back

OKWOGERA KUSSWALA

next

 

OKWOGERA KUSSWALA

Kakati ffe baabo tutuuse mukwogera kwaffe kubikwata kusswala- taata bweyagamba- ate “esswala nga bwekyayogerwa muhadiith yannabbi owekitiibwampaji yaddiini bwekkirizibwa nebisigaddeyo bikkirizi bwa, bwegaanibwa nebisigaddeyo biganibwa”.

Mazimayo ndagaano nakusisinkana ebyagererwa ekise era nga binywevu wakatiwomutonzi nebitondebye, ALLAH yateekawo ebiseera byazo ebirungi na- makubo gazo, nebifananyibyazo nengeri yayo mungeri yokwesinza… ebyo byoyimirirmubyo mumazo ga ALLAH, nga oyelekedde gyali namagezigo nomuti magwo nebiyungobyo, oyogera naye nomwegayirira, nogabirwa ebyengera nga amagezigo gesengejja, nofu na obuwomerezi nobulongoofu nobuwomu bwokutuuka nokumusisinkana kyamubutonde okufuna ekitiibwa nokutya okwokwagala nga nawe oyimiridde mumaso ga ALLAH omugulumivu… omusasizi kuggwe, omukwata mpola embeerayo, omuwulize ate nga mulabi.

Mazima okubbinkira kwa Jajjawo Amiiril- moumini na (a.s) mukumwesinza omuleziwe nokwolekerakwe gyali yennayenna kali kakisa akasanira okusowola akasaale mumubirigwe mulutalo lwe “swiffiini” ekya mufuula nga atewana nobulumi bwomubiri gwe nga awanjagira omuleziwe.

Ate yali imamuwo ZEINIL-ABDIINA (a.s) nga bwatawaza okusaala ebbala limyukirira nebamuga mba abantube: kiki ekyo ekikutuukangako nga otawaza naddamu nagamba: “mukimanyi nti mumaasogange wali wo gwenjagala okuyimirira kululwe”.

Yali nga bwayimirira musswala atandika okukankana, era nayanukula oyo aba amubu ziizza: “Njagala kuyimirira mumaso gamutonzi wange mberenga mmwegayirira, nekulwensonga eyo kwekukankana”.

Ate imam kazimu (A.S) yalinga bwayimirira muku saala neyeyawula nomuleziwe akaaba ebiyungobye nebikubagana, omutimagwe negukubagana kulwoku tya ALLAH owekitiibwa.

Lwaki Rashiid ekizikiiza kyekkomera kya muletera okweyawulira okugondera ALLAH nokumwe sinza, nga yebaza omuleziwe okumutegekera aka banga ako akalungi akagalibwa gyali nga ayogere nomuleziwe bwagamba: “muleziwange mazima nze ebbanga lyemmaze ngambadde nkusa ba omfunireyo akabanga mbeere nga nkwesinza kati amatendo kunsonga eyo”.

Ate yyo- eswala kwolesa kuwulira okwokungu lu kulwekyetago ekyomunda nga kisibuka mumutima, esswala kwekwewayo kulwa ALLAH owekitiibwa nokukwatagana nomutonzi omutonzi webitonde, omuyinza, nanyini bufuzi, mukiseera wogambira nti (ALLAHU AKBAR) nga otandika esswalayo, mazima ekintu maadda nenkolayakyo nebikifanana nabulikyonna ekikiriko kijja kutoniwa mumwoyogwo oba olya wo kyakasebengerera kubanga oyimiridde mumaso gomutonzi wensi, oyo eyemalilira kubwenyini bwakyo eyakigonza okusinziira kukwagalakwe yeyemunene okusinga bulikintu era yalina bulikintu mubuyinzabwe.

Atemukiseera wogambira : nga nawe osoma suula AL-Hamudu: “GWEWEKKA GWETWESINZA ERAGWE- GWETUSABA OKUTUYAMBA” katiggwe onaaba omubirigwo okuva buli- mubuwuufu kulwokusaba okuya mbibwa nokwewala ekitali ALLAH omuyinza wabyona omulamuzi kyonna ekiba kibadde.

Kunsonga eyo eyagalwa kulwokugonda ojjakube era nga onaaba bulilunaku emirundi etaano: kumakya muttuntu ku-asri, magribi, ne ISHA-A.bwoba oyagadde oyongera kwejo ekibakikusanidde ebyagalwa.

◘ Amakulu gekyo kirinti mazima esswala mulimu eziri WAJIBU ne MUSTAHABU. Enkakafu nezitali nkakafu-?

- Yye, waliyo eziri wajibu nendala mustahabbu.

Esswala eziri wajibu nzimanyi… mazima zezo zetusaala bulilunaku, era zezino: swala yasubuhi ne zuhuri ne asri nemagaribi ne isha.

- Sizeezo zokka nti zesswala enkakafu wabula waliyo esswala endala enkakafu era zeezino: 1- swalatul Ayaati.(ejjakwogerwako.)

2- swalat Twawafu enkakafu mu-umura ne mu-Hajji. (ejjakwogerwako gyebujja mumaso).

3- okusaalira kumufu.(nayo ejja mumaso).

4- Esswala eyo omuzadde gyatasaala, nebeeranga ekakata kumwanawe omukulu okujiriwa oluva nyuma lwokufa.( ejjakwogerwako mumaso).

5- Esswala ekakata kulwokupangisa oba okweyama oba okulayira eyonno eyawuka na okusinziira kukwawukana kwebiseera.

Wabula esswala eyabulijjo erina ebitandiikirwako biribitano:

1- Ekiseera kyesswala. 2- Eqbla. 3- Ekifo kyesswala 4- Engoye ezoyo asaala.5- Okwetukuza muswala.

Taata yagamba: kisaana obutawubisibwa nti ebintu ebyo ebitano tebyetagisa musswala ezitali zabulijjo- muswala enkakafu neziri mustahabbu – kubanga ebintu ebyo byetagisa okubeerawo mubujjuvu insha- allah.

Kakati kanzire kukuteefuula ebintu biri ebutaano kimu kukimu.

Obakyekyo ojjakutandika nakiseera kyasswala.

- Yye, nebitandika mubyo.

1- Ekiseera kyesswala bulisswala eyabuliru naku erina ekiseera ekyajigererwa, era tekisaana kukuvayo kwa al-fajiri okutusa kukuvayo kwenjuba ate ekiseera kyazuhuri ebbiri (zuhuri ne asri) kitandikira mukuchuka kwenjuba okutuusa lwegwa Ekiseera ekisooka kyeyawulidde swalabi suhuri ate ekisseea ekisembayo kya swalati Asri mukigero ekyozisaliramu.

Ntegeera ntya okuehuka kweenjuba, nga kyekiseera ekitandikirwamu zuhuri zombi?

- Mazima kibeera wakati wokuvayo kwenjuba nokugwa kwayo.

Ate ekiseera kya isha zombi (magaribi ne isha) kyokitandikira mubudde wakati, ekiseera ekisooka kyeyawulidde swala yamagaribi ate ekisembayo kyaswala ya isha mukigero kyo kuzitukirizamu.

Totandika swala yamagaribi okujjako nga ebire ebimyufu bivudde emashiriq waggulu (ebuvanjuba)

Ebimyufu ebyemashiriq kyekki?

- Mazima biba bimyufu waggulu kuggulu kuludda lwe buvanjuba opoziti yoluddaolu gwako enjuba era bivayo luvanyuma lwa kugwa kwanjuba.

Ngerageranya ntya wakati wekiro, awo ekiseera kyaswalat isha wekikama?

- Mazimakyo kiseera kiri wakati wakugwa kwanjuba ne alfajri.

singa obudde buziba nessisaala swala ya magaribi ne isha nga nkigenderedde?

- kikukakatako okwanguyiriza okuzisaala nga alfajri tennavayo nga onuyirira kusembera eri ALLAH kyokka. Awatalikunuyirira kutu kiriza swala oba kuliwa swala awamu nokwegendereza buli musswala nakwo nga kwekukakasa okuyingira kwekiseera nga to nnaba kutabdika eswala sinsonga oba ebeera swalati fajri oba zuhuri oba asri oba isha oba magribi

2- QIBLA: kikukakatako okwolekera muqi bula nga osaala, ne qibla- nga bwomanyi kyekifo ekyo ekisangibwamu ka’aba eyekitiibwamecca.

Bwemba sisobodde kumanya saidi ya qibla oluvanyuma lwokuwayo obunyinkivu bwange nembulwa buli bubonero bwonna bwennyinza okwesigamirako ntegeere qibula?

- Saala nga otunudde kuludda lwosubira okubeerako qibla.

Bwemba sisobodde kulondako luddalwonna?

- Saalira kuludda lwonna lwosubira oku beerako qibla.

Bwenkakasa nga oludda lwonna lweluliko qibla, nensaala, oluvanyuma lwesswala nemma nya nti mazima nze mbadde kunsobi?

- Singa okwawukanakwo kuqibla kubadde wakati waddyo ne kkono swalayo ebeera ntuufu… naye singa okwawukana kuba kusingawo, oba swalayo nga ebadde ku- opoziti said neqibla naye nga ekiseera kyaswala kikyaliko, damu swalayo, naye ekiseera kyaswala bwekiba kiweddeko, tekikukakatako kugiddamu.

3- Ekifo kyo-omusaaze [genderera ekifo kyasswalayo kirina okubeera kyahalali kubanga esswala tetuuka nga ekifo mwo gisaaliidde kyakunyaga.)

Ate ekifo ekyetagisa okuwa khumusu nayenga tomuwadde kibalibwamubyokunyaga okugeza nga enyumba oba capeti oba ebirala ebikwata kukhumusu bijja, wabula tekye tagisa kugwa mubugayavu nobutafayo nga ate banji bakiyingira nebaziyiza ebivu nanyizibwa bya ALLAH mubugagga bwabwe .

Tukitwale nti ettaka teri badde lyakunyaga neayenga liliko capeti enyage obunyazi.

- Nabwekityo swalayo tebantuufu kukapeti enyage. Taata yayongera nagamba:

Kikakata ekifo mwovvunnamira kirina okuba kiyonjo kitukuvu nga sikinajisifu.

Ogendereramu ekifo ekyokuvvunama, ekifo ekyokuvvunnamirako nekyenyi?

- Yye, kutukuza kifo kyakuvunnama kyokka, ekitegeeza ettaka “Turba” nebirifanana mwebyo kwovvunnamira.

Ate ebifo byesswala ebisigaddeyo, ekifokye bigere byombi okugeza ekifo ekikozesebwa omubiri gwonnamusswala?

- Temwetagisa butukuvu, singa kiba kikyafu naye nga obukyafu bwakyotebutambula kutuuka kumubiri oba kungoye kikkirizibwa okukisaaliramu esswala.

Wasigaddeyo ebintu ebyeyawulidde ekifo kyoyo asaala ngenda bbikubulira mungeri ya pointisi

1- Tekisaana musswala oba mukintu ekivala kukuba ntaana zaba ma, asuumiima mabega smga mukuziiku amabega mubeeramu obukyafu bwempisa

2- Swala yomusajja oba omukazi tetuuka singa baba baliiranaganyi oba singa bayimirira kulaini emu nebe nkanankana oba singa omukyala okulembera omusajja okujjako nga waliwo ekyawula wakati womusajja nomukazi okusukka muyadis kkuumi nga opimisa mukono oba nga waliwo kisenga.

3- Kiri mustahabbu okusaalira mumuzigti, era nga emizigiti egisinga obulungi gwemuzigitigwa haram emacca no- omuzigiti gwannabbi no-omuzigiti gwe kuufa nomuzigiti ggwa Aqswa.

Nga bwekiri mustahabbu okusaalira esswala mu- mashahidi gaba imam bama- asuumu (A.S).

4- Ekisinga obulungi kumukyala kwekulonda wo ebifo ebisinga okubeera ebibikkirire mwaba- asaali ra, newankubadde munyumbaye.

(4) ENYAMBALA YOMUSAZE, MULIMU BUSHURUTU. “OBULOMBOLOMBO”

1. Ekyambalo kirina okuba kiyonjo nga sikyakunya ga, ekyonga kyeyawulidde olubikka obwerere era ekyo kyawukana embeera yakyo kumusajja nomukazi, kubanga kimala engoye ezomundazokka okubeera halali nga empale enyimpi eri aba sajja, kyokka kubakyala ekyotekimala kulwo bugazi bwekifo kyabikka musswala omubirigwe gwonna okujjako ebyajjululwamu.

2. Obuteabeera nga kimu kubintundu byekintu ekifu nayenga bwekiba ekiramu kiba halali, nga eddiba lyekisolo ekisaliddwako mu- sharia newankubadde nga lyokka terimala kubikka bwerere.

Abaffe okusaalira mumusipi ogweddiba esswala etuuka nayenga gujjiddwa mumukono gwamusiramu, obanga gwakolebwa munsi yabasiramu, kyokkanga tetumanyi kusalibwa kwakisolo ekyo musharia?

- Yye, swala ebeera ntuufu okujisaaliramu.

Ate omusipi gweddiba ogwajjibwa mungalozo mukaafiiri, oba ogwakolebwa munsi yabakaafiiri.

- Swala ebantuufu okujjako nga otegedde nti guvudde mukisolo ekitasaliddwa musharia.

Bwemba sirina bukakafu nti guno omussipi guvudde gwakolebwa muddiba lyabutonde oba ddiba kkolerere?

Okkirizibwa okusaliramu bulimugeri yonna.

3. Engoye zomuzaaze zirina okubanga tezakolebwa mubitundu byansolo nkambwe, singa byebigendaoku bikka obwerere, oba mubisolo ebirala ebitaliibwa nyama yabyo.

4. Obutaba lwa haliili (feeza) mwerere kusaidi yaba sajja, ate bo abakyala bakkirizibwa okusaalira mu haliili (feeza) omwerere.

5. Obutaba nga lwa zahabu mwerere oba ata buddwamu nayenga bwomulaba omunya nti zaabu atali oyo atategerekeka kusaidi yabasajja.

Singa ebeera mpeta yakumukono oba kinyere kyabufumbo ekyomunkoto?

- Newankubadde nga mpeta yakumukono oba kinyere kyamubulago ekyobufumbo, mazima swala teba ntuufu eri omusajja nga yasaliddemu mukyo nga bwekiri nti kizira kumusajja okwambala zaabu lubeerera.

Newankubadde mukiseera kyesswala?

- Lubeerera… bulijjo yadde mukiseera ekitali kyasswala.

Ate amannyo gazaabu agomuada agakolebwa eri abamu kubasajja, nessaawa eya zaabu abamu bajisitulira munsawo?

- Ebyo bikkirizibwa eri abasajja era swala zaabwe ziba ntuufu.

Singa omusajja abatamanyi nti empetaye ya zaabu kyokka najisaliramu, oba abadde amanyi ntiyazaabu neyerabira nagisaaliramu bwamala najju kira oba namanya oluvanyuma lwokuggwa kweswala.

- Swalaye ebantuufu.

Ate abakyala…?

- Bakkirizibwa okwawbala zaabu lubeerera era swala muzaabu ebantuufu kusaidi yaba kyala.

Wasigaddeyo munyambala yomusaaze ekintukimu nga kirina omugaso, kyekino abaffe kikakata kumu sajja okubikka obwererebwe musswala nganabwo bwebusajjabwe nentulaze nawafulumizibwa empi tambi?

Ate kikakata kumukyala okubikka omubirigwe gwonna musswala nenviirize newankubadde nga ali yekka tewali amulaba okujjako ekyenyi okuyisa awo akakaya wekatabikka bulijjo nga kakka kukitetaiyi, nebibato byombi okutuusa mu nyingo omukono wegutandikira, nebigere byombi oku tuusa muntandikwa yentumbwe ebyo tebibikikibwa.

Ebyo byebitandikirwako musswala.- taata yeyaga mba- Ate yosswala yenyini guba mulimu nga gwegatta mu ebitundu bingi nebimu nga bikakafu “wajibaati”

Byebino: okuleeta Nniya, takibiiratul lhram, okuyimirira, okusoma al- hamudu, okwogera ku-ALLAH, okukutama, okuvvunnama, okuleeta tashahuddi, okutoola salamu, nga ogenderera mubintu ebyo okwanguyiriza nokulina nyisa nga bwojja okumanya.

Lwaki totandise nakwaaziina oba nokukima swala?

- Nga sinnaba kwanukula kibuuzokyo njagala nkugunju le nti mazima ebimu kubitundu ebyo byetugambye biyitibwa mpaji nganazo zezino:

1- Enniya 2- Takibiratul Lhram 3- Okuyimirira 4- Okukutama 5- Okuvunnama.

Ate ebitundu ebisigaddeyo byeyawulidde nakwo noona swala nga okujikendeeza nobugenderevu oba okwerabira.

Kati nzira kukwanukula ekibuuzokyo:

Okwaziina nokukima swala muswala eyabulijjo enkakafu kitwalibwa nga kiri mustahabbu enka kafu era esaana omusaze okugireeta, nayenga kikkirizibwa okubireka.

Taata wange yayongera nagamba nga ankuutira:

Nkwegombesa obutaleka kwaziina nakukimaswala musswalaazo eziriwajibu ezabuli lunaku kyadda ki n        ofiirwa empeera yabyo byombi (ALAZHAN WAL- IQAMAH)

Bwemba njagadde okwaziina njaziina ntya?

- ogamba:

 

ALLAHU AKBAR

Emirundi eena. ×4

ASHlHADU ANLA ILAAH ILLALLAH

Emirundi ebiri ×2

ASHIHADU ANNA MUHAMMADA RASULULLAH

Emirundi ebiri ×2

HAYYA ALASSWALAH

Emirundi ebiri ×2

HAYYA ALAL- FALAH

Emirundi ebiri ×2

HAYYA ALAKHAIRIL AMALI

Emirundi ebiri ×2

ALLAHU AKBAR

Emirundi ebiri ×2

LA- ILAHA ILLALLAH

Emirundi ebiri ×2

 

 

 

 

Ate okukima swala?

- Mukukima Swala ogamba bwoti :

ALLAHU AKBARU

Emirundi ebiri ×2

ASHIHADU ANLIA ILAHA ILLALLAH

Emirundi ebiri ×2

ASHIHADU ANNA MUHAMMADA RASUULULLAH

Emirundi ebiri ×2

HAYYA ALASSWALAH

Emirundi ebiri ×2

HAYYA ALAL- FALAH

Emirundi ebiri ×2

HAYYA ALA KHAIRIL AMALI

Emirundi ebiri ×2

LA- ILAHA ILLALLAH

Emirundi ebiri ×2

 

Ate nga toyogedde kushahada ebbiri eza wilayati imam Ali bin Abitwalib Amiiril mu-umini na (A)?

- Mazimayo kuba kuba kujjuza shahada yamubakawa katonda ete eri mustahabbu, nayenga tebalibwa nga kitundu mukwaziina oba mukukima swala.

Ekitegeeza ekitundu kyesswala ekisooka kye wayise ggwe nti Nniya?

- Yye.

Niya kyekki?

- Kwekugenderera esswala nga oyagalakwesinzanayo nga okyalira ALLAH olukyala olwokwekkakanya.

- Njagala otegere okweyongera oba okukyala okwokwekakkanya mukifananyi ekyeyolefu.

- Okukyala okwokwekkakanya gwogwe mulimu ogwo mumwoyo ogulinanyisa ebikolwa ebyokwesinnza omuntu byawulira nabyo nti mazima yemuddu omukkakamu mumaso ga ALLAH omugulumivu.

Abaffe Niya erina enjatuza egyeyawulidde?

- Nedda, mazimayo mirimu gyamumutima sosirulimi, nolwekyo nga ekifo kyayo mwoyo wabula mazima ggwe bwoba togenderedde musswala kwesembeza nakwekkakanya eri ALLAH nennenyenyazo ezo zokolamuswalayo Swalaayo ebanfu.

EKYOKUBIRI: TAKBIIRAT AL- IHRAM.

Takbiratul ihramu kyekki?

- Ogamba: ALLAHU AKBAR. Nga nawe oyimiridde kubigerebyo nga otebenkedde mukuyimirirakwo nga oyolekedde muqibula... ogamba mululimi oluwarabu, nga oyanjuluza mukwatulakwo ennyukuta ya hamuza muddoboziyo mukigambo “AKBAR” nabwekityo enyukuta ezisigaddeyo.

Ekisinga obulungi kwekwawula wakati wa takibi ratul lhiram eyo nentandikwa ya suurat al- ha mudu noyawulawo nekintu kyonna nga okusirika akatono waleme butabawo njawulo wakati watakibiratul ihram ne ssuula AL- hamudu.

Ogambye nti kikakafu okutoola takibira nga oyimiridde kubigerebyo, Singa obeera mulwadde notasobola kuyimirira kubigerebyo yadde kwesiga ma kumuggo oba kukisenge oba kukintu kyonna kati awo okola otya?

- Saala nga otudde, bwaba tosobodde bwo tyo saala nga ogalamidde kuluddalwo olwaddyo oba olwakkono nga ekyenyikyo kyolekedde muqibla, “kikakafu okukulembeza oludda olwaddyo kulwakkono Singa wabawo obusobozi.

Bwemba sisobodde?

- Saala nga ogalamiridde kunkoonayo nga ebigerebyo biri muqibla gyebitunudde.

Bwemba nsobola okuyimirira mukutoola takibla yokka nessisobola kugenda mumaso nga nyimi ridde?

- Kikukakatako okutoola takbira nga oyimiridde nogende mumaso neswalayo nga otudde obanga webase nga bwenkunyonyodde.

EKYOKUSATU: AL- QRA’AT.

- Kujja oluvayuma lwa takbrat ihram nga osoma suula ya AL- hamudu ne ssuula enzijuvu endala oluvanyuma lwa AL- hamudu okusoma okutuufu awatali nsobi ate tewerabira kusoma bisimillah buli muntandikwa yessuula okujjako suula yatawuba ojisoma nga bwogisanga mu qru’an.

Singa ekiseera tekinzikiriza kusoma suula yakubiri eri gyensoma bulijjo oluvanyuma lwa AL- hamudu?

- Leka okusoma suula osome al-hamudu yokka era bwotyo bwokola nga olimulwadde nga tosobo kusoma suula yakubiri oluvanyuma lwa AL- HAMUD obanga obadde olikutya oba olimangu.

Ngeri gyensomamu essuula ebbiri?

- [Kikakata kumusajja oba abasajja okusoma suula zombi mulwatu muswala yasubuhi nemagaribi ne ISHA, ate nokuzisoma mukyama muswala ebbiri Asri ne zuhuri]

Ate abakyala?

- Tewali kwatuza kubakyala okujjako omukazi kikakata kuye okusoma mukyama muswala yazuhuri ne Asri.

Singa mba simanyi teeka lyakwatuza nakusoma mukyama musswala oba nerabidde nensoma suula zombi oba emu kuzombi mukyama nga ate nsa’la swalati subuhi oba magaribi oba ISHA.

Oba nenzisoma oba emu kuzombi muddobozi eyawaggulu nga ate nsaala zuhuri oba Asri ekitegeeza nga ndikyenyume kyabyo?

Swalatuka swahihi: swalayo ebantuufu.

Ezo zengenda okusoma muswala raka- esooka neyokubiri, naye ate eyokusatu neyokuna naasomera muuki?

Gwe oliwaddembe wakati wokusomera muraka eyokusatu neyokuna suula Al-hamudu yokka.

Oba okusoma tasibiihaati enya mukyama mumbe ne zombi okujjako BISIMILLAH kikukakatako singa obadde imam oba nga oliwekka okujisoma mulwatu.

Singa mbansazewo okusoma tasibiihaati ngambantya:

- Kikumala okugamba mukyama: (SUBUHANALLAH WAL- HAMUDULILLAH WALA ILAHA ILLALLAH WALLAHU AKBARU) omulundi gumu oba emirundi esatu eranga kyeki singa obulungi.

Abaffe eyowaliyo ekyetagisa ekirala mukusoma?

- Yye, bwova mukusomakwo nogenda mumaso ekisinga obulungi kwekwatuza kunkomerero yebigambo okusi nziira kunjatuza yabyo toddira kigambo kiriko sukuuni noteekako fataha, ate ekisinga kwekutee ka sukuuni kunkomerero yekigambo nga oyimirira.

Ate kikukakatako oluvanyuma lwekyo okuwanvu ya enyukuta ya “ALFU” oluwanvuya olutonotono nga nawe osoma ekigambo [WALALLWAALLIINA] kunko mereo yasuula ya al- hamudu olyoke osobole okwekumira kukutuukiriza Tashidiidi ne ALFU mukifananyi ekirungi.

Oluvannyuma lwekyo?

- Sangula hamuza eyokuyunga mukusomakwo singa esangiddwa wakati mubigambo sosikuntandikwa- kwa bigambo, ate oyolese hamuza eyokukutula singa ogenda kuyimirira esobole okweyoleka kululimilwo nga etegeerekeka mukuyimirira.

Mpayo kukyokulabirako eri hamuzatul wasuli ne hamuzatul qatu’e.

- Hamuza mukigamba (ALLAH, ARRAHMAN, ARRAHIIM, IHDINA) eyo gyebayita nga osoma obanga oge nda mumaso nokusoma.

Ate hamuza eri mukigambo [IYYAKA, AN- AMUTA) eyo gyebayita hamuzatul qatu’e eyolesebwa kululimi nga ojatuza mukugisoma.

Oluvannyuma ate kiki?

- Olvanyuma bwoba oyagadde okusoma suula yatawuhiidi oluvanyuma lwa AL- hamudu nga gyolonze mukifokye ssuula endala kikwanguwira okuyimirira kukigambo : (AHADU) nokiteekako sukuuni bwoti (AHAD) nga osoma aya eyekitiibwa: (QUL- HUWALLAH AHAD) ekitege za owummulamu katono nga tonnaba kusoma aya eddako: (ALLAH SSWAMAD).

Taata yayongerako nagamba:

Kulwokukuuma obutuufu bwokusomakwo muswalayo nkukuutira obeerenga osalira emabega wa imam amamyi okusoma muswalaye musswalaye akuyigirize okusomakwo nesswalayo Singa ekyokikuzibuwalira, mubutonoennyo gezako okuyiga okusoma obulungi essuula ebbiri (suula ya al- hamudu nessuula egiddako) nga ogobe rera omu kubasomi ba qru’an abatikirivu aba ma nyi okwatuza enyukuta obulungi, nga ogoberera okusomakwe nokusomakwo, mukiseera ekyo notegee ra ensobiizo singa aba ozisanze ozitereze ekyo kyekirungi okusinga okugenda mumaso nga ate olikunsobi zewakulirako okuva mubuto yadde nga ozuudde ensobiyo oluvanyuma lwekise era obanga osadde emyaka mingi esswala etali ntuufu mukusoma

EKYOKUNA: OKUYIMIRIRA.

Amakulu gakwo meyolefu, naye njgala kutegeeza nti okuyimirira kyekimu kubitundu byasswala eranga kirina ekitendo ekyokwegatta, kwo okuyimi rira kuyinza okuba mpaji nga okuyimirira mukutool la takibirat ihram nokuyimirira nga tonnaba kuku tama kwebayita okuyimirira okwegasse nokukutama.

Olwonno nebifuuka empaji ate kiyinza okuba ekikakafu nayenga simpaji nga okuyimirira nga osoma nokutoola tasibiihi nokuyimirira oluvanyuma lwa – rukuu- okukutama mukiseera ekyo kubeerako amateeka gebikakafu musswala nayenga simpaji.

EKYOKUTANO: OKUKUTAMA.

Oluvanyuma lwokusomakwo essuula ebbiri kiku kakatako okukutama.

Naye nkutama ntya?

- wewetamu okutuusa ennwezengalozo lwezitu ka kumaviiviigo kati bwomala okutebenkera mukukutama ogamba [SUBUHANA RABIYAL AZWIMI WABIHAMUDIHI] omulundi gumux3, oba ogamba:

[SUBUHANALLAH] emirundi esatux3, oba ogamba:

[ALLAHU AKBAR] emirundi esatu, oba ogamba:

[AL- HAMUDULILLAH] emirundi esatu, oba ebirala ebita li- ebyo nayenga biri mukigero kyabyo mukujjukira ALLAH nga okuleeta tahaliili essatu.

Olvanyuma noyimuka okuva mukukutamakwo noterera, okutuusa nga omaze okutebenkera mukuyimirira okkawansi novvunama.

EKYOMUKAGA: OKUVVUNAMA.

Kikakata buli mulaaka emu enzivunnama nebige re ebissajja byombi nobiteeka kuttaka.

Ate kalombolombo lwekyo kyovvunamako nobeekako ekyenyikyo kirina okubanga kiva muttaka oba mubimera ebyomuttaka ebitaliibwa yadde okwa mbalibwa.

Mpayo kukyokulabirako kwebyo ebitasaana okuvunnamako kulwokuba nti biriibwa oba byamba lwa?

- Emboga namatunda tebisaana kuvunnamirwako kubanga biriibwa, ate pamba ne tebi saana kuvunnamako kubanga byambalwa.

Kukintuki kwemba mvunnama?

- Beeranga ovunnama kuttaka oba kumusenyi, oba kukayinja, oba kulwaazi oba kulubawo oba kwekyo ekitaliibwa mubioola byomuti vunnama kumuti ekkoola lyagwo nga erikozesebwa muku wandiikako oba olupapula lwenyini singa luba lwakolebwa mulubawo oba mupamba oba kittani vunnama kubisunku, nebyesogedde binginnyo.

Tovunnama kungano nomubere nepamba nebyoya nequpa nekoolansi nekisinga obulungi kwe kuwmama kutaka naye ekisingira ddala ye turubatul huseiniyya emirembe gibeere kuuye.

Bwemba sisobodde kuvunnama kwebyo ebisaana okuvunnamibwako kulwobutabeerawo mubungi oba nga ntya okubivunnamako mungeri yatuquya?

- Bwoba tofunye bivunnamirwako beeranga ovuna ma ku koolansi bwebiba tebifunyise vunnama kukyoyagala... kulugoyelwo oba kukibatokyo ate bwobeera mungeri ya tuquya vunnama kwe kyo tuquya kyegamba: tewerabira kubeeranti ekifo wovunamira kibeera kulevo emu namaviiviigo nennwe zebigerebyo ebisajja tekyeyongera obuwanvu bwekimu kubyo kukinne wakyo engalonnya ngazigatti ddwa wamu nabwekityo ekifo kyovvunamirako kukifo woyimirira

Singa nteeka ekyenyi kyange nekibato kyange nebige re byange nevviiviryange kuttaka kikikyenkola?

- Gamba oluvanyuma lwokutebenkera mukuvunnama: (SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMUDIHI) omulundi gumu oba gamba: (SUBUHANALLAH) oba (ALLAH AKBARU) oba (AL-HAMUDU LILLAH) emirundi esatu oba ebirala mubyokwogera ku ALLAH ebifanaganako nga ebyo.

Oluvannyuma situla omutwegwo otuule otebe nkere, bwotuula notebenkera, zaawo omutwe ovvuname oluvunnama olwokubiri osomere mulwo kyolonze mwebyo byo tegedde mukusooka.

Bwemba sisobodde kwewetamu okujjuvu okwo kuvvunama kulwobulwadde?

- Gezako okuvvunama ekigero kyosobola, oddire kyovvunamako okiteeke wagguluko oluvanyuma oteekeko ekyenyikyo nga olabirira okuteeka ebimu kubiyungobyo mubifo byabyo.

Bwemba sisobodde mwekyo nakyo?

- Wunzikira omutwegwo eri ekifo kyouvunamira mu bwoba tosobodde laza namasogongo ozibiriza kulwokuvunnama ate nga omoga ekiraga nti omaze okuvunnama.

EKYOMUSANVU: TASHAHUDI.

Ekakata oluvanyuma lwokuvunama omulundi ogwokudiri nga ova mulaaka eyokubiri buli muswala, nemulaaka esembayo muswala ya magaribi ne- zuhri ne- Asri ne SIHA.

Kiki kyenjogereramu?

- Gamba: [ASHIHADU ANLA – ILAHA ILLALLAH LASHARIIKALAHU, WA-ASHIHADU ANNA MUHAMMADA ABDUHU WARASUULU HUALLAHUMMA SWALLI ALA- MUHAMMADI WA- AL MUHAMMADI] ajogera mukifananyi ekirunginga otudde otebe nkedde mukutuulakwo nga oyanguyiriza wakati webikolwabyo.

EKYOMUNANA: OKUKUBA- SALAM.

Nayo nkakafu mulaaka esembayo buli muswala ogamba oluvanyuma lwatashahudi nga otudde oteredde mukutuulakwo.

Njogereramu kiki?

- Kimala okugamba muyo: (ASSALAM ALAIKUM) ekisinga obulungi oyongerako (WARAHMATULLAHWABARAKATUH) ekisinga obulungi muyo ogamba okusooka: (ASSALAMU ALAIKA AYYUHANNABIYYU WARAHMATULLAHI WABARAKATUH) (ASSALAMU ALAINA WA- ALA IBADILLAH SSWALIHIINA).

Ebyo byebiyungo byasswala olina okubituukiri za kimukukimu nga bwembibaze nembiteekulula nga biddiringana ebimu bidda kubinne wabyo ate ebimu bikwata kubinne wabyo awatali kulekawo kabanga akonoona ekifananyi kyesswala nobumu bwayo.

Lwaki toyogedde ku- qunuutu ate nga ggwe ositula emikonogyo nokola qunuutu muswalayo?

- Qunuutu yo-eri- mustahabbu omulundi gumu muswala zonna ezabulilunaku nendala okujjako: [SWALA YA- SHAFU-E] oluvanyuma lwokusoma essuula ebbiri mulaaka eyokubiri nga tonnaba kukutama situla emikonogyo okole qunuutu bwoba oyagadde mustahabu.

Abaffe erina enjogera eyetekuludde gyenyinza okwogera?

- Nedda, kikusobokera okusomeramuyo Aya ya qru’an nga osabiramu ALLAH omugulumivu kyonna kyoyagala nowanjagira omuleziwo nomuzaba nedduwa yonna gyoyagala.

Kaakati mmaze okumanya engeri gyensaalamu era kiki kyengamba oba kiki kyenkolera buli mukitundu wentuuka musswala njagala okukubuuza kwebyo ebyonona esswala abaffe waliyo ensonga ezonoona esswala nekinkakatako okuddamu esswala singa bifunika?

- Yye, era nzijakubikubalira?

1- Okuleka ekimu kubiyungo oba ebitundu byasswala ebyasoose nga ate ogenderedde,: enniya,oba takibi ratul-ihramu oba okukutama, okuvunnama, oba ebirala ebiringa ebyo.

2- Okuvamu omukka nga osaala eranga olimusswala newankubaddenga kwerabira oba kuwalirizibwa olu vannyuma lwoluvunnama olusembayo.

3- Okukyusa ekyenyi okukijja muqibula mubujjuvu bwakyo oba omubirigwe gwonna nga agenderedde.

Singa atunua erudda nayenga katono ngabwa yinza okuchukako katono nga tekiraga nti tatunudde muqibula?

- Ekyo tekikosa swala naye kyetamibwa.

4- Singa omuntu asaala asekera musswala nga agenderedde muddobozi eyawaggulu ewulirwamu okutyetyemuka.

5- Singa omuntu asaala akaaba nga agenderedde.

Sinsonga oba okukaaba kubeeramu eddoboozi oba teribeeramu yadde ekimu kubintu byedduniya naye tekikosa kukaaba singa ensonga ekwata ku- Akhera.

6- Okwogera nga ogenderedde musswala yadde enyukuta emu singa ennyukuta ebeera mu amakulu sinsonga oba ayagadde makulu gaayo okugeza nga bwanagamba (Qii) kikolwa kyakula gira kiva mukigambo (waqa) okwekingiriza oba ayagadde kutegeeza makulu malala agatali gakigambo kyayogedde nga bwayinza okubuuzibwa nga alimusswala nti nyukutaki eyokubirimunyu kuta za- alfabetiko? naddamu nti (BBE) ate mubigambo ebyonona esswala tujjululamu okuddamu salam nga bwoba ogiwulidde kubanga okujiddamu kuli wajibu kukakafu.

7- Okukola omulimu ogujjawo ekifanaanyi kye sswala nembeera yayo okugeza nga okutungira musswala oba okwetakula enyo.

8- Okulya nokunywa nga olimusswala newanku badde nga tekijjawo mbeera yasswala wabula kyokyonoona esswala.

9- Okugenderera okuteeka omukonogwo kugu nnewagwo nga oyimiridde musswala nga ogende reramu kugonola nakukola mpsa eri ALLAH ngeri yakutya nga nakyo kyebayita ATTAKIFIIRI.

10- Agoberera lmam okugamba nti (AMIINA) nga imam amazeeko suula AL-FATIHA awatalikutya.

Ate oluvanyuma waliwo ebisaana okwogerwako nga nalyo lyessomo (lyashakk) okubuusabuusa muswala

Abaffe okubuusabuusa musswala kitta esswala?

- Okubuusabuusa musswala tekitta swala bulijjo nabuli- mungeriyona, ezimu kumbuusabuusa zitta esswala, ate ezimu- muzo tezitwalibwanga ekntu wabula zirekebwanga bweziri.

Kati mukutwaliza awamu ngenda kukuwa etteeka eribuna ngalikwata kuzimu kumbeera zashakk- okubuusabuusa.

QA’EDA esooka: buliyenna abuusabuusa muswalaye ntuufu oba sintuufu oluvanyuma lwokumaliriza swalaye awo tubala swalaye nga ntuufu.

Ekyokulabirako:?

- Singa obuusabuusa oluvanyuma lwokusaala swala yasubuhi nga ewedde, abaffe osadde laaka bbiri oba zisukkamu oba teziweze bbiri ? awo gamba nti swalayange ntuufu.

QA’EDA eyokubiri: buliyenna abuusabuusa mukitundu kyesswala mubimu kubitundu byesswalaye nayenga amaze okukivamu, ekitundu ekyo kibalibwanga kituufu era neswalaye nga ntuufu.

Ekyokulabirako?

- Singa obuusabuusiaizza muksomakwo, obamubutuufu bwokukutamakwo oba okuvunnamakwo oluvanyuma lwokumala okusoma, oba okukutama, oba okuvunnama lwokumala okusoma, oba okuvunnamakwo oluvanyuma gamba nti okusoma kwange kutuufu, oba okukutama kwange kutuufu, oba okuvvunama kwange kutuufu... ate oluvannyuma lwebyo swalayange yonna ntuufu.

QA’EDA eyokusatu: buliyenna abuusabuusa mukuleta ekitundu mubitundu byesswala atenga amaze okuyingira mukitundu ekiddako kwekyokyavamu azimbira kukugamba nti akikoze era nesswalaye ebantuufu, wabula kimala okuzimbira kwekyo kulwabwokka bwakuyingira mwekyo ekitasaana kuyingirwamu shari, eyya okukugerageranya kwo kutta ekitundu ekisoose kagenderere.

Ekyokulabirako: singa obuusabuusa nga olimusu ula eyokubiri abaffe osomye suula ya AL- fatiha oba ogyerabidde, notagisoma gamba: mazima nze ngisomye ogende mumaso nesswalayo, nabwekityo singa obuusabusa nga olimumbeera yokugenda –murukuu- okukutama abaffe osomye essuula oba nedda? gamba nti mazima nze ngisomye ogende mumaso neswalayo, era ebeera ntuufu.

QA’EDA eyokuna: buliyenna ayitiriza okubuusa buusakwe nasussa ekikomo ekyobutonde, ava kukubuusabuusa natakutwala nga kintu eranatatu nulayo. Swalaye gyabusizzabuusizza muyo ebeera ntuufu.

Ekyokulabirako?

- Singa mubiseera ebisinga obungi obuusabuusa nga ate olimusswala yasubuhi nobuusa buusa mumuwendo gwe laaka zaayo, kyokola kuleka butafayo ku shakkuyo, nogamba: swalayange ntuufu.

Singa oyititiriza okukola shakku mukubeeranti ovvunamye enzivunnama biri oba lumu ogamba: mazima ggwe ovvunamye emirundi ebiri era tofayo kushakkuyo wabula swalayo ebantuufu nabwekityo bulijjo.

Ntegeera ntya nti ndina shakku mpitirivu?

- Omuyitirivu washakka ategeera yekenyini mubwangu... anti kumala bumazi shakkaye okweyongera kuba ntu ababulijjo abamufanana ate kimala obutasaala swala ssatu okujjako nga abuusizza mwemu kuzo.

- QA’EDA, eyokutaano: buli yenna abuusabuusa mumu wendo gweeraaka za- swala yasubuhi oba swalaya magaribi oba mulaaka ebbiri ezisooka esooka neyokubiri buli musswala eyelaaka ennya nataso bola kulondako mumagezige emukundowooza ebbiri, era natasobola kulondako mumagezige muwendo gwetongodde mulaaka ezo, wabula nasigala nga talina kituufu okujjako shakka nga tamanyi laaka mmeka, omuntu ngoyo swalaye ebeeranfu.

Ekyokulabirako?

- Singa afuna shakka –katugeze- nganaye asaala- swala ya subuhi nagamba abaffe oba ndimulaaka yakubiri oba esooka neyetegerezamu katono, nalowoza, kati singa abatatuuse kukirowoozo kisembayo ekyenkomerero natalondawo mumagezige nti- mazoma alimulaaka esooka katugeze, oba laaka yakubiri swalaye eba efudde.

Singa alondawo mumagezi emu-kundowoza ebbiri nga bwanasalawo nti alimulaaka esooka?

- Singa alondawo omuwendo gwe- laaka ogweyawudde akolera kwekyo endowoza kyegamba, bwekibanga ekiyisiddwamu-mukibuuzokyo- yendowoza nti mazima laaka yesooka, kyakola kuleeta laaka yakubiri najju za swalaye era ebeera ntuufu nabwekityo embeera musswala yamagaribi nemulaaka ezisooka esooka neyokubiri buli musswala eyelaaka ennya.

Kati mmaze okutegeera etteeka lyashakka mu sswala ebbiri eyasubuhi nemagaribi, ne mulaaka ebbiri esooka ne yokubiri muswala yadhuhuri ne asri ne isha, naye tteekaki erikola mushakka singa ziba dde laaka yakusatu oba yakuna muswala ezee laaka ennya?

- Singa mumagezige alondamu omuwendo ogweyawu dde mulaaka akolera kundowozaye kyegamba era okusinziira kwekyo kyayisizzamu mumagezige.

Singa asigala nga alimubbanga abuusabuusa addingana?

- Mumbeera nga eyo kijja kwetagisa okunnyola nyo kubanga bulikifo wona kirina etteeka lyakyo eri kyeyawulidde, nzijja kwegerako ebimu mukubala nayenga sijja kuwanvuya:

1- Omuntu abuusabuusa wakati welaaka eyokusatu neyokuna wonna shakka weebeera azimbira kukuga mba nti eyo laaka yakuna najjuza swalaye.

2- Bwamala naleeta laaka bbiri nga atudde oba laaka emu nga ayimiridde, eyo- neyitibwa swala ya “IHTIYA”. Ti

3- Omuntu akola shakka wakati welaaka eyokuna neyokutaano nga amaze okuyingira mulukutama olwoku biri (era nga ateese ekyenyikye kukivunnamirwako yadde nga tanaba kutandika kutendereza) azimbira kukugamba nti eno laaka yakuna bwamala najjuza swalaye bwamala navunnama emvunnamabbiri ezookwerabira oluvanyuma lweswala.

4- Omuntu bwakola shakka wakati welaaka yoku biri neyokusatu nga amaze okuyingira muluvunnama olwokubiri azimbira kukugamba nti alimulaaka yakusatu, naleeta eyokuna oluvannyuma lweyokusatu, kati bwamala swalaye, asaala swalaya lhitiyati (nga nayo ebeera laaka emu nga ayimiridde).

Swala ya lhitiyati esaalibwa etya?

- Oluvannyuma lwokumala esswalaye bwaba nga tannaba kutunula kuddyo nekukkono eranga tanna ba kukola kyonoona swala atandikirawo swala ya lhitiyati naleeta takibira bwamala nasoma al-fatiha (mukyama) naye temwetagisamu suula-ya kubiri, bwamala nakutama navvuunama naleeta tashahudi nakuba salam singa swala yaihitiya ti ebeera yalaka emu naye singa ebeera yalaaka bbiri kyakola kuleeta laaka yakubiri ngabwako ze mulaaka esooka.

Ate okuvunnama okwokwerabira kuli kwewayogedde?

- Oleeta niya novvunama oluvannyuma lweswala direct ate ekisingaobulungi kwekuleeta takibira lhram nogamba mukuvunnamakwo:

(BISIMILLAH WABILLAH ASSALAM ALAIKA AYYUHA NNABIYYU WARAHMATULLAH WABARAKATUH).

bwomal nositula omutwegwo kuttaka notuula ate noguzzawo mukuvunnama nga bwewasoose ate nositula omutwegwo notuula noleeta tasha hhudi nokuba salam nabwekityo nomala suju udi- ssahawi.

Taata yayongerako: leka kibeere mundowozayo nti mazima ovvunama sujuudu –ssahawi sirwakuba nti kubanga okoze shakka mulaaka eyokuna neyokutaano wabula sujuudi sahawi ekolebwa nemubifo ebirala bingi:

A- Singa oyogedde musswalayo nga werabidde oba nga bugayavu.

B- Singa oleese ssalamu mukwerabira mukifo ekitasaana kutooleramu salam nogamba: (Assalamu Alaikumu) oba ogambye (Assalam Aleina wa-ala ibadillah sswalihiina) kyokka nga tonnaba kujjuza swalayo.

C- Singa werabidde okuleeta tashshuddi muswalayo novunnama envunnama ebbiri ezokwerabira neki singa obulungi kuleeta tashahhudi awamu nekyo.

D- Singa ofunamu okumanya mukutwaliza awamu – oluvannyuma lweswala- nti mazimaggwe oyonge ddemu oba okendeezezza awamu nokubeera nti swalayo eramulwa nga ntuufu olina okuvunnama sujuudu – ssalhlwi mukiseera ekyo.

Ezokwerabira singa oba werabidde sajida emu muswalayo –oluvanyuma lwokuliwa oluvannyumalwe swalayo- oba nga oyimiridde mukifo kyokutuula oba opoziiti yakyo mukwerabira, wabula ekirungi kwekuvunnama envunnama ebbiri ezokwerabira buli lwoyongeramu oba okukendeeza musswalayo.

E- Damu okuvvunama kwasahawi emirundi nemirundi egyetagisa ekitegeeza beera nga ovunnama emiru ndi ebiri oba okusingawo.

Nsemberedde oluvanyuma olwokukomenkkereza okwo gera kwaffe kussomo elyesswala nsaba taatawange ampeyo essomo elyokukolerako eri esswala eye laaka enya kubanga yesinga obuwanvu musswala ezabulijjo enkakafu mbeerenga nekenneenya ngeriki taata gyaleetamu takibiratil ihram era nasoma nakutama navvunama nakuba salam, wabula mazima nadda emabega oluvannyuma lwokujjukira nti mazima asaala bulilunaku eswala ya ISHA nga ate nayo swala yalaakannya mulwatu nengamba mumwoyo gwange: bwekiba bwekityo kamugenderere nga asaala.

Mukiseera taata weyayagalira okutandika swalaye eyelaaka ennya eri eyolwatu, nalinga ndimuyitirivu WA kumutunulira eranga wendintunula nga bwendaba ekifuluma nekiyingira mukwenyenya kweswalaye, era ngenda kubatedera ngeriki taata gyeya saalamu:

Yatandika okusooka najjuza wuzuye.

Nayimirira kumusaalogwe nga ayolekedde muqibla nga mugonvu nayaziina nakima esswala bweyamala nata ndika esswalaye, nakuba takibira nga agamba:

[ALLAHU AKBAR] bweyamala nasoma suula ya- alifatiha nagoberezako suula ya- al-Qadr.

Bweyamala okujijjuza nga ayimiridde yesimbye nakutama, bwamala okuterera mukukutama yatendere za nagamba: SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMDI

Bweyamala okwatuza ennyukuta esembayo mukutendere zaa nga akutamye, yesimba naterera nga ayimiridde kubigerebye.

Bweyamala okuterera muluyimirira nakka wansi avvuname, bweyaterera mukuvunnamakwe yatendereza nga agamba: [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI] bwamala okujjuza olwatuza olusembayo nga naye avunnamye, yatuula okuva mukuvunnamakwe bwamala okuterera mukutuula naddawo avvuname olwoku biri na someramu nga bweyasomye olwasose:

[SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMUDIHI]

Bweyamala nasitula omutwegwe mukuvunnamakwe natuula ayimirire nga yesimbye kubigerebye kulaaka eyokubiri Bweyatebekera mukuyimirira, nasoma suula ya- al-fatiha, lero kuluno yazzaako suula yatawuhiidi bwamala okugisoma, nasitula emikono gye kulwaqunuutu, nasomera muqunuutuye aya ya- QRUAN: [RABBI IGFIRILI WALIWALIDAYYA WALIMANI DAKHALA BAITIYA MU- UMINA WAL- MUUMINIINA WAL- MUUMINAAT WALATAZDI ZZALIMUNA ILLA TABAARA]

Oluvannyuma nata emikonogye okuva muqunuutu nakka akutame, bweyaterera mukukutama nasoma:

[SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMDIHI]

Oluvannyuma naterera nga ayimiride akke mukuvu nnama, bweyavunnama nasomera mukuvunnamakwe:

[SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]

Bweyamala natuula okuva musajida esooka nga ayagala sajida eyokubiri, bweyavunnama nasoma:

[SUBUHANA RABBIYAL A- ALA WABIHAMDIHI]

Oluvannyuma natuula okuva mukuvunnamakwe bweyaterera mukutuula natoola tashahhudi nga agamba: [ASHIHADU ANLA- ILAHA ILLALLAH WAHDA HU LASHARIIKALAHU WA- ASHIHADU ANNAMUHAMMADA ABDUHU WARASUULUHU ALLAHUMMA SWALLI ALA MUHAMMADI WA- ALIMUHAMMADI].

Bwamala okuva mutashahhudi yayimrira neyesimba kulaaka eyokusatu najitandika- nga atendereza :

[SUBUHANALLAH WAL- HAMUDULILLAH WALA- ELAHA ILAA- LLAH WALLAH UAKBARU] emirundi esatu x3nayenga muddobo zi yamukyama.

Oluvannyuma nakutama nasomeramu ngabweyasose [SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMUDIHI] bweya mala nayimirira nga ayimiridde okuva mukukutamakwe nakka avvuname, nasomeramu nga bweyasomye okusooka [mukuvunama: SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]. Bwatyo.

Bweyajimala, nayimirira kubigerebye okuleeta laaka eyokuna eranga yesembayo, najitandika nga bweyatandi ka ezakulembedde nokutendereza nga agamba:

[SUBUHANALLAH WAL- HAMUDULILLAH WALA –ELAAH ILLA LLAHU WALLAHU AKBARU].

Bweyamala nakutama nga bwasoma: [SUBUHANA RABII YAL AZIIMI WABIHAMDIHI] bweyamala nayimirira akke wansi avvuname nga bwasoma [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]bweyamala natuula avvuname olwokubiri era olusembayo muswala gyalimu nasomeramu –ngabulijjo: [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]. Bweyamala natuula nga mutebenkevu aleete Tashahudi nga bwagamba nga bweyaga mbye mutashahudi eyasoose:

[ASHIHADU ANLA ILAHA ILLALLAH WAHDAH ULASHARIIKA LAHU, WA-ASHIHADU ANNAMUHA MMADA ABDUHU WA RASUULUHU, ALLAHUMMA SWALLI ALA- MUHAMMADI WA- AL – MUHAMMADI].

Bweyamala okujjuza tashahhudi natolera salamu kunabbi (saw) ngaagamba: [Asslam Alaika AYYUHANNABI YYU WARAHMATULLAH WABARAKATUHU] bweyamala najjuza swalaye nga agamba:[Assalam Alaina wa- ala ibaadi llah sswalihiina] [ASSALAM ALAIKUM WARAHMATULLAH wabarakatuh].

Bwatyo taata bweyasaala swala ya ISHA ate yali amaze okusaala egifanana mubutiuvu okugeze nga swola ya- zuhuri ne Asri- nga ate zombi zirimu laaka- nnya (4) –wabula mazimaye yasoma suulabbiri mulaaka zaazo esooka ne yokubiri nga agisomera mukyama.

Mazima namugenderera, nga naye asala swala yamagaribi, nemusanga nga agisaala ngabwasaala swala ya ISHA, wabula bweyamala okuvunama olwokubiri nga alimulaaka eyokusatu, yatuula naleeta tashahudi nessalam era nga akomeknkereza swalaye kubanga [swala yamagaribi eri nalaaka ssatu].

Bwentyo nemugenderera nga asaala swala eyoku makya [swala ya subuhi] nemusanga nga asaala nga bweyassadde swalat ISHA, wabula bwamala okuva musajidi eyokubiri nga alimulaaka eyokubiri naleeta Tashahhudi, nakuba salamu kumulundi guno ajjuze swalaye kubanga swala yasubuhi erimu laakabbiri.

Bwatyo taata bweyasaala nga swalaze ezabuli lunaku, wabula mazima nze mukutegeera kwange kwennafuna mukumugenderera nokunyweza nokwekanya ngenda kubabuulira ebimu kubintu ebyeyawulidde esswa la, nga taata bweyazisaala nayenga biri mungeri yapoints:

1- yalinga akwatirwannyo omululu omuyitirivu abeerenga asaala swalaye muntandikwa yekiseerakyayo, nga asaala zuhuri mukiseera a’wo ekiseera kyazuhuri wekituukira [okuchuuka KWENJUBA] era nasaala magaribi muntandikwa yekiseera kyayo bwatyo bwenamubuuza kunsonga lwaki ayanguyiririza eri – sswala muntandikwa yekiseerakyayo, yankubira ekifananyi ne- hadiith yalmam ASSWADIQ (A.S) mweyagambira bwati: [OBULUNGI BWEKI SEERA EKISOOKA- KUKISEERA EKISEMBAYO BULINGA OBULUNGI BWENKOMERERO KUNSI].

2- Yalinga bwayimirira mumaso ga-ALLAH abeeranga asaala, nga bumweyolekako obuwufu bwokutya nokugonda nokwekkakanya –NYA, ebiseera ebimu yalinga addingana wakati womu tonzi nomwoyogwe yekennyini muddobozi ewulikaka na nga tannaba kugenda kumusaalogwe nga agamba:

[QAD AFULAHAL MUUMINUUNA *ALLAZIINA HUMU FISWALA TIHMU KHASHI-UUNA] nga alinga agunjula omwoyogwe ne A’ya eyo nga tannaba kwolekera eri-sswala nakujitandika nabeeranga ajjukiza omwoyogwe nemigaso oba obukulu bwasswala mungeri yokugondamuyo kulwa ALLAH.

3- Yalinga oluberyeberye nga tanaba kusaala subu hi nga asooka kusaalawo laakabbiri, nasaala laaka munaana- laaka bbiribbiri nga subuhi nga tannasaala zuhuri, nendala bwatyo nga tana saala Asri,- nasaala laakannya- laakabbiribbiri nga bwosaala subuhi-oluvannyuma lwa swala yamagaribi nasaala laakabbiri nga atudde oluvannyuma lwaswala ya- ISHA lwalilumu nemubuuza kusswala ezo.

Nagamba: mazimaza nawafilu [SUNNA] ziri ezayogerwa okuva ku-imam Askari (A.S) mazimaye yagamba: [mazimazo KEKAMU KUBUBONERO BWOMUKKIRIZA].

4- Awamu nokubeeranti hamza mukigambo “ALLAHU AKBARU” eyitibwa hamzatul qatwie, kikakafu okubeeranga eyole sebwa bulunginyo kululimirwo singa obeeranga oleeta takibira bwatyo taata bweyagamba.

Namugamba omulundi gwaligumu: mazima abamu mubantu baatuza hamza eno nga efanagana newa wu nga sentence bweyalibadde bweti: “ALLAHUWA- AKIBARU”.

Nagamba: nkwekesa okujatuza nga okwatuzakwa bwe mazimabbo basobya yayongera nagamba:

Bwetyo embeera bweri muhamza [ANI-AMUTA] mu- aya eyekitiibwa musuula yal-fatiha [SWIRATWALLAZIINA ANI-AMUTA ALEIHIM] yyo hamzatul Qatu-e era kikakafu okujoolese kululimilwo bulunginyo mukiseera kyokujatu za era bwotwo mubujjuvu mu-hamza [AL-ALA] muki gambo [SUBUHANA RABIYAL A-ALA WABIHAMDIHI]mukuvunnama yyo hamzatul Qatu-e nayo ekakata okwolesebwa kululimilwo bulungi nga ojjatuza.

5- Taata yagamba: gezaako okuyimirira kunyukuta yaddali mukigambo [AHAD] nga osoma Aya ya qru’an entukuvu musuula yatawuhidi [QUL HUWALLAHU- AU- AHAD].

Oluvannyuma nosaamu mpolampola nga tonaba kujongera ko Aya eddako [ALLAHU- SSWAMAD] ekyo kyekisinga obwangu gyoli era kyekigonvu.

6- Taata yalinga ateeka empeereze kunkomerero yebi gambo muswalaye singa ayatuza eranga agenda mumaso mubigambobye nokusoma ate yalinga abiteekako sakina kunnyukuta esembayo mukigambo ekyokyayimirddeko singa aba ayagadde okuyimirira.

7- Nabuuza taata omulundigumu: nkuwulira mukiseera wosomera ekigambo kya katonda:[BISIMILLAH ARRAHMAN ARRAHIIM] oteeka kasira kunnyukuta ya-miimu mukigambo [ARRAHIIMI] ate nokisoma bwotwo nga osoma [ARRAHMANI ARRAHIIMI* MALIKI YAUMIDDIINI] musuula ya-al-hamdu atenga mpulira abantu abasinga obungi basoma nebateekako zumma nga bali musswala.

Nga bwenkuwulira nga osoma musuula ya-alamdu:

[IYYAKA NA-ABDU] oteeka zumma kunnyuku ya BBA mukigambo [NA-ABDU] atenga mpulira abamu mubantu bateekako kasira nga basaala.

Yaddamu nagamba: abaffe tewasoma kussomo lyanahawu nomanya amateeka ganahawu?

Namuddamu nengamba: nalisoma. naye sikiwanvunnyo.

Nagamba: kiki abamanyi banahawu kyebagamba muku teeka empereze mubigambo bino ebibiri [ARRAHMANI ARRAHIIM]?

Namuddamu nti bateekako kasira ngaggwe bwosoma .

Nagamba: ndetera copy yakurawram entukuvu.

Nengimuleerera copy okuva mukitabo kya ALLAH eyali okumpi nange.

Nagamba: Jayo suula ya-alihamdu ogitunuulire .

 Nenzijayo suula ya-alhamdu nensanga nga kasira neyolefu kunkomerero yebigambo byombi [ARRAHMAN ARRAHIIM] nensanga nga ennyukuta ya (B) mukigambo NA- ABDU, mu-aya [IYYAKA NA- ABDU]nga eriko zumma sosikasira nemugamba: mbisanze ngaggwe bwobisoma.

Nagamba: kakati soma nga bwebiri mukitabo kya ALLAH ate wegendereze kunsobi ezabuna mubamanyi era abasomi naawe oleme kuzigwamu.

8- Taata yalinga tatandika kwogera kukatonda mukukutama oba mukuvunnama okujjako nga amaze okutebenkera ku-ALLAH mubujjuvu nga akutamye oba avunnamye.

9- Yalinga bwasitula omutwegwe muluvunnama olusooka awummulam katono okutuusa lwatebenkera mukutuula ate naddawo oluvunnama olwokubiri era bwatyo bweyali akola mukusitula omutwegwe muluvunnama olwokubiri yalinga atuula oluannyuma nayimiriraokuleeta laaka ezisembayo.

10- Lumunamubuuza: nkuwulira nga osomera oba osabira wesabira ggwekennyini, nabazaddebo, nebagandabo aba kkiriza oluvannyuma lweswala direct.

Nagamba: yye, abul hasan (A.S) yagamba:[omuntu BWASABIRA BAGANDABE MUBAKKIRIZA ABAAMI NA BAKYALA ABASIRAMU ABAMI NA- ABAKYALA, ALLAH AMUTEEKERA KUBULIMUKKIRIZA MALAIKA NGA EMUSABI RAKO].

11- Ate namubuuza : nkulaba otendereza ALLAH buli luvannyuma lwaswala?

Nagamba: mazima zo tasibiihi ZA-ZAHARA (A.S) omubaka wakatonda zeyamuyigiriza (saw), era zezino: [ALLAHU AKBARU] emirundi asatu mwena (34) ate [AL-HAMDU-LILLAH] emirundi asatu mwesatu (33) ate [SUBHANALLAH] emirundi asatu mwesatu (33) wonna zibeera tasbiihi kikumi (100).

Abaffe tasbihi za-zahara zirina zirina obulu ngi?

- Yye, mazima byayogerwa nga biva ku imam SWADIQ (A.S) mazima yagambaeri taatawa haruuna (OWANGE TAATA HARUUNA. MAZIMAFFE TULAGIRA ABANA BAFFE TASIBIIHI ZA-HARA (A.S) NGA BWE TUBALAGIRA OKUSAAALA ZENYWE REZEEEKO, MAZIMA OMUDDU BWAZEKWATAKO TABEERA MWONONEFU)

Ate era byava kuye (A.S) yagamba: (TASIBIIHI ZAHARA BULILUNAKU OLUVANNYUMA LWABULI SWALA KYEKISINGA OKWAGALWA GYENDI OKUSINGA ESSWALA EMIRUNDI LUKUMI BULI LUNAKU OLUKUTAMA)

Singa waliyo ekisinga kwekyo obulungi omubaka wa Allah ylikiyigirizza Fatuma kulwekitiibwakye awali omubaka wa-ALLAH nga bwekya yogerwa okuva kuba Imam (A.S).

12- Ebiseera ebimu taata yalinga asaala swala ya zuhuri ate nagoberezako swala ya Asri direct, obanga asaala swala yamagaribi nagoberezakowala ya Isha direct, atenga ebiseera ebimu yalinga ayawula wakati weswala zombi, nassala zuhuri ate nadda kunsongaze, okutuusa ekiseera kyaswala ya-asri lwekituuka nasaala Asri, era bwatyo bwakola kuswala yamagaribi ne Isha.

Bwenamubuuza kwekyo yannyanukula: Ggwe oliwaddembe okulondawo mukugatta oba okwawulamu.

13- Nkuwulira –nagamba taata- Bwosoma suula ya Al-qadri oyolesa enyukuta yalamu singa obanga ekigambo kyakatanda: (INNA ANZALNAHU FII LAILATIL QADR) atenga mpulira abamu mubantu nga tebagyolesa nebeera nga ennyukuta yalamu teriwo nga alinga asoma (INNA ANZALINAHU) atenkuwulira nga osoma (SUBUHANA RABIYAL AZIIMI WABIHAMDIHI) noteeka zumma kunnyukuta ya ( SIIN) mukiga mbo (SUBUHANA) noyolesa fataha mukigambo (RABIYA) atenga mpulira abamu mubo tebagyatuza nga bwoyatuza?

- Sakugambye nti wegendereze mukusomakwo.

Index