakosa wadde okubagasa”([16])

Eyokubiri:

“Tusabe ebitali katonda nga ate tebitugasa wadde okutukosa”([17])

Era agamba:

“N’abo bemusaba abatali katonda tebalina byebafuga wadde ekisusunku kyentende”([18])

Mu Aya eno, mulimu ekigambo “musaba” ekitulaga nti okusaba okwo kusaba masanamu kubanga bamushirikiina baali bagakki-ririzaamu nti bebakatonda baabwe mukifo kya Allah era nga balowooza nti gakosa, kale katonda kwekubaddamu nti tegalina buyinza wadde kukisusunku kyentende.

Amakulu ago gennyini gajja munjatuza “ta-abdun” mu Aya:

“Mazima abo bemusaba abatali katonda tebalina kyebayinza kubagabirira”([19])

Ne mu Aya endala mulimu ebigambo bibiri naye nga amakulu gaabyo gegamu:

“Bagambe: nze naziyizibwa okwesinza ebyo byemwesinza mukifo kyakatonda”([20])

Owange ggwe omusomi owekitiibwa, nkusaba onoonyereze mukitabo “Almu-ujam alfahares li-alifadhil Qur’anil kariim” maadda “abada” ne “Da-a” olyoke olabe engeri enjatuza “Ibaada” gyeyajjamu mu Aya, ne “Da-awa” mu Aya endala nga byombiriri birina amakulu gegamu.

Ekyo nekibeera nga kitegeeza nti ekigendererwa mu “Da-awa” ne “Dua” mu Aya ezo, ye Ibaada sossi “Dua” kyokka.

Bw’oba wetegerezza, Aya ezirimu enjatuza “Dua” ne “Da-awa” nga zitegeeza Ibaada olabiraddala nga Aya ezo zoogera kulutabo wakati wa Iman nabukaafiiri, wakati wakwesinza katonda natawheed, n’okukkiriza obwakatondabwe nobulonzibwe, newakati wokwesinza amasanamu nokukakasa okugabirira kwaago, n’okusonyiwa n’okuwolereza n’okugasa nokukosa.

Kale okwesigamira kwabaWahaab ku Aya zino nebalyoka baziyiza okusaba nokukoowoola Bannabbi n’abagalwa baktonda nokubasaba okutaasibwa, kwewuunyisa okusinziira kubutakwa-atagana kwaazo nensonga gyetuliko.

Mpozzi okufuna ebyo, ebivudde mukunnonyereza bwogamba “owange ggwe Ali” nga oyogera nomusika womubaka wakatonda oba “Yaa Hussein” oba “Yaa Zahara” oba n’amalala mumannya gabagalwa baktonda abatukuvu, tewabeera buzibu bwonna, wabula ebeera ngeri yakusaba kutaasibwa n’abo – emirembe gyibeere kubo – era enkola eyo nnungi eyagalibwa kubanga omuntu awona obuzibu, n’ataasibwa okuva mukuzikirira.


 

([1]) 13: 14.

([2]) 7: 197.

([3]) 35: 13.

([4]) 7: 194.

([5]) 17: 56.

([6]) 17: 57.

([7]) 10: 106.

([8]) 35: 14.

([9]) 46: 5.

([10]) Kashiful Iritiyaab: pg. 274, okuva ku Tanziihil e-etiqaad ekya Swan-an.

([11]) 71: 5.

([12]) 11: 101.

([13]) 4: 64.

([14]) 40: 60.

([15]) Shiifatu Sajjaadiyya, Dua ne 45.

([16]) 5: 76.

([17]) 6: 7.

([18]) 35: 13.

([19]) 29: 17.

([20]) 6: 56.

Index