Ku mukama katonda kwetwesigamidde nga tumusaba okutuyamba, era ngatusaba katonda asse ebyengera ne mirembe ku mubaka we omusengejje Muhammadi ne kubantube abalunji ab’atukuzi bwa.
Omubaka wa katonda (saw) yagamba nti: mazima nze nsikizza mummwe ebizito bibiri bwemun’abeeranga mubyekutteko byombiriri temugenda kubula oluvannyuma lwange. Ekitabo kya katonda Qur’an, n’abantu bennyumba yange. Kulwensonga nti katonda omukwata mpola era omumanyi yambuulira nti mazima ebintu ebyo byombiri tebigenda kwawukana okutuusa lyebirijja gyendi kulunaku lwe nkomerero, kale mutunuulire ngeriki gyemunsikizamu mu bintu ebyo byombiriri.
Hadiith eyo enjatiikirivu era nga nkakafu Abasunni n’Abashia ebibinja byombiriri ebya Aba siraamu byagyegattako nti ntuufu. Okwongera kubukakafu obw’oku beera nti yaviira ddala ku Nabbi (saw) etwalibwa nga erina emigaso mingi era ebalibwa mubintu ebyo Nabbi (saw) byeyalangirira nti bijja kubeerawo era bwekityo byaliwo, n’ebeera nti yemu ku bikakasa obwa Nabbi bwa Muhammadi (saw). Olwensonga nti Nabbi (saw) yagy’ogera emirundi mingi mubulamubwe obw’ekitiibwa yagy’ogera nga ali mu Hijjatul widaae, n’agyogera mulunakulwe nga akomawo okuva mu Twaefa, n’agyogera nga alimu kisenge ekijjudde ba maswahababe mubulwaddebwe bweyafiiramu, nemubifo eby’eby’obufuzi ebirala binginnyo.
N’akabonero akasinga obunene kubukakafu bwa Hadiith eyo nti ntuufu ye Aya ey’ekitiibwa egamba nti: [ye tayogera nga abijja kukwagalakwe okujjako bya Ayogera bubeera bubaka obutumibwa gy’ali]. Eyo ye Hadiith ey’ekitiibwa.
Kati ekibuuzo kiri nti Nabbi (saw) yajjawa okumanya nti abantube abatukuvu bebaddirira ekitabo kya katonda ekye kitiibwa era yategeera atya nti abantu bennyumbaye n’ekitabo eky’ekitiibwa tebigenda kutuusibwaako bulimba okuva gyebyaava okutuusa gyebirikoma. Tebivaamu bulimba ate tebiyingizi bwaamu bulimba. Era nti mazima abantube tebagenda kwawukana ku kitabo era ekitabo kya katonda tekigenda kubaawukanako, okutuusa lwebirituuka eri Nabbi (saw) kuluzzilwe kulunaku lwenkomerero.
Bwekibeera bwekityo, kibeera kikakafu mukwanukula tugambe nti Nabbi (saw) okumanya ebintu ebyo byonna ya kujja ku katonda omugulumivu yeyamuyigiriza ebintu ebyo okusinziira kwekyo kweyayimirira n’atekerawo ekibiinaakye eky’obusiraamu ekkubo ery’obulunngamu okuva kububuze.
Eyo Hadiith etutegeeza nti omuntu bweyekwata ku kitabo eky’ekitiibwa ne kubantu bennyumba ya Nabbi (saw) abatukuvu abeera nga afunye obusiraamu okuva munsibuko y’abwo ensengejje, kulw’okubeera nti abujje kuba nannyini kumanya, abo beba nannyini Nnyumba eyassibwaamu Qur’an, era abo bebasinga okumanya obwennyini bwa Qur’an, ne Aya ez’asangulwa n’eza-sangula, ezibuna n’ezeyawuli dde, amakulu ag’omunda n’agokungulu nensonga ezagissizza okusingako abantu abalala abo abajja oluvannyuma lw’abwe.
Omuntu an’onyereza okukakasa era nga kakensa agoberera amazima alaba nti mazima ekibiina ky’o-busiraamu tekyategeera madhihibu nabibinja ebyenjawulo ku mulembe gwa Nabbi (saw) wabula ky’akanyugirwa neky’okebwa n’omuliro gwenjawukana ezo luvannyuma lwa kufa kwa Nabbi (saw) era luvannyuma lwa kuva kuddaame lyeyaleka akoze nebatambulira kukyennyume ky’alyo.
Mutunuulire ekigambo kya ZAHARA (as) mu khutubaye enjatiikirivu gyeyayogerera mu masijidiya Nnabi oluvannyuma lw’okufa kwa Nabbi (saw) mukiseera ekyo masijidi yalinga ejjudde ba muhajiriina (abantu abasenguka ne Nabbi (saw) okuva emakka) ne ba Answari be (bantu abataasa Nabbi (saw) nga atuuse mu kibuga madiinah). Zahara (as) yagamba nti: katonda yabafuulira obukkiriza nga kyekyokutasibwa kwammwe okuva ku shiriki (okugatta ku katonda).
N’abateekerawo Esswala nga yakubajjako kweku-luntaza … okutuusa lweyagamba nti: N’okutugondera ffe nga yentegeka entuufu mukutereeza abantu, N’abafuulira obukulembeze bwaffe ((Imaamah)) nga kyakubawonya okuva mukuzikirira. Ndayiddekatonda, mazimaye yayo-gera mazima era akakasibwa kubanga byeyayogera byava kululimi olumanyi eby’ekyama. Kati abantu nebabeera nti tebategeera madhihibu nabibinja ebiri mubusiraamu era tewali kyasinga kubajja kunjigiriza eyabalaamirwa okujjako kulwakwesamba, kwaabwe nebava kukkubo nenjigiriza ya Abantu bennyumba ya Nabbi (saw) abatukuvu, ekkubo nenjigiriza y’obusiraamu eyakuutirwa okubeera nga eta mbulirwaako.
Owange ggwe omusomi owekitiibwa: kino ekitabo ekiri mumaasogo kyekisinga obulungi okubeera nti kukyo kwosinziira okwawula wakati w’amazima n’obulimba, wakati w’ekituufu nekikyaamu. Kale sooka ozze ku mabbali ebintu byewasikira okuva kubasooka nga sibituufu; kozesa amagezigo n’okulowoozakwo era obeere mwenkanya mukulamulakwo ojja kusanga kunkomerero yabyonna nti mazima ekkubo nenjigiri ya ba Ahlul bait (abantu bennyumba ya Nabbi (saw) nga eriwamu n’ama-zima mirembe nannaku okutuusa kunkomerero.
Okusinziira kubwesigwa okuva mu kitongole kya ((IMAMU ALI (as) FOUNDATION)) ekyo ekyetikka obuvunanyizibwa obw’okutuusa amazima n’obulunngamu mun-nimi ezenjawulo eri abantu bonna ((okusinziira kunjigiriza ya Abantu bennyumba ya Nabbi (saw) )) kyasa-lawo okuvvuunula ekitabo kino, n’okukiteeka mumikono ne mumaaso g’omusomi ow’ekitiibwa.
Omubaka wa katonda (saw) yagamba nti: Owange ggwe Ali (as): singa mukama katonda alunngamya n’awe omusajja omu kululwo, ekyo kyekisinga obulungi okusingako ebintu byonna ebiri munsi okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.
Abaffe: Ntusizza obubaka, Ai, mukama katoda gwe mujulizi nkusaba ojulire.
OFFICE
IMAAMU ALI (as) FONDATION.
Amatendo gonna ga mukama katonda omulezi w’Ebitonde byonna, Ebyengera n’Emirembe bibeere ku Nabbi w’obulunngamu, imaamu w’abatya katonda muha-mmadi ne kubantu be abatukuvu ne ku ba swahababe abatukuza be Nniya, nabuli kwoyo eyabagoberera mukukola obulungi okutuusa kulunaku lwenkomerero.
Oluvannyuma lw’ebyo:
Mazima ekyo abawalana ba Ahlul bait kyebakakasa kubagoberezi b’abwe, bya swakaba era bya bulimba nakuwubisibwa okuyitiridde okutegeeza okubalwaanyisa n’okukakasa ekituufu kyennyini eky’ebyafaayo nga lwelulyo olutukuvu olwebuuzibwaako mu busiraamu. Eky’okulwanyisa eky’ali kisinga amaanyi eranga kyeki-singa byonna okukosa n’okuyisaamu ebifu, kye-ky’okulwanyisa eky’okulangirira eby’obu limba ekya-kozesebwa n’abafuzi abalyazamaanyi mubyafaayo neki-kakasibwa nekibinja kya abawahaabi kunkomerero, okutuusa lwebatuuka n’okukafuwaza abasiraamu abalala; kimala bumazi okubeera nga ebibinja byóbusiraamu byonna bya Vumirira enkola ey’ekiwahaabi, ebibinja ebyo biwera bikumi bisatu mu’ Ataano, byonna byagaana enkola eyo era ne mubitabo ebinene ebyatungibwa mu kibiina ky’obusiraamu musangibwaamu okugaana ekibinja kya aba wahaabi.
Nawano kati tugenda kusoma kubintu ebisinga obukulu nga bikwaata kukuwubisibwa okwo n’obulimba obwasaasaanyizibwa mundowooza nenzikiriza, ekyo kijja kubeera nga okuyingira mu ssomo eranga kuli mu bitundu bisatu.
Yo nga entandiikwa oba okwalibadde nga okuyingira, tujja kutambulira ku khutuba ya Amiiril mouminiina (Ali) (a.s) muyo mwetugenda okubikkulira kubyaaliwo mubyafaayo byenzikiriza n’okulowooza nga ebyo bye-kweeka mabega we bigambo bya Amiiril mouminiina (a.s) mu khutuba eyo eyennyamiza. Nga ate ebikkula ku mazima gennyini.
Oluvannyuma, mu kitunda ekisooka tugenda kusomeramu: obukulembeze n’busigire nensonga y’oku-sigira mu buwandiike n’okubeera nga kyayatiikirira awa-tali kubuusa buusamukyo kukutongoza omusigire, ate era tusomeremu eby’akonjerrwa kunsonga eyo ekyo tugenda kukigabanyaamu emirundi ena. Oba ennonyereza za mirundi ena.
Mu kunonyereza okusooka: Tugenda kwanjuluza ensonga y’obuwandiike nenjigiriza oba ekkubo lya nabbi ku nsonga eyo, ate mu kunonyereza okw’okubiri: Tugenda kw’ogera ku bukakafu bw’obuwandiike ku ba lmaamu mu bantu be nnyumba yaNabbi (a.s) oluvannyuma lwa Amiiril mouminiina Imaamu Ali (a.s), mu kunonyereza okw’ok-usatu: Tugenda kw’ogera kunkonjera n’ebyayogerwa kunsonga eyo.
Oluvannyuma kunkomerero, mukunonyereza okw’okuna: Twanjuluze abasiraamu kyebatuukako mu muby’obulimba n’okuyingizaawo ebitasaana munsonga eyo ey’akabenje mubyafaayo by’obusiraamu N’Aba-siraamu.
Naye Ekitundu eky’okubiri ekyo tukitongozezza nga kya kw’ogera kubijweteke n’obulimba ebyasibibwa ku ba shiya ba Imaamiyya mundowooza nemunzikiriza.
Ensonga eyo erimu okunonyereza kwa mirundi ebiri, mu kunonyereza okusooka tugenada kwoogera kubutuufu bwa Qur’an okubeera nti tekyuusibwanga, eyonga yenzikiriza ya ba Imaamiyya era abakuga nebakakensa mubamanyi baabwe bonna be gattiro kundowooza eyo, era tugenda kwógera kubyazuulwaawa kubashiya ba imaamiyya mu nsonga eyo.
Mukunonyereza okw’okubiri: Tw’ogereddemu kunsonga y’okukyuusa kwa katonda mwekyo kyeyamala okutegeka, n’ebyo ebyagoberezebwa kunsonga eyo nga byakulimbisa ku ba shia, n’okunnyonyola ebikolo by’ekigambo Bada’a n’amakulu g’akyo eri abashia ba Imaamiya nga tuyise mubufunze okusinziira kukigero kyempapula z’ekitabo kino, bwetumaze netunoonyereza kubyafaayo bya sunna entukuvu “Hadiith”naddala kuludda lw’okubeera nti zatuusibwaako akabi muntandiikwa y’ebyafaayo mubusiraamu, okugeza nga okugaana okuziwandiika okwonoona eza kungaanyizi bwa muzo, nebyavaamu ebyaakabenje ebyaliwo mubusiraamu nemundowooza Yenzikiriza y’obusiraamu kwebyobyonna. mu kitundu eku’okusatu eranga ky’ekisembayo mubitundu by, okunoonyereza kuno, ate nga tuyise mubufunze netukiteeka kussomo erigamba nti: okulingizaako ku byafaayo bya sunna za Nabbi ez’ekitiibwa, nga tusuubira nti essomo lino lijja kubeera ekkubo ly’okutegeera ebisinga obungi mubikakafu kumusingi gw’okumanya.
Ne katonda ya sobozesa okutuuka kukituufu.
Tugonza okunonyereza kuno ne khutuba ya Amiiril mouminiina (a.s) tulungamye nayo ebyo ebisaana okulongoosa mu birina okw’ogerebwa mu kutandiika kuno:
Amiiril mouminiina Ali (a.s) Yagamba nti: Abange muwuliirize mazima nze byensinga okubatiisa biri ebintu bibiri: Okugoberera okwagala, n’obuwanvu bw’oku-suubira.
Okugobererara okwagala kwo, kwesambisa amazima n’ogavaako, ate obuwanvu bw’okusuubira bwerabiza enkomerero.
Abange mazima ensi egenda etukuba amabega, ate mazima enkomerero yo gyetwolekedde mumaaso, nabuli kimu mubyo byombiriri kirina abakyettanira kale mubeere abettanira enkomerero, naye temubeera abettanira ensi, kubanga olw’aleero kukola nga tewali kubalibwa ate enkya lwakubalibwa tewali kukola.
Mazima entandiikwa y’okugwaawo kwa fitina yava mu kugoberera kwagala kwa mitima. n’amate eka agazu-ulibwaawo nga galimu okwawukana ku kulamula kwa katonda, gafugirwaamu abasajja n’abasajja. Bannange singa amazima gaalinga ga gobereddwa tewalibadde kwawukana, ate singa obulimba bwalinga bulekeddwa tewalibadde kutya wa magezi nga simumanyi. Naye eky’omukisa omubi kwekujja wano ekikunsu nawali ekikunsu nebitabulwa wamu byombi ate nebigumizibwa mulundi gumu, eyo gyewesangira nti sitaane ekulembera mikwaano gy’ayo, ate nebagiwona abo abakulembeza okulongoosa okuva eri katonda…
Khutuba eno eri mu khutuba za Amiiril m’ouminiina ezisinga okubeera enjatiikirivu ku Imaamu Ali (a.s) era mpanvu nnyo, naye ffe tw’ogeddeko kitunda kyayo kulwekyetaago kyetwagadde mu kunonyereza kuno, Aba-shia n’abasunni bagyogera, era mwaabo abagy’ogerayo-nna oba ekitundu kyaayo – nga bagijja ku Imaam Ali (a.s):
1 – Ahmad bin Muhammad bin Khalid Albarq (YF mu mwaka 274 oba: 280 AH)[1]
2 – Al kaatibu Al Abbasy ibin Waadhih Alyaaquubi (YF 284 AH).[2]
3 – Thiqatul Islaamu, Abu Jaafar Muhammadi bin Y’aquub Al Kulainee (YF 329AH) mu kitabo osuulul Kaafee ne Rawudhat ya kyo,[3] twagijjulula okuva ku Al Kulain kulwekitendokye okubeera nga yaasinga obwe-sigwa mubantu mukujjulula Hadiith era nga y’abasinga obunyweevu eri abashia.[4]
N’ekitendokye ekirala okubeeranga ye mutandiisi we kyaasa eky’okusatu okuva mumasenguka nga obujulizi buva kuba manyi be kisunni, mubaraka muhammad bin AlAthiir yamwogerako nti ali mwaabo abazza obujja ekyaasa eky’okusatu[5] n’abalala bangi ba mw’ogerako[6].
4- Abu Hayyaan Attawuhiid (YF 400 AH)[7]
5- Asseyid sshariif Rradhee (YF 404 AH) mu byeyakungaanya mu khutuba za Imaamu Ali (a.s) nemubigambo mu Nahajul balaagha[8].
6- Sa-ed bin Hibatillah amanyikiddwa nga Al Qutub Rraawandee (YF 573 AH)[9]
7- Ibin Abil Hadiid Al-muutazilee al Hanafee (YF 650 AH).
Okutuusa abantu abagoberera okwagala kwabwe lwebazannyira kumazima ge yajja nago, oba okukoowoola kwe tekutuusizza bantu kumazima ago agaba tuusa kukigedererwa kya katonda omugulumivu kimala okubeera nti katonda atuma nabbi omulala nga akowoola enkowoola eyo ba Nabbi abasooka gyebaaliko n’abatume (a.s) oluberyeberyerwe.
Bwatyo nannyini kitangaala byeyakola mukutambuza ennuur mubyasa ebyasooka, nga abuulirira obubaka bwa katondawe, nabuli kabonerokonna keyolekera eri abantu nga kava muye mukasee ra akatono.
Okutuusa ekizikiiza lwekyatuuka okugwawo n’obusiru nebutuuka kunkomerero y’abwo, abantu nebeteekerawo bakatonda abalala abatali Allah, kulw’obutamanya nebavunnamira buli Jinja lyonna!!
Owenkomerero muba Nabbi n’ababaka Abu kasim muhammad (saw) yatumibwa nga musanyusa, mutiisa, mulunngamya, nga ayita okudda eriekkubo eggolokofu, nga awonya abantu bonna:
[Tetwakutuma ggwe (muhammad) Okujjako nga kyakusasira eri ebitonde byonna][10] teriiyo Nabbi wadde omubaka yenna oluvannyumalwo.
[mubaka wa katorda era owenkomerero mu ba Nabbi][11]
tewali Ddiini ekkirizibwa okujjako eddiiniye ey’ekitiibwa.
[N’omuntu an’onya Eddiini etali ya Busiraamu agifunle eddiini tegenda kukkirizibwa muye ate kunkomerero agenda kubeera muba fafaganirwa][12]
Tekiriwala nnyo kubasiraamu okubeeranga bafuula eddiini eyo entereevu nga erimu amakubo amawuka-muyawukamu, okusinziira kukibiina ekiyitibwa “Annaajiyya” kubanga byonna ebibiina okujjako ekyo, tebagamba nti eddiini eyo sintuufu, kubanga byounna tebisobola kubeera ku mazima, engeri gyegalimu enkeeyana nga tezitegeerekeka kubeera nga za muddiini eyenkomerero.
Eddiini wonna weyingirizibwaamu ebitali byamu, oba okujjamu ekyaamu kulwa fiitina ey’ekitulu, eyo tebeera ddiini emala byetaago bya bantu, era tebuulirira magezige nendowoozaye ey’owaggulu kubanga ebeera ddiini eyatabulwaamu obulimba nga ate ekyo kya bannannyini Bidia abagoberera okwagala kwaabwe.
Naye eddiini y’amazima ngateriimu ba nabidia abagoberera okwagala kw’emiti ma gyabwe, tewaba kubuusa buusa mu kubeera nti eyo yeddiini ya ba Ahalul bait ya Nabbi (S.A.W), kubanga ya munkola ya katonda ennyweeve. N’okutuukiriza okwa amazima okwesigibwa. Nekulw’okubanga bo (a.s) kibondwe kya ilimuye (saw) era bo kirombe kya mageziga[13] nga bwekigambibwa nti nan-nyini nnyumba y’asinga okumanya ebigibeeramu.
Singa tuba tuzze eri eddiini ya ba Ahalul bait (as) eyo eddini eya amazima katonda gyeyalagira nayo twesanga nga ebitundu byayo bikwatagana olukwatagana oluny-weevu era olugumu ennyo. Nga mulimu okumanya kubye nzikiriza nga entadiikwa yabyo kumanya katonda n’ebimukwatako, ekisembayo nkomerero. Ate waliyo enneesinza nenkolagana nga byajjibwa mububaka n’obwa Nabbi obunyweevu ngabwa kakasibwa mubuwandike.
Nabyonna omubaka byeyayogera bya mazima, n’okubigoberera kugoberera Ilimu. Kubanga ekyetagisa kumanya mazima ga Nannyini kuby’ogera. Abagoberezi ba Ahalul bait (as) bekakasaako bennyini obutakkiriza kintu kyonna okujjako ngabama ze kwetegereza mubyajjuluwa n’ebitegeerwa mubyo, nebyafaay o byabwe bimanyikiddwa n’ekyo, Yensonga lw’aki bayitiriza okutunga ebitabo mu Aqiida mubasiraamu bonna[14] era nga mu kuteeka amateeka munkola balina kugoberera omukenkufu abasingako akumanya[15]
Okutuusa nekufatuwa ez’amateeka mubufunze singa tewafunyise bukakafu kutteeka mubujjuvu.
Wano tulina okukyanjula nti abagoberezi ba baAhul bait (as) be bashia ba Imaamiyya ekkumi n’ababiri so sibasiraamu bonna, ekiraga kwekyo kwekwekuumira kubuwangwa bwa ba Ahlul bait (as), singa tebaali kubeera bo tewalisanze mu buwangwa bwa ba Ahalul bait (as) kintu kyonna okujjako akatono ennyo okayinza okwesembesebwa nako kubyenzi kiriza n’omateeka. Balina kulw’obukakafu bw’okugoberera ba Ahalul bait n’akubeekwatako balina amakumi g’abubonero bwebe-gatta wamu n’abasiraamu bonna mu kubujjulula, naye kino sikifo kya kwogera kawonvu na kagga.
Ate singa tewaaliwo kabonero konna okujjako Hadiisi thiaqalainin yali maze. Naye omululu gwe mitima n’okw’okya kw’obutonde bwagyo, gyasalawo okusobya eri Nabbi (saw) negirinnyirira ekifookye ekya waggulu mu ba Ahalul bait muntandiikwa nekunkomerero oluvan-nyuma Lw’okufaakwe okutuusa Nabbi mubiseera bye ebyasembayo lweyagaana okukakasa ekulaamirakwe kubo (as) nebamusiibula mu maloboozi amazito, okutuusa lweyagamba (saw) nga bwekiri mu sihaahi ya abantu nti: “muve wendi”!.
Maziima bo bategeera ekigendererwa bulungi mu kugamba nti: “mumpe kalaamu”[16]
Nabwekityo Eddiini Yasiigibwa kala etali y’ayo oba nga omuwandiisi omumisiri Ashafi –e bwagamba amanyiki ddwa nga A’bdul Fattaah Abdul maqusuud”nga ayogera ku ku Hadiisi ya Saqiifah eyafa kubasiraamu oluvannyuma nga agamba nti: kimala okubeera nga ya kyuusa ebyafaayo by’obusiraamu, oba yagizigula n’ekifa-ananyikyaayo ekya siyasa nebbala eritasaana, obanga bwekyaali tekirowoozebwa, olwo amabala negawera agengeri n’emitindo.
Kisoboka kitya obutabeera nga ate muddini mwaj-jibwaamu ebyali ensibuko ye ddini, ne muyingizibwaamu ebyali nga sibyamu, abaddawo oluvannyuma nebatambu-lira kubyateekebwaawo n’abasooka n’okutuusa olwaleero, N’olaba abamu nga bakowoola n’erinnya lyeddiini eri ekigende rerwa ekitali kya mubigendererwa byaddiini, nempisaezi tali z’amu, n’okulamula okutali kwaayo, okutuusa ebyetamibwa lwebyafuuka ebirungi ngabikole-rwaako okweyagaliza. Kulw’okukwatagana n’okwagala kwaabwe n’obwagazi bwabwe mumitima gyabwe, ate ebirungi nebifuuka ebyetamibwa ngatebirina mukuumi abikuuma wadde omukingirizaabitaasa, eddiini neddayo nga mpya nga bweyali. Kulwe ebyo byetulaba muby’obulimba kulinnya lyaayo.
Nabwekityo kwali kunyiikiirakw’oyo eya nyiikiira nga agenderera kusembezaayo mazima akugajja kuba nan-nyinigo gamenyebwe n’obumu bweddiini, newazuukawo ebibinja, amaanyi negaggwaawo! Ekisinga obubi mwebyo byonna, mazimaggwe bw’obeera toyimirizza bano-onyamazima nabutuufu kubifo bye ndwadde, abamu badda kunjogera y’abasira nti: yagaana mubi eraavuma baswahaba” mubwangunnyo ngabesembesa kwekyo nti kunyiikiira era buli munyiikiiva alina okunyiikiira newankubadde mukugaana Nabbi (saw) okuwandiika ekiwandiiko ekyo singa ekibiina kikyekwaatako tekiyinza kubula oluvannyumalwe.
Era alina okunyiikiira mukwesambisa eddaamerye[17] n’omulyango gwa ilimuye, [18] era alina okunyiiza ekitundu ky’o yo eyalondebwa, era atiisetiise abali munnyumbaye n’o kubookya n’omuliro[19] newankubadde nga mulimu omuntu katonda gwa sunguwalirako kulw’okusungu-walaakwe era n’asiima kulw’okusiimakwe[20] era alina waggulu wébyo byonna okunyaga omugabogwe, era anyiikiire mu kusembe eza omuntu eyagobebwa, n’okugoba eyasembezebwa[21] n’okvwasa mubalabe ba katonda n’omubakawe, n’okubuuka ebikomo bya katonda n’okubisukka wamu n’okukuba abajulizi abenkanya n’okugabira khumusu kub’okumpi okuleka abantu ba Nabbi, n’okuziyiza mutia zombiriri[22] n’okusangulawo Hayya Ala Khariul Amali[23] n’okwo kya Hadiith n’okuzigaana okuziwandiika.[24]
N’okugoba awatali kugendera ku sunna, n’okuyonsa omukulu newankubadde nga alina ekirevu neyetaba mulutalo Lwa badiri nga bw’ojja okubiraba! N’okuzannyira kukitiibwa kyekibiina nga bakwaasa Baitil maali abanta abakyaamu oluvannyuma lw’okugoba abeesigwa, n’okutegeka ekkubo mumaaso g’omuti omukoli mire[25] n’okuziyiza abantu okulagira okukola obulungi n’okuziyiz za ebibi nga babagobera mu Ribudha[26]!! Wabula mbu alina okunyiikiira n’awa ne shariya nga swalaat dhuha enzuule y’awo, siri nze amanyi kiki ekya kakasa kwoyo eyagitandikawo okugitenda nekigambo kye nti: ((Bidiah esinga obulungi yeyo))[27]!!. Nawano kati kikakafu kw’oyo an’onya amazima ategeere nti Imaamu Ali (as) ya lingizaako mu khutubaye ey’ekitiibwa eyakulembedde nga ayogera kunsonga ezo zonna, nga bweyagamba nti entandiikwa y’obulimba n’obukyaamu mubyafaayo byaffe mu busiraamu yava kukugoberera kwagala kwa miitima n’okuzuulawo ebyawukana kukitabo kya katonda’ ne sunna z’omubaka wa katonda (saw) nga bitabulwa wamu n’amazima bisobole okunyumira ababisemba nga babigoberera nga bwetulaba kati ekiriwo mubasiraamu, nga kiringa Imaam (as) eyatuanuulira ensonga eyo yennyini nga agirabira muluti mbe!
Tewali kubuusa buusa mukyo nti mazima kati abeekwata kubulimba, tebagendereramu ekyo. Kubanga ekikyaamu kyonna nga temuli mazima gonna amagezi tegakikkiriza.
Nga bwekiri nti buli ekitali kituufu kyonna ekyono-onefe bwekitabeerako kikimenya nga kitegeerekeka tekiyinza kusembebwa mu katale ka abamagezi, nekibeeranti ekyonoonefu mubujjuvu tekibuzabuza ba nannyini magezi okujjako nga kiriinaanyisiziddwa n’amazima oba ekifanana n’namazima, nabwekityo obulimba obwereere obutayi nza kusembebwa namagezi okujjako nga bwetabudde n’amazima. nebwekweeka mugo.
Nawano nno kye yava agamba imaamu Ali (as) nti singa obulimba buleka okwetabula mumazima tebwalisobodde kuwubisa magezi n’oyo ategeera, ate singa amazima getongola negatetabula nabikyamu tewalisangiddwaawo njawukana, ne sitaane teyali badde nakkubo kuteekawo Fitina, nabuli muntu yenna yali-gondedde amazima oluvannyuma lw’okweyawula kubu-limba okujjako oyo eyabula n’akakanyala munsi neyekuza neyebagaza omutweegwe okuwakanya amazima.
Oluvannyuma muganda wange ggwe omusiraamu njagala okimanye nti mazima amiiril mouminiina yalaza ku mazima amanyweevu, ne sunna zotagenda kusanga nga zirinawo okukyuusibwaamu, nga ekituufu kirinti Ensi nyumba yakwetabulamu bulimba na mazima oba ekitangaala ne kizikiiza, n’okujja ebigambo mubalongofu nabakyamu.
Ekyo kyekituufu kyenyini abasinga obungi mubasira amu kyebaliko, bameka b’olaba nga balungama okusinziira kubigambo bya abalongoofu, ate nga babula bafuula ebigambo bya abaabula nga ba katonda ababa buza, okutuusa ebintu ebyo byombi lwebyetabula wamu olwo sitaane nekulembera bananyinibyo.
Naye omuntu oyo eyamanya nti amayumba tegayingi rwaamu okujjako mumiryango gy’ago, naakoma kubigambo ebituufu n’aleka ebirwadde tewali kubuusa buusa mukyo nti yayambibwaabo ne katonda era nga aliwalannyo n’okwegatta ne Sitaane.
Abaffe kati olaba omuntu akowoola abantu nga mutukuza wanniyya badde eri okumanya amazima eyinza okulabikako, era nga akakasa nti akolerera mazima mubwennyini bwago nga bwekimukakatako munsingoye – mazima amadhihibu ago abantu gebakemebwa nago-olwaleero geg’omuntu eyatabula ebikunsu ebyo byombiriri. Era singa wetegereza ebisi nga obungi mubyo walisanze nga biwakanya ekizito ekisinga obutono, era nga bitaasa shaitaan, bwekibeera nti abaasooka bajjibwaako omuganda naye ab’alala bajjibwaako miga-nda, oluuvannyumu omugoberezi yazibikirwa okuma-nyiisa agobererwa n’obukakafu bwe okusinziira kukwa-gala n’okukulembeza ebya siya asa eby’oluvannyuma mukuteekawo endowooza ya siyasa mubusiraamu. Okutuusa omugoberezi wa leero lwe yatuuka kukwetegeka okumala mu kukkiriza obutama nya n’obusiru, kyewunyisannyo kubantu abagoberera okwagala kwemi-tima gyabwe, n’okukyaawa ensi mukaka sa ebintu nensonga kumakubo g’azo, n’okwesamba ba Ahalul baiti ya Nabbi (saw). Nga kiva kukugobere ra abaasooka, nakwagala kugoberera ebyo ebya teekebwaawo ba taata baabwe nebajajja babwe.
Oluvannyuma kirina okutegeerekeka nti mazima ekigendererwa kya Amiiril mouminiina (as) mu khutuba eno eyekitiibwa tekwaali kuwawabira nga kuvamuye kunsonga eyatuuka kuddiini mu mumulembegwe, nga alaba abagoberezi bensi mubantu abasinga obungi balese okuyingira eryato ly’okuwona nebekwata ku muntu atalina kwekuuma mu kuzikirira, singa balinga bagoberedde abagobi be Ryato eryo lyaliba situdde neribatuusa kulu-kalu lwekitangaala nga omaru bweyagamba, era singa b’alinga balyekutteko balituuse kumuguwa o’gutakutuka muddiiniyaabwe nemubo bennyini nga Raazi bweya-gamba mu tafusiiriye[28] naye baaleka omulunngamya oluvannyuma lw’okufa kwo omutiisa!! Nga balinga abatawulira kigambo kye (saw) nti ((Nze omutiisa era Nnina omulunngamya, kuggwe owange Ali kwebagenda okulunngamizibwa abalunngama oluvannyuma lwange))[29] ((Ai, katonda nkusaba wetoolooze amazima ne Ali wonna waagenda))[30]
Nebabeera nti b’aleka amazima nebakwata obukyamu nga ate tewali kuwubisibwa ku Imaamu Ali (as) wakati wa amazima n’obulimba n’akatono ku lw’obwanjulukufu bwabyo byombiriri gyali. Nga obwanjulukufu bwenjuba mukwolesa omusana kukizikiiza kyekiro ebuza n’ekisolo kulw’obuyi tirivu bwenzikiiza, nga bwekifunibwa mubiga-mbo bye (as) nti: ((omuntu ye tongodde kundowoozaye oyo eyanjawukanako, sabuusabuusaako mumazima okuva lwegandagibwa))[31]
Ye .. okwo kuwawabira abo abamwekyuusaako mukiseera ekivannyuma atenga kya kumpinnyo nga bamaze okumugamba nti kulika owangudde,[32] nemu bataasa b’abwe era abayambi b’abwe byeyayogerako (as) nti: Besembesa omuti nebagutegeera ate nebabuza amatunda agagubaako)),[33] nebabukeesa nga bamujjeeko obwa khaliifa nebabweddiza nendowooza z’abwe, oluvan-nyuma lwensi okubuzaawo amaaso g’abwe n’ebalaga ebinyumo byaayo, nga ate ndayira katonda mubutuufu b’ategeera ekifo kya Imaam Ali (as) nga yasaanira busigire nga enso bwesaanira kulubengo lw’ayo, omw’omwemwava ensonga y’okugwaawo kwa Fitina nga etandika na kugoberera kwagala kwa mitima, n’amateeka agazuulibwaawo okwo kwegatta okuwubisibwa okwensi nenkomerero nebyayiyizibwaawo muku tegeera okutuusa haddith lweza twalibwa mu makubo agatali g’azo.
Olaba omu kuba singa atuuka kukigambo kya katonda omugulumivu: [ebyeenyi kulunaka olwo biribeera bisanyufu* nga bitunula ku katonda w’abyo][34] agayaala n’alagajjala okuva kukigambo kya katonda nti [Amaaso tegasobola kumulaba][35] nabeera nga akkiriza abantu ba musa kyebakwaata okusinziira kubuwangwa bwabwe obukyamu nga bwebalimbisa ku Nabbi (SAH) nti yalaba katondawe nga ali mu kifananye kyo mulenzi mbula kalevu.
Ye abange singa betegereza ekigambo kya katonda omugulumivu nti: [Omutima tegwalimbisa ekyo kyegwa laba][36] okulaba mu Aya eno kwesigamizibwa ku mutima naye amagezi amampi, nentegeera ennyangu, tebyasobola kutuuka kubukakafu bwambeera, n’ekiraga obukendeevu bw’okwetegereza kwabwae, kwekubeera nga okulaba mu Aya eyasoose kwesigamizibwa eri ebyenyi, sosi kumaaso agatalaba, nga bwekiri mu Aya ezijja oluvannyuma ng’z’ogera kumiteeko ebiri mubantu:
Omuteeko ogwa abantu nga basanyufu balindirira kusaasira kwa katonda omugulumivu, abo nga bebak-kiriza, ate omuteeko omulala nga gulindirira bibonerezo ebiruma, nga abo bebakakasibwaako ebibonerezo.
Abaffe tolaba kigambo kya katonda nti [Ebyenyi ku lunaku olwo bigenda okubeeramu emitaafu* Ngabirowo oza okukolebwaako ebibonerezo ebimenya enkizi][37] ekitegeeza nti bigenda kusiba emitaafu nga bimanyi nti bagenda kubituusaako ebibonerezo ebimenya emigongo.
Okugatta wakati webyenyi ebisanyufu nebisibye emitaafu nga byonna biri wamu kitegeerekeka bulungi nti ekyo ekifo kyakulindiramu so sikulabiramu katonda. Okulindirira kw’omuntu oyo katonda gwe yasiima byeyakola kulw’okusiima kwa katonda gwe yasiima byeyakola kulw’okusiima kwa katondawe, n’okulindirira kw’oyo katonda gweyasunguwalira kuye kulwo obusungu n’akabenjeke.
Mubintu ebyagwaawo kumulembe gwa Amiirul mouminiina (as): mazima omukafiiri yabuuza Imaamu Ali (as) n’agamba nti: twesanga katonda nga agamba nti: [Ebyenyi kulunaku olwo bigenda kubeera mussanyu* nga birindirira katonda w’abyo okumulaba] ate nensanga katondanga agamba nti: [Talabibwaako n’amaaso ate nga ye alaba ebirabibwa n’amaaso].
Imaamu Ali (as) yagamba nti: ((amazima abakkiriza bagenda kulagirwa okuyingira mu Jana. Bwebalimala okutuuka mukifo ekyo bagenda kutunuulira eri katonda waabwe engeri gyagenda okubasasulamu. Ekitegeeza nti okutunuulira kwebyo katonda byeyabalagaanyisa ago gemakulu gekigambo kya katonda omugulumivu nti: [Nga bitunuulidde eri katonda wabyo] ekitegeeza nti nga birindiridde.
Oluvannyuma Ali (as) yagamba nti: tewawulira kigambokye omugulumivu nti: [Nga birindiridde ekyo ababaka byebagenda okukomawo nabyo][38] ekitegeeza nti kulindirira))[39] okwonno kwekwesembesa amakulu ga aya okusinga obulungi.
Laba tewali kisinga kuneewunyisa nga ekigambo kya Ibin Rushid mu Faslul maqaal, yagamba nti: Buli kintu kyonna ekyayogerwa mu sharia nga kyawukana n’akabonero kyekigambo kungulu kwakyo. Naye bwekitwalibwa nga kikulu nekinonyerezebwaako mubitundu byakyo ebirala, kisangibwa munjogera ya sharia nga waliwo ekikakasa amakulu g’akyo ag’okungulu oba nga gasemberera okukakasibwaa[40].
Ekigambo kya Ibin Rushid kikakasibwa mungeri y’okuta nkuula Aya ezifanagana mu Tafusiiri ya ba Ahalul bait (a.s) ezo kungulu kwaazo nga ziwa amakulu g’okufaanaanyiriza oba okuteeka ekintu mungeri y’omubiri n’ebiringa ebyo. Kubanga obukakafu bw’okuzivvuunula zirina kuzzibwa eri ezo ennamuzi enkakafu. Nga katonda bwa agamba nti: [Tewali kintu kyonna kimufanana].[41]
Mwekyo ibin khaluduuni agamba nti: mazima Aya ezisinga obutono zezo ezibuzabuza mukufanaanyiriza aba-nabidiah zezo ezibuzabuza mukufanaanyiriza abanabidiah zebagoberera mumulembe guno, ekyabaviiraako okwebbika mukufanaanyiriza buli kimu nebabeera nti b’agwamukitimba ky’okuteeka katonda mubintu ebirina omubiri gwennyini, nebawukana kukumutongoza okutalina kikomo nga ate kwekusinga bungi era nga obujulizi kukyo bweyolefu.[42]
Okusinziira kwebyo byonna osanga omuntu nga alwa nirira endowooza nga ezonenzikiriza enkyaamu ezitalina bukakafu bwonna muddiini, era newesanga nga buli mu mulembe oguddawo mulimu abazirwanirirako nti nkakafu. Kubanga bo nga amiirul mouminiina (as) bweyabatenda ati nti: Bayala b’abula nebebbika mubusiru temuli kalungi konna bagoberezi ba buli yenna asitula eddobooziye, bakyuukira buli wonna empewo w’egenda, tebafuna kitangaala kya Ilimu, era tebasobola kwewogoma erimpaji nnywevu))
Naye nga lwaki tekiba kituufu, nga ate bo tebasobola kwawula wakati we bigambo bya balongoofu nebigambo bya b’onoonefu. Kulw’okwesamba kwabwe nebava ku ba “Ahalul bait” ennyumba y’obubaka era nga kye kirombe ky’obubaka, bwebukkiro bwa Qur’an, kulwekyo Amiirul mouminiina Ali (as) yagamba nti: ((N’eyonno sitaane gyeyayitira okufuga mikwaano gyayo)).
Naye abo abamanyi katonda omugulumivu mubu-kakafu bw’okumumanya, era abo abamunoonya nga bayitira mu Nnuur eyabalina amaaso banannyini busira-amu, abo bebamanyi kuludda lwa katonda abategeera amazima nebagagoberera , nebatayombesa mugo banan-nyinigo, abo abasobola okudda eri banannyini mazima nga obulimba bumaze okwetabula n’amazima, nebabeeranti babeekwatako.
Abo be bakkiriza abamazima nga bakulemberwaako okuyambibwa okulungi, kulw’okugoberera kwabwe omuntu oyo eyasikizibwa mubo oluvannyuma lwa Nabbi (saw) nga bagoberera bendera eya amazima, omuntu agikule mbera ava mu Ddiin n’abula, ate omuntu agyawukanako azikirira, ate omuntu bwagyenywerezaako afuna kyayagala mumazima.
Naye butya bwekitasoboka? Nga ate okumanya kwa bwe bakujja kubukakafu bw’okumanya nebasisinkana omyoyo gw’okukakasa, nebagondezebwa ebyo ebyayononebwa n’abonoonyi, nebafuna okwogerezebwa n’ebyo abasiru byebawuubaazibwe mubyo, nebabeera munsi muno oluvannyuma lw’okugita emirundi esatu, nga bagirimu mibirigyabwe naye nga emitima giri mukifo ekisinga okubeera eky’owaggulu.
[1] - Al mahasn, ekya Barqee 1: 330174 babu nahayi anil Qawul wal fatiya bigair ilim, ne 1: 343/113 babu Ddiin.
[2] - Tareekh al Ya-aquubee 2: 136.
[3] - Osuul Kaafee 1: 54:1 Babu al Bida-e waRraai wal maqa-is. Ne Rawudhatul Kaafi. 8: 50/21 ne (Nassu ya khutuba mweeri).
[4] - Rijaal Nnajaash: 26/ 1026.
[5] - Jamiul Osuul, ekya ibn al athiir 12: 220.
[6] - Ibin maakuula (YF 475 AH) mu Al kamaal 4: 575. Ne Ibin Asakir asshafi.e (YF 571 AH) mu Tarekh Damascus al kabiir 16: 37. Ne lzzii ddiin ibin al athiir (YF 630 AH) mu Al kamil Fi Tareekh 8: 364. Ne Abul Fidaa-e (YF 732 AH) mu mukhutaswar Fi Akh-baarul bashar 2: 87. Ne Athahabi (YF 748 AH) Fil mushitabah 7: 337. Ne mu sair Aalaamu Nnabalaa-e 15: 280 Raqam ttarujuma 125. Ne Tareekh Al-Islaamu: 250 raqam tarijuma 416 mu Hawadith ssana 328 ne asswafudee (YF 764 AH0 mu Al waafi bil wafaayaati f: 266. Ne ibin Hajari al-asiqalaanee (YF 852 AH) mu Lisaan al miizaan 5: 433. Ne Tabuswiir al muntabah 3: 1219. nabalala.
[7] - Al Baswa-er wa Ddakha-er, Li Abi Hayyan: 26.
[8] - Nahajul Balagh, Al Khutubah No 50.
[9] - min-Hajul Baraa-at Fi shareh Nahajul Balaghm ekya Rawandi al khutubah No 50.
[10] - Al ambiyaa-e 21: 107.
[11] - Al-Ahzaabu 33:40.
[12] - Al Imraan 3: 85.
[13] - omubaka wakatonda yagamba nti: ((ekifananyi kya abantu bennyumba ya nge mummwe balinga eryato lya Nooh omuntu oyo abagala awona, ate ayawukana kulyo azikirira)) era yagamba (saw) nti: mbalekedde ekitabokya katonda n’olulyo lwange temugenda kubu la ebbanga lye munamala nga mu byekutteko byombiriri)) era yagamba (saw) nti: Temubakulembera nemuzikirira, ate temubayigiriza kubanga bamanyi okubasinga)) erayagamba (saw) nti: Emunyeenye mirembe gya bamaggulu n’abantu bange kya kuwona eri ab’omunsi.))
Hadiith eno gisange mu kitabo ihyaa-ul mayyit bifadha-el ahalul-bait eyo Haddiisi zalongoosebwa mu Al.bukhaar ne musirimu.
Asswawa-iq al’muhuriq, ekya Ibin Hajar: 93, al musitadiriki Ala swahiihain, ekya hakimu Annisabuuree 3: 162.
[14] - Genda mu bya wandiikibwa ne sheikh al mufiid (YF 413 AH) ne Sheikh Tuusi (YF 460 AH) ne Allamah Al Hillee, ate kunko – merero Allamah Sharaf ddiini Al musawi, ne Allaamah Abdul Husein al amiin nannyini kitabo al ghadeer, ne Shahiid sswadir mu ssomo eri kwata ku wilaaya ne Al muujazi mu Oluumul-ddiini, ne mussomo ku Al mahady nebirala.
[15] - Okugoberera asinga obumanyi abasinga obung, kyabayamba ate fatuwa za abashia ba Imaamiyya okwo kwe zitoolebwa.
[16] - Okwo kulaza eri Hadiisi enkakafu abantu gyebajjulula mubitabo bya bwe, omubaka (saw) yagamba Ati mubulwaddebwe obwasembayo nti: mumpe olupapula ne kalaamu mbawadiikire ekiwandiiko, temugenda kubula oluvannyuma lwange”naye bayawakana, omaru n’agamba, nti Nabbi obulumi bumuwangudde. Omubaka n’agamba nti: muve wendi tekisaana kukeyanira awali Nabbi (saw)” Sahiih Bukhaar 6: 11 – 12l bab maradh Nabbi, 9 – 137/ babu Karaht ul khihilaafu, kitabul itiswaam.
[17] - Omubaka (saw) yagamba nti Ani annyambako kunsonga eno abeere omusigire wange, omusika wange omulaamirwa wange, olavannyuma lwange” Imaamu Ali (as) Bin Abi Twalibi yeyayanukula. Tareikh Tabar 2: 63 – 64.
[18] - omubaka wakatonda (saw) yagamba nti: “Nzendi kibuga kya ilimu ne Ali mulyango gwakyo”. Al mustadirik Ala Sahihain, ekya Hakim 3: 137 – 138. Osudul Gaba, ekya ibin al athiir 4: 100.
[19] - Al Imaama wa ssiyaasa, ekya ibin Qutaibah 1: 12. Ne shareh ibin Abil Hadiid 2: 56. Ne Tarekh Tabar 3: 19 n.
[20] - Hadiisi: mazima katonda asiima kulw’okusiimakwa Fatuma ate anyiiga kulw’o kunyyiigakwe’era Hadiisi ntuufu eri abasiraamu.
Sahiih Bakhaar 5: 83 – 232 omulyango 43, ne sunan Trimizi 5: 699, ne swawa-eq muhuriq: 190.
[21] - Gino mirimu gya otthumaan bin affaan, era myatiikirivu kuye ne Al milal wa wa Nnahal, ekya shahorr staan, 1: 32 Al Khilaaf. Ttaasi-a mu mukaddima ogw’okuna.
[22] - Egyo mirimu gya omaru bin khattwaab; era gimanyikiddwa ku ye. Soma mu siiraye mu Taarekh al Khulafaa-e ekya suyuuti.
[23] - Sunan al-baihaq 1: 524.
[24] - Tarekh al-khulafaa-e: 137, ne mu Twabaqaatil kuburg, ekya ibin sa-ad 3: 281.
[25] - omuti omukolimire mu Qur’an be banu omayya.
[26] - Othuman bin afan yagezaako okugoba swahaba Abi zarri al Ghaffaar n’amutwaala mu Rabadh nga bwe kiri mumilal ne Anahal.
[27] - Sahiih bukhaar 1: 233 kitab swalat taraweh, sahih muslim 1: 383 bab Taragiibi.
[28] - Tafsiir al kabiir ekya raazi: 1: 205 ne 207 mu bahath al masael alfiqihiyyah al-mustambatwa min suurat alfatiha.
[29] - Nuzumu durar ssimutween ekya madanee: 89: 80 kanzul ommaal ekya muttaqee al-hindi al-hanafi 11: 620.
[30] - Attafussiirl kabiir li 205, ne Tajul Jami-a lilosuul ekya sheikh Ali mansuur Nasif 3: 333.
[31] - Nahajul balagh Al Khutubah No: 4.
[32] - Bagamba eri Imaamu Ali (as) nga bamuyozayoza nti kulikaowange. Ali obukesezza nga oli mukama waffe era nga oli mukama wa buli mukkiriza omusajja n’omukazi. musinad Ahamad bin hambali mu Hadiith al Ghodiir 3: 287.
[33] - Nahjul balagh, kya vvuunulwa sheikh muhammad Abduh 1: 126.
[34] - Al-qiyamah 75: 22-23.
[35] - Al Ani-am 6: 103.
[36] - Annajim 53: 11.
[37] - Al Qiyamah 75: 24 – 25.
[38] - Annamul 27: 35.
[39] - Biharul anwaar 90: 95.
[40] - Fasul maqaal Fiimabainal hikima wa ssharia minal ittiswaal ekya ibin Rushid: 33.
[41] - Asshuura 42: 11.
[42] - muqaddimat Ibin Khaluduun: 463.