Omuwandiisi yagamba nti : obukaafiiri bwa shia tebukoma mu kugamba kukyuusibwa kwa Qur’an kyokka wabula bweeyongera mumaaso ne butuuka n’okugamba ekigambo kya “Bada-a” n’okuvuma bakyaala ba Nnabbi (s.a.a.w) abo bamaama b’abakkiriza.
Tugamba nti singa omuwandiisi yasoma enzikiriza ya Shia - Imaamiyyah - mubitabo byaabwe okusooka naafaayo okutegeera kyaalibadde kirungi era yaalibadde awona endowooza enkyaamu era n’awona n’obutamanya olwo n’alyooka awona akwoogera ebimuswaaza, naye nga bwekiri nti abantu balabe b’ebyo byebatamanyi y’ensonga lwaaki olaba oba osanga omuwandiisi nga ebimu agamba nti abashia ssi basiraamu mukweesembesa ebintu olw’okuba bagamba “Taqiyya “n’okugamba nti bakyuusa Qur’an, ekitali kituufu n’okubawaayiriza nti bavuma bakyaala ba Nnabbi (s.a.a.w). Tetumanyi omuwandiisi ebintu ebifaanana bweebiti abijja wa??. Era muntu ki awandiika ebintu bino oyo ayagala okuleeta effitina mu basiraamu?. Kati wano mu bufunze katunyonyole ku’nsonga “Bada-a”, munzikiriza ya Shia nga tutegeeza omuwandiisi ono n’abamufaanana nti ensonga eno teyawukana ku musingi gwa busiramu era tubategeeze nti okuwaayiriza kuno sikulungi ate era sikweekusoose waliwo abalinga yye ab’asooka kunsonga y’emu eno. Naye tugamba nti ekyo kafuuwe abashia okugamba bweebatyo kubanga bakkirinza nti katonda mumanyi waabuli kintu nga tekinnaba kubaawo era yye y’oyo akigera, era okumanya bwebwenyini bwe. Suula 58: 7.
Oluvanyuma lw’ebyo tugamba nti “Bada-a “kigambo kyaalulimi luwarabu era nga mululimi kitegeeza okweeyoleka oba okulabika, kiyinza okutwaalibwa mungeri endala nga ekyo ekiriabikira omuntu oba (Nekimweeyokera) munsonga mubutuufu bwaayo mumateeka g’oluwarabu tekikozesebwa nga kikolwa nga bwekiri mu suula 39: 47 nga era kikozesebwa mu makulu agategeeza okwoolesa gokka awatali kuyingiramu makulu malala gonna.
N’olweekyo bwetugamba nti katonda ayolesesa, ekitegeeza nti alaga abantu ekyo kyebabadde tebamanyi kunsi yaabwe nga yye katonda abadde akimanyi nga okubeera ng’abantu bamanyi ekintu bulala kyokka katonda ow’kitiibwa nakibalaga bulala mubutuufu bwakyo, eky’okulabirako ejje ery’amanyi amatono nga lirwaana n’ejje oba n’amajje ag’amaanyi kulwaffe tulamula nti ab’amaanyi amangi beebagenda okuwangula, naye katonda kulw’amaanyige n’okumanya kwe okwaawaggulu ejje erinafu lifuna okusaasira kwe n’okutaasa kwe olw’obulongoofu bwaalyo neriwangula. mukino katonda n’atulaga obutuufu bw’ekintu ekyaawukana n’ekyo kyetubadde tumanyi nekitutegeeza obufuzi bwa mukama katonda n’amanyi ge kubuli kintu kyonna mukubaawo kwaakyo mubuli kiseera na mu buli mulembe gwonna, ekyo tekyaawuka nakumanya kwa katonda ow’ekitiibwa wadde okuba nti kyaawukana n’ebikolo by’eddiini y’obusiramu ey’ekitiibwa.
Okulaga kwa katonda kuno aba Shia - Imaamiyyah - kwebagamba nti kubeera mukulamula namukugera kwa katonda okutali kwaakukutula (okutaliko kikomo) kulw’okubanga okulamula kwa katonda kuli mungeri satu:
1. Okugera kwa katonda okwo okutamanyibwa bitonde bye kweekulimu okumanya kwa katonda okukweeke okweeyawulidde ye yekka ow’ekitiibwa.
2. Okugera kwa katonda okwo kw’abuulira ba Nnabbi be ne bamalayika be.
3. Okugera kwa katonda kw’abuulirako Nnabbi nebamalayika be okubeerewo kwaakwo nga kweesigamidde okwaagala n’okusaasira kwa katonda eri ebitonde tebimanyi wadde okusuubira okugeza Nnabbi okusuulibwa mu muliro naye negutamwookya, okulamusa omufu kuno ku nsi nga enkomerero tennabaawo, abanafu era abatono okuwangula ab’amaanyi. N’ebirala bingi ebitali ebyo nga katonda bw’agamba mu suula 13: 39 nti : “Katonda asangula najjawo nga bw’aba ayagadde era alina maama w’ebitabo “era agamba mu suula 30 : 4 nti “Katonda yennanyini nsonga mu kusooka Muluberyeberye -n’oluvanyuma- “ba Ahlul-Bait bayogera hadith nyingi okuva ku mubaka (s.a.a.w) ku nsonga ya “Bada-a “buli muteeko naye byonna tebitgeeza kuba nti katonda akyuusa mu kumanya kwe oba katonda waliwo ky’aba tamanyi mukubaawo kwaakyo.