back

OKWOGERA KU HIJJA

next

 

 

Wamu nokwagala kwamanyi okwedda okutannaba kuziba kiwundu kyabwagazi bwakyonokwokerera okulumya kwakoma wo mukusisinkana ekyengera ekyakakano.

Kitange yagenda nga annyumizaako Hijja-ye eya sooka, nga mumaasoge mulimu olutuuyotuuyo lukulukuta, nga nekululimirwe kuliko okwekesa okwekimpoowooze, nga waggulu wakamwaake waliyo okumweenyegeta okulaga okwagala nga kugezaako okweyanjuluza kwennyini, nayenga akuziyiza-nga bwekiri nti: nsonyi nga zakuweesa kitiibwa nakugulumiza okwensusso. Nagamba kitange nga embeeraaye emaze okunnyingira no- okundaga kyaali:- Nkulaba oyogera ku –Hijjayo eyasoo ka nga owomutango bwayogera kukuyambibwakwe okwa sooka.

Yagamba nga neddobooziye emaze okumenyeka era nekkakkana era nga bwambuulira:- nange nziramu naawe katikati olutambi lwokwogera kumboozi eyeeyaza nsaba okuddamu nokwagala okusambbattuka nebbugumu no’kuwoomerera nokuwunyiza empewo eyita nga eweweeza eranga yasigibwa mumwooyo.

Abaffe tewasoma kigambo kya katonda omugulumivu “MUKISEERA WETWAFUULIRA KAABA NGA BWEBUDDIRO BWABA NTU ERA NGA MIREMBE NAKUWONA”

Nekigambo kyakatonda kululimi lwanabbiwe IBRAHIIMU

–“Ay’KATONDA WAFFE MAZIMA NZE NTEESE olulyo lwange mulwazi omutali birime awali enjjuuyo eye mizizo Ay’ katonda waffe babeere nga bayimirizaawo esswala kale fuula emitima gyabantu nga gyaga la era gikyukira gyebali” yeewuuyo nanyini mwoyo gwange nga gwagala omulundi ogwokubiri katikati nga bwegwayagala omulundi ogwasooka eri enju entukuvu eri mulwazi olwereere, ebeerwamu nobuggumivu bwobubaka, ejjudde ekitangaala nakawoowo nokwagala okwokutukuza nniya nobulungi nokwagala

Kitange yagamba bwatyo, oluvannyuma nakoteka olukoteka olwekimpowooze nayimba neddoboozi elyawansi nga akoowoola omwoyogwe:

Owange mwoyo gwange olwaazi lwomwagalwa muhammad omujjuvu gwempewo nokwagala ensi omutali birime wano kyekimuli kya-kaaba nobubaka nekalifuuwa wano, yennuuru, kalenno ojira oggweeramu era osaamuuke.

Owange mwoyo gwange oliwakatiwange ne zamuzamu Nndese amaziga gange gampolerezeewo ebyonoonobyange

Neetolodde kuttaka emirundi musanvu nenjolekeza okwa gala kwange mubirungi ebiringa emmunyeenye zeggulu mukwewunyisa.

Era mukaaba ekimuli mwemuli ekyokwewunda kyomwo yo gwange, emiryango gyeggulu egiringa zaabu gimmazeeko ekiwoobe nekiwuubaalo.

Bweyamala nasitula omutwegwe nambuulilira nga agamba: bwegutyo omwoyo gwange bwegwekwata ku-hijja eyasooka, nabwekityo ebanga erikolebwamu hijja mumwaka wetusisinkanira libadde terinnaggwa kumutima atenga nsinda hijja, era nali nsabye omutonzi waliku-kaaba angabire obulongoofu nobu sobozi obwa hijja eyokubiri neyokusatu neeyokuna katonda agamba mubugulumivubwe mukitabokye ekye kitiibwa “katonda yakakasa kubantu okugenda okula mbuula kaaba erioyo aba alina obusobozi.”

◘ Kkkakafu okukola hijja omulundi gumu oba neyo kubiri neyokusatu neyokuna zonna ziri waajibu- nkakafu?

Nedda okakasibwaako okukola hijja omulundi gumu oluvannyuma lwokusobolakwo.

◘ Nnyumizaako ekyafaayo kya hijjayo eyasooka eri gye wakola?

Oluvannyuma nga mmaze okutuuka “JUHUFAH” kimu kubifo ebyatekebwawo sharia yobusuramu awambalirwa engoye za hiraamu ebifo biyitibwa bwebiti (MAWAAQIITIL- EHRAMU) bwennatuukawo nennuwirira ehiramu ya umura –ttamatue eri hijja nga kyakwesembeza nakyo eri allah, nayambula engoye zange nennyambala engoye za ehiramu nga nazo zeezIno ekkanzu nenkutu byombi nga byeeru, oluvannyuma neenkoowoola nga nsaba omutonzi muluwarabu olutuufu:

“LABBAIKA ALLAHUMMA LABBAIKA,

LABBAIKA LASHARIKALAKA LABBAIKA,

ENNAL HAMUDA WANNI-EMATA LAKA WAL-MULUKU,

LASHARIKALAKA LABBAIKA”

Olwali okugamba nti “LABBAIK” ennyingo zange nezikankana, nafunamu engeri yokutya nokugonda byesetegekera mumwoyo gwange oluberyeberye, muki seera ekyo najjukira ekyali kizuuka ku lmamuwo (AS) mukutya nokumyukirira ebbala nokukankana olulimi mukiseera kyokuleeta talibiya nga kutya ALLAH oweekitiibwa nakwawuka kuye.

Okuva lwennakola oba lwennayingira mu-Ehiramu nenziyizibwa okwegatta nomukyaala buli mungeri yonna, nokukozesa kalifuuwa, nokutunula mundabirwamu mungeri yokwewunda, nokubeera mukisiikirize kulwenku ba nomusana, nokwanbala ebitunge nebibifaanana ne ssookisi, nokubikka omutwe nebirala ebyalagirwa mu bitabo bya fiquhu.

◘ Oluvannyuma lwokukola ehirami.

Oluvannyuma lwokuyingira mu-ehirami nayolekera macca eyekitiibwa nga nettukuzza, mbeere nga neeto loola kaaba emirundi musanvu nga gitandiikira kajji nja eriddugavu eranga kwejikoma, era nsaale elaaka bbiri nga ezaasubuhi oluvannyuma lwokwetooloola emabega wekifo kya IBURAHIIMU (AS) nga nesembeza nemirimu gyange gyonna-UMURA ne Hijja-eri katonda omugulumivu.

Oluvannyuma nenjolekera okugenda okusonnyonta wakati wassafa ne maruwa emirundi musanvu nga ntandikira saffa okutuuka maruwa.

Bwenajjuza omulundi ogwomusanvu mukifo maruwa nakendeeza kunviiri zomutweegwange.

Mubufunze nakendeeza kumviiri nenzijuza umura ya hijja, nenva mu ehirami zange nnindirira olunaku olwomunaana lutuuke mumwezi gwazil Hijja olunaku lwa “TARIWIYYA” nga lwa kuddamu Hirami okutandiikira mumacca mwennyini omulundi omulala, naye ehirami e’yo ebeera ya hijja kumulundi ogwo siya umura.

Olunaku lwomunaana bwerwatuuka nennyambala enkutu yange nekkanzu yange omulundi ogwokubiri, nendeeta Nniya ya ehirami ya hijja, nennkowoola “LABBAIKA” oluvannyuma nenjolekera mu-Arafaati nemmotoka embikkule yaako kubanga kinkakatako okuyimirira e’yo era mbeereyo, okutandika muntadikwa ya zuhuri muttuntu lyolunaku olwomwenda mumwezi gwa zuli hijja okutuusa enjuba lwegwa.

Enjuba bwemala okugwa olunaku olwomwenda nga nange ndimu –arafaati nayolekera eemuzidalifa nensulayo ekiro kyekkumi mu zil-hijja, kubanga kinkakatako –fajiri- mambya yolunaku olwekkumi eveeyo nga nange ndimumu- ZIDALIFA era nsigalemu okutuusa nga omusana gunaatera okuvaayo.

Enjuba bweyavaayo olunaku olwekkumi nga nange ndimumuzidalifa, nava emuzidalifa nengenda “emina” nga Nnina obuyinja bwennalonze emuzidalifa, kubanga ebintu bisatu binnindiridde emina olunaku olwo kiri kunze okubituukiriza eranga byebino:

Okukasuka JAMURATI AQABA nobuyinja nobuyinja musanvu kamu ku kamu.

Okusala “HADIYI” emna.

Okusala enviiri emina “okumwa enviiri emina”

Bwenbimala nensala enviiri nenfuuka wahalaali okujjako okweyagala nebakyala nekali fuuwa, nokuyigga, ebyo nga sibikola olwo nengenda emakka omulundi ogwokubiri netolole olwetoloola lwa Hajji era nsaale swala ya Tawafu, nsonnyonte wakati wassafa nemaruuwa, nga bwennetoolodde nensaala nensonnyonta olwasoose okutuuka mumakka.

Bwennabijjuza nennetooloola “Tawafu NNISAA” nensaala swala ya tawaafu, ate nenkomawo emina kuba kinkakata ko okusulayo olunaku lwekkumi nolumu nolwekkmi nebbiri nsigale emina okutuusa oluvannyuma lwadhuhuri olunaku lwekkumi Nakasuka mubbanga eryo obuyinja obusatu akasooka nakomumakkati ne AQaba kamu kukamu mulunaku lwekkumi nolumu oluvannyuma nenkomawo nenkasuka ogwokubiri mulunaku lwekkumi nebbiri nga bwennakasuka okusooka.

Ettuntu lyolunaku lwekkumi nebbiri bweryatuuka neriyitamu, nga nange ndimumina, nensaala dhuhuri oluva nnyuma nenva emina nga mmalirizza emikolo gyahijja gyonna.

Okusinziira kukunyigagana okwamaanyi nenjuba nga ebuubuuka nomusenyu nga gwokya, awamu nokubanti nze nanyinkiira mwennyini- nga bwekiri – nga njagala kukakasa mubujjuvu nti mazima nze nyimiri dde my- Ara – faati sosiibweru waayo awamu neekyo mazima hijja neebeera mukolo gwamugaso kulwokusembera ewa katonda nokumwekwatako nokuyimirira mumaasoge nokuwoomerwa nokumwegayirira emisana nekiro.

Oluvannyuma lwekyo nava mumakka eyekitiibwa nga nze zenna ndimukujeegomba, nakusaalirwa okuyise era nga kulwaza kulwokwawukana nayo- nengenda emadiina munawwara gyennafunira ekitiibwa kyokula mbuula entaana ya nabbi oweekitiibwa muhammadi (s.a.w.) nentaana ya swiddiqatu ttwahira FATUMA ZAHARA (A) nentaana zaba imamu (A.S.) “imamu HASAN (A) imamu ALI bun HUSEINI (A) imamu muhammadi al – baagiri (A) ne imamu Jaafari ssaadiqi (A)”

 Oluvannyuma okulambuula emizigiti nebifo ebyebitii bwa ebiri emadiina munawwara nokulambuula Hamuza taata wannabbi omuto (S.A.W.).

Ebyo mubufunze yemboozi ekwata ku hijja yange eyasooka njikubuulidde kati mubufunze, ekiseera wofunira ezisobola okukola hijja oluvannyuma lwokuzitukuza nga ojjemu zaka ne khumusu singa ziba zituuse okujjamu khumusu oba zaka, olwo nzija kukwanjulukiza mubujjuvu buli kikolwa kyokola nga otuuseeyo.

Katonda akusobozese okulambuula enjuuye eye mizizo, era ogasibwe nga otuuseeyo mazima yye alikumpi era mwangu wakwanukula.

◘ Nga tonnamaliriza kwogera kwaffe kuno owange taata njagala okukubuuza “kukutukuza maali” zaka yaayo ne khumusu waayo biri byewayogeddeko mumbooziyo.

Sikati- kati, emboozi ekwata kuzzaka ne khumusu mpanvu tujja kuteekulula bulikimu namulyango gukyeyawulidde katonda bwanaaba ayagadde.

◘ Ojja kunnyumikiza kuzzaka bwekiba bwekityo, mu kwogera kwaffe okujja, oluvannyuma oyogere kukhumusu.

- Nga bwayagala inshaallahu- taala.

◘ lnshaallah.

 

 

Index