back

EKITUNDU EKYOKUSATU

 

 

EKITUNDU EKYOKUSATU

 

OKUTUNULAKO MU BYAFAAYO BYA SUNNA

ZA NABBI EZEKITIIBWA


 

OMUGABO GWA SUNNA ZA NABBI EZ’EKTIIBWA ZRI ABASUNNI

Abamu kw’abo abegulika nebebbulamu erinnya nti be ba (Ahal Ssunna) nga ate tebaaliwo mubya faayo, be balabe ba Suuna abo bennyi eri bannaabwe!! Ojja n’obalaba nga basitula amaloboozi g’abwe nga b’eyita byebeeyita n’okuleekaana n’okuvuma n’okuwagira okutu-usa lwebakusamaaliriza n’olowooza nti ddala beba Ahal Ssuna aba’amazima ddala, nebabeera nga omw’ogezi bweyagamba nti:

((omukazi yampaayiriza nansibako ensobiize ate ye neyejjamu n’azesamba))!!

Kwata ezimu ku Nnamba z’obujulizi n’ebiraga nti bo balabe ba Sunna za Nabbi ab’olulango n’ebyatuusibwa ku Nnabbi ne Sunna nga bikole bwa namikono gy’abwe:

EKITABO KYA KATONDA KITUMALA:

Bidi-ah esookera ddala okwetamibwa yey’okwa wula wakati wa Sunna nequr’an, n’okuwaayiriza nannyini suuna nti ayogeza bulwadde tategeera!! Ekyo kyakolebwa n’omuntu ow’omubo bennyini nga era ye Omaru bin Khattwaabu mu kiseera omubaka wa katonda (saw) weyagambira nga an’atera okufa nti: ((mujje mbawandi-ikire ekitobo n’ekiwandiiko temujja kubula oluvannyuma lwange)) omaru yagaana era n’aziyiza nga agamba nti: ((ye Abaddeki? Awunze n’obulwadde?!Ekitabo kya katonda kitumala)). Mikwaanogye negijja negyongera kukiga-mbokye ekyo nga balumirwa nebagamba nti: agambye nti: ((obulwadde bumuyinzizza amaanyi)) ne bawandiika mubitabo byabwe ebiyitibwa nti bituufu – oluvannyuma lw’okwogera omuswiiba ogwo – nga biva ku Ibin Abbasy nti ye yagamba nti: ((obuzibu bw’abuli kikangabwakyonna ekigwaawo bw’ava kukugaana mubaka wa katonda (saw) kubawandiikira kitabo kulwookwa wukana kwaabwe n’okw’ogera ebitajja)).[1]

Awamu n’ekyo ekikolwa kya Omar kyabawundira emitima gy’abwe, ne bamuyambako nebamugoberera kukigambokye okusinziira kubirimu byonna, okwo kwebasinziira nebagamba nti be ba Ahal Ssunna!!

Ekigambo kya omaru kyeyagamba lye Ttafaali erisooka, era gwe musingi ogwazimbirwaako amadhihibu g’abwe … Bwekibeera nti wano web’atandiikira kati bagenda kukomawa?

HADIITH YE NTEBE (ARIIKAH)

Abubakari yebagala obwa Khaliifa, kyeyatandiikirako kugaana kw’ogera Hadiith z’amubaka wa katonda (saw) n’okugaana okutunula mu Sunna za Nabbi (saw) munso-onga zonna eziba zibaddewo, kyeyava agamba nti: ((mazima mmwe mw’ogera Hadiith okuva kumubaka wa katonda zemugenda okwawukaniramu, ate nga abantu abaliddawo oluvannyuma lwammwe bebagenda okuba-singa okwawukana, kalenno temwogera kintu kyonna kyonna nga kiva kumubaka wa katonda, omuntu yenna ababuuza, mugambe nti: wakati waffe ne wakati wammwe waliwo ekitabo kya katonda))![2]

Bwatyo n’abeera nga yafuula okwawukana kwa abantu abamu nga musingi gwa kugaana Hadiith nga ky’atya kudda eri sunna, n’asalawo okudda eri ekigambo kya omaru ekyasooka nti ((Ekitabo kya katonda kitumala))!

Ekyo kyennyini Nabbi (saw) kyeyagamba neyeekesa mukyo, kyeyava agamba nti: ((wasuubirwa omusajja nga yesigamye kuntebeye, b’ogere Hadiith mu zimu ku hadiith zange, agambe nti: wakati wammwe newakati waffe waliwo ekitabo kya katonda omugulumivu, kyetwasanga mukyo nga kiri Halaal, tukifuule Halaali, ate kyetwasanga mukyo nga kiri Haraamu, tukifuule Haraamu!!

Abaffe mulabe buli kyonna omu baka wa katonda kyayafuula Haraamu kiringa katonda kyeyaharamusa))[3]. Olabye obukyaamu engeri gyebwa kakatamu mukiseera ekiberyeberye?

OKW’ONOONA HADIITH:

Oluvannyuma Abubakar yagezaako okuwandiika Hadiith, okutuusa lwez’awera Hadiith bikumi bitaano, naye teyabukeesa okujjako nga az’okyezza zonna[4]!!

Tulina okw’ogera ku Abubakari nga tumuwakanya kunsonga y’okw’okya Hadiith z’omubaka wa katonda (saw) ebbanga lyetunaamala nga tuli mumulembe ogutali gwakuteeka mimwa munsawo, kyetuva tugamba nti: omulimu gwe yakola ogw’okukungaanya Hadiith ebikumi ebitaano gulimbisa ebigambo by’abwe ebigamba nti okugaana okuwandiika Hadiith kw’alinga kwava ku mubaka wa katonda (saw), awamu n’okujjukiza nti okukungaanya tekirina makulu malala gonna okujjako okuwandiika nga twesembesa ekigamba nti nazokyo, obwo bujjulizi okuva muye nga bulaga nti tewaaliwo kugaana kuwandiika Haiith mukusooka. N’obujulizi obulala okuva muye obugamba nti yaz’okya nga tekiva kukuziyiza okw’asooka mu kuziwandiika, wabula kulwa-nsonga ya kutya Hadiith ezo butakwatagana nakituufu kyennyini, nakubeera nti yatya kwettika by’onoono byaazo zireke kubeera z’abulimba nga kiva kukukaka saakwe nti za Nabbi (saw)!.

Ekyo kya mubyewuunyisa ate nga bipyannyo: okusooka: omuntu alinga oyo tekimwetaagisa eri kkubo nga eryo mukukungaa nya Hadiith, ye nga omutwe omulamuzi, kimusobokera okugamba ba swahaba abakulu n’abakwaasi ba sunna mubo babeerenga bakungaanya Hadiith zebalina zebakwaata nezebawandiika nga b’aziwulira okuva ku Nnabbi (saw), oluvannyuma abawe omulimu gw’okunoonyereza n’okukakasa obutuufu bw’a-zo n’obutabeeramu bukyaamu bwonna, ekyo singa yalina omululu ogulumirwa Hadiith ezo,

Okusingako okubeera nga okukungaanya Hadiith oku-va kumuntu omu oyo gwa atayogera!

Eky’okubiri: Bwetugerageranya kukiseera kyeyasira-mukiramu ekiberyeberye kiba tekimwetaagisa kweya-mbisa muntu yenna mukwogera Hadiith okuva ku Nabbi (saw) mu Hadiith ezo zonna ebikumi ebitaano, kubanga tekirina era tekijja mumagezi okubeera nga talina byeya-wulira okuva ku Nabbi (saw) awatali kweyambisa muntu mulala yenna, ne wankubadde mukigero ekyo kyeyaku nngaanya, ekyo kiraga nti yayokya Hadiith zeyawulira ku Nnabbi (saw). Singa tubivuddeko netugamba nti byeyayokyo teyabiwulira ku Nabbi (saw)! Ekibuuzo wano kijja nti lwaki teyakungaanya z’eyawulira kulw’obu-yinzabwe nga azijja kunannyini bubaka (saw) abaffe yenga amagezi gamubaamuuseeko kumulembe gwa Nabbi (saw) nga tasobola kutegeera byeyawulira! Oba kyeyatya mu kuwandiika Hadiith kubeeranga emirembe egiddawo gitegeera omaru kyeyaziyiza?!

Eky’okusatu: Abubakari yayanjuluza n’olulimirwe nti ab’awulira Hadiith ezo ku Nabbi bonna besigwa, kati kivaawa okubabuusabuusaamu oluvannyuma lw’o kube-esiga? Era lwaki teyakola ekimukakatako kukubeera nga azanjula mu ba swahaba asobole okukakasa amazima g’oyo gweyesiga asobole okuzisemba, oba ategeere obuli-mbabwe amuyigirize? Okubikka kw’ebyo n’okuzibiriza amaaso kunsonga ezo tekulaga kunyooma sharia, era nekuvumb bula ensonga ez’ekweese emabega w’okwokya a Hadiith? Enkola ey’ewuunyisa bwetyo kuludda lwa sunna entukuvu yasobola okutegeeza oyo atayatuza nga abijja kukwagala kwe, okubeera nti asuubira okugwaawo ekikangabwa oluvannyumalwe nga bwetusoose okw’ogera muhadiith ya Ariikah.

Ekisinga okwewuunyisa okusinga awo, kwekubeera nti byayogerwa okuva ku Nabbi (saw) mumakubo mangi nga yekesa okukoma ku Qur’an yokka awatali sunna, n’okuka-ngavvula abayahuudi n’abanaswaara kubanga bo nga basoma Tawurat ne Enjiil byokka nebatagasibwa nabyo byombiriri. Kulwensonga nti tebafaayo kukwaata ku nnyukuta n’e mwebyo Ba Nabbi babwe byeb’abaleetera.[5]

EKIFO KYA OMARU MU SUNNA ENTUKUVU

Omaru yajja, n’akakasa okuziyiza Hadiith n’ayitiriza okunyigiriza ba swahaba abo ab’alinga bava mu madiina okugenda mubibuga ebirala, nga abagamba nti: mmwe mugenda eri abantu b’ekyaalo abalina okuwuma kwa Qur’an nga okuwuuma kwenjoki, temubazibikira ne Hadiith nemubatewaanya, mutongoze Qur’an ate muke-ndeeze Hadiith eziva ku mubaka wa katonda nange ndiwamu nammwe)).[6]

Okutuusa ka-abi bin Qurudha abantu bekuufa balinga bamubuuza ku Hadiith z’omubaka wa katonda (saw) nayenga tabaddamu nga abagamba nti: Omaru bin Khat-twaabu yatuziyiza n’atugaana)).[7]

Bweyamala neyebuuza kubaswahaba mu kuwandiika Hadiith z’omubaka wa katonda (saw) n’okuzikunngaanya, bonna nebeegatta kwekyo, naye ate oluvannyuma lwekyo yajja ate n’alagira buli yenna awandiiseewo Hadiith oba ekintu kyonna abeere nga ekisangulawo![8]

Bweyamala n’ayita buli alinawo ekitabo oba akab’a-awo nga kaliko Hadiith abeerenga akamuleetera, neba-lowooza nti obo oly’awo ayagala kuzikungaanya, bweba-mala okuzikunngaanya w’ali yaz’okya n’omuliro[9]!!

Bweyamala n’asiba abamu kubakulu mubaswahaba mu madiina okutuusa lweyafa. Olwensonga nti b’alinga tebagendereraku biragirobyo mukukisa Hadiith okugeza nga Ibin masuud, Abi Dar-daa-e[10], Abdullah Ibin Huzaifa, Aqaba bin Amir, ne Abi Huraira[11].

Omaru teyakoma kwebyo byokka wabula yagezaako okulwaanirira ku kikolwaakye nga aw’ayiriza ba swahaba bonna nti balimba mu kw’ogera Hadiith okutuusa lweya yimirira nga abuulirira mubo ebigambo ebibi, n’agamba nga abuulirira nti: mazima Hadiith zammwe zezisinga obubi, ate ebigambo byammwe byebisinga obubi, omuntu ayimira mummwe ayimirire nakitabo kya katonda, bwe-kitabeera ekyo atuule wansi)).[12]

Mubikolobero bya omaru ebyewuunyisa, ye teyakoma kukuziyiza Hadiith zokka, wabula yagaana abamanyi mu ba swahaba okutoola fatuwa nga agezaako okufuula omulimu gwa fatawa nti gweyawulidde bafuzi bokka.

Yava ku Ibin Siiriin nti omaru yagamba eri Abi Musa nti: ((Najjirwa amawulire nti mazima ggwe otoola fatuwa kubantu nga ate toli Amiiru?))

Yagamba nti: yee. N’amugamba nti: ebintu birekere bannannyini byo abali kubufuzi)).[13]

Ebisoose byonna byegattibwaako eri abasunni naye b’amulwaanirirako n’okweyita okw’obulimba kwebasiba ku Nabi (saw).

Kubanga bo bakakasa nti: mazima Nabbi (saw) yazi-yiza okuwandiika Hadiith!!

Kati ngeriki Abubakari gyeyawandiikamu Hadiith bwekibeera bwekityo okutuusa lweya kungaanya Hadiith bikumi bitaano, oluvannyuma n’azookya?!

Era ngeriki omaru gyeyeebuuzaamu ku ba Swahaba mu kuwandiika bonna nebakyegattako, nebawandiika, bweya-mala n’azookya?!

Bwekibeera bwekityo kati Hadiith ya Ariikah kitege zaaki?

Lwaki baziyizibwa okwefanaanyiriza ne banannyini Tawurat ne lnjiil?

Ebibuuzo Bingi byanjawulo, Naye tekuli ansa!!

N’ebitali ebyo bingi ebikulaga ebikwangala ebikulaga ebikwangala byebeeyita nabuli kyonna kyebaleeta okume-rengula nakyo amadhihibu g’abwe!

 

EKIFO KYA OTHUMAN NE MU-AWIYA MU SUNNA EZ’EKITIIBWA.

Omulembe gwa Othuman negujja, yayimirira nga abuulirira n’agamba nti: ((Tekisaanira eri n’omu kwogera Hadiith etawulirwaako ku mulembe gwa Abubakari ne kumulembe gwa omaru…))[14]

Naye mu-awiya alina engeri ndala ate kuludda lwa Sunna, okuziyiza okuwanvu kwamuyambako nekumu kubira ekkubo mu kuwandiika Hadiith n’okuz’ogera … nabeera nga yayimirira mubitendo bibiri:

Mu kisooka: okuziyiza Hadiith zonna okujjako Hadiith eyaliwo kumulembe gwa Abubakari ne omaru ne Othumani[15]. Naye Hadiith e’zaliwo ku mulembe gwa Imaamu Ali (as) ezo z’agaanibwa, kubanga Imaamu Ali ne Ibin Abbasy n’abalala bo b’ayogera Hadiith ez’aziyizibwa oluberyeberye.

Mu ky’okubiri: yayita abantu bateekewo Hadiith ez’obu limba nga z’ogera kubulungi bwa Abubakari ne omaru, ne Othumani ne baswahaba abalala abalina okuyo-mba gana kwonna ne Imaamu Ali (as) n’abantu bennyumba ya Nabbi (saw)! Okutuusa Hadiith lwezayi-tirira ez’obulimba abasomi ba khutuba bazijjulula kubitu-uti, abazadde nebaziyigiriza ab’anabaabwe, okutuusa ab’amazima abasinga obungi lweb’alowooza nti zo zamazima bwebatyo nebaz’ogera, singa bakimanya nti z’abulimba tebalibadde abaz’ogera.

Naye mwennyini mukiseera ekyo n’oluvannyuma lwakyo yalinga amaze okulagira abasirikale babeerenga bagoba buli yenna ayogera Hadiith nga eri kubulungi bwa Imaamu Ali (as) n’abantu bennyumba ya Nabbi (saw), era tebakkiriza bujulizi bw’abwe, era babalimbise babawaayi-rize n’okubeeranti bazuulawo ebipya mu Ddiini!.

Nekifuuka gyebali nga buli yenna aleeta Hadiith ya Ali oba abantu bennyumba ya Nabbi (saw) oba Hadiith za Nabbi (as) abalibwa nga mulimba nga ne  Hadiithiye, yetamibwa!

Olwensonga nti Hadiithize tezikwa tagana ne Hadiith zebasasaanya ba answaari b’obwa Khalifa omawiyya okutuusa lwezayatiikirira[16]!

OKUMANYA KWA ABASUNNI AKABENJE K’ABA-KULEMBEZE AB’ASOOKA:

Abamu kubamanyi be kisunni kunkomerero ye kyaasa eky’asooka b’asobola okulaba n’okutegeera akabenje akaava mu kugaana okuwandiika Hadiith mubutongole, nebeyambisa akakisa ke kiragiro kya omaru bin Abdul Aziizi okubeera nga bakungaanya Hadiith n’okuzi-wandiika, naye ekyo ky’aliwo luvannyuma lwakubeera nga z’atuusibwaako ekyazituukako neziyingiramu ekyazi-yingiramu, abantu abo nga bakulemberwa zuhair ya asinga abantu obutaagala ba omawiiyiina – batandiika okuwa-ndiika eby’ali munsawo z’amikwaano gy’abwe Muhadiith ez’ateeke bwaawo n’ezeebikwangala n’abasinga obungi mubo nga balowooza nti zamazima, era nebaleka zeyaya-wukanako kubanga zo Hadiith za bashia abo abataago-ndera ba bani Omayya munzikiriza nemubya Siyyasa.

Omaru bin Abdul Aziiz abalibwa nti omulembegwe gwegwaali entandiikwa y’okuggulawo okuwandiika Hadi-ith, teyalagira kubeera nti Hadiith zijjibwa kuba Nannyi-nizo, wabula yawandiika eri Abubakar bin Muhammadi bin Hazim amuwandiikire Hadiith Zanabbi ez’akakatawo gy’ali ne Hadiith za omaru[17]. Tekikwekweekako kukima-nya nti Hadiith za Nabbi (saw) zisangibwa eri ba Nannyi-nizo abo katonda beyasengejja n’abatukuza, era balinawo ebirungi binji mubantu abatuufu ne mubitabo by’abantu ebituufu, ebirungi byabwe tebibalika, tewali mulala atali abo nti alina Hadiith ziry’oke zinoonyezebwe kuye okujjako nga banoonya Nkyenga za mazima nabukyaamu, singa Ibin Abdul Aziizi Yali ayagadde mazima gennyini y’aliganoonyezza mubanannyinigo sosiganoonya kumuntu eyalwaanyisa ba nannyini Sunna za Nabbi entukuvu. Eki-tegeeza nti ye teyategeera mazima kubanga yalemwa okumanya ba nannyinigo, nayenga mukutwaaliza awamu yagaziya ekisaawe mumaaso g’abogezi ba Hadiith oluvan-nyuma nga amaze okulaba ebigendererwa by’okuziyiza okuziwandiika mukifananyi ekye yolefu nga kyeky’okwe-sambisa abantu baleke Sunna za ba Ahalul bait (as), babeeranga b’ekwaata ku sunna za omaru ezo ezateeke-bwaako ennyo ebiro woozo by’abantu okuziwandiika nga ziriwansi wakateni ya Hadiith z’omubaka wakatonda (saw)!!

Nawanonno abawandiisi ba Hadiith b’ekungaanya we bali n’ebitabo eby’awandiikibwa, ebiyitibwa: Sswihaah, Assunan ne Al masaaniid, Swahiih nebitabulwaamu obulimba n’ebikyaamu nga bingi, nga ebyo byakemebwa nabo okusinziira ku Siyaasa ey’obulyazaamaanya ey’eki-siru ensaliriza eyo eyabafuulira amazima nga bukyaamu ate nefuula obukyaamu nga ge mazima!

OKW’AWUKANA KW’ABWE KU SUNNA MUKUZIKOLERAKO:

Mu Sunna ezikolerwaako, abasunni b’az’awukanako mu bamanyi b’abwe, nga bagenderevu, era nga bakimanyi bulunginnyo, nga omaru bweyakola okusangulawo ((Hayya Alaa Khairil Amal)) mu kw’aziina, nga Othumani bweyakola okuleka okusala ku sswala mubiseera bya Hajji, n’okwongera mu kwaaziina kulunaku lwa Juma. N’okunaaba ebigerebyombiriri mukufuna wuzu mu kifo ky’okusiiga, n’ebirala bingi nnyo. Nga mu-awiyya bweyakola mukukyuusa sunna ekyennyume kya Imaamu Ali (as) n’akendeeza ku Takibiira mu Sswala, n’agaana talibiya mu Hajji, n’akakasizaddala ab’asooka by’ebazu-ulawo muddiini, abayambibe nebajja nebakookeramu Hadiith Nnyingi nga bagumya n’okukakasa ebyo byebasa-asaanya.

Nemwebyo ebyakuumibwa mubitabo by’abwe eby’esi gibwa: Hajjaaji ssafaaki yayimirira nga abuulirira mukuyi-giriza abantu wuzu! N’abalagira okunaaba ebigere by’ombiriri emirundi esatu esatu era n’aka lattirannyo kunsonga eyo, okutuusa anasi bin malik lweyayimirira, swahabiyya muweereza w’omubaka wa katonda (saw) n’agamba nti: katonda yayogera mazima, ate Hajjaaji ayogedde bya bulimba! Katonda yagamba nti: [musiige emitwe gyammwe n’ebigere byammwe].[18]

Bwebatyo bwebatabula Sunna ez’okukolerako nga bazitabulamu ebikyaamu ne bidi-ah nga bweb’ako la ku Sunna ez’okwogera mubigambo eby’ekitiibwa.

EBY’AVA MU KUZIYIZA OKUWANDIIKA HADIITH:

Bwekyamala okubeera nti mubyeb’akungaanya mu Sunna mwaalimu obukendeevu n’okubuza buza n’oku-koonagana, okutuusa lwe kyayatiikirira nga kiva ku Abi Haniifa Nnuumaan omukulu wa amadhihibu ga Hanafiyya nti yalinga aleka Sunna ne Hadiith z’omubaka wa katonda (saw) n’asalawo okukolera kundowoozaye[19] awamu n’oku-beerawo etteeka lya Sharia eryayogerwa ne Sunna ez’eki-tiibwa ez’akuumibwa eri ba Ahalul bait (as) ab’okubiri ku Qur’an entukuvu, nga abamanyi b’abwe abasinga bweb’awalirizibwa okukolera kundowoozayaabwe n’oku-lungiya ebintu ebimu, nebabeeranga b’ayingizaawo ebintu ebyo nga emisingi emipya ogy’okujjamu sharia, ne babiyita nti osuululfiqih, nabuli yenna eyagoberera emira-ndira gy’ebikolo ebyo tukisanga nga yegatta butereevu mu kumenyawo Sunna n’okugezaako okuzittira ddala. Olwe-nsonga nti ab’aziyiza okuwandiika Hadiith begabira bo bennyini obusobozi bw’amaanyi ate nga bugazi nnyo mungeri y’okunyiikiira ekyennyume kya Hadiith z’asharia y’obusiraamu, nebageragera nya ebintu n’ebibifaanana nebalungiya ebintu ebi mu kulw’okwagala kw’abwe. Ekyo kyabatuusa eri okunonooza okw’obutata muntandiikwa yensonga nga balinnyirira abamu kuba swahahaba nga bakakasa nti okwo okunyiikira kuli Bidi-a mu Ddiini kulw’okwawukana ku Hadiith zo omubaka wa katonda (saw), nekibeera nti okuddirira kwebyo bakhaliifa babwe byebanyiikiira kubyo, kwa bafuula abantu abafunawo ekkubo eddala nga lya maanyi mukuyimiriza okulinnyirira n’okuvumirira baswahaba abakulu, nga ekyo kibeerawo nakufuula nsibuko y’abyo nga ye Hadiith ey’ekitiibwa. Basobole okuwonya Qiyaasi yazaidi n’okulungiya kwa omaru.

Kale tukkirizza, kyali kirungi nnyo okusigalawo kwa ijitihadaat ezo (okunyiikiira) wabula enn’eyisa ezitaali kukigero kya sharia entukuvu, nga ate twannyonyoddedda muntandiikwaawatali kukoonagana kwonna nti abafuzi okuziyiza okuwandiika Sunna n’okuz’ogera, n’okuwagira okuziyiza okwo okuberanga Qur’an ey’ekitiibwa tekwa-atibwa, ate ebiseera ebimu nga balagira butagiragajjalira n’ebiringa ebyo mubujulizi obwempewo. Kubanga okud-dirira kundowooza – buli lwekubeeramu ensobi – kuteeka-wo ekifaananyi kyamaanyi kubo okubeera nti b’eteeka mubifo ebitali by’abwe, nekibeera nti tebalina buyinza bugamba ba Swahaba nti: ((mazima Hadiith zammwe ze Hadiith ezisinga obubi))!! Okusingako okutya okusasaana kwa amazima mukusasaanya Hadiith ez’ogera kubulungi bwa Ba Ahalul Bait (as) abanyagi bwa Hakki yaabwe.

Amazima ago abafuzi gebatayinz kuwuliriza n’akatono, nekibeera nti b’alinga balina okuziyiza Hadiith okuzooge-ra n’okuziwandiika mumikono gy’aba Swahaba muleke kubeeramu kyakulwaanyisa kyonna ekya Hadiith nga kye beyambisa mu maaso g’abafuzi okw’ogera ku ngeri ya siyaasa y’abwe nekkubo lya Fiqih w’abwe.

Okusinziira kwekyo kitegeerekeka nti ebikolo bya Fiqih w’abwe by’akulira ku kugezaako kumoggolawo Sunna nakuzitta oku viira ddala munsibuko y’azo, awamu nekyo n’okutuusa olw’aleero olaba abeteeka mu maaso nti bebaasooka bannaabwe mukuteeka wo omusingi gwa osuulu: wetegereze ensonga eyo, otegeere amazima ojja kumanya ba nannyinigo.

Mubintu byetwanjuluzza netubinnyonyola mu bitundu ebisoose kitegeerekeka bulungi okubulawo kw’obwe-nkanya nensonga eyekwasibwaako mu bintu abantu byeb’ateekawo n’okugwa kw’ebyo byebeyita byonna n’okukyuusa kyuusa kw’abwe okwonoonefu, katulekere omusomi omwenkanya atunuulire mukulongoosa okweki-manyi nsonga kumutwe ku buli kyonna ekyateekebwaawo munnemuluguunya n’ebyazuulibwaawo nga byabulimba ku Bushia ne byetukulembezza mukusooka mu Nnyanuku-la n’obujulizi obujjeewo obubonero bw’omuyombi waffe nebulaga okukoonagana kwabwe sinsonga ku musingi gw’andowooza oba kumusingi gwa nzikiriza.

[Ne mukama katonda alunngamya gwa aba ayagadde eri ekkubo eggoloko].

N’a matendo gonna ga katonda omulezi w’ebitonde byonna, n’ebyengera bibeere ku muhammadi ne kuba-ntube ab’atukuzibwa.

Nsaba katonda akulunngamye kale n’awe nsabira fenna tuyingire mu Jjana.

 

 

Kiwedde okuzzibwa mululimi

Oluganda nga ennaku z’omwezi

05 – 01 – 2000, makibuga

 Qum – IRAN.


 

[1] - Swahiih Bukhur 5: 137 ne 7: 9. Swahiih Musilimu 5: 76. Musinad Ahmad 1: 323 ne 324 ne 336.

[2] - Tazikiratul Huffaaz, ekya Zahabi 1: 2-3. Tarijumat Abibakar.

[3] - Sunan Ibin majah 1: 6/12. Sunan Ttirimiz 5: 37/2663. Yagamba nti eyo Hadiith Nnungi Hassan – Swahiih. Sunan Abi Dawuuda 4: 200/4664 ne 4605 luzuumu ssunna. Musinad Ahmad 6:8. Musitadrik Hakim 1: 108. Yagamba nti: Nago Swahiih. Musinad Sshafi-e 390: 430. Kanzul Ommaal 1: 173/877.

[4] - Tazikiratul Huffaaz 1: 5. Kanzul Ommaal 10: 285.

[5] - Sunan Ttirimidh 4: 104. Musinad Ahmad 160: 4 ne 218 ne 218. 5: 266, 6: 26.

[6] - Tazikiratul Huffaazi 1: 7. Sunan Ibin Majah 1: 12. Sunan Daraimi 1: 85. Musitadirikil Hakimu 1: 102.

[7] Musitadirikil Hakimu 1: 102. Kanzul Ommaal 9: 447.

[8] - Taqiyiidil Ilim, ekya khatwiibu al bagidad: 53: 53.

[9] - Taqiyiidil Ilimu: 53.

[10] - Musitadirikil Hakimu 1: 110.

[11] - kanzul Ommaal 10: 291/ 29472 ne 29479.

[12] - Tarekhel madiina 3: 16.

[13]- Kanzul Ommaal 10: 298/29505.

[14] - Musinada Ahmad 1: 363, kanzul ommaal 10: 195/2949 Ibin Sa-ad.

[15] - Swahiih Musilim 2: 718 kitab zaka. Ne AL Kamil, ekya Ibin Adyi: 133. Musinada Ahmad 4: 99. Tazikiratul Huffaz 1: 7. Tarekh Damashiq, ekya Ibin Asakir 3: 160. Tadiwiin ssunnah sshariifah, ekya seyyidil Jalaal: 474.

[16] - Shareh Nahajul Balaagh, ekya Ibin Hadiid 11: 44 – 46 ne 4: 63. Ne Naswa-ehil kafiyya limani yatawalla mu-Awiyyah, ekya Muhamamddi bin Aqiil: 97 – 99.

[17] - Sunan D’aramiyy 1: 126.

[18] - Al Ma-eda 5: 6. Ne mu Tafusiiri Ttwabar 10: 58/11475. Ah kamul Qur’an. Ekya Ibin Arabi 2: 577. Annasikh wal mansuukh, ekya Ibin arabi 2: 198. Al mihiwar aliwajjiizi 5: 48. Tafusiir Rraazi 11: 161. Tami-ul Ah kamul Qur’an, ekya Qurtubi 6: 92. Tafusiir Ibn kathiir 2: 27.

[19] - Tarekh Baghidad, ekya khatwiibul Baghidady 13: 412.

Index