back

OKWOGERA KUKUNAABA

next

 

 

Ffe baabo olwaleero tujja kwogerazaganyaamu muku­naaba, Nzija kufulumako katono oluvannyuma lwoku­maliliza okwogerazaganya kwangekuno, nga nejjukan­yaamu mwebyo byenjize olwaleero, nga kwetegekera eri ebyo byenfunye leero, nga netaaga ne’byo bwempeered­dwa nessanyu, okutukuza omubiri okuva mubukyafu bwagwo kineeyagazisa, oba olyawo nyinza okwongerako kulwokwagala kwange amazzi no’kuzannya kwange nago, nokugaagala ennyo, kwongeramu amaddu amalala, Nzenzuuyo njagala amazzi kuvadda nagaagala kuvabuto, nga ngazannyiramu ne’maama, nabuli lwenfunawo akaseera okugazannyisa nokwe bbika mugo, nessanyu mugazannyisa, akaseera bwe kafunika- nyigiriza okuwuga ate okuwuga kuli mustahabbu nga taata wange bweya ngamba nalinga njagala amazzi buli lwenesambangako okuva kuye kulwennyonta, oba olyawo ennyonta yekyen­nyanja akisembeza neekirabakkanya okukyeesa mbisa kumwagalwa wakyo amazzi kulwobukaka nyavu bwom­woyo nobukuusiivu bwagwo.

 Yye, Nze mpalirizibwa namazzi, njokererwanago, okuva lwenakizuula nti mazimago gatukuza era gayonja- ate obuyonjo kyamubukkiriza Nnaaba nago omubiri gwange, ate go-gennaabisa era kitange olwaleero ajja­kumbuulira engeri gyennaaba mu.

 

OKUNAABA

Taata yagamba okunaaba kulimu emiteeko ebiri:

1- Okwebbika mumazzi.

2- Okunaaba kiyungo kukiyungo.

□ Okwebbika mumazzi kwekuliwa?

Kwekubunyisa omubirigwo amazzi omulundi gumu, ekyo ekifaananyi kyangu kulwamakulu gakyo era ama­kulu gaakyo gajja kweyongera okutegeerekeka mungeri eyomunda musitepu endala.

□ Okunaaba kiyungo kukiyungo kwekuliwa?

- Kwekunaaba omutweegwo mubujjuvu nensingoyo nabuli kintu mwebyo ebiyungagana nomubiri oku sooka, tewerabira kunaaba matuugo(ekyo ekiri kungulu mugo nga kirabika okuleka ebyomunda) oluvanyuma nonaaba omubirigwo nga otandikira kuludda olwaddyo nekitundu ekikwatagana nensingo nekitundu kuludda lwaddyo, olu­vannyuma ekitundu ekikwata kunsingo nekikwata ku­ludda lwaddyo.

Kisaana okunaaba omubiri oluvannyuma lwomutwe nensingo omulundi gumu notayawulamu ddyonekkono.

□ Abaffe okunaaba kulina obulombolombo?

Mwetagisaamu ekyo ekyetaagisa muwuzu ANNIYYA amazzi okuba amatukuvu, okubanga gali mubaahu, nga meerere simatabule, okutukuza ebiyungo byomu biri, okuliinanyisa mukunaaba ebiyungo, okwenaaza yeken­nyini singa asobola, obutabeerawo kiziyi za, mukukozesa amazzi nga kya sharia nga obulwadde “ddayo mu ssomo lya wuzu”

Naye okunaaba kwawukana kuwuzu mubintu bibiri njagala obinyeweze:

□ Byebiriwa?

1- Tekyetagisa mukunaaba buli kiyungo obeerenga otandikkira waggulu nga bwekiri muwuzu.

2- Temwetagisaamu- mukunaaba- kwanguyiriza na­kugobereza nga bwekibadde muwuzu, oyinza okunaaba omutwe nensingo, bwomala nonaaba omubiri gwonna oluvannyuma lwakaseera newanku badde nga omutwe gukaze, nga ggwe muwuzu bwonaaba ekyenyikyo noyita kunviiri zobukowe kowe bwamaaso onaaba kungulu kwabwo, ate bwosangula omutwegwo osiiga kungulu kwanviiri mugwo, ate nga kikakata mukunaaba okutuu sa amazzi kuddiba lyomutwe, nabwekityo kubu viiri bwo­kumaaso nobwokunnyindo nekirevu, ate oluvannyuma mazima....

□ Oluvannyuma kiki?

Oluvannyuma mazima okunaaba Janaba kimala nota­funa wuzu...

□ Amakulu gekyo mazima nze bwennaaba kulwe sswala simala nenfuna wuzu oluvannyuma lwokunaaba.

Yye, osaala nokunaabakwo kwokka awatali kufuna wuzu nga bwekirinti singa ennaaba zikukunga anirako eziwerako nga okunaaba Janaba ne Juma, okkirizibwa okunaaba olunaaba lumu nga onuwirira zonna, ate oyinza okunuwirira Janaba yokka nekumalira ebirala. [yye, mu­kunaaba Juma yokka olina okuleeta niya yayo kubanga yyo temalibwa nakunaaba kwonna.

□ Singa omukyala yeta’ga okunaaba Janaba naanaaba haizi -omwezi- (mp) ne Juma katugeze?

kimusobokera okunaaba olunaaba lumu nga naye anu­wirira byonna ekyo nekimumalira okuva kubi rala oku­jjako olunaaba lwa Juma nga bwewa tegedde.

Taatawange yayongerako:

Ngenda kukubuulira points ezinakugasa mukuna abakwo.

1- Olina okukakasa nti mazima ggwe ojjeemu era ojjeewo obuwuufu bwa- amazzi agazaala mukukulukuta obubadde kumubirigwo nga tonna ba kunaaba.

2- Ogezaako okulindirizaako osobole okufuka omusulo nga tonnaba kunaaba ofulumye ebisigadde mubukulukuta mumani wamu nomusulo.

3- Kikakata okujjawo buli kiziyiza kyonna oba ebibikka okugaana amazzi okutuuka kumubiri nga langi katugeze naye bwekyesonyiwisa oba nekizibuwala okukijjawo kyusa odde muku saaba enfuufu, ate ekiziyiza bwekibeera mubifo byokutayammama gezaako okugatta wakati woku naaba nokutayammama.

4- Buli shakka yonna ekuyingiramu mukunaaba eki­yungo oluvannyuma lwokukibuuka nga okimaze okuki­naaba nti okunaaba kutuufu oba nedda tekulina buwuufu bwonna era tokufaako.

Singa okwatibwa shakku mukunaaba omutwe gwonna nensingo nga kyokka olikunaaba omubiri ogusigaddeyo gwonna [kikukakatako okudda onaabe ekifo kyobuusabu­usamu].

□ Okunaaba Janaba, ne haizi (mp) ne-nnifasi ne kyalaalo, nokufa, nokukwata kumufu, ebyo byonna oba zonna Nnaaba nkakafu zawedde okuzogerako naye mu­kunaaba kwewayise okwa (Juma) Abaffe waliyo ennaaba endala zootambuulidde?

yye, waliyo ennaaba endala nyingi, naye ngazo ziri mustahabbu teziri wajibu ngenda kukubalira ezimu muzo:

1- Okunaaba kwajuma kuli mustahabbu enkakafu ne­kiseera kyayo okuva mukuvaayo kwa fajiri okutuusa okugwa kwenjuba nekisingako kweku naaba nga enjuba tennakyuuka.

2- Okunaaba kwa ihraami.

3- Okunaaba munnaku ebbiri ezaa “EDI-FITIRI ne EDI- ADHUHIYA” ekiseera kyennaaba zombi mukuvaa yo kwenjuba-al-fajiri-okutuusa lwegwa nekisinga ku­naaba nga EDI tennaba.

4- Okunaaba mulunaku olwomunaana nolwo mwenda mumwezi gwa zul-Hijja eyemizizo nekisingako obulungi mulunaku olwomwenda kubeerewo nga enjuba tenna­kyuka.

5- Okunaaba obudde obusooka, no’budde obwekkumi nomusanvu, nekkumi nomwenda, nolwamakumi abiri munnya, mumwezi gwara madhani ogwemikisa.

6- Okunaaba kwa istikhaara.

7- Okunaaba kwa istiQaa-e. (okusaba enkuba).

8- Okunaaba kwo kuyingira makka.

9- Okunaaba kwo kulambuula ka’aba.

10- Okunaaba kwo kuyingira omuzigiti gwannabbi (SAW).

Ennaaba ezozonna zigasa obutafuna wuzu.

Neeyo waliyo endala nnyigi ekifo tekinganya wano kuzogera zonna ezimu zigasa obutafuna wuzu eranga zezanywera musharia nga ziri mustahabbu ate ezimu tezi­gasa butafuna wuzu era nga zeezo ezitanyweera musharia kubeera mustahabbu nabukaka fubumala wabula tuzikola kusuubira kwetagisa kwazo oba okufunamu empeera.

□ Ekisigadde kukubuuza kibuuzo kyange ekisembayo:

Singa sirindirizaako namusulo okukamula oluvan­nyuma lwaJanaba, nessifuka, nennaaba bulikimu nekig­gwa, oluvannyuma newavaayo amanii nga gakulukuta oluvannyuma lwokunaaba newankubadde katondo?

kikukakatako okunaaba ogwokubiri newankuba dde nga amani gavaayo awatali bwagazi oba okuzannyinkiriza.

Nga bwekisaana era kikakafu kugwe okunaaba olwo­kubiri singa otegedde nti mazima ekifulumye katikati gabadde manii wadde nga tega jjidde mungeri eyasoose. 

 

Index