back

OKWOGERA KU KHUMUSU

 

 

OKWOGERA KU KHUMUSU

Kitange yayingira muddiiro wetugenda okwogerera nga alina omusuhafu mungaloze, era nga mukyenyikye alinamu okutiisa okwobujeemu, olwali okutuula bwati nanjolekera yakutamirawo kumusuhafugwe ogwekitiibwa nagunywegera bweyamala n’agisitula nemikonogye gyombi kulwokugigulumiza nagimpa.

Bwennagifuna okuva kuye nengikwata nemikonogyange nenginywegera, nasanyuka mumubirigwange, nekumbugana okutya okweki tiibwa bweyateera Qur, an mungalo zange kitange nagamba:

- Wumbulula ekitabo kya katonda onsomereko ekitundu muntandikwa ye Jjuzu yekkumi mu Qur, an.

 ◘ Nawumbulula ekitabo ekitabo ekyekitiibwa nentuuka kujuzu eyekkumi nensoma-oluvannyuma lwa Auzu billah mina sshaitani rajiimi, -ekigambo kyakatonda ekigamba:

[MUMANYE NTI MAZIMA OMUNYAGO GWONNA GWEMUBA MU FUNYE MUKINTU MAZIMA KATONDA ALINAKO KHUMUSUYE- OMUGABO GWE- NOMUBAKAWE NABEKIKA NEBAMULEKWA NEBAMASIIKIINI NOMUTAMBUZE BWEMUBEERANGA MWAKKIRIZA KATONDA NE BYETWASSA KUMUDDUWAFFE OLUNAKU lwa Badri OLUNA ku LWOKUSISINKANA ebibina ebibiri NEKATONDA MUYINZA KUBULI KINTU KYONNA]

Kitange yankutuza nagamba:

- Nziriraamu mpulire byosomye.

◘ Nenziramu okusoma ekigambo kyakatonda ekigamba:

“MUMANYE MAZIMA KYEMUFUNYE MUMINYAGO MUKINTU KYONNA MAZIMA ALLAH ALINAKO OMUGABO (KHUMUSU) NOMUBAKAWE NABEKIKA NEBAMULEKWA NEBAMASIKIINI NOMWANA WEKKUBO” yagambanti kimala...komaawo...bweyamala nakutamya omutwe katono nabeera nga eyenyumikiza yekennyini “MUMANYE NTI MAZIMA KYEMUFUNYE MUMINYAGO BULIMUKI NTU KATONDA ALINAKO OMUGABOGWE (KHUMUSU)”

Naasitula omutwegwe gyendi nagamba nga addamu mpola mpola:

Katonda agamba: “MUMANYE” abaffe wategeerako okulaalikibwa kwa KHUMUSU?

◘ Nagamba-nga mbunidde amayengo gobutebenkevu obwamazima nokutya:-yye-yye...nkimanyi.

Oluvannyuma yasituka okuva mukifo watudde nankwasa omujallada omulundi ogwokubiri ogwamuli okumpi nga aguyita “WASAAELI” nensoma kungulu kwolupapula lwagwo olusooka erinnya lyomutunziwagwo “muhammadi bini Al-Hasani al- hurri al – Amili” nangamba: nzijiraamu ekitabo kya khumusu osome.

◘ Nenzijayo ekitabo kya khumusu nemusomera hadiith okuva kunnabi (S.A.W.) ne ku imamu Ali (A) ne imam ASWADIQ (A) ne imam KAZIMI (A) mukhumusu.

Nemwezo zennamusomera MWALIMU hadiith e’no nga eyogerwa nomusajja ayitibwa Emurani bin musa yagamba nasomerako musa bini Jaafari (A) etteeka Lya khumusu nagamba: “Ekibeera ekya katonda ekyo kiba kyamubakawe ate ekibeera ekyomubaka ekyo kiba kyaffe”

Oluvannyuma yagamba: “Ndayidde katonda mazima katonda yayangyiriza kubakkiriza RIZIQ yaabwe nedirihamu ttaano baafuula e’mu kuzo nebagiwa katonda waabwe nebalya ennya nga ziri halaali”.

Ate hadiith eyayogerwa nomusajja ayitibwa SUMA-A yagamba: nabuuza Aba-l-Hasani (A) kubikwata kukhumusu, nagamba: “Buli mwekyo ekigasa abantu muki tono nemu kinene- ekingi”.

Neeno Hadiith Eyayogerwa okuva ku muhammadi bini al- hasani al-ashi-ariyyi yagamba: abamu kubamasuhaba baffe bawandiika eri abi-Ja-afari-thaani (A):

Mbuulira kukhumusu eri mweebyo byonna omusajja byeyegasa nabyo mukingi nekitono, nemumiteeko gyonna nemubikolebwa? kiri kitya ekyo? Naawaandiika nomukono gwe: “khumusu luvannyuma lwakyakulya”.

Nali nakamala okusoma hadiith e’zo nembuuza kitange

◘ Mukwogera kusswala wangambye: tosaalira mulugoye olukakatamu khumusu nga tonnaba kutoola khumusu waalwo oba zaka yaalwo-singa bikungaana byombi –nga tonnaba kukola Hijja , abaffe kinkakatako ntoole khumusu emmaaliyange yonna kiri kitya ekyo?

Kitange yagamba : khumusu ekakata mubino ebbijja :

Ekyo ekinyagiddwa nabasiramu mulutalo mubyobu – gagga ebijjulukuka, nebirala nga bibadde byabakaafiiri abasaana okuttibwa.

Ebijjibwa mubirombe nga zaabu ne Feeza nennuhasi nekyuma nekibiriiti nebirala, nabwekityo amafuta petrooli namanda gamayinja, oluvannyuma lwokujjako ebikola kukubijjayo nokubirongoosa, kalombolombo okubeera nti bituuka kubeeyi eyakatale nga bimaze ekigiro ekijjiddwamu nga kyenkana misiqaala (15) mu zaabu omulongoose omusengeejje oba okweyongeraka.

Amawanika agomuttaka, kalombolombo okuwera ekigero ekijjiddwamu (15) mithiqaala zaabu omusenge jje oba okusingawo, ate feeza alina kuwera (105) mathaaqiili oba okusingawo oluvannyuma lwokujja ezikoze kukubirongoosa.

Ebijjibwa munnyanja nokwebbika muyo oba mumigga eminene egyo egibeeramu luulu ne marijaani nebirala singa biwera valyo yalyo Diinara ya zaabu.

Emmaali ya halaali nga yetabudde ne haraamu mubimu kubifananyi byayo.

Amagoba agabuli mwaka nga gafunibwa mukusuu bula oba kukola oba kutona okubeerawo nga mwemuli omusaala gwomulimu nebirala...

Namukutuza mubigambobye:

◘ Kitegeezaki nti mazima amagoba gokusuubula ojjamu khumusu?

Simagoba gakusubula gokka nti gegakakata okujja mu mwemuli Nze naawe.

◘ Omusuubuzi abala atya amagobage nga ate kuliko okujjamu khumusu?

Abala mmaali gyalina mubyokutunda nessente zaalinawo mubuliwo zennyini oluvannyuma lwokuyitawo omwaka okuva mukutandiikakwe mukusubula najjululamu:

Kapito yammaliye gyasuubula nayo.

Essente zasansaanya mukufuna amagoba nga tulansi pooti amasanyalaze essimu ezasitoowa newasula nebirala.

Zakozesa yekennyini nekubantube okumala omwaka mulamba, ekitegeeza zakozesa mukulya nemukunywa okwambala nokusula, okutambula nebiwempe ebyo kwalirira munju, nokwejjanjaba nebirala, nga mwemuli okusasula amabanja nokutona ebirabo, nebimukakata ko nengeendo nemikolo nebirara ebyobutonde ngayye

Eranga tukubalibwa nga kudiibuuda nakwonoona bwamala okujjululamu ebintu ebyogeddwa, ajjamu 20./. mubisigaddewo nawaayo khumusu.

◘ Yanyanjulukiza bwatyo nakuleeta kyakulabirako.

- Okugeza nga: singa olaba omusuubuzi mukuweza omwa ka nga asubula aba alinawo omutwaalo gwa diinari mubuliwo ate nabeera nemitwaloze awamu aba alina emitwalo esatu, kati laba kapito yali yadiinari nkumi ttano, nasansaanyako nga asuubula tulansipooti essimu amasannyalaze, edduuka nebirala byamalawo diinari 1000, nasansaanya yekennyini nefamileye mumwaaka omulamba diinari 4000, kati amagoba oluvannyuma lwokujjako kapito nebikozesebwa mukusuubula noku lya omwaka omulamba amagoba gabeera diinari mutwalo mulamba amakulu nti: 30000-20000=10000 ezo zezikakata okujjamu khumusu, nekigero kya khumusu ziba diinari lukumi: 10000-5= 2000 ezo zessente zalina okuwa enkakafu

◘ Nnakuki zentandikirako okubala amagoba nsobole okumanya nti omwaka guyiseeko kati nkakasibwako okuwa khumusu?

Otandikira mukulabika kwamagoba singa tobeera namulimu kwowangaalira kati okuva lwewatandiika okugasibwa newayitawo omwaka nga toziteese mukulya oba kwambala oba kujjanjaba oba kugula byanju oba kutambula... oba ...oba ... Jamu khumusu kukyofunye, naye bwobeera nomulimu gwowangaaliraka mubulamubwo, awo tandikirawo okuba ennaku okuva lwewatandiika okupakasa nokusuubula.

◘ Singa ngula engoye nga zange neziyitako omwaka nga sizambadde?

Zijjeemu khumusu waazo nabwekityo omukulu famile awa khumusu –nabuli nannyini –mubintu byaguze mumwaka ebyomunju kyokka natabikozesa, nga mubyo mwemuli ebisigala munjuuye nga omucheere oba engano oba obuwunga oba omubere oba sukaali oba amajaani oba kasooli oba empindi oba amafuta oba Gaasi nebirala.

◘ Ekitegeeza nti buli ekyeyongera kukyetaago nata kikozesa oba kiriibwa oba kyambalwa... aba alina okujjamu khumusu?

Yye... bwelutuuka olunaku lwokuwa kubyetaago ebyomwaka nobiweera khumusu waabyo okuvamubyo oba ogerageranya valyo yaabyo gyewabigulirako.

◘ Nngerageranya beeyi yaabyo olunaku olwokubala khumusu oba beeyi yaabyo mukiseera kyokugula?

Obala beeyi yaabyo erikukatale olunaku lwokuwa khumusu, sosi beeyi gyewagulirako.

◘ Singa mba siwadde khumusu ya kye taago ekyali kinkakatako okukijjamu khumusu?

Oba tokkirizibwa kukikozesa okutuusa lwojjamu khumusu, naye kikkirizibwa nolukusa lwomulamuzi wa sharia singa alaba nga mulimu amasulaha –(omugaso).

◘ Omuntu afudde nga tannaba kuwa khumusu ate natalaamira kujjamu khumusu kati omulimu gwa abasika gweguliwa?

kibakakatako okutoola khumusu mwebyo byennyini byeyasikiza mukusooka kuddaame no’busika, mwebyo tujjululamu Singa omufu yali mujeemu tawa khumusu mazima kimukakatako omusika nga mukkiriza okutwaala ebintu byomufu naye takakasibwako kumala bbanja lyamufu mwebyo ebikakatamu khumusu.

Nabwekityo mubuli kintu kyonna ekizzibwa eri omukkiriza okuva eri oyo atawa khumusu mumma liye mukukolagana oba bwerere, mazima agitwala ate nakkirizibwa okujikozesa, nga bwalina oluku sa okukozesa maali yooyo atawa khumusu singa agimuwaamu olukusa awatali kufuula yiye mwebyo byonna omukkiriza tabeera nakibi wabula kibeera kwoyo eyaziyiza okutoola khumusu.

Bwatyo bweyagamba kitange bweyamala nasirika okumala akaseera Aze nemmwanguwira nemmubuuza:

◘ Omusubuzi akalaki oba nannyini ttaka eryokulimirako oba nannyini factory oba omukozi oba muyizi oba abatali a’bo singa tawa khumusu era nga teyebala yekennyini kutoola khumusu mwaka namwaka yenya gira mugyo nagasibwa nafuna amagoba gessente nazi mba amayumba nagula ebintu byenju nekapeti ne ngoye, oluvannyuma najjukira okutoola khumusu mu magoba a’go?

Kimukakatako okutoola khumusu mumagoba a’go okuva mubuli kyoyogedde no’bala Singa tekibeera mubyakulya ebyomwakagwe, wabula nga bifisse bya kubyetagobye ebyomwaka.

◘ Mpaayo kukyokulabirako?

Enju gyeyagula natagifuula makaage, kubanga alina enju endala etali e’yo kimukakatako okujiweera khumusu nebiwempe byeyagula natabikozesa kulwobuteetaaga kubikozesa nabyo abijjamu khumusu waabyo.

Ne byetaago byeyagula kyokka nga talina haaja kubyo oyo alikuddaalalye kimukakatako okubijjamu khumusu.

◘ Ate ekibadde mubikozesebwabye mumwaka okugeza nga enju gyeyagula okubeeramu oba ebintu byeya gula nabikozesa kulwobwetaavubwe gyebiri n’ebiri nga ebyo.

Singa abanga yagula enju oba ebintu okuva muma goba gomwaka gwennyini gweyabeera munju e’yo mukozesa ebintu takakasibwaka kujjamu khumusu, nebirala bwebitwo.

◘ Bwabeera nga yagula enju mumagoba agamwee kungaanizaako mumyaka egyayita okwongera kumagoba gomwakaguno gweyabeera munju-nga abantu abasinga obunji bwebakola omwaka guno-nga bwendowooza mwabo abakunga nya amagoba negeetabula namapya kibakakatako okubala khumusu?

Kikakatakuye okugenda eri omulamuzi washaria oba asisitantiwe balongoose naye ebintu ebirimu okubuusabuusa nti bya mumagoba agayita oba muma goba amapya agomwaka gweyabeera munju, naye ekyo ekimanyika nti kyamumyaka egyayita alina oku kijjamu khumusu mangunnyo.

◘ Singa tasobodde kuwa khumusu mulundi gumu obanga mulimu obuzibu?

Omulamuzi washaria oba asisitantiwe amuyambako okugabanyamu oluvannyuma lwokubizza mubuyinzabwe abeerenga awampolampola.

◘ Nze kakati nsula naawe munju emu, abaffe kinkakatako okuwa khumusu oba kimala khumusu owuwo ggwekennyini?

Yye kikukakatako okuwa khumusu mumagobaago newankubadde nga olinange munju emu Singa ofunye amogoba negasigala gyoli omwaka mulamba nga togakozesezzaako kubanga tolina kyetaago.

◘ Singa ntawaana mukiwummulo ekyomusana ekyeeya.

Nga ndimuyizi- kumusaalagwomwezi gwe kitange notazinjijaako mbeerenga nzikozesa nze mwennyini mubyambalo, abaffe kikakafu kunze okuwa khumusu mubusente bwange obwomwezi?

Bwozikozesa mubikusaanira towaamu khumusu, ate bwozitereka oba ekituntu muzo neziyitako omwaka okakasibwako okuwa khumusu muzewatere ka.

◘ Ekifo kyokusuubula nannyinikyo yakigula namusingo ekifo nebikozesebwa najjamu khumusu mumwaka ogusooka abaffe kimukakatako okuwa khumusu nga ayongera kuzeeyongera kumusingo nebikozese bwa buli mwaka?

- Nedda –wabula kimukakatako okuwa khumusu mweebyo ebyoyongerako oluvannyu lwokutunda ekifo nokulabbika amagoba mukyo bwabanga taga kozesezza mumwakagwe.

◘ Ebyombo byokuliiram no’kunyweeramu Singa bikozesebwa nga ebyokwewunda, abaffe okukozesa okwo kubalibwa nga kukozesa okujjawo khumusu?

Singa okubaawo kwabyo kumanyikiddwa eri abalala nga yye mubantu era nga obutabeerawo bubabuke ndeevu mukiseera ekyo mubikozesebwa byomwakagwe era tawa khumusumubyo

◘ Omuwendo oba ekigero kyessente nannyinizo yazijjamu khumusu oluvannyuma nazikyuusa nazza mukika kye sente endala kyokka valyo yaazo nenafuwa okuge rageranya nessente ezaasooka nasalawo okuzitereka neziyitako omwaka.

Tekimukakatako kutoola khumusu mubeeyi eyeyonge rako ebbanga nannyinizo lyamala nga alina ekige ngererwa kyokutereka maali mubuliwo.

◘ Ebimu kubyokulya biteekebwawo nagavumenti nebitundi bwa kubeyi eyawansi okugerageranya nebeyi erikukakatale Singa nannyini byo aba tafunyemu kintu nebiyitako omwa ka abaffe okubala beeyiyabyo ebalibwa kubeeyi yagavumenti oba kubeeyi eri kukatale?

Egerageranyizibwa kubeeyi eri kukatale mukiseera kyokuwa khumusu.

◘ Ekitundu kyettaka nannyinikyo yakigula musharia nakikozesa nayenga ettaka yaliwandikisa mumannya gamuntu mulala eranga kiyinzika eri omulala okumu jjako (nannyinilyo) musharia essaawa yonna gyayagala abaffe kimukakatako okujjamu khumusu kati oba okutuusa lwawandiikisa mumannyage?

Kimukakatako okujjamu khumusu katikati Singa liweza obulombolmbo obutaano obwayise okunyo nyola.

◘ Omusaala gavumenti gweewa omukozi omutuuze

Omwewogomi- oba akolanga atudde abaffe kimuka katako okujjamu khumusu wazifunira wennyini oba okutuusa nga kuyiseeko omwaka?

Ebifisseeko byajjamu khumusu nga omwaka guyise.

◘ Bwenzijamu khumusu ani gwenziwa?

Khumusu elimu ebitundu bibiri ekitundu kya lmamu muhammadi muntadhiri (a.s.) kikozesebwa mubintu ebisi imisa imamu okukozesa mubyo era nga kukkirizibwa na marijaa omumanyi ategeera empuyi zonna, oba zimu weebwa yemwennyini ate ekitundu ekirala kiwe bwa baavu ne baamasiikini nabatambuze abaana be njira abahashimi abakkiriza nabwekityo mubaavu nga bamulekwa abakkiriza mwemuli abakolera kubibakakatako muddiini yaabwe entereevu

Abahashimi agendereramu abeeguusa kusaidi ya taata wabwe eri Hashimi Jajja wa Nnabbi owekitiibwa MUHAMMADI (S.A.).

Byebyo, ate tekikkirizibwa kuwa khumusu eri oyo aliisibwa nenanyini kuwa khumusu nannyini maali nga taata oba maama, omukyala, omwana, nga bwe kitasaana kuwaayo khumusu eri oyo azikozesa muharaamu, wabula kyetagisa mukuziwa okubeera nti temuli kuyamba kukwonoono newankubaddenga sikukozesa muharaamu, nga bwekitasaana kuziwa mulesi wasswala oba munjwi wamwenge oba eyeyoleka nobwononefu.

Index