Taata yatandika embooziye ekwata kumwezi gwaramadhani era muddobooziye ejjereere nga akanka na, nga ate mumaasoge mukunkumuka amaziga, ate nga mumwoyogwe mulimu okusinda nga kujula kugwabisa. Erinnya lya Ramadhani lisembera waali namakulu gonna agawoomerera amalungi agasaanira okuwulira nga mulimu okusonyiwa nemikisa nokusaasira nokusonyi Wa nokusiima.
Kulwokubeera nti ayagala okunyweeza okumatira kwe kuli, eraanyweeze okumanyakwe, yanzijulula nantwala eri ekifo ekirabibwamu nga kijjuvu kya kawoowo kobugulumivu nessanyu lyokwagala... mukifo omubaka (SAW) weyayimirira nga ye sitenseni ya’bantu benjuuye nemikwano gye nga ababuulira nagamba:
“Abange mmwe abantu mazima gwolekedde omwezi gwa- ALL-AH- nemikisa Nokisaasira nokusonyiwa ku mmwe, guno omwezi gwegusinga obulungi emyezi gyonna ewa ALLAH, ennaku zaamu zisinga ennaku zonna, ebiro obudde mugwo businga obudde bwonna, essaawa zagwo zisinga saawa zonna, gwemwezi gwemwayitibwa mugwo nga muli mubagabirwa ba-ALL AH< okussa kwammwe mugwo kubeera tasbiihi, okwebaka kwammwe mugwo ebeere lbaada, emirimu gyammwe mugwo gikkirizibwa, okusaba kwammwe mugwo kwanukulwa, musabe ALL AH omulezi wammwe nenniya ezamazima, nemitima emitukuvu abasobozese mukusiiba kwammwe nokusoma Qur,an mazima omwononefu yeyammibwa okusaba okusonyiyibwa mumwezi guno ogwekitiibwa.
Abange mmwe abantu mazima emiryango gyajjana mumweezi guno miggule, musabe omulezi wammwe obu tabaggalira bweru, ate emiryango gyomuliro miggale musabe omulezi wammwe aleme kujiggulawo kummwe, ate sheitaani nsibe, musabe omulezi wammwe ale me kujibasindikirako”.
Oluvannyuma yanjolekeza kusaidi endala mukhu tuba zannabbi owekitiibwa (S.A.W.), nga alabikanga ayagala okulaza kwekyo ekinsaanira okukikola mumwezi guno ogwemikisa, bweyamala nansomera ekigambo kyomubaka wa-ALL AH- (S.A.W.):
“Abange mmwe abantu omuntu mummwe bwaasiibulula omusiibi omukkiriza mumwezi guno, munsonga eyo aba alinamu empeera eyokuta omuddu eri ALL AH nokuso nyiyibwa ebyo ebyayita mubyononobye, kyagambibwa owange omubaka wa- ALL AH – sibuli nti o’mu muffe asobola okukola bwatyo, omubaka (S.A.W.) yagamba: mutye omuliro newankubadde nakatundu kantende omutye –ALL AH- newankubadde nalwendo lwamazzi, kubanga mazima-ALL AH- agaba mubintu ebyo empeera eri oyo aba akoze ako akatono bwaba tasobodde kukingi kusingawo...
Abange mmwe abantu omuntu olongoosa mummwe muguno omwezi empisaze aba-alina olukusa olumu kkiriza okuyita ku- sraatwa olunaku ebigere lwebige nda akuseerera, ate omuntu akendeeza muguno omwezi ebyo omukonogwe byegwafuna ogwaddyo ne ALL AH agenda kukendeeza kukubalibwakwe. Omuntu bweyekomako kubibiibye mumwezi guno ALL AH agenda kukendeeza kubusungubwe olunaku lwagenda okumusisinkana, omuntu asomeramu Qru’an abeera nempee ra eyomuntu amazeeko Qru’an mumyeezi emirala, omuntu agulumiza mugwo mulekwa ALL AH agenda kumugulumiza olunaku lwagenda okumusisinkana, omuntu bwayingira mugwo olulyolwe ALL AH agenda kumuyunga nokusaasirakwe olunaku lwagenda okumusisinkana, omu ntu bwakulawo’luyolwe mumweziguno ALL AH agenda kukutulawo okusasirakwe olunaku lwagenda okumu sisinkana”.
Bweyamala okukomekkereza embozi e’yo ekwata ku- kutuba yannabbi (S.A.W.) okutuusa lweyakangula kuddoboozi era nakalabula abamu kwaabo abasiibi abalowooza nti okusiiba kweziyiza kulya nakunywa byokka, nga akakasa okukalabulakwe ne hadiith ya lmam ALI (A) yagamba –muyo: “Bameka abasiiba nayenga mukusiiba kwabwe tebafunamu okujjako ennyonta, ate bameka abayimirira okusaala nayenga mukuyimirira kwabwe tebafunamu okujjako obukoowu.”
Bweyamala nayongerako ne-hadiith endala eya- lmam swadiq (A) yagamba muyo: “Singa obukeesa nga osiibye kirungi namatuugo gasiibe na’maasogo nenviirizo ne ddibalyo nebiyungobyo byonna.”
Bweyamala nagamba (A): “mazima okusiiba tekuli mummere nakunywa byokka, bwemuba musiibye mugezee ko okukuuma ennimi zammweobutalimba, era mukkakka nye kumaaso gammwe okuva kwebyo ALL AH byeya ziyiza, temuyombagana, temukoleragana nsaalwa, temu geyangana era temuvumagana, temulyazamanyanga... mwewale ebigambo byakalebule, no’kulimba, nokuyomba, nendowooza embi, nokugeya, olugambo, mubeere ekyoku labirako eri abalala, nga mulindirira ennaku zammwe mulindirira ALL AH kyeyabalagaanyisa, nga mwesibira entanda eyokusisinkana ALL AH, mulina okubeera abe kisa no’bukwaata mpola, okugonda nokwewombeeka, era abaddu abatya mukama waabwe abakkakkamu batiiraddala nga basuubira”
Nagamba kitange nga nfunye okutya no’buyitirivu bwokugonda nga butiisa: bwekiba bwekityo kiba kinkakatako okusiiba omwezi gwa Ramadhani mu guno omwaka, naye mmamya ntya nti omwezi gwa Ramdhani gutondise nange ntandike okusiiba?
Ekyo okitegeera nakunyweera kwakulaba mwezi gwa Ramadhani munsiiyo oba munsi eri okumpi neyiyo eyo gyemwegatta nayo mubiseera ekitegeeza nti omwezi bwegulabika munsi eyo newammwe gulina okulabika singa tewabawo kiziyiza nga ebire oba enkuba oba olusozi nebibifaananako.
Oluvannyuma kitange yannyumiza ekyafa’yo kyazuuka wo nomubaka wa-ALL AH- (S.A.W.), mazima yawulira Nabbi (S.A.W.): omukazi nga avuma omuwala nga naye asiinbye, omubaka wa- ALL AH (S.A.W.) namuyitira emmere namugamba:
“Lya emmere” omukazi nagamba: mazima nze nsiibye owangeggwe omubaka Wa – ALL AH. Omubaka wa-ALL AH nagamba “obera otya nga osiibye atenga ovumye muwalaawo mazima okusiiba tekuli mummere nakunywa wabula ALL AH ekyo yakifuula Jjiji kubisigaddeyo mubyobuwemu mubikolwa nemubigambo, kiki ekyayitiriza okulumwa enjala ate okusiiba nekukendeera.”
◘ Okulabika kwomwezi kukakata naki?
kukakata nabino ebijja:
Okulabaemmasuka yomwezi gwekennyini.
Okujulira abajjulizi babiri nga benkanya nti bagula bye awamu Na’butamanyaabwo mukubusizibwa kwabwe era nga tewali agaana kujilira kwabwe.
Walina okuyitawo ennaku makumi asatu (30) kumwe zi gwa SHABANI nomanya nti omwezi gwashabani guweddeko nokakasa era notandika nomwezi gwa ramadhani mulunaku.
Okusansaana mubantu nti omwezi gwa Ramadhani gulabise nokakasa oba nofuna obutebenkevu mu kulabika kwagwo.
◘ Singa mbasitegedde muntandikwa yekiseera abaffe okulabiika kwomwezi kukakase nsiibe oba tekukakase? Abaffe nsiiba nga ate simanyi nti olu naku lwenkya lwelusembayo mu-sha, bani oba lwelutandika mu-Ramadhani?
Lusiibe nga osiiba nti lunaku musha,bani, bwekikakata oluvannyuma Mubiseera byemisana nti lunaku mu-Ramadhani okyusa Niya okuva musha,bani nodda mu-Ramadhani nerukubalibwako muramadhani tewali-tabu. Okkirizibwa obutasiiba lunaku lwobuusabuusamu.
◘ Mmanya ntya okuggwako kwomwezi gwa Ramadhani era omwezi gwa showwali gutandise nsiibulukuke?
Ekkubo elyasoose lyennyini lyewategedde nalyo entandilkwa yomwezi gwa Ramadhani, era nolaba emmasuka ya showwali gwe kennyini oba...oba...
◘ Yye...yye. Singa kikakata gyendi nti omwezi gwa-Ramadhani gulabase?
- Kikakata kuggwe okusiiba nabuli kumusiraamu yenna omukulu, ategeera, nga talina buzibu mukusiiba, nga waali siimutambuze, era nga amagezige simabikke gaako ate kusaidi yabakyaala kikakata kumukyala okusiiba nga mutukuvu talina haizi yadde Nifasi, owa haizi (M.P) ne nifasi tasiiba, ate aliwa ennaku ezamuyitako mu kusiiba omwezi gwa Ramadhani oluvannyuma nga awo nye.
◘ Singa omuntu agaana okusiiba kulwokwetiisa yekennyi ni?
Omuntu atya kennyini okufuna obulwadde tasiiba obanga buyinza okuyitirira, oba okulwaawookuwona oba okweyongerako obulumi ebyobyonna okusinziira kuki gero ekisusse ekitasoboka kuguminkirizibwa.
◘ Ate omutambuze?
Singa atambula nga enjuba emaze okukyuka asigala nga asiibye, ate bwatambula nga fajiri tennaba awo asiibulukuka.
◘ Singa atambula oluvannyuma lwa alfajiri?
Bwatambula Ngafajiri eyise okusiiba kwe tekuba kutuufu sinsonga oba anuwiridde okutambula nga kiro oba tanuyiridde ate alina okuliwa.
◘ Bwemba njagadde okusiiba nsiiba ntya?
Omalirira okusiiba muntandilkwa ya alfajiri okutuusa enjuba lwegwa nga kwesembeza eri ALL AH omugulu mivu.
◘ Okusiiba tekitegeza kweziyiza kulya?
Yye.
◘ Singa Nnuwirira okusiiba biki byeneziyiza kubyo?
weziyiza ebintu bingi nga biyitibwa ebisiibulukusa era byebino biri mwenda:
1-2- okulya no-okunywa nga ogederedde mubungi oba mubutono.
◘ Singa mba sigenderedde nayenga nerabidde nti mazima Nze nsiibye nendya era nennywa?
Ebbanga lyomala nga togenderedde okusiibakwo kubeera kutuufu.
◘ Abaffe kikkirizibwa okunaaba akamwa kange nama zzi bwemmala nempandula amazzi ebweru?
Yye okkirizibwa okukola bwotyo naye singa oba oyagala kwennyogoza amazzi negagenda muddokoo li awo okakasibwako okuliwa ate singa werabira nomira amazzi awo toliwa.
◘ Abaffe nzikirizibwa okubbika oba okunnyika omutwe gwange mumazzi nayenga Nekuuma amazzi obuta genda muddokooli lyange?
Yye, okkirizibwa okukola ekyo newankubadde nga kyetamibwa olwetamibwa oluyitirivu.
3- Okugenderera okulimbisa ALL AH no-omubakawe (S.A.W.) oba ba-imam abakuumibwa (A).
Ate omusajja nomukazi nga buli omu asiibye?
Bakkirizibwa okwegatta mubudde bwa Ramadhani bwokka naye emisana kigaanibwa (HARAM).
Okwejjamu amani nemikonogyo oba mungeri eyekya ma yonna eba – ebaddewo.
Okugenderera okusigala kujanaba okutuusa fajiri lwevaayo, singa omuntu afuna Janaba mungeri yonna naye nga kiro, kimukakatako okunaaba nga fajiri tennaba kuvaayo, asobole okubeera mutukuvu alfajiri weviirayo abeerenga asiiba.
◘ Singa mfuna Janaba ekiro nessisobola kunaaba ku lwobulwadde katugambe?
Otayammama nga fajiri tennaba kuvaayo.
◘ Ate omukya’la?
Omukazi bwatukula okuva mu haizi oba Nifasi ekiro kimukakatako okunaaba fajiri egende oku vaayo nga mutukuvu era asiibe.
◘ Singa neroterera nenvaamu oluzzi olukulukuta nga amani ebiseera byemisana ate nga nsiibye kyokka bwenzukuse okuva mutulo nesanze nga Nnina Janaba?
Okweroterera kwomusiibi tekwonoona kusiibakwe Singa adda engulu musaawa yonna mumasaawa gemisana neyesanga nga afunye Janaba ekyo tekikosa butuufu bwakusiibakwe newankubadde nga tanaabye Janabaye.
Okugenderera okuyingiza enffuufu oba omukka nga bikwafu byombi muddokooli.
Okugenderera okusesema.
◘ Singa omusiibi aba tagenderedde kusesema wabu la nafulumya ebiri mubyendabye awatali kugende rera?
Ekyo tekikosa kusiibakwe.
Okugenderera okweyingizaamu oba okwejjanjabisa amazzi mumpiso oba ebintu byonna ebikulukuta nga amazzi.
◘ Singa omusiibi agenderera okwebagala elimu kubisiibuwkusa ebyogeddwako okusooka?
Akakasibwako okusiiba okusinziira kukuteefuula kuno okujja:
A= Bwasigala nejanaba mubugenderevu okutuusa fajiri lwevaayo asiiba emisana “kirungi okusiibakwe anuyiri re okwesembeza ekitegeeza amalirire okukola ekiragiro ekyolekezeddwa gyali awatali kutongoza nakwawulawo nti nsiiba kulwekiragiro kyokusiiba Ramadhani oba kweyigiriza mpisa.
B- Singa alimbisa ALL AH oba omubakawe oba okufeesa feesa munnyindo omukka oba enfuufu nga mpitirivu asiiba ekisigaddeyo mulunakulwe nga asubira okube ranti okusiiba kwetagisa musharia.
c- Singa asiibulukuka nekimu kubisiibulukusa ebira la asiiba kulwokusuubira nti kyetagisa musharia. Ate Kikakata kuye okwongera kwebyo okuliwa olunakulwe lweyayonona nokusiibulukuka ate alina okuwa omutango oba gwakuta muddu oba kuliisa bamasiikiini nkaaga (60) oba okussiba emyezi ebiri egiddiringana kubuli lunaku lwasiibulukuka sinso nga oba kiri halaali nga amazzi oba kiri haraamu nga okunywa omwenge oba okwejjamu amani nemiko no.
◘ Okuliisa bamasiikiini (60) kujjula kutya?
Oyinza okubaliisa direct olwonno kyetagisa okubakkusa amakulu nti okubaliisa emmere entegekere ddala nga eri mukigero ekibakkusa ate oyinza okubaweereza gyebali olwo nekikakata okubaweereza bisatu byakuna (KG) mukugeragera nya ntende oba ngaano oba omubere oba mukyeere mwebyo ebiyitibwa emmere buli lunaku ate to kkirizibwa kuwaayo maali wabula olina kuwaayo mmere nekigifaanana Sosikirala, oba okusigira omuntu ajikugulire bwamala agitereke yekennyini.
◘ Singa nsiibulukuka olunaku mu-Ramadhani naye nga kulwa kisonyiwisa nga obulwadde obuziyiza okusiiba oba olugendo?
Kikukakatako okuliwa mukiseera ekyo olina okulo nda olunaku munnaku zaasunazo ezitali IDI zombi lwe watambula.
◘ Singa obulwadde bugenda mumaaso buli obwangaana okusiiba mu-Ramadhani eri okutuusa ku-Ramadhani eddako?
-Okuliwa kuba kukuvuddeko, no’kakasibwako omu tango, nagwo nga olina okusaddaaka buli-lunaku bisatu byakuna ¾ KG mummere.
Nayenga sinnaba kusiibula ssomo lyakusiiba taata yagamba njagala okulaza kubino ebijja:-
Tekisaana kusiiba Nnaku zaa- IDI zombi “fitiri ne ADHUHA” mukuliwa nemubirala.
Kikakafu kumwana omukulu okuliwa okusiiba kuli okwasuba omuzaddewe kulwekisonyiyisa mwebyo ebi kakata okubiriwa natabiriwa awamu nokusobolakwe singa omwana omukulu tabeera mugayaavu mukiseera taatawe weyafiira oba okuziyizibwa mukumusikira.
Waayogerwa nti waliwo olukusa olukkiriza okusiibu lukuka mumwezi gwa Ramadhani eri abantu babale bubazi tebakakasiibwako kusiiba Ramadhani mubo:-
Omwami no- omukyaala nga bakadde bombi singa okusiiba kubeeramu obuzibu kubo obanga kubaleetera okukaluubizibwa, awo kibakakatako okuwa omutango buli- lunaku lwebasiibulukuka, ekigero kyomutango bisatu byakuna ebyemmere (KG) mungaano eranga yesingi obulunga naye tebakakasibwako kuliwa kusiiba,
B- Owo’lubuto nga alikumpi okuzaala eranga akosebwa singa asiiba oba okukosa olubutolwe, era akakasi bwako okuliwa oluvannyuma lwokuzaala.
C- omuntu ayonsa nga alina amata matono nga akose bwa nokusiiba oba omwanawe atenga okuyonsa kweya wulidde yyeyekka naye bwekitaba bwekityo takkirizi bwa kusiibulukuka, bwakkirizibwa kimukakatako oku liwa oluvannyuma- ngabwekikakata kubombi ayonsa no’wolubuto okuwa omutanga buli lunaku lweba siibulukuka ¾ KG mukugerageranya.
Nga bwekiri nti esswala mulimu wa’jibu ne’mustahabu no’kusiiba kulimu wajibu ne mustahabbu wabula kiri mumusitahabbu enkakafu, mazima kyayogewa mu-Riwa’ya
Hadiith –“mazima okusiiba ngabo okuva mumuliro” ate “mazima zaka ya-mibiri” era “omuddu kwagenda okuyingirira ejjana” era “mazima okwebaka kwomusiibi lbaada ate okussa kwassa nokusirikakwe tasibiihi, nemirimugye gikkirizibwa no’kusabakwe kwanukulwa” era “omusiini alina okusanyusibwa kwamirundi ebiri okusanyuka nga asaalano’kusanyuka nga asisinkana ALL AH omugulumivu”. HADIITH-enjogera-zakutira kukusiiba okuli musitahabbu.
Okusiiba ennaku ssaata bulimwezi, nekisinga kusiiba lwakuna olusooka mumwezi nolwokuna olusembayo mumwezi, nolwokusatu olusooka mukkumi ezookubiri mumwezi.
Okusiiba olunaku lwamazaalibwa gannabi owekitiibwa nolunaku lwokutumibwakwe.
Okusiiba olunaku lwa Gadiiri.
Okusiiba olunaku olwa (25) mu-zil-ka-ada
Okusiiba olunaku lwa (24) mu-zil-Hijja
Okusiiba omwezi gwa Rajabu gwonna oba ekitundu mu gwo
Okusiiba omwezi gwa SHA-BAN gwonna oba kitundu mugwo.
5- Kunkomerero taata yambuulira Riwa’ya eno nga eva ku ABI-ABDILLAH ASSADIQ (A): “mazima mubujjuvu bwokusiiba kutoola zaka” ekitegeeza zakatil fitiri.
Bweyamala nayongera na’gamba kikakata kubulimukulu alina amagezi alina ekyokulya mumwaka okutoola zakaati al-fitiri kuye kennyini no’yo gwalinako obuyinza, nga alikumpi oba oliwala, mukulu oba muto, newankubadde omugenyiwe bwaba amukyalidde nga obudde tebunnaba kuziba obwa IDI- fitiri oba oluvannyuma lwokuyingira kwobudde (okuziba kwabwo) neyegatta kubantube nabalibwa mwabo balinako obuyinza.
Ekigero kya zakaatil fitiri buli kumuntu (3KGs) mungaano nomubere oba entende oba enzabibu nebirala ebibeera ekyokulya bulijjo oba ekyenkana nakyo mu ssente nga abiwaayo oba abyawulako ekiro kya IDI oba emisana nga swala ya IDI tennaba eri oyo agisa ala no’kutuusa okukyuka kwenjuba eri oyo aba tugisadde
Nga agiwa baavu nebaamasiikiini mwabo abasaanira zaka ya-maali “ tunula mussomo lya zaka”
Manya nti mazima zaaka atali hashimi tesaanira muntu ayitibwa hashimi singa agiwaddeyo si-muhashimi
Ate zaka yafitiri teweebwa eri- oyo akakata kumuntu agitodde okumulabirira nga taata oba maama oba omukya la oba omwana.